diff --git "a/data/lug/test.tsv" "b/data/lug/test.tsv" new file mode 100644--- /dev/null +++ "b/data/lug/test.tsv" @@ -0,0 +1,224 @@ +category headline text url +business Katikkiro Mayiga asabye abavubuka abawangaalira e Bungereza okutandikawo emirimu e Uganda Katikkiro Charles Peter Mayiga asabye abavubuka ababeera e Bungereza okutandikawo emirimu egy’enjawulo mu ggwanga lyabwe omuli okuzimba amakolero bayambeko ku bavubuka bannabwe abaasigala e Uganda. Okusaba kuno katikkiro abyogeredde Bungereza bwabadde asisinkanye abavubuka ababeera e London mu Bungereza ku ssomero lya School of Orient and African Studies. Owek. Mayiga agamba eno y’engeri yokka gyebagenda okutaasa bavubuka banabwe abataayayiza ku nguudo z’ekibuga olw’ebbula ly’emirimu. Ono era abasabye okukozesa obukugu bwe bafunye ku ssetendekero ono bekulaakulanya basobole okuleka omukululo. Katikkiro abakuutidde okusigala nga bawuliziganya n’abenganda zaabwe mu Uganda, kibayambe okuyunga oluganda kuba gye basibuka. Ensisinkano eno yeetabiddwamu Owek. Joseph Kawuki, Owek. Prosperous Nankindu Kavuma, Omulangira Dawudi Ggolooba; Ssaabalangira Godfrey Musanje Kikulwe, Abataka okubadde Nakigoye, Walusimbi,Ggunju, Kyaddondo, ne Kasujja wamu ne Bassenkulu b’ebitongole by’obwakabaka okubadde Omuk. Simon Kaboggoza – BLB; Omuk. Michael Kawooya Mwebe n’abalala. https://gambuuze.ug/2022/08/30/katikkiro-mayiga-asabye-abavubuka-abawangaalira-e-bungereza-okutandikawo-emirimu-e-uganda/ +business Bakutte 7 ku by’okusaba abantu ssente babayingize Emyooga Kampala Poliisi e Nakaseke ekutte abantu musanvu abavunaanyizibwa ku by’enkulaakulana mu kitundu kino ku bigambibwa nti, basabye abantu enguzi okubawandiisa mu nteekateeka y’Emyooga eruubirirwa okuggya abantu mu bwavu. Abamu ku bakungu ba gavumenti nga batongoza Emyooga Omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Savannah, Isa Ssemwogerere, ategeezezza nti abakwate kuliko ow’eggombolola y’e Ngoma ttawuni Kkanso, Wakyato, Kinoni, Kinyogoga, Nakaseke, Kito ne Kikamulo era nga bano okukwatibwa poliisi yasoose kutemezebwako omu ku bantu ababadde basabiddwa ssente. “Abakwate basabye emitwalo 5 ku buli muntu okusobola okubawandiisa mu nteekateeka y’Emyooga. Twakutteko musanvu era nga tulina omulala gwe tukyanoonya,” Ssemwogerere bw’agambye. Okusinziira ku Ssemwogerere bano babagguddeko emisango gw’okulya enguzi era nga bagenda kwongerwako emisango gy’okukozesa obubi woofiisi zaabwe. Enteekateeka y’Emyooga egenderera okuyamba abantu naddala banneekolera gyange nga mu bano mulimu; abavuzi ba boodabooda, ddereeva ba takisi, aba wooteeri, abookya ebyuma, abatunda mu butale, abavubuka, abakyala, abantu abaliko obulemu, bannazirwanako, abasomesa awamu n’abavubi. Mu kaweefube ono buli SACCO egenda kufuna obukadde 30 ng’ezentandikwa, wabula abasomesa n’ebibiina bya bakulembeze abalala bajja kufuna wakati w’obukadde 50 ne 60. Kinajjukirwa nti Minisita omubeezi ow’ebyenfuna, Haruna Kyeyune Kasolo, yalabula ng’okwewandiisa mu nteekateeka eno bwe kuli okwobwereere era n’alabula abavunaanyizibwa ku by’enkulaakulana mu byalo obutajja ku bantu ssente. Kasolo era yalabula n’abafunye ssente zino okukimanya nti zirina okusasulwa era nga singa zinaabalemerera bajja kusibwa. Ono yagattako nga bwe baleese Emyooga oluvannyuma lw’okulaba ng’enteekateeka ezaasooka zonna bwe zaalemwa okubbulula abantu mu bwavu. https://gambuuze.ug/2020/11/11/bakutte-7-ku-byokusaba-abantu-ssente-babayingize-emyooga/ +business Aba CBS Fans Club bafungizza ku Mmwanyi Terimba Abawuliriza ba leediyo ya CBS abeegattira mu kibiina kya CBS Fans Club mu ttabi lya St. Balikuddembe mu Buddu bafungizza okwekulaakulanya nga balima emmwanyi mu nkola y’Emmwanyi Terimba. Sophia Nabatanzi ne Juma Katende nga balaga bwebafunye mu kirime ky’ Emmwanyi Bano okuli; Sophia Nabatanzi ne Juma Katende, be baawadde obujulizi ku lwa bannaabwe ne bategeeza nti wadde waliwo ebibasoomooza naye obulamu bwabwe bukyuse nnyo olw’ekirime ky’emmwanyi nga kati baweza yiika 25. Bano balimira ku kyalo Kabaale-Kibisi mu ggombola ya Lwabenge mu disitulikiti y’e Kalungu ng’okulima emmwanyi bakumazeemu emyaka 8. Era nga bagamba nti ekibatusizza ku kino bwe bwegassi ne basaba abantu ba Kabaka okunyweza obumu. Olwaleero bano bakyazizza ssentebe wa CBS fans Club ettabi ly’e Kyaddondo Ssendyowa George William n’alambula ebimu ku bye bakola era n’awera naye okwekolamu omulimu n’abantu b’akulembera. Bw’abadde alambula Ssendyowa abasabye okwagazisa bannaabwe abalala basobole okulima emmwanyi. Okusinziira ku Katende, basobodde okuteekawo ekyuma ky’emmwanyi okubayamba okwongera ku mutindo kuba baakizuula nti abaguzi babadondola wamu n’okugula nga babajerega. Katende asabye wabeewo ekikolebwa ku kawuka akakaza emmwanyi era n’asaba Obwakabaka okubayamba babafunire eddagala basobole obutafiirwa. Bano basabye bammemba bannaabwe abakyakolera mu kibuga yokka beeyunire n’okulima kuba okulima tekusala. https://gambuuze.ug/2021/04/03/aba-cbs-fans-club-bafungizza-ku-mmwanyi-terimba/ +business Mwewale obukuluppya bwemuba bakuwaangula-Katikkiro Katikkiro Charles Peter Mayiga agambye nti kampuni yonna okuwangaala n’okuwangula, bannayiniyo bateekeddwa okuba abamalirivu wamu n’okuba n’obukugu mukyebakola. Okwogera bino, Ow’omumbuga abadde ku wooteeri ya Serena mu Kampala nga kkampuniye ne munne Francis Buwule, ey’amateeka eya Mayiga & Buwule Advocates, eweza emyaka 25 ng’eweereza Bannayuganda. “Lubadde olugendo olubaddemu eby’okuyiga bingi. Tetwalina nsimbi zitandika wabula obumalirivu n’ekirowoozo kyetwalina era twawagirwa abantu bangi,” Mayiga bweyategeezezza. “Ekyokuyiga kyetufunye mu lugendo luno kiri nti buli kintu kyonna ky’oyagala okukola weetaaga abantu abalowooza nti kirungi nebakuwagira. Twali balenzi bato, okutandika kampuni nga gyetugenda okuyimirirako kyali kyetaaaga obumalirivu.” Katikkiro yanyongeddeko nti esonga endala eyabasobozesezza okuwangaala ne munne wamu n’abawagizi baabwe, kwekuba nga bafubye okukola emirimu gyabwe nga tewali bukuluppya yadde okukukuta. “Emirimu gyetukola tulina okuba nga tugirinamu obukugu betukolera babe bamativu ate babuulire n’abalala. Twebaza nnyo abo abatwesize era kati waliwo omujiji omuto ogwa bannamateeka ndowooza baggya kusobola okutwala omulimu guno mumaaso.” https://gambuuze.ug/2019/11/29/mwewale-obukuluppya-bwemuba-baakuwangula-katikkiro/ +business Kampuni Ya Bannamateeka Ba Buganda Ekkiriziddwa Okutandika Emirimu Bya Musasis waffe Oweek. Christopher Bwanika Akakiiko akakola ku nsonga z’abannamateeka kayite Law Council, kakakasizza kampuni ya Buganda eya Bannamateeka emanyiddwa nga Buganda Royal Law Chambers okutandika okukakkalabya emirimu. Okusinziira ku bbaluwa eyawandikiddwa Margret Apiny, ssaabawandiisi wa Law Council, Obwakabaka bwatuukirizza ebisaanyizo byonna ebyetaagisa okutandika kampuni ya bannamateeka. “Nga nkozesa obuyiinza obumpeebwa Law Council mu kawaayiro nnamba 6(1) akabannamateeka, era oluvannyuma lw’okumatira nti Buganda Royal Law Chambers, ekitongole kya bannamateeka, ekisangibwa e Bulange… kisaanidde okukola amateeka, tukiwadde satifekeeti eno…era yakukola okujjako nga ebaggyiddwako,” ebbaluwa ya Apiny bwesoma. Nga ayogerako ne Gambuuze, Ssaabawolerereza wa Buganda OweeK. Christopher Bwanika ategeezezza nti oluvanyuma lw’okufuna olukusa luno, kampani ya bannamateeka ya kutandika ng’omwaka guno tegunnaggwako. “Tuli beetegefu okuweereza abantu ba Ssaabasajja abalina emisango mu makkooti ag’enjewulo. Ekyenjawulo kuffe nti tugenda kuba balambulukufu mu mirimu gyaffe era tusuubira nti abantu tujja kubaweereza bulungi,” Bwanika bweyagambye. Woofiisi ya bannamateeka eno esangibwa ku mwaliro ogw’okubiri mu Bulange Mmengo. https://gambuuze.ug/2020/07/03/kampuni-ya-bannamateeka-ba-buganda-ekkiriziddwa-okutandika-emirimu/ +business Ab’e Masaka beemulugunyizza ku nsimbi eziweebwa okwekulaakulanya Masaka – Buddu Abakyala abeegattira mu disitulikiti 9 mu bendobendo ly’e Masaka atambulira wansi wa Uganda Womens’ council beemulugunyizza ku nsimbi ezibaweebwa okwekulaakunya n’engeri gye zibatuukako bye bagamba nti bibulamu. Okwogera bino bano babadde ku Tropic Inn Hotel mu Masaka bwe basisinkanye okutema empenda ku ngeri gye basobola okugenda mu maaso. Bano bategeezezza nti ensimbi ezibaweebwa gavumenti okwekulaakulanya eza UWEP (Uganda Women entrepreneur programme) enfuna yaazo si nnambulukufu, nga bassentebe b’eggombolola mu bitundu ebimu okuyinza bwazo babubaggyako nebabuwa bakyala baabwe. “Wadde gavumenti erwanye nnyo okulaba nga twekulaakulanya naye abamu kuba Ssentebe ku magombolola obukiiko bwabwe tebakwatagana nabo nga bwe gutuuka ku bya ssente batusula bbali, mu byandibadde ebifo byaffe ne bateekawo bakyala baabwe.” Abakyala bwe bategeezezza . Abakyala beemulugunya nti ng’oggyeeko bakkansala abakiikirira abakyala n’abakulembeze b’obukiiko bw’abakyala bwe balina naye waliwo obwetaavu bakkirizibwe mu ntuula za gavumenti z’ebitundu okusobola okugoberera ebigenda mu maaso. Abakyala bawakanyizza eky’okuggya ssente zino mu minisitule y’ekikula ky’abantu ziddizibwe mu minisitule ya gavumenti ez’ebitundu kuba kigenda kukosa obuweereza. Akulembera abakyala mu kibuga Masaka, Florence Owamaria, annyonnyodde nti obulyake obufumbekedde mu bagaba ensimbi zino tebwogerekeka kuba buli kibiina ekifuna ku nsimbi zino abakulu bazisolooza. Ate akulira akakiiko k’abakyala mu ggwanga, Faridah Kibowa asinzidde wano n’ategeeza nga bwe bagenda okutongooza enteekateeka gye batumye Mayumba kkumi n’ataano (15),nga mu eno buli kyalo baakulondayo amaka 15 ge bagenda okuteekako essira okulaba nga g’ebbulula mu by’enfuna n’ebyobulamu. https://gambuuze.ug/2021/04/14/abe-masaka-beemulugunyizza-ku-nsimbi-eziweebwa-okwekulaakulanya/ +business Abakooki bawanjaze bakwatirweko ku by’enfuna n’ensula Rakai –Kkooki Abantu ba Kabaka abawangaalira mu ssaza ly’e Kkooki mu disitulikiti y’e Rakai, bawanjagidde Obwakabaka ssaako n’Abazirakisa, okubakwasizaako okubaggya mu mbeera gye bayitamu, basobole okukyusa obulamu bwabwe. Omukyala bba gweyasula mu nnyumba ekutte mu mbinabina nga annonnyola byayitamu. Bano okuli; abakadde, bannamwandu, bamulekwa n’abalala, bagamba nti basanze okusoomoozebwa mu by���enjigiriza, mu by’enfuna, mu by’endya, ssaako n’ebyensula era wano we basabidde Obwakabaka okubwakwasizaako. Abakooki bino babiroopedde abakulu okuva mu gavumenti ya Kabaka ne bannamukago b’ekitongole kya Habitat for Humanity, ababadde bakyaddeko mu ssaza lino nga bamazeeyo ennaku 2 mu kaweefube w’okulaba engeri gye basobola okuteekawo amaka ag’enjawulo wansi w’enteekateeka eyatuumibwa amaka amalungi ,akaalo amatendo. Bano bagenyiwaddeko mu maka ag’enjawulo okuli aga mukyala Harriet Akayo ku kyalo Byakabanda mu ggombolola ya Ssaabawaali- Byakabanda, Nakisekka Gertrude ku kyalo Kigayazza mu ggombolola ya Ssaabagabo Buyamba, Nakanwagi Jane ku kyalo Kabala mu ggombolola y’e Kifamba, Nakafeero Hasifah ku kyalo Kagamba, Namayanja Janet ku kyalo Kigayazza, Namazzi Ferisitansi n’abalala. Wabula abantu bano battottodde ebizibu bye bayitamu oluvannyuma lw’okufiirwako abantu baabwe abaali babayambe kyokka nga n’abalala abaami baabwe baabaddukako ne babalekera obuvunaanyizibwa nga tebamanyi mayitire baabwe. Wano we basinzidde ne basaba Abazirakisa okubakwatirako. Ye omuweereza mu Minisitule y’ebyettaka, obulimi, Bulungibwansi n’obutonde bw’ensi, Mujjuzi Azizi nga yatumiddwa Oweekitiibwa Mariam Mayanja Nkalubo okutambula n’aba Habitat for Humanity, ategeezezza nti baagadde okumanya embeera abantu bano mwe bali era balabe oba basobola okuganyulwa mu nteekateeka eno. Ono era ategeezezza nti abantu b’e Kooki okusinziira ku kye balabye beetaaga okuyambibwa era n’asaba Abazirakisa okuyamba ku bantu bano. Ate ye Brenda Luyiga okuva mu kitongole kya Habitat for Humanity agamba nti balina omukago ne Ssaabasajja okutalaga amasaza gonna n’ekigendererwa ky’okunoonya abantu abateesobola, engeri gye bayinza okuvvuunuka obuzibu buno. Ye omukwanaganya w’emirimu gya Ssaabasajja Kabaka e Kkooki, Owek. Nakalanzi Gertrude Ssebuggwawo, annyonnyodde nti obwetaavu mu bantu be bwali bungi n’asalawo okuwandiikira bakama be e Mmengo okumuyambako okutumbula ebyenfuna, ebyenjigiriza n’ebirala. Abatuuze n’abakulembeze mu kitundu kino, bo balaze obwennyamivu ku mbeera bannaabwe gye bayitamu nga bagamba nti eyungula amaziga. https://gambuuze.ug/2021/02/24/abakooki-bawanjagidde-bakwatirweko-ku-byenfuna-nensula/ +business KITALO! Omutandisi wa kkampuni za Ssembuule afudde Munnabyanfuna era omutandisi wa kkampuni ya Ssembuule eyeegulira erinnya mu kukola ttivvi, leediyo awamu n’ebintu ebirala, Christopher Ssembuuya yafudde olunaku lw’eggulo ku Lwokubiri. Ssembuuya afiiridde ku myaka 85 era ajjukirwa nnyo olw’okuwa bannayuganda emirimu era w’afiiridde nga wakayita ebbanga lya myaka mitono ng’alaajanidde gavumenti ebbanga okumuyambako azze kkampuni ze engulu oluvannyuma lw’okutawaanyizibwa n’ensimbi, ekitaasoboka. Ezimu ku kkampuni Ssembuuya z’abadde nazo kwe kuli; Ssembuule International ne Ssembuule Steel Mills ebadde ekola amabaati n’ebizimbisibwa esangibwa e Nalukolongo. Olumbe lwakumiddwa mu maka g’omugenzi agasangibwa e Kololo mu Kyaddondo era okusinziira ku beng’anda, wategekeddwawo okusaba ku Lutikko e Namirembe ku Lwokuna. Okusaba nga kuwedde, omulambo gujja kutwalibwa ku kyalo Kikwaya e Nkokonjeru mu ssaza Kyaggwe omugenzi gy’agenda okuziikibwa ku Lwokutaano lwa wiiki eno. https://gambuuze.ug/2022/01/12/kitalo-omutandisi-wa-kkampuni-za-ssembuule-afudde/ +business Abakulembeze abaggya babanguddwa ku mbalirira Bukomansimbi – Buddu Abakulembeze abalonde e Bukomasnimbi babanguddwa ku ngeri gye bayinza okuteekerateekera abantu ab’enjawulo okusobola okuganyulwa mu mbalirira ya disitulikiti mu ngeri ey’ekyenkanyi. Omusomo gw’okubangula abakulembeze guyindidde ku kitebe kya disitulikiti y’e Bukomansimbi nga gukulembeddwamu Lukungu Bashiri okuva mu kitongole ekirafuubanira obwenkanya ekya Equal opportunities Commission, okuyamba n’okuzibula abakulembeze maaso okumanya omulimu ogwabatumwa abalonzi. Omukugu Lukungu Bashiri ategeezeezza nti kya bwenkanya abantu mu biti eby’enjawulo omuli; abaami, abakyala, abavubuka ,abaliko obulemu n’abalala okuganyulwa mu buli kintu ekikolebwa mu mbalirira ya disitulikiti eno. Lukungu alabudde abakulembeze obutetantala kusibira balonzi ekikookolo nga beekwasa nti akalulu kawedde bano abasabye okuweereza abalonzi kyenkanyi kuba kati kaseera kakuweereza bantu. Bo bakkansala abeetabye mu musomo guno beebazizza abaategese omusomo guno kubanga baabayambye okubazibula amaaso nga bingi bye baayize bye baabadde tebamanyi omuli obutaagaliza. Mu ngeri yeemu Ssentebe wa disitulikiti eno omulonde, Nyenje Fred Kayiira, yategeezezza nti abakulembeze bayina okukola emirimu gyabwe obulungi. Yasabye bakkansala okwewala entalo mu kkanso naye bafeeyo ku kimu kya kuweereza bantu naddala bwe kituuka ku kuyisa embalirira. Mu kwogera kwe amyuka omubaka wa Pulezidenti e Bukomansimbi, Asaba David Nkojjo, yategeezezza nti baakuyambako abakulembeze bano naddala ng’essira baliteeka mu kuweereza abantu n’okunyweza obumu. https://gambuuze.ug/2021/04/23/abakulembeze-abaggya-babanguddwa-ku-mbalirira/ +business Beene awadde aba BUCADEF emmotoka okutumbula ebyobulimi Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II awaddeyo kapyata w’emmotoka Toyota Hillux eri ekitongole kye ekya BUCADEF, okubayambako okutumbula ebyobulimi n’obulunzi mu bantu be okusobola okweggya mu bwavu. Omukolo gw’okukwasibwa emmotoka eno gubadde mu Bulange- Mmengo leero ku Lwokubiri nga gukoleddwa omumyuka asooka owa Katikkiro, Owek. Hajji Twaha Kaawaase Kigongo. Owek. Kaawaase bano abalabudde okwewala okukozesa emmotoka eno mu mirimu egitaligya Bwakabaka kuba giyinza okwonoona ekitiibwa kyayo. “Nkukwasa ekidduka kino eri ekitongole kyaffe ekya BUCADEF kuba kisaale nnyo okutambuza ensonga ezituukira ddala ku muntu owaabulijjo owa Ssaabasajja Kabaka.” Owek. Kaawaase bw’ategeezezza. Eyakiikiridde Ssenkulu wa BUCADEF, Muwanga Samuelategeezezza nti emmotoka eno egenda kubayambako okutuuka ku muntu asembayo okubeera ewala mu kyalo okusobola okumuyamba okwekulaakulanya. Oluvannyuma aba BUCADEF bakwasiddwa emmotoka eno mu butongole ate ebadde ekaddiye n’etwalibwa okuterekebwa. https://gambuuze.ug/2021/10/26/beene-awadde-aba-bucadef-emmotoka-okutumbula-ebyobulimi/ +business Kabaka awadde Bannabusujju ensigo beekulaakulanye Ssaabasajja Kabaka wa Buganda, Ronald Mwenda Mutebi II adduukiridde abalimi ba kasooli mu ssaza Busujjun’ensigo za kasooli ez’omulembe basobole okuzisiga mu nkuba eno etonnya, bafune emmere era beekulaakulanye. Ensigo zino zibakwasiddwa Minisita omubeezi ow’ebyobulimi mu Bwakabaka, Owek. Hajji Amisi Kakomo n’asaba abazifunye okuzisiga basobole okufunamu amakungula amalungi. Okusinziira ku Owek. Kakomo, zino zigenda kusooka okuweebwa ab’eggombolola ya Ssaabagabo ne Ssaabaddu Malangala. Kasujju Mark Jjingo Kaberenge II asinzidde wano n’aloopera Owek. Kakomo nti abalimi bagezezzaako okulima naye ebbeeyi y’ebirime ekyali wansi, ekintu ekibamalamu amaanyi n’abamu okufiirizibwa. Mu kiseera kye kimu wabaddewo n’okukyusa obuweerezang’abadde Ssaabaddu-Malangala, Erineewo Kalibbala Ssempiira obuweereza abukwasizza abadde omumyuka we Edward Ddungu Nyonyintono. Ono asabye amuddidde mu bigere okutuukiriza obuvunaanyizibwa obumuweereddwa era ne Nyonyintono n’awera okubeera omuwulize eri Nnamulondo. https://gambuuze.ug/2021/09/15/kabaka-awadde-bannabusujju-ensigo-beekulaakulanye-2/ +business Gavumenti eddiza bamakanika ekitundu ku katale ka Kisekka, bazina gunteese Gavumenti eddiza ekitundu kya katale kowa Kisekka ekibaddeko ekibaati okumala emyaka 8 eri abasuubuzi naddala bamakanika basobole okukikoleramu era bakikulaakulanye. Ekitongole ekivunaanyizibwa ku kibuga ki Kampala Capital City Authority (KCCA) kyekikoze kino wakati mu bukuumi obwamaanyi okuva mu magye ne poliisi. Akulira ekitongole ki KCCA, Dorothy Kisaka asinzidde mu kifo kino nategeeza nti kyebakola kwekuteeka mu nkola ekiragiro kya Pulezidenti Museveni kyeyawa nabasaba okwezza obuyinza bw’obutale era babuwe bamufunampola babuddukanye. Kinajjukirwa nti ekifo kino kimaze ebbanga nga kikaayanirwa wakati w’abagagga abavaayo okukikulaakulanya awamu n’abasuubuzi. Akulembeddemu ekikwekweto kino, Maj Gen Emmanuel Kuteesa ategeezezza nti sibaakussa mukono okutuusa nga bamufunampola batandise okuganyulwa mu butale obwateekebwawo gavumenti. Ye amyuka omubaka wa Pulezidenti mu Kampala, Yasin Ndidde Njasabiggu agamba bamakanika okubafunira webakolera kigenda kuyamba nnyo ku kukendeeza obumenyi bwamateeka obubadde bufuuse ekyonga ewa kisekka. Bo bamakanika n’abasuubizi baaniriza enteekateeka eno era nebasiima Pulezidenti Museveni olw’okubafaako era bano mukujaganya basaze ente nga akabonero ak’obuwanguzi bwebafunye oluvannyuma lw’ emyaka 8. Engoma n’embuutu nabyo bisindogomye nga bamakanika bagamba babadde mumbeera mbi etabasobozesa kunoonya nsimbi. Enkayana zino ezimaze ebbanga zibadde wakati wa gavumenti ne Rtd Brig Mugyenyi eyali nnanyini ttaka nerimutwalibwako mu lukujjukujju wadde gavumenti egamba nti ono gavumenti yali yamusasula. Akatale kewa Kisekka keegasse ku Wandegeya okununulwa gavumenti nekadda mu mikono gya bamufunampola era KCCA erina enteekateeka ezitalaaga obutale bwayo bwonna nga ekola kyekimu. https://gambuuze.ug/2022/11/15/gavumenti-eddiza-bamakanika-ekitundu-ku-katale-ka-kisekka-bazina-gunteese/ +business Abaakwatibwa nga babba obuwumbi mu URA basibiddwa emyaka 20 Kkooti ensukkulumu mu Kampala ekkaatirizza ekibonerezo ky’emyaka 20, kkooti erwanyisa obulyi bw’enguzi kye yawa abasajja abaakwatibwa nga bagezaako okuyita ku mutimbagano babbe ssente eziwera obuwumbi 2.4 okuva mu kitongole ekisolooza omusolo ekya Uganda Revenue Authority (URA). Abasajja bano; Nsubuga Guster ne Byamukama Robinhood baakwatibwa mu mwaka gwa 2012 oluvannyuma lw’okunoonyereza okwalaga nti baagezaako okuyingira mu byuma by’ekitongole kino ebya ‘Automated System for Customs Data (ASYCUDA).’ Bano baaluka olukwe okulaba nti emmotoka 150 zifuna ennamba awatali kusasula musolo mu bbanka kyokka nga waliwo lisiiti ezaaweebwayo mu URA okuyingiza emmotoka zino, zonna zaali njigirire. Mu 2013, baasimbibwa mu kkooti ewozesa obukenuzi era ne bavunaanibwa emisango okuli; okuyingira mu kompyuta za URA, obufere n’okubbira ku mutimbagano awamu n’okuyingira mu byuma by’ekitongole ne basomola ebyama byakyo awatali lukusa. Bano baasingisibwa emisango okuli; okukola, okutunda, okugula awamu n’okusangibwa ne pulogulaamu za kompyuta ezisobola okuyingira mu kompyuta z’ekitongole n’okubbayo ebyama, ekintu ekikontana n’akawaayiro 12(3)ne 20 ak’etteeka lyaComputer Misuse Act, 2011. Kkooti ewozesa obukenuzi bano, buli omu yamusiba emyaka 20 awamu n’okutanzibwa ddoola 4500 buli omu. Wabula bano baddukira mu kkooti ejulirwamu era ne baddamu okuwozesebwa naye ekitongole kya URA tekyamatira ku ebyo ebyasalibwawo era ne kisalawo okujulira mu kkooti ensukkulumu. Ku Mmande, Kkooti ensukkulumu yawagidde ekya bano okusibibwa emyaka 20 buli omu oluvannyuma lw’okukkaanya ne URA nti buli kimu kyagobererwa nga bano baweebwa ekibonerezo. “Ennoongosereza ezaakolebwa(Anti-Corruption Court) tezirina bwezakyusa nnaku z’omwezi wadde ebikulu ebyali mu musango guno, tekikola makulu okusazaamu omusango guno olw’ennoongosereza.” Kkooti ya Ssemateeka bwe yategeezezza. Kkooti ensukkulumu yaggumizza ekibonero ky’emyaka 20 eri abasajja bano oluvannyuma lw’okusibwa emyaka 12 ne 8 ku misango gyonna era ng’ekibonerezo balina kukikola lumu. Wabula bano kkooti ebaggyiddeko emyaka gye bamaze ku alimanda nga kati buli omu agenda kusibwa emyaka 10. https://gambuuze.ug/2021/08/17/abaakwatibwa-nga-babba-obuwumbi-mu-ura-basibiddwa-emyaka-20/ +business Ab’e Ssembabule basiimye enkola ya CBS PEWOSA Ssembabule Abantu ba Kabaka abawangaalira e Ssembabule mu Mawogola wansi w’enteekateeka ya CBS PEWOSA, basiimye Nnyinimu olw’ekirowoozo kino ekibayambye okwekulaakulanya. Bano abeegattira mu kibiina kya Magezi Bugagga – CBS PEWOSA MITIMA mu ggombolola ya Mutuba I, Lugusuulu bategeezezza nti enkola eno ebayambye okubaako kye bafiisa era ne batereka okumala omwaka mulamba. Okusinziira ku ssentebe kino, Kagolo Fesito Ndawula, omwaka guno bakoze bulungi wadde nga wabaddewo okusoomooza kw’ekirwadde kya Ssennyiga Corona. “Twebaza nnyo Ssaabassajja Kabaka olw’obuyiiya n’amagezi okussaawo CBS PEWOSA kuba etukoze obulungi kuba kati we njogerera abantu abatereka ssente zaabwe okumala omwaka, ssente zaabwe zaatuuse dda ku akawunta zaabwe.” bwe Kagole bwe yannyonnyodde. Ono agamba nti enkola eno ebayigiriza okutereka kuba baatandikira ku 2000 ne badda ku emitwalo 2 wabula kati boogerera mu bukadde naye olwaleero bonna bammemba 30 batereka obukadde obusoba mu 20. Ye omwami wa Kabaka atwala eggombolola eno, Nantume Hamidah, yakunze abantu naddala abakyala mu kitundu kino okweyunira CBS -PEWOSA kibayambe okwekulaakulanya n’okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe kuba kati babugabana n’abaami. Omu ku bammemba , Kanaluswata Joseph, yannyonnyodde nti enkola eno ebasizeemu obumu ne kibayamba okugenda mu maaso. Ate ye Tumusiime Angellah agamba nti kyali kizibu okutereka ssente awaka n’atazikozesa naye kati ebintu byakyukamu kuba mu CBS- PEWOSA atereka talina kyatya. https://gambuuze.ug/2021/04/15/abe-ssembabule-basiimye-enkola-ya-cbs-pewosa/ +business Aba KACITA  beegayiridde gavumenti ereme kuzza Kampala ku muggalo olwa Ebola Abasuubuzi mu Kampala abeegattira mu kibiina ki , Kampala City Traders Association (KACITA ), basabye gavumenti obutalowooza ku kya kuzza ggwanga ku muggalo ng’emu ku nkola y’okutangira ekirwadde kya Ebola okusaasaana. Ssaabawandiisi wa KACITA, Thaddeus Musoke agamba nti abasuubuzi beetegefu okukolagana ne gavumenti okulaba nti baziyiza ekirwadde kino singa ebeera tegaddewo. “Omuggalo gwa COVID-19 gwatukosa nnyo era tukyakaluubirirwa embeera, tulina looni za bbanka, batubanja ez’obupangisa ate abamu bizineensi zabwe zaggalawo, buli lwobikkula empapula z’amawulire olaba ebintu byabantu nga bitundibwa ku nnyondo,” Musoke bwe yategeezezza bannamawulire mu Kampala. Okusinziira ku Musoke, bataddewo abantu okutambula nga basomesa abasuubuzi ku ngeri akawuka kano gyekasobola okwewalibwa era kino bakukikola nga bakolagana ne Poliisi, KCCA awamu ne Minisitule y’e byobulamu era abo abajeemera ebiragiro ebigenda okubaweebwa ebifo byabwe bijja kuggalwa. Bino webijjidde nga abakulu mu gavumenti naddala mu Minisitule y’ebyobulamu bagenda mu maaso n’okukubiriza abantu okwewala ekirwadde kino kuba singa kyongera okusaasaana eggwanga lisobola okuzzibwa ku muggalo. Musoke era akoowodde bannanyini bizimbe okukakasa nti bataddewo ebifo abantu webanaabira engalo ku buli mulyango oguyingira mu kizimbe era bateekewo n’obuuma obupima ebbugumu awamu ne bannannyini maduuka okulaba nti tegabaamu mujjuzo. Ono agamba bagenda kutongoza enkola ya Bulungibwansi naye ku luno kyebagenda okwesibako kwekusomesa abantu ku kirwadde kya Ebola era nga bakutandikira mu katale ka Owino. Kinajjukirwa nti Minisita w’ebyamawulie mu gavumenti eyawakati , Dr Chris Baryomunsi, yategeeezza ku Lwokusatu nga bwebanaba kulowooza ku kyakuteekawo Kampala n’emirilaano ku muggalo mu kaseera kano nga kyebeemaliriddeko kwekunoonya abantu bonna abatabaganako n’abazuuliddwamu ekirwadde kino. https://gambuuze.ug/2022/10/28/aba-kacita-beegayiridde-gavumenti-ereme-kuzza-kampala-ku-muggalo-olwa-ebola/ +business Obwakabaka busse omukago ne Centenary Bbanka okufunira abantu ennyumba ku ssente entono Obwakabaka bwa Buganda nga buyitira mu kitongole kya Buganda Land Land Board, busse omukago ne Centenary Bbanka awamu ne Henan Guoji Group, okuzimbira abantu ba Kabaka ennyumba ku bbeeyi eya wansi. Gouji, Centenary Bbanka ne BLB nga batta omukago Bw’abadde atongoza omukago guno mu Bulange -Mmengo ku Lwokusatu, Kamalabyonna Mayiga agambye nti ekimu ku bintu ebitawaanya ennyo abavubuka, kwe kuzimba kuba kwa bbeeyi. “Okuzimba enju kintu kirungi naye kimalako nnyo abavubuka ssente. Ekisookera ddala omuvubuka asooka n’anoonya ssente okugula ettaka, ettaka eriri mu bifo ebirungi lya bbeeyi ate nga n’ebizimbisibwa nabyo bya buseere.” Katikkiro Mayiga bw’agambye. Kamalabyonna Mayiga agamba nti wakati ng’abavubuka bakuutirwa okumala emisomo, okufuna omulimu n’okuwasa ekiddako libeera bbanja lya kuzimba nnyumba wakati mu byetaago ebingi by’abeera nabyo. “fFe ng’Obwakabaka, tulowooza nti omuntu bw’aba yeekutte bbanka nga Centenary, asobola okuwewulwako ku buzibu buno.” Owek. Mayiga bw’annyonnyodde. Okusinziira ku Katikkiro mu mukago guno, bbanka ewa Gouji ssente z’ennyumba omuntu gy’aba asiimye ate Buganda Land Board n’ewa aba bbanka ekyapa, olwo omuntu n’ayingira ennyumba. Owek. Mayiga agambye nti bbanka ky’ekola kwe kuwa omuntu ebbanga eggwanvu okusobola okuzzaayo ssente z’ebeera ewadde kkampuni ya Gouji olwo obulamu ne butambula nga tali ku muliro. Omu. Simon Kaboggoza, ategeezezza nti Ssaabasajja Kabaka ayagala abantu be basule bulungi era bawangaalire mu bulamu obweyagaza. Ku lwa Buganda Land Board, Omuk. Kaboggoza y’ataddeko omukono ku lwa Buganda Land Board, Beatrice Lugalambi ku lwa Centenary, ate Shen Windy ku lwa Henan Guoji group. Mu nteekateeka eno, ennyumba zino zitandikira ku bukadde 58 ku nnyumba ey’ekisinge ekimu okutuuka ku nju y’Obukadde 130 era zonna ziri mu kifo ekiteekeddwateekeddwa obulungi. https://gambuuze.ug/2021/02/03/obwakabaka-busse-omukago-ne-centenary-bbanka-okufunira-abantu-ennyumba-ku-ssente-entono/ +business Minisita Baryomunsi agamba gav’t yandiwera okukuba ekyeeyo mu mawanga ga Buwarabu Minisita w’ Amawulire era omwogezi wa gavumenti, Chris Baryomunsi agamba nti gavumenti etandise okulowooza ku ky’okuwera bannayuganda okutwalibwa mu mawanga g’Abawarabu kuba bano basusse okutulugunyizibwa. Bino minisita Baryomunsi yabitegeezezza bannamawulire bw’abadde abategeeza kwebyo ebyavudde mu lukiiko lwa baminisita olwatudde wiiki eno. Baryomunsi agamba nti olukiiko luno lwabadde lukubirizibwa Pulezidenti Yoweri Museveni era yalagidde Minisita w’ekikula ky’abantu n’abakozi, Betty Amongi okuvaayo ne alipoota enambulukufu ku bannayuganda abatwalibwa mu mawanga gano okukuba ekyeeyo. Okusinziira ku Baryomunsi, kkabineeti okutuuza okulowooza ku kino kiddiridde bannayuganda abawerako okuvaayo nebeemulugunya ku mbeera gyebakoleramu mu bitundu bino nga abamu batuuse nokufiirwa obulamu. Bweyasisinkanye abali mu mulimu gw’okutwala bannayuganda ebweru, Among yabategeezezza nti gavumenti eyinza okuwera omulimu guno singa abagukola tebavaayo na nteekateeka ekakasa nti okubonyabonyezebwa kwa bannayuganda abali ku kyeeyo kuyinza okubaako ekkomo. “ Kkabineeti esinze kutunuulira kya kutulugunya bantu, omwaka guno gwokka emisango 300 gyegiloopeddwa bannayuganda nga ebikolwa by’okubakabasanya bikwata kyakubiri ku bizibu byebasinga okusanga,” Amongi bw’annyonnyodde. Amongi agamba nti kabineeti yalaze okutya ku biwulirwa nti bannayuganda abamu baggyibwamu ebitundu byabwe eby’omubiri nga ensigo nebitundibwa abamu nebakafiiramu. Minisita Amongi yannyonnyodde nti Kkabineeti yetemyemu ku nsonga eno nga baminisita abasinga obungi baagala ensonga y’okutwala bannayuganda ku byeyo ekome ate nga abalala bagala esooke ewummuzibwemu okumala akaseera nga gavumenti bweteekawo enteekateeka enaziyiza okutulugunya bannayuganda abatwaliddwayo. Alipoota eyakoleddwa ekitongole ekitaba kampuni ezitwala abantu ebweru ki ‘Uganda Association of External Recruitment Agencies (UAERA)’ yalaze nti bannayuganda emitwalo 35 bebakolera mu mawanga ga Buwarabu nga abamu bakola waka ate abalala bakola mirimu mirala. Wabula ekitongole ki UAERA, kirabudde nti singa gavumenti enawera okutwala bannayuganda ku kyeeyo mu bawarabu kigenda kuleetawo okubakukusa kuba mu ggwanga temuli mirimu. https://gambuuze.ug/2022/07/14/minisita-baryomunsi-agamba-gavt-yandiwera-okukuba-ekyeeyo-mu-mawanga-ga-buwarabu/ +business Muwagire amakampuni ga Bannayuganda-Katikkiro Katikkiro agguddewo Ettabi eppya erya Sekanyolya systems. Lisangibwa ku kizimbe kya “Kingdom Kampala” okumpi ne Uganda Broadcasting Corporation (UBC). Bano batunda byuma ebikozesebwa mu kukuuma, omuli; camera, ne ssengenge. Ssenkulu wa kampuni eno, Elijah Zizinga yagambye nti ettabi lino litandikiddwawo okwanguyiza abantu abava mu bitundu ebiriranye Kampala okufuna obuweereza obwamangu. Katikkiro yasabye bannayuganda okuwagira ebintu ebikoleddwa mu Uganda okusobola okukulaakulanya eggwanga. Yagasseeko nti n’amakampuni gano gateekeddwa okukola obulungi okusikiriza abantu babawagire. “Kikulu nnyo amakampuni agaagala okuwangaala okusukka ku myaka etaano okutegeera bakasitoma baago era n’ebakola nga bwebaagala. Okusomoozebwa okusinga obukulu gw’emutindo gw’obuweereza bwaffe,” Mayiga bweyagambye. Yasiimye nnyo Ssekanyolya n’omutandisi waayo Zzinga olw’obuweerezabwabwe obulungi. N’agamba abantu abaagala okuwangula balina okwagala byebakola. https://gambuuze.ug/2019/11/20/muwagire-amakampuni-ga-bannayuganda-katikkiro/ +business Abasuubula ennuuni bawakanyizza eky’okuwa abagwiira bokka olukusa okugitunda Bannayuganda abasuubula ennuuni batabukidde gavumenti olw’okutiitiibya abagwiira nenyigiriza bannansi ate nga bebasinga okubeera n’omugabo ku ggwanga lino ekintu ekyongedde okubakuumira mu bwavu n’okuzza emabega enkulaakulana. Bano abeegattira mu kibiina ki ‘Uganda Fish Maw Traders Association’ bategeezezza nti enkola eriwo ey’okuwa abagwiira olukusa okugula n’okutunda ennuuni okuzitwala ebunaayira erina okukoma mu bwangu oba ssi kyo bagenda kwekalakaasa. Amyuka Ssentebe w’abasuubuzi bano Jackson Yiga Musisi ne Ssaabawandiisi Richard Matovu bagamba nti waliwo abakungu mu gavumenti abakikola mu bugenderevu okulemesa bannansi obusuubuzi bw’ennuuni ku myalo egy’enjawulo. Balumiriza nti ttenda zonna ziweebwa bagwiira olwo bannansi nebateekebwako obukwakkulizo obungi ennyo okusobola okubalemesa omulimu guno kyebagamba nti bagenda ku kilwanyisa kuba tekirina gyekitwala ggwanga era bakwekalakaasa mu bbanga lya wiiki bbiri singa ensonga eno tekolwako mu bwangu. Oluvannyuma lw’ebigambo okuyiting’ana ku nsonga eno, Minisita avunaanyizibwa ku buvubi mu ggwanga Hellen Adoa, yavaayo nategeeza nti tewali mugwiira yenna yaweereddwa layisinsi kusuubula nnuuni wabula natangaaza nti ekiseera kyebalimu kya kwekeneenya kkampuni zonna eziri mu mulimu guno nga mwezo zebatunuulidde mwemuli neza bannayuganda ezaateekamu okusaba. Minisita Adoa agamba nti ennuuni kyekimu ku byongedde okuleetawo ebikolwa ebityoboola kw’ennyanja olw’abantu abaagala ssente ez’amangu. Ennuuni ya ttunzi nnyo ku katale k’ensi yonna nga kiro yaayo egula wakati wa ddoola za America $450 ne $1000 (shs1.5 m – 3.6m) olw’ebintu ebingi ebigikolebwamu wabula munda mu ggwanga kiro egula wakati w’emitwalo 16 na 35. Bino webijjidde nga waliwo Abayindi nebasaba gavumenti ewere bannansi okulya empuuta zisigale kutundibwa wabweru w’eggwanga awamu n’okuziggyamu ennuuni ekintu bannansi gyebawakanya ennyo. https://gambuuze.ug/2022/04/20/abasuubula-ennuuni-bawakanyizza-ekyokuwa-abagwiira-olukusa-okugitunda/ +business Katikkiro Mayiga akunze abantu okunywa Kkaawa Katikkiro wa Buganda, Owek. Charles Peter Mayiya, akunze abantu bulijjo okunywa kkaawa beesonyiwe ebimwogerwako kuba tebiriiiko mutwe namagulu. Okusaba kuno Katikkiro Mayiga akukoledde ku mbuga y’ essaza Buddu ku Mmande bw’abadde aggulawo omwoleso gwa CBS PEWOSA, ogumaze ennaku ttaano nga guyindira mu kifo ekyo. “Njagala okutegeeza abantu nti balekere awo okutya okunywa kkaawa. Wajjawo ebyogerwa nti kkaawa akubisa entunuusi, nti alina obuzibu bwaleeta ku bakyala, ebyo byonna byaleetebwa abavuganya nga baagala abantu baleme kunywa kkaawa, okulwala entunuusi kireetebwa omuntu alina emisuwa emifunda nga amazzi amangi nga gayita mu mufulege omutono era bwegutaba mu kipimo kituufu guyinza okwabika,” Katikkiro Mayiga bw’ategeezezza. Ono era asaabuluddde ebigambibwa nti kkaawa alemesa abantu okwebaka nagamba nti singa omuntu anywa ekintu kyonna nga agenda okwebaka ayinza okulemwa okwebaka kuba okwebaka omuntu alina okubeera omukakkamu mu bwongo n’omutima. Okusinziira ku Mayiga, singa abantu banajjumbira okunywa kkaawa kijja kuyamba nnyo okwongera okumufunamu nga batondawo akatale akasooka nga bwe guli ku matooke. Owek. Mayiga agambye nti enteekateeka eno eggidde mu kiseera ekituufu ng’Obwakabaka buli mu kaweefube ow’okutumbula n’okuzzaawo ekirime ky’emmwanyi, owa Mmwanyi Terimba, n’asiima n’ebitundu bya Uganda ebirala abantu gye bawulidde kaweefube ono ne balima emmwanyi. Katikkiro era yeebazizza aba Masaka Cooperative Union olw’ebbanga eppanvu lye bamaze mu mulimu ogw’emmwanyi, nga ne mu kiseera kino, bakyagulimu nnyo. Akiikiridde baminisita b’ebyobulimi mu ggwanga era minisita amawulire, Owek. Noah Kiyimba asabye gavumenti okukendeeza oba okujjawo omusolo ku bintu ebikozesebwa mu bulimi nobulunzi kyanguye enkulaakulana. Ate Ssenkulu wa CBS, Omuk. Michael Kawooya alambuludde ku nteekateeka gyebalina nga baagala omwoleso guno okubunyisibwanga mu masaza ga Buganda gonna okutuukiriza ekiruubirirwa. Omukolo guno gwetabiddwako Nnaalinya Sarah Kagere ne Bbaale Mugera, Ppookino Jude Muleke, abaami b’amasaza abalala, abantu ba bulijjo n’ abaana bamasomero . https://gambuuze.ug/2022/10/24/katikkiro-mayiga-akunze-abantu-okunywa-kkaawa/ +business Abavubuka basabiddwa okwettanira obulimi bakulaakulane Abavubuka bakubiriziddwa okwettanira eby’obulimi era bafube okubeera abayiiya kibayambe okwegobako obwavu. Amagezi gano gabaweereddwa omukugu mu bya bizineensi Dr. Peter Kimbowa mu musomo ogwategekeddwaminisitule y’abavubuka mu Buganda nga eyita mu kitongole ky’abavubuka mu Bwakabaka ki Buganda youth Council . “Kyetusookera ddala okusosowaza kwe kulima, Oba olina ettaka oba tolina. Tulina okubaawo n’ebibiina by’obweggasi nga biri ku magombolola. Emmere kye kintu ekigenda okubeera ekintu ekikulu ennyo mu nsi eno n’okusinga amafuta.” Bwatyo Dr. Kimbowa bw’ababangudde. Dr. Kimbowa annyonnyodde nti akaseera katuuse abavubuka bakomye okunyooma eby’obulimi wabula bakozese amagezi gebafunye okulinnyisa omutindo gw’ebyobulimi olwo basobole okubyagazisa abalala era kikendeeze neku bbula ly’emirimu eriri mu ggwanga. Minisita w’Abavubuka emizannyo nokwewumuza mu Bwakabaka Owek. Henry Ssekabembe Kiberu afalaasidde abavubuka okweyambisa enteekateeka z’Obwakabaka nga eno eziteekawo okukyusa obulamu bwabwe naddala mukiseera kino nga eggwanga likyali mu kusoomozebwa kwa sennyiga corona agotannyiza kumpi buli kimu. “Buganda egenda ku ntikko eteekeddwa okuba n’obusobozi obukola abalala byebatasobola kukola esobole okufuna abalala byebatalina esinziire okwo eyambe ebitundu bya Buganda ne Yuganda oba olyawo n’ensi yonna.” Minisita Ssekabembe bw’agambye Ate ye Ssentebe w’Abavubuka ba Buganda Baker Ssejengo agamba nti okuyita mu misomo nga guno bayina essuubi nti ekiruubirirwa kyokusitula embeera y’ abavubuka kyakutuukirira ate nokulaba nga batuukiriza obuvunannyizibwa bwabwe ku lugendo olkwokuzza Buganda ku ntikko. Olukungaana luno lutambulidde kuy mulamwa oguvuga nti Omuvubuka n’Ebyenfuna wakati mu kusoomozebwa . Obwakabaka bwakugenda mu maaso nenteekateeka nga eno okulaba nga abavubuka mu Buganda nr Uganda okutwaliza awamu bakuguka mu bintu ebyenjawulo okufuuka abomugasso eri egwanga https://gambuuze.ug/2021/08/22/abavubuka-basabiddwa-okwettanira-obulimi-bakulaakulane/ +business Obwakabaka butandise okwetegekera olunaku lw’obwegassi Obwakabaka butegese olunaku lw’okukuliza obulimi n’obwegassi wakati mu kaweefube w’okunnyikiza omutima gw’okukolera awamu n’obumu mu bantu ba Ssaabasajja Kabaka kiyambeko okulwanyisa obwavu mu bitundu bya Buganda ebyenjawulo. Kino kirangiriddemu lukiiko olutegeka emikolo gino nga lukubiriziddwa Minisita w’Ettaka, Obulimi n’Obwegassi, Owek Hajjat Mariam Nkalubo Mayanja era lwetabiddwamu Omwami w’essaza Busujju, Kasujju Mark Jjingo Kaberenge II nga lutudde Maanyi mu Busujju ku Mmande. “Obwakabaka bwa Buganda ng’ennaku z’omwezi 30 omwezi guno bugenda kukuza olunaku lw’obulimi n’obwegassi nga ku mulundi guno basazeewo olunaku luno lukuzibwe mu ssaza ly’e Busujju wansi w’omulamwa, ” Obulimi n’obwegassi bwe bugagga. Tubadde n’olukiiko okuttaanya embeera yonna.” Minisita Nkalubo bw’ategeezezza. Okusinziira ku Owek. Mayanja, ku lunaku olwo Kamalabyonna Charles Peter Mayiga y’asuubirwa okubeera omugenyi omukulu era ng’ajja kusooka kulambula abalimi b’emmwanyi wansi w’enteekateeka y’Emmwanyi Terimba muggombolola y’e Maanyi n’e Kakindu era alambule n’emmerezo y ’emmwanyi eyateekebwa ku ssaza. Katikkiro Mayiga era ajja kulambula abalimi era aggalewo omwoleso gw’abalimi n’obwegassi era akoowodde abantu ab’enjawulo okujja basobole okubangulwa ku bwegassi ng’ebibiina ebigenda okwolesa mwe muli Wamala Growers ne CBS PEWOSA. YeOmwami w’essaza Busujju, Kasujju Mark Jjingo Kaberenge II yeebazizza Beene olw’okuwaayo olunaku lunon’asaba bannabusujju okujja basobole okwongera okufuna obukugu basobole okulinnyisa omutindo gw’ebyo bye bakola. Ate ye amyuka Ssentebe w’ekibiina ky’obwegassi ekya WamalaCooperative Union, Kuteesa Christopher Nsubuga agambye nti kiseera kya kusoomoozebwa kuba bannayuganda eby’obwegassi baali babisudde wala naye ekiseera kikyaliwo okwetereeza. Nsubuga asabye abantu okukimanya nti buli lwe bakola omulimu nga basusse mu muntu omu bwe bubeera obwegassi n’alaga bannayuganda obwetaavu bw’okunyweza obumu okusobola okufunamu era babeera n’ekyokusalawo ku bbeeyi n’okulima mu bungi. https://gambuuze.ug/2022/03/14/obwakabaka-butandise-okwetegekera-olunaku-lwobwegassi/ +business Katikkiro Mayiga asisinkanye abakungu ba IMF Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga asisinkanye omubaka w’ekitongole ky’ensi yonna ekiwola ensimbi ekimanyiddwa nga International Monetary Fund (IMF) mu Uganda, Izabela Karpowicz ne babaako ensonga ze bateesaako. Abakulu bano basisinkanidde ku mbuga enkulu e Bulange e Mmengo leero ku Lwokubiri era wano Katikkiro Mayiga amulaze nsonga enkulu Buganda z’esimbyeko essira era omugenyi ono Katikkiro amwanjuliddwa Omumyuka owookubiri owa Katikkiro, Robert Waggwa Nsibirwa. “Kirungi okubeera nti omubaka wa IMF otukyaliddeko okuzuula engeri gye tulwanaokukwasizaako gavumenti okutumbula embeera z’abantu baffe kuba abantu baffe abasinga bali mu byalo ate nga bavubuka era nga beetaaga okuyambibwako.” Owek. Mayiga bw’ategeezezza. Okusinzira ku Owek. Mayiga mu zino mulimu okutuusa ku bantu amazzi amayonjo, okumalawo endwadde, okukola ku byenjigiriza n’ensonga endala. Era ensisinkano eno egendereddwamu okugaziya nkolagana wakati wa Buganda n’ebitongole by’ensi yonna n’okwongera ku mikago Buganda gy’erina. Kamalabyonna Charles Peter Mayiga asinzidde mu nsisinkano eno ebadde mu kisenge kya Kabineeti wano ku mbuga enkulu Bulange e Mengo, abuulidde Karpowicz nti Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asoosowaza nnyo ensonga ezikwata ku bulamu bw’abantu be mu byenjigiriza, ebyobulamu, n’ebintu ebirala kubanga Kabaka ayala bantu. Mukuumaddamula era agamba nti mu zino zonna Omutanda aba ayagala bantu be basobole okwebeezaaawo era nga zonna ziruubirirwa kuleetawo nkulaakulana nga mu zino mulimu Emmwanyi Terimba, okuweerera abaana nga bayita mu Kabaka Education Fund awamu n’okutumbula eby’obulamu nga balwanyisa endwadde enkambwe . Omubaka wa IMF mu ggwanga, Izabela Karpowiczategeezezza nti ayize bingi ku Bwakabaka bwa Buganda naddala ku ngeri gye bufunvubiddemu okulaakulanya abantu ba Kabaka awamu ne Uganda. Ono asuubizza okwongera okukolagana ne Buganda awamu ne Uganda kuba balabye ng’ezimu ku nteekateeka z’Obwakabaka zikwatagana n’ebiruubirirwa byabwe eby’okusitula bannansi. https://gambuuze.ug/2021/08/31/katikkiro-mayiga-asisinkanye-abakungu-ba-imf/ +business Katikkiro  Mayiga akuutidde  bannanyini kampuni okunyweza omutindo Kamalabyonna Charles Peter Mayiga asabye abantu abalina kampuni n’emirimu egy’enjawulo bulijjo okunyweza omutindo kibayambe okugenda mu maaso olwo bakulaakulana ne Buganda edde ku ntikko. Okusaba kuno Katikkiro Mayiga akukoledde mukulambula Gombolola ya Makindye Mutuba III ku Lwokusatu, nga asookedde ku kifo ekisanyukirwamu ekya Climax entertainment centre era kino akigguddewo mu butongole. “Buganda okugenda ku ntikko tulina okulongoosa emirimu, ogubadde ku ddaala lino gutuuke ku ddaala lino. Buli lw’oyagala okwezimba, olina kulongoosa ekyo ky’okola nokirinyisa omutindo. Obunafu bwetulina abantu bangi batya okukola eby’omutindo kuba bimalawo ssente nyingi naye ssente eweesebwa ssente,” Kamalabyonna Mayiga bw’ategeezezza. Katikkiro Mayiga agamba nti bwobaako byotandise nebwoleeta bannaddiini bebakiwonga eri Katonda naye nolemwa okuteekamu ssente tolina ky’osobola kukifunamu. Owek. Mayiga annyonnyodde nti Buganda okudda ku ntikko zisimbye emirandira mu bantu baayo okutambula nga bagenda mu maaso era nabakuutira bulijjo obutadda mabega. Ono asabye bulijjo abantu okukuuma eddaala kwebalinyira era bakomye okulisamba wabula bulijjo bajjukire gyebavudde okusobola okwekeneenya gyebalaga. Akuutidde abakozi ku mitendera gyonna okutwala ebifo mwebakolera okusinga nnyini kyo kuba singa wabaawo ekizibu ku bifo bino bebasinga okukosebwa era nga kibeera kyangu emirimu okugifiirwa. Minisita omubeezi owa gavumenti ez’ebitundu mu Bwakabaka, Owek. Joseph Kawuki asabye abamu ku bakozi bebasanze mu bifo ebirambuddwa okubeera abakozi era emirimu bagikolere mu buyiiya n’obumalirivu. Owek. Kawuki asabye abantu bulijjo okunyweza obukakkamu n’obuntubulamu era bongere omutindo mwebyo byebakola kibayambe okulaakulana. Ye Nnanyini kifo kino era nannyini wa Pakalast, Coffee Plus ne Mirano, Raphael Lule yeebazizza Katikkiro Mayiga olw’okubakubiriza bulijjo okukola awamu n’okulaakulanya Obuganda. Oluvannyuma Katikkiro Mayiga yeyongeddeyo okulambula ebifo ebirala mu ggombolola eno. https://gambuuze.ug/2022/09/28/katikkiro-mayiga-akuutidde-bannanyini-kampuni-okunyweza-omutindo/ +business Tetujja kukendeeza ku misolo , kyabulabe –  Pulezidenti Museveni Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni awakanyiza eby’okukendeeza ku misolo mu ngeri y’okuyamba bannayuganda ku bbeeyi y’ebintu epaluuse ku bintu eby’enjawulo. Kinajjukirwa nti mu myezi esatu egiyise ebbeeyi y’ebintu ezze yeyongera nereka abantu abawerako nga tebalina busobozi ku byetuusaako era nebasaba gavumenti ebayambe olwo amafuta bwegeyongedde bwegarinye embeera netabukira ddala. Bwe yabadde ayogerako eri eggwanga ku mbeera eno, Pulezidenti Museveni yagambye nti tebasobola kusala ku misolo kuba kyabulabe nnyo eri eggwanga. “Okuggyawo emisolo oba ogugikendeeza ku bintu ebiggyibwa ebweru ebeera nsobi era kyabulabe. Nali ndowooza tukendeeze ku misolo gy’ebintu byetukolera wano nga sukaali, Seminti kuba abantu bwebongera okubigula kibeera kirungi okutuusa lwenatuula ne kabineeti netulaba emisolo gyetuba tugenda okufiirwa,” Museveni bwe yagambye. Museveni yalaze nti singa baggya emisolo ku seminti bafiirwa emisolo obuwumbi 200, Sukaali obvuwumbi 193 ate obuwumbi 120 ku mitayimbwa, ono agamba nti kino kibeera kya bulabe nnyo wadde embeera y’ebyanfuna mbi nnyo kuba gavumenti tejja kusobola kukola nguudo, masanyalze awamu n’ebirala. “ Okufiirwa omusolo kijja kukosa embalirira yaffe nebyo byetutegese okukola. Okusomoozebwa kuno kwa kaseera buseera,” Museveni bwe yalambuludde. Museveni agamba nti eby’okusooka okuyimiriza mu nteekateeka ez’enjawulo nga bakendeeza emisolo okusobola okukendeeza ku bbeeyi y’ebintu sikya magezi. Okusinziira ku Pulezidenti Museveni wadde ssente ya Uganda egudde, ebbeeyi naye bwotunuulira ekiri mu mawanga amalala nga UK. Spain, US n’ensi z’ Afirika, Rwanda ne Kenya, Uganda ekyakola bulungi. Ono agamba nti ekizibu ky’ ebbeeyi y’ebintu tekyenkana kizibu kya COVID-19 nategeeza nti singa kibeera kikwatiddwa bulungi eggwanga lisobola okukivunuka. Museveni yannyonnyodde nti amagezi akadde kano kali mu kusooka kwesonyiwa bintu ebitetaagisa era batunuulire nnyo ebyo ebikolebwa wano nga bweboogerezeganya n’amawanga g’ebweru okulaba bwebasobola okuyambako ku mbeera eriwo. https://gambuuze.ug/2022/05/23/tetujja-kukendeeza-ku-misolo-kyabulabe-pulezidenti-museveni/ +business Ab’Embogo bakoze kaawa w’emmwanyi Bazzukulu ba Kayiira e Mugulu bakoze kaawa w’emmwanyi nga kino bakikoze okwongera omutindo ku mmwanyi nga ono bamutuumye ‘Mbogo Coffee.’ Kaawa wa Mbogo atongozeddwa omumyuka wa Katikkiro owookubiri era Minisita w’ebyensimbi,Owek. Waggwa Nsibirwa kuPanthal Suits e Goma Seeta -Mukono mu Kyaggwe. Minisita Waggwa Nsibirwa ategeezezza nti Obwakabaka bwettanidde nnyo okuyitimusa okulima emmwanyi nga kati ky’ekiseera okulaba nga bannansi bettanira okunywa kaawa okusobola okutumbula akatale ak’awaka. “Emmwanyi erina essente, toyinza kubeera awo olin’agamba nti zimpole ate osobola okutunda ekimuli wadde kino tetukikkiriza kuba twagala munoge myufu era osobola okuzitunda n’ekikopo. Tetwetaaga kuggya bazungu bweru okutuyigiriza okugirima wadde ebigimusa ebingi ennyo kuba tulina nnakavundira waffe.” Owek. Waggwa bw’agasseeko. Owek.Nsibirwaannyonnyodde nti emmwanyi kirime kyattunzi era ekivaamu ebintu ebyenjawulo ate nga kaawa kyakunywa kya mugaso nnyo eri abantu nga kisaanye okussibwamu amaanyiera bannansi basaanye okutegeezebwa emigaso egiri mu kaawa n’emmwanyi. Omuzzukulu wa Kayiira eraakulembeddemu enteekateeka eno, Edward Lutakome Ssentamu agamba nti baagala okutumbula omutindo gw’emmwanyi erimibwa mu Buganda kuba esobola bulungi okuvuganya ku katale k’ensi yonna. Akulira okulondoolaomutindo gw’emmwanyi mu kitongole kya ‘Uganda Coffee Development Authority,’ Doreen Rose Reihabwe ategeezezza nti Uganda ly’eggwanga erisinga okulima emmwanyi ku lukalu lwa Africa, kyokka ng’ezisinga zitundibwa wabwerunga waliwo obwetaavu okuzongerako omutindo. Reihabwe alaze nga bwe bakwataganye n’ekitongole kyaNARO okukuza ekika ky’emmwanyi ya Robusta ekirimibwa e Brazil kuba bazudde nti kisobolaokukola ku ttaka lya wano. https://gambuuze.ug/2021/09/21/abembogo-bakoze-kaawa-wemmwanyi/ +business Katikkiro akyalidde MTK Uganda Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga akyaddeko mu maka ga kampuni ya MTK Uganda Limited okubayozaayoza okuweza emyaka 52 nga baweereza bannayuganda. Katikkiro , Mw. Xavier Kitaka omutandisi wa MTK Uganda Ltd. Kaggo, Minisita w’Amawulire mu Bwakabaka wamu n’abakozi abalala aba MTK Uganda. Katikkiro yeebazizza nnyo omutandisi wa kampuni eno Xavier Kitaka olw’okuweereza obwakabaka wamu n’okwagala Kabaka we. Mu ngeri yeemu yamwebazizza okwagala eddiini ye n’okuweereza Katonda. Katikkiro nga ali n’abakozi ba MTK Uganda Limited. Katikkiro era wano akubirizza abakozi okwagala emirimu gyabwe, bagyemalireko kubanga business bweggwawo bebasinga okukosebwa. Era wano Katikkiro yalambudde ebifo abakozi gye bakolera (offices) emirimu awamu ne sitoowa gye batereka eddagala erikolebwa. MTK bakola eddagala ly’abantu n’ebisolo era nga baludde mu nsiike eno ey’okukola eddagala. https://gambuuze.ug/2019/09/26/katikkiro-akyalidde-mtk-uganda/ +business Basabiddwa okwettanira omukutu gwa K2 -Eggumidde Katikkiro Charles Peter Mayiga asabye abantu mu Buganda ne Uganda okwettanira omukutu gwa K2- Eggumidde okusobola okuganyulwa mu mpeereza ey’omulembe era bakulaakulane. Okusaba kuno Katikkiro Mayiga akukoledde mu Bulange e Mmengo ku Lwokuna, bw’abadde atongozza enteekateeka y’okubunyisa enjiri ya Airtel -K2 Egumidde mu masaza ga Buganda ag’enjawulo nga ali wamu ne bannamukago okuva mu kampuni ya Airtel. “Emikago gikula bwe wabaawo obwesigwa wakati we njuyi zombi era nkakasa aba Airtel nti Obwakabaka bujja kukola ekisoboka okukuuma omukago ogukoleddwa. Bw’oba oyagala okubaako by’okola tambula naabalina ensa, nga K2 bwe yakola ku Airtel ” Katikkiro Mayiga bw’agambye. Owek. Mayiga ategeezezza nti okuva lwe batta omukago ne Airtel mu 2018, K2 yajjula, era kati K2 eggumidde era n’obuweereza bwayo buggumidde nasaba abaami ab’Amasaza okukola obwa kitunzi bwa K2 mu Masaza gaabwe era bajagazise abantu. Akuutidde abaweereza bonna mu Bwakabaka okwettanira Obuweereza bwa K2. Agambye nti tewakyali nsonga yonna lwaki Minisita wa Kabaka; Ssenkulu, oba omuweereza wa Kabaka yenna alemererwa okukozesa K2 ng’ate eggumidde. Omumyuka wa Katikkiro Owookubiri era Minisita w’Ebyensimbi n’Okuteekerateekera Obwakabaka, Oweek Robert Waggwa Nsibirwa, annyonnyodde nti nga bayita mu nkola ya K2 eggumidde, baagala abantu ba Kabaka bakole bizineensi s nga bakozesa K2 eggumidde. Owek. Waggwa agamba nti mu byenkizo K2 byerina kati by’ebyempuliziganya, amayengo n’okutambuza n’okutereka ensimbi awamu n’okuzisiga era abantu ba Nnyinimu basobole okufunirako amagezi ag’enjawulo nga bakozesa omutimbagano ku bbeeyi esinga okubeera wansi. Ssenkulu wa Airtel mu Uganda, Manoji Murali, agambye nti eky’enkizo ekiri ku Buganda kye ky’okuba nga abantu ba Kabaka bali mu buli kitundu kya Uganda, era oli asobola okusinziira gy’ali naawagira emirimu gya Kabaka nga anyiga *173# ne bw’aba talina line ya 0708 oba 0709. Ssenkulu wa K2 Telecom, Omuk. Arthur Mawanda, alaze nti mu kiseera kino K2, ewezezza ba kasitoma abasukka akakadde kamu (1m) nga bano bagenda kuganyulwa butereevu mu nkola empya ezijjidde mu kikapu kya K2 eggumidde omuli ‘internet’ edduka sipiidi, okusindika ssente n’ebirala. Mu nteekateeka eno, Katikkiro Mayiga akwasizza Abaami b’Amasaza essimu ekika kya sseereza eziweereddwayo aba Airtel bagende bakubirize abantu ba Kabaka beeyunge ku mukutu gwa K2 eggumidde. https://gambuuze.ug/2022/05/26/basabiddwa-okwettanira-omukutu-gwa-k2-eggumidde/ +business Omubaka Adeke ne Nyanjura basindikiddwa ku alimanda e Luzira Kampala Kkooti ya Law Development Centre (LDC) esindise bannakibiina ki Forum for Democratic Change (FDC) okuli omubaka omukyala owa Soroti Adeke Anna Ebaju n’omumyuka wa Loodimmeeya, Doreen Nyanjura ku alimanda. Bano basibiddwa wamu ne Nanyonjo Susan, Amony Alice, Wokuri Madanda ne Mariam Kizito oluvannyuma lw’okukwatibwa ku nkulungo e Mulago nga beekalakaasa ku miwendo gy’ebintu egyekanamye awamu n’okuwakanya obukadde 30 ezasabiddwa Dr. Kizza Besigye okweyimirirwa. Okusooka bano baggaliddwa ku poliisi y’e Wandegeya gyebabadde bakuumirwa oluvannyuma nebasimbibwa mu maaso g’Omulamuzi Augustine Alule gyebavunaanibwa omusango gw’okukuba olukung’aana olumenya amateeka. Bano bonna emisango bagyegaanye nga bayita mu bannamateeka babwe abakulembeddwamu Erias Lukwago, Ivan Bwowe ne Samuel Muyizzi era nebasaba okweyimirirwa. Balooya bano bategeezezza kkooti nga abavunaanwa bwebalina ebifo ebyamaanyi mu ggwanga ate nga tebasingisibwangako musango gwonna oba okweyimirirwa ku kakalu ka kkooti nebamenya amateeka gaako. Omulamuzi bano agaanye okubeeyimirirwa nabasindika e Luzira okutuuka lwebanaddamu okuwulira okusaba kwabwe okw’ okweyimirirwa nga 7, July, 2022. https://gambuuze.ug/2022/05/31/adeke-ne-nyanjura-basindikiddwa-ku-alimanda-e-luzira/ +business Katikkiro Mayiga ayongedde okutalaaga Mutuba II  Makindye, abakuutide okukola ennyo Katikkiro Charles Peter Mayiga olunaku olwookubiri ng’alambula emirimu egikolebwa mu ggombolola ya Mutuba III Makindye. Enteekateeka eno yatandikibwa n’ekigendererwa eky’okusiima n’okwebaza abaami ba Kabaka mu ggombolola eba ewangudde mu mpaka z’enkola y’emirimu gy’Obwakabaka. Leero asookodde ku Sir Jose Hotel e Gaba, eya Mw. Joseph Ssettuba, ate oluvannyuma ne yeeyongerayo ku Islamic Centre for Education and Research e Buziga. Ab’eno abakuutidde okwefubako babeeko emirimu gye bakola, bafune ensimbi, batuukirize ebyetaago byabwe, Buganda edde ku ntikko. Asabye abasuubuzi abagundidde okuyigiriza abaana baabwe enkola y’emirimu nga batandikira ku bifo ebisookerwako mu kkampuni, okusinga okubaleeta nga ba manaja nga tebamanyi nkola ku mitendera egisooka. Yeebazizza nnyo Mw. Joseph Ssettuba, olw’enkolagana ennungi n’abantu, era n’asaba abantu okwewummuzangako ng’emirimu giwedde basaka amaanyi n’amagezi amaggya. Katikkiro era akwasizza abaliko obulemu obugaali okubayambako mu kutambula kwabwe. Bino bibadde ku Islamic Center for Education and Research, e Buziga. Katikkiro akyalambula eggombolola ya Mutuba III Makindye. Katikkiro awerekeddwako Oweek. Joseph Kawuki n’abaweereza n’Obwakabaka abalala. https://gambuuze.ug/2022/09/29/katikkiro-mayiga-atalaaze-mutuba-ii-makindye-abakuutide-okukola-ennyo/ +business Katikkiro Mayiga akunze abantu balime emmwaanyi baleme kwekwasa bisomooza Kamalabyonna Charles Peter Mayiga akunze bannayuganda yonna gyebali bulijjo okulima emmwaanyi beewale okwekwasa kuba buli mulimu gulina ebigusomooza. Okwogera bino Katikkiro Mayiga abadde ayogerako eri bannamawulire nga ayolekera ebizinga bye Ssese ku nteekateeka y’Emmwaanyi Terimba ku Mmande okulambula abalimi ba Beene. “Mbakubiriza balime wadde waliwo abagamba nti tebalina ttaka ekyo kituufu naye era bwogamba omuntu nti suubula waliwo akugamba nti sirina ntandikwa. N’omuyigirize ajja kugamba nti emirimu tegirabika, ekyo kireme kuba nti kye kyekwaso kyetukulembeza,” Owek. Mayiga bw’agambye. Okusinziira ku Katikkiro Mayiga wadde abantu beeno baagala nnyo okulima ebinazi naye akaseera katuuse balowooze ku kulima emmwaanyi. Katikkiro waakulambula abalimi mu Ggombolola ssatu okuli Mugoye, Bujjumba, Mutuba II Kalangala era nga wadde ataalaze Amasaza ga Buganda ag’enjawulo abadde tatuukangako Ssese. Mu kulambula kuno, Owek. Mayiga awerekeddwako baminisita okuli avunaanyizibwa obutereevu ku byobulimi Owek. Mariam Mayanja Nkalubo Nassejje, Owek. Noah Kiyimba, minisita wamawulire era omwogezi wa Buganda ne Minisita w’ Abavubuka, Owek. Henry Kiberu Ssekabembe. Bino webijjidde nga ekitongole ekivunaanyizibwa ku Mmwaanyi mu ggwanga Ki Uganda Coffee Development Authority kyakamala okusiima Obwakabaka, Katikkiro Mayiga awamu ne BUCADEF olw’okutumbula ekirime ky’ Emmwaanyi. Ku ssaawa kkumi Mukuumaddamula abadde atuuse ku mwalo gwe Bukakata era ayaniriziddwa John Baptist Lubega akulira entabuza yemirimu ku kidyeri kya MV ssese era kirutwalidde eddakiika asatu okutuuka ku mwalo gwa Luku-Bugoma. Ku mwalo gwe Bugoma Katikkiro ayaniriziddwa Minisita omubeezi owebyobulimi avunanyizibwa obutereevu ku Mmwaanyi, Omwami w’essaza lino, Kweeba Augustine Kasirye, omubaka Hellen Nakimuli awamu n’abalala. Mukuumaddamula atandikira wa Paul Ssemanda e Buyindi mu ggombolola ya Ssaabaddu Mugoye n’ oluvannyuma aggulewo ekyuuma ky’Emmwaanyi ku kyalo Bweeya. Bwanamala Owek. Mayiga wakugendako mu ggombolola Mumyuka Bujumba okulambula omulimi Kizza Dan Kyeeswa, ate mungeri yeemu agendeko mu gombolola Mutuba II ewa Eugene Kitaatire e Mweena noluvannyuma ayogereko eri abantu ba Kabaka mukitundu kino. https://gambuuze.ug/2022/10/10/katikkiro-mayiga-akunze-abantu-balime-emmwaanyi-baleme-kwekwasa/ +business Muwanga Kivumbi : Bamafiya bagezaako okuzza endagaano y’emmwaanyi nga bakyuusa Palamenti byeyasalawo Minisita w’ebyensimbi ku ludda oluvuganya, Muwanga Kivumbi ategeezezza nti agudde mu lukwe lwa bamafiya olw’okugezaako okukyuusa ebyasalibwawo akakiiko ka Palamenti ku ndagaano y’emmwaanyi gavumenti gye yakola ne kampuni ya Vinci nga egiwa obuvunaanyizibwa ku mmwaanyi mu ggwanga. Nga beesigama ku byasalibwawo akakiiko k’ebyobusuubuzi mu Palamenti akakulirwa omubaka Mwine Mpaka, Palamenti eyawamu yagoba endagaano eno gavumenti yawakati gyeyakola ne kampuni ya Uganda Vinci Coffee Company Limited (UVCC) ku ntandika y’omwaka guno. Palamenti yategeeza nti endagaano eno yali mbi eri bannansi naddala abali mu mulimu gw’okulima n’okutunda emmwaanyi. Bano bakolokota ne Ssaabawolereza wa gavumenti, Kiryowa Kiwanuka olw’okukkiriza gavumenti okuteeka omukono ku ndagaano eno era bwatyo naye nakkiriza okukola enongoosereza mu ndagaano eno n’oluvannyuma bagikomyewo mu Palamenti. Ku Lwokuna, omubaka Muwanga Kivumbi ategeezezza bannamawulire nga bwagudde mu lukwe lw’ abamafiya batayatukiriza mannya okukyuusa ebyasalibwawo Palamenti bateekemu ebyabwe. “Twesanze nga ebibeera bisaliddwawo Palamenti bikyuusibwa nga tebinasindikibwa mu Minisitule y’ebyensimbi. Kati baagala kukyuusa byasalibwawo Palamenti ku ndagaano y’emmwaanyi,” Kivumbi bwe yagambye. Kivumbi agamba nti bano bakikolako bwebakyuusa ekiragiro kya Palamenti mweyasabira gavumenti egule emigabo gya buwumbi 108 mu kampuni ya Atiak Sugar kyokka bakyuusa nebalaga nti ssente zino zaali zakugula byuma ebigenda okukozesebwa ekkolero lya kampuni. Ono ategeezezza nti pulaani eno ebaddewo nga bamafiya bakyuusa ebisaliddwawo Palamenti nalaga nti akaseera katuuse basanguzibwe. Kati Kivumbi awandiikidde Kalaani wa Palamenti nga amusaba amuwe ebiragiro Palamenti byeyawa nga May 18, ku ndagaano eno ku ndagaano y’emmwaanyi eno byebavaako okugisazaamu. Ono agamba nti ebyasalibwawo Palamenti ku ndagaano ya Vinci birina okusibwako eriiso ejjogi kuba eggwanga lyonna lyali libataddeko amaaso era lyasanyuka ng’endagaano eno esaziddwamu kuba yali emenya amateeka era nga terina kalungi kegenda kuwa bannansi. “Mpandikidde Kalaani nga musaba ampe ebiragiro ebyasalibwawo byategese okuwa gavumenti. Eyali alumiddwa ku musota, twali tulabyeko ebisaliddwawo nga bikyuusibwa ate kati tuwulira nti era batandise, twagala Kalaani wa Palamenti akigoberere nga atunuulira Hansard okumanya ekituufu, kino kirina okukoma,” Muwanga Kivumbi bw’agambye. Wabula ono bwabuziddwa abali emabega w’olukwe luno, Muwanga agaanye okuboogera nategeeza nti obukulembeze mu Palamenti bwebulina okunenyezebwa ku nsonga eno. https://gambuuze.ug/2022/06/02/muwanga-kivumbi-bamafiya-bagezaako-okuzza-endagaano-yemmwaanyi-nga-bakyuusa-palamenti-byeyasalawo/ +business Abavubuka mutandikewo ebibiina ebisizi by’ensimbi – Owek. Ssekabembe Minisita w’abavubuka, okwewummuza n’ebyemizannyo mu Buganda, Owek. Henry Ssekabembe Kiberu, asabye abavubuka ba Beene mu ssaza ly’e Ssese okujjumbira ebibiina ebisizi by’ensimbi basobole okwekulaakulanya. Owek. Ssekabembe nga asomesa abavubuka e Ssese “Ssentebe njagala munzibire ebibiina by’abavubuka ebisiga ensimbi ebigenda okusonda ssente ez’enjawulo ebitakka wansi wa 30 nga biteeseteese bulungi ssente zaabwe ne kye byagala okukola,” Minisita Ssekabembe bw’agambye. Okwogera bino Ssekabembe abadde Ssese ku Dream Land Guest House, ng’akomekkereza ekitundu ekisooka eky’okutalaaga amasaza gonna aga Buganda ng’abasomesa ku nnambika yaabwe wamu n’okubalaga engeri gye basobola okulondamu abakulembeze abatuufu. Owek. Ssekabembe abakubirizza okunywerera ku kiragiro kya Ssaabasajja eky’okukola, okufissa, okutereka wamu n’okusiga kibayambe okwekulaakulanya. Ono yagambye nti enkola eno ey’okulambika abavubuka y’esobola okuteekawo olujegere lw’abakulembeze oluyunga ekyalo ku ssaza ate nalyo ne lyegatta ku Bwakabaka. Abasabye okulonda abakulembeze abatuufu era bakimanye nti omulimu gw’okuzimba Buganda gwabwe ng’abavubuka era bakole ebibiina by’abavubuka bya bantu 10 ku buli kizinga kibayambe okutambulira awamu. Wano Kweba atwala Ssese Augustino Kasirye alaze obwennyamivu olw’abantu abafudde abavubuka ku Nnyanja abapakasi baabwe nebalemwa okwekulaakulanya. Kweba Kasirye asabye Obwakabaka okumuyambako babangule abavubuka mu mirimu emirala kubanga abasinga mu kitundu kino beesibye ku kimu kya buvubi ate ng’ennaku zino eby’ennyanja bitono. Omulungamya w’ebibiina by’obukulembeze mu Buganda, Joseph Balikuddmbe wamu n’Omuk. Hassan Kiyemba, basabye abavubuka okukwatirako bannaabwe basobole okwezimba. Ssentebe w’abavubuka mu Ssaza lye Ssese Mwanje Daniel, asabye Minisita Ssekabembe bayambibweko ku nsonga y’akawuka ka siriimu akasusse mu kitundu kino. Abavubuka era basabye Minisita Ssekabembe okubayamba ku bantu abavaayo okubatiisatiisa buli lwebavaayo okubaako woofiisi gye baagala okwesimbako. Kaweefube ono, Owek. Ssekabembe ne ttiimu ye baamutandikira mu Kyaggwe ne bamutwala e Buddu, wuuyo Kkooki, Kabula nga leero abadde Ssese . https://gambuuze.ug/2020/10/12/abavubuka-mutandikewo-ebibiina-ebisizi-byensimbi-owek-ssekabembe/ +business Uganda Airlines eyimirizza entambula zaayo lwa Coronavirus Ennyonyi ya Uganda Airlines Kampuni y’ennyonyi eya Uganda Airlines erangiridde olwaleero nti eyimirizza engendo zaayo mu bibuga Mogadishu ekya Somalia, Kirimanjaro ne Zanzibar ebya Tanzania, Bujumbura ekya Burundi wamu ne Mombasa ekiri mu Kenya olw’ekirwadde kya senyiga wa Coronavirus amanyiddwa nga COVID19. “Oluvanyuma lw’okubalukawo kw’ekirwadde kya COVID-19 wamu n’obukwakkulizo obuteereddwawo amawanga ag’enjawulo okutangira okusaasaana kw’ekirwadde kino, twagala okutegeeza nti tugenda kukyusaamu mu ngendo zaffe,” bwekityo ekiwandiiko ekyafulumiziddwa aba Uganda Airlines bwekyategeezezza. Engendo zino zigenda kusazibwamu wakati wa March 20 ne 23. Ekirwadde kino kya balukawo mu kibuga kya Wuhan ekiri mu China ku nkomerero y’omwaka oguwedde era nga wetwogerera bino kyakatugumbula abantu abasukka mu 7500 mu nsi yonna. Wano ku lukalu lwa Africa, abantu 300 bebaakazuulibwa n’ekirwadde kino mu mawanga 25. Balirwana ba Uganda omuli Kenya, Tanzania, South Sudan, DR Congo ne Rwanda gonna ekirwadde kino kyagobyeyo dda. Olwaleero omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni agenda kwogerako eri eggwanga ku nteekateeka gavumenti ye gy’erina okulwanyisa ekirwadde kino nnamuzisa. Gyebuvuddeko, minisitule ekola ku by’obulamu yawera abantu abava mu mawanga omuli Italy, San Marino, Iran, South Korea, France, China, Germany, Spain, Belgium, USA, United Kingdom, Netherlands, Sweden, Norway, Austria ne Malaysia okujja mu Uganda olw’okutya okujja n’ekirwadde. https://gambuuze.ug/2020/03/18/uganda-airlines-eyimirizza-entambula-zaayo-lwa-coronavirus/ +health Temuggwaamu ssuubi lwa kolona- Katikkiro Mayiga Katikkiro wa Buganda, Owek. Charles Peter Mayiga, asabye abantu obutaggwaamu ssuubi olw’embeera ereeteddwa ekirwadde kya Ssennyiga kolona, ekiwanise amatanga. “Temuggwaamu ssuubi kubanga omuntu bw’aba n’essuubi kimuwa obuvumu okulwanyisa abulwadde. Alina essuubi yeerwanako era afuba okukola ebyo ebimugasa. Kyokka omuntu bwaggwaamu essuubi ayinza okulwala n’okufa n’afa.” Katikkiro bw’agambye. Okwogera bino, abadde asisinkanye bannamawulire wali ku Mbuga y’Obwakabaka enkulu e Bulange, Mmengo. Omuntu atalina ssuubi Katikkiro amugeraageranyizza ku kyoto ekitaliimu wadde akaliro akatono. Mukuumaddamula asabye bannayuganda okwongera okugoberera amateeka agaateekebwawo okwewala okusaasaanya obulwadde bwa kolona omuli okunaaba mu ngalo, okukozeza eddagala eritta obuwuka erimanyiddwa nga ‘sanitizer’, okwambala obukookolo n’okwewa amabanga. Akuutidde abantu okwewala emikolo gyonna kabubeere obubaga obutegekebwa awaka. Okusinziira Ku Katikkiro, obutagoberera biragiro ye kanaaluzaala mu kisaasaanya kolona. Katikkiro ategeezezza nti wadde mu kaseera kano kyenkana buli muntu alwazizza oba afiiriddwa omwagalwa olw’akawuka okweyubula ne keeyongera amaanyi. Kyokka abawonye nawokeera w’ekirwadde kino nabo bangi, wabula omuwendo gwabwe gubikkibwa abafudde. Owoomumbuga asinzidde wano n’asaba abantu obuteesiga mboozi yonna ku kolona okuggyako ng’eva mu mikutu esatu gyokka omuli ekitongole ekitwala eby’obulamu mu nsi yonna, ekitongole ky’ebyobulamu mu gavumenti yaawakati wamu n’abakulembeze baabwe. https://gambuuze.ug/2021/06/25/temuggwaamu-ssuubi-lwa-kolona-katikkiro-mayiga/ +health Buganda eyagala amateeka g’abaliko obulemu gateekebwe mu nkola Obwakabaka bwa Buganda busabye abakwasisa amateeka g’abantu abaliko obulemu okufuba okulaba nti gateekebwa mu nkola wasobole okubeerawo obwenkanya ku bantu ab’ekikula kino. Okusaba kuno kukoleddwa minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’Amawulire era Omwogezi w’Obwakabaka, Owek. Noah Kiyimba bw’abadde ayogerako ne bannamawulire e Bulange Mmengo. Minisita Kiyimba ategeezezza nti olunaku lw’omwaka guno, Beene yasiima lukuzibwe nga Decemba 14 wansi w’omulamwa ogugamba nti “Okutumbula Embeera z’Abaliko Obulemu mu Buganda”. Owek. Kiyimba alaze obukulu bw’okusomesa abaana abaliko obulemu nakakasa nti basobola bulungi okubeera ab’omugaso era nebakola ebintu eby’omuwendo ebigasa ensi yabwe bwatyo nalabula abazadde abalemeddemu omuze gw’okukweka abaana mu nju olw’okuba baliko obulemu. Ono annyonnyodde nti abaana bano basobola bulungi okusoma era nasaba abazadde abatalina busobozi okweyuna bbasale z’Obwakabaka basobole okuwa abaana bano ebiseera by’omu maaso ebitangaavu. Minisita Kiyimba asabye ebitongole ne kampuni ezigaba emirimu okulowooza ku ky’okuwa abaliko obulemu omukisa kuba bano balina ebitone ebyenjawulo nga abamu basobola bulungi okuvuganya n’abantu abataliiko bulemu ate nebabasinga. Owek. Kiyimba era asabye abantu abaliko obulemu okusibwa ku mwanjo bwekituuka mu nsonga zebyobulamu , ebyenjigiriza ne bintu ebirala kubanga nabo balina eddembe okubifuna. Omukiise wabaliko Obulemu mu lukiiko lwa Buganda Owek. Dr. Vincent Ssenabulya yeebaziza Obwakabaka olwokubassa ku mwanjo wabula nafalaasira abaliko obulemu okukozesa omukisa guno okukyuusa embeera yabwe. Dr. Ssenabulya agamba nti newankubadde abaliko obulemu balina ebizibu eby’enjawulo ebyekuusa ku nkula yabwe, tebasaanidde kwekubagiza kuba baamukisa nnyo okuba abalamu, ate nga balina n’ebintu bingi bye bayinza okukola ne bibayamba okubeerawo. https://gambuuze.ug/2022/12/12/buganda-eyagala-amateeka-gabaliko-obulemu-gateekebwe-mu-nkola/ +health Ssaabasajja Kabaka alagidde abantu bakomye okuboola abalina Mukenenya Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II alagidde abantu be okukendeeza okuboola n’okusosola abantu abalina akawuka akaleeta Mukenenya. Ekiragiro kino Omutanda akiyisizza mu kiwandiiko bw’abadde awa obubaka bwe obw’okujjukira ku kirwadde kino awamu n’okwefumiintiriza ku ngeri y’okukirwanyisa olubeerawo buli 1 Decemba owa buli mwaka. “Newankubadde waliwo ebituukiddwako mu kulwanyisa Mukenenya tuteekeddwa okwongeramu amaanyi okukendeeza okuboolwa n’okusosolebwa kw’ abantu abalina akawuka akaleetebwa Mukenenya,” Ssaabasajja Kabaka bw’alagidde. Omuteregga era alagidde abaami okwongera okwekebejja n’okufuna obujjanjabi bw’ekirwadde kino kiyambe obutakitambuza. Omutanda agamba nti nga ensi yonna yeefumiintiriza ku kirwadde kino obudde buno abantu be balina okubukozesa okwekeneenya kaweefube w’okulwanyisa Mukenenya waatuuse. Ssaabasajja Kabaka ategeezezza nti wadde emyaka egiyise gibaddemu okusomoozebwa kwa COVID-19 n’okubundabunda kw’abantu mu Uganda ate nga kati waliwo ekirwadde ky’Ebola so nga ebikozesebwa n’emmere nabyo byekanamye naye bino byonna tebirina kunafuya kaweefube wakulwanyisa Mukenenya. Kabaka asiimye enteekateeka ez’enjawulo ezisobodde okukendeeza Mukenenya mu Buganda bwogerageranya n’emyaka ettaano egiyise, ekiwa essuubi ku kulwanyisa ekirwadde kino, nga n’omuwendo gw’abali ku ddagala gulinnye okuva ku bitundu 64% negudda ku 92%. Nnyinimu akiggumiza nti Obwakabaka busoosowaza eby’obulamu mu bantu be nga bayita mu nteekateeka za Buganda ez’enjawulo omuli; ensiisira z’ebyobulamu naddala mu bifo ebirimu ebizinga Mukenenya gyasinga okwegiriisa. Era eno y’ensonga lwaki emyaka esatu egiyise egy’ Amazaalibwa enteekateeka eno ebadde ku kulwanyisa Mukenenya. Ccuucu asabye abantu mukiseera kino okugoberera ebiragiro ebyayisibwa eby’obulamu, beekebeze era bategeere webayimiridde ku kawuka akaleeta Mukenenya. Nnyinimu asabye abali ku ddagala obutagayaala basobole okunafuya akawuka kano era nasaba abavubuka bonna okwekuuma, basome nnyo kuba Buganda ey’enkya eyimiridde kubo. Mu ngeri ey’enjawulo Omutanda, asiimye aba UNAIDS n’ebitongole by’ ensi yonna ne bannamikago olw’okutumbula eby’obulamu naddala mukulwanyisa Mukenenya asobole okumalibwawo mu 2030 mu Buganda ne Uganda awamu n’ensi yonna. https://gambuuze.ug/2022/12/01/ssaabasajja-kabaka-alagidde-abantu-bakomye-okuboola-abalina-mukenenya/ +health Beene asiimye okulemberamu olutalo ku Siriimu okutuuka 2023 Ssaabasajja Kabaka asiimye okukulemberamu olutalo lw’okulwanyisa ekirwadde kya Siriimu mu Uganda okutuuka mu 2023, obuvunaanyizibwa bw’abadde nabwo okuva mu mwaka gwa 2007. Kino kibikkuddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga, bw’abadde alagirira olunaku lw’okuddukirako emisinde gy’amazaalibwa ga Kabaka e Bulange Mmengo ku Lwokuna leero. Ategeezezza nti ekigendererwa ky’emisinde gino kyakulaba nga bongera okulwanyisa ekirwadde kino naddala mu kiseera kino ekya Ssennyiga Corona. “Nina essanyu okubategeeza nti aba UNAIDS basabye Ssaabasajja, atwale obuvunaanyizibwa bw’okutukulemberamu okulwanyisa Mukenenya okutuukira ddala mu 2023 era obuvunaanyizibwa buno, Ssaabasajja Kabaka yakkirizza okubutwala.” Mayiga bw’agambye. Obuvunaanyizibwa buno Beene bwamuweebwa ettabi ly’ekitongole ky’ensi yonna ekikola ku kulwanyisa ekirwadde kya Siriimu mu nsi yonna. Ono agasseeko nti Beene ayagala abasajja be baba bakulemberamu olutalo lw’okulwanyisa Siriimu nga beekebeza n’okwekuuma ate abasangiddwa nga balina ekirwadde kino, batandike eddagala kibayambe okubajjanjaba. “Ssaabasajja ayagala buli muvubuka, buli musajja akitwale nti buvunaanyizibwa bwe okumalawo Siriimu, tutuuke mu 2030 nga tumunyumyako bunyumya ng’ekirwadde ekyaliwo.” Mayiga bw’annyonnyodde. Asabye abavubuka n’abaami okwewala embeera eziyinza okuleeta Siriimu nga balowooza ku bannyaabwe ne bannyinaabwe wamu ne bawala baabwe, kibayambe okutaasa be bali nabo. Mayiga agambye nti abantu balina okukimanya nti Siriimu ne mu mbeera ya COVID-19 akwatiramu era nga ekigendererwa kyakulaba nti ensi ewona Ssennyiga Corona naye ate ereme kukwatibwa Siriimu. Omukungu wa UNAIDS, Sarah Nakku, yeebazizza Ssaabasajja olw’okukulembera olutalo lw’okulwanyisa Mukenenya mu Uganda, Buganda, mu buvanjuba n’amaserengeta ga Ssemazinga Africa. Nakku agambye nti wadde wabaddewo eddagala eriweweeza ku kirwadde kino okumala emyaka 30, naye buyinza okukya enkya ng’eddagala lino terikyalinawo. Noolwekyo nga buvunaanibwa bw’abantu bonna naddala abaami okukuuma abaagalwa baabwe. “Mu Buganda omwami y’akulembera amaka era tusaba mutukulembere mu lutabaalo luno olw’okulwanyisa ekirwadde kya Mukenenya.” Nakku bw’agambye. Ono annyonnyodde nti abantu bwe baneetaba mu misinde gino, tebagenda kulwanyisa Siriimu yekka naye n’ekirwadde kya COVID-19 nga bakuuma emibiri gyabwe nga miramu. https://gambuuze.ug/2020/10/01/beene-asiimye-okulemberamu-olutalo-ku-siriimu-okutuuka-2023/ +health Owek. Nankindu asabye abantu okukuuma obuyonjo kibataase ku ndwadde Minisita w’enkulaakulana y’abantu, Owek Dr. Prosperous Nankindu Kavumaasabye abantu ba Kabaka okunyweza ekigambo ky’obuyonjo basobole okwewala okusaaasaanyiza ssente mu malwaliro era basigale nga balamu. Owek. Nankindu okusaba kuno akukoze alambulaemirimu egikolebwa abakyala mu ssaza Ssingo wamu n’amaka amagunjufumu nteekateeka y’Akaalo Amatendo egendereddwamu okufuna amaka agateekeddwatekeddwa obulungi, amagunjufu era amayonjo. “Obuyonjo tekitegeeza kubeera na nnyumba oba amaka amatiribona. Naye ndabye obuyonjo era njagala okwebaza abaakaalo amatendo nti tugendere awo n’omutindo. Lwaki nzikaatiriza obuyonjo kuba ne bw’atandika okunaabamu ngalo nga COVID-19 azze, endwadde zaakendeera.” Minisita Nankindu bw’agambye. Okusinziira ku Minisita Nankindu, endwadde ezituluma ebitundu 75 ku buli 100 ziva ku bucaafu nga singa banaatumbula obuyonjo obulamu bwabwe bujja kukyukamu. Owek. Nankindu asabye abantu okuwang’ana amagezi kibasobozese okugenda ku ddaala eddala nga Beene bw’atukubiriza era kino bakikole awatali kwesosola mu byabufuzi, mawanga n’eddiini. Ono annyonnyodde nti enteekateeka zino ze ziyamba Obwakabaka okukwatagana n’abantu mu masaza ag’enjawulo okusobola okwekenneenya embeera bw’eri nga bamanya ekituufu era ky’ekimu ku bigenda okuzza Buganda ku ntikko. Owek. Nankindu akubirizza abantu okwegemesa ekirwadde kyaSsennyiga Corona era bafube okujjumbira enteekateeka za Buganda ng’okugaba omusaayi, emisinde, n’ebirala okusobola okutwala Obwakabaka mu maaso. Omwami w’essaza Ssingo, David Nantaggya, ategeezezza nti waliwo ebintu ebirabiddwako olwaleero ebiraga nti amaka mu kitundu kino galimu obugunjufu era abeetegefu okutwala Buganda ku ntikko. Mu balambuddwa mu nteekateeka enokuliko, Mukyala Aidah Nabulime, Omwami n’omukyala Luweesi Peter ab’oku kyalo Katooke, Mukyala Lilian Namisango Ssewanyana, Mukyala Bukirwa Sarah, Mukyala Teddy Nabuyondo, n’abalala. https://gambuuze.ug/2021/11/15/owek-nankindu-asabye-abantu-okukuuma-obuyonjo-kibataase-ku-ndwadde/ +health DFCU esse omukago n’Obwakabaka ku kulwanyisa siriimu Bbanka ya DFCU, esse omukago n’obwakabaka bwa Buganda ku kulwanyisa siriimu. Nga asisinkanye Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga ku Bulange, Mathias Katamba, agambye nti bbanka egenda kussa obukadde 500 mu kaweefube w’okulwanyisa siriimu mu Uganda nga bayitira mukuwagira emisinde gy’amazaalibwa ga Kabaka. “DFCU ekolera kuteekawo nkulaakulana mu ggwanga n’okukyusa obulamu bw’abantu. Omukago guno gulina okukolebwa kubanga Obwakabaka Bwa Buganda ne DFCU birina ebiruubirirwa byebimu,” Katamba bwagambye. Yayongeddeko nti bbo nga bbanka baagala okwegatta ku kaweefube w’okulwanyisa siriimu kubanga yeyongedde naddala mu bavubuka. “Twagala okukolaganira awamu okusobola okulwanyisa siriimu muggwanga. Tukimanyi nti abasajja tebaagala kwekebeza era tulina okubakubiriza okwekebeza kubanga kino kiggya kukendeeza siriimu mu bakyala,” Katamba, ng’ono ye ssnetebe wa boodi ya CBS bwategeezezza. Yayongeddeko nti nga bbanka nabo bakubiriza abakozi baabwe okwekebeza era babawa n’obujjanjabi obw’obwerere. “Abantu bonna balina okumanya nti okuba n’obulwadde simusango wabula balina okuwagirwa okulaba nga abulamu bwabwe butambula bulungi,” Ku lulwe Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga yebazizza nnyo DFCU okwegatta ku kaweefube w’okulwanyisa siriimu. “Abantu abatali balamu tebasobola kweyagalira munsi yaabwe; mukenenya fenna wamu tulina okumulwanyisa,” Mayiga bwagambye. Agasseko nti nga Obwakabaka wamu ne bbanka bagenda kufunamu mu mukago “Omukago gukufuula wamanyi okusinga bw’obadde; oyigira kubannamukago by’otamanyi oba byoba tosobola. Omukago fenna gutuleetera obuwanguzi, essanyu n’eddembe,” Mayiga bwagambye. Ye omukungu Ronald Kawaddwa akulira Majestic Brands ategeezeza nti beeteefuteefu okukolagana ne DFCU. “Tukimanyi nti tetugenda kulemaganwa, emikago gino bwetuba tugiyingiddemu tufuba okutuukiriza ng’Obwakabaka era tweyama nti tujja bakwata bulungi. Twagala okukwaniriza era tukukakasa nti ffe lutindo eri akatale,” Kawaddwa bwategeezezza. https://gambuuze.ug/2019/12/04/dfcu-esse-omukago-nobwakabaka-ku-kulwanyisa-siriimu/ +health Akulira ekibiina ky’abasawo agaanye eby’okudda ebbali bamunoonyerezeeko ku by’okusaba Museveni addemu yeesimbewo mu 2026 Pulezidenti w’ekibiina ekitaba abasawo ki ‘Uganda Medical Association (UMA), Dr Samuel Oledo agaanye okuddako ebbali nga bweyabadde asabiddwa bannakibiina basobole okumunoonyerezaako. Kino kiddiridde ebyaliwo mu lukung’aana lwa Youth Patriotism Symposium e Kololo ku Lwomukaaga, Oledo gyeyasinziira nga ali n’abamu ku basawo okufukamira nebasaba Museveni akomewo mu 2026. Ekikolwa kino abasawo bavaayo nebakivumirira nga bagamba nti enneeyisa eno teyali ya kintukilamu era ng’ono yakikola ku lulwe ng’ alina byeyeenoonyeza ng’omuntu. Ku Lwokubiri Ssaabawandiisi w’ekibiina kino, Dr. Herbert Luswata yategeeza bannamawulire nti Oledo yali azzeeko ebbali basobole okunoonyereza ku bikolwa bye n’ebigendererwa byalina mu kino. Wabula bw’abadde ayogerako eri bannamawulire ku Lwokusatu, Oledo agambye nti wadde akkiriza okumunoonyerezaako kugende mu maaso naye tagenda kuddako bbali nga banne bwebasaba. “Nkyali Pulezidenti wa UMA era sigenda kuddako bbali. Nzikkiriza okunnoonyereza kugende mu maaso era y’ensonga lwaki mbadde nsirise era sirina kyenayingiddemu,” Oledo bw’ annyonnyodde. Oledo agasseeko nti banne balina kyekubira kuba omwaka oguwedde yakola ekikolwa kyekimu nafukamira okusaba omuntu y’omu Pulezidenti Museveni abongeze omusaala kyokka tebavaayo kumunoonyerezaako. Ono agamba nti ekikolwa kino yakikoze kusiima Pulezidenti Museveni kyeyakola okwongeza omusaala gw’abasawo era eno y’ensonga lwaki yamusabye akomewo yeesimbewo ayongere okutereeza embeera z’abasawo. https://gambuuze.ug/2022/12/07/akulira-ekibiina-kyabasawo-agaanye-ebyokudda-ebbali-bamunoonyerezeeko-ku-byokusaba-museveni-addemu-yeesimbewo-mu-2026/ +health Minisitule y’ebyobulamu: Ebbula ly’eddagala erigema COVID-19 tekijja kulemesa kuggulawo ggwanga Minisita w’ebyobulamu, Dr. Jane Ruth Aceng, ategeezezza nti wadde bafunye okusoomoozebwa mu kufuna eddagala naye kino tekijja kulemesa ggwanga kuva ku muggalo. Dr. Aceng yagambye nti tebagenda baggulawo kimu ku kimu wadde nga bakyalemeddwa okufuna eddagala erigema omuwendo ogwegasa. Bino Aceng yabyogeredde mu kakiiko ka Palamenti akaateekebwawo okulwanyisa ekirwadde kya COVID-19 eggulo ku Lwokusatu. “Mujjukira mu muggalo ogwasooka, twaggulawo ebintu kimu ku kimu nga tetunnagema bantu era bwetutyo bwe tujja okuggulawo n’omulundi guno.” Dr. Aceng bwe yannyonnyodde. Minisitule y’ebyobulamu okusooka yali esuubira nti ejja kuba emaze okugema abantu ebitundu 50 ku buli 100 okusobola okuggyawo omuggalo. Okusinziira ku Dr. Aceng waliwo ebbula ly’eddagala erigema Corona ku katale k’ensi yonna era eggwanga terisobola kusigala ku muggalo nga ate n’eddagala erigema abantu terirabikako. “Tetusobola kulinda kugema bantu bukadde 22 nga tetumanyi watuufu we tugenda kuggya ddagala ligema bantu.” Dr. Acengbwe yagasseeko. Bino we bijjidde ng’eggwanga lirindiridde okuva ku muggalo gw’ennaku 42era amaaso gonna galinze kwogera kwa Pulezidenti Museveni ku lunaku Lwokutaano okulaba oba omuggalo guggyibwawo. Ebikyafulumiziddwa biraga nti Minisitule y’ebyobulamu yaakagema abantu 1,135,916 bokka ku bukadde obusoba mu 45. https://gambuuze.ug/2021/07/29/minisitule-yebyobulamu-ebbula-lyeddagala-erigema-covid-19-tekijja-kulemesa-kuggulawo-ggwanga/ +health Abantu ba Kabaka basabiddwa okujjumbira okwegemesa COVID-19 Omukubiriza w’olukiiko lwa Buganda, Owek. Patrick Luwaga Mugumbule asabye abantu ba Kabaka okujjumbira okwegesa ekirwadde kya Ssennyiga Corona era bafube okulwanyisa endwadde endala omuli omusujja gw’ensiri ne Mukenenya ssaako okunyweza ekigambo buyonjo yonna gyebawangaalira. “Lumiimamawuggwe azze naye bw’asanga nga mulina obuyonjo tuba tumugobye. Obujama buleeta endwadde nnyinginaye ddala singa tweyonja ne Ssennyiga ono owaabulijjo tubeera tumugobye. Temweyibaala gyemuli, obulwadde bukyaliyo naye eyo gye butannaba kutuuka mukole abasawo bye batugamba okubwewala.” Owek. Mugumbule bw’agambye. Okusaba kuno akukoledde mu Bulange -Mmengo ku Lwokubiri bw’abadde atikkula Oluwalo lwa bukadde obusobye mu 31 okuva e Buweekula, Kyaggwe ne Busujju. Ono abadde akiikiridde Katikkiro Charles Peter Mayiga era ng’ayambiddwako Minisita omubeezi owa gavumenti ez’ebitundu, Joseph Kawuki. Owek. Mugumbule akunze abantu ba Kabaka okwegemesa nga balabira ku Ssaabasajja Kabaka ne Katikkiro kuba ekirwadde kino kyabulabe nnyo eri obulamu bwabwe. Ono era asiimye abaami ba Kabaka ku mitendera gyonna olw’okusitukiramu okulwanyisa ekirwadde kya Mukenenya awamu n’omusujja mu bitundu byabwe. Ye Minisita omubeezi owa gavumenti ez’ebitundu, Owek. Joseph Kawuki asabye bannabuweekula okusigala nga bakkakkamu kuba ensonga y’ebigambo ebikwatiddwa n’obwegendereza obusembayo era tewali nsonga erina kubeeraliikiriza. Kino kiddiridde abaami ba Kabaka nga bakulembeddwa abaamasaza baloopedde Katikkiro ekizibu ky’ekibbattaka ekikudde ejjembe mu bitundu byabwe, ng’abantu bangi basenguddwa era tebalina we balaga. Ate bannabuweekula bannyonnyodde nga bwe waliwo abantu ababuzaabuza abalala obutawa busuulu nga bagamba nti essaawa yonna ettaka lino liddayo mu Bunyoro. Ku bakiise Embuga mubaddemu abavudde mu magombolola ag’enjawulo agakola amasaza gano omuli; Malangalanga-Kaggwe, Kakindu, Ssaabawaali- Butayunja,Mituba etaano-Nyenga, Mumyuka -Maanyi, Mutuba gumu- Kitenga, Musaale-Kiyuuni n’amalala . Amasaza gano gonna gavuddemu Ouwalo lwa bukadde 31,155,000/= wamu n’ebirabo bye batonedde Nnyinimu mu nteekateeka y’okuyimirizaawo emirimu gy’Obwakabaka. https://gambuuze.ug/2021/10/26/abantu-ba-kabaka-basabiddwa-okujjumbira-okwegemesa-covid-19/ +health Ssenyiga Kolona: Poliisi Ezinzeeko Ekyalo E Namisindwa Oluvannyuma Lw’omuntu Omulala Okufa Poliisi ng’egezaako okugoba abatuuze mu ka tawuni k’e Buwasunguyi Ab’ebyokwerinda basazeeko ekyalo ky’e Bumandli A wamu n’akabuga ka Buwasunguyi mu ggombolola y’e Namabya mu disitulikiti ye Namisindwa oluvannyuma lw’omuntu omulala okufa ku biteeberezebwa nti kirwadde kya Ssenyiga Kolona kiyite Covid-19.Omugenzi ye Martin Muyenlitsi, oweemyka 27. Muyenlitsi yafiiridde ku kalwaliro ka Buwasunguyi ku ssaawa nga 11 ku makya gyeyadusiddwa oluvannyuma lw’okulumizibwa mu kifuba wamu n’okuba nga tassa bulungi. Kino kyekireetedde Poliisi ng’eduumirwa omubaka wa gavumenti mu disitulikiti y’e Namisindwa Moses Kigai Wamoto okusalako ebyalo bino. Enguudo zonna eziyingira mukitundu zigaddwa ssaako amaduuka gonna. Abakkirizibwa okutambula babyakwerinda bokka wamu n’abakozi b’e ggombolola. Wabaddewo okusika omugwa wakati w’aba famire y’omugenzi ssaako n’abaddukanya akalwaliro kano nga bagezaako okukaayanira omulambo. Abenganda baagambye nti omugenzi abadde n’ebirwadde ebimutawaanya nga tekisoboka okuba nti yafudde Covid-19. Joseph Khisa ssentebe w’eggombolola ya Bukhaweka bwebasalaganya ne ggombolola ye Namabya, yagambye nti abenganda z’omugenzi baategeezezza nti ono abadde n’akawuka ka mukenenya era nga abadde mulwadde ennaku eziyise.Rogers Wabuteya, nannyini kalwaliro kano ng’ono era akola n’eddwaliro ly’e Bududa yagambye nti omugenzi abadde n’obubonero bwekirwadde kya Covid-19. Ono yagambye nti yeegayiridde abenganda z’omugenzi bamutwale mu ddwaliro eddene e Mbale kyokka bbo nebeerema. “Bwenabagambye beeremye nga bagamba nti tebaagala kugenda okutuusa omulwadde bweyafudde,”Wabuteya bweyagambye. Okufa kwa Muyenlitsi wekujjidde nga tewannayita na wiiki oluvannyuma lw’okufa kwa Yunis Chamitala mu ggombolola yeemu nga naye yafa Kolona. URN https://gambuuze.ug/2020/07/29/ssenyiga-kolona-poliisi-ezinzeeko-ekyalo-e-namisindwa-oluvannyuma-lwomuntu-omulala-okufa/ +health Minisita Nankindu asabye abazadde  okugemesa abaana abatuuse ekirwadde ki Corona Minisita avunaanyizibwa ku by’obulamu n’embeera z’abantu mu Bwakabaka Owek. Dr. Prosperous Nankindu Kavuma asabye abazadde okukozesa omukisa gw’okugema COVID-19 okw’ekikungo okutegekeddwa mu Bulange e Mmengo okuleeta abaana abali mu luwummula nabo bagemebwe. Okusaba kuno Minisita Nankindu akukoze aggalawo olunaku olusoose olw’okugema kw’ ekikungo okw’omulundi ogw’okubiri okwategekeddwa mu Bulange e Mmengo nga kutandise leero ku Lwokusatu. “Tukubiriza abazadde okujjukiza abaana abali mu luwummula n’abalala abatanawummula bajje wano kuba bafunye omukisa okugemebwa ekirwadde kya COVID-19 mu luwummula luno. Tubeebaza kuba omuwendo gutuuse ku gwetwabadde tusuubira okufuna,” Minisita Nankindu bw’alambuludde. Ono asabye abantu abawezezza emyaka 50 n’okudda waggulu nga baagemwa okufuna akayiso kuba bakeetaaga wadde nga abamu balowooza nti emibiri gyabwe gyaguma era gisobole okwerinda ekirwadde kino. Owek. Nankindu asabye abo bonna abalabye ebisoomoozo okubatuukirira okusobola okulambika enteekateeka eno, abantu ba Beene basobole okuganyulwa, neyeebaza abasawo n’ebitongole ebiwagidde enteekateeka eno. Okugema kuno kusoobye abantu bangi omubadde ne Ssaabawolereza wa Buganda, Owek. Christopher Bwanika asabye abantu okukomya okusaagira mu nsonga z’ebyobulamu naye baveeyo beegemese ekirwadde kino kuba kikyaliwo. Ye akulira eby’obulamu mu ggombolola ye Lubaga, Dr. Dennis Buluma akunze banna Uganda okwettanira okugembwa kuno naddala mu budde buno nga abangi balowooza nti ekirwadde kyaweddemu amaanyi. Okugema kuno kugenda kumala ennaku 4 era kusuubirwa okukomekerezebwa nga 23 omwezi guno. Enteekateeka eno ewagiddwa Majestic Brands, Red Cross, amalwaliro agenjawulo, UNAIDS, CBS FM ne BBS Terefayina, KCCA n’abalala. https://gambuuze.ug/2022/04/20/minisita-nankindu-asabye-abazadde-okugemesa-abaana-abatuuse-ekirwadde-kya-corona/ +health Tukyuse mu nneeyisa okuwangula Mukenenya –Minisita Kiyimba Minisita w’amawulire Kabineeti, Olukiiko, era Omwogezi w’Obwakabaka, Owek Noah Kiyimba, asabye abantu okukyusa mu nneeyisa yaabwe era bafeeyo ku bulamu bwabwe olutalo ku kirwadde kya Mukenenya bweluba lunaawangulwa. Minisita Kiyimba, Kaggo n’abamu ku beetabye mu musomo “Okuggyako nga tukyusizza mu nneeyisa yaffe obulwadde buno buyinza okutubeerera obuzibu okwegobako kubanga bwo bugenda na nneeyisa.” Owek. Kiyimba bwe yasabye. Okusaba kuno Minisita Kiyimba akukoledde ku Kasangati High School mu Kyaddondo bw’abadde aggalawo omusomo ku Mukenenya, obutabanguko mu maka wamu n’okutangira abaana abawala okufuna embuto, ogwategekeddwa Minisitule y’ekikula ky’abantu mu Buganda. Abakulembeze abeetabye mu musomo guno abasabye okutwala ebibasomeseddwa ng’ensonga nkulu era bafube okubiyigiriza abalala era bafeeyo ku bantu be bakulembera, kiyambe okukendeeza ekirwadde kino. Owek. Kiyimba yasabye bannayuganda okumanya ebyo ebikwata ku Mukenenya era beefumiitirize basobole okubulwanyisa era n asabya abakulembeze mu kitundu kino okubeera abasaale ku nsonga eno era bajjukize abantu enjiri esobole okunnyikira. Minisita Kiyimba asinzidde wano n’addamu okusiima Omutanda olw’okusiima okubeera emmunyeenye mu kulwanyisa Mukenenya era ng’essira liteereddwa ku baami era n’abakubiriza okunyweza omumuli. Ono yabakubirizza okwewala obutabanguko mu maka kuba embeera eno erina akakwate n’okusaasaana kwa Mukenenya okweyongera. Yasabye wabeewo empuliziganya mu maka, kibasobozese okwekuuma. Ono era yeebazizza Minisitule ya Buganda ey’ekikula ky’abantu, UNAIDS, TASO n’abalala, olw’okusomesa abantu b’Omutanda mu ssaza lino. https://gambuuze.ug/2020/12/17/tukyuse-mu-nneeyisa-okuwangula-mukenenya-minisita-kiyimba/ +health Abasawo e Kyotera balabuddwa ku kuguza Abatanzania eddagala lya Corona Ssentebe wa disitulikiti y’e Kyotera, Patrick Kintu Kisekulo, alabudde abasawo baayo obutetantala kukukusa ddagala erigema Covid 19 nga balitwala mu ggwanga lya Tanzania kuba anaakikola omulimu gwakumufa. Hajji Ddumba Moses nga agemebwa Kisekulo bino yabyogeredde ku ddwaliro ly’e Kaliisizo ku mukolo gw’okutongoza okugema Covid 19 mu disitulikiti eno eggulo ku Lwokuna. Mu ngeri y’emu asabye abakulembeze banne n’abantu ab’enjawulo okutavaayo kuteeka kazito ku basawo okubagema mufeezi esooka wabula babeere bagumiikirizza. Kisekulo asinzidde wano ne yeebaza President Museveni olw’amaanyi g’atadde mu kulwanyisa Covid 19 ssaako endwadde endala omuli Siriimu. Omubaka wa Pulezidenti e Kyotera, Hajji Ddumba Moses, naye yeegasse ku Ssentebe Kisekulo n’alayira okufaafagana n’abasawo abanaagezaako okutunda eddagala lino era ajja kuvunanwa gwa kulya mu nsi lukwe. Ono era yalaze okutya eri abantu abalowooza nti enteekateeka y’okugema Covid 19 nti si yaabuwaza n’ategeeza nti yabuwaze okuggyako abo bokka abalina ensonga y’essimba. Ye akulira eby’obulamu mu Kyotera, Dr Edward Muwanga, yasambazze ebigambo ebibadde byogerwa ku Mutimbagano nti eddagala lino ffu n’asaba abasawo okujjumbira enteekateeka eno. Dr. Muwanga yalambise ebifo mwe bagenda okugemera Covid 19 ng’agamba ntu bafunye bungi bw’eddagala erisoba munkumi (3000). Ate ye amyuka akulira abakozi mu disitulikiti eno, Yasin Mayanja, yeeyamye nti bo nga disitulikiti beetegefu okuteeka mu nkola enteekateeka eno, n’asaba abasawo okukola obulungi omulimu guno. https://gambuuze.ug/2021/03/12/abasawo-e-kyotera-balabuddwa-ku-kuguza-abatanzania-eddagala-lya-corona/ +health COVID-19 : Abantu 1000 basindikiddwa mu Kalantiini e Kalangala Abakulira akakiiko akalwanyisa ssennyiga Corona ku bizinga bye Kalangala balagidde abatuuze ku mwalo gwe Nkose abawera olukumi okugenda mu kalantiini oluvanyuma lw’okuzuulayo omuntu ow’okubiri nga akwatiddwa ekirwadde kino. Eyazuuliddwamu ekirwadde kino mukyala, nga Sampolo zaali zamugyibwako mu mwezi gwa August nga 28 ku ddwaliro lya Buvuma Health Centre IV. Wabula ono oluvanyuma yagenda ku mwalo gwe Nkose, mu Ggombolola ye Mazinga mu disitulikiti ye Kalangala era gyeyasangiddwa. Oluvanyuma lw’okumunoonya nebamusanga ku kizinga kino, abakakiiko akalwanyisa ekirwadde kino balagidde abantu bonna ku mwalo guno okwetwala mu Kalantiini nga bwebalinda okukeberwa abakugu. Akulira eby’obulamu mu Kalangala Godfrey Hadubi, yategeezezza nga bwebasazeewo okukugira abantu okufuluma n’okujja ku mwalo guno kiyambeko obutasaasaanya kirwadde kino. Ono yagasseeko nti, basazeewo ekizinga kino kyebaba bafuula kalantiini era webagenda okukuumira abantu bano bonna kubanga nga disitulikiti tebalina busobozi kuteekawo kifo kya Kalantiini eky’enjawulo kubanga ne kyebalina bakiggala olw’obuzibu bw’ensimbi. Disitulikiti ye Kalangala yali yateeka ekifo kya Kalantiini ku ssomero lya Bishop Dunstan Nsubuga Memorial wabula nga kati kyaggalwa olw’obuzibu bw’ensimbi. “Nga akakiiko tetulina busobozi kuggyayo bantu bano bonna kubanga n’ekifo wetwandibatutte kyaggalwa olw’obutaba na ssente, kati tusazzeewo tubasigaze ku kizinga kino kubanga kyetusobola,” Hadubi bweyanyonyodde. Hadubi yalambuludde nti mu kiseera bakwataganye n’abakulembeze ku byalo wamu n’akakiiko ka COVID-19 mu disitulikiti eno okulaba nga abantu bagondera amateeka n’ebiragiro ebyateekebwawo okulwanyisa ekirwadde kino. Ate yye omulwadde yaggyiddwayo natwalibwa mu ddwaliro ekkulu e Masaka okusobola okujjanjabibwa. Kinajjukirwa nti omuntu eyasooka okusangibwa n’ekirwadde mu disitulikiti ye Kalangala yazuulwa mu mwezi gwa April era nga ono yali muvubuka eyali yakadda okuva mu Buwarabu. https://gambuuze.ug/2020/09/11/covid-19-abantu-1000-basindikiddwa-mu-kalantiini-e-kalangala/ +health Owek. Mayiga ayagala abaami bataase abawala abato ku Mukenenya kiyambe omujiji ogujja   Katikkiro Charles Peter Mayiga asabye abantu ba Kabaka abawangaalira mu bizinga bye Ssese batandikire ku baana abato naddala ab’obuwala bweba baagala okuwangula olutalo ku Mukenenya. Owek. Mayiga ategeezezza nti abaana bano bwebabeera abalamu n’emigigi eginajja gijja kusobola okubeera nga miramu bwatyo neyeebaza abo bonna abagezezaako okusomesa abaana abato ebikwata ku Mukenenya n’engeri gyebasobola okumwerindamu. Obubaka buno Katikkiro Mayiga abuweeredde ku ssomero lya lya St. Simeon Bugoma Primary School e Ssese ku Mmande gyeyagenze ku mulimu gw’okwongera amaanyi mukulwanyisa ekirwadde ki Mukenenya. “Abaana bano kikulu nnyo okubakuuma ate omulimu ogwo nga gutandikira ku ffe abasajja naddala abasomesa abasajja abasomesa mu ssomero eririmu abawala. n’abasajja abaana be basanga mu makubo n’obutale nga babagambye okugulayo engege. Musajja munnange leka mwesitaza mwana muto,” Owek. Mayiga bw’ategeezezza. Akunze banna Ssese obutakkiriza bantu baseegu mu kitundu kyabwe era batangire empisa z’okukabasanya n’okutigatiga abaana abawala abato bwatyo nasaba bafuuke eky’okulabirako era bafuule Ssese ensibuko y’abasajja abalimu ensa. Okusinziira ku Katikkiro Mayiga olutalo luno terugenda kukoma ku baana bawala bokka naye n’abalenzi kuba nabo obulamu bwabwe buli mu matigga. E Kalangala Katikkiro Mayiga ayaniriziddwa Omwami wa Kabaka, Kweba Augustine Kasirye n’abakulembeze b’ekitundu kino abawerako. Owek. Mayiga e Ssese agenda kumalayo ennaku eziwerako mu kaweefube w’okulwanyisa okusaasaana kw’obulwadde bwa Mukenenya mu bizinga era asuubira okutuuka mu bizinga eby’enjawulo ebikola essaza Ssese. Bino webijjidde nga Kalangala yeemu ku disitulikiti ezisingamu ekirwadde ki Mukenenya mu Buganda nga kirowoozebwa nti kino kiva ku ngeri abavubi gyebeeyisaamu awamu n’ebyobulamu ebikyali wansi ku bizinga ebikola Kalangala. https://gambuuze.ug/2022/07/04/owek-mayiga-ayagala-abaami-bataase-abawala-abato-ku-mukenenya-kiyambe-omujiji-ogujja/ +health Abantu Bwongedde Okujeemera Ebiragiro Bya Gavumenti Ku Coronavirus Fred Enanga ayogerera Poliisi Abatwala eby’okwerinda mu ggwanga olwaleero bategeezezza nti abantu bangi muggwanga tebakyassa biragiro bya gavumenti mu nkola kukulwanyisa ekirwadde kya coronavirus. Bwabadde ayogerako eri olukungaana lw’amawulire ku ssengejjero ly’amawulire ga gavumenti liyite, Uganda Media Centre, Fred Enanga, ayoegerera poliisi ya Uganda, agambye nti abantu tebakyayagala kwambala bukookolo buyite mask, enkola ya tonsemberera nayo baagivaako dda nga naabamu kati bakwata bannabwe mungalo ate abandi n’eby’okunaaba mungalo babivaako dda. “Ekirwadde kya coronavirus kikyalimu mu Uganda era tusaba abantu okugenda mumaaso ngabassa ebiragiro by’omukulembeze munkola kubanga kino kiriwo ku lwa bulungi bwabwe,” Enanga bweyagambye. Yayongedde nti mu nnaku bbiri emabega, bakutte emmotoka 106 ne boda boda 82 lwakutambula ku luguudo mu bumenyi bw’amateeka. Ate ye Frank Baine, ayogerera ekitongole ky’ebyamakomera yagambye nti bwebaagenzeeko mu bitundu ebyesudde Kampala baakizudde nti ebeeyo ebiragiro byonna ku coronavirus tebibakwatako. “Bagamba Coronavirus bulwadde bwa Kampala naye tubategeeza nti buno obulwadde bukwata buli muntu,” Baine bweyagambye. Ono era yalabudde abasirikale ebeenyigira mu kusaba abantu essente abakwatiddwa mu kujeemera ebiragiro bya Museveni. Yagambye abo bebanaakwatako kajja kubajjutuka. Abantu 248 bebakakasiddwa okuba nga balina coronavirus mu Uganda oluvanyuma lwa 21 okukeberebwa eggulo nebazuulwamu obulwadde. https://gambuuze.ug/2020/05/18/abantu-bwongedde-okujeemera-ebiragiro-bya-gavumenti-ku-coronavirus/ +health Poliisi erabudde abamenya ebiragiro bya Corona ebipya Poliisi ya Uganda erabudde abantu bonna abanaalemwa okuteeka ebiragiro bya Ssennyiga Corona mu nkola nti, kajja kubajuutuka ku mulundi guno. Bw’abadde ayogerako eri bannamawulire, Fred Enanga, ategeezezza nti abaduumizi ba poliisi bonna baweereddwa ebiragiro okuva ewa Ssaabaduumizi okukwasisa ebiragiro bya Corona, kiyambeko okutangira ekirwadde kino. Ku Ssande, Pulezidenti Museveni yavuddeyo n’afulumya ebiragiro ebipya omwabadde; okuggala amasomero, okuyimiriza amakkanisa wamu n’abantu okutambula okuva mu disitulikiti emu okugenda mu ndala, okumala ennaku 42. Enanga annyonnyodde nti abakulira poliisi mu bitundu ebyenjawulo basabiddwa okumanya ebikolebwa mu bitundu bino era bagoberera n’okukwasisa ebiragiro bino mu muggalo guno ogw’ennaku 42. “Tugenda kukola ku bannayuganda abalagajjavu abagaanye okuteeka ebiragiro bino mu nkola, nga bwe tulinda aba minisitule y’ebyensimbi okulaga ensimbi zino bwe zigenda okusasulwamu. Tugenda kusigala ku nkola enkadde eya Express Penalty System n’okutanzibwa mu kkooti nga bwe tubadde tukola.” Enanga bw’agambye. Okusinziira ku Enanga ku mulundi guno bagenda kubeera bakambwe n’asaba abantu okunyweza ebiragiro bino okwewala ebiyinza okubatuukako. Era ku Ssande, Pulezidenti Museveni ng’akolera ku magezi agamuweebwa aba minisitule y’ebyobulamu yalangirira kafyu ku ssaawa 12 eri abavuzi ba boodabooda ne ssaawa 3 ez’ekiro eri ab’emmotoka. Kinajjukirwa nti ku wiikendi ewedde abantu abawera 1100 bakwatibwa poliisi oluvannyuma lw’okusangibwa mu mabaala nga banywa ekikontana n’ekiragiro kya Minisitule y’ebyobulamu ekyaggala amabaala. Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigyire, yategeezezza nti ebikwekweto bye bali mu kukola ekiro kyakulaba ng’amabaala tegakola. https://gambuuze.ug/2021/06/08/poliisi-erabudde-abamenya-ebiragiro-bya-corona-ebipya/ +health Kabaka asabye abakulembeze okweggatta ku lutalo lw’okulwanyisa Nalubiri Oweek. Dr Prosperous Nankindu Kavuma ng’ayogerera mulukungaana e Lagos Nigeria Ssaabasajja Kabaka asabye abakulembeze ku lukalu lwa Africa okusitukiramu beeyunge ku kaweefube w’okulwanyisa obulwadde bwa Nalubiri (Sickle cell). Bino bibadde mu bubaka bwatisse Minisita w’enkulaakulana y’abantu era avunaanyizibwa ku by’obulamu, Dr. Prosperous Nankindu Kavuma mu lukungaana lw’okutema empenda z’okulwanyisa Nalubiri ku Landmark Convention center, Lagos Nigeria. Beene agambye nti obulwadde bwa Nalubiri bukonzibya abaana naddala abali wansi w’emyaka etaano ekintu ekiremesa enkulaakulana. Wano wasinzidde najjukiza abafuzi ab’ennono mu Africa obuvunaanyizibwa bwabwe eri obulamu bw’abantu bebakulembera. Nga tannaba kusoma bubaka bwa Beene, Nankindu yasoose kulaga katambi akalaga emisinde gy’amazaalibwa ga Kabaka. Abantu ab’enjawulo abeenyigidde mu lukungaana luno beebazizza Omutanda olwa kaweefube gwatadde mu kutumbula eby’obulamu era nebasaba abakulembeze abalala bamulabireko. Mubuufu bwebumu Owek Dr. Prosperous Nankindu yasisinkanye President wa Nigeria eyawummula Olusegun Obasanjo naamutuusaako obubaka bwa Kabaka obwenjawulo. Yebazizza nnyo Kabaka olw’emirimu gy’akolera abantu. https://gambuuze.ug/2019/11/04/kabaka-asabye-abakulembeze-okweggatta-kulutalo-lwokulwanyisa-nalubiri/ +health Poliisi erabudde abaagala okwekalakaasa olw’omuggalo Fred Enanga ayogerera Poliisi Ab’ebyokwerinda nga bakulembeddwamu Poliisi n’amagye ga UPDF balabudde omuntu yenna aneetantala okwekalakaasa olw’omuggalo nti kajja kumujjuutuka. Olwleero Poliisi, amagye n’aba LDU abampi nabawanvu bakadde kuyiibwa mu Kampala n’ebitundu ebiriranyeewo oluvannyuma lw’okufuna amawulire nti aba boda boda wamu na ba takisi babadde bateekateeka kwekalakaasa oluvannyuma lwa gavumenti okubagaana okutikka abasaabaze mu kaweefube w’okulwanyisa ekirwadde kya coronavirus. Bwabadde ayogerako eri Bannamawulire ku ssengejjero ly’amawulire ga gavumenti erya Uganda Media Centre, Fred Enanga eyogerera Poliisi agambye nti mu kaseera kano nga coronavirus akutte akati mu Uganda, kyabulabe okukkiriza abantu okwekalakaasa. “Naffe tumanyi embeera mwemuli nti nzibu naye okukkiriza okwekalakaasa kyabulabe nnyo kubanga obulwadde bwa coronavirus bukyaliwo mu ggwanga. Tubasaba okukozesa amakubo ag’eddembe okulaba nga mwogera ne gavumenti okulaba egeri gyemuyinza okuggulwawo,” Enanga bweyagambye. Ono era yasabaye abo bonna abakkiriziddwa okuddamu okukola okussa mu nkola ebiragiro bya gavumenti okulaba ng’obulwadde buno tebusaasaana. Ku lulwe, omwogezi wa magye, Brig. Richard Karemire, yategeezezza nti kyennyamiza nti eggwanga eribadde litandise okuwangula olutalo l’wokulwanyisa Coronavirus kati ate lisebengerera olw’ebikolwa by’abantu. Karemire yategeezezza nti obulabe eggwanga lyebwolekedde bwamaanyi okusinga bwebwali emyezi esatu emabega ng’omuggalo tegunnalangirirwa. “Mugoberere ebiragiro bya gavumenti okwambala mask, tonsemberera, wamu n’okunaaba mungalo kubanga olutalo luno tululimu fenna,” Karemire bweyagambye. Bwosomera bino, ng’abantu 646 mu Uganda bamaze okuzuulwamu ekirwadde kya coronavirus. https://gambuuze.ug/2020/06/08/poliisi-erabudde-abaagala-okwekalakaasa-olwomuggalo/ +health KITALO!  Rev. Bro Anatoli Wasswa owa Banakalooli afudde Munnaddiini omutabuzi w’eddagala, omusomesa omutendeke Rev. Bro Fr. Anatoli Wasswa Kiriggwajjo owa Banakaroli Brothers abalina amakanda e Kiteredde mu disitulikiti ye Kyotera afudde. Bro. Anatoli Wasswa afudde ku makya g’Olwokubiri oluvannyuma lw’okumala akaseera nga mugonvu nga atawanyizibwa ekirwadde ky’omutima era afiiridde ku myaka 97 ate nga obwa ‘Brother’ abumazeemu emyaka 75. Ebyakafunikawo biraze nti ono abadde atwaliddwa okulongoosebwa omutima ogwali gwanafuwa wabula natasobola kudda ngulu. Anatoli yabadde omutandisi w’eddwaliro lya St. Luke Ganda erijjanjabisa obutonde n’eddagala ly’ ekinnansi nga lino lirina amatabi e kiteredde, kibuye ne Gaba. Ono ye munnaddiini eyasookera ddala okukozesa eddagala ly’ Ekinnansi najjanjaba abantu era nafuuka omusawo omuganda wadde abasinga baali baliddibya nga balowooza nti bya Sitaani era kuba kusamira. Father Annattooli Waswa abadde mukugu mu kunoonyereza ku by’obuwangwa n’eddwadde, era abadde munoonyereza ate omuvumbuzi w’eddagala ly’obutonde. Anatoli Wasswa yafuuka ‘Brother’ mu 1947 ate nafuuka ffaaza mu 1977 nga eno yesonga lwaki olumu abadde ayitibwa ffaaza. Mukiseera kino omubiri gwa Fr. Anatoli Wasswa gukyali Kiteredde wabula Enteekateeka z’okumuziika zigenda kufulumizibwa akadde konna okuva kati. https://gambuuze.ug/2023/01/03/kitalo-rev-bro-anatoli-wasswa-owa-banakarooli-afudde/ +health Katikkiro Mayiga afunye akayiso ka COVID-19 akasembayo Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga, afunye ddoozi esembayo ey’eddagala erigema Ssennyiga Corona. Mukuumaddamula akayiso kano akookubiri akafunidde mu Bulange e Mmengo ku Mmande n’asaba abantu okukola kyonna okwekuuma. “Eddagala erigema teririna bulabe era mugende babageme, abazungu bwe baba baagala okututta obutwa basobola okubuteeka mu ddagala lyonna lye tumira.” Mayiga bw’alung’amizza Katikkiro agamba wakyaliwo bangi abatidde okugemebwa nga beekwasa nti abazungu baagala kumalawo baddugavu ekintu ekitali kituufu. Ono abasabye okwewala Pokopoko naye bagemebwe, kibayambe okutaasa obulamu. Owek. Mayiga agamba nti abazungu beetaaga nnyo abaddugavu basobole okubaguza ebintu bye bakola bafunemu ssente kuba akatale mu Afirika tekannabooga. Mukuumaddamula alabudde abeegumbulidde omuze gw’okwejjanjaba nga bakozesa eddagala ezzungu lye bawulidde ku mutimbagano ssaako eryekinnansi erirowoozebwa nti teriraba ku Covid-19. Alabudde nti okwejjanjaba kwa bulabe singa eddagala limala gakozesebwa Katikkiro awabudde nti ng’obunkenke n’ennyiike bisaanikidde emitima gy’abantu bangi, kikulu okwewala okubugutana n’okulaba abakugu abali okumpi. Olwaleero n’abakungu ab’enjawulo mu Bwakabaka nabo bagemeddwa nga ku bano kuliko; eyaliko omumyuka wa Katikkiro owookubiri, owek. Amb Emmanuel Ssendawula, Minisita w’ebyobulamu Owek. Prosperous Nankindu, ssaako abakozi b’Obwakabaka awamu n’abalala. Kinajjukirwa nti Minisitule y’ebyobulamu mu ggwanga yayimiriza okugema abantu okwekikungo oluvannyuma lw’eddagala okuggwaawo era okugema kusuubirwa okuddamu singa eddagala eddala linaaba lituuse mu kiseera ekirowoozebwa nti si kye wala okuva kati. https://gambuuze.ug/2021/06/14/katikkiro-mayiga-afunye-akayiso-ka-covid-19-akasembayo/ +health Muwulire omulanga gwa Ssabasajja ku siriimu-Katikkiro Katikkiro Charles Peter Mayiga nga ayaniriza omukungu wa UNAID Natalie Rigards Akola ku by’empuliziganya mu ttabi ly’ekitongole ky’amawanga amagatte ekikola ku kulwanyisa akawuka ka mukenenya, Natalie Rigards, akyaddeko ku Bulange okwongera okunyweza enkolagana wakati w’obwakabaka ne UNAIDS, mu kulwanyisa siriimu. Bwabadde amusisinkanye, Katikkiro Charles Peter Mayiga, yeebazizza aba UNAIDS olwokuwa Ssaabasajja obuvunaanyizibwa buno. Yagaseeko nti Beene asoosowazza nnyo ensonga z’eby’obulamu nga kino kyeyolekera mu kukola dduyiro, okugema abaana, akukubiriza abantu okubeera abayonjo wamu n’okujjanjaba abalwadde ba Nalubiri ne Fistula nga ayita mu misinde gyamazaalibwa ge egya buli mwaka. Katikkiro agambye nti abasajja balina obuvunaanyizibwa bunene nnyo mu kulwanyisa n’okumalawo mukenenya kubanga bebatuukirira abakyala nebabagamba obugambo obuvaamu ebikolwa ebisaasaanya mukenenya. Yasabye abasajja bakitwale nti buvunaanyizibwa bwabwe okukuuma obulamu bwabaagalwa baabwe bannakazadde b’eggwanga. “Omusajja bwanaafaayo okulwanyisa mukenenya nga Kabaka atukulembeddemu, mukenenya tujja ku mumalawo”, Katikkiro bwategeezezza. Wano wasinzidde nakuutira obuganda okuwulira Ssaabasajja byabalagira omuli; okwewala mukenenya, okwekebeza, okwekuuma, omulwadde genda ofune eddagala, abo abalina siriimu okubeera abasaale okulaba nti tebakasaasaanya okusobola okukuuma ebiseera by’eggwanga eby’omumaaso. Okulwanyisa mukenenya gwe ggwabadde omulamwa gw’omupiira gw’amasaza nga Bulemeezi ettunka ne Busiro e Namboole. https://gambuuze.ug/2019/10/25/muwulire-omulanga-gwa-ssabasajja-ku-siriimu-katikkiro/ +health Okugaba omusaayi mu masaza kuzzeemu, Kyaggwe y’eddako Obwakabaka bwa Buganda buttukizza enteekateeka y’okugaba omusaayi okwetooloola Buganda kiyambe okukendeeza ku bbula ly’omusaayi eriri mu ggwanga. Kino kirangiriddwa Ssenkulu w’ekitongole kya Kabaka Foundation, Omuk. Eddie Kaggwa Ndagala bw’abadde mu musomo gw’abakulembeze b’ekitundu ky’e Kyaggwe ku enteekateeka y’amasaza okugaba omusaayi e Ggulu mu Mukono ku Lwokuna. “Ssebo Ssekiboobo ekituleese wano e Ggulu kwe kulaba nga tutuukiriza ekiragiro kya Nnanyininsi ate era n’okulaba nga tutaasa obulamu bw’abantu abeetaaga omusaayi.” Omuk. Ndagala bw’ategeezezza. Ono alaze nti enteekateeka eno egenda kubaawo nga 7/02/2022 okutuuka nga 11/02/2022. Okusinziira ku Ndagala, ekibiina kya Red Cross bwe kyasaba ekitongole kino obuyambi yategeeza Beene eyawa ekiragiro okukung’aanya omusaayi mu masaza ge gonna era n’alagira nti mu myaka 2 ekizibu ky’abantu okufa olw’ebbula ly’omusaayi kibeere nga kiweddewo. Ndagala agambanti tannalagira kukung’aanya musaayi mu masaza, Obwakabaka bubadde buwa ekitongole kya Red Cross emirundi ebiri buli mwaka mu mwezi gwa February ne Octobernga bakozesa ekiseera abaana we babeeredde mu masomero wabula yadde gubadde bwegutyo ekizibu ky’ebbula ly’omusaayi kibadde kikyalemeddewo. Kino kyawaliriza Nnyinimu okubalagira bagende mu masaza,Ndagala era annyonnyodde nti Beene agenda kusiima essaza erinaaba lisinze okugaba omusaayi okutaasa obulamu bw’abantu be nga kino kyakubaawo mu mwezi ogwomunaana omwaka guno. Ndagala asiimye Buddu olw’okuteekawo okuvuganya okwamaanyiwakati mu kusoomoozebwa okwamanyi okwaliwo olw’ensonga nti enteekateeka eno yali etandika butandisi naye ne bakung’aanya yuniti z’omusaayi eziwera 8,169 olwo Busiro n’eweza yuniti 9,345. Kyaddondo yasobola okukung’aanya 18,346 ate Ssingo n’evaayo ne Yuniti 13,200 n’ebeera nti akadde kano yeeri mu kifo ekyokubiri. Omukwanaganya w’ebyokugaba omusaayi mu Red Cross, Sarah Mutegombwa ategeezezza nti omusaayi okugukanyizibwa mu Uganda tegumala bw’ogerageranya n’abantu abagwetaaga n’asaba abantu bonna okujjumbira enteekateeka eno kitaase obulamu. https://gambuuze.ug/2022/01/27/okugaba-omusaayi-mu-masaza-kuzzeemu-kyaggwe-yeddako/ +health Gavumenti: Teri muggalo mu Ssekukkulu naye munyweze ebiragiro Kampala Gavumenti ya Uganda erangiridde nga bw’etagenda kuteekawo muggalo ng’abamu ku bantu bwe babadde basabye okusobola okutangira okusaasaana kw’ekirwadde kya Ssennyiga Corona naddala mu kaseera kano ng’abantu beeyuna okugenda mu byalo okulya ennaku enkulu. Minisita Nabakooba Minisita w’ebyamawulire era omwogezi wa Kabbineeti, Judith Nabakooba, yategeezezza bannamawulire eggulo ku Ssande nti gavumenti tegenda kuteekawo muggalo nga kano ke kaseera bannayuganda bafeeyo ku bulamu bwabwe. “Tewagenda kubaawo muggalo mu kiseera kino eky’eggandaalo lya Ssekukkulu naye kafyu n’ebiragiro bya Ssennyiga Corona byo bisigaddewo era musabiddwa okubeera abeegendereza ennyo.” Minisita Nabakooba bwe yagambye. Nabakooba yannyonnyodde nti ebivvulu n’endongo tebigenda kukola era n’asaba abantu okumanya nti ekirwadde kya Ssennyiga Corona kikyaliyo ne mu kiseera kino ekya Ssekukkulu. “Eri abo abagenda okugenda mu byalo, mugoberere ebiragiro, mwambale obukookolo n’okwewa amabanga, abakulembeze mu butale obwenjawulo balina okulaba ng’ebifo abayingira we banaabira engalo biddizibwawo.” Minisita Nabakooba bwe yakiggumizza. Uganda mu kiseera kino etendewaliddwa olw’omuwendo gw’abalina Ssennyiga Corona okweyongera, Ssande we yatuukidde ng’abalina ekirwadde bali 31,187 ate 231 bakkiridde dda ewa Ssenkaaba. https://gambuuze.ug/2020/12/21/gavumenti-teri-muggalo-mu-ssekukkulu-naye-munyweze-ebiragiro/ +health Katikkiro akubirizza abavubuka okukulemberamu olutalo ku Mukenenya Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga, akubirizza abavubuka naddala abasajja okukulemberamu olutalo lw’okulwanyisa akawuka ka Mukenenya mu kiseera kino ng’Obwakabaka bwetegeka okukuza amazaalibwa ga Kabaka ag’emyaka 66. Okusaba kuno Katikkiro Mayiga akukoze leero ng’aggalawo omusomo gw’abaami n’abaweereza ba Kabaka ku kulwanyisa okusaasaana kwa Mukenenya, ogutegekeddwa Minisitule y’ebyobulamu eya Gavumenti eyaawakati ne Buganda ku Imperial Resort Beach Hotel e Ntebe. “Mbabuulidde kaati; abasajja mulina okukuuma abaana abawala. Bw’oba ogenda n’omwana omuwala, lowooza ku mwannyoko. Oyagala bamuwe ssente ensajja? Oyagala mwannyoko aleme kubuuza musajja oba baamukebera?” Katikkiro Mayiga bw’abuuzizza. Katikkiro Mayiga ajjukizza abeetabye mu musomo guno ku buvunaanyizibwa Ssaabasajja Kabaka bwe yasiima okukulembera olutalo lw’okulwanyisa Mukenenya mu n’ensi yonna. Asabye abafirika okukomya okwekwasa eddogo buli lwe wabeerawo ekirwadde kye batategeera, naye batuukirire obukugu bamanye ekituufu n’engeri gye basobola okubuvvuunuka. Owek. Mayiga abalabudde ku kabi akava mu butanywerera ku biragaano bye bakuba mu bufumbo obutukuvu, kitaase obulamu. Katikkiro Mayiga akuutidde abantu naddala abavubuka okukomya okulowooza nti Siriimu takyaliyo olwo ne beegadanga awatali agamba, abasabye okumanya nti ekirwadde kino kikyaliyo era kikyattira ddala abantu. Kamalabyonna asabye abasajja okumanya nti be basaale mu kulwanyisa ekirwadde kya Mukenenya kubanga be batandika ebintu bino era nga n’okusalawo okwekuuma kuli mu ngalo zaabwe kuba abakyala oluusi batya okubagamba okwambala obupiira. Owek. Mayiga asabye abantu okwekebeza bamanye we bayimiridde kubanga ekijjomanyi kinyaga bitono, ate bwe bamanya bwe bayimiridde ne batandika eddagala ettuufu, basobola okubeerawo ne bawangaala. Katikkiro Mayiga agamba nti essaawa etuuse abavubuka n’abaana abavubuse babagambe kkaati ku ngeri ez’enjawulo mwe basobola okufunira ekirwadde kino, kisobole okubataasa. Owek. Mayiga alagidde abavubuka okwetaba mu kaweefube w’okulwanyisa ekirwadde kino nga bwe bakoze ku bya tekinologiya n’ebyobufuzi, naye bafuuke abazira abanajjukirwa mu lutalo lw’okulwanyisa Mukenenya. Asabye abali mu lutalo luno okukozesa olulimi abantu ab’enjawulo okukozesa olulimi olugwanidde kiyambe obubaka okutuuka butereevu ku bantu abalina okubufuna. Ate ye minisita w’ebyobulamu, ebyenjigiriza awamu ne woofiisi ya Nnaabagereka era ssentebe w’olukiiko oluteesiteesi lw’emikolo gy’amazaalibwa, Owek. Dr. Prosperous Nankindu Kavuma, asabye abataka kuba abantu babawuliramu nnyo, okunnyikiza obubaka bwe bagenda okuggya mu lukung’aana luno. Ye omukugu wa Minisitule y’ebyobulamu, Prof. David Sserwadda, nga y’abadde omwogezi omukulu mu lukung’aana luno, ategeezezza ng’okutondawo ebibuga bwe kyeraliikiriza nti kiriko engeri gye kigenda okwongera ku kirwadde kino. Bino byonna bitambulidde wansi w’omukago gw’Obwakabaka bwa Buganda gwe bwakoze ne minisitule y’ebyobulamu eya gavumenti eyaawakati okulaba ng’ekirwadde kya Mukenenya kirwanyisibwa. Ensisinkano eno yeetabiddwamu abakulembeze mu Bwakabaka omuli baminisita n’abakungu awamu n’abalala okuva mu gavumenti eyaawakati. https://gambuuze.ug/2021/04/07/katikkiro-akubirizza-abavubuka-okukulemberamu-olutalo-ku-mukenenya/ +health Omuntu anaakulaakulana alina kubeera mulamu – Katikkiro Mayiga Katikkiro Charles Peter Mayiga asabye abantu bulijjo okusoosowaza ensonga z’ebyobulamu bwe baba baagala okukulaakulana kuba tewali kiyinza kutuukibwako singa ababeera nga balwadde n’abakuutira obutagajjalira byabulamu. Bino Katikkiro Mayiga abyogeredde ku Buvuma Health Centre IV ku Mmande bw’abadde atongoza okugema abantu awamu n’okutongoza enteekateeka y’Emmwanyi Terimba mu kitundu kino ng’omu ku kaweefube w’okuggya abantu ba Kabaka mu bwavu. “Anaalima emmwanyi alina kusooka kubeera mulamu, anaavuba alina kusooka kuba mulamu, anaasuubula alina kusooka kuba mulamu. Nze mu ndaba yange ey’ebintu, abantu abasinga okuba ab’omugaso ye musomesa n’omusawo kuba ne bw’oba olina ebirowoozo ebifaanana bitya, bifa ttoge ng’oli mulwadde. Tuteekwa okusoosowaza ensonga z’ebyobulamu bwetuba twagala Buvuma ebeera ku ntikko mu masaza ga Buganda.” Owek. Mayiga bw’annyonnyodde. Okusinziira ku Katikkiro Mayiga, abantu balina okusigala nga balwanyisa obulwadde bwa Corona era n’abasaba okwewala ebisaasaanyizibwa ku bulwadde buno era bakimanye nti Beene abaagala balamu, noolwekyo beegemese nga Nnyinimu bwe yakola. Owek. Mayiga abasabye okwekuuma ekirwadde kino nga bagoberera amateeka g’abasawo okusobola okusigala nga balamu. Abakuutidde okwekuuma ekirwadde kya Mukenenya era beekebeze bamanye bwe bayimiridde kuba kizuuliddwa nti mu kitundu kino, akulira ku bitundu 6 ku buli 100. Abasabye era okukomya omuze gw’okugabana abakyala nga beekwasa nti abakyala batono mu kitundu kino. Akulira eddwaliro lino erya Buvuma Health Centre Iv, Dr. Abubaker Kanyike alaze obwetaavu we buli naddala ku bisinga okubasoomooza, n’asaba bayambibweko. Oluvannyuma Katikkiro Mayiga agenyiwadde ku kigo kya St. Kizito Namunyolo okwebaza Katonda okubasomosa amazzi obutafaananko lwe baabula mu mwaka gwa 2017 era ng’eno Bwanamukulu w’ekigo kino, Fr. Henry Mukasa y’amwanirizza n’abayizi ku ssomero ly’Ekelezia. Katikkiro mu kulambula kuno yawerekeddwako Minisita w’ebyobulimi Hajjat Mariam Nkalubo Mayanja, Ow’ebyamawulire Owek. Noah Kiyimba, ow’Abavubuka Owek. Henry Ssekabembe Kiberu ne Ssenkulu wa Bboodi ya BUCADEF, Omuk. Ishak Lukenge. Katikkiro waakumala ku bizinga bino ennaku 3 era ng’olwenkya lw’agenda okutongoza enteekateeka ya Mmwanyi Terimba, ekitundu ekisooka 2022 wakati mu kuzza Buvuma bw’eba si Buganda ku ntikko. https://gambuuze.ug/2022/02/07/omuntu-anaakulaakulana-alina-kubeera-mulamu-katikkiro-mayiga/ +health Ab’e Kyotera balaajanye; bamaze emyaka 5 nga tebalina kyuma kya X- Ray Abakulira eddwaliro ekkulu erya Kaliisizo Hospital mu disitulikiti y’eKyotera, balaajanidde gavumenti ebafunire ekyuma ekikebera n’okukuba ebifaananyi ekiyitibwa X-Ray, kisobole okubayambako okujjanjaba obulungi abalwadde abazuuliddwamu COVID-19 wamu n’ebirwadde ebirala. Bano bagamba nti ekirwadde kya Ssennyiga Corona kitabuse nga kati abantu lukumi (1000) okwetooloola Kyotera yonna, kizuuliddwa nti bakirina nga ku bano 9 baamaze dda okufa okuli n’omusawo. Akulira eby’obujjanjabi ku ddwaliro lino, Dr. Ssekyeru Emmanuel, okuwanjaga kuno yakutuusizza eri omubaka wa Kyotera mu Palamenti, John Paul Lukwago Mpalanyi , bwe yabadde alambula eddwaliro lino okulaba embeera bw’eri n’okubawa ebyeyambisibwa. Dr. Ssekyeru yannyonnyodde nti ekyuma kya X-Ray bakyetaaga nnyo mu kaseera kano kuba balina okulaba embeera y’amawuggwe g’abalwadde ba COVID-19 bw’eyimiridde ate nga n’omuwendo gw’abalwadde abalala abeetaaga ekyuma kino nagwo mungi. Ono era yasabye babafunire ku mukka ogussibwa ogwa ‘Oxgyen’ kuba balina sirinda eziwerera ddala 10 kyokka ebyembi balina kusooka kuzitwala Kampala okusobola okufuna omukka guno, ekintu ekibasoomooza ennyo. Yasiimye omubaka Mpalanyi olw’okubawa ebikozesebwa okujjanjaba aba COVID-19, nti kino kijja kukendeeza ku muwendo gw’abasawo abakwatibwa ekirwadde kino. Ono era yasabye ne gavumenti okulowooza ku kasiimo k’abasawo abajjanjaba obulwade bwa kovid e Kyotera kubanga tebakalabangako. Ye Omubaka John Paul Lukwago Mpalanyi bwe yabadde abakwasa obuyambi buno, omwabadde ebyambalo eby’okwambalibwa abasawo, eddagala, Ssabbuuni n’ebirala, yagambye nti okukola kino yamaze kulaba ng’embeera esajjuse ate ng’abakwatibwako ku nsonga y’ebyobulamu tebafuddeeyo, ne yeewuunya embeera eri mu ddwaliro etuusizza okubulwa ekyuma kya X-ray ne oxygyen n’ebirala. Atessentebe wa disitulikiti y’e Kyotera, Patrick Kintu Kisekulo, yalabudde abatuuze okukomya okukaabira ku mirambo gya COVID-19 n’okuginaaza nti kino kye kimu kubiviiriddeko obulwadde buno okwegiriisa mu Kyotera. Bo abatuuze basanyukidde nnyo ekyo ekyakoleddwa omubaka John Paul Lukwago Mpalanyi olw’okutaasa obulamu bw’abatuuze n’abasawo. Omubaka Mpalanyi era alikoabakulembeze ba boodabooda n’aba takisi ku Sport Highway e Kaliisizo n’abawa akawunga n’ebijanjaalo, basobole okuliisa famire zaabwe mu muggalo guno. https://gambuuze.ug/2021/07/06/abe-kyotera-balaajanye-bamaze-emyaka-5-nga-tebalina-kyuma-kya-x-ray/ +health Buganda ejjukidde olunaku lwa Mukenenya, Owek. Kiyimba asabye abakalina okulemera ku ddagala Obwakabaka bwa Buganda bwegasse ku nsi yonna okujjukira olunaku lwa Mukenenya era wano Minisita w’Olukiiko, Amawulire, era omwogezi w’Obwakabaka, Oweek. Noah Kiyimba wansizidde nasaba abantu abasangiddwa n’akawuka okunywerera ku ddagala. Owek. Kiyimba agamba nti kisoboka bulungi omuntu abeera azuuliddwamu akawuka okuwangaala obulungi singa afuna eddagala mu budde era naalimira nga bwabeera alagiddwa abasawo abakugu. Obubaka buno Minisita Kiyimba yabuwadde eggulo ku Lwokusatu mu Bulange e Mmenga bw’abadde awa obubaka bwa Buganda ku kujjukira olunaku luno olukuzibwa buli Decemba 1 okusobola okwefumiintiriza ku kirwadde kino. Mu bubaka bw’Obwakabaka, kizuuliddwa nti Buganda y’ensingamu abantu abalina akawuka ka Mukenya, n’obutundutundu 8.9%, so nga era y’ensingamu abantu abali kuddagala eriweweeza ku Mukenenya ababalirirwa okuba 500,000. Okusinziira ku Bwakabaka, Kino kivudde ku kubeera nti Buganda yesingamu ebibuga omuli n’ekibuga ekikulu, Kampala nga wano wokka abantu abasoba mu bukadde 12 ate era netwaliramu n’ebibuga ebiralam so nga n’abavubi bangi mukitundu kino. Owek. Kiyimba agamba nti ezimu ku nsonga eziviiriddeko obulwadde buno okwongera okwegiriisiza mu Buganda mulimu; okunywa omwenge n’okukozesa ebiragalalagala, obwenzi, okuba n’ababeezi abangi, obwavu, obutabanguko mu maka oluusi obuleetawo okwesasuza, okuba okunoonya obuweerero ebbali. Okunoonyereza kuno era kunokoddeyo ezimu ku mpisa mu mikolo n’obuwangwa egiwa ebikolwa by’obuseegu ekyaanya, abantu obutakozesa bupiira, abakyala b’embuto okuzaalira mu bamulerwa era nga COVID-19 n’ Ebola nabyo byakola kinene okwongera ku kirwadde kino. Minisita Kiyimba annyonnyodde nti wakati mu nteekateeka ya Buganda okulwanyisa ekirwadde kino, Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka yasalawo akwate omumuli nga yasiima obuvunaanyizibwa buno bumuweebwe ekitongole ekirwanyisa Mukenenya mu nsi yonna ki UNAIDS, mu 2017. Era Omutanda yawaayo emisinde gy’amazaalibwa ge gissibwe ku mulamwa ogw’okulwanyisa mukenenya okumala emyaka 3, okuva mu 2020 okutuuka mu 2022 okusobola okwongera okukimanyisa abantu. Buganda era eriko emikago gyekoze n’ebitongole ekirwanyisa ekirwadde kino okuli UNAIDS, Uganda Aids Commission, Minisitule y’Ebyobulamu, UNDP, TASO n’ebirala okumalawo ekirwadde kino. Owek. Kiyimba agasseeko nti Obwakabaka buvuddeyo n’enkola ey’Ebyoto ku ggombolola za Buganda zonna okutuusa obubaka ku bantu bamanye engeri y’okwekuuma Mukenenya era nebufuulibwa omulamwa mu mizannyo gy’Obwakabaka okuli omupiira gw’amasaza n’ebika. Minisita ategeezezza nti Obwakabaka bwasuubira okulaba nga abantu obutundutundu 90 beekebeza; obutundutundu 90 ku balwadde bakkiriza okumira eddala, ate n’okulaba nga obutundutundu 90 kw’abo abamira eddagala, bakendeeza amaanyi ga kawuka. Agambye nti ekigendererwa kino ky’atuukibwako era nga kati baluubirira okuweza obutundutundu 95, ku buli nsonga ekooneddwako waggulu. Obwakabaka bukubiriza abantu okwongera amaanyi mu kwekebeza mukenenya; okwewala okwegadanga mu bavubuka; okwekuumira ku babeezi bammwe; okukozesa obupiira; abakyala okujjumbira amalwaliro nga bali mbuto; okujjumbira eddala eriziyiza akawuka okusaasaana; abaami okutayirirwa ate n’abalwadde okujjumbira okukozesa eddala mu butuufu bw’alyo. Busabye n’abalwadde okufuba ennyo okulya obulungi, omubiri gufune amaanyi agalwanyisa akawuka. https://gambuuze.ug/2022/12/01/14636/ +health Poliisi Egambye Siyakujja Misanvu Mu Nguudo Ezeetoolodde Kampala Poliisi ya Uganda ng’eyitira mu mwogezi waayo Fred Enanga egambye nti siyakujja misanvu gyayo mu nguudo ezeetoolodde ekibuga Kampala okusobola okukwata abo abajeemera amateeka ku kuziyiza ekirwadde kya coronavirus. Bwabadde ayogerako eri olukungaana lwabannamawulire ku kitebe ky’essengejjero lya mawulire ga gavumenti ekimanyiddwa nga Uganda Media Centre, Enanga agambye nti singa bajja emisanvu gino makubo, kijja kuba kizibu okukwata abavuzi b’emmotoka abatwala abantu abasukka mu basatu, abatakisi abatwala abantu abasukka mu musanvu oba aba boda boda abasaabaza abantu; ebikolwa byonna ebyawerwa gavumenti. “Naye bweweetegereza emisanvu egisinga mukibuga twagijjawo okusobozesa emmotoka okutambula obulungi. Naye egyo gyetwalekawo bakama baffe baakisalawo gisigalewo okutusobozesa okukola emirimu gyaffe,” Enanga bweyagambye. Ono yagasseeko nti ssabbiiti ewedde baakwata boda boda ezigenda mu 1000 wamu ne motoka ezigenda mu 300 okwetoololaa eggwanga wamu n’okusiba abantu era abakkunukkiriza mu 500 bonna lwakujeemera biragiro bya pulezidenti ku COVID-19. “Tulabula abantu baffe nti tujja kubakwata singa munaagenda mu maaso n’okujeemera amateeka gano,” Enanga bweyagambye. https://gambuuze.ug/2020/06/15/poliisi-egambye-siyakujja-misanvu-mu-nguudo-ezeetoolodde-kampala/ +health Owek. Waggwa asabye abasajja okwongera okulwanyisa Mukenenya Omumyuka Ow’okubiri owa Katikkiro, Owek. Robert Waggwa Nsibrwa asabye abasajja okwongera amaanyi mu lutalo lw’okulwanyisa Mukenenya kiyambe okwanguya okutuula ekirwadde kino ku nfeete. Okwogera bino, Owek. Waggwa abadde atikkula Amakula okuva mu bantu ba Kabaka ab’e Buddu ab’eggombolola ya Mutuba 6 Katwe mu Lubiri e Mmengo ku Lwokusatu. “Okuva Ssaabasajja lweyenyigira mu mulimu ogwo, obutundutundu bw’ abantu abalina Mukenenya mu Buganda buzze bukendeera mwaka ku mwaka. Era bwotunula mu bibalo n’emiwendo ojja kulaba nti Buddu yali bwati era kati ali bwati. Wabaddewo okugenda mu maaso kwamanyi nnyo nga mukama waffe atukulembedde mu nsonga eno,” Owek. Waggwa bw’agambye. Owek. Waggwa ategeezezza nti Beene bweyali alonda omulamwa gw’emisinde gy’omwaka guno, yalagira baami okubeera abasaale mukulwanyisa Mukenenya kiyambe okutaasa abaana ab’obuwala. Nsibirwa alaze okutya nti wadde wabaddewo okukendeera kw’ ekirwadde kino naye kikyasimbye amakanda mu Buganda naddala e Buddu ne Ssese nasaba abaami kuluno okuvaayo mu bungi okubulwanyisa. Ono ajjukiza abantu bano nti ekifundikwa kya Buganda ye Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II era nabasaba bamanye nti amaanyi ge gali mu bantu. Owek. Waggwa bano abasiimye okunyweza ennono y’okukiika embuga n’okuleeta Amakula kuba eyo yengeri gyebasobola okulabiriramu embiri za Kabaka. Bano ababadde bakulembeddwamu omwami w’ eggombolola eno, Zawedde Gertrude Muteesasira n’Olukiiko lwawereza nalwo baweze okwongera okuwagira enteekateeka za Buganda mu mbeera yonna. Katikkiro w’Ebyalo bya Kabaka omuk. Moses Luutu bano abeebaziza olw’okunyweza ennono zabwe ate n’ebafaayo okuzituukiriza era n’abakubiriza okwewala okuggyibwa ku mulamwa ebyogerwa ku mmwannyi wabula bannyikize okugirima kubanga kya bugagga. Amakula agaleeteddwa mubaddemu ebisolo , emmere , ebibala n’ebintu ebirala. https://gambuuze.ug/2022/05/18/owek-waggwa-asabye-abasajja-okwongera-okulwanyisa-mukenenya/ +health Pulezidenti Museveni atabukidde bannayuganda abagaanye okukuuma ebiragiro bya Ebola, bandituleetera omuggalo Pulezidenti Yoweri Kaguta Tibuhaburwa Museveni, atabukidde bannayuganda abalemedde ku kunyooma ebiragiro ebyateekebwawo Minisitule y’ebyobulamu okulwanyisa ekirwadde ky’ Ebola nti bayinza okuzza eggwanga ku muggalo. Bino Museveni yabituuseeko bweyabadde ayogerako eri eggwanga ku mbeera y’ekirwadde kino eggulo ku Lwokusatu. Okusinziira ku Museveni obunkenke bweyongedde kuba Ebola kati atuuse mu disitulikiti eziwera 8 omuli; Mubende, Kassanda, Kyegegwa, Bunyangabu, Kampala, Wakiso, Jinja ne Kagadi, wadde nga engeri y’okumulwanyisaamu emanyiddwa. Museveni agambye nti singa banna Kampala, tebakomye nkola zakumenya biragiro ebyabaweebwa nabo boolekedde okukolebwako n’amaanyi, era nabalabulabula ne kunkola yokwekwata mu ngalo ekomezebwe bunnambiro. Ono era alabudde abagoba ba bodaboda mu disitulikiti eziri ku muggalo, nti tabakkirizangako kuweekako bantu okuggyako emigugu kikendeeze ku nsaasaana y’ekirwadde kino. Kaguta yagasseeko nti nsinga abantu tebaawulirize biragiro byabaweebwa wakukola eky’obulabe ekisingako, nalabula abavuga ebimotoka ebisaabaza ebyamaguzi okukomya okukusa abantu nga babayingiza n’okubafulumya disitulikiti eziri ku muggalo. Bino webijjidde nga abakazuulibwamu Ebola kati bali 141 , abaakafa bali 55, abalala 73 basiibuddwa so nga mu malwaliro wasigaddeyo 13 bokka. Waliwo abalala 4,147 abaabadde mu kalantiini, 2,784 baamazeyo ennaku zaabwe 21 ez’okulondoolwa era abasawo nebazuulwa nti tebalina Ebola. Mu ngeri ey’enjawulo, Pulezidenti Museveni yeebazizza abakulembeze mu disitulikiti ye Mubende olw’okukola ennyo okumalawo ekirwadde kino kuba kati kitutte akaseera nga tebafuna mulwadde w’ Ebola okuva mukitundu kino. Ono yalabudde ab’e Kassanda gyagambye nti yewasinga okusaasaana obulwadde olw’okumala geeyisa mu ngeri etategeerekeka. Museveni bano era yabalangidde okulonda ab’oludda oluvuganya gavumenti mu 2021 abatamanyi kituufu kirina kukolebwa. https://gambuuze.ug/2022/11/16/pulezidenti-museveni-atabukidde-bannayuganda-abagaanye-okukuuma-ebiragiro-bya-ebola-bandituleetera-omuggalo/ +health Ssenfuka eyavumbula eddagala lya Ssukaali alaajana, baagala kumutta Kampala Omuvubuka David Ssenfuka, agambibwa okuvumbula eddagala lyaffe ery’obutonde erijjanjaba Ssukaali, Kkookolo n’obulwadde obw’olukonvuba addukidde ku poliisi n’amawulire ayambibwe ku baagala okumutta. Ssenfuka agamba baagala kumutta Ssenfuka yategeezezza bannamawulire eggulo e Makerere, nti afuna essimu ezimutiisatiisa nti bw’aba ayagala obulamu yeesonyiwe eby’okufulumya eddagala erijjanjaba ebirwadde bino. David Ssenfuka ye mutandisi wa kkampuni enoonyereza ku ddagala ly’ekinnansi eya Leona-NNN-Medical Research and Diagnostics center, era gavumenti emabegako yakakasa nti eddagala lye lisobola bulungi okuwonya Kkookol.o ne Ssukaali oluvannyuma lw’okuligezesa. Eggulo ku Lwokuna, Ssenfuka yategeezezza bannamawulire nti essimu ezimutiisatiisa ziyitiridde era byonna bijja ku ddagala. “Omu yang’ambye nti bamupangisizza anzite. Yambulidde engeri gye nnyambaddemu era n’ayogera ebimu ku bigambo bye nayogedde mu lunaku okunkakasa nti atambulirako.” Ssenfuka bwe yannyonnyodde. Ssenfuka yagasseeko nti aliko abantu abamulinnya akagere era nga bano bagenderera kimu kya kumutta. Omu ku bakozi ba Ssenfuka, Samuel Ampaire, yagambye nti ababalondoola bava wabweru wa ggwanga. “Abamukubira bamugamba kuva ku bya kunoonyereza ku ddagala oba si ekyo ne b’akola nabo bajja kuttibwa.” Ampaire bwe yategeezezza. Ssenfuka agamba nti wadde balina endwadde endala ze babadde batandise okunoonyerezaako naye bakizudde ng’obulamu bwabwe buli mu matigga era atandise n’okulowooza ku ky’okudduka mu ggwanga banoonye abasobola obabudamya. Omwogezi wa Poliisi mu Kampala, Patrick Onyango, yategeezezza nti ensonga za Ssenfuka bazimanyi era bayogera naye ne bamubuulira ky’alina okukola. Emabegako Ssenfuka yakuba gavumenti mu kkooti ng’agivunaana okulemwa okumuwa olukusa okutunda eddagala lye ate nga liriko abanene be lyawonya omuli n’omulamuzi John Bosco Katutsi. Ono oluvannyuma gavumenti yamusaba okuggyayo omusango bateese balabe engeri gye bagenda okukwatagana okutaasa bannayuganda ku ndwadde zino naye ate tewali kyakolebwa. https://gambuuze.ug/2021/02/05/ssenfuka-eyavumbula-eddagala-lya-ssukaali-alaajana-baagala-kumutta/ +health Museveni ayongezzaayo ennaku kalantiini Pulezidenti Yoweri Museveni Omukulembeze w’eggwanga Genero Yoweri Kaguta Museveni olwaleero eyongezzayo ennaku za kalantiini ne kafiyu okutuuka nga May 05. Bwabadde ayogerako eri eggwanga mu maka g’obwapulezidenti e Nakasero, Museveni yategeezezza nti kyetaagisa okwongezaayo ennaku zino okusobola okwongera okutangira okusasaana kw’akawuka ka Coronaviru mu ggwanga. Museveni yagambye nti bukyanga batandika kukebera bantu okuzuula oba balina akawuka, omuwendo gutuuse ku bantu 5664 nga kubbo, 54 bokka bebasangibwa n’ekirwadde kya coronavirus ekimanyiddwa ennyo nga COVID-19. “Okuba n’abalwadde 54 bokka kitegeeza nti enkola gyetwateekawo ebadde ekoze bulungi. Naye nsaba Bannayuganda mweyongere okugumiikiriza okutaataaganyizibwa kuno pakka ng’ennaku zino ziweddeyo olwo tutandike okuta mpolampola,” Museveni bweyagambye. Ekirwadde kya coronavirus kyakatta abantu abasoba mu mitwalo kkumi n’ebiri mu nsi yonna nga n’abakunnukiriza mu bukadde obubiri bamaze okusiigibwa. Ng’ebyo bikyalyawo, Museveni alabudde abantu abakuba abasirikale amayinja n’agamba oyo yenna gwebanaakwatako kajja mujjuutuka. Museveni yalagidde abasirikale bonna abalumbibwa nga tabalina bisseppewo by’okumutwe oba ebisowani ebiziyiza amayinja, okukuba abo ababakuba amayinja amasasi mu bifo ng’amagulu oluvanyuma babasibe. “Okuba otya omusirikale amayinja, lwaki weeretera ebizibu,” Museveni bweyagambye. https://gambuuze.ug/2020/04/14/museveni-ayongezzaayo-ennaku-kalantiini/ +health Kkooti Enkulu Eyimbudde Abakwatibwa Olwa Kafiyu Bnnamateeka ba Aciro Kkooti enkulu mu Kampala esazizzaamu ekibonerezo ekyali kyaweebwa Lililian Aciro, omukyala alina abaana omusanvu olw’okujeemera ebiragiro by’omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni eky’obutatambula mu budde bwa kafiyu atandika essaawa emu eyakawungeezi n’akoma essaawa kumina bbiri en’ekitundu ez’okumakya. Omukulemelembeze w’eggwnga yassaawo ebiragiro eby’enjawulo okusobola okulwanyisa ekirwadde kya ssenyiga omukambwe owa coronavirus. Aciro kukibonerezo eky’emyezi esatu yali akikola wamu ne; Rodgers Keyi, Josephat Aceyi , Brenda Akao, Ben Aleper, James Jamel Alumal, Mary Nambi, John Paul Burusi, Felix Nyeko, Jackson Kamwaga, Daniel Muwanguzi, Tonny Kaziba, Isa Wapisa, Hassan Anguzo, Benard Atoroti, Fred Walusimbi, Josephine Acen. Gasi Madalema, Kerry Owori ne Akram Mwanje.Bano omulamuzi wa kkooti ento etuula ku Buganda Road ng’ekulembeddwamu omulamuzi Stella Maris Amabilis eyali abasindise mu kkomera e Kigo. Kyokka omulamuzi wa kkooti enkulu Justice Wilson Kwesiga yagambye kkooti ya Buganda Road yakola ensobi mukuwuliriza omusango guno. Yagambye tekikkirizibwa kuwozesa abantu bataliiwo.Bano yalagidde bayimbulwe mangu kubanga eddembe lyabwe ery’okuwulirwa lyali lirinyiriddwa. https://gambuuze.ug/2020/05/22/kkooti-enkulu-eyimbudde-abakwatibwa-ku-kafiyu/ +health Owek. Ssekabembe asabye abavubuka okugaba omusaayi Minisita wa bavubuka, ebyemizannyo n’okwewummuzaamu mu Bwakabaka bwa Buganda, Owek. Henry Ssekabembe Kiberu, asabye abavubuka ba Buganda okugenda e Mmengo mu bungi olunaku lwenkya, baweeyo omusaayi bayambe ku bagwetaaga. Minisita Ssekabembe n’abamu ku bavubuka abeetabye mu kugaba omusaayi Owek. Ssekabembe agambye nti abantu abatasobodde kugenda Mmengo mu nnaku zino ezasoose, basobola bulungi okugaba omusaayi olunaku lw’enkya. Bino Minisita Ssekabembe abyogeredde mu Bulange bw’abadde yeetabye mu kugaba omusaayi era n’akunga abavubuka mu bibiina ebyenjawulo okuvaayo bajjumbire. Owek. Ssekabembe yabadde omugabi w’omusaayi omukulu olunaku lwaleero era yeebazizza abavubuka olwokuvaayo mu bungi ne bagaba omusaayi. Wano w’asinzidde n’asaba abavubuka okujjumbiranga buli Ssaabasajja lw’asiima Obuganda okwetaba mu nsonga ez’ekikula kino, kubanga abavubuka be balina okuba abasaale mu nteekateeka za Buganda. Olunaku lw’enkya, Omulangira David Kintu Wassajja, y’agenda okuba omugabi w’omusaayi omukulu era aggalewo enteekateeka eno eyawomebwamu omutwe, ekitongole kya Kabaka Foundation, Nakasero Blood Bank ne Red Cross. Leero abavubuka b’ekibiina kya Nkobazambogo okuva ku Ssetendekero wa Makerere ne Muteesa 1 awamu n’abakozi ba CBS ne BBS Terefayina, nabo beenyigidde mu nteekateeka eno okusobola okuyamba ku bantu abagwetaaga. Akulira entambuza y’emirimu ku BBS Terefayina, Steven Dunstan Busuulwa, annyonnyodde nga bwe waliwo obwetaavu bw’okumalawo ebbula ly’omusaayi nga kibadde kibakakatako nga Terefayina okwetaba mu nteekateeka eno. https://gambuuze.ug/2021/03/31/owek-ssekabembe-asabye-abavubuka-okugaba-omusaayi/ +health Katikkiro Mayiga agugumbudde abakola Masiki ezitatuukana mutindo Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga atabukidde kkampuni n’abantu abaweebwa omulimu gw’okukola obukookolo (Masiki) olw’okwolesa omululu nebakola obutatuukana mutindo ekintu ekitadde obulamu bwa bannayuganda mu matigga. Katikkiro Mayiga, Minisita Ssekabembe n’olukiiko olwalondeddwa Okwogera bino Katikkiro Mayiga abadde atongozza olukiiko oluggya olugenda okukulembera okulondesa abakulembeze mu bibiina bya bavubuka mu Buganda ku Lwokutaano mu Bulange e Mmengo. Olukiiko luno olutongozeddwa lwakukulirwa Owek. Joseph Balikuddembe Ssenkusu, amyukibwe Oweek. Rose Nantumbwe, Oweek. Kiyemba Hassan nga ono ye muwandiisi, oweek. Kazibwe Israeli, oweek. Victoria Bukirwa n’omwami Emmanuel Matovu. Katikkiro Mayiga yategezeeza nti,emyaka egy’obuvubuka gyegisinga okuba egy’enkizo mu bulamu bw’omuntu era gyegisalawo ki kyanabeera nga akuze era nasaba abakulembeze okutegeera obuvunanyizibwa obubawereddwa okusobola okulungamya abavubuka mu Buganda Kamalabyonna yagambye nti, “Abakulembeera abavubuka balina okuba abasajja n’abakazi abalimu ensa, nga beesigika nga babuvunanyizibwa kubanga ebintu ebyo by’ebibumba omuvubuka okutuuka ku ddala elyegombeesa” Ow’omumbuga yabasabye okubeera abeesimbu basobole okuvumbulira Ssaabasajja abavubuka abalina akiruubirirwa ky’okuzza Buganda ku ntikko. “Omuntu agenda mu bukulembeeza nga asuubira okulyayo ebifi by’enyama oyo taba nakirubirirwa kya kuzza Buganda ku ntikko kubanga ajja kubanga akulembeza bibye so ssi eby’abo bakulembeera era abantu bwebatyo tebayinza kukulembeera bannabwe babeera banonya byabwe ate Buganda tebetaaga,” Mayiga bweyagasseeko. Minisita avunaanyizibwa ku bavubuka, emizannyo n’okwewummuza Owek. Henry Ssekabembe Kiberu, bwabadde ayanjula olukiiko luno yasiimye olukiiko olukadde olwo’buweereza obulungi bwe balaze ate nategeeza nga olukiiko luno bwelugenda okusigala nga birondoola ebibiina bino nga okulonda kuwedde. Ate yye Ssentebe w’olukiiko omuggya Oweek. Joseph Ssenkusu Balikudembe yalaze nga bwewabaddewo okusomoozebwa mukulondoola abalondebwa naye nasuubiza ku murundi guno okwongeramu amaanyi kisobole okusitula Obwakabaka okubutwala ku ntikko. Bano baweze okukola ennyo basobole okuggusa olubimbi olubawereddwa. https://gambuuze.ug/2020/08/29/katikkiro-mayiga-agugumbudde-abakola-masiki-ezitatuukana-mutindo/ +health Minisita Ssekabembe akunze abantu okwetaba mu misinde okulwanyisa Mukenenya Minisita w’abavubuka, emizannyo n’okwewummuza mu Bwakabaka, Henry Ssekabembe Kiberu, akunze abantu ba Buganda okwetaba mu misinde gy’amazaalibwa nga 29/November/2020 kiyambe okulwanyisa ekirwadde kya Siriimu. Minisita Henry Ssekabembe nga ayogerako eri bannamawulire Owek. Ssekabembe agambye nti wadde abasinga essira balitadde ku kulwanyisa Ssennyiga Corona naye balina okukimanya nti siriimu akyalimu w’ali era ng’omumuli guweereddwa basajja, okukuliramu olutabaalo kiyambe okutaasa abaana ab’obuwala. Bino Ssekabembe abyogeredde Bulange Mmengo mu Kampala ku Mmande bw’abadde alambulula ku nteekateeka y’emisinde gino eri bannamawulire. “Tusuubira abantu ba Ssaabasajja Kabaka ffenna nga tetweyawuddemu mu nzikiriza n’amawanga mu myaka, abavubuka, abakadde twandijumbidde nnyo enteekateeka eno kubanga esimbiddwa wakati mu kiruubirirwa eky’okulwanyisa obulwadde buno obwa Mukenenya.” Owek. Ssekabembe bw’agambye. Minisita Ssekabembe annyonnyodde nti Ssaabasajja Kabaka asiimye n’akendeeza ku nsimbi z’omujoozi gw’okuddukiramu ogwabadde ku 15,000 nezidda ku 10000 olw’ensonga nti alabye abantu be nga bakoseddwa ekirwadde ky Ssennyiga Corona. Ssekabembe akubirizza abantu ba Kabaka okwekebeza ekirwadde kya Mukenenya era singa bakizuula nti balwadde batandike eddagala era n’abasangibwa nga balamu beekuume ekirwadde kino. Ono alambise abantu ba Kabaka ku ngeri emisinde gino gye gigenda okuddukibwamu olw’embeera ya COVID-19. Ssekabembe agambye nti Beene asiimye asimbule abaddusi kikumi bokka mu Lubiri e Mmengo ate abantu abalala baddukire mu bitundu byabwe mu nkola ya Ssaayansi. Ategeezezza nti emijoozi bagenda kugisindika mu Masaza ag’enjawulo okulaba nga gituuka ku bantu ba Nnyinimu. Akkaatirizza nti okuva ku ntandika buli mwaka emisinde gino gibaddeko omulamwa ogw’enjawulo nga okulwanyisa ekikulukuto mu bakyala (Fistula), Nnalubiri (Sickle Cell) era nga giyambye okukendeeza ebirwadde bino. Owek. Ssekabembe agambye nti basuubira nti omwaka 2023 we gunaatuukira nga balina we batuuse mu kulwanyisa ekirwadde kya Mukenenya. https://gambuuze.ug/2020/10/06/minisita-ssekabembe-akunze-abantu-okwetaba-mu-misinde-okulwanyisa-mukenenya/ +health Buganda ekwataganye ne Gavumenti ya wakati okutangira Mukenenya Minisitule y’ebyobulamu mu Gavumenti yaawakati ekwataganye n’Obwakabaka okulwanyisa obulwadde bwa Mukenenya nga bayita mu nkola y’okugabira abantu obupiira bukakuumabulamu. Olwaleero abakungu ba Minisitule y’ebyobulamu mu gavumenti eyaawakati basisinkanye Minisita w’ebyobulamu mu Buganda, Dr. Prosperous Nankindu, ne batonera Obwakabaka obupiira bugalimpitawa obuweredde ddala obukadde 3 omuli n’obwabakyala okusobola okukuuma abantu ba Nnyinimu. Minisita Dr. Prosperous Nankindu ategeezezza nti ekirwadde kya Mukenenya kisinga mu Buganda nga kisinga mu Kalangala n’emyalo. Kyokka kakasizza nti mu biseera by’amazaalibwa baakugabira abakyala kkondomu zino awamu n’okubasomesa enkozesa yaazo. “Mu by’obuwangwa bya Buganda bwe tuba tusomesa abaana tulaba ng’abaana okwegadanga kivve era tetukyogerako naye bwe twatuula wansi twalaba nti bwe budde kuba Siriimu alemedde wano.” Owek. Nankindu bw’agambye. Owek. Nankindu annyonnyodde nti kkondomu zino zigenda kugabirwa mu baami ba Ssaabasajja ab’enjawulo okutuuka wansi ku byalo, kiyambe okumalawo ekirwadde kino. Ono ategeezezza nti bagenda kweyambisa eby’obuwangwa okulaba nga balwanyisa ekirwadde kino nga beeyambise obupiira buno, kiyambe okutangira ekirwadde. Minisita Nankindu alaze nga bwe bagenda okwogerezeganya n’abakyala abakazibwako erya Nneekoleragyange okubabangula ku ngeri y’okwekuuma wamu n’okuboogereza bafune emirimu emirala beewala ekirwadde kino. Ate ye Dr. Daniel Byamukama agamba nti okunoonyereza kwe bakoze ku kizudde ng’abantu balemereddwa okukozesa enkola y’okwekuuma n’okwegenderez ezaali zissiddwako essira mu kusooka. Wabula agasseeko nti enkola y’okukozesa obupiira y’esinze okwettanirwa ku ezo endala ezimanyiddwa nga (ABC), ekivvuunulwa nti (A- Abstain, B- Be careful, C-Use condom). https://gambuuze.ug/2021/03/29/buganda-ekwataganye-ne-gavumenti-ya-wakati-okutangira-mukenenya/ +health Katikkiro Mayiga atongozza okugema COVID-19 okw’ekikungo Katikkiro wa Buganda, Owek. Charles Peter Mayiga atongozza enteekateeka y’okwegemesa okw’ekikungo okutangira ekirwadde kya Ssennyiga Corona era kisobozese eggwanga okuggulwawo mu bujjuvu awamu n’okutumbula embeera z’abantu ba Kabaka. Omukolo gubadde ku mbuga enkulu mu ku Lwokubiri era Katikkiro asinzidde wano n’asaba abantu okwegemesa kuba Buganda okudda ku ntikko yeetaaga abantu nga balamu. “Twagala okugumya abantu mu Buganda nti eddagala erigema teririna kabi. Okusookera ddala Ssaabasajja Kabaka wa Buganda mwalaba nga agemebwa, mwalaba Katikkiro ng’agemebwa. Eddagala oba lya Astra Zenac oba lya Pfizer tewali ligenda kubalemesa kuzaala.” Owek. Mayiga bw’ategeezezza. Ono asabye abantu wonna okugoberera amateeka agateekebwawo abasawo okusobola okwetaasa ekirwadde kino kuba wadde bingi ebyogeddwa okuzimba Obuganda naye ek’obulamu kye kisinga obukulu. “Tosobola kuzimba Buganda okuggyako ng’abantu balamu era nkakasa nti omuntu omukulu ali mu mulembe Omutebi, kizibu okuba nga tannaba kutegeera nsonga za byabulamu n’okuzza Buganda ku ntikko. Tosobola kuzimba Buganda okuggyako ng’abantu balamu, Lumiimamawuggwe tasosola.” Owek. Mayiga bw’ategeezezza. Katikkiro Mayiga agamba nti kituufu waliwo abantu abafuna akasujja oluvannyuma lw’okubagema naye kino tekirina kubatiisa kuba buli omu eddagala limuyisa bubwe. Ono annyonnyodde nti okwegemesa kye kintu ekisaanidde okukolebwa abantu bonna abagezi kuba wadde obulwadde busobola okumukwata naye ate tebumuyisa bubi era tafa. Kamalabyonna asiimye aba Medical and Molecular Labarotories olw’okuwaayo obukookolo obuwera omutwalo mulamba okuyambako abantu okwetangira ekirwadde kino era n’asaba abantu okulya obulungi kibayambe okuzimba obusobozi bw’emibiri gyabwe okulwanyisa ekirwadde kino era batumbule n’obuyonjo. Ye Ssenkulu w’ekitongole kya Buganda ekya Majestic Brands, Omuk. Ronald Kawadwa ategeezezza nti emu ku ensonga lwaki baasalawo okwegatta ne Uganda Breweries okugema abantu, kwe kuba nti ebintu by’Obwakabakang’Engule byali biserebye olw’abantu obutasobola kukung’aana na kusanyuka nga bwe gwali emabegako nga singa abantu beegemesa mu bungi, eggwanga lijja kuggulwawo. Omukungu okuva mu Uganda Breweries, Jackie Tahakanizibwa agambye nti abantu ba Kabaka bafunye omukisa okwegemesa awatali kusimba nyiriri wadde okusindikagana bw’atyo n’asaba abantu okuvaayo mu bungi eggwanga lisobole okuggulwawo. Enteekateeka eno ewagiddwa aba Uganda Breweries, ekitongole kya KCCA,Private Sector Foundation Uganda, Coca Cola ne Medical and Molecular Labarotories nga yaakubeerawo ku wiikendi eno nga 6 ne 7 November mu bimuli bya Bulange. https://gambuuze.ug/2021/11/02/katikkiro-mayiga-atongozza-okugema-okwekikungo/ +health Enanga : Abaduumizi abamu batya okukwasisa ebiragiro bya Corona ku ba NRM Kampala Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga, ategeezezza nti ekiremesa abaduumira poliisi mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo okuyimiriza enkung’aana z’ekibiina kya NRM ezikubibwa mu bukyamu, kwe kutya okufiirwa emirimu gyabwe. Omwogezi wa poliisi Fred Enanga Enanga ategeezezza nti wadde ekiragiro kya Ssaabaduumizi wa poliisi tekirina gwe kitaliza naye abamu ku bano bakikola olw’okuba batiitiizi era nga balowooza singa banaagaana aba NRM okukuba enkung’aana, bandigobwa ku mirimu ekintu ekitali kituufu. Enanga ategeezezza bannamawulire olwaleero nti nga poliisi tebalina muntu yenna gwe balina kuttira ku liiso singa asangibwa ng’amenya ebiragiro bya Ssennyiga Corona. “Ssaabaduumizi yavaayo n’agamba nti omuntu yenna amenya amateeka avunaanibwe awatali kufaayo ku langi mwava.” Enanga bw’agambye. Wabula ono agambye nti okwemulugunya okuva mu bantu nga kulaga ng’aba NRM bwe batakwatibwako, ekiraga obunafu obuli mu bakulira poliisi mu bitundu ebyenjawulo. Enanga alaze nga poliisi bw’etalina ludda era n’amenya abamu ku bannakibiina kya NRM be bakutte olwokukuba enkung’aana ezimenya amateeka. Ono agasseeko nga Minisita w’ebibiina by’obwegassi, Haruna Kasolo bwe yayitiddwa poliisi e Masaka era ng’enkya ya leero yeeyanjudde ku bigambibwa nti yakubye olukung’aana olunene ne lufiiramu n’omuntu omu ate abalala ne batwalibwa mu ddwaliro nga bataawa. Okusinziira ku Enanga bino byabadde Nabigasa ku Lwokutaano oluvannyuma lw’abawagizi ba Kasolo ne John Paul Mpalanyi, avuganya ku bubaka bwa Kyotera mu palamenti, okusisinkana ne batandika okulwanagana era poliisi n’ekuba amasasi okubagumbulula. Enanga agamba nti Kasolo ne Mpalanyi bagenda kuvunaanibwa era nga fayiro zaabwe zitwaliddwa ew’omuwaabi wa gavumenti. Ono alabudde bannabyabufuzi okufaayo ku bulamu bw’abantu baabwe era bakimanye nti ekirwadde kya Ssennyiga Corona kikyaliyo. https://gambuuze.ug/2020/12/07/enanga-abaduumizi-abamu-batya-okukwasisa-ebiragiro-bya-corona-ku-ba-nrm/ +health Ab’e Ssembabule bajjumbidde emisinde gy’amazaalibwa Mawogola Abantu ba Kabaka mu ssaza ly’e Mawogola bazze mu bungi okwetaba mu misinde gy’amazaalibwa era bano bakung’aanidde mu magombolola ag’enjawulo okwetaba mu lutalo lw’okulwanyisa ekirwadde kya Siriimu. Muteesa Sserwadda nga akulembeddemu abaddusi Emisinde gino gikuliddwamu Muteesa w’essaza Mawogola, Sserwadda Muhammed Ssaalongo era nga yagisimbudde ku ssaza. Ate Omumyuka wa Muteesa asooka, Suzan Namukwaya, n’asimbula abakung’aanidde ku ggombolola y’e Mateete okusobola okusigala nga batangira ekirwadde kya Ssennyiga Corona mu bantu ba Beene. Muteesa ng’ali ku mbuga e Lwebitakuli agambye nti, abantu bajjumbidde nnyo enteekateeka eno era n’abasaba banyweze ensonga balwanyise ekirwadde kya Mukenenya mu Buganda ne Uganda. Emisinde gino gyetabiddwamu n’omu ku beesimbyewo mu ssaza Mawogola North, Aine Kaguta Sodo era nga yaguze emijoozi 100 kw’ossa okwetaba mu baatwala oluwalo embuga. Sodo agambye nti ali mu Buganda era nga tayinza kujeemera kiragiro kya Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka era ne yeeyama mu Bannamawogola okulwanirira ebintu Buganda by’ebanja singa anaaba alondeddwa okukiika mu Palamenti. Omwami wa Kabaka Mutuba I Lugusuulu, Amida Nantume yeebazizza abantu olw’obuwulize eri Nnamulondo era n’abasaba bulijjo okujjumbira enteekateeka zonna ez’Obwakabaka. Ate Dez Byuma Oswaldo ng’ono y’akwatidde aba NRM bbendera mu ssaza lya Mawogola, akunze abantu ba Kabaka naddala abaami okubeera abasaale mu kulwanyisa Siriimu nga Nnyinimu bwe yalagidde. Amyuka Muteesa w’essaza Mawogola, Suzan Namukwaya era nga y’atwala ebyemizannyo ku lukiiko lw’essaza, akubirizza abantu ba Kabaka obutakoma ku kwambala mijoozi, naye omulamwa gw’okulwanyisa Siriimu bagutwale nga nsonga nkulu. https://gambuuze.ug/2020/11/30/abe-ssembabule-bajjumbidde-emisinde-gyamazaalibwa/ +health Ssennyiga Corona: Abantu 318 bebakwatiddwa mu lunaku lumu KAMPALA Minisitule y’ebyobulam ekakasizza nga abantu 318 bwebazuuliddwa n’ekirwadde ki ssennyiga Corona, bano bakebeddwa eggulo ku Lwokutaano, ekituusizza omuwendo gw’abakakwatibwa ku bantu 2,166. Bwabadde ayogerako eri bannamawulire ku Lwomukaaga, Minisita Jane Ruth Aceng yagambye nti, guno gwe muwendo ogukyasinze okubeera waggulu okuzuulibwa okuva ekirwadde kino lwekyabalukawo. Minisita Aceng nga ayogerako ne bannamawulire. Aceng yategezezza nti abasangiddwa n’obulwadde tekuli ali mu mbeera mbi. Ku 154 kuliko abasibe okuva mu kkomera lya Amuru wamu n’omukozi w’ekkomera lino omu. Ono yanyonyodde nti gyebabayise olw’okwekengera wamu nabo abateeberezebwa okubanga babaddeko n’abalwadde, bazudde abantu 65 okuva mu Kampala, 9 bazuuliddwa Mbarara, Kiryandongo 14, ate e Gulu basanzeeyo 9. Aceng yalambuludde nga abasawo 20 nabo bwebasangiddwa ne COVID19; Bano 9 b’e Kitgum, 6 bavudde Kampala, 2 Arua, Adjumani basanze 1, Kiryandongo 1 n’e Luweero bazuddeyo 1. Ku muwendo oguzuuliddwa leero kuliko abavuzi b’ebimotoka abayita ku nsalo ez’enjawulo 8, Aceng era yakakasizza nga omuwendo gw’abavudde bwegutuuse ku Bantu 20. “Kati omuwendo gw’abafudde guweze 20, tufiriddwayo omuntu era nga ono mwami wa myaka 49 okuva e Mbale,” Aceng bweyakakasizza. Minisita Aceng yagambye nti, omuwendo gw’abantu abasinze okukwatibwa ekirwadde kino gusinga mu kibuga Kampala n’emirilaano nga eno okuva March 23 bakafuna abalwadde 540. Ku bano 342 bazuuliddwa mu wiiki emu yokka wakati wa August 15 ne 21, era nga mu bbanga lyerimu abakafa Corona mu Kampala bali 5. Aceng yagasseeko nti, “Amakampuni mangi omuli; Malaysia Furnishing, Royal Pharma, Ministry of Finance, Planning and Economic Development, IGG,KCCA, Toyota, NRM Secretariat, Eagle Holdings,Megha Industries, n’emikutu gy’amawulire wasangiddwayo abalwadde, Kkampuni zonna tuzisaba zongere okuteeka amateeka n’ebiragiro bya COVID19 mu nkola. Aceng yagambye nti kizuuliddwa nga omusibe eyasangiddwa e Amuru bwabadde yakamala okusiiga abantu abalala 20 ekirwadde kino, ono n’omukozi w’ekkomera mu kiseera kino batwaliddwa mu ddwaliro ekkulu e Gulu gyebali mukujjanjabibwa. Kitegeerekese nti Minisitule y’ensonga z’omunda mu ggwanga wamu n’ekitongole ky’amakomera, bamaze okusengula abasibe 152 abasangiddwa ne COVID19 nebatwalibwa mu kkomera lya Gulu Central Prison bafune obujjanjabi. Bino webigidde nga Minisita wa Kampala Betty Amongi, yakamala okulabula bannakampala nga bwebayinza okudda ku muggalo ssinga bagenda mu maaso n’obutagondera biragiro bya COVID19. https://gambuuze.ug/2020/08/22/ssennyiga-corona-abantu-318-bebakwatiddwa-mu-lunaku-lumu/ +health Katikkiro Mayiga akkunze abantu okujjumbira emisinde gya ‘Rotary Cancer Run’ Kamalabyonna Charles Peter Mayiga akoowodde bannayuganda bonna okwetaba mu misinde gya Rotary Cancer Run, kiyambe okusaasanya amawulire agakwata ku kulwanyisa ekirwadde ki Kkookolo. Katikkiro Mayiga n’abamu ku bakungu “Obulwadde bwa kkansa bwagala kufaanana ssennyiga corona kubanga tebulina gwebutaliza. Kkookolo kumpi Teri amanyi kwava,omuntu amukwata bukwasi. tetusobola kuddaawo netukungiriza. Ekisinga obukulu kwekusala amagezi nga aba Rotary gebasala nebazimba woodi ya Kkookolo, “ Bwatyo Mayiga bweyategeezezza. Bino Mukuumaddamula yabyogeredde mu nsisinkano ye ne banna Rotary abamusanze mu Bulange ku Lwokubiri nga bamwanjulirira enteekateeka y’emisinde gya Rotary Cancer Run egy’omwaka guno. Katikkiro Mayiga yanyonyodde nga obulamu bwebujjudde ebizibu era nga singa bibeera birumbye omuntu abeera n’ebyokusalawo bisatu okuli; okubyogerako, okukkuluma oba okubisalira amagezi. Mayiga yatendereza obuvumu banna Rotary bwebalaga bwebasalawo okulumba ekizibu kya kkansa nebasalawo bakisalire amagezi nga bazimba waadi abantu basobole okufuna obujjanjabi. Ono yasabye abantu okujjumbira kaweefube w’emisinde nga buli omu agiddukira waali kubanga kiyambako okubunyisa amawulire agakwata ku kirwadde kino. Katikkiro Mayiga yakuutidde abantu nga okulwanyisa kkookolo bwekitakoma ku kuzimba woodi, kukola bbanka oba okugula ebyuma ebikalirira abalina kkookolo naye kiri nnyo mu mbeera gyetweyisaamu. Yabakubirizza okufaayo ku ndya yabwe, okukola dduyiro naddala emisinde nga gino egitegekeddwa kubanga giyamba kinene mu wetaasa ku kirwadde kino. Emisinde gino Mubunabyalo ku murundi guno abategesi basalawo gibeere mu nkola ya ’Sayansi nga omuntu agenda kuddukira wonna waali awatali kukungaana nga bwekitera okubeera olw’ekirwadde ki COVID-19. Ensimbi eziva mu misinde gino egivugirirwa bbanka ya Centenary, ziweebwayo okuyamba ku kujjanjaba abantu abalina ekirwadde ki Kkookolo. https://gambuuze.ug/2020/08/25/katikkiro-mayiga-akkunze-abantu-okujjumbira-emisinde-gya-rotary-cancer-run/ +health Katikkiro Mayiga abangudde aba Ssese ku Mukenenya Katikkiro Mayiga olutalo lw’okulwanyisa ekirwadde ki Mukenenya alwongeddemu amaanyi, leero abangudde abavubi n’abatuuze ku mwalo gwe Kachanga ku ngeri gyebasobola okwekuuma, okulwanyisa wamu n’okwejjanjaba ekirwadde kino. Owek. Mayiga abatuuze ku mwalo guno abasabye basooka kwekebeza kirwadde bweba bakwetaba mu bikolwa eby’omukwano era bakomye okukebeza amaaso kuba omuwala oba omusajja asobola okulabika obulungi kyokka nabeera nga mulwadde. “Muve ku baana abato mubaleke basome, abaana abato gano amabujje mugagazaaki? Olaba ne nnume tesobola kuwalampa nnyana etanasala, ggwe nogenda ku mwana omuto. Mutye siriimu kubanga atta ate ekirabo ekisinga byonna bulamu,” Owek. Mayiga bw’agambye. Ono asabye abavubuka okugenda bakeberwe era bwebakizuula nti balwadde bafeeyo okugenda ku ddagala era balye bulungi basobole okutwala obulamu bwabwe mu maaso. Owek. Mayiga bonna abaneetaba mu nsonga z’omukwano abasabye okukozesa obupiira mu ngeri yeemu Abalunnyanja gyebakozesa ‘Life Jackets’ nga banaseeseeya ku mazzi. Mayiga abawangaalira eno abasabye balumirirwe omwana omuwala era bweba balina bebaagala okuganza balowooze ku bannyinabwe, bannyabwe awamu ne bawala babwe. Abazuuliddwamu ekirwadde abagaanye okwekubagiza naye basigalemu essuubi kuba obulamu buba tebuweddewo singa omuntu agoberera amagezi g’abasawo. Kinajjukirwa nti Katikkiro Mayiga e Kalangala yagenze kwongera maanyi ku nteekateeka y’okulwanyisa ekirwadde ki Mukenenya ku bizinga bye Ssese era yawerekeddwako baminisita n’ abakungu abenjawulo mu Bwakabaka ne gavumenti eyawakati. Akiikiridde akulira eby’obulamu e Kalangala Sarah Subo ategeezezza nti ekizibu ekisinga okuba e Ssese kwekuba nti abantu batambula nnyo okuva wano okudda ewalala ate nga tebatambula nabakyala baabwe ekireetera obulwadde bwa Mukenenya okwegiriisa ngekigotta entula. https://gambuuze.ug/2022/07/05/katikkiro-mayiga-abangudde-aba-ssese-ku-mukenenya/ +health Ekibiina ky’ Abasawo kyegaanye okukozesebwa okulwanyisa Pulezidenti Museveni Ekibiina ekitaba abasawo ki ‘Uganda Medical Association (UMA)’ kyegaanye ebyogerwa Pulezidenti wabwe, Dr. Samuel Oledo okukozesebwa ab’oludda oluvuganya okumulwanyisa awamu ne Pulezidenti Museveni. “Njagala okulabula omuntu yenna ow’oludda oluvuganya ayagala okunwanyisa ne Pulezidenti Museveni nga yeeyambisa ekibiina ki UMA nti tajja kumalako. Njakukulwanyisa awamu ne badokita bonna. Ffe tuli beetegefu okukola ne Pulezidenti Museveni kuba yaliko awamu ne gavumenti ye okusobola okutereeza eby’obulamu,” bwatyo Dr. Oledo bweyaweze oluvannyuma lwa kkooti okumuzza ku bukulu kwebaali bamugobye. Wabula ekiwandiiko ekyafulumiziddwa ekibiina kino kyesambye ebigambo bya Dr. Oledo nga bagamba nti obutakkanya bwabwe buli ku ngeri gyakolamu erimu gye etali ya bukugu. “UMA erabye ebigambo ebyogerwa Dr. Odong Samuel Oledo ku butambi oluvannyuma lw’ensala ya kkooti nga agamba nti abamu ku bammemba ba UMA bakozesebwa ab’oludda oluvuganya okulwanyisa Pulezidenti Museveni ne gavumenti ye. Ebigambo bino tebyayogerwa mu mutima mulungi,” ekiwandiiko bwekityo bwekyasomye. Ekibiina kigamba nti ebigambo ebyogerwa Dr. Oledo biri wala n’amazima era tebiriiko mutwe namagulu kuba bo ekigendererwa kyabwe kukyuusa mbeera y’abasawo awamu n’ebyobulamu mu ggwanga n’okulaba nti buli kimu kikolebwa mu ngeri ey’ekikugu. Ekiwandiiko kisabye abasawo okusigala nga bakakkamu era basigale nga bakola emirimu gyabwe n’obukugu kuba kimanyiddwa nti bakolagana bulungi ne gavumenti awamu n’abantu bonna awatali kweyingiza mu byabufuzi. Wiiki ewedde, kkooti enkulu yalagira Dr. Oledo addizibwe ekifo kye nga Pulezidenti w’ekibiina kino bwetyo nesazaamu ebyali byasalibwawo olukiiko lw’ abasawo bwebamugoba mu woofiisi nga bamulumiriza okumenya Ssemateeka w’ekibiina oluvannyuma lw’okufukamira neyeegayirira Pulezidenti Museveni addemu yeesimbewo mu 2026. Oledo baali bamusikizza Dr. Edith Nakku-Jalobo eyaliko omumyuka wa Oledo. Wabula Oledo teyamatira nebyo byasalibwawo banne bwatyo kwekuddukira mu kkooti nga agamba nti yagobeddwa mu bukyamu. Ono akyawera nga bwewatali muntu yenna agenda kumulemesa kulwanirira basawo nebwekiba kitegeeza kuwagira gavumenti eri mu buyinza ajja kukikola mu lwattu. https://gambuuze.ug/2022/12/28/ekibiina-ky-abasawo-kyegaanye-okukozesebwa-okulwanyisa-pulezidenti-museveni/ +health Katikkiro Mayiga asabye abantu okukulembeza eby’obulamu mu mwaka omuggya Katikkiro Charles Peter Mayiga akubirizza abantu okussa ku mwanjo ensonga zebyobulamu mwebyo byebaba bateeseteese okukola mu mwaka ngebimu ku byebalina okukola mu mwaka ogwo. Owek. Mayiga agamba nti abantu batera okuteekateeka ebyo byebalina okukola mu mwaka omuli okugula poloti okuzimba ennyumba, okuwasa nebirala neberabira ensonga yebyobulamu songa engeri omuntu gyasobola okutuukirizaamu bino kwekubeera omulamu obulungi. Bino Mukuumaddamula abyogeredde mu kuziika mutoowe Juliet Mary Nabitaka Kasujja e Janda Sakabusolo mu wakiso mu Ssaza Busiro nasaba abantu okwekebeza endwadde ng’omusujja neezo Omutanda zataddeko amaanyi . ” Omusujja gwa bulabe nnyo era y’emu ku ndwadde ezisinga okutawaanya Bannayuganda. Kyokka abamu bagugayaalirira ne batagujjanjaba. Kino nno kya bulabe nnyo gyemuli. Mbakubiriza okufaayo ennyo ku bulamu bwammwe mu mwaka guno omuggya. Bye mutegese okukola tebiggya kutuukirira singa temuube balamu. Omwoyo gw’Omugenzi Omukama agulamuze kisa.” Katikkiro Mayiga bw’annyonnyodde. Mukuumaddamula era akozeseza omukisa guno naddamu okukaatiriza ensonga yabantu okwekebeza endwadde naddala ezo omutanda zataddeko omulaka okulwanyisa mu bantu be babe balamu basobole okukola okuzza buganda ku ntikko. Bba w’omugenzi Vincent Kasujja alambuludde ku mbeera mweyafiiridde ereetedde abantu bangi okwoza ku mmunye kubanga mukyala we teyalwadde nebateegera obulwadde nti buno bwebumuluma nasaba abantu okumyamba wakati mukuzza abaana abasatu bamulekedde. Omukolo guno gwatandise n’ okusaba okwokwebaza katonda olwobulamu bwomugenzi okukuliddwamu Rev. Emmanuel Lutaaya nga ye musumba w’e Kisaasi omuggya era nga mu nju eno abeera muko. Omugenzi Juliet Mary Nabitaka Kasujja yazaalibwa 1, October, 1970 nga afiiridde ku myaka 52 era alesse abaana basatu. . https://gambuuze.ug/2023/01/04/katikkiro-mayiga-asabye-abantu-okukulembeza-ebyobulamu-mu-mwaka-omuggya/ +politics Aba NUP balabuddwa ku by’okulya ssente za Museveni Bannakibiina kya National Unity Platform abagenda okutuula mu Palamenti y’e 11, balabuddwa obuteetantala kulya ssente eziteekeddwateekeddwa okubaweebwa Pulezidenti Museveni okuggusa by’ayagala nti bwe banaakikola abalonzi baakubakangavvula. Okulabula kuno kukoleddwa Rev. Fr. Richard Mugisha okuva mu kigo ky’e Bisanje mu kibuga Masaka , bw’abadde akulembeddemu ekitambiro kya Mmisa ekitegekeddwa omubaka w’essaza lya Bukoto East, Munna NUP Ronald Evans Kanyike, okwebaza Katonda okumuwanguza akalulu ku kyalo Kitoma mu muluka gw’e Kanywa mu ggombolola y’e Buwunga mu disitulikiti y’e Masaka. Wano Fr. Mugisha w’asinzidde n’alabula ababaka ba palamenti naddala abali ku ludda oluvuganya gavumenti obutagezaako kulya ssente za Pulezidenti Museveni kubanga za kikolimo era nga yenna anaagezaako okuzirya, abalonzi baakumubonereza. “Nneewuunya okulaba nga n’okutusa kati ssentebe wa kkooti ya magye, Gen. Guti ne Pulezidenti Museveni bakyagaanye okuyimbula abavubuka abaakwatibwa ku byekuusa ku nsonga z’ebyobufuzi nga nti ebyobufuzi byaggwa nga kino kye kiseera bayimbulwe awatali bukwakkulizo basobole okweyagalira mu nsi yaabwe era nsaba ababaka ba palamenti mukulembeze obumu ssaako okussa essira ku bintu ebiruma bannyuganda naddala nga mulwanirira abaana abali mu makomera ssaako n’abanyigirizibwa” Fr. Mugisha bwe yategeezezza Wabula asekeredde ababaka abaagwa ssaako ne baminisita abaali beeyita ab’ekitalo era n’abawa amagezi bulijjo okukimanya nti mukama Katonda abeera n’enteekateeka ze. Ye omwami wa Kabaka atwala essaza ly’e Buddu, Ppookino Jude Muleke, awabudde ababaka bonna abava mu Buganda okwerabira enjawukana zaabwe mu byobufuzi wabula beegatte basobole okwogera eddoboozi limu ku nsonga z’okubanja ebintu by’Obwakabaka. Bo ababaka bannakiibiina kya DP abeetabye ku mukolo guno nga baakulembeddwamu John Paul Lukwago Mpalanyi omubaka w’essaza ly’e Kyotera ne Fortunate Rose Nantongo omubaka omukyala owa disitulikiti y’e Kyotera, baasinzidde ku mukolo guno ne beegatta ku bannayuganda bonna okuyozaayoza Oweekitibwa Mathias Mpuuga Nsamba, eyalondeddwa okubakulira mu Palamenti era ne beeyama okukolagana naye. Mu kwogera kwe, nannyini mukolo guno omugole era omubaka w’essaza lya Bukoto East, Ronald Evans Kanyike, yabotodde ekyama nga Pulezidenti Museveni bwe yatandise edda okubakubira essimu nga abaperereze okumwegattako, ky’agambye nti ye tagenda kukikkiriza kubanga amanyi abalonzi be kye baagala. Bo bannakibiina kya NUP okuli Mmeeya w’ekibuga Masaka, Hon Florence Namayanja, omubaka omukyala ow’ekibuga Masaka Juliet Kakande Nakabuye, Dr. Twaha Kagabo omubaka wa Bukoto South, Omubaka omukyala owa disitulikiti y’e Masaka, Joan Namutawe n’abalala, baasabye Hon. Kanyike obutabaswaza my buweereza bwe, ssaako okukulisa Oweekitibwa Mathias Mpuuga Nsamba olw’obuvunaanyizibwa obwamuweereddwa nga bagamba nti bamulinamu essuubi. https://gambuuze.ug/2021/05/31/aba-nup-balabuddwa-ku-byokulya-ssente-za-museveni/ +politics Tetunakkiriza kibiina ki NUP kukozesa langi mmyufu – Omulamuzi Byabakama Omulamuzi Simon Byabakama. Ekif. File Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda Omulamuzi Simon Byabakama, akizzeemu nga bwebatanaba kukkiriza kibiina ki ‘NUP’ kukozesa langi mmyufu kuba si yaakyo. Bwabadde ayogerako eri bannamawulire ku kitebe ky’akakiiko kano mu Kampala ku nteekateeka y’akalulu ka 2021, Byabakama agambye nti ekibiina ekikulemberwa Robert Kyagulanyi (Bobi Wine) kituufu kyasaba okukyusa langi naye nebagaana kubanga langi emmyufu erudde nga ya kibiina ki UPC. “Twabagamba era nga n’etteeka liraga bulungi, bwoyagala okukyusa ekibiina, mu mateeka okukkiriza akakiiko k’ebyokulonda kamala kulanga mu ‘Uganda Gazette’ naye si bwekyali ku kibiina ki ‘NUP’ kubanga kyebasaba tetwakikkiriza, Byabakama bweyategezezza. Ono anokoddeyo akawaayiro nnamba 11 ak’ etteeka erifuga ebibiina by’ebyobufuzi akagamba nti okukyuka kw’ekibiina oba okukyusa mu bubonero ne langi zaakyo kutandika amangu ddala nga akakiiko k’ebyokulonda kamaze okukkiriza ebikyuusiddwa. Wabula bannakisinde ki People Power, bakalambira nti langi zabwe ziri ssatu okuli; Bulu, emmyufu n’enjeru naye nga bakulembeza mmyufu kubanga tewali alina buyinza ku langi yonna. Byabakama era yakakasizza nga bwewaliwo bammemba ba ‘NUP’ abawandikidde akakiiko k’ebyokulonda nga beewunya engeri ekibiina kino gye kyakyusaamu erinnya awatali kugoberera mateeka era nga bakasaba katereeze ensobi ezaakolebwa. https://gambuuze.ug/2020/08/07/tetunakkiriza-kibiina-ki-nup-kukozesa-langi-mmyufu-omulamuzi-byabakama/ +politics Embiranye ku kifo kya Mmeeya wa Masaka, buli omu awera Bya Muwuluzi Yusuf Masaka – Buddu Embiranye yeeyongedde ku ani alina okutwala ekifo kya mmeeya wa Masaka City, nga w’osomera bino nga abavuganya abawerera ddala 9 era buli omu amatiza abalonzi okulaba nga bamuwandako eddusu atuuse ekibuga kya Ssaabasajja Kabaka ku mulembe. Florence Namayanja, Emmaneul Lwasa ne Bamwesigye Willis Kino kiddiridde Masaka okusuumusibwa n’eteekebwa ku mutendera gwa City kiganyule disitulikiti 9 eziri mu ssaza lya Beene erya Buddu awamu n’ebibuga ebirala 6 okuli; Arua, Gulu, Jinja, Mbarara, Fort Portal ne Mbale. Abavuganya ku kifo ky’obwammeeya wa Masaka City asookedde ddala bawerera ddala 9 okuli; Mbabali James Lumbuye (FDC), Kabanda Charles (DP) ne Namayanja Florence (NUP). Abalala ye Ssembajja Muhammad, Bamwesigye Willis Mbabazi (NRM), Kabiswa Pius Kirwowa, Ssengabi Francis, Lwasa Emmanuel Kaweesi ne Kaweesi Robert Danny. Bano buli afuna omukisa talemwa kutegeeza bantu lwaki ye mutuufu alina okukulembera Masaka City era nga bagezaako nnyo okulambulula entegeka zaabwe eri ekibuga kino nga baziguza bannamasaka. “Okuzimba ekibuga Masaka kyetaaga okukolera awamu, kyetaaga amaanyi mangi, kyetaaga amagezi mangi, kyetaaga okukolera awamu, kyetaaga obumanyirivu nga bwenina. Kuba nabeerako omumyuka wa Mmeeya mu KCC era baddeko mu gavumenti ez’ebitundu, Palamenti wamu n’ebitongole noolwekyo nina enkizo okuweereza bannamasaka obulungi.” Bw’atyo Florence Namayanja nga ye mubaka wa Bukoto East mu Palamenti bwe yategeezezza. Ye akwatidde NRM kkaadi ku kifo kino Bamwesigye Willis Mbabazi, yagambye nti, “Abavubuka nga bwe mubalaba bangi tebalina mirimu. Tugenda kulwana okulaba nga bonna bafuna emirimo.” Bamwesigye bw’atyo bwe yasuubizza Bannamasaka singa anaaweebwa omukisa. Ate ye atalina kibiina kw’ajjidde, Lwasa Emmanuel Kaweesi, yagambye nti alina ettoffaali ly’atadde ku kuzimba Masaka era nga singa anaalondebwa bannamasaka bajja kuba bafunye omuntu anaabakulaakulanya. Lwasa yeeyamye okukozesa emikwano gy’alina asikirize Bamusigansimbi okujja batandikewo amakolero bannamasaka bafune emirimu n’enkulaakulana. Alina bbendera Democratic Party (DP), Charles Kabanda, asuubizza okukyusa embeera y’ekibuga Masaka era ayambe okuwa abantu enkulaakulana ng’ateeka essira ku by’obulamu n’ebyenjigiriza. Mu kalulu kano embiranye ey’amaanyi eri wakati wa Munnakibiina kya NUP; Florence Namayanja, Omusuubuzi Lwasa Emmanuel, Owa DP Charles Kabanda ne Bamwesigye Willis Mbabazi ali ku kkaadi ya NRM. Wadde ng’okulonda kubulako omwezi gumu abalonzi mu bitundu ebikola Masaka City bagamba nti, abeesimbyewo tebabamanyi bulungi era nga tebannafuna mukisa kubasisinkana kumanya birowoozo byabwe. “Tetulina kye tumanyi tuli awo bwetutyo, okulonda kugenda kutuuka ebintu tubitabule.” Omukadde Kiggwa Joseph ow’oku kyalo Kayamuyimbwa mu ggombolola y’e Kimaanya-Kabonera bw’atyo bwe yategeezezza. Ekibuga kya Ssaabasajja Kabaka kino kisuubira okuganyula disitulikiti eziwera 9 mu ssaza ly’e Buddu era ng’okusinga abantu bamwo beesigamye ku bulimi na bulunzi. Wano abamu ku beesimbyewo we basinzidde ne basuubiza okwongera ku mutindo gw’ebirime n’okutondawo amakolero, kikendeeze ku bbula ly’emirimu era ng’ekirindiriddwa kwe kulaba ani anaawangula emitima gya Bannamasaka mu kalulu ka 2021. https://gambuuze.ug/2020/12/14/embiranye-ku-kifo-kya-mmeeya-wa-masaka-buli-omu-awera/ +politics Ababaka baakufulumya olukalala lwa bannayuganda abawambibwa Kampala Sipiika wa Palamenti ya Uganda, Rebecca Alitwala Kadaga, alagidde ababaka okuva mu bitundu ebyenjawulo okufulumya olukalala lw’abantu ababuzibwawo kuba gavumenti eremeddwa okulufulumya nga bwe yasuubiza. Sipiika Kadaga alagidde ababaka okuleeta enkalala z’abawambibwa Kino kiddiridde Sipiika Kadaga okulagira gavumenti Ssabbiiti ewedde okuleeta olukalala lwa bannayuganda abagambibwa okutwalibwa ab’ebyokwerinda era Minisita w’ensonga ez’omunda yabadde asuubirwa okwanjulira ababaka olukalala luno eggulo ku Lwokubiri, wabula ono teyalabiseeko. Wano Omubaka wa Kalungu West, Joseph Ssewungu, yennyamidde olwa Minisita okulemwa okuleeta olukalala nga bwe yabadde asabiddwa. “Owek. Sipiika, wasabye Minisita w’ensonga ez’omunda okuleeta olukalala lwa bannayuganda abaawambibwa mu kaseera k’okulonda. N’okutuusa leero tetulina kye twali tufunye okuva mu gavumenti. Owek. Sipiika bw’eba gavumenti eremeddwa, nze nsobola okuleeta olukalala lwe nnina.” Omubaka Ssewungu bwe yagambye. Omubaka w’ekibuga ky’e Mukono, Betty Nambooze, yannyonnyodde nti abantu bangi bakyagenda mu maaso n’okuwambibwa mu ngeri etategeerekeka. “Owek. Sipiika, Kizibwe wange Bukenya Victor abadde abuze okumala Ssabbiiti bbiri. Era waliwo n’abantu abalala bangi abongera okubuzibwawo. Sipiika nkusaba okkirize ababaka okuleeta okwemulugunya kwabwe mu Palamenti era wabeewo ekisalibwawo.” Nambooze bwe yategeezezza. Mu kwanukula, Sipiika Kadaga yakkirizza ababaka abalina enkalala z’abantu okuzireeta basobole okuteeka Minisita w’ensonga z’omunda ku nninga asobole okunnyonnyola abantu bano gye bali. Gye buvuddeko, Pulezidenti Museveni yavaayo n’ategeeza nti tewali muntu yabula wabula gavumenti yaliko abantu be yali ekutte ku mivuyo gya November 18 ne 19 oluvannyuma lw’abantu okwekalakaasa nga Bobi Wine akwatiddwa, nti ra bano balina obwegugungo bwe baali bategese ng’okulonda kuwedde. Museveni yalagira amagye okufulumya olukalala lw’abantu abakwatiddwa, abantu baabwe basobole okumanya gyebali. Ssabbiiti ewedde, Poliisi yali erina okwanjula olukalala lw’abantu abakwate wabula amyuka omuduumizi wa poliisi, Maj Gen Paul Lokech, n’akisazaamu awatali kuwa nsonga yonna. Waliwo ebigambibwa nti ekikyagaanye poliisi okufulumya olukalala kwe kwagala okumanya embeera abakwate bye balimu naddala abali mu mikono gy’amagye. https://gambuuze.ug/2021/03/03/ababaka-baakufulumya-olukalala-lwa-bannayuganda-abawambibwa/ +politics Bannayuganda bakooye amasasi ne ttiyaggaasi – Katikkiro Mayiga Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga, ategeezezza abakungu ba poliisi nti, Bannayuganda bakooye okukubwa ttiyaggaasi n’amasasi nga noolwekyo balina okukoma ku bikolwa bino. Katikkiro Mayiga n’abakungu ba poliisi oluvanyuma lw’okwetonda “Uganda ekooye obusambattuko, Uganda ekooye amasasi n’omukka ogubalagala, ensonga eno esaana okwetegerezebwa n’okutereezebwa,” Mayiga bw’agambye. Owek. Mayiga annyonnyodde nti abapoliisi bangi bakozesa eryanyi eriyitiridde nga bakwata abamu ng’abamu babakuba ate nga n’abalala battiddwa olw’obukambwe buno. Mayiga agasseeko nti abapoliisi balina okukimanya nti si buli lwe balaba abantu nga bakung’aanye balina kubakubamu ttiyaggaasi n’amasasi kuba okukwasisa amateeka n’ebiragiro obulungi bwetaaga bukugu okusinga obukambwe. Owoomumbuga okukangula ku ddoboozi abadde mu nsisinkano n’abakungu ba poliisi abakulembeddwa omukwanaganya wa poliisi n’ebyobufuzi, Asan Kasinge, leero ku Lwokubiri mu Bulange e Mmengo. Owek. Mayiga ategeezezza nti mu poliisi mulimu abasirikale abonoona linnya lyayo nga bakozesa obukambwe obuyitiridde okukwasisa amateeka n’ebiragiro. Katikkiro Mayiga agambye nti wadde bakkiriza okwetonda kwa poliisi naye aduumira poliisi y’e Mityana, Alex Mwine Mukono, alina okubonerezebwa ku kikolwa kino kubanga yatyoboola obuwangwa bw’ennono era nga n’olulimi lwe yakozesa lwali lukyamu. “Omuduumizi ono asaana okubonerezebwa kubanga Omuntu teyeetaaga kubeera Mukatoliki okumanya nti ekitambiro kya Mmisa ssaala nkulu nnyo etasaana kutaataaganyizibwa,” Mayiga bw’ategeezezza. Owek. Mayiga agambye nti ono teyeetaaga kusooka kubeera muganda okumanya nti Omukolo guno gwabadde gwa nnono n’okumanya nti alina okussa ekitiibwa mu mawanga. Ono era yennyamidde olwa Mwine alina ennyota okweyisa mu ngeri etyoboola ennyota ze wamu n’obutassa kitiibwa mu bakulembeze abalala omuli ne bannaddiini. Afande Kasingye ategeezezza Katikkiro Mayiga nti bazzeemu nebeetegereza obutambi nebakizuula nti waliwo ensobi ezaakolebwa basajja baabwe abaali ku bikwekweto bino kubanga guno Omukolo gwali gwa nnono. “Oluvannyuma lw’okumanya ensobi yaffe, twatudde netulaba ng’ekintu ekituufu okukola kwe kwetonda eri Obwakabaka bwa Buganda kubanga Omukolo guno gwabadde gwa nnono,” Kasingye bwe yeetonze. Ono agasseeko nti Omukolo guno tegwategekebwa ku olwo era ng’akakiiko akalwanyisa Corona kalina okutuula n’abeekika ky’Embogo nebagonjoola ensonga okusooka singa waaliwo ebyali bitannaggwa. Kasingye asuubizza nti bagenda kunoonya Omutaka Kayiira Gajuule bamwetondere awamu n’abantu bonna ab’ekika ky’Embogo era neyeeyama okukwatagana ne bannaddiini awamu n’ab’ennono okwewala ebikolwa nga bino okuddamu okubaawo. Kinajjukirwa nti, Omuduumizi wa poliisi e Mityana, Alex Mwine Mukono, yalemesezza omukolo gw’okwebaza olw’obuweereza bwa Jjajja Kayiira Gajuule ng’Omukubiriza w’abataka obukulu bwe yamalako emyaka 7, bwe baali basisinkanye ku Butaka bwabwe e Mugulu mu Mityana. Afande Kasingye ne Katikkiro oluvanyuma lw’okwetonda Omukolo guno gwetabiddwako Omutaka Muteesaasira nga yakiikiridde Omukubiriza w’Abataka omuggya, Namwama Augustine Mutumba, baminisita n’abakungu ba Kabaka. https://gambuuze.ug/2020/10/21/bannayuganda-bakooye-amasasi-ne-ttiyaggaasi-katikkiro-mayiga/ +politics Ab’ebijjambiya bataamye; RDC Bamwine bamukyusizza Abadde omubaka wa Pulezidenti mu Masaka City, Fred Bamwine, akyusiddwa okuva e Masaka n’atwalibwa mu disitulikiti y’e Nakaseke nga’omubaka wa Pulezidenti mu kitundu ekyo. Okukyusibwa kwa Bamwine kulangiriddwa Minisita w’ensonga z’Obwapulezidenti, Milly Babalanda bw’abadde ayogera ku nkyukakyuka ezikoleddwa mu babaka ba Pulezidenti awamu n’abamyuka baabwe ku Mmande Enkyukakyuka zino we zijjidde nga waliwo obukenke mu ssaza ly’e Buddu olw’abatemu b’ebijambiya abaazingako ebitundu bino nga okusinziira ku poliisi, abaakatemula bawera 36 mu bbanga lya wiiki ttaano zokka. Mu kiro ekyakesezza ku Lwomukaaga waliwo abantu 2 abattiddwa wadde ng’ebyokwerinda byabadde binywezeddwa mu kitundu kino. Abatuuze baavuddeyo ne bategeeza ng’obunafu bwe buva ku batwala ebyokwerinda mu kitundu kino era nga Bamwine y’abadde omu ku bo. Tekinnategeerekeka oba okukyusibwa kwa Bamwine kwekuusa ku mbeera y’obutemubw’ebijambiya obukolebwa mu kitundu kino, obulabise nga butandise okuzitoowerera ab’ebyokwerinda. Minisita Babalanda abadde yaakamala okusuubiza nga bw’agenda e Masaka okulaba embeera bw’eri kuba walabika waliwo obubinja bw’abatujju obwagalaokuvumaganya gavumenti ya NRM. Olwaleero omwogezi wa poliisi mu ggwanga ategeezezza nga bwe baliko abantu abawera 60 be bakutte ne basunsulamu abalala 15 abagambibwa okubeera ne kye bamanyi ku nsonga eno era ng’abasinga ku bano baana nzaalwa za ku byalo bino. Enkya ya leero abatemu bano baliko ebibaluwa bye basudde awamu n’okuwandiika ku nnyumba z’abatuuze nga babategeeza nga bwe bagenda okudda babakoleko nga tewali kigenda kubayamba ke bayite poliisi oba okutegekawo ssente. “Twagala emitwe 20, musigale mu nju munda ate temutya nnyo.” Obumu ku bubaka obwasuuliddwa bwe busoma. https://gambuuze.ug/2021/08/30/abebijjambiya-bataamye-rdc-bamwine-bamukyusizza/ +politics AKAMYUFU KA NRM: Rukutana awangudde kkaadi ya NRM n’obululu 20 Kampala Akulira akakiiko k’ebyokulonda mu kibiina kya ‘National Resistance Movement (NRM), Dr. Tanga Odoi, alangiridde Minisita omubeezi ow’abakozi, Mwesigwa Rukutana ku buwanguzi bw’ akamyufu k’omubaka w’e Rushenyi oluvannyuma lw’okuwangula Kabasharira bwe babadde ku mbiranye n’obululu 20 bwokka. Minisita Mwesigwa Rukutana Dr. Odoi ono yamulangiridde ku Lwakusatu ku kitebe ky’ekibiina mu Kampala oluvannyuma lw’okuddamu okubala obululu. Akulira eby’okulonda e Ntungamo, Maria Mirembe Baitwa yali alangiridde Naome Kabasharira ku buwanguzi, bwe yafuna obululu obusinga mu kulonda okwasooka nga yali afunye obululu 24,006 ate nga Rukutana yali afunye obululu 23,966. Mu kalulu kano, Bob Karabayi yafuna obululu 2,266, Nicholas Niwahereza yalina 1,202 so nga ate Norman Kashereka yafuna 346. Bino Rukutana yabigaana era ne yeekubira enduulu eri akakiiko k’ekibiina era Ssentebe waako Dr. Tanga Odoi n’alagira obululu buno buddemu okubalibwa. Odoi yagambye nti obululu bwe babaze bulaga nti Rukutana yawangudde n’obululu 25310 ate nga Kabasharira yafunye obululu 25290 ng’enjawulo yabadde ya bululu 20 bwokka. Okusinziira ku byavudde mu kuddamu okubala obululu, Bob Nahabwe yafunye obululu 2270, Nicholas Niwahereza 129, Elia Rwagara Mwesigwa 256 ate Norman Kashereka Beingana n’afuna 350. “Nangiridde Mwesigwa Rukutana eyafunye obululu obusinga obungi n’ebitundu 46.27 ku 100 era n’awangula okukwata kkaadi ya konsitityuwensi y’e Rushenyi mu Palamenti.” Odoi bw eyategeezezza. Kinajjukirwa nti akamyufu kano kalimu emivuyo era gye byaggweera nga Minisita Rukutana asimbiddwa mu kkooti n’avunaanibwa okugezaako okutta Daniel Rweburingi wamu n’okwonoona ebintu wadde ng’oluvannyuma yayimbulwa ku kakalu ka kkooti. Sabbiiti ewedde, abawagizi ba Kabasharira baagobaganye ne poliisi nga bawakanya eky’okulwawo okulangirira ebyavudde mu kuddamu okubala obululu. https://gambuuze.ug/2020/09/23/akamyufu-ka-nrm-rukutana-awangudde-kkaadi-ya-nrm-nobululu-20/ +politics Tugenda kuteereza ensobi ezaakoleddwa – Ssaabawandiisi wa NUP Bya Gladys Nanyombi Kamwokya Ssaabawandiisi w’ekibiina ki National Unity Platform (NUP) David Lewis Lubongoya ategeezezza nti bagenda kwekenneenya ensobi entono ezaakoleddwa mu kuwa abantu kkaadi era baakufulumyawo ekiwandiiko mu bwangu ku nsonga eno. Ssaabawandiisi wa NUP Lubongoya Lubongoya bino yabyogeredde ku kitebe ky’ ekibiina e Kamwokya ku Mmande bwe yabadde asisinkanye abamu ku bantu abaabadde baleese okwemulugunya kwabwe ku ngeri gye bammiddwamu kkaadi. “Twafulumizza enkalala ku bifo bya bakkansala, Mmeeya ne bassentebe ba disitulikiti era ne tusaba omuntu yenna atamatidde akuleete okwemulugunya kwe. Mbakakasa tutaddewo akakiiko k’abakugu okusunsulamu abalina ensonga n’obukakafu obumala era tusaba abantu okubeera abagumiikiriza nga bwetutereeza ensonga eno.” Lubongoya bwe yagambye. Ono yakakasizza nga bwe bayimirizza okugaba sitampu ezirina okutwalibwa mu kakiiko k’ebyokulonda eri abo ababadde batandise okwewandiisa okutuusa okwemulugunya nga kukoleddwako. “Tetusobodde kuwa bantu ba Kampala, Wakiso ne Mukono kubanga tetusobola kuzigaba nga wakyaliwo abeemulugunya.” Lubongoya bwe yalambudde. Abamu ku bannakibiina abakung’aanidde ku kitebe ky’ekibiina baasabye ensonga eno ekwatibwe n’obwegendereza kubanga esobola okwabuluzaamu ekibiina ate nga kibadde kirina obuwagizi mu bantu. Abakulu beevumbye akafubo akatakkiriziddwamu bannamawulire n’ababadde beemulugunya era nga kye tutegeddeko kiri nti abakulu basuubiza okuteekawo obwenkanya n’okunoonyereza ku bigambibwa nti waliwo abasabye ssente okuyisaawo abamu ku beesimbyewo. Omu ku beemulugunya, Ssonko Muhammed ng’abadde yeegwanyiza bwakkansala bwa L.C5 ku lukiiko lwa Munisipaali y’e Kira yategeezezza nti tewabaddewo bwenkanya mu kugaba kkaadi era abakulu basaanye ensonga eno okugitunulamu. “Baleese ffe abasajja abamanyi ne batwala abantu abanafu abagenda okuzza ekibiina emabega era tusaba abakulu okwongera okwekenneenya n’okunoonyereza ku bantu be baalonze okuwa kkaadi y’ekibiina,” Ssonko bwe yannyonnyodde. Ate ye Muhusin Kakande eyabadde yeegwanyiza ekifo kya ssentebe wa L.C5 mu Kawempe North yasabye banne basoyiwagane kubanga ekigendererwa ekikulu kiri mu kukyusa bukulembeze bwa ggwanga lyonna nga baggyako Pulezidenti Yoweri Museveni. “Buli akkiririza mu nkyukakyuka nkusaba okusooka okwesonyiwa obukuubagano obuli mu kibiina tusooke tufe ku kintu kimu eky’okuwanika omukulembeze waffe Robert Kyagulanyi kubanga y’agenda okututaasa ku Museveni,” Kakande bwe yalambuludde. Ekirindiriddwa kwe kulaba ebinaava mu kakiiko akateereddwawo okugonjoola endooliito zino. https://gambuuze.ug/2020/09/21/tugenda-kuteereza-ensobi-ezaakoleddwa-ssaabawandiisi-wa-nup/ +politics Ssaabalamuzi Owiny Dollo akyalemedde mu musango gwa Kyagulanyi Kampala Ssaabalamuzi Alfonse Owiny Dollo agaanye okuva mu musango gwa Robert Kyagulanyi gwe yawaba ng’awakanya obuwanguzi bwapulezidenti Yoweri Museveni mu kalulu ka 2021. Ssaabalamuzi Owiny Dollo Munnamateeka Male Mabirizi yawandiikira Ssaabalamuzi Alfonse Owiny- Dollo ng’amusaba okuva mu musango gwa Kyagulanyi kuba yaliko looya wa Museveni mu 2006 nga Dr. Kizza Besigye awakanya obuwanguzi bwa Museveni. Amakya ga leero ku Lwokubiri, Ssaabalamuzi ategeezezza nti awuliriza bulungi okusaba kwa Mabirizi naye tagenda kuva mu musango guno. “Mpuliriza bulungi okusaba kw’omuwaabi era ensonga azisengese bulungi naye olw’ensonga zange ze nzija okuwa mu maaso awo, sigenda kuva mu musango guno kuba siraba nsonga lwaki nguvaamu.” Ssaabalamuzi Owiny Dollo bw’agambye enkya ya leero. Mu mpaaba ye Male Mabirizi ategeezezza kkooti nti Ssaabalamuzi talina kubeera ku balamuzi omwenda abalina okuwulira omusango gwa Kyagulanyi kuba yali munnamateeka we mu 2006 mu musango ogufaanana bweguti. “Tagenda kwetengerera kuba yali looya wa muwawaabirwa mu 2006. Kitegeeza ebyo bye yayitamu ng’awolereza Museveni mu 2006 tebisobola kumukkiriza kubeera mwenkanya mu musango guno era tasobola gusalira yali mukama we.” Mabirizi bw’annyonnyodde. Ono agattako nti Ssaabalamuzi azze asisinkana Pulezidenti Museveni enfunda eziwera era n’ategeeza nti abantu bamulaba ng’alina kyekubiira mu musango guno. “Abalamuzi basobola okwetegerera naye ate tulina okulowooza ku bantu kye balowooza. Abantu bakimanyi nti abadde agenda ewa Museveni era omuntu yenna asobola okukiraba.” Mabirizi bw’agasseeko. Abalamuzi ba kkooti eno abawera 9 batadde Mabirizi mu kaseera akazibu abakakase oba Ssaabalamuzi Museveni yamusisinkana ku nsonga ze ng’omuntu oba kyali kikwata ku kitongole ekiramuzi ky’akulembera. Mu kwanukula Mabirizi ategeezezza nti si nsonga oba ensisikano yali ekwata ku kitongole kiramuzi oba nedda kuba abantu balowooza bulala. Bino we bijjidde nga Kyagulanyi Ssentamu yaakalangirira nga bw’aggyeeyo omusango gwe mw’awakanyiza obuwanguzi bwa Museveni ng’agamba abalamuzi balina kyekubiira. Wabula Kyagulanyi tannaba kuwandiikira kkooti mu butongole ng’agisaba okuggyayo omusango. https://gambuuze.ug/2021/02/23/ssaabalamuzi-owiny-dollo-akyalemedde-mu-musango-gwa-kyagulanyi/ +politics Latif Ssebaggala avudde mu lwokaano lw’ obwaloodimeeya Omubaka Latif Ssebagala nga ayogerako eri bannamawulire Kampala Munnakibiina kya ‘National Unity Platform (NUP)’, Latif Ssebaggala alangiridde nti, avudde mu lwokaano lw’okuvuganya ku bwa Loodimmeeya. Ssebaggala. Agambye nti kino akikoze okugatta ekibiina ekibadde kitandise okweyawulamu olw’abantu abamu balowooza nti kkaadi teyamuweereddwa mu bwesimbu. Bino Ssebaggala yabitegeezezza bannamawulire abamusanze ku kitebe ky’ekibiina ku Lwokubiri wano mu Kampala. “Nkyali mu NUP era nga ng’enda kuwagira Robert Kyagulanyi Ssentamu okutwala obukulembeze bw’eggwanga,” Ssebaggala bwe yagambye. Kino kiddiridde munne gwe babadde bavuganya ku kkaadi Joseph Mayanja amanyiddwa nga Chameleone okuwandiikira akakiiko k’ekibiina ak’ebyokulonda nga yeemulugunya ku ky’okuwa Ssebaggala kkaadi ng’agamba nti yabadde nsobi erina okutereezebwa. Ssebaggala asabye abawagizi b’ekibiina kya NUP okumutegeera obulungi kuba kino akikoze ku bulungi bwa Kibiina n’asuubiza okubanjulirira ky’agenda okuzzaako mu maaso awo. Gambuuze g’afunye mu nsonda ezeesigika galaga nga Latif Ssebaggala bw’ayinza okugenda ku bubaka bwa Palamenti obw’omukago gwa East Africa. Ono abadde akyalemeddwa okusalawo ku kifo ekituufu ky’ayagala nga waliwo lwe yayagala addeyo ku bubaka bwa palamenti obwa Kawempe North ate olulala n’ategeeza nti ajja okusingukulula Loodimmeeya Erias Lukwago. Abakungu ba NUP baavuddeyo ne bategeeza ku wiikendi ewedde nga Kkaadi bwe baagiwadde Ssebaggala olw’okuba alina obumanyirivu mu by’obufuzi ate ng’abaddewo nnyo ku lwa Bobi Wine. Kkampu ya Chameleone bino yabiwakanyiza n’etegeeza ng’omuntu waabwe bw’akoze ennyo okuleeta enkyukakyuka ng’ayimbira Bobi Wine ennyimba. Bano bakkiriza nti kituufu omuntu waabwe talina bumanyirivu naye bulijjo Robert Kyagulanyi (Bobi Wine) asaba abavubuka okwenyigira mu by’obufuzi era beebereremu nga kino ne Chameleone ky’akola.Kati ekirindiriddwa kwekumanya ppulaani empya Ssebaggala gy’asuubizizza okulangirira. https://gambuuze.ug/2020/09/22/latif-ssebaggala-avudde-mu-lwokaano-lw-obwaloodimeeya/ +politics Bannannyini Uganda bebantu so si bakulembeze – Pulezidenti Museveni Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ategeezezza akakiiko akafuzi aka Palamenti nti buli kyebakola bakikole nga bamanyi nti eggwanga lino lya bantu so si bakulembeze. “Bwobeera omukulembeze obeera oweereddwa buvunaanyizibwa. Mulina okumanya nti eggwanga lino si lya babaka ba Palamenti naye lya bantu bonna abaliwangaaliramu,” Museveni bwe yagambye. Okwogera bino Museveni yabadde asisinkanye akakiiko akafuzi aka Palamenti akakulira Sipiika Anita Among n’omumyuka we Thomas Tayebwa, eggulo mu maka g’Obwapulezidenti agasangibwa e Nakasero mu Kampala. Okusinziira ku Pulezidenti Museveni amasiga gonna agakola gavumenti galina kukolera wamu ku lw’obulungi bw’ eggwanga naye ate olumu abakulembeze baago bakola kinene mukulemesa enkulaakulana. Museveni awadde eky’okulabirako nti mu 2005 nga eggwanga litawanyizibwa amasanyalaze agaali gavaako buli kadde yagezaako okuzimba amabibiro amalala naye Palamenti eyaliwo nemulemesa. “Wetwakwatira obuyinza, Uganda yali efulumya amasanyalaze ga ‘Megawatts’ 60 ku gano nga 30 tugatunda Kenya, nasaba tuzimbe amabibiro naye Palamenti nelemesa. Kuno kwali kulya lukwe mu Palamenti eno,” Museveni bwe yagasseeko. Museveni yannyonnyodde nti bweyagangula akalulu mu 2006 yamatiza Kabineeti bongere ku ssente zebateeka mu nguudo n’amasanyalaze era nebakaanya n’okumatiza akabondo k’ekibiina era kino kye kivuddeko enguudo ezizimbibwa awamu n’amasanyalaze ebiyambye okwongera enkulaakulana. Museveni abalabudde ku kweyongeza emisaala nabategeeza nti abakuumaddembe, abasawo n’abasomesa bakyafuna ssente ntono nnyo nga eky’okwongera omusaala gw’ ababaka kisobola okulindako nekijja mu maaso awo naye basoosowaze abalala. Ono asiimye Palamenti ye 11 gyagambye nti emirimu egitandise bulungi kuba ekwatagana n’amasiga amalala aga gavumenti nga kigenda kwanguya olugendo lw’okuggya bannayuganda mu bwavu. Sipiika wa Palamenti, Anita Anite Among yasinzidde wano neyeebaza Pulezidenti Museveni olw’okubwa obuwagizi n’okubalung’amya ku nsonga ez’enjawulo era nasuubiza okwongera okukolera awamu okusobola okutuusa enkulaakulana ku bannayuganda. Among alaze ebimu ku byebatuuseeko nga Palamenti y’ e 11 mu myezi 11 gyebamaze nga bakola nga muno bayisirizaamu amabago agawera 12 kwago 20 agayanjulwa awamu n’ebintu ebirala. Ono agamba nti basaasaanya obuwumbi 20 buli mwaka okupangisa ababaka webakolera nga kyekiseera bazimbe ekifo ekyabwe basobole okutaasa ssente z’omuwi w’omusolo. Ensisinkano eno yeetabiddwamu Ssaabaminisita, Robinah Nabbanja, Minisita w’ebyensimbi Matia Kasaija ne Kalaani wa Palamenti Adolf Mwesigye awamu ne bakamisona ba Palamenti ab’enjawulo. https://gambuuze.ug/2022/05/06/bannyini-uganda-bebantu-so-si-bakulembeze-pulezidenti-museveni/ +politics Museveni : “Ddiiru yange ne Mao teyaliimu kukyuusa buyinza Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni yeesambye eby’okukaanya ku kutandika enteekateeka y’okukyuusa obuyinza bwebaali bakola omukago ne Ssenkaggale w’ekibiina ki Democatic Party, Norbert Mao mu July w’omwaka guno. Bweyabadde awayaamu n’omukutu gwa ttiivi ye Kenya ogwa KTN, Museveni yagambye nti ekyabaleese Mao kwali kusikiriza baludda oluvuganya okwegatta ku gavumenti ye so si kuyambako ku nteekateeka ya kukyuusa buyinza kuba teriiwo akaseera kano. “ Enteekateeka yaffe yakuteekawo obumu mu ngeri zonna ezisoboka eri abo abasobola okukaanya naffe tusigaze abatuwakanya nga beebatono. Eno y’enkola yaffe kati era tujoogera mu lwattu,” Museveni bwe yategeezezza. Okwogera bino, Museveni abadde ayanukula ekibuuzo ku bigambo Mao byazze ayogera nalaga nga bweyalondebwa mu gavumenti okusobozesa okuteekawo enteekateeka y’okukyuusa obuyinza mu mirembe. Mao yalondebwa mu kkabineeti mu July, 2022 oluvannyuma lw’okukola endagaano ne Pulezidenti Museveni . Ebigambo bya Pulezidenti Museveni byejjeereza abazze balabula Mao nga bategeeza nga Pulezidenti Museveni bw’atakuuma kigambo kye nga asobola okwefuula akadde konna. Kino kiddiridde abamu ku bannakibiina okutabukira Mao nga baagala ave ku bwa Ssenkaggale nga bagamba nti endagaano ya Mao ne Museveni erimu bingi ebitategeerekeka. Okusinziira ku Museveni, ekyamuleesa Mao kwekuba nti yali omu ku bakulembeze mu Acholi ababadde balwanyisa NRM oluvannyuma lw’okuggyako Tito Okello Lutwa. Okello yali ava mu Acholi era yaliko Pulezidenti wakati wa 1985-1986. Pulezidenti Museveni agamba nti omusika we ajja kulondebwa nga bagoberera amateeka g’ekibiina ki NRM nga Mao byatambuza tamanyi gyabijja. https://gambuuze.ug/2022/10/18/museveni-ddiiru-yange-ne-mao-teyaliimu-kukyuusa-buyinza/ +politics NRM efunye Obwumbi 4.2 mu baagala okwesimbawo Bya Chris Ssemakula Akulira eby’okulonda mu NRM, Dr. Tanga Odoi Kyaddondo Akulira eby’okulonda mu NRM Dr. Tanga Odoi ategeezezza nga bwebakungaanyizza obuwumbi obuwera 4.2 okuva mu beegwanyizza okwesimbawo ku bifo eby’enjawulo mukulonda kwa 2021. Odoi yawakkanyizza ebibadde byogerwa nti ssente eziyimirizzaawo ekibiina ziva mu gavumenti nti kino sikituufu wabula ziva mu bamemba b’ekibiina. Ku murundi guno abagala bbendera y’ekibiina ku kifo ky’ Obwapulezidenti basasudde obukadde 10, abanaavuganya ku bwa ssentebe bw’ekibiina nabo obukadde 10 ate ababaka ba palamenti obukadde 2, bameeya obukadde 5 kuno kwogatta n’ebifo ebirala. https://gambuuze.ug/2020/08/08/nrm-efunye-obwumbi-4-2-mu-baagala-okwesimbawo/ +politics Richard Todwong alondeddwa ku bwassaabawandiisi bwa NRM, Namayanja ye mumyuka Eyali Minisita ataliiko kifo kya nkalakkalira, Ricahrd Twodong, alondeddwa nga Ssaabawandiisi w’ekibiina ekiri mu buyinza ekya National Resistance Movement(NRM). Mu nkyukakyuka zino ezalangiriddwa Pulezidenti Museveni olunaku lw’eggulo, Twodong azze mu bigere bya Justine Kasule Lumumba eyalondeddwa ku bwa Minisita bwa guno na guli mu woofiisi ya Ssaabaminisita. Mu ngeri y’emu, munnakibiina kya NRM Rose Namayanja abadde omuwanika w’ekibiina alondeddwa okubeera omumyuka wa Ssaabawandiisi. Barbara Oundo Nekesa abadde Kamisona wa Uganda mu South Africa yakomezeddwawo ku butaka okudda okuwanika ensimbi z’ekibiina nga Namayanja bw’abadde akola. https://gambuuze.ug/2021/06/09/richard-todwong-alondeddwa-ku-bwassaabawandiisi-bwa-nrm-namayanja-ye-mumyuka/ +politics Abavubuka eby’obufuzi temubitwala nga kazannyo – Owek. Mayiga Bulange Kamalabyonna wa Buganda, Charles Peter Mayiga, alabudde abavubuka abaagala okwesimbawo ku bifo ebyenjawulo mu by’obufuzi okwewala ebibatwala ng’akazannyo n’okubaako bye bagezesa. Katikkiro Charles Peter Mayiga. Ekif: File Okulabula kuno akukoze asisinkanye munnamateeka Simon Ssenyonga eyeegwanyiza okukiikirira abavubuka mu Buganda mu Palamenti leero ku Lwokutaano e Bulange Mmengo. “Ebyobufuzi si kazannyo, ebyobufuzi bigendereddwamu okukyusa obulamu bw’abantu. Olina okubeera n’obuvunaanyizibwa n’osobola okulwanirira by’okkiririzaamu,” Mayiga bw’amusibiridde entanda. Ono amusabye okuyamba abavubuka ng’abateesezza ebyo ebisobola okukyusa obulamu bwabwe. Ye Simon Ssenyonga ategeezezza Katikkiro nti abadde mu bukulembeze era ng’asuubira nti asobola okukyusa obulamu bw’abavubuka mu Buganda. Ssenyonga yeeyamye okuyamba abavubuka okuyiga enkozesa ya tekinologiya obulungi, kibayambe okumusikamu ensimbi era basobole okukulaakulana. Ono annyonnyodde Kamalabyonna nti singa aweebwa omukisa waakuyamba okutumbula eby’obulimi kiyambe okutondawo emirimu. Ssenyonga agamba nti n’ebyensoma bya Uganda birina okukyuka kubanga, abayizi basomesebwa kubeera baddu mu kifo ky’okubeera abayiiya abasobola okutondawo emirimu. Asuubizza okukolaganira awamu ne gavumenti yaawakati, gavumenti ya Buganda wamu ne gavumenti ez’ebitundu okusitula embeera z’abavubuka mu ggwanga. https://gambuuze.ug/2020/10/23/abavubuka-ebyobufuzi-temubitwala-nga-kazannyo-owek-mayiga/ +politics Munna NRM Muwonge alangiriddwa ku bwassentebe bw’e Kayunga, Nakweede abigaanye Akaiiko k’ebyokulonda kalangiridde munnakibiina kya NRM, Andrew Muwonge nga ssentebe wa disitulikiti y’e Kayunga omuggya oluvannyuma lw’okuwangula akalulu akabaddemu vvaawompitewo owaamaanyi. Akulira eby’okulonda e Kayunga, Jennifer Kyobutungi alangiridde Muwonge eri eggwanga ku makya ga leero ku Lwokutaanobw’afunye obululu 31,830ate Munnakibiina kya NUP, Harriet Nakweede nafuna 31,380, ng’enjawulo abadde ya bululu 450 bwokka. Akalulu kano kabaddemu abavuganya abawera mukaaga okuli;Majid Nyanzi eyakutte ekyokusatu n’obululu 1297, addiriddwa Musisi Boniface Bandikubi (Independent) n’obululu 470, Jamiru Kamoga, 279 ate Munnakibiina kya Democratic PartyAnthony Wadimba n’afuna obululu 158. “ Ng’akulira okulonda e Kayunga n’oluvannyuma lw’okugatta n’okukakasa obululu obubadde ku mpapula ezironderwako ng’etteeka bwe ligamba. Nangirira Muwonge Andrew afunye obululu obungi ng’omuwanguzi w’akalulu kano.”Kyobutungi bw’agambye. Oluvannyuma lw’okulangirira abamu ku bawagizi be bajaguza era mu kwogerako gyebali Muwonge ategeezezza nti ayagala kulaba ng’obumu budda mu Kayungabasobole okugenda mu maaso. Wabula okulangirira ebimu ku byavudde mu kulonda kwakeereyo nnyo ng’abakakiiko bagamba nti kyavudde ku byuma bikalimagezi bye baakozesezza okukyankalana wabula byamaze ne bitereera. Wadde okugatta obululu kwatandise ku ssaawa 8 ez’okumakya ku Lwokuna, kitutte essaawa 13 nnamba okusobola okulangirira omuwanguzi w’akalulu kano. Akulira eby’okulonda mu ggwanga, Omulamuzi Simon Byabakama yeebazizza abeesimbyewo ne baajenti baabwe olwobugumiikiriza bwe balaze n’abasaba nti Kayunga nkulu nnyo okusinga obuwanguzi bwabwe oba okufiirwa akalulu n’abasaba okwegatta bakolere abantu. Nakweedeabigaanye Bino Nakweede abadde amaze essaawa eziwerera ddala 10ng’agoberera akalulu abigaaniddewo n’ategeeza nti bibadde bikyusiddwa. “Tekisoboka kubeera kituufu. Sisobola kubikkiriza. Okusinziira ku bye tulina waliwo enjawulo ya mutwalo gumu n’ekitundu, wano waliwo ekikyamu. Ebifo bingi gye baggye obululu ate nga businga abalonzi abaliyo.”Nakweede bw’annyonnyodde. Nakweede era yeekokkodde engeri ab’ebyokwerinda gye baagobyemu abantu be okuli John Mary Ssebuwufu we babalira obululu n’ategeeza nti lino lyonna lyabadde kkobaane. https://gambuuze.ug/2021/12/17/munna-nrm-muwonge-alangiriddwa-ku-bwassentebe-bwe-kayunga-nakweede-abigaanye/ +politics Lumumba atabukidde abeesimbyewo ku lwabwe mu NRM Ssaabawandiisi w’ekibiina kya National Resistance Movement (NRM), Kasule Lumumba, atabuse n’alagira abeesimbyewo ku lwabwe, bakomye okwefuula abaagala ekibiina bwe baba tebasobola kulekera baafuna bbendera kuvuganya mu kalulu ka 2021. Ssaabawandiisi Lumumba nga atabukira abeesimbyewo “Kisingako ekibiina okiveemu mu kifo ky’okwefuula nti oyagala NRM ate nga weesimbyewo okuvuganya omuntu alina kkaadi y’ekibiina, temukozesa kibiina ate okukisuula n’okukinafuya nga mwawulamu obululu bwakyo.” Lumumba bwe yagambye Lumumba okutabukira bano, yabadde mu bitundu bya Ankole eggulo ku Lwomukaaga ng’asimbula ebibinja by’abavubuka ebigenda okuwenjeza abeesimbyewo ku kkaadi z’ekibiina obululu wansi mu byalo. Ono yasinzidde wano n’asaba bannayuganda okulonda bakukwate mu ddembe era bawuliziganye wadde basobola okuba nga tebakkaanya mu ndowooza za byabufuzi. Oluvannyuma Lumumba yeeyongeddeyo e Ntungamo mu kutongoza ekibiina kya Ntungamo Action Network abawera 350 nga bano nabo bafunvubidde okunoonyeza abalina bbendera z’ekibiina obululu mu byalo, basobole okudda n’obuwanguzi. Ekibiina kino ng’omuyima waakyo ye mubaka wa Rushenyi, Mwesigwa Rukutana, kyawaddeyo Ppikipiki 2 ezibalirirwamu obukadde 8 n’essente enkalu obukadde 2, ziyambeko mu kaweefube w’okunoonya akalulu wansi mu byalo. Lumumba era yazzeemu n’asaba abantu okumanya we bayimiridde ku nsonga y’ebyokwerinda, ebyobulamu, emirimu n’ebyenjigiriza, olwo basobole okukuuma ebiseera byabwe eby’omu maaso nga balonda NRM kubanga y’ebagaliza ebisinga. https://gambuuze.ug/2020/11/29/lumumba-atabukidde-abeesimbyewo-ku-lwabwe-mu-nrm/ +politics Dr. Besigye  ne Bobi Wine bagobaganye ne Poliisi, Ttiyaggaasi anyoose Dr Kizza Besigye ne Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) bakeeredde mu kugobagana ne poliisi wakati mu kukuba ttiyaggaasi bwebadde egezaako okubagumbulula okuva e Nsambya Sharing Hall mu Kampala gyebabadde bategese okusaba okumalako omwaka. Besigye ne Kyagulanyi babadde bakunze abawagizi babwe okubeegattako mukusaba kuno okwategekeddwa ab’oludda oluvuganya wansi w’omukago gu ‘United Forces of Change.’ Wabula Besigye nga yakulira ekisinde ki ‘People’s Front for Transition (PFT) ne Kyagulanyi nga ye Pulezidenti wa National Unity Platform (NUP), poliisi tebaganyizza kutuuka mu kifo kino okusobola okwetaba mukusaba okubadde kutandika ku ssaawa 3 ez’okumakya. Wadde bagezezaako okwegayirira poliisi ebakkirize beetabe n’abawagizi babwe mukusaba, poliisi ebigaanye era nebalagira okwamuka ekifo kino. Abakulembeze abalala okuli omwogezi wa NUP, Joel Ssenyonyi ne Ssaabawandiisi David Lewis Rubongoya bonna balabiddwako nga basobeddwa ekiddako. Bano oluvannyuma basazeewo okusabira wabweru w’ekifo wakati mukuyimba ennyimba ezisuusuuta abakulembeze baabwe. Kyagulanyi bw’abadde ayogera ku nsonga eno ategeezezza nti kikwasa ensonyi okulaba nga poliisi yeyisa bweti naye nabalabula nti bino byonna byakukoma mu bwangu nga Pulezidenti Yoweri Museveni avudde mu buyinza. “Nga tukolera wamu tujja kusobola okukomya embeera eno. Okwegatta ng’oludda oluvuganya kikulu y’ensonga lwaki tulina essuubi nti embeera eno egenda kukyuuka. Tetugenda kukkiriza mbeera eno, mulabe engeri gyebatuyisizzaamu leero, baleese abasirikale kumpi kubamalayo,” Kyagulanyi bw’annyonnyodde. Wabula omwogezi wa poliisi mu Kampala n’ emirilaano, Patrick Onyango ategeezezza nti okusaba kuno bakugaanye olw’okwekengera olw’ebikolwa by’ ebitujju ebyeyongera buli kadde nga ababi bayinza okukozesa omukisa guno nebakola aba Opozisoni ekibi. Afande Onyango bano abawadde amagezi okukozesa amasinzizo amalala begatta kubaliyo era nalabula abantu ba bulijjo okwewala okusaba okutegekebwa abantu bano. Ye omumyuka wa Loodimmeeya wa Kampala, Doreen Nyanjura ategeezezza nti omwaka 2022 gubadde muzibu gyebali naye asuubira 2023 okusingawo bwatyo nasaba ab’oludda oluvuganya okwongera okwegatta. https://gambuuze.ug/2022/12/30/dr-besigye-ne-bobi-wine-bagobaganye-ttiyaggaasi-anyoose/ +politics Gen Muhoozi asabye kkooti egobe omusango ogwamuwaabirwa ku bubaga bw’amazaalibwa Mutabani wa Pulezidenti Museveni era omuduumizi w’eggye ly’okuttaka erya UPDF, Lt Gen Muhoozi Kainerugaba, asabye kkooti etaputa Ssemateeka egobye omusango ogwamuwaabirwa olw’okweyagaliza obwapulezidenti n’okutegeka obubaga bw’amazaalibwa obw’emyaka 48 nga akyali mu majje mu nteekateeka egambibwa nti ayagala kusikira kitaawe ku bwapulezidenti. Kino kiddiridde munnamateeka Gawaya Tegulle okutwala Muhoozi, Ssaabawolereza wa gavumenti n’Omudduumizi w’eggye ly’eggwanga mu kkooti ku bikolwa bya Muhoozi. Kati Muhoozi wamu ne bano basabye kkooti egobe omusango guno kuba Tegulle yaguwaaba mu kkooti nkyamu nga tegwetaagisa kutaputa Ssemateeka. “ Abawawaabirwa (Muhoozi, AG and CDF), bagamba nti teguliimu nsa era gwawaabwa mu kkooti nkyamu kuba teguliimu nsonga yeetaaga kutaputa Ssemateeka era basaba gugobebwe era omuwaabi abaliyirire ssente zonna zebasaasaanyizza,” Okwewozaako kwa Muhoozi ne banne bwekusomye. Gen Muhoozi annyonnyodde nti ebikujjuko by’ amazaalibwa ge aga 48 tebirina ngeri yonna gyebimenyamu Ssemateeka nga Tegulle bw’agamba. “Omuwawaabirwa asooka (Gen Muhoozi) akakasa nti obubaga bw’amazaalibwa bweyategeka tebulina gwebumenyamu mateeka naddala ennyingo 2, 3, 208, 209, ne 2010 eza Ssemateeka w’eggwanga,” bwatyo bweyataddemu okwewozaako kwe. Mu mpaaba ye gyeyakola mu mwezi gwa May. Tegulle yagamba nti ebikolwa bya Muhoozi byeyategeka ku mutendera gwe ggwanga lyonna awamu n’ebitundu ebimu yali abikozesa okulangirira nga bw’agenda okuvuganya ku bwapulezidenti era bino yabiteeka neku mukutu gwe ku mutimbagano gwa Twitter ekintu ekikontana n’ennyingo 208 (2) eya Ssemateeka egamba nti abajaasi n’eggye lya UPDF teribeere nakyekubira ku nsonga yonna. “Ng’omujaasi akyaweereza mu UPDF, Omuwawaabirwa Asooka (Gen Muhoozi) yeyisa mu ngeri etali ya mpisa era yamenya amateeka alambika n’okufuga abajaasi mujje lya UPDF,” Ebimu ku biri mu mpaaba ya Tegulle. Ye Ssaabawolereza wa gavumenti, ategeezezza nti ku nsonga y’obubaga bwa Muhoozi yali tasobola kumulambika nakuwa ndowooza ye mu by’amateeka kuba buno tebulina webwogerwako mu Ssemateeka. Gen Muhoozi era ategeezezza nti omuwaabi talina bujulizi bwonna bwaleese kulaga nti obubaga bwatemamu eggye ly’e ggwanga oba bwaggyawo obwesige abantu bwebalirinamu. Bweyali awaaba, Munnamateeka Tegulle yategeeza nti Ssaabawolereza wa gavumenti yalemererwa okulambika n’okulaga Gen Muhoozi nti ebikolwa byeyali agenda nabyo mu maaso byali bimenya Ssemateeka w’eggwanga. Tegulle nga ayita mu bannamateeka be aba Thomas & Michael Advocates ne Nalukoola Advocates & Solicitors, yasaba kkooti ekome ku Muhoozi okugenda mu maaso n’ebikolwa bino ebirimu eby’obufuzi ebyawula nga akyali mu ggye lya UPDF kuba kimenya Ssemateeka. https://gambuuze.ug/2022/06/13/gen-muhoozi-asabye-kkooti-egobe-omusango-ogwamuwaabirwa-ku-bubaga-bwamazaalibwa/ +politics Palamenti ekkirizza omuwendo gwa baminisita okutuuka ku 80 Palamenti y’e 11 eyisizza ekiteeso ekisemba okwongeza omuwendo gwa baminisita okutuuka ku bantu 80, kisobozese okutuusa empeereza ku bannayuganda. Pulezidenti Museveni emabegako yasabye Palamenti emukkirize ayongere ku muwendo gwa baminisita agatteko omu anaakola ku nsonga z’abakadde. Ku Lwokuna, omubaka wa West Budama North, Fox Odoi yaleese ekiteeso okulinnyisa ku muwendo gwa baminisita ng’asinziira ku nnyingo 113 ne 114 ekya Ssemateeka wa Uganda era kino kyasembeddwa omubaka omukyala owa Dokolo Cecilia Ogwal. “Nsaba mukkirize muwagire ekiteeso kino n’abakadde basobole okufuna alondoola ensonga zaabwe.” Ogwal bwe yasabye. Palamenti ebadde ya bbugumu ng’ababaka bakubaganya ebirowoozo ku nsonga eno. Bw’abadde awagira ekiteeso kino, Minisita Chris Baryomunsi agambye nti waliwo obujulizi obweraga nti buli omuwendo gw’abakulembeze bwe gulinnye n’empeereza eri abantu yeeyongeddeko. “Waliwo obujulizi obwoleka nti omuwendo gwa baminisita n’abalondoola bannabyabufuzi, kitumbudde enkulaakulana era n’obuwangaazi bw’abantu ng’omuwendo gw’abaana abafa nga baakazaalibwa gukendedde ate nga ne bannansi beeyongedde okuwangaala.” Baryomunsi bw’annyonnyodde. Aba Opozisoni bakiwakanyizza Ababaka ku ludda oluvuga basoose kuwakanya kiteeso kino nga bagamba nti tebalaba mugaso gwabwe ate nga basaasaanyizibwako ssente mpitirivu. “ Si ffe tusalawo omuwendo gwa baminisita naye tetwetaaga muwendo gwa baminisita munene. Kenya erina obukadde bw’abantu 70 naye erina baminisita 23. Tanzania nnene ku ffe naye erina baminisita batono nnyo, bano tetulina nsonga ebongerako kuba tebabeera mu Palamenti.” Omubaka Joseph Ssewungu bw’awakanyizza. Ye omubaka wa Makindye West, Allan Ssewanyana ategeezezza nti mu butuufu omuwendo gwa baminisita gulina kukendeezebwako kuba basaasaanyizibwa ssente nnyingi. Ono agamba nti singa Palamenti ekkiriza okwongeza omuwendo gwa baminisita eba ng’etalina mugaso kubanga Pulezidenti yasoose ku mulonda nga tebannamuyisa. Ate ye Nnampala w’oludda oluvuganya omuggya, John Nambeshe, ategeezezza nti ekiteeso kino ekyongeza omuwendo gwa baminisita tekirina kye kigenda kukola ku kutumbula mpeereza okuggyako okuyamba Pulezidenti Museveni. Ono agamba nti kino Pulezidenti Museveni akikozesa okwongera okwenywereza mu buyinza so si kutuusa buweereza ku bannansi n’aba NRM bwe ba gamba. Oluvannyuma lw’okukubaganya ebirowoozo, ekiteeso kino kiyise era palamenti ne yeeyongerayo okuteesa ku nsonga endala. https://gambuuze.ug/2021/06/10/palamenti-ekkirizza-omuwendo-gwa-baminisita-okutuuka-ku-80/ +politics FDC eyagala walondebwewo Minisita w’ebyenjigiriza omulala, egamba Janet Museveni eby’okukola alina bingi Omwogezi w’ekibiina kya Forum for Democratic Change (FDC), Ibrahim Ssemujju Nganda ategeezezza nti eggwanga lyetaaga Minisita w’ebyenjigiriza omuggya kuba Janet Museveni aliko kati alabika akwasaganyizza ebintu bingi. Ssemujju, nga ye mubaka wa munisipaali y’e Kira agamba nti Minisita Janet Museveni tatuukikako kyokka mu kiseera kino ebyenjigiriza biri mu katyabaga. Omubaka Ssemujju bino abyogeredde mu lukung’aana lwa bannamawulire ku Mmande ku kitebe ky ‘ekibiina e Najjanankumbi mu Kampala. “Okusobola okuvvuunuka okusoomoozebwa okuliwo mu byenjigiriza, eggwanga lyetaaga Minisita w’ebyenjigiriza asobola okutuukikako akadde wonna okusobola okusalira ebizibu ebiriwo amagezi.” Ssemujju bw’agambye. Okusinziira ku Ssemujju, okulondebwa kwa Kataaha Museveni ku kifo kya Minisita w’ebyenjigiriza kyajja nga kasiimo okuva ewa Pulezidenti Museveni ng’akawa mukyala we bw’atyo n’asaba ono atwalibwe mu Minisitule endalaetalina mirimu mingi. “Alina ebyokukola bingi ate si kyangu kumutuukako mu katyabaga kano mwetuli. Museveniosobola okuwa mukyala wo, Minisitule etalina mirimu mingi ng’eno etalina mulimu gwa nkalakkalira.” Ssemujju bw’annyonnyodde. Pulezidenti Museveni bwe yabadde ayogerako eri eggwanga ku Lwokusatu lwa wiiki ewedde yagambye ntiamatendekero aga waggulu okuli Yunivaasite n’amatendekero amalala balina okutandika ku ntandikwa y’omwezi gwa Novemba. Wabula Pulezidenti Museveniyategeezezza nti okuggulawo amasomero ga ssekendule ne Pulayimale, abasomesa n’abawagizi abawera obukadde 4.8 nga bamaze okugemebwa. Okusinziira ku Ssemujju, FDC kino tekikkiririza mu nnaku za mwezi ezaateereddwawo kuba ebyenjigiriza bikoseddwa nnyo era amasomero geetaaga okuggulwa mu bwangu nga bwekisoboka. FDC eyagala Pulezidenti amasomero agaggule gonna omwaka guno, kiyambe abayizi okukozesa akadde kano. https://gambuuze.ug/2021/09/27/fdc-eyagala-walondebwewo-minisita-webyenjigiriza-omulala-egamba-janet-museveni-ebyokukola-alina-bingi/ +politics Kyagulanyi asabye aba NUP obutasojja ba NRM abawanguddwa Lwengo -Buddu Pulezidenti wa National Unity Platform (NUP), Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine asabye bannayuganda okukomya okusojja banna NRM abaawangulwa mu kalulu wabula babagumye kuba tebagenda kuddamu kuwangula bukulembeze ku mutendera gwonna. Omubaka Mpuuga nga ayogerako eri abakungubazi Kyagulanyi bino abitadde mu bubaka bw’atisse omumyuka w’ekibiina mu Buganda, Mathias Mpuuga Nsamba ku mukolo gw’okuziika Ssenga we, Nalubega Leonia ku kyalo Nakawanga mu ggombolola ya Kisekka mu disitulikiti y’e Lwengo. Mu bubaka bwe Kyagulanyi akuutidde bannakibiina obutawalana banna NRM naye banywerere ku nsonga era tebeetaaga kwekubagiza ku ngeri gye baalondamu. Ono era alabudde abantu abatandise okutiisatiisa banna Lwengo olw’okulonda ekibiina kya NUP n’abasaba okukikomya kuba tebajja kumalako nakyo. Mu kwogera kwe, Omubaka Mpuuga yeebazizza Ssenga we Nalubega kati omugenzi olw’omukwano gw’abadde nagwo eri abantu era abadde alafuubana okulaba nti obugunjufu buteekebwawo essira.Ye Omwami wa Kabaka atwala e Ssaza Buddu, Ppookino Jude Muleke mu bubaka bwe bw’atisse omumyuka we owookusatu, Muwalimu Kato Abdallah, asabye abavubuka bonna okukomya okulowooza nti bato kyokka bekkiririzeemu nga b’oleese obwongo bwabwe mu bintu ebyenjawulo. Ono era yennyamidde olw’abaana b’eggwanga abakwatibwa kyokka bazadde baabwe ne basigala mu maziga nga tebamanyi mayitire g’abantu baabwe. Ate ye Mmeeya wa Masaka omulonde, Florence Namayanja, asinzidde wano n’awagira ekikolwa ekyakoleddwa omukulembeze wa NUP, Robert Kyagulanyi Ssentamu, okuggyayo omusango mu kkooti kubanga kuba yali eraze kyekubiira . Omukadde Nalubega Leonia yafiiridde ku myaka 82 egy’obukulu ng’agalamiziddwa ku kyalo Nakawanga mu ggombolola y’e Kisekka mu Lwengo era ng’omukolo guno gwetabiddwako abakungu okuva mu gavumenti eyaawakati ne y’e Mmengo. https://gambuuze.ug/2021/03/01/kyagulanyi-asabye-aba-nup-obutasojja-ba-nrm-abawanguddwa/ +politics Boogeredde gav’t ebisongovu mu kuziika Owek. Sserubogo Abakungubazi ab’enjawulo boogeredde gavumenti ebikikinike mu kuziika abadde ssentebe wa disitulikiti y’e Kayunga, Owek. Muhammad Ffeffekka Sserubogo e Kayunga ku Lwokuna ne bawakanya ebyavudde mu alipoota y’abasawo ebyalaze nti Sserubogo yeetuze. Omu ku bakungubazi era akulira oludda oluvuganya mu Palamenti, Owek. Mathias Mpuuga Nsamba nga y��atuusizza obubaka bwa Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity Platform (NUP), Robert Kyagulanyi Ssentamu, ategeezezza nti Sserubogo abadde muntu wa nsonga ate omwetowaze. “Mwebale kulonda Sserubogo n’obumalirivu nga temutidde, mmwe abasigadde temuva wano kusiita bigere kuba omulabe akyaliwo yeeswanta naye mutuwe Sserubogo omulala.” Owek. Mpuuga bw’agambye. Owek. Mpuuga asabye ab’e Kayunga bamalirire basobole okuggusa ensonga Sserubogo z’abadde ayimirirako era n’abasaba okulema okutya ababatiisatiisa naye beegatte wamu bayambe ekitundu kino. “Sserubogo tafudde bufi nti kiyenje kyakooye ne kifa naye afiiridde wakati mu lutabaalo. Naye nnina amaanyi nti eggwanga lino lijja kudda mu mikono gya bannyini lyo baliwe obwekanya n’abadde omulabe aganyulwemu.” Owek. Mpuuga bw’ategeezezza. Omubaka Sseggona asabye abantu abagula ettaka mu kitundu ky’e Kayunga ne Bugerere okwegendereza ku ani gwe bagulako era bagula batya kuba abaana ba Buganda bajja ku bibabuuza akadde konna. Ono awakanyizza alipoota y’abasawo n’ategeeza nti ebibuuzo ku nfa ya Sserubogo bikyali bingi. Abaganda tebaziika muntu yeetuze, sandivudde Busiro kujja wano kuziika muntu yeetuze naye tuli wano okuziika mulwanyi munnaffe. Ate ye omubaka omukyala owa disitulikiti y’e Kayunga, Aidah Nantaba, annyonnyodde nti Kayunga efuuse ekirala naye waliwo ebibuuzo ku nfa ya Sserubogo. “Tuyinza kuba tulinda alipoota y’abakugu ku nfa ya Sserubogo naye ffe eyaffe tugirina. Tetwalabye baleeta mbwa kuwunyiriza naye tulabye kimu miggo gikuba bazze kuziika. Okukulembera Bugerere kati kufuuse buzibu, bw’okwata ku nsonga y’ettaka entaana oba ogisimye.” Omubaka Nantaba bw’annyonnyodde. Ate akulira ekibiina kya NUP mu Mukono, Betty Nambooze Bakireke, agambye nti abadde amanyiganye ne Ffeffekka Sserubogo era abadde musajja wa Kabaka ateerya ntama. “Tuli wano naye ne Katonda amanyi ekyabaddewo, wabaddewo ang’amba nti Ffeffekka atambuza omuggo yawalampye atya omuti mu kkanzu, waliwo ebintu ebikolwa ne Shaitwani naye bye yeewakana nti nange eyo sabaddeyo.” Omubaka Nambooze bw’annyonnyodde. Oluvannyuma omugenzi aziikiddwa ku biggya e Kayunga mu ssaza lya Beene ery’e Bugerere era nga Mugerere yatuusizza obubaka bwa Ssaabasajja Kabaka obukungubagira musajja we. https://gambuuze.ug/2021/06/17/boogeredde-gavt-ebisongovu-mu-kuziika-owek-sserubogo/ +politics Abawagizi ba Bobi Wine beekalakaasizza nga bawakanya omukwata Kampala Abawagizi beeyesimbyewo ku bwapulezidenti ku kkaadi y’ekibiina kya National Unity Platform (NUP), Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) , beekalakaasizza mu bitundu bya Kampala ne Masaka nga bawakanya eky’okumukwata bw’abadde anoonya akalulu e Luuka mu bitundu by’e Busoga. Amawulire g’okukwatibwa kwa Kyagulanyi olwategerekese, abantu ab’enjawulo okuli; ewa Kisekka, Kibuye, Nasser Road, Masanafu, Kireka, Bweyogerere n’awalala ne batandika okwekalakaasa. Bano bazibye amakubo wamu n’okukuma omuliro mu nguudo ez’enjawulo era gye biggweeredde ng’abakulira eby’okwerinda bayimbudde abamagye ne poliisi okuggya batereeze embeera. Okusinziira ku Poliisi Kyagulanyi akwatiddwa olw’okujeemera ebiragiro ebitangira Ssennyiga Corona kuba abadde akung’aanyizza abantu abasoba mu 200 abakkiribwa mu mateeka. Kyagulanyi atwaliddwa e Nalufenya mu Jinja gy’ali mu kukuumirwa wabula nga poliisi ekyagenda mu maaso okukozesa ttiyaggaasi n’amasasi okugumbulula abawagizi be mu bibuga ebyenjawulo. https://gambuuze.ug/2020/11/18/abawagizi-ba-bobi-wine-beekalakaasizza-nga-bawakanya-omukwata/ +politics Kkooti egobye Joyce Bagala mu Palamenti, Akalulu kaakuddibwamu Kkooti enkulu e Mubende esazizzaamu okulondebwa kwa munnakibiina kya National Unity Platform (NUP), Joyce Bagala Ntwatwa ng’omubaka omukyala owa disitulikiti ye Mityana nga egamba nti akalulu kano kaalimu ebirumira. Mu kalulu ka bonna akaakubwa nga January 14 2021, Bagala yafuna obululu 64633 nawangula Minisita w’ebyettaka Judith Nabakooba eyafuna obululu 48322 era nga yeyali mu kifo kino. Wabula Nabakooba yaddukira mu kkooti nga alumirizza Bagala okwekobaana n’akakiiko k’ebyokulonda nebabba obululu nga balondesa abantu abakyamu, okulondera mu mannya g’abalala awamu n’okulonda emirundi egisukka mu gumu. Okusinziira ku Nabakooba aba Bagala batiisatiisa ba Agenti be nebalemesa abalonzi be okumuwa akalulu. Enkya ya leero, Omulamuzi Emmanuel Baguma ategeezezza nti waliwo obujulizi obumala okukakasa nti Bagala nga ayita mu ba Agenti be era nga akimanyiko bamenya amateeka g’ebyokulonda n’okugulirira abalonzi. “ Kkooti esazeewo nti omuwawabirwa ow’okubiri era omubaka omukyala owa Mityana, Joyce Bagala addeko ebbali,” Omulamuzi bw’ategeezezza. Omulamuzi alagidde akakiiko k’ebyokulonda okuddamu okutegeka akalulu okujjuza ekifo kino era nalagira Bagala okuliyirira Nabakooba ssente zasasaanyizza mu musango guno. Ye Joyce Bagala ategeezezza nti agenda kujjulira kuba omulamuzi alemeddwa okuwa ensonga ez’essimba zasinziddeko okusazaamu okulondebwa kwe. Ate ye Nabakooba asanyukidde ensala eno nagamba nti kyaddaaki eddoboozi lya bannamityana liwuliddwa kuba obuwanguzi bwe bwali bumutwaliddwako. https://gambuuze.ug/2021/10/22/kkooti-egobye-joyce-bagala-mu-palamenti-akalulu-kaakuddibwamu/ +politics Bobi Wine waakutumbula eby’obujjanjabi e Namisindwa. Robert Kyagulanyi Ssetamu amanyiddwa nga Bobi Wine era nga ono y’akwatidde ekibiina kya NUP bbendera ku kifo ky’obwapulezidenti, asuubizza okutumbula eby’obujjanjabi mu disitulikiti y’e Namisindwa. Okwogera bino yasinzidde ku kisaawe e Magale bwe yabadde anoonya akalulu n’agamba mbu amalwaliro mu disitulikiti eno gali mu mbeera eyeeraliikiriza mbu olw’okuba agamu tegaliimu ddagala ekireetera abatuuze obutafuna bujjanjabi bumatiza. Kyagulanyi yasuubizza okukakasa nti amalwaliro gonna galimu ebyeyagisa awamu n’eddagala singa akwata obuyinza. Yasabye abantu okuvaayo balonde mu bungi ng’ennaku z’omwezi 14 omwezi guno ate balonde ku lw’enkyukakyuka. Kyagulanyi yamazeewo okutya kw’abalonzi abasuubira nti akalulu kagenda kubbibwa okwetooloola eggwanga bw’abagambye nti alina bannamikago mu America n’ensi endala abatunuulidde akalulu kano n’eriiso ejjogi. Ku Lwokuna akalulu agenda kukanoonyeza Namayigo ate ku Lwokutaano addeyo ku bizinga by’e Kalangala. https://gambuuze.ug/2021/01/07/bobi-wine-waakutumbula-ebyobujjanjabi-e-namisindwa/ +politics Ogwa Bobi Wine ne Kibalama gwongezeddwayo Kampala Kkooti enkulu mu Kampala eyongezzaayo okuwa ensala yaayo ku musango oguvunaanibwa omubaka Robert Kyagulanyi Ssentamu (Robert) ne banne okweddiza obuyinza bw’ekibiina kya National Unity Reconciliation and Development Party (NURP) nebakikyusa n’erinnya okukifuula, abamu ku bammemba kye bagamba nti kyakolebwa mu bukyamu. Kibalama lweyawa Bobi Wine ekibiina Omulamuzi wa kkooti eno, Musa Ssekaana yali yateekawo olwaleero ku Lwokutaano okuweerako ensala ye naye omwogezi w’ekitongole ekiramuzi Jameson Karemani, ategeezezza nti okuwa ensala mu musango guno kwongezeddwayo okutuuka wiiki ejja. “Mutegeezebwa nti ensala y’omusango gwa NUP tegenda kubaayo leero naye ejja kuweebwa wiiki ejja ku lunaku olunaabategeezebwa,” Karemani bw’ategeezeza mu bubaka bw’asindise ku makya ga leero. Kinajjukirwa nti, mu mwezi gwa August abaali bannakibiina ki NURP, Basile Difas ne Hassan Twaha baatwala mu kkooti abantu 11 nga bawakanya eky’okukyuusa erinnya ly’ekibiina n’okukwasa obukulembeze bwakyo eri Bobi Wine ky’abagamba nti kyali kimenya mateeka. Bobi Wine avunaanwa n’abalala okuli ; akakiiko k’ebyokulonda, Ssaabawolereza wa gavumenti, eyali Pulezidnti waakyo Moses Kibalama, Paul Ssimbwa Kagombe n’abakulembe ba NUP okuli; David Lewis Rubongoya, Aisha Kabanda, Joel Ssenyonyi, Flavia Kalule Nabagabe, ne Fred Nyanzi Ssentamu. Basile ne munne, bagamba nti Ttabamiruka eyatuula mu kiseera ng’eggwanga liri ku muggalo gwa Ssennyiga Corona okuwa Kyagulanyi ekibiina yatuula mu bukyamu nga yalimu bammemba b’ekibiina 51 bokka nga abalala balekebwa ebbali. Bano basaba kkooti erangirire nti kyali kikyamu Kibalama okukwasa obukulembeze bw’ekibiina eri Kyagulanyi, era basaba kkooti ekiyise ekiragiro ekisazaamu byonna ebyakolebwa era ekibiina kiddizibwe bannyini kyo abatuufu. Kibalama okusooka yakuba ekirayiro nga kiraga nti buli ekyakolebwa kyali mu mateeka kyokka ate oluvannyuma nakuba ekirala nga agamba nti yawubisibwa era byonna ebyakolebwa byali bikyamu era nga yali tabisomyemu. https://gambuuze.ug/2020/10/16/ogwa-bobi-wine-ne-kibalama-gwongezeddwayo/ +politics Bobi Wine ekibiina ki NUP akirina mu mateeka- Nkonge Kibalama Bya Nyanzi Timothy Kamwokya Omubaka Kyagulanyi ne Nkonge Kibalama nga batongozza ekibiina Eyali ssentebe w’ekibiina ki ‘National Unity Reconciliation and Development party (NURP) ekyafuuka National Unity Party (NUP)Moses Nkonge Kibalama, yawakkanyiza abeeyita abakulembeze baakyo nebawakkanya okukikyuusa erinnya, n’okukiwa omubaka Robert Kyagulanyi (Bobi Wine). Mu lukungaana lwa bannamawulire olutudde e Kamwokya, Kibalama yategeezezza nga bano okuli Lilian Odinga ne Edward Sseremba bwatabamanyi nga abakulembeze baakyo. Yagasseeko nti balina olukalala lw’abantu abawera emitwala etaano nga bamemba naye amannya gabo waggulu tegalimu era abuusabuusa okuba nga balina kaadi y’ekibiina kino. Kibalama yagambye nti obwa memba bwa Kyagulanyi mu kibiina kyeyali akulembera buli mu makubo matuufu kubanga yayingira mu 2019 era nga tewali tteeka lyamenyebwa nga bamukwasa obukulembeze bwakyo. Ye omwogezi w’ekibiina ki NUP Joel Senyonyi akukkulumidde poliisi olw’okubasosola n’okulemesanga Omubaka Kyagulanyi okwogerera ku mikutu gya leediyo gyaba ayitiddwa okukubaganya ebirowoozo. Kinajjukirwa nti, Odinga ne Sseremba bawandikira akakiiko k’ebyokulonda nga bayita mu munnamateeka James Byamukama nga bawakkanya engeri Omubaka Kyagulanyi gyeyafunamu ekibiina kino, gyebagamba nti yalimu ebirumira. https://gambuuze.ug/2020/08/08/bobi-wine-ekibiina-ki-nup-akirina-mu-mateeka-nkonge-kibalama/ +politics Aba NRM abaagwa mu kalulu basabye Museveni abayambe ku mabanja Bannakibiina kya NRM abaalemwa okuyitamu mu kalulu ka 2011 basabye Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni n’ekibiina kyabwe okubayamba ku mabanja ge batubiddemu oluvannyuma lw’okulemererwa okuyitamu mu kalulu. Bano abawerera ddala203 okwetooloola eggwanga abeegattira mu kibiina kyabwe ekya ‘NRM Parliamentary Flag bearers Outside Parliament (NPAFOP),’bino babitegeezezza bannamawulire ku Lwokutaano e Kyaddondo mu Kampala. “Tulinawo ekizibu ky’ebbula ly’emirimu mu bannaffe.Bannaffe abaalina bbizineesi zaagwa olw’ensonga nti baafiirwa ssente nnyingi mu kalulu. Ekizibu kino kinene kuba bangi baalekulira emirimu gyabwe ne beesimbawo ku bubaka bwa Palamenti.” Julisu Bigirwa Junjura, eyali yeesimbyewo e Buhaguzi mu Kikube bw’ategeezezza. Okusinziira ku Junjura, tebali mu kusabiriza wabula baagala kuyambibwako basobole okugenda mu maaso n’obulamu bwabwe. “Oluvannyuma lw’okufiirwa akalulu, baatusuulawo era abantu baffe abamu tebalina mirimu. Si ffenna nti twagala mirimu naye olw’ensonga nti twali tetwetegese kye twetaaga bwe buyambi. Tetwagala muntu yenna yali yeesimbyewo kufuuka asabiriza. Kye twetaaga kwe kwekuyambibwako mu byenfuna,” Julisu Bigirwa Junjura bw’agasseeko. Bannakibiina kino era baagala ekibiina kiyambe ku bantu baabwe abaawaaba emisango mu kkooti nga baagala okununula obuwanguzi bwabwe nga babasasulira ensimbi za bannamateeka. Bano era basuubizza okwetuma obuvunaanyizibwa okulondoola enteekateeka za gavumenti ezitali zimu mu bitundu byabwe. “Twagala okunoonyeza ekibiina obuwagizi. tukkiriza nti ebitundu 58% bye twafuna mu kalulu akawedde ntono nnyo era twagala okufuna ebitundu 75% mu kulonda kwa 2026.” Junjura bw’agambye. Ssaabawandiisi w’ekibiina, Richard Todwong, abeebazizza olw’okwetegeka obulungi era n’abasuubiza nti ekibiina kigenda kutunula mu nsonga zaabwe kirabe bwekisobola okubayambako. https://gambuuze.ug/2021/08/12/aba-nrm-abaagwa-mu-kalulu-basabye-museveni-abayambe-ku-mabanja/ +politics Bobi Wine atiisatiisizza okubaako kyekolawo singa poliisi eddamu okusattulula enkiikoze Abamu ku bawagizi ba Bobi Wine nga badduka poliisi Bannakisinde ky’ebyobufuzi ekya People Power, bagambye bandiwalirizibwa okubaako kyebakolawo singa poliisi terekeraawo kulinyirira ddembe lyabwe ng’ebalemesa okukuba enkungaana z’okwebuuza ku bantu. Bano abakulemberwa Robert Kyagulanyi amanyiddwa ennyo nga Bobi Wine, baagala kutalaaga ggwanga nga beebuuza ku bantu oba omuntu waabwe yeesimbawo ku bwa pulezidneti oba nedda. Omwogezi wabano, Joel Ssenyonyi, yagambye nti newankubadde ng’akakiiko akakola ku by’okulonda kaabakkiriza okwebuuza ku bantu, poliisi kino ekyakiremesezza nga n’ogusembyeyo yabadde ggulo bwebaalemeseddwa okukuba olukungaana ku wooteeri ya Pope Paul mu Ndeeba. Bano poliisi yabagambye nti baabadde balemereddwa okutuukiriza obukwakkulizo bonna nga webulambikiddwa mu tteeka erifuuga enkungaana. Ssenyonyi agamba okusinziira ku kyebaalabye mu Ndeeba, eno eyinza okuba nga yeegenda okuba enkola ya poliisi. Yagambye nti kino kigenda kubawaliriza okusala amagezi amalala agali mateeka okulaba nga bagenda mu maaso n’enkugaana zaabwe. Omwaka oguwedde Bobi yalangirira nti yali waakwesimbawo okuvuganya ku ntebe y’omukulembeze w’eggwanga, n’gamba nti wakutambula eggwanga lyonna ng’asisinkana abantu. Yawandiikira akakiiko k’ebyokulonda nako akamukkiriza okugenda mu maaso yeebuuze nga bwekirambikiddwa mu tteeka erifuga okulonda kwa pulezidenti. Amyuka omwogezi wa poliisi Polly Namaye yagambye baasabye Bobi olukangaga lw’ebintu kkumi byalina okusooka okutuukiriza nga poliisi tennamukkiriza kukuba enkiiko wabula nga kino kyamulemye okukola. https://gambuuze.ug/2020/02/25/bobi-wine-atiisatiisizza-okubaako-kyekolawo-singa-poliisi-eddamu-okusattulula-enkiikoze/ +politics Tumukunde asiindikiddwa e Luzira lwakulya mu ggwanga lukwe Tumukunde asooka ku ddyo Munnamajje Lt. Gen. Henry Tumukunde olwaleero ekisula waakukikwatira mu kawome e Luzira gyasindikiddwa kkooti ento etuula ku KCCA. Ono yakwatibwa wiiki ewedde ku misango gy’okulya munsi olukwe. Wiiki nga ssatu eziyise, Tumukunde yalangirira nti yali agenda kuvuganya ku ntebe y’omukulembeze w’eggwanga omwaka ogujja. Kigambibwa mbu nga ali ku leediyo ne TV ez’enjawulo, Tumukunde yasaba eggwanga ly’e Rwanda okuyambako Uganda okujjako Pulezidenti Museveni eyakafugira eggwanga emyka 34. Ono era avunaaniddwa omusango omulala ogw’okusangibwa n’emmundu mu ngeri emenya amateeka. Waakudda nga March 30 okusomerwa emisango gye. https://gambuuze.ug/2020/03/18/tumukunde-asiindikiddwa-e-luzira-lwakulya-mu-ggwanga-lukwe/ +politics Abawagizi ba Kyagulanyi 6 bagudde ku kabenje e Mukono Kyaggwe Enkambi ya NUP eyakedde mu ssaza Kyaggwe okunoonyeza abakwatidde bbendera ku bwapulezidenti Robert Kyagulanyi Ssentamu, eguddemu ekyekango oluvannyuma lw’abawagizi baabwe mukaaga okufuna akabenje ne baddusibwa mu ddwaliro nga bazirise. Abamu ku bantu abafunye ebisago nga bayambibwa Bano 6 ababadde batambulira mu mmotoka kika kya Super Custom, baddusiddwa mu ddwaliro e Kawolo nga bali mu mbeera mbi. Okusinziira ku beerabiddeko , emmotoka eno egudde mu bikajjo by’e Nagojje, poliisi ng’egezaako okulemesa Kyagulanyi okuyingira ttawuni y’e Mayangayanga, Nantaba ne Kayanja. Omu ku bafunye ebisago, Bernard Ssempaka, ategeezezza nti bana ku bannaabwe bali mu mbeera mbi era nga bazirise. Ate omu ku basimattuse akabenje kano, era mukyala w’akutte bbendera ya NUP ku bubaka bwa Nakifuma mu palamenti, Margret Ssimbwa, ategeezezza nti omugoba emmotoka emulemeredde oluvannyuma lwa poliisi okubakubamu ttiyaggaasi nga babalemesa okugoberera Kyagulanyi. Mu kaseera kano ebyentambula bisannyaladde ku luguudo lwa Kampala- Jinja oluvannyuma lwa poliisi okusuula emisanvu mu bibuga ebyenjawulo ng’etangira abawagizi ba Kyagulanyi okumwegattako mu bitundu by’e Mukono. https://gambuuze.ug/2020/11/30/abawagizi-ba-kyagulanyi-6-bagudde-ku-kabenje-e-mukono/ +politics Mwenyigire mu bukulembeze bw’eggwanga – Omulangira Nakibinge Omulangira Kassim Nakibinge asabye bannayuganda okwenyigira mu by’obufuzi by’eggwanga era basalewo bulungi nga okulonda kutuuse. “Mwenyigire mu nsonga z’obukulembeze bw’ eggwanga era muwe abeesimbyewo bonna omukisa okubawuliriza n’oluvanyuma mukole okusalawo okutuufu,” Nakibinge bweyategeezezza. Bino yabyogeredde Kibuli bwabadde asisinkanye Omubaka Robert Kyagulanyi ne ttiimu ye ku Lwokuna. Ono yasiimye Kyagulanyi ne banna NUP okukunga abavubuka beenyigire mu by’obukulembeze bw’eggwanga. Nakibinge yabasabye okugenda mu maaso n’enjiri eno kasita ebeera nga ya mirembe nga tebamenya mateeka wadde okukola efujjo. Omulangira yalabudde poliisi okukomya ebikolwa eby’efujjo nga egaana abakulembeze okwogerera ku leediyo ezimu ekintu ekitali kituufu. Ku kirwadde ki COVID19, Omulangira yasabye abantu okwekuuma ekirwadde kino kubanga gyekiri. Yabasabye okwewala okuwuudisibwa bannabyabufuzi abamu abatagoberera mateeka gateekebwawo okulaba nga kitangira. Ttiimu Kyagulanyi gyeyagenze nayo okusisinkana Omulangira Omubaka Robert Kyagulanyi, yasiimye omulangira Nakibinge olw’okubazzaamu amaanyi era nategeeza nti bagenze kweyanjula nga NUP era bamulage ebigendererwa byabwe nga ekibiina. E Kibuli Kyagulanyi yawerekeddwako bannakibiina ki NUP okwabadde, Omumyuka wa pulezidenti w’ekibiina mu Buganda Mathias Mpuuga, Latif Ssebagala, Omwogezi w’ekibiina Joel Ssenyonyi ne Ssaabawandiisi wa NUP David Lewis Rubangoya. https://gambuuze.ug/2020/08/20/mwenyigire-mu-bukulembeze-bweggwanga-omulangira-nakibinge/ +politics Okusibira Kyagulanyi ewaka kyamulemesa okukung’aanya obujulizi – Bannamateeka ba NUP Kampala Bannamateeka abawolereza munnakibiina kya National Unity Platform, Robert kyagulanyi Ssentamu, basabye kkooti ensukkulumu ebakkirize babeeko obujulizi obupya bwe bawaayo wakati mu kuwakanya obuwanguzi bwa Yoweri Kaguta Museveni mu kalulu ka 2021. Bannamateeka ba Kyagulanyi nga beegeyaamu Bano abakulembeddwamu Medard Lubega Sseggona, bategeezezza abalamuzi ba kkooti eno abawera 9 nti oluvannyuma lw’okulonda Kyagulanyi yasibirwa mu maka ge ekintu ekyamulemesa okukung’aanya obujulizi okuwanirira omusango gwe. “ Oluvannyuma lw’okulonda, omuwaabi yaggalirwa ewaka era okusobola okuvaayo yalina kufuna kiragiro kya kkooti enkulu. Ono we yayimbulirwa obudde bwali butambudde ng’asigazza ennaku ttaano zokka mwe yalina okukung’aanyiza obujulizi era kino kyamutaataganya.” Omubaka Sseggona bw’ategeezezza kkooti. Ono asinzidde wano n’asaba kkooti eno ekkirize okusaba kwabwe batereeze mu mpaaba gye bassaayo, kisobozese kkooti okutunula obulungi mu nsonga zino era n’okuteekawo obwenkanya mu kalulu k’obwapulezidenti aka 2021. “Osobola otya okwekenneenya ebyali mu kalulu ng’obujulizi obumu obuleseeyo nga nabwo kkooti yandisobodde okubutunulamu? Engeri yokka gye tusobola okuzuula amazima ku kalulu k’obwapulezidenti kwe kukkiriza okusaba kwaffe.” Sseggona bw’agasseeko. Aba NUP bagamba nti kkooti bw’ebakkiriza ne baleeta obujulizi obupya, tekiganyula bo bokka naye ne ggwanga lyonna kuba ensonga eno ekwata ku bukulembeze bwa ggwanga. Abalamuzi ba kkooti eno nga bakulembeddwa Ssaabalamuzi Alphonse Owiny Dollo baakudda ku ssaawa 10 okuwa ensala yaabwe ku musango guno. https://gambuuze.ug/2021/02/09/okusibira-kyagulanyi-ewaka-kyamulemesa-okukungaanya-obujulizi-obuluma-museveni-bannamateeka-ba-nup/ +politics Ttiyaggasi anyoose ku kitebe kya FDC Poliisi ng’efuuyira Dr Besigye amazzi ku Mmande Omukka ogubalagala gunyoose ku kitebe ky’ekibiina ky’ebyobufuzi ekya Forum for Democratic Change [FDC] nga poliisi yeezooba n’abakazi ababadde bagala okutambula okwolerekera ekitebe kya poliisi ekikulu mu Kampala. Abakazi ba FDC ababadde nga 30 babadde bakutte ebipande nga biraga okwemulugunya kwabwe eri poliisi olw’okukozesa obukambwe obusukiridde ku Bbalaza ya wiiki eno nga bakwata eyali Ssenkaggale w’ekibiina kino Dr Kizza Besigye. Poliisi yafuuyira Besigye amazzi okuva mu kimotokota kyayo agaali gamuwanudde ku mmotokaye waggulu gyeyali ng’awuubira kubantu. Era poliisi yakuba amukka ogubalagala mu bantu babulijjo ekyaleetawo akajagalalo mukabuga ke Kireka ne Banda. Abakazi bano babadde batwala kiwandiiko kyabwe eri poliisi wamu ne palamenti. Mukavuvungano kano abakazi abawerako bakwatiddwa nebatwalibwa ku poliisi ez’enjawulo. https://gambuuze.ug/2019/11/06/ttiyaggasi-anyoose-ku-kitebe-kya-fdc/ +politics 2 bafiiridde mu kabenje, Amuriat ayimirizza kampeyini ze Nebbi Eyeesimbyewo ku bwapulezidenti ku kkaadi ya FDC, Patrick Amuriat, ayimirizza z’okunoonya akalulu oluvannyuma lw’emmotoka ye ebaddeko ebidongo, okugwa ku kabenje n’etta abantu babiri ate abalala ne bagendera ku bisago mu bitundu by’e Pakwach. Emmotoka eyatuze bannakibiina kya FDC “Kano akaseera kazibu gye tuli era olw’ensonga eyo tusazeewo okuyimiriza mu kunoonya akalulu.” Amuriat bw’ategeezezza. Akabenje kano kagudde ku kyalo Kimor, mu ttawuni kkanso y’e Panyamur mu disitulikiti y’e Pakwach oluvannyuma lw’emmotoka nnamba UBB 856W okulemerera omugoba waayo ne yeefuula. Amuriat yasookedde Nebbi ku makya ga leero Olwokubiri nga mu ttuntu abadde alina okubeera mu disitulikiti y’e Nebbi gy’anava ayolekere ebitundu bya Bunyoro ku Lwokusatu. Abafunye ebisago batwalibwa mu ddwaliro lya Panyamur Health Centre ne Angal Hospital erisangibwa e Nebbi. Bw’abadde e Nebbi, Amuriat ajjukizza abantu nti olutalo lw’okununula Uganda lunaatera okuggwa era ng’abalwanyi balina okugumira obulumi obusinga ku ebyo gavumenti ya Pulezidenti Museveni bye bayisizzaamu. Abafudde bategerekese nga Hellen abadde akwatidde FDC bbendera ku bwakkansala bw’ekibuga kya Nebbi wamu ne Kkansala aliko Zulaika era ng’ono abadde omu ku bakunzi b’ekibiina mu kitundu kino. Abafunye ebisago kuliko; akulira abavubuka ba FDC e Nebbi; Walter, Grace Owonda n’abalala. https://gambuuze.ug/2020/11/24/2-bafiiridde-mu-kabenje-amuriat-ayimirizza-kampeyini-ze/ +politics ‘ Ebya Kenya Tebinaggwa……………’ Martha Karua alabudde ku  kulangirirwa  kwa Ruto Ab’omukago gwa Amizio La Umoja nga bakuliddwamu abadde yeesimbyewo ne Raila Odinga nga omumyuka wa Pulezidenti, Martha Karua awakanyiza okulondebwa kwa William Ruto ku bwapulezidenti mu kalulu akalangiriddwa olw’eggulo lwa leero. Karua obubaka buno abutadde ku mutimbagano gwe nasaba abawagizi babwe obutaggwamu maanyi wakati mu b’oludda lwa Odinga okukakasa nti akalulu kano kabaddemu ebirumira. Bw’abadde tanalangirira bivudde mukulonda, ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda aka IEBC, Wafula Chebukati abadde akulira ttiimu ya Odinga ebadde erondoola akalulu kano, Saitabao Ole Kanchuri ategeezezza nti omutimbagano gw’ Akakiiko k’ebyokulonda gwabadde gwayingiddwamu nga ebibadde bigenda okulangirirwa si byebyo ebituufu. Bw’abadde ayogerera e Bomas ewabadde wagenda okulangirirwa akalulu kano ku Mmande, Kanchuri ategeezezza nti waliwo abayingidde mu mutimbagano guno nebakyuusa akalulu. Okusinziira ku tteeka omuntu yenna awakanya ebivudde mu kalulu kano alina okukikola mu nnaku 7 nga bimaze okulangirirwa akakiiko k’ebyokulonda era kkooti ensukkulumu okwemulugunya kuno eba erina okukuwulira mu nnaku 14 neewa ensala yaayo. https://gambuuze.ug/2022/08/15/ebya-kenya-tebinaggwa-martha-karua-alabudde-ku-kulangirirwa-kwa-ruto/ +politics Bobi Wine alabudde okuddukira mu kkooti y’abantu singa tufuna bwenkanya mu kkooti ensukkulumu Kampala Eyavuganyizza ku bwapulezidenti mu kalulu ka 2021, Robert Kyagulanyi Ssentamu, amanyiddwa nga Bobi Wine atiisizatiisiza okuggyayo omusango mw’akanyiza obuwanguzi bwa Yoweri Museveni addukire mu kkooti y’abantu singa tafuna bwenkanya mu kkooti ensukkulumu. Pulezidenti wa National Unity Platform, Robert Kyagulanyi Ssentamu Kyagulanyi ategeezezza nti kkooti ensukkulumu okugaana obujulizi bwabwe teyabadde ya bwenkanya ate nga n’abalamuzi basussizza okulaga kyekubiira kuba balina enkolagana ey’enjawulo ne Museveni. Bobi Wine ategeezezza bannamawulire mu Kampala olwaleero nti, abasatu ku balamuzi 9 abali mu musango gwe, ayagala baguveemu kuba balina kyekubiira. Bano kuliko; Ssaabalamuzi Alfonse Owiny Dollo, Mike Chibita awamu ne Ezekiel Muhanguzi. Kyagulanyi alumirizza Ssaabalamuzi aliko okubeera munnamateeka wa Museveni mu musango gw’ebyokulonda Dr. Kiiza Besigye mwe yali awakanyiza obuwanguzi bwe mu 2001 ate era n’abeerako ne Minisita mu gavumenti ye. “Ssaabalamuzi ali mu musango gwaffe y’omu yalina okusaba okw’enjawulo kw’asaba Museveni nga Pulezidenti w’eggwanga, tulowooza nti tasobola kubeera mwenkanya gye tuli.” Kyagulanyi bw’agambye. Agattako nti Omulamuzi Chibita yaliko omuwandiisi mu woofiisi ya Pulezidenti Museveni ate ye Muhanguzi wa luganda ne Minisita Elly Tumwine. Kyagulanyi atabukidde kkooti olw’okumulemesa okukola ennongoosereza mu musango gwe wamu n’okugaana obujulizi bwe. Agamba nti byonna babikola olw’okubulwa obwetengerera kwa kkooti eno era byonna bikolwa kusanyusa Pulezidenti Museveni. Bobi Wine agamba nti tebagenda mu kkooti eno nga basuubira okufuna obwenkanya naye baayagala ensi erabe kyekubiira ali mu kkooti eno n’alabula nti singa tafuna bwenkanya waakuddukira mu kkooti y’abantu basalewo. Ono era avumiridde ekiwamba bantu ekigenda mu maaso wamu n’abantu ab’enjawulo abazze battibwa okuli munnamawulire Hadad Mubiru wamu n’akulira aba boodabooda e Ssemuto nga bano balangibwa kubeera na nkolagana naye. Aweze okwongera okulwanirira abakwate omuli ne banne abavunaanibwa mu kkooti y’amagye n’ategeeza nti bano n’emisango gye bavunaanibwa okusinziira ku mpaaba bagiddiza mu kaseera we baali abasibe mu kkomera e Masaka, ekintu ekitasoboka. https://gambuuze.ug/2021/02/16/bobi-wine-alabudde-okuddukira-mu-kkooti-yabantu-singa-tufuna-bwenkanya-mu-kkooti-ensukkulumu/ +politics Kyagulanyi Poliisi emukutte Luuka Eyeesimbyewo ku kkaadi ya National Unity Platform, Robert Kyagulanyi Ssentamu, akwatiddwa e Luuka bw’abadde atandika okunoonya akalulu mu kitundu kino. Kyagulanyi nga atereddwa mu mmotoka ya Poliisi Tekitegeerekese nsonga ki ekwasizza Kyagulanyi wadde ng’akakiiko k’ebyokulonda kabadde kaakavaayo okutegeeza nti kawagira ekya poliisi okukozesa amaanyi okugubulula abamenya ebiragiro bya Ssennyiga Corona. Abalala abakwatiddwa wamu ne Kyagulanyi kuliko bannakibiina kya NUP ne bannamawulire ababadde batambula awamu ne Bobi Wine, poliisi eyazizza emmotoka zaabwe wabula nga tekimanyise kiki kye babadde banoonya, wakati mu kukuba ttiyaggaasi n’amasasi mu bawagizi ba Kyagulanyi. Bobi Wine atwaliddwa mu kifo ekitannaba kutegeerekeka wabula nga waliwo munnamawulire afuuyiddwa kaamulali mu maaso era atwaliddwa mu ddwaliro ng’ali mu mbeera mbi. Kyagulanyi abadde alina okubeera mu disitulikiti y’e Luuka, Buyende ne Kamuli olunaku lwaleero. Ebirala tubireeta. https://gambuuze.ug/2020/11/18/kyagulanyi-poliisi-emukutte/ +politics Palamenti ekakasizza Jessica Alupo ku ky’obumumyuka bwa Pulezidenti Kampala Palamenti y’eggwanga enkya ya leero ku Mmande ekakasizza okulondebwa Jessica Alupo ng’omumyuka wa Pulezidenti. Ekiteeso ky’okukakasa omubaka omukyala wa Katakwi, Jessica Alupo kyaleeteddwa omubaka wa Ruhinda North, Thomas Tayebwa. Okuyitamu kwa Alupo kwalangiriddwa omumyuka wa Sipiika Anita Among oluvannyuma lw’ababaka bonna ababaddewo okumusemba era omubaka omu yekka y’akiwakanyizza. Oluvannyuma lw’okuyitamu, Alupo yeebazizza Pulezidenti Museveni olw’okumuwa omukisa okuweereza mu kifo kino era ne yeeyama obuvunaanyizibwa obumuweereddwa okubukola n’amaanyi ge gonna. Kati Alupo y’azze mu bigere bya Edward Kiwanuka Ssekandi era ye mukyala owookubiri okutuula mu kifo kino ng’eyasooka ye Specioza Wandera Kazibwe. Alupo ng’ono musomesa mutendeke, yayingira mu by’obufuzi mu 2001 ate mu 2006 n’avuganya ku ky’Omubaka ku kkaadi ya NRM era n’awangula. Mu 2009 yalondebwa nga Minisita omubeezi ow’ensonga z’abavubuka n’abaana. Mu 2011 yaddamu okulondebwa ng’omubaka era ku kabineeti eyaddako n’afuulibwa Minisita omujjuvu ow’ebyenjigiriza n’adda mu bigere bya Namirembe Bitamazire. Wiiki ewedde yalondeddwa okubeera omumyuka wa Pulezidenti. Alupo muyivu ng’alina ddiguli mu by’obufuzi n’ennimi era ne ddipulooma mu nkulembera y’abantu okuva mu Makerere University. Ono alina ddiguli eyookubiri mu nkolagana z’amawanga ne ddipulooma endala mu nkulembera y’abantu okuva e Makerere. https://gambuuze.ug/2021/06/14/palamenti-ekakasizza-jessica-alupo-ku-kyobumumyuka-bwa-pulezidenti/ +politics Anaavuganya ku bwa Sipiika tujja mulondera Kyankwanzi – Nampala Nankabirwa Nnampala wa gavumenti era Omubaka Ruth Nankabirwa, ategeezezza olunaku lwaleero nti anaakwatira ekibiina kya NRM bbendera ku bifo okuli ekya Sipiika n’omumyuka we, bajja kubalondera Kyankwanzi. Nampala wa gavumenti, Ruth Nankabirwa Bino Nankabirwa abyogeredde mu nsisinkano gy’abaddemu ne bannamawulire abagasakira mu Palamenti. Nankabirwa ategeezezza nti olukiiko olufuzi olw’ekibiina olumanyiddwa nga CEC lugenda kutuula okulaba gwe lunaalondawo okukwata bbendera. Enkalu okusinga ziri ku kifo kya Sipiika nga aliko Rebecca Kadaga agenda kuvuganya n’abadde omumyuka we Jacob Oulanyah okulaba anaakubiriza Palamenti y’e 11. Omubaka Nankabirwa agamba nti guno si gwe mulundi ogugenda okusooka naye enkola bw’etyo bw’ebadde nga bannakibiina bonna abeegwanyiza okufuuka basipiika, amannya gaabwe gaweerezebwa mu CEC, abakulu ne balondawo agwanidde. Ono ategeezezza nti singa banaalemwa okukkaanya ku ensonga y’ani agwanidde okwesimbawo ku babiri bano bajja kudda bategeeze Palamenti ku oyo ekibiina gwe kironze. Alabudde oyo yenna asuubira okujeemera ekibiina obutakemebwa kwesimbawo ku lulwe. W’osomera bino ng’olwokaano lukyalimu Sipiika Rebecca Alitwala Kadaga, omumyuka we Jacob Oulanyah ne Munnakibiina kya Forum for Democratic Change (FDC), Ibrahim Ssemujju Nganda. Ebbugumu eryamaanyi liri wakati wa Kadaga ne Oulanyah era buli ludda luwuliddwa nga lwogerera lunnaalwo amafuukuule. https://gambuuze.ug/2021/03/17/anaavuganya-ku-bwa-sipiika-tujja-mulondera-kyankwanzi-nampala-nankabirwa/ +politics Eby’okuwamba abantu n’okubatulugunya tusaba bikome – Katikkiro Mayiga Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga, ategeezezza nti Obwakabaka bwa Buganda baagala ebikolwa eby’okuwamba abantu n’okubatulugunya bikomezebwa mu bwangu kuba bino bigikyayisa era nga bisobola bulungi okugisuula. Katikkiro Mayiga n’abamu ku bakulembeze ba BYC abayiseemu “Obwakabaka bwa Buganda busaba abakulu mu gavumenti okumalawo obunkenke, tubasaba okuwamba abantu, okubakuumira mu bifo ebitamanyiddwa n’okubatulugunya bikomezebwe.” Owek. Mayiga bw’agambye. Katikkiro Mayiga okulaga obwennyamivu abadde asisinkanye abavubuka ba Buganda Youth Council abaawangula ebifo eby’enjawulo mu nsisinkano ebadde mu bimuli bya Bulange e Mmengo. Owek. Mayiga awanjagidde abakulu okumanya nti abalabe baayo si bantu bagivuganya ng’abasiika Capati naye abo abagikyayisa abantu. “Omuntu ayagala okusuula gavumenti y’oyo akola ebikolwa ebikyayisa gavumenti. Okuwamba abantu ne baggalirwa mu bifo ebitamanyiddwa, okubonyaabonya abakwatiddwa ne batuuka n’okubatta, omwana Ssegawa bamuggyeemu enjala oba okubookya ppaasi, ebikolwa eby’engeri eyo bikyayisa gavumenti. Katikkiro Mayiga bw’agambye. Ono alaze eby’okulabirako ku basajja ba Idi Amin ne Obote abawambanga abantu wabula kino kyanafuya gavumenti zino era ne zigwa. Kamalabyonna agamba nti abatambulira mu mmotoka z’ekika kya ‘Drone’ balabe ba gavumenti era baagala eveeko. “Si buli lw’ovuganya gavumenti nti ogiggyako naye buli lw’ogikyayisa oba ogireetera okugwa.” Owek. Mayiga bw’annyonnyodde. Owek. Mayiga asabye abalowoozebwa okubeera n’emisango basooke kunoonyezebwako era bakwatibwe mu ngeri eteeka ekitiibwa mu ddembe lyabwe. Bano Katikkiro Mayiga abasibidde entanda bulijjo obutatiirira Ssaabasajja Kabaka era bwe wabaawo ensonga yonna badde embuga basobole okulambikibwa. Ate ye Minisita w’obuwangwa n’ennono, David Kyewalabye Male, agambye nti ye ne Minisita Ssekabembe beetikka omulimu okukulembera abavubuka bano n’okubalaga ekkubo. Ono asiimye abavubuka olw’okubeera abamalirivu ne bavaayo okukiikirira abantu baabwe. “Bano basobodde okulaga eggwanga nti abantu ba Buganda basobola okubeesiga ne babateeka mu by’obukulembeze nga tewali kye babawadde.” Owek. Kyewalabye bw’agambye. Ye omubaka omulonde owa Nakaseke Central era y’abadde omukubiriza w’olukiiko lw’abavubuka Ttabamiruka, Allan Mayanja Ssebunnya, agambye nti olutabaalo terubadde lwange naye olw’amaanyi g’abantu basobodde okuwangula. “Tuwera mu maaso go, okulwanirira ekyo abantu kye batulabyemu okukituukiriza naye nga mu byonna z’ensonga za Buganda Ssemasonga ettaano era ensonga enkulu mu zino y’ensonga ya Federo.” Omubaka Ssebunnya bw’asuubizza. Abalala abakomyewo okuwoza olutabaalo kuliko; Bukenya Farok Sansabula, Ssemanda Mathias, Solome Nangooba, Mwagalanyi Ali mudde, Ssemindi Salim, Kibira Aloysious, Kamuli Joseph, Namboowa Rashida awamu n’abalala. https://gambuuze.ug/2021/02/12/ebyokuwamba-abantu-nokubatulugunya-tusaba-bikome-katikkiro-mayiga/ +politics Omuloodi Lukwago aweze okulwanyisa bamafiya n’ ekibbattaka Wakaliga Loodimeeya wa Kampala Erias Lukwago aweze okulwanyisa ekibbattaka mu bitundu bya Kampala ebyenjawulo wamu ne bamafiya abaagala okumalako bannakampala eddembe lyabwe. Omuloodi Erias Lukwago atongozza kampeyini ze Bino Lukwago yabyogeredde mu makaage e Wakaliga ku Lwokusatu bwabadde atongoza kampeyini z’okuddamu okuvuganya ku bukulu buno nga ku murundi guno ali ku kkaadi ya FDC. Omukolo guno gwetabiddwako Meeya wa Lubaga Owek. Joyce Nabbosa Ssebuggwawo, omwogezi wa FDC Ssemujju Nganda wamu n’abakungu abalala bangi. Lukwago alaze byagenda okutandikirako okukola singa addamu okulondebwa ku bukulu buno nga wakulaba nti bannakampala basigaza eddembe lyabwe. Omuloodi Lukwago yasuubizza okulwanyisa obuli bw’enguzi, okukozesa obubi ssente z’omuwi w’omusolo wamu n’okulwanyisa bamafiya abaagala okweddiza ekibuga. Ku murundi guno, Lukwago agenda kuvuganya n’Omuyimbi Joseph Mayanja amanyiddwa nga Chameleone, Latif Ssebagala, Beatrice Kayanja ne Daniel Kazibwe amanyiddwa nga Raggae Dee. Lukwago ekifo kino eky’Omuloodi akibaddemu okuva mu 2011 era nga okusooka yawangulira ku kkaadi ya Democratic Party (DP), wadde yamala nacankalana n’obukulembeze bwa Norbert Mao gwalumiriza okutambuza obubi ekibiina. https://gambuuze.ug/2020/09/16/omuloodi-lukwago-aweze-okulwanyisa-bamafiya-n-ekibbattaka/ +politics Pulezidenti wa Chad afiiridde mu kulwanagana n’abayeekera Pulezidenti wa Chad abadde yaakalondebwa ku kisanja ekyomukaaga, Idriss Déby Itno (68) afudde. Okusinziira ku magye ga Chad, Pulezidenti Idriss Deby afudde oluvannyuma lw’okufuna ebiwundu ebyamaanyi bwe yabadde akulembeddemu basajja be okulwanyisa abayeekera. Bino we bijjidde ng’amagye ga Chad gali mu kwalagana n’abayeekera abagezaako okulumba ekibuga ekikulu N’Djamena. Omwogezi w’amagye, Gen. Azem Bermandoa Agouna, bw’abadde alangirira okufa kwa Deby ategeezezza nti ono okufa yabadde alwanirira ekitiibwa ky’eggwanga lye ku nsalo ya Chad n’eggwanga lya Libya. Deby abadde yaakalondebwa ku kisanja ekyomukaaga mu kalulu akaabaddewo nga 11-April era abadde yaakamala mu buyinza emyaka 30 malamba oluvannyuma lw’okuwamba obuyinza mu 1990. Okusinziira ku bibadde bisuubirwa okulangirirwa, Deby akalulu yakawangulidde ku bitundu 80 ku buli 100. W’osomera bino nga Palamenti ne gavumenti bisattuluddwa era ne walondebwawo akakiiko k’amagye akagenda okukulembera eggwanga lino okumala emyezi 18 n’oluvannyuma wategekebwewo okulonda. Omukutu gwa AFP gutegeezezza nti bannamagye balonze mutabani we, General Mahamat Idriss Deby Itno, okudda mu bigere bya kitaawe ng’akulira akakiiko k’amagye akagenda okukulembera eggwanga eryo. https://gambuuze.ug/2021/04/20/pulezidenti-wa-chad-afiiridde-mu-kulwanagana-nabayeekera/ +politics DP e Masaka basobeddwa ku by’okuwagira Mao, abalonzi baagala Bobi Wine Masaka Bannakibiina kya Democratic Party (DP) mu ttundutundu lya Masaka basobeddwa ku by’okuwagira Ssenkaggale w’ekibiina ku bwapulezidenti nga bagamba nti, baagala kuwagira Munnakibiina kya National Unity Platform (NUP), Robert Kyagulanyi Ssentamu. Ssenkaggale Nobert Mao Mao y’omu ku bantu abaavuddeyo okwewandiisa ku bwapulezidenti mu kalulu ka bonna ak’omulundi guno wabula nga n’okukakasibwa e Kyambogo yagenda kikeerezi. Abakulembera ekibiina mu Masaka naddala ku mitendera egya wansi bakombye kw’erima nga bagamba nti tebasobola kunoonyeza Mao kalulu kuba bakkiriziganya dda okuwagira Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine). Omumyuka wa ssentebe wa DP e Kingo mu Lwengo, Charles Fidel Kaboggoza, y’omu ku bagaanye okuwagira Mao. Kaboggoza yategeezezza nti ng’ekibiina baasalawo okuwagira Kyagulanyi ng’okukyusa bawagire Mao kati, kibeera kibuzaabuza abalonzi era nga nabo ng’abakulembeze bajja kulabika ng’abatalina mugongo. Ye ssentebe w’ekibiina e Kiteredde mu Masaka, Polly Kafeero, annyonnyodde nti tebalaba nsonga lwaki ekibiina kisimbawo omuntu mu ngeri y’okupapirira. Kafeero agamba nti amaanyi ekibiina kye gaagala okuteeka mu kunoonya akalulu, bagateeke mu kuzimba ekibiina wamu n’okuziyiza bammemba okukyabuulira. Omwogezi wa DP mu Bukomansimbi, Muhammad Kigongo Matovu, yakakasizza nti bakyasanze obuzibu okumatiza bannakibiina okuwagira Ssenkaggale Nobert Mao ku bwapulezidenti. Kigongo wabula yatabukidde bannakibiina kya NUP abaava mu DP olw’okwwogerera ekibiina amafuukuule naye basaba okukimanya nti DP ye yaabwe. Ebikonge bya DP mu Masaka okuli; omubaka Mary Babirye Kabanda, Jude Mbabali, nabyo byegasse ku bantu okuwagira Kyagulanyi ne balekawo Ssenkaggale w’ekibiina, Nobert Mao. https://gambuuze.ug/2020/11/12/dp-e-masaka-basobeddwa-ku-byokuwagira-mao/ +politics Bobi Wine bamukutte agezaako okwegugunga Akulira ekibiina kya National Unity Platform (NUP), Robert Kyagulanyi, amanyiddwa nga Bobi Wine akwatiddwa bw’abadde yeegugunga okuwakanya eky’ebitongole by’ebyokwerinda okuwamba abantu be oluvannyuma lw’akalulu akaakubwa nga Januray 14, 2021. Kyagulanyi n’abamu ku babaka babadde nabo nga bagobagana ne poliisi Kyagulanyi nga yakwata kyakubiri mu kalulu akaawangulwa Pulezidenti Museveni, yakwatiddwa ku Mmande bwe yabadde agezaako okugenda ku City Square ne bannakibiina okuli ababaka abalonde ng’ayagala Gavumenti eyimbule abantu bagamba nti batulugunyiziddwa byansusso. Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga, yakakasizza okukwatibwa Kyagulanyi wamu n’abantu abalala abaabadde bakubye olukung’aana olutali mu mateeka. Okusinziira ku Enanga, Kyagulanyi yadiziddwayo mu maka ge era n’asaba bannayuganda obutamugoberera ku byaliko. Bino we bijjidde nga Pulezidenti Museveni yaakamala okulabula ab’oludda oluvuganya abategeka okumulemesa okulayira nti tebageza kuba amagye ne poliisi gali bulindaala okubang’anga. “Bategeka okulemesa okulayira kwa Pulezidenti naye tebajja kumalako. Bategeke ebintu ebiwerako omuli okutta abantu ku ludda oluvuganya olwo bagambe nti Gavumenti y’ebasse.” Pulezidenti Museveni bwe yannyonnyodde. Museveni era agamba nti ekibiina kya Kyagulanyi ekya NUP kyabba akalulu wadde yali bwe yali ayogerako eri ensi oluvannyuma lw’okuwangula akalulu yalaga nti akalulu k’omulundi guno kayingira mu byafaayo ng’akasinga okubaamu amazima n’obwenkanya. Museveni yalayidde n’agamba nti abo bonna okuli poliisi n’akakiiko k’ebyokulonda abaayamba Kyagulanyi okubba akalulu bagenda kuvunaanibwa era bagobwe ne ku mirimu. Wadde Kyagulanyi akyakunga abantu okuvaayo beegugunge mu mirembe, Minisita w’ebyokwerinda Gen. Elly Tumwine yamulabudde obutagezaako kuba yeekwese mu kwegugung okw’emirembe naye ng’agenderera kutabangula ggwanga. Buli lukya poliisi n’ebitongole ebirala eby’okwerinda byongera amaanyi mu kulawuna enguudo za Kampala era n’abamu ku bawagizi ba Kyagulanyi bakwatiddwa ku bigambibwa nti baagala kutabangula mirembe. https://gambuuze.ug/2021/03/16/bobi-wine-bamukutte-agezaako-okwegugunga/ +politics Tugenda kukunga ebitundu ebirala bituwagire ku nsonga ya Mayiro – Omubaka Kanyike Omubaka wa Palamenti akiikirira Bukoto East, Evans Kanyike ategeezezza nti bagenda kukunga abantu okuva mu bitundu by’eggwanga ebirala okubawagira ku nsonga ya mayiro okusigala singa gavumenti eremerako neyagala okuliggyawo. Bino Kanyike yabyogeredde ku kyalo Gulama mu kudduukirira abalonzi be n’ensigo za kasooli awamu n’ebijjanjalo ebibalirirwamu obukadde bwa silingi obuwerera ddala 25 okubayamba okwegobako enjala n’okweggya mu bwavu. Kanyike abantu ba Buganda yabasabye okubeera obumu era bagume kuba bbo nga ababaka abava mu Buganda engabo bagilumisizza mannyo nga nebwekiba kyetaaga kwogereza bannabwe abava mu bwakabaka obulala babeegatteko bagenda kukikola. Ono yannyonnyodde nga bwebatandise edda okwogerezeganya n’ababaka abalala okusobola okusuuza gavumenti ettaka lya Buganda ne bannansi lyeyagala okutwala kuba kimenya mateeka. Okusinziira ku Kanyike, amateeka agaliwo mu kiseera kino gamala nga singa buli kitongole kya gavumenti ekikola ku ttaka kituukiriza obuvunaanyizibwa bwakyo emivuyo ku ttaka gisobolera ddala okukendeera. Ku nsonga y’ensigo eziweereddwayo, Kanyike ategeezezza nti abantu mu kitundu kino babadde bubi kuba byonna byebalina mu sizoni ewedde byafa nga bano abasuubizza n’okubawa ebigimusa awamu ne bomba ezifuuyira okubanguyiza embeera. Mungeri yemu yasinzidde wano nawabula abavubuka okukomya obwa ssemugayavu nga baagala okusabiriza n’okulindanga okuweebwa naye batandiike okulunda n’okulima kuba mwemuli ssente. Ye ssentebe wa disitukiti ye Masaka, Andereya Lukyamuzi Batemyetto, yalabudde abatuuze abakyalina emmere obutagyetundako kuba basuubira enjala mu mwezi oguwedde. Abatuuze basiimye Kanyike olw’okubadduukirira n’ensigo era nebamusuubizza okuzikozesa obulungi. https://gambuuze.ug/2021/08/25/tugenda-kukunga-ebitundu-ebirala-bituwagire-ku-nsonga-ya-mayiro-omubaka-kanyike/ +politics Ab’e Ssembabule balumirizza ab’ebyokwerinda okubatulugunya Bya Kintu Noah Ssembabule Abatuuze mu bitundu eby’enjawulo ebikola disitulikiti ya Ssembabule, balaajanidde ab’obuyinza okubayamba ku b’ebyokwerinda abasusse okubatulugunya mu kaseera kano ak’okulonda, olw’okwawukanya endowooza mu by’obufuzi. Bano bino baabyogeredde mu lukiiko olwakubiddwa ab’ekitongole kya Centre for Conflicts Solution mu ttawuni kkanso y’e Ssembabule ku Cristo Center. Olukung’aana luno olwabaddemu ab’ebyokwerinda, abeesimbyewo wamu n’abalonzi, lwagendereddwamu okulondoola okulonda bwe kutambula mu kitundu kino, n’okulaba awali ekizibu. Wano munnakibiina kya NUP, Ibrahim Mpuuga we yasinzidde n’ategeeza nti bo ng’aba NUP mu kitundu kino, batulugunyizibwa ab’ebyokwerinda, ekiraga kyekubiira ate nga balina okuweereza bannayuganda bonna. Abamu ku baabadde mu lukiiko bategeezezza ng’abakulu mu kitundu kino, bwe bakozesa emmundu n’abapoliisi okulagira abatuuze okubaako abantu be bawagira, ekintu ekikyamu. Omutuuze Happy Kafiriyooko yagambye nti wadde baatwala emisango ku poliisi olw’abantu abaabatulugunya mu kamyufu ka NRM, naye tewali kyakolebwa era nga batya nti ebikolwa bino, biyinza okuddamu mu kalulu ka bonna aka 2021. Omu ku bavuganya mu kitundu kino, Kisekka, teyalumye mu bigambo bye bwe yategeezezza nti Minisita Sam Kuteesa ne poliisi be batabudde buli kimu mu kitundu kino. Kisekka yannyonnyodde nti bangi ku bantu mu kitundu kino basibiddwa era nti yawandiikidde Ssaabaduumizi wa poliisi, Martin Okoth Ochola, nga yeemulugunya ku nsonga eno. Wabula bino akulira poliisi y’e Ssembabule, Luka Mbusa, yabiwakanyizza n’ategeeza nti tafunanga ku musango gwonna ng’omuntu yatulugunyiziddwa poliisi. Ku lw’abakozi mu Ssembabule, Pamera Kobutungi yasabye abantu mu kitundu kino okunyweza obumu kubanga buli omu yeetaaga munne. Omukungu Centre for Conflicts Solution, Patrick Bwire, yagambye nti ekyabaleese kwe kulaba nga batabaganya abantu bano era n’asuubiza okwongera emisomo mu kitundu kino, kitaase ku biyinza okuddirira. Omubaka wa Pulezidenti e Ssembabule, Nickson Kabuye, yeeyamye okufuba okulaba ng’ekitundu kino tekiddamu buvuyo bwa byakulonda mu kalulu ka bonna aka 2021. Yasabye abali ku ludda oluvuganya gavumenti, okuteekawo enkolagana ennungi n’abeebyokwerinda, kiyambe okunyweza emirembe mu kitundu kino. https://gambuuze.ug/2020/11/16/abe-ssembabule-balumirizza-abebyokwerinda-okubatulugunya/ +politics Omuloodi  Erias  Lukwago:  Ekisinde kya ‘Red Card’ kye kigenda okukomya Museveni Omuloodi wa Kampala, Erias Lukwago era amyuka ssentebe w’ekisinde kyaPeople’s Front for Transition (PFT) kye batongozza, agamba nti kye kigenda okuggya PulezidentiMuseveni mu buyinza kuba kyanjawulo ku bisinde n’emikago ebizze bibeerawo. Ekisinde kino kikulemberwaDr. Kizza Besigye era nga kyaweereddwa omubalagwa ‘Red Card,’kyatongozeddwa wiiki ewedde ku woofiisi za JEEMA e Mmengo era kyegattiddwako ebibiina by’ebyobufuzi ebiwerako mu ggwanga. Abamu ku batunuulizi b’ebyobufuzi mu ggwanga bategeezezza nti guno mukago ng’emirala gyonna era tewali njawulo okuggyako okuwa bannayuganda essuubi eritaliiyo. Lukwagobwe yabaddeayogerako eri bannamawulire,ategeezezza nti ekisinde kino kyolekedde obuwanguzi era kyanjawulo ku bisinde ebirala. “Ebibaddewo gibadde mikago. Kati twogera ku kisinde ekigenda okuleetawo enkyukakyuka n’okuwa bannayuganda essuubi eritali lya kulonda kwokka nga tutandikiraku by’obufuzi ebiriwo ebitali bya bwenkanya n’oluvannyuma tutereeze eby’okulonda.” Lukwago bw’annyonnyodde. Okusinziira ku Lukwago, eggwanga kati livugibwa na lyanyi lya mmundu era ekigendererwa ky’ekisinde kinokwe kulikomya, obuyinza busobole okukyuka kuba akalulu kalabika kalemeddwa. Ku ky’ekibiina kya National Unity Platform (NUP) okubeera wabweru w’ekisinde kino, Lukwago agambye nti kino kya kaseera buseera naye basuubira mu maaso awo ebibiina byonna bigenda kubeegattako. Ono ayanirizza okukugabanya ebirowoozo ku kisinde kino ng’erimu ku makubo ag’okukomya obukulembeze bwa Pulezidenti Museveni, wabula n’alabula abo abalowooza nti bayinza okugusuula nti, basale malala. https://gambuuze.ug/2021/10/11/omuloodi-erias-lukwago-ekisinde-kya-red-card-kye-kigenda-okukomya-museveni/ +politics Katikkiro Mayiga aggaddewo Oluwalo lwa 2022, nalaga obukulu bwa Federo ku kusoosowaza ebikulu eri Buganda Katikkiro Charles Peter Mayiga ategeezezza nti wadde Obwakabaka babulina era nga bwaddawo naye beetaaga enfuga ya Federo okusobola okusoosowaza ebyo eby’ensonga eri Buganda n’abantu baayo, enkulaakulana esobole okubaawo. Bino Kamalabyonna Mayiga abyogeredde mu Bulange e Mengo bw’abadde aggalawo oluwalo lw’omwaka 2022 ku Lwokubiri. “Okuggyayo amakulu g’Obwakabaka kyekitwagaza enkola ya Federo kubanga etuwa enkyanya okusoosowaza byetulaba ng’ebikulu. Omulala alaba Luswayiri nti lwe lukulu naye ffe tulaba Luganda. Obuwangwa n’Ennono omulala tamanya bukulu bwabyo. Enkola eyo ey’okugabana obuyinza eya Federo etusobozesa okugabana ku nsimbi enkumu gavumenti zekung’aanya wano mu Buganda,” Owek. Mayiga bw’agambye. Owek. Mayiga ategeezezza nti kino kyandibawadde omukisa okugabana nebakozesa ensimbi ezo okunyweza Nnamulondo n’okutumbula eby’enkulaakulana. Ono annyonnyodde nti wadde Obwakabaka babulina naye tekwagirako nsimbi ezeetaagisa okubuyimirizaawo nalaga obukulu bw’okusigala nga bayiiya awamu n’okukola nga bwebagenda mu maaso n’okubanja. Katikkiro Mayiga asabye abantu ba Kabaka okunyikira okukola wakati nga balina okusoomozebwa okwenjawulo okusobola okutwala Buganda mu maaso. Ono annyonnyodde nti olw’abantu abewaayo okulwanirira Buganda abantu basobodde okuleeta Oluwalo lwa kawumbi kalamba mu mwaka 2022. Mukuumaddamula agumizza abantu be Kkooki okusigala ngabagumu nti ebigenda mu maask eyo tebibatiisa kubanga Kabaka bwaba nga yasobola okuzzaawo obwakabaka, ensonga ye Kkooki teyinza kulema. Kidiridde omukwanaganya wessaza lino okuwoza olutabaalo mu ssaza lino. Minisita omubeezi owa Gavumenti ez’ebitundu, Joseph Kawuki asinzidde ku mukolo guno neyebaza abantu, amasomero abaleese oluwalo omwaka guno olubadde olwenjawulo olwamasaza agasituse mu kujjumbira enteekateeka eno. Ye Omukwanaganya w’essaza Kooki, Gertrude Nakalanzi Ssebugwawo agamba nti bakunywerere ku Ssaabasajja Kabaka mu mbeera yonna era tebajja kumutiiririra. Abakiise embuga kuliko; Amasaza g’ebweru erya North West Pacific , Home Connect Properties, Bannabitone, essaza Kkooki, Busujju naba Buganda Golf Association. Bano baleese Oluwalo lwa bukadde 113 okusobola okuwagira enteekateeka z’Obwakabaka. https://gambuuze.ug/2022/12/13/katikkiro-mayiga-aggaddewo-oluwalo-lwa-2022-nalaga-obukulu-bwa-federo-ku-kusoosowaza-ebikulu-eri-buganda/ +politics Ebyokwerinda binywezeddwa nga Kyagulanyi anoonya akalulu e Kalangala Ebitongole by’ebyokwerinda biyungudde abawanvu n’abampi ne boolekera ekizinga ky’e Kalangala okunyweza eby’okwerinda wakati nga munnakibiina kya National Unity Platform, Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine), anoonya akalulu akamuteeka mu ntebe ennene. Abamu ku bapoliisi nga balinnya okugenda e Kalangala Kyagulanyi yasinzidde mu lukung’aana lwa bannamawulire e Kamwokya eggulo n’ategeeza nti waakuddamu okunoonya akalulu olwaleero e Kalangala oluvannyuma lw’okuyimiriza kkampeyini ze ng’awakanya eky’okutta omukuumi we Frank Ssenteza. Ebimotoka bya poliisi bigunduuza, bakuntumye awamu n’abapoliisi abawerako, bakedde kuteekebwa ku kidyeri kya MV Ssese okwolekera ekitundu kino. Waliwo ennyonyi erabiddwako ng’erawuna obwengula ku kizinga kino okwetegereza embeera. Kyagulanyi ku Lwokubiri yalangiridde nti agenda kwongera okukuba enkung’aana ze ne mu disitulikiti 12 aba kakiiko k’ebyokulonda gye bagaanye kkampeyini. “Ngenda kutuuka ku bawagizi bange mu ngeri yonna esoboka, mu buntu oba mu ngeri ya Ssaayansi.” Kyagulanyi bwe yalayidde. Okusinziira ku Ssaabawandiiisi wa NUP, Louis Lubongoya, Kyagulanyi leero agenda kubeera Kalangala ate enkya ku Lwokuna abeere e Mpigi ne Bukomansimbi. https://gambuuze.ug/2020/12/30/ebyokwerinda-binywezeddwa-nga-kyagulanyi-anoonya-akalulu-e-kalangala/ +politics Museveni alagidde Muhakanizi  anoonyezebweko ku bya DGF Kampala Omukulembeze w’eggwanga, Yoweri Kaguta Museveni, alagidde Minisita w’ebyensimbi Matia Kasaija wamu n’ebitongole ebirwanyisa obukenuzi okunoonyereza ku muteesiteesi omukulu mu Minisitule y’ebyensimbi, Keith Muhakanizi,wamu n’abalala, ku bya ssente za Democratic Governance Facility (DGF). Bino biri mu bbaluwa Museveni gye yawandiikidde Minisita Matia Kasaija, akakiiko akalwanyisa enguzi aka Lt. Col. Edith Nakalema, Kaliisoliiso wa gavumenti wamu n’ebitongole ebirala, Museveni mwe yalagidde nti kizibu okutegeera lwaki Muhakanizi yakkiriza ssente zino okusaasaanyizibwa wadde baali tebatuukirizza bukkwakulizo, ate nga wadde Minisitule y’ebyensimbi yagezaako okuwaayo omuntu atuule ku bboodi ya DGF, bano baakigaana nga bagamba nti tekyetaagisa. “Kisoboka kitya nti ensonga za bannayuganda eziri wano ate tebakkirizibwa kuzirondoola wabula okuziraba obulabi. Kuno si kuteeka ssente mu kkampuni ya bwannannyini, naye kuteeka ssente mu bibiina ebyenjawulo ebyagala okutuukiriza ekigendererwa ky’abagwira. Kyajja kitya era lwaki bakkiriza ekintu bwe kiti ekiteeka Uganda mu katyabaga era ne bikolebwa awatali kutegeeza ku Kabbineeti.” Ebbaluwa bw’egambye. Pulezidenti Museveni ategeezezza nti kino tasobola kukikkiriza era abo abalina kye bamanyi ku nsonga eno balina okubonerezebwa. Okusinziira ku bbaluwa eriko omukono gwa pulezidenti Museveni eyawandiikiddwa nga 2, 01, 2021, ono atadde ku nninga abakulu mu minisitule y’ebyensimbi bannyonnyole lwaki bakkiriza ssente eziwera obukadde bwa Pawundi 100 kiramba (mu za Uganda obuwumbi 500.8) okuyingira munda mu ggwanga nga Kabbineeti tezimanyiiko. “Nategeezeddwa nti Minisitule y’ebyensimbi ng’ekulirwa Omuteesiteesi omukulu, Keith Muhakanizi, baayingiza ssente eziwera obuwumbi bwa Pawundi 100 mu ngeri emenya amateeka nga zino zaali zaakulabirirwa mawanga g’ebweru awatali kwebuuza ku gavumenti ya Uganda.” Ebbaluwa ya Museveni bw’esomye. Museveni agamba nti ku nsimbi endala ezibadde zisaasaanyizibwa nga gavumenti ebaako n’omuntu azirondoola okuva mu gavumenti n’ekiteekawo obwerufu, ekintu ekitakoleddwa ku mulundi guno. Pulezidenti Museveni eyawulikise nga mukambwe mu bbaluwa gye yawandiikidde Minisita Kasaija, yagambye nti kyategeerekese nga obuwumbi 500.8 ku nsimbi z’ekitavvu kino, zaaweebwayo okutabangula emirembe n’okulwanyisa gavumenti nga beekwese mu kutumbula demokulasiya. Wabula aba Democratic Governance Facility (DGF) bagamba nti ekitavvu kino kyatondebwawo mu 2011 okulondoola obuvujjirizi bw’amawanga okuli; Austria, Denmark, Ireland, Netherlands, Norway, Sweden, United Kingdom n’omukago gwa Bulaaya. Ekitavvu kino era kyagendererwamu okukendeeza ku nsimbi ezisaasaanyizibwa okulondoola pulojekiti ez’enjawulo amawanga gano ge ziteekamu ssente kuba ezimu ku zino zibeera zifaanagana. Ensimbi zino zibadde zivujjirira emirimu gy’ebibiina by’obwannakyewa ebyenjawulo okuli ; Advocates Coalition for development and environment (ACODE), African Leadership Institute, Alliance for Campaign Finance Monitoring (ACFIM), ActionAid International Uganda ne African Centre for Media Excellence awamu n’ebirala. Bino we bijjidde nga Pulezidenti Museveni azze ategeeza mu kkampeyini nga bwe waliwo abantu abaagala okutabangula emirembe mu ggwanga nga bino byonna bikolebwa abagwira. https://gambuuze.ug/2021/02/03/museveni-alagidde-muhakanizi-anoonyezebweko-ku-bya-dgf/ +politics FDC egaanye okwetaba mu lukung’aana lwa IPOD Kampala Abakulembeze b’ekibiina kya Forum for Democratic Change (FDC), bawandiikidde abakulembeze b’omukago ogutaba ebibiina by’obufuzi ebiri mu Palamenti ogwa Inter party Organisation for Dialogue (IPOD) ne kiwa ensonga lwaki tekigenda kwetaba mu lukung’aana lw’omukago guno ogubindabinda. Ssaabawandiisi wa FDC, Nandala Mafabi Ku Lwokutaano lwa Ssabbiiti eno, Pulezidenti Yoweri Museveni era akulira ekibiina kya NRM asuubirwa okukubiriza olutuula lwa IPOD mu kiti kye ekya ssentebe wa NRM. Endagaano eyakolebwa mu mukago guno n’eteekebwako omukono ebibiina okuli; DP, FDC, JEEMA, NRM ne UPC, eragira omukago guno okutuula buli luvannyuma lwa myezi mukaaga. Ensisinkano y’omulundi guno yaakubeera ku kisaawe e Kololo wansi w’omulamwa ogugamba nti, “Okutabaganya eggwanga.” Mu bbaluwa aba FDC gye bawandiise ng’eriko omukono gwa Ssaabawandiisi w’ekibiina kino, Nathan Nandala Mafabi, yagambye nti bakyekenneenya ebyava mu kulonda kuba byalimu ebirumira. “Nga bwe mumanyi twakava mu kalulu akaavulugibwa akakiiko k’ebyokulonda nga bayambibwako ebitongole by’okwerinda okuli amagye ne poliisi.” Nandala bwe yategeezezza. “Tutegeezeddwa nti mwagala kutegeka lukung’aana awatali kukkiriza bibiina kutuula munda mu byo kukkaanya ku ebyo ebirina okuteesebwako nga bwe kirina okubeera. Ffe tulowooza nti IPOD yandisoose kukuba ttooci mu byava mu kalulu ka 2021 kuba kaalimu vvulugu mungi.” Nandala bwe yagasseeko. Mafabi yannyonnyodde nti okusinziira ku kyamanyi, omukago gwa IPOD gutuula nga kkanso yaayo erina omukiise okuva mu buli kibiina, bamaze okukkaanya ku ebyo ebigenda okuteesebwako. “Ffe nga FDC tulina okusooka okwebuuza ku bakulu mu kibiina. Ekibiina ekyaffe si kya muntu omu, tulina okusooka okukkaanya ku nsonga. Tetujja kwetaba mu lukung’aana luno olutegekeddwa mu bwangu nga n’ebyo ebigenda okuteesebwako tetusoose bikkaanyako.” Mafabi bwe yalambuludde. https://gambuuze.ug/2021/03/03/fdc-egaanye-okwetaba-mu-lukungaana-lwa-ipod/ +politics Ab’omukago gwa Bulaaya basisinkanye Bobi Wine Kampala Ababaka b’omukago gwa Bulaaya omwegattira amawanga agawera 11 basisinkanye abakulembeze b’ekibiina kya National Unity Platform (NUP)ne bateesa ku ebyo ebiri mu ggwanga. Omubaka Kyagulanyi ne b’Ambasada ba European Union Abakulembeze kubaddeko; Pulezidenti w’ekibiina, Kyagulanyi Ssentamu, Omumyuka wa Pulezidenti ow’amambuka Dr. Zedriga, Ssaabawandiisi wa NUP, Lewis Lubongoya, Omwogezi Joel Ssenyonyi awamu n’abalala. Bo b’Ambasada bavudde mu mawanga ageegattira mu mukago gwa Bulaaya ogwa European Union nga kuno kuliko akulira; European Union, owa Ireland, Sweden, France, Netherlands, Denmark, Belgium ne Italy. Bano ababasanze mu maka ga Pulezidenti w’ekibiina kino, Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwa nga Bobi Wine e Magere leero ku Lwokuna, basoose mu kafubo akatakkiriziddwamu bannamawulire akakulungedde essaawa eziwerako, oluvannyuma boogeddeko eri bannamawulire. “Tubasisinkanye kuba bakimanyi nti NUP kye kimu ku bibiina ekyetaba mu nteekateeka ezigenda mu maaso. Abakulu bano basindikibwa ensi zaabwe ezirina enkolagana ne Uganda era balaze obwennyamivu ku biriwo mu ggwanga.” Ssenyonyi bw’ategeezezza. Omwogezi wa NUP, Joel Ssenyonyi, ategeezezza bannamawulire nti b’Ambasada bano balaze okutya olw’okuwamba abantu, okusibira abantu mu makomera n’engeri akalulu kano gye kaategekebwamu wamu n’ebyo ebizze bibeerawo. “Tubasabye obutafuuka bakyesirikidde ku biriwo, tetubasaba kuggya kukulembera ggwanga lyaffe nga Mwami Tibuhaburwa bw’abadde ategeeza.” Ssenyonyi annyonnyodde nti Mwami Tibuhaburwa talina kugenda mu maaso nakuwamba bantu n’abamu okuttibwa nga tewali amugambako nga twekwese mu ky’okubeera nti eggwanga Uganda lyetwala. Ono agamba nti basabye b’A0mbasada bano okusigala nga bawagira bannayuganda so si kibiina kyonna nga NUP oba ekirala naye bafeeyo ku ddembe lya bannayuganda eryongera okutyoboolwa buli kadde. Ate ekiwandiiko ekivudde mu mukago gwa European Union kitegeezezza nti ekigendererwa ky’ensisinkano eno kwongera kunyweza enkola ya demokulaasiya mu Uganda wamu n’okwongera okusaba bannakibiina kino okunywerera ku mirembe. Bano balabudde bannakibiina ku bubaka obusosola mu mawanga obuva mu bawagizi baabwe, basabye abakulembeze okwewala obukuubagano wamu n’okukuma mu bantu omuliro. https://gambuuze.ug/2021/02/04/abomukago-gwa-bulaaya-basisinkanye-bobi-wine/ +politics Enguudo ziggaddwa nga Museveni atambula ku by’enguzi Abantu nga batambula mu Kampala Enguudo ezisinga obungi mu Kampala zigaddwa ng’omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni yeegasse ku Bannayuganda abalala okutambula mukaweefube w’okulwanyisa enguzi. Kino kireeseewo akalippagano k’ebidduka okwetooloola Kampala n’emirirwano. Aduumira Poliisi y’ebidduka mu Kampala n’emirirwanao Norman Musinga, eggulo yalaze enguudo ezigenda okuggalibwa kyenkana nga zonna eziyingira ekibuga azitwaliddemu. Ekiwandiiko era kyasabye abantu ababadde bagenda okwetaba mu kutambula, obutajja n’ammotoka. Bannayuganda bangi nga bayita kumitimbagano gyabwe nga Facebook ne Twitter, beemulugunyizza olw’okutaatagana kwebaddeko. “Museveni alimba nti alwanyisa nguzi, ngate ye giriisi atambuza emmotokaye era nga gemafuta agatambuza Uganda. Batulemesezza okukola mbu batambula ebitaliimu makulu,” Bwatyo Andrew Mwenda, munnamawulire omuguundiizu mu Kampala bweyategeezezza. Ate ye Sayidi Lukenge gwetusanze mu kkalippagano e Wandegeya agambye nti yabadde teyakitegedde nti enguudo zigenda kuggalwa. “Poliisi yandibadde alangirira bukyali nti olwaleero teri kujja mu Kampala okusinga okutuggalira amakubo gwonna,” Lukenga bweyategeezezza. https://gambuuze.ug/2019/12/04/enguudo-ziggwaddwa-nga-museveni-atambula-kubyenguzi/ +politics Nancy Kalembe yeewandiisizza, asoose kusasula obukadde 20 Kyambogo Nancy Kalembe Linda kyaddaaki awandiisikiddwa ng’omu ku bagenda okuvuganya mu kalulu ka bonna ak’omwaka 2021 mu kisaawe kya Kyambogo University, oluvannyuma lw’okusasula ssente obukadde 20 ezaabadde zimulemye okusasula olunaku lw’eggulo. Kalembe nga ali mu kuwandiisibwa Kalembe ne Katumba eggulo ku Mmande baalemeddwa okukakasibwa ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda olwobutabeera na lisiiti y’obukadde 20 ezibalagirwa okusasula mu mateeka. Linda naye olwaleero akakiiko kamukakasizza era ng’ono addiridde Katumba mu kuwandiisibwa. “Twekenneenyezza empapula za Nancy Kalembe Linda. Era Nze Omulamuzi Byabakama Mugenyi Simon nga nze nkuliddemu okuwandiisa abeesimbyewo, nangirira Nancy Klembe Linda ng’omu ku bantu abeesimbyewo ng’atuukirizza obukwakkulizo bwonna obwa ‘Presidential Elections Act,” Byabakama bw‘annyonnyodde. Kalembe oluvannyuma lw’okukakasibwa alangiridde nga bw’agenda okuteekawo obukulembeze obulungi era obwesigamye ku buntubulamu. Ono asuubizza okuwa bannayuganda ebiseera by’omu maaso ebirungi beerabire ebikadde. Ono ategeezezza nga bw’agenda okukwata ku nsonga y’ebyobulamu kubanga kino kye kimu ku bizibu ebimazeeko bannayuganda emirembe era akole nnyo okukyusa ebyenjigiriza bya Uganda, kisobole okukendeeza ku bbula ly’emirimu. Kalembe nga ye mukyala yekka ali mu lwokaano luno, asabye bannayuganda okumuwagira ku lw’ebiseera bya Uganda eby’omu maaso naddala eri abakyala n’abavubuka nga bano be basinga okunyigirizibwa embeera eriwo mu ggwanga. https://gambuuze.ug/2020/11/03/nancy-kalembe-yeewandiisizza-asoose-kusasula-obukadde-20/ +politics Abaduumizi ba poliisi balabuddwa okwerinda okwekalakaasa kwa NUP Akulira ebikwekweto mu poliisi, AIGP Edward Ochom, alabudde abaduumizi ba poliisi mu bitundu eby’enjawulo naddala mu Kampala, okwerinda bannakibiina kya National Unity Platform (NUP), abagambibwa okutandika okwegugunga olunaku lwaleero. Ezimu ku mmotoka poliisi zekozesa okugumbulula abekalakaasi Mu bubaka bwe obuweerezeddwa eri abaduumira poliisi mu bitundu eby’enjawulo, abasabye okubeera obulindaala okutandika olunaku lwaleero, olw’ebigambibwa nti waliwo ab’oludda oluvuganya abaagala okulemesa Pulezidenti Museveni okulayira. “Abakessi baffe bazudde olukwe lw’abamu ku b’oludda oluvuganya naddala aba NUP, bategeka okwekalakaasa. Ba RPC, DPC n’abaduumizi bonna abalala balagiddwa okwerinda era bafune buli kimu ekisobola okubayamba okufufuggaza abantu bano.” Ebbaluwa ya Ochom bw’esomye ku Mmande.Ochom yasabye yalagidde abaduumizi okulawuna ku bigere wamu n’emmotoka era basuule emisanvu ku nguudo ez’enjawulo naddala eziyingira mu kibuga. “Essaawa ya Kafyu erina okukwatibwa n’amaanyi era bakakase nti ebiragiro bya Ssennyiga Corona bigobererwa.” Ochom bwe yategeezezza.Kino kiddiridde ebipande ebyenjawulo ebyatimbiddwa nga birabula okulemesa okulayira kwa Pulezidenti Yoweri Museveni. Ebipande bino biriko ebigambo ebisoma nti , “Museveni Tajja Kulayira” era kigambibwa nti byatimbiddwa ab’ekisinde kya ‘Time is Now’ ekivuunulwa nti ‘Eno y’essaawa.’Ekisinde kino gyebuvuddeko kyategeezezza nti nga kikolagana n’ebibiina by’obwannakyewa wano n’ebweru, kigenda kukola buli kimu okulaba nti Museveni talayizibwa ku lunaku lwa May 12.Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigire eggulo ku Mmande yategeezezza nti bagenda kukola buli kimu okulaba nti tewabaawo atabula mirembe. https://gambuuze.ug/2021/03/09/abaduumizi-ba-poliisi-balabuddwa-okwerinda-okwekalakaasa-kwa-nup/ +politics Lubaga South : Bannamateeka ba Mukasa bawakanyizza obujulizi obupya obuleeteddwa Eugene Nassolo Bannamateeka b’omubaka wa Lubaga South, Aloysious Mukasa bawakanyizza obujulizi obupya obuleeteddwa Eugene Nassolo ng’awakanya ebyava mu kalulu ka January 14. Omumbejja Nassolo nga ye yakwata ekyokubiri yaddukira mu kkooti ng’awakanya okulondebwa kwa Mukasa olw’ensonga nti yagulirira abalonzi ng’abawa obukookolo, ssabbuuni, ssukaali n’amatooke ate nga n’ebitabo bye tebiwera. Leero ku Lwokubiri bannamateeka ba Nassolo okuli;Caleb Alaka, Samuel Muyizzi ne Kenneth Paul Kakande bategeezezza kkooti nti balina obujulizi obulala bwa mirundi etaano bwe baagala okuwaayo mu musango guno. “Tulina obujulizi obulala bwa mirundi etaano era tusaba kkooti ebukkirize tusobole okubuwaako abawawaabirwa era twetegese okutwala okulung’amizibwa kwonna kkooti kw’eneetuwa.” Kakande bw’ategezeezza kkooti. Wabula kino bannamateeka ba Mukasa bakigaanyenga bagamba nti etteeka erifuga emisango gy’okulondebwa kw’ababaka terikkiriza kuwaayo bujulizi bulala kuba obudde bw’okuleeta obujulizi bwaggwaayo. “Omuwaabi (Nassolo) yalina obudde obumala okuleeta obujulizi. Kati wayise emyezi 5 era kkooti tesobola kumukkiriza kubeera ng’akyusa obujulizi buli kadde.” Munnamateeka Justin Ssemuyaba bw’agambye. Munnamateeka w’akakiiko k’ebyokulonda, Hamidu Lugoloobi akkaanyizza ne Ssemuyaba n’ategeeza nti waliwo ekiseera obujulizi mwe bulina okuleetebwa so si muntu w’abeera ayagalidde. Wabula bannamateeka ba Nassolo nga bakuliddwa CalebAlaka bategeezezza nti kye bakoze kwe kusabakkooti erabe oba enakkiriza obujulizi bwabwe era kiri eri mulamuzi okubukkiriza oba okubugaana kuba baakosebwa nnyo embeera y’omuggalo ne balemererwa okuwaayo obujulizi mu budde. OmulamuziWinifred Nabisinde omusango agwongeddeyo okuwa ensala ye ku bujulizi buno okukkirizibwa oba nedda. https://gambuuze.ug/2021/08/24/lubaga-south-bannamateeka-ba-mukasa-bawakanyizza-obujulizi-obupya-obuleeteddwa-eugene-nassolo/ +politics Amasasi ne ttiyaggaasi binyoose nga Kyagulanyi atabaala Busoga Busoga Amasasi ne ttiyaggaasi byefuze kampeyini z’Omubaka Robert Kyagulanyi Ssentamu era nga y’akutte bendera y’ekibiina kya National Unity Platform ku bwapulezidenti, bw’abadde atalaaga ebitundu bya Busoga okuwenja akalulu. Omubaka Kyagulanyi nga ayogerako eri abawagizi be mu Busoga Poliisi obwedda ekuba ttiyaggaasi n’amasasi okugumbulula abawagizi ba Kyagulanyi naye nga bano naddala abavubuka bongera kugoberera mmotoka ye wakati mu kuyimba ennyimba ezimuwaana. Abavubuka bano Kyagulanyi abategeezezza nga bw’agenda okuwa bakadde baabwe essuubi eryaggwaawo olw’obukulembeze bwa Pulezidenti Museveni obubakuumidde mu bwavu. Kyagulanyi kampeyini e Busoga yazitandikidde mu Mayuge nadda e Iganga wakati mu kubwatuka kwa ttiyaggaasi n’amasasi. E Mayuge, Kyagulanyi agambye nti, “Mu kiseera Pulezidenti Museveni we yajjira mu buyinza kitange yalina eddembe lye era nga yeeyagala naye w’afiiridde nga yafuuka muddu. Abazadde baffe bangi baggwaamu essuubi, tubaddize essuubi eryo nga tuggyako Museveni.” Obwedda buli w’atuuka ng’asaba abavubuka okweddiza ensi yaabwe, alaze nga Busoga bwe yalina amakolero naye nga kati bino byafuuka lugero. Kyagulanyi agamba nti Busoga erima ebikajjo naye bye batalinako buyinza kugereka bbeeyi. Ono asuubizza nti bw’anaafuuka Pulezidenti ajja kuwa abantu b’e Busoga obuyinza okusalwo ku bbeeyi y’ebikajjo. Kyagulanyi asabye abawagizi be okuggwaayo nga January 14, 2021 bamulonde era bakuume akalulu kaabwe kaleme kubbibwa. https://gambuuze.ug/2020/11/16/amasasi-ne-ttiyaggaasi-binyoose-nga-kyagulanyi-atabaala-busoga/ +politics Abampadde obwaminisita bwe banaaba tebampuliriza nja kulekulira- Owek Ssebuggwawo Abadde Mmeeya wa Lubaga era Minisita omubeezi ow’amawulire ne Tekinologiya, Owek. Joyce Juliet Nabbosa Ssebuggwawo, alabudde bakama be abaamuwadde ekifo ky’obwaminisita nti singa banaalemwa okumuwuliriza ajja kulekulira. Okulabula kuno, Owek. Nabbosa yakukoledde ku Masengere bwe yalabadde awayaamu ne bannamawulire ku ntandikwa ya wiiki eno. “Njagala abampadde obukulu buno bampulirize bwe nnaabaako ne bye njagala kubanga nze saabubasaba era simanyi bwe baabironda. Nze saagala mivuyo era nabo bakimanyi. Noolwekyo bwe nnaalaba nga tebampuliriza nga ndekulira.” Owek. Ssebuggwawo bwe yagambye. Owek. Ssebuggwawo agamba nti okusinga nti wakutalaaga mu bantu, amanye ebizibu byabwe kuba kisinga okutuula mu woofiisi, kimuyambe okumanya ebizibu byennyini ebiruma abantu. Ono agamba nti ebimu ku bintu by’agenda okufaako kwe kulaba ng’asitula omutindo gwa bannamawulire era abasembeze ku mwanjo era basobole okunyweza obumu, okusobola okutuuka ku bintu ebinene n’okufuna omusaala okutandikirwako. Minisita Ssebuggwawo awakanyizza ebigambibwa nti alina obutakkaanya n’ekibiina kya Forum for Democratic Change (FDC) n’agattako nti bannakibiina abasinga obungi bali mabega we wadde nga tasobola kubasanguza. Ono era alabudde bannabyabufuzi abamwogerera amafuukuule nga bamunenya okutwala ekifo kino kye bayita okubalyamu olukwe, kyokka nga nabo ebifo bye balimu nabyo bigwa mu gamu ku masiga agakola gavumenti. Owek. Nabbosa asabye bano okuva mu by’obufuzi ebyekito naye bakolere abantu kuba gwe mulamwa omukulu essaawa eno. https://gambuuze.ug/2021/06/25/abampadde-obwaminisita-bwe-banaaba-tebampuliriza-nja-kulekulira-owek-ssebuggwawo/ +politics Gavumenti eyagala okulonda kwa Sipiika wa Palamenti kwongezebweyo Kampala Ssaabaminisita w’eggwanga era nga y’akulira entambuza y’emirimu gya gavumenti mu lukiiko lw’eggwanga olukulu, Dr. Ruhakana Rugunda, awandiikidde Sipiika wa Palamenti, Rebecca Kadaga ku lwa gavumenti, ng’asaba atuuze akakiiko akafuzi aka Palamenti, kasobole okwongerayo okulonda kwa Sipiika awamu n’omumyuka we. Okusinziira ku mitendera, okulondebwa kwa Sipiika n’omumyuka we bye bimu ku bintu ebirina okusooka okukolebwa oluvannyuma lw’ababaka okulayira, ababaka mu Palamenti y’e 11 balina kulayira nga 17 ne 18 Omwezi guno. Ebbaluwa Ssaabaminisita gye yawandiikidde Sipiika Kadaga nga 4, omwezi guno, eyagala okulonda kuno kwongezebweyo okutuuka nga 21 omwezi gwe gumu. Rugunda yategeezezza nti ebibiina ebirina ababaka mu Palamenti ye 11 byetaaga okutuuza obubondo bwabyo okusalawo ku bantu be birina okusimbawo ku bwasipiika wamu n’omumyuka we nga noolwekyo byetaagayo akadde. Ebiriwo biraga nti abantu bana bokka be balaze nti beetaaga okuvuganya ku kifo kya Sipiika ekirimu Rebecca Kadaga essaawa eno era y’omu ku bali mu lwokaano. Abalala ye mumyuka we Jacob Oulanyah, omubaka omukyala owa Rakai, Juliet Kinyamatama nga bano bonna ba NRM awamu n’owa FDC, Ssemujju Nganda. Ate bo abaagala eky’omumyuka bawerako nga ku bano kuliko; Omubaka wa Lwemiyaga, Theodore Ssekikubo, Anita Among (Bukedea woman), Jacob Oboth Oboth (West Budama ), Thomas Tayebwa (Ruhinda North) ne David Bahati (Ndorwa West). https://gambuuze.ug/2021/05/07/gavumenti-eyagala-okulonda-kwa-sipiika-wa-palamenti-kwongezebweyo/ +politics Museveni agamba eby’okuyimiriza kkampeyini tebyamusanyudde Mukono Avuganya ku bwapulezidenti ku kkaadi ya National Resistance Movement (NRM), Yoweri Kaguta Museveni, ategeezezza nti teyasanyukidde kiragiro kya kakiiko ka byakulonda ekiyimiriza enkung’aana ne kkampeyini mu bitundu ebimu okutangira ekirwadde kya Ssennyiga Corona. Uganda’s President Yoweri Museveni waits for Ethiopia’s Prime Minister before a welcome ceremony at State House in Entebbe on June 8, 2018. (Photo by Sumy SADRUNI / AFP) (Photo credit should read SUMY SADRUNI/AFP/Getty Images) “Nze sikubangako ku nkung’aana naye akakiiko k’ebyokulonda kantadde wamu ne Kyagulanyi, naye Katonda abalaba.” Museveni bw’agambye ng’ali e Mbalala mu Mukono olwaleero bw’abadde atongozza ekifo ekigenda okubunyisa amasannyalaze. “Tusisinkana bakulembeze bokka era bwe tusisinkana abawagizi tetufuluma naye olwokuba ye ssentebe w’akakiiko Byabakama alagidde, tujja mugondera.” Pulezidenti Museveni bw’agasseeko. Museveni wadde emabegako abadde ayambala ssaati za kyenvu ez’ekibiina kye, leero abadde mu ssuuti. “Leero nninga mukungu era sisuubira nti waliwo anaagamba nti nkoze kkampeyini, Byabakama mumugambe nti twalabye omusajja afaanana abakozi b’ekibiina kya UN,” Museveni bw’annyonnyodde. Kino kiddiridde akakiiko k’ebyokulonda ku Lwomukaaga, okuwera kkampeyini mu disitulikiti 11 okuli; Masaka, Kampala ne Wakiso, olwa Ssennyiga Corona eyeeyongedde ennyo mu bitundu bino. Okusinziira ku mwogezi w’akakiiko kano, Paul Bukenya, kkampeyini zino ze zivuddeko ekirwadde okweyongera era kwe kusalawo okuziwera. Mu bitundu ebirala kuliko; Kazo, Kabarole, Mbarara, Luweero, Jinja, Kalungu, Kasese ne Tororo. Ekiragiro ky’Omulamuzi Byabakama we kyajjidde nga Pulezidenti Museveni ewasinga yamazeeyo nga asigazza Wakiso, Kampala ne Mukono, amalirize kkampeyini ze. https://gambuuze.ug/2020/12/28/museveni-agamba-ebyokuyimiriza-kkampeyini-tebyamusanyudde/ +politics Pulezidenti Museveni tafaayo ku Bakaramoja  – Bobi Wine Akulira ekibiina ki National Unity Platform (NUP), Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) ategeezezza nti abantu be Karamoja mu kiseera kino beetaaga obuyambi bw’emmere nabuli ngeri kuba bangi bakyagenda mu maaso n’okutondoka olw’enjala. Bino Kyagulanyi yabyogedde awaayo ttani z’emmere n’ebijjanjalo eri Abakaramoja olunaku lw’eggulo okusobola okubataasa ku mbeera eno nasaba ne bannayuganda abalala okubaduukirira nakatono kebalina. “Fenna tukimanyi nti bannayuganda tebalina kyakulya wadde Karamoja yeesinze okukosebwa. Naye Gen Museveni ne banne batunuulidde kimu ngeri gyebasobola kwongera kwegagawaza nakulemera mu buyinza awatali kufaayo ku bantu be Karamoja ne bannayuganda abalala,” Kyagulanyi bwe yagambye. Ono yalabudde nti mubanga ttono, bannayuganda bajja kuwulira nti obusente obutono obwaweereddwayo okuyambako ku bantu bano nti ate bubbiddwa oba babukozesezza ebirala. Okusinziira ku Kyagulanyi, ebbeeyi y’emmere eri waggulu etadde bannayuganda mu kaseera akazibu nga bangi tebakyasobola kulya mmere egwanidde. Okusinziira ku kitongole ki ‘Intergrated Food Security Phase Classification (IPC) kigamba ekitundu kiramba ku bantu ababeera e Moroto bamalako olunaku lulamba nga tebalabye ku kakulya nga kino kibeerawo ennaku satu nnamba mu mwezi ekintu ekyongedde okwelariikiriza. Aba IPC bagamba abantu 518,000 ( by’ebitundu 40 ku buli 100) e Karamoja bali mu katyabaga k’enjala nga omuwendo guno gulinnye okuva ku bantu 361,000 (ebitundu 30 ku 100) mu 2021. Bino webijjidde nga Ssaabaminisita Robinah Nabbanja ku Lwokubiri yalaze nga gavumenti bwewaddeyo obuwumbi 135 okukola ku njala eri mu kitundu kino. https://gambuuze.ug/2022/07/14/pulezidenti-museveni-tafaayo-ku-bakaramoja-bobi-wine/ +politics Aba gavumenti ez’ebitundu bawandikidde Pulezidenti Museveni abasisinkane nga tebaneediima Ekibiina ekitaba abakulembeze ba gavumenti ez’ebitundu mu ggwanga ki Uganda Local Government Association (ULGA) batabukidde gavumenti ku musaala omutono gwebafuna nebategeeza nti singa tebongezebwa musaala bakuteeka wansi ebikola. Okulabula kuno bakukoledde mu bbaluwa gyebawandiikidde Pulezidenti Museveni nebamusaba okumusisinkana bongere ku nsonga eno mu bwangu ddala oba sikyo beediime ng’eno eteereddwako omukono gwa ssentebe w’ekibiina Richard Rwabuhinga. Bagamba nti ng’abakulembeze abaalondebwa abantu bakola emirimu mingi,n’obuvunaanyizibwa bwebatuusa ku bantu bungi wabula basasulwa akasente katono nga mu mbeera eriwo mu ggwanga baba tebakyasobola kumalako. Abamu ku bassentebe badisitulikiti bagamba nti ebitundu byabwe binene kyokka nga beetaaga okutuukira ddala ku muntu asembayo wansi kyokka baweebwa omusaala gwa bukadde 2 bwokka nga tezisobola kubamala. Kati bano baagala omusaala gwabwe gukubisibwemu emirundi 4 batuuke ku bukadde 8 n’abakulembeze abalala bwebatyo. Bano okusaba okusisinkana Pulezidenti Museveni kizze yakamala okusisinkana abasomesa b’embeera (Arts) ababadde mu kwediima nga bawakanya ekya gavumenti okusooka okwongeza abasomesa ba Saayansi omusaala kyebagamba nti kikolwa kya kusosola. Wabula oluvannyuma lw’ensisinkano eno, Pulezidenti Museveni yabasabye okudda mu bibiina byabwe basomese nga bwebateeseganya era nebakkiriza okusazaamu akeediimo akabadde kamaze wiiki ezisoba mu 3. https://gambuuze.ug/2022/07/06/aba-gavumenti-ezebitundu-bawandikidde-pulezidenti-museveni-abasisinkane-nga-tebaneediima/ +politics Abamu ku bawagizi ba NUP beekweka ne bagamba nti baawambibwa – Minisita Odongo Kampala Minisita w’ensonga z’omunda mu ggwanga era Munnamagye Jeje Odongo akalambidde ng’agamba nti balina abawagizi ba National Unity Platform (NUP) 58 bokka mu bifo byabwe. Odongo abadde ayanukula omubaka w’ekibuga Masaka era omumyuka wa Pulezidenti wa NUP mu Buganda, Mathias Mpuuga eyaleese alipoota mu Palamenti nga eraga ng’abawagizi baabwe 423 bwe batalabikako. Ku bano 423, Odongo agamba balinako 58 bokka era abamu baamala dda n’okubayimbula. “Alipoota eziva mu bakessi baffe ziraga nti abamu ku bantu bano bagenda mu byalo ne beekweka nga batya okukwatibwa bavunaanibwe.” Odongo bwe yagambye. Minisita Odongo agamba nti abamu ku baakwatibwa baasindikibwa ku alimanda era bavunaanibwa mu kkooti era n’agattako nti ekitundu ekisinga ku lukalala Mpuuga lwaleese mu Palamenti tebasobola kukakasa bantu baluliko. “Ku bantu 1035 abaakwatibwa mu kaseera k’okulonda 901 baavunaanibwa mu kkooti era om ku bo ye Kyagulanyi (Bobi Wine) yennyini, 734 baasindikibwa ku alimanda, 167 baayimbulwa ku kakalu ka kkooti, 113 baayimbulwa ku kakalu ka poliisi ate 21 ne bayimbulwa poliisi nga tebalina musango.” Odongo bwe yannyonnyodde. Wabula akulira oludda oluvuganya mu Palamenti, Betty Aol Achan, yategeezezza nti alipoota ya Minisita Jeje Odongo tematiza nga waliwo ebibuuzo byetaddamu. https://gambuuze.ug/2021/04/16/abamu-ku-bawagizi-ba-nup-beekweka-ne-bagamba-nti-baawambibwa-minisita-odongo/ +politics Aba NUP e Ssembabule basuddewo owaabwe ne beegatta kw’atalina kibiina Ssembabule Okulonda kw’akalulu ka bonna aka 2021 nga kwongera okusembera, agava mu ssaza lya Kabaka erya Mawogola, galaga nga bannakibiina kya National Unity Platform NUP, bwe basuddewo alina kkaadi y’ekibiina ku bubaka bwa Mawogola North ne bawagira ali ku bwannamunigina. Abamu ku bawagizi abasaze eddiiro Bano abasoba mu kikumi bagamba nti basazeewo okuwagira Nakayiza Catherine atalina kibiina kubanga alina bbendera mu NUP, yalemwa okugenda wansi mu bantu okunoonya akalulu. Bano okuli; Jjuuko Herman, Luwemba Emmanuel kwosa, Ndugga Kamada n’abalala, basinzidde ku Cristo centre mu ttawuni kkanso y’e Ssembabule ne balangirira nga bwe basaze eddiiro. Bano balumiriza nti munnakibiina kyabwe, Nyanzi Henry Mawejje, okulabikako mu bantu yakoma ku kwewandiisa ng’alinga eyava edda mu lwokaano. Nakayiza nga ayogerako eri abasaze eddiiro Bannyonnyodde nga Mawejje bw’atalina ky’akoze ku bannaabwe abasibwa mu makomera n’okutulugunyizibwa, oluvannyuma lw’okukwatibwa Kyagulanyi lwe yali e Ssembabule ng’anoonya akalulu. Ekirala, kye bavunaanye Mawejje kwe kuba ng’ebizibu byabwe ebibaluma tabimanyi bulungi kuba si nzaalwa ya kitundu kino, nga kigenda kumubeerera kizibu okubikolako kuba wadde akalulu tekannakubibwa naye abakozesezza awatali kubayamba mu ngeri yonna. Bagattako nti wadde Nakayiza si y’alina kkaadi ya NUP naye yakola buli kimu okwaniriza Kyagulanyi nga Mawejje atunula butunuzi. Ate ye Nakayiza Catherine bw’abadde ayaniriza abantu bano, abasabye okunywerera ku Kyagulanyi awangule obwapulezidenti kubanga y’alimu omulamwa era baleme kutiisibwatiisibwa. Bwe tutuukiridde Nyanzi Henry Mawejje ku nsonga eno, agambye nti abamwabulidde tabalinaako buzibu era nga ddembe lyabwe okuwagira omuntu yenna gwe baagala wadde nga baguliddwa obusente ssente. Agambye nti si kituufu nti tali mu bantu kuba kkampeyini azze azikola ng’atambula mu bantu kw’ossa n’okuteeka obulango ku mikutu egyenjawulo mu kitundu, n’agamba nti abaguliddwa baweereddwa waragi. https://gambuuze.ug/2021/01/06/aba-nup-e-ssembabule-basuddewo-owaabwe-ne-beegatta-kwatalina-kibiina/ +politics Ababaka ba Palamenti balayidde obutaganya gavumenti kuggyawo mayiro Ababaka ba Palamenti ku ludda oluwabula gavumenti nga bakulembeddwamuMinisita w’ebyettaka ku ludda oluwabula gavumenti, Eng.Ronald Nsubuga Balimwezo n’omubaka wa Mityana South, Richard Lumu, baweze obutaganya gavumenti kuggyawo ttaka lya mayiro kuba kikontana ne Ssemateeka. Bano ekirayiro kino bakikoze basisinkanyeMinisita w’ebyettaka mu Buganda, Owek. Mariam Mayanja Nkalubo wamu n’abakungu okuva mu Buganda Land Board ku Lwokuna e Bulange Mmengo. Mu nsisinkano eno, omubaka Lumu yawadde Obwakabaka amageziokulondoola ensonga y’ettaka nga butunuulira Ssemateeka wa 1962 kuba annyonnyola bulungi obwannannyini bw’ettaka wamu n’obukulu bwa mayiro mu Buganda. “Ssemateeka wa 1962 annyonnyola bulungi ensonga y’ettaka ng’eva ku ndagaano ya 1900 newankubadde nga baagiggyawo era kubanga yali erina engeri gy’ennyonnyola obwannannyini bw’ettaka nawanga 15. Era nnina ekirowooza nti singa tuddayo ne twebuuza ku Ssemateeka wa 1962 n’ebizibu bye tulimu biyinza okuggwaawo.” Munnamateeka Lumu bwe yagambye. Ono era ategeezezza nti waliwo ebyekusifu ebikwekeddwa mu tteeka lye baagala okukolamu ennongoosereza mu kawayiro 26, wano n’asaba Obwakabaka okukwatagana n’abakulembeze b’ennono abalala kuba kino kikosa bonna. YeEng. Ronald Balimwezo, agamba nti bagenze batambula mu bantu ab’enjawulo abakwatibwako ensonga y’ettakaokusobola okumalawo emirerembe egiriko awamu n’okulaba nti bannanyini ttaka tebalyamanyizibwa. “Buganda ekwata kyakubiri ku balina ettaka eringi ng’eddirira gavumenti eyaawakati nekuddako abakatoliki. Nasobodde okufuna omukisa n’enjogerako nabo era tumanyi bulungi nti waliwo okusoomoozebwa ku ttaka.” Balimwezo bwe yannyonnyodde. Owek. Mariam Nkalubo yasoose kubabuulira ensonga ezaanokolwayo Kamalabyona wa Buganda ezisibukako enkaayana ku ttaka n’asaba nti singa zino zitunulwamu mu ngeri y’obukkakkamu tewali kuwannaanya, ensonga y’ettaka esobola okumalirizibwa. “Twagala tugonjoole ebintu ebyo nga tugendera ku nkola ya Ssaabasajja Kabaka gye yalambika ng’ayita mu kitongole kya Buganda Land Board bwe yagamba nti bw’oba tolina busobozi owa busuulu ate afunye ku busobozi asobola okusasula busuulu era bonna ne basigala ku ttaka.” Minisita Nkalubo bwe yagasseeko. Kinajjukirwa nti Omutanda bwe yali ku Matikkira ge ag’omulundi ogwa 28 e Nkoni yakakasa nga Buganda bw’etagenda kukkiriza muntu yenna kutwala bintu byayo by’erinako obwannannyini nga muno mwe muli n’ettaka. https://gambuuze.ug/2021/08/13/ababaka-ba-palamenti-balayidde-obutaganya-gavumenti-kuggyawo-mayiro/ +politics Owek. Kiyimba asabye gavumenti eyimbule Ssewanyana ne Ssegiriinya Minisita w’ensonga z’Amawulire mu Buganda, Owek. Noah Kiyimba asabye gavumenti erowooze ku ky’okuyimbula ababaka okuli Muhammad Ssegiriinya nowa Makindye West Allan Ssewanyana basobole okufuna eddembe lyabwe eribaweebwa Ssemateeka. Okwogera bino Owek. Kiyimba abadde atikkula Amakula ga Ssaabasajja Kabaka okuva mu Bannakawempe ab’eggombolola ya Mutuba II Nabweru ne Mutuba V Kawempe ku Lwokusatu mu Lubiri e Mmengo. “Tulabye abazizza emisango eminene okusinga negino naye nebaba nga bayimbulwa ku kakalu aka kkooti naye ne bano abakulembeze Ssegiriinya ne Ssewanyana tusaba kkooti ebayimbule bawoze nga bava wabweru kuba tetulowooza nti basobola okudduka mu ggwanga lino kuba waliwo n’abantu abagundivu abasobola okubeeyimirirwa,” Owek. Kiyimba bw’asabye. Asabye amasaza amalala okuyigira ku Kyaddondo basobole okuyigiriza abaana ennono n’obuwangwa awamu n’obuvunaanyizibwa bwabwe kuba kibeera kikulu okubaateekateeka okusinga okubategekera olwo ensi lwesobola okubanguyira nabo okugiganyulwamu. Ono yeebazizza Pulezidenti Museveni okulaga nga bwagenda okukwasizaako abalimi b’emmwaanyin kuba kino kigenda kwongera ku bulimi bwazo awamu n’okulaakulanya eggwanga kuba Omuyitale Enrica Pinetti tasobola kulumirirwa Uganda kusinga bannansi. Minisita Kiyimba abasabye okulima emmwaanyi basirike nasaba abantu bonna okudda mu bitundu byabwe gyebava bweba baagala okubikulaakulanya era nakunga Abaami ba Kabaka okulondoola emikolo gy’Obuwangwa n’ennono ebikolebwa mu bitundu byabwe kitaase okusereba kw’Ennono. Katikkiro w’Ebyalo bya Kabaka Omuk.Moses Luutu yeebaziza abakiise embuga olwokukufaayo okutuukiriza obuvunanyizibwa bwabwe era nasaba nabalala okubalabirako. Abaami ba kabaka abamulamulirako eggombolola ezikiise embuga banjudde Alipoota omubadde ebituukiddwako kwosa nebibasomooza mu buweereza kyoka nebawera okusigala nga bakozi okwongera okunyweza Nnamulondo. Abakiise embuga kubaddeko abaana ba masomero , abaami ba ssaabasajja ku mitendera egyenjawulo , abakulembeze mu Bwakabaka ne gavumenti eyawakati era bano baweze okuweereza Beene awatali kumutiiririra okuzza Buganda ku ntikko. Ebireeteddwa kubaddeko emmere , ebibala ebisolo nebintu ebiralala https://gambuuze.ug/2022/06/08/owek-kiyimba-asabye-gavumenti-eyimbule-ssewanyana-ne-ssegiriinya/ +politics Museveni ayise Kadaga ne Oulanyah bateese ku kifo kya Sipiika Kampala Ssentebe w’ekibiina kya National Resistance Movement (NRm) era Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ayise Sipiika wa Palamenti Rebecca Kadaga n’Omumyuka we Jacob Oulanyah bateese ku kalumanywera ali ku kifo kya Sipiika anaakubiriza Palamenti y’e 11. Pulezidenti Museveni nga asisinkanye Sipiika Kadaga n’Omumyuka we Jacob Oulanyah gyebuvuddeko Embiranye eyamanyi eri wakati wa Sipiika aliko kati era amaze emyaka 10 nga ali mu kifo kino Rebecca Kadaga n’omumyuka we Jacob Oulanyah. Ensonda ezeesigika mu maka g’Obwapulezidenti zitegeezezza nga Pulezidenti Museveni bwagenda okusisinkana ababiri bano olwa leero, nga ekikulu ekigenda okwogerwako lwe lwokaano lwa Sipiika. Waliwo amaloobozi agabadde gawulirwa nti akakiiko ka NRM ak’okuntikko akamanyiddwa nga CECE nti kawagira Jacob Oulanyah kuba bakkiriziganya kino kibeere ekisanja kya Kadaga ekisembayo wadde Kadaga agamba nti kino ssi kituufu abakulu bonna bawagira ye. Wadde Kadaga yatongozza kakuyege w’okunoonya akalulu yeddize ekifo kino, Oulanyah ye tannavaamu kyamaanyi nga buli ensonga eno lwevaayo ajjuliza kimu nti abakulira ekibiina bajja kusalawo anavuganyiza ku kaadi y’ekibiina. Obutakkaanya bwa bano bweyongedde nga buli ludda lulumiriza lunnaalwo okumansa ebigambo ku lunnaalwo ekyawaliriza Ssaabawandiisi w’ekibiina, Justine Kasule Lumumba okusaba enjuyi zombi okwekomako. Wabula olwa leero kisuubirwa nti akulira ekibiina kya NRM agenda kwogerako nabo basobole okutta ku bigere n’okweyogerera amafukuule kuba kittatana ekibiina. Yo NRM ng’ ekibiina egenda kubeera n’olusirika lw’ababaka abalonde e Kyankwanzi okusalawo ani anaakwatira ekibiina bbendera ku kifo kino. Ssentebe wa NRM era asuubirwa okwogera n’abavuganya ku kifo ky’omumyuka wa Sipiika abali mu kibiina kya NRM. Abavuganya ku kifo kino kuliko omubaka omukyala owa Bukedea Annet Anita Among, Minisita David Bahati ne Robinah Rwakoojo. Wadde obukakafu bwebyo ebigenda okuteesebwako tebimanyiddwa, ensonda mu maka g’Obwapulezidenti zikakasa nti Dr. Ruhakana Rugunda yagenda okukubiriza ensisinkano zino. https://gambuuze.ug/2021/03/29/museveni-ayise-kadaga-ne-oulanyah-bateese-ku-kifo-kya-sipiika/ +politics Mao agudde mu bintu, M7 amulonze okubeera Minisita wa Ssemateeka n’Obwenkanya Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni alonze Ssenkaggale wa Democratic Party (DP), Nobert Mao okubeera Minisita w’ensonga za Ssemateeka n’Obwenkanya nga wakayita olunaku lumu lwokka nga batadde emikono ku ndagaano okukolera awamu. Okusinziira ku bbaluwa efulumiziddwa ku Lwokuna, ng’eriko omukono gwa Pulezidenti Museveni egamba nti, “Nga nkozesa obuyinza obumpebwa Ssemateeka mu nnyingo 113 (1) ne 114 (1) eya Ssemateeka wa 1995, nangirira Mao nga Minisita omuggya ow’obwenkanya.” Kino era Pulezidenti Museveni akikakasizza nga ayita mu bubaka bw’atadde ku mutimbagano. Bino webijjidde nga wakayita olunaku lumu lwokka nga Ssenkaggale wa DP Mao ne Ssaabawandiisi Gerald Siranda bakamala okusisinkana mu maka g’Obwapulezidenti Entebbe nebakkanya okukolera awamu. Mu ngeri yeemu, Omubaka Hamson Obua alondeddwa okubeera Nampala wa gavumenti ng’ekifo kino kibadde kikalu oluvannyuma lw’eyakirimu Thomas Tayebwa okulondebwa nga Omumyuka wa Sipiika wa Palamenti. Ye Peter Ogwang asikidde Obua nga minisita w’ebyemizannyo so nga Beatrice Okello, nga ye mubaka omukyala owa Agago, alondeddwa nga minisita alondoola emirimu gya gavumenti. https://gambuuze.ug/2022/07/21/mao-agudde-mu-bintu-m7-amulonze-okubeera-minisita-wa-ssemateeka-nobwenkanya/ +politics Bobi Wine akakasiddwa okuvuganya mu kalulu ka 2021 Kyambogo Akakiiko k’ebyokulonda kawandiisizza Omubaka Robert Kyagulanyi Ssentamu ng’omu ku bagenda okuvuganya mu kalulu ka bonna aka 2021. Omubaka Kyagulanyi ne mukyala we nga bagenda okwewndiisa “Nze Omulamuzi Byabakama Mugenyi Simon nga nze mpandiisa abantu abagenda okwesimbawo ku bwapulezidenti, nangirira Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) ng’omu ku beesimbyewo ku bwapulezidenti oluvannyuma lw’okutuukiriza ebisaanyizo by’etteeka erirambika okulondebwa kwa Pulezidenti erya ‘Presidential Elections Act erya 2005,” Byabakama bw’agambye. Ono ow’emyaka 38 tasobodde kukweka ssanyu lye oluvannyuma lwa ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda Byabakama okumuyita okunona empapula ezikakasa nti ono awandiikiddwa. Byabakama alabudde Bobi Wine obutagezaako kujeemera biragiro bya Ssennyiga Corona ebibaweereddwa akakiiko kano. “Okukuba enkung’aana n’okuyisa ebivvulu n’oluseregende lw’emmotoka tebikkirizibwa,” Byabakama bw’alagidde Kyagulanyi, obwedda agambibwa okujja ng’ayogerako n’abawagizi be bw’abadde agenda okwewandiisa. Byabakama amusabye okwewala okukung’aanya abantu abangi kubanga kino kiteeka obulamu bw’abantu be mu matigga. Kino kiddiridde abawagizi okuli aba boodabooda n’abantu abalala bawerekedde Kyagulanyi okuva ewaka we e Magere okutuuka e Nakawa Era wano wabaddewo Vvaawo mpitewo ng’abeebyokwerinda bagezaako okuziyiza abawagizi okumugoberera. Abamu ku bano balemeddeko era okukkakkana ng’abamu bakubiddwa omukka ogubalalagala ate abalala ne babayisaako ow’embuya okusobola okubagumbulula. https://gambuuze.ug/2020/11/03/bobi-wine-akakasiddwa-okuvuganya-mu-kalulu-ka-2021/ +politics Kabuleta: Omulamuzi Byabakama bye yasoma tebikwatagana na byava mu bifo eyalonderwa Kampala Eyavuganyizza ku ntebe y’Obwapulezidenti mu kalulu akawedde aka 2021, Joseph Kabuleta, yeegasse ku banne abalala n’awakanya ebyava mu kulonda. Munnamawulire Joseph Kabuleta Kabuleta yagambye nti ku byonna ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda, Simon Byabakama Mugenyi, bye yasoma byali tebikwatagana n’ebyo ebyava mu bifo ebyalonderwamu. Ono eyafuna obululu obuwera 45,424 nga bukola obutundu 0.44% bw’atyo bwe yeemulugunyizza ng’ayogerako n’omukutu gw’amawulire ogumu. “Tewali kyanneewuunyisa ku ebyo byonna ebyaliwo. Nayingira mu lwokaano luno nga mbisuubira. Ebibalo ebyalangirirwa byonna byali biyiiye buyiiya.” Kabuleta bwe yagambye. Yannyonnyodde nti mumativu nti eggwanga liriko ekkubo lye likutte. “Nkyali ku kununulwa mu byenfuna kubanga gwe musingi gwa buli kimu, twagala Museveni y’aba Nnakyemalira asembayo okufuga eggwanga lyaffe.” Kabuleta bwe yagasseeko. Kabuleta yawagidde Kyagulanyi olw’okuddukira mu kkooti okuwakanya ebyava mu kalulu n’agattako nti tewali ngeri yonna Museveni gye yali asobola kuwezaamu bitundu 50%. Okusinziira ku byava mu kakiiko k’ebyokulonda, Museveni yawangula akalulu n’obukadde 6,042898 obukola ebitundu 58.38% ate Kyagulanyi n’akwata kyakubiri 3,631,437 n’ebitundu 35.08%. Mu kalulu kano Patrick Amuriat Oboi owa Forum for Democratic (FDC) yafuna obululu 337,589 by’ebitundu 3.26 %, Nancy Kalembe n’afuna 38,772 obukola ebitundu 0.37%, John Katumba yafuna 37,554 by’ebitundu 0.36%, Nobert Mao n’afuna obululu 57,682 by’ebitundu 0.56%. Mu balala, Willy Mayambala yafuna 15,041 obukola 0.15%, Mugisha Muntu Gregg n’afuna 67,574 by’ebitundu 0.65%, Fred Mwesigye yakung’aanya 25,483 nga buno bukola 0.25% ate munnamagye Henry Tumukunde n’afuna 51,392 by’ebitundu 0.50%. https://gambuuze.ug/2021/02/08/kabuleta-omulamuzi-byabakama-bye-yasoma-tebikwatagana-na-byava-mu-bifo-eyalonderwa/ +politics Tetwagala beegwanyiza bukulembeze nga tebakiika Mmengo – Katikkiro Mayiga Katikkkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga, ategeezezza nti nga Buganda tebandyagadde kufuna mukulembeze atakiika Mmengo kuba ensonga za Buganda abeera tamanyi ngeri yakuzikwatamu. Bannakibiina kya Abassa ekimu nga bali ne Katikkiro Mayiga “Ffe Kabaka ye Kitaffe eno y’embuga ye, era saagalira ddala kuwulira munnabyabufuzi ang’amba nti nze ebya Buganda tebimukwatako ng’ali wano mu Buganda. Oba ebya Buganda tebikukwatako genda okiikirira ab’e Pongdong yo tewaliiyo bifo bironderwamu, lwaki oyagala okwesimbawo mu Buganda nga ebya Buganda tebikukwatako?” Mayiga bw’agambye. Bino Katikkiro abyogeredde mu nsisinkano n’ekibiina ky’abakyala abakatoliki ab’ekibiina kya Abassa ekimu okuva e Rubaga ababadde bakiise Embuga n’ettu lya ssekukkulu. Owek. Mayiga bannabyabufuzi abawadde amagezi okukulembeza ensonga za Buganda basobole okufuna emikisa n’obuwagizi bw’abantu ba Buganda kuba Kabaka gwe mutwe. Ono asabye abantu okujjumbira okulonda kw’omulundi guno wadde nga waliwo okusoomoozebwa era balondoole okulonda kuno era banoonyeze abalimu ensa obululu, basobole okuwangula Kamalabyonna agamba nti tekisoboka kuzimba ggwanga Uganda okuggyako ng’abantu bawang’ana amagezi. Agasseeko nti obwegassi mu bibiina eby’enjawulo kiyamba okuwang’ana amagezi ne basobola okukulaakulana, bw’atyo asiimye ekibiina kino olw’okwolesa obumu. Owek. Mayiga ategeezezza nti eggwanga lyetaaga bannabyabufuzi abalimu ensa era abajja okukiikirira abantu n’obuvunaanyizibwa. Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga, akuutidde abantu ba Beene okwongera okusengejja abeesimbyewo bakole okusalawo okulungi. Abakiise Embuga, babadde bakulembeddwamu Omumbejja Eugenia Nassolo era ng’oggyeeko okugula Satifikeeti z’Obwakabaka, Katikkiro bamutonedde ekirabo kya Ssekukkulu. Omumbejja Nassolo ayanjulidde Katikkiro Mayiga enteekateeka z’okwesimbawo ku bubaka bwa Lubaga South mu Palamenti era n’awera okulwanirira ensonga za Buganda Ssemasonga ettaano bw’anaaba alondeddwa. Nassolo annyonnyodde nti ekitundu kya Lubaga South kikulu nnyo mu Buganda kubanga kye kirimu ebifo bya Buganda ebyenkizo nga mwemuli; Olubiri lw’e Mmengo, Bulange, Olubiri lwa Mujaguzo wamu n’ebifo ebirala, nga byetaaga omuntu ategeera ensonga za Buganda. Bano baguze Satifikeeti okusobola okuzza Buganda ku ntikko era ne beetikka ettu okusiima Katikkiro Mayiga olw’okukulembera obulungi Obuganda. https://gambuuze.ug/2020/12/18/tetwagala-beegwanyiza-bukulembeze-nga-tebakiika-mmengo-katikkiro-mayiga/ +politics Raila Odinga mu Lubiri e Mengo Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II akyazizza Hon. Raila Odinga okuva mu ggwanga lya Kenya. Ssaabasajja Kabaka nga ali ne Raila Odinga owa Kenya. Odinga agambye nti Ssaabasajja mukwano gwe nnyo nti era tasobola kujja mu Uganda natagenda ku mu buzaako. Boogedde ku ngeri gyebayinza okweyambisaamu obufuzi Obw’ensikirano okunyweza omukago gw’obuvanjuba bwa Africa (East African Community). Ensisinkano eno ebadde mu Lubiri e Mengo yetabiddwamu omubaka wa Kenya mu Uganda (Ambassador) His Excellency Kiema Kilonzo, ababaka ba Palamenti ya Kenya, Hon. Florence Mutua, ne Mishi Mbogo. Raila Odinga yavuganyako ku bukulembeze bw’Eggwanga lya Kenya ate era nga yaliko katikkiro (Prime Minister) mu palamenti ya Kenya. https://gambuuze.ug/2019/09/17/raila-odinga-mu-lubiri-e-mengo/ +politics Mulonde bannabyabufuzi abeesigika – Katikkiro Mayiga Kamalabyonna wa Buganda, Charles Peter Mayiga, alabudde abantu ba Ssaabasajja Kabaka ku kulonda bannabyabufuzi abatali beesigwa naye balonde abo abanaasobola okulwanirira Buganda awatali kwekomomma. Mukuumaddamula Mayiga nabaleese oluwalo “Bannabyabufuzi abeesigika ntegeeza abantu abasobola okulwanirira Ssemasonga ettaano awatali kwekomomma, abalimu ensa era abaagala Kabaka waabwe nga tebamwegaana, bakalabakalaba era nga bayiiya, be bafuzi abeesigika.” Katikkiro bw’ategeezezza. Okulabula kuno, Katikkiro okukoledde mu Bulange e Mmengo bw’abadde atikkula oluwalo lwa bukadde obusobye mu 21 okuva mu ggombolola ezivudde e Kyaddondo ne Kyaggwe, leero ku Lwokubiri mu Bulange. Eggombolola zino kubaddeko; Ssaabaddu Ntenjeru, Musaale Nagojje, Ssabagabo Lufuka, ne Musaale Busukuuma ezikiise embuga enkya ya leero ku Lwokubiri. Mukuumaddamula asinzidde wano n’akubiriza abantu ba Beene okubeera abayiiya ate nga bagezigezi batuuke ku buwanguzi olwo Buganda nayo esobola okutuuka ku ntikko, kubanga ebisoomoozo bajja kuba basobodde okubivvuunuka. Mayiga agambye nti Obuganda bubadde bulina abasekeeterezi okuva ku mirembe Emiteesa naye olw’okubeera abatetenkanya basobola okuleeta enteekateeka y’Ettoffaali eyazaala ebibala nga Masengere ne BBS Terefayina. Owek. Mayiga abasabye okubeera abagezigezi n’abakuutira okukomya okwekubagiza mu biseera nga basanze okusoomoozebwa naddala mu mulembe Omutebi kuba okwesaasira tekulina we kubayambira. Ono akubirizza Abaami ba Kabaka okubeera obumu nga bakola emirimu gy’Obwakabaka kiyambe ebitundu byabwe okukulaakulana era nabeebaza okunyikira okuwagira pulojekiti za Buganda nga bayita mu nkola eno ey’Oluwalo. Ono asinzidde wano n’asiima bannabyabufuzi obakoze obutaweera okulaba nga Buganda n’ebitundu bye bakulembera bikulaakulana.Mu bakiise Embuga kubaddeko Omubaka wa Makindye, Ssaabagabo Ssempala Kigozi Ssajjalyabeene, Lulume Bayiga n’abalala. Ate ye Minisita omubeezi owa gavumenti ez’ebitundu, owek. Joseph Kawuki, asabye abantu ba Buganda okwongera okujjumbira Oluwalo era n’abakubiriza okugula emijoozi gy’emisinde gy’amazaalibwa ga Beene agagenda okubaayo nga 29/11/2020. Ye Omwami w’eggombolola ya Ssaabaddu Ntenjeru okuva mu ssaza ly’e Kyaggwe, Sekaggya Richard, asabye Katikkiro okutunula mu nsonga z’ekibbattaka mu ssaza lyabwe kubanga abantu bangi abeezizza ettaka eritali lyabwe ate newatabaawo kibakolebwako. Omukola guno gwetabiddwako abakulembeze b’amasaza okubadde Ssekibobo Elijah Bogere Lubanga, Ow’essaza ly’e Kyaddondo, Nakibirige Agnes Ssempa, bannabyabufuzi n’abalala bangi. Bano baguze ssatifikeeti za Buganda era nebaweebwa n’epipalati ebibajjukiza okwekuuma akawuka ka Mukenenya. https://gambuuze.ug/2020/10/13/mulonde-bannabyabufuzi-abeesigika-katikkiro-mayiga/ +politics Kamalabyonna Mayiga akunze abantu okwettanira omwoleso gwa Buganda Mukuumaddamula Charles Peter Mayiga akunze bannayuganda yonna gyebali okwettanira omwoleso gwa Buganda kibayambe okumanyisa byebakola n’okwerula emikisa gyabwe egy’okulaakulana. Bino Katikkiro Mayiga abyogeredde mu Bulange e Mmengo ku Lwokubiri bw’abadde alambika ku nteekateeka y’omwoleso guno ogwa ‘Omwoleso Gaggadde Expo ogugenda okuyindira mu lubiri e Mmengo nga 19 okutuuka 28 omwezi guno omwaka 2022 . “Omuntu yenna anaagaggawala ateekwa okubaako kyatunda ekyamaguzi kiyinza okuba ekikalu oba ekitali kikalu, nze ndi munnamateeka era eky’okubagagga kyetunda ge mateeka genasoma. Tetusobola kubaako bugagga bwetutuukako nga byetukola tebimanyiddwa,” Owek. Mayiga bw’alambuludde. Okusinziira ku Katikkiro Mayiga mu mwoleso guno abantu bajja kulaga emirimu gyabwe emirala gyebakola bwatyo nasaba abantu okuvaayo okujjumbira basobole okulaakulana kuba obugagga buva mukutunda ebyamaguzi. “Obwakabaka bwategeka omwoleso guno nga bwagala ensi etumanye. Bwoba n’ekintu ekirungi naye nga abantu tebakimanyi ofaanana n’oyo atakirina. Tusoosowaza eby’obulambuzi n’ebyobulimi mu mwoleso guno ogwa Buganda kuba eby’obulambuzi byetulina abantu tebayinza okubyeyunira okuggyako nga babitegedde,” Mayiga bw’alambuludde. Kinajjukirwa nti enteekateeka eno etegekeddwa ekitongole kya Buganda Heritage and Tourism Board wamu naba Luba Events. Omu ku bategesi, Moses Lubuulwa agamba nti ebyokuyiga bigenda kuba bingi mu mwoleso guno okuva ku by’obulimi obulunzi nebirala. Ensisinkano eno yeetabiddwako Minisita w’ebyobulambuzi, Owek. David Kyewalabye Male, Kitunzi wa BHTB Carol Nnalinnya awamu n’abakungu abalala. https://gambuuze.ug/2022/08/16/kamalabyonna-mayiga-akunze-abantu-okwettanira-omwoleso-gwa-buganda/ +politics Mukomye okutabiikiriza ebyobufuzi mu buli nsonga – Owek. Kaawaase Owek. Kaawaase asabye bannabyabufuzi okumanya nti n’ebirowoozo by’abantu abalala bwe biri ebikulu era n’alabula abali ku ludda oluwabula gavumenti, okukimanya nti si buli ekiva mu gavumenti nti kibeera kikyamu. Wabula bateekewo enkola ey’okuwuliziganya kuba kye kisobola okutwala eggwanga mu maaso. Okusaba kuno Owek. Kaawaase akukoledde mu Bulange e Mmengo ku Lwokubiri bw’abadde atikkula Oluwalo ku lwa Katikkiro Charles Peter Mayiga okuva mu bakkansala ba Kampala Capital City Council Authority, nga bakulembeddwa Sipiika Zahara Luyirikan’abakulembeze okuva e Mawogola okubadde n’ababaka ba Palamenti. “Munnabyabufuzi omutuufu nga tannawakanya nsonga na kugiteekamu byabufuzi, asooka kunoonya mazima ku nsonga ez’enjawulo. Ensonga bw’ebeera ya byabulamu ng’okugema bantu ate nga gwe obumanyirivu olina bulala, sooka owulirize abakugu b’ebyobulamu, bagamba ki? Sooka ogyetegereze buli ky’oyogera osimbe bwino.” Omumyuka asooka owa Katikkiro Kaawaase bw’agambye. Ono akubirizza abaami ba Kabaka okukozesa emikisa gye balina gye bali kuba omukisa gujja lumu, basobole okusakira Obwakabaka era mu byonna bye bakola beewale ebyo ebikosa ensonga Ssemasonga, Obwakabaka bwa Buganda kwe butambulira. Omumyuka asooka owa Katikkiro, Owek.Twaha Kaawaase Kigongo agamba nti amateeka galina okuweebwa ekyanya okukola era bwe gaba gagamba nti omuntu alina okutwalibwa mu kkooti mu ssaawa 48, kye kiba kikolebwa era ekisaanidde kwe kusooka okunoonya obujulizi ng’abantu tebannakwatibwa. “Tugatta eddoboozi lyaffe ku kugamba nti amateeka gakole kye galina okukola awatali kunyigiriza bantu.” Owek. Kaawaase bw’agambye. Abasabye okusooka okwekenneenya Pulaani Nnamutayiika y’ekibuga Kampala okusobola okubalambika, beewale okusaba ebyo ebitali mu nteekateeka eno era n’okulowooza nti ensimbi ezibaweebwa ntono nnyo, olwo basobole okutwalaemirimu mu maaso. ku nsonga eziri e Mawogola, Owek. Kaawaase agambye nti RDC amusuubizza okukola ku nsonga z’ettaka mu kitundu kino, okulaba ng’abantu ba Kabaka abali mu kitundu kino baganyulwa mu nteekateeka ez’enjawulo omuli eya Bonnabagaggawale. Owek. Kaawaase asabye abaami ba Kabaka okukwatagana n’abakulembeze mu gavumenti eyaawakati, basobole okusakira abantu baabwe ate beewale n’okuweebuuka mu mpisa kuba kivumaganya Obwakabaka. Minisita omubeezi owa gavumenti ez’ebitundu mu Buganda, Owek. Joseph Kawukiasiimye abakulembeze okuva mu KCCA ne Mawogola olw’okumanya nti Buganda bwe buddo bwabwe era ne yeebaza bannamawogola olw’okulwanirira ettaka lya Buganda erya Mijwala. Omwami wa Kabaka akulembera essaza Mawogola, Muteesa Hajji Muhammad Sserwadda, asiimye bannamawogola naddala ababaka, abakulembeze awamu ne RDC olw’okuggyayo amaanyi gonna okutereeza ensonga z’ettaka lya Buganda mu kitundu kino. Ate ye kkansala wa Lubaga North II, Kizza Hakim Sawula ye ategeezezza nti tewali mukulembeze ayinza kukulembera bantu nga tomanyi Buganda kye ki, kuba ettaka KCCA ly’ekozesa lya Buganda nga n’abantu abasinga obungi mu Kampala bali ku ttaka lya Kabaka. Kizza agambye nti baagala okulaba engeri gye bagatta omutindo ku nnyanja eno era basobole okugiggyamu obucaafu era n’abagyetooloddeko bakomye okugisuulamu kasasiro nga bw’eneetereera basobola okugifuula ekyobulambuzi. https://gambuuze.ug/2021/10/12/mukomye-okutabiikiriza-ebyobufuzi-mu-buli-nsonga-owek-kaawaase/ +politics Amerika eremeddeko ku bya Kony, emutaddeko obuwumbi 17 Eggwanga lyaUnited States of America (USA) littukizza omuyiggo ku Ssaabayeekera Joseph Kony eyali omuduumizi w’okuntikko owa kabinja ka Lord’s Resistance Army (LRA) asobole okuvunaanibwa ku bikolwa by’okulinnyirira eddembe ly’obuntu bye yakolamu bitundu by’omu mambuka. Kino kyalangiriddwa Minisitule y’Amerika eya US Department of State mu nteekateeka yaabwe ey’okuyigga abazza emisango gy’entalo nga bayita mu kuwaayo ebirabo eri abo abalina amawulire agabakwatako gye beekukumye. “Joseph Kony abadde awenjebwa okumala emyaka 15.Osobola okutuyamba okuleetawo obwenkanya n’ofuna ssente obukadde bwa ddoola 5 bulamba (Eza Uganda obuwumbi 17) amawulire g’otuwa gajja kukuumibwa nga gakyama,” Abakulira enteekateeka eno bwe bategeezezza nga bayita ku mukutu gwa Twitter. Mu myaka gywa 1990, Joseph Kony eyali akulidde mu kigo yaggula olutalo ku gavumenti ya Uganda era okukkakkana nga abantu abawera bafudde, abalala batemuddwako ebintu by’omubiri ate abalala nga b’abulidde amaka gaabwe ne basenga mu nkambi zababundabunda. Oluvannyuma eggye lya UPDF lyatandika okubakolako ennumba era ne baddukira mu ggwanga lya Central African Republic. Enfunda eziwera, gavumenti egezezzaako okwogerezeganya n’abayeekera naye tewali kyamaanyi kyatuukibwako. Ku nsonga eno gavumenti y’Amerika egamba nti bamaze emyaka 15 miramba nga banoonya Kony naye nga tebamufuna ne basaba alina amawulire agamukwata ko gye yeekukumye abayambe. https://gambuuze.ug/2022/02/14/amerika-eremeddeko-ku-bya-kony-emutaddeko-obuwumbi-17/ +politics Ababaka b’ensi ezaaliko amatwale ga Bungereza bakyaddeko ku Bulange. Ababaka ba Palamenti ab’ensi ezaali amatwale ga Bungereza nga batuuka ku bulange Ababaka ba Palamenti ab’ensi ezaaliko amatwale ga Bungereza bakyaddeko ku Bulange. Ekibinja kino kibadde kikulembeddwamu omubaka omukyala owa district ye Mpigi Hon.Sarah Nakawunde Temulanda ne Hon.Allan Ssewanyana owe Makindye, era nga baaniriziddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga, omukubiriza w’olukiiko lwa Buganda Owek Patrick Luwagga Mugumbule n’omumyuka we Owek Ahmed Lwasa. Katikkiro nga ayogerako eri ababaka.Hon.Sarah Nakawunde Temulanda nga anyonyola ensonga eyabelese mu bwa Kabaka. Katikkiro mu kwogera kwe abayitiddemu era n’abanyonyola ebyafaayo ne gyenvudde w’obwakabaka bwa Buganda. Ye omumyuka wa Katikkiro ow’okubiri era Minisita w’eby’ensimbi Oweek. Robert Waggwa Nsibirwa ayogedde era n’alaga enteekateeka z’obwakabaka wamu n’emirimu Obwakabaka gyebukola okulaba nti abantu ba Buganda badda ku ntikko nga buyita mu kubazimbira enzizi okusobola okufuna amazzi amayonjo, okuzimbira abantu enyumba az’ensimbi ensaamusaamu okusobola okubeera mu bulamu obweyagaza ate nga balamu bulungi. Oluvanyuma Katikkiro alambuzza ababaka ekisenge ky’olukiiko ekiteesezebwamu (Buganda Parliament) era ne wano ababuulidde ebyafaayo by’olukiiko wamu n’emirembe gya ba Ssekabaka egizze gibeerawo. Ababaka bano bwebavudde ku Bulange balambuziddwa ebintu ebirala omuli Olubiri, Enyanja ya Kabaka, Ebibumbe by’ebika okusobola okulaba emirimu egy’enjawulo egikolebwa Obwakabaka. Omumyuka wa Katikkiro asooka era Minisita w’eby’emirimu n’obuyiiya, Owek Twaha Kigongo Kaawaase, yakoze nga omukubiriza w’olukiiko ow’ekiseera era yabadde kalabaalaba w’omukolo. Omukolo gwetabiddwako, Omulangira David Kintu Wasajja, Nnaalinya Sarah Kagere, Owek Bbaale Mugera, Ssaabalangira Godfrey Musanje, Baminisita ba Kabaka, Abataka abakulu b’obusolya, abakulu b’ebitongole by’obwakabaka, n’abaweereza b’obwakabaka. Ababaka okuva mu nsi ezaali amatwale ga Bungereza bali wano mu Uganda mu lukungaana olubagatta olw’omulundi ogwe 64th (Commonwealth Parliamentary Conference) oluyindira ku speak resort e Munyonyo. https://gambuuze.ug/2019/09/25/ababaka-bensi-ezaaliko-amatwale-ga-bungereza-bakyaddeko-ku-bulange/ +politics Lwaki Omulamuzi agobye ogwa NUP, oguvunaanibwa Bobi Wine ne banne Kampala Bannakibiina kya National Unity Platform (NUP) bafunye ku buweerero oluvannyuma lwa kkooti enkulu ey’engassi mu Kampala okugoba omusango ogubadde guwakanya okukyusa erinnya ly’ekibiina kino wamu n’obukulembeze bwapulezidenti waakyo Robert Kyagulanyi (Bobi Wine). Pulezidenti wa NUP, Bobi Wine ne bannakibiina Bannakibiina babiri okuli Basile Didas ne Hassan Twaha, baatwala Bobi Wine n’abalala 10 mu kkooti era nga baagala erangirire nti byonna ebyakolebwa okukyusa ekibiina kino okuva ku National Unity and Reconcilliation Platform n’okukikwasa Bobi Wine ng’omukulembeze waakyo byali bikyamu. Baali basaba kkooti ekibiina kino ekiddize bannyini kyo abatuufu, bino olwaleero, omulamuzi Musa Ssekaana mu nsala ye gyawadde ku Email abigobye era n’alagira oludda oluwaabi okuliyirira abawawaabirwa. Omwogezi w’ekibiina kya NUP, Joel Ssenyonyi agambye nti ensala eno ebasanyusiza nga kati kibongedde amaanyi kubanga kitegeeza nti NUP eri mu mateeka. Omulamuzi Ssekaana ategeezezza nti Basile ne Twaha tebagoberera mitendera nga beemulugunya ku kukyusa ekibiina kyabwe. “Mu musango guno abawaabi balina okusaba kkooti etunule mu nsonga zaabwe nga wayise ebbanga lya myezi 3 ng’ekibiina kimaze okukyusibwa erinnya naye bano balinda omwaka mulamba negumala okuyitawo,” Ensala bw’esomye. Omulamuzi Ssekaana era anenyezza omuwaabi okuleeta omusango guno mu kiseera ky’okulonda okwagala okwekolera ku ssente naye nga teyalina nsonga nnung’amu. Ono agasseeko nti kkooti ebadde terina ngeri gy’eyinza kuyambamu bawaabi ate nga n’omusango gwennyini okuguwaaba tebaagoberera mateeka. Wabaddewo okutya ng’abawagizi b’Omubaka Robert Kyagulanyi balowooza nti singa omusango gumusinga ajja kuba takyasobola kwesimbawo ku bwapulezidenti nga bano ensala eno ebawadde akaseko ku matama. https://gambuuze.ug/2020/10/21/lwaki-omulamuzi-agobye-gwa-nup-oguvunaanibwa-bobi-wine-ne-banne/ +politics Basabye kkooti egobe ogwa 2010 oguvunaanibwa Ssekikubo Masaka Munnamateeka w’omubaka wa Lwemiyaga mu Palamenti, Theodore Ssekikubo, asabye Omulamuzi wa kkooti ento e Masaka agobe omusango oguvunaanibwa omuntu waabwe ogw’okukuma omuliro mu bantu mu kamyufu ka NRM ak’omwaka 2010. Omubaka Theodore Ssekikubo Kino kiddiridde Omuwaabi wa gavumenti, Sheba Byakutaga, okutegeeza Omulamuzi wa kkooti eno, Charles Yitesi, okwongerwa ku budde aleete abantu abalala abavunaanibwa ne Ssekikubo wamu n’bajulizi mu musango guno. Byakutaga yategeezezza kkooti eggulo ku Lwokuna nti abajulizi b’alina, baalemeddwa okujja mu kkooti era n’asaba bongerwe ku budde, basobole okutereeza ensonga eno. Kino munnamateeka wa Ssekikubo, Alexander Lure, yakigaanye. Lure yasabye kkooti egobe omusango guno n’ategeeza nti okugukomyawo mu myaka gwa 2020 kyakolebwa mu nsobi, kubanga kkooti yali yagugoba mu mwaka gwa 2010 oluvannyuma lw’okubulwa obujulizi. “Omusango guno gwa 2010 naye gwakomezeddwawo mu 2020 lwa nsonga za byabufuzi. Omusango bagukomezzaawo nga bwe gwali mu 2010 nga tewali kye bakyusizzaamu era nga tusaba kkooti omusango guno egugobe, ensonga gye beekwasa yeeyo eyaliwo okusooka. Naye ate baagaana okutereeza ensobi entono eziri mu musango guno nga baddamu okuguwaaba.”” Alexander bwe yannyonnyodde. Omulamuzi Yitesi yeewuunyizza lwaki oludda oluwaabi lulemeddwa okuleeta abavunaaanibwa ne Ssekikubo, ekintu ekisibye omusango. “Mulina buli kyetaagisa naye ndaba buli mulundi omuntu omu yekka yaleetebwa mu kkooti ate ng’empaaba eriko abantu abalala. Bwe luba oludda oluwaabi terusobola kufuna bantu bano, bakole ennongoosereza mu musango babagyeko ku mpaaba, omusango gusobole okuwulirwa.” Omulamuzi Yitesi bwe yagambye. Omulamuzi omusango yagwongeddeyo okutuuka nga December 10, 2020 okusobozesa oludda oluwaabi okwekenneenya omusango guno. Ye Ssekikubo yeemulugunyizza lwaki gavumenti eremedde ku musango guno ogwa 2010 ogwali mu kamyufu ka 2010. Yagasseeko nti alowooza nti kino bakikola kumuggya ku byakulwanirira bantu be abanyigirizibwa mu kitundu kye. Ono yagambye nti kikuba ensonyi okulaba ng’abantu abeeyagaliza ebyabwe basazeewo okukozesa kkooti z’amateeka okumulwanyisa. https://gambuuze.ug/2020/11/13/basabye-kkooti-egobe-ogwa-2010-oguvunaanibwa-ssekikubo/ +politics Eyavuganya Museveni mu 2016, Gen Biraro afudde Gen benon Biraro Munnamagye ga UPDF era nga yavuganyaako ku ntebe y’obwa pulezidenti mu 2016, Gen. Benon Biraro afudde. Biraro, abadde ajjanjabibwa ekirwadde kya kansa afiiridde mu ddwaliro lya Kampala hospital enkya yaleero. Ono abadde amaze akabanga ng’ali ku ndiri era eb’enjuye bategeeza gyebuvuddeko nti baali banonya ssente ku mutwala mitala wa Mayanja okusobola okufuna obujjanjjabi obusingako. https://gambuuze.ug/2020/02/12/eyavuganya-museveni-mu-2016-gen-biraro-afudde/ +politics Amerika etandise okuluma, abanene abaali mu mivuyo gy’akalulu ka 2021 ebataddeko natti Gavumenti y’Amerika etabukidde abanene mu Uganda abeenyigira mu mivuyo gy’akalulu ka 2021 bw’ebataddeko natti ng’ebavunaana okulinnyirira eddembe ly’obuntu. Okusinziira ku kiwandiiko ekifulumiziddwa Minisita w’ensonga z’ebweru owa Amerika, Antony John Blinken, ategeezezza nti Uganda ezze nnyo emabega mu nsonga za Demokulaasiya era kino kyeyolekera mu kalulu akawedde aka 2021. “Leero tulangirira natti ku ntambula z’abakungu ba Yuganda abaayisa olugaayu mu demokulaasiya w’eggwanga eryo mu kalulu akawedde aka 2021 akaakubwa nga January 14 n’emivuyo egyali mu kkampeyini.” Ekiwandiiko kya Blinken bwe kisomye. Kino kiddiridde bannansi abawera 50 okufiirwa obulamu mu kwekalakaasa okwaliwo mu Novemba 18 ne 19 oluvannyuma lw’okukwatibwa kwa Robert Kyagulanyi aka Bobi Wine bwe yali e Luuka ng’anoonya akalulu era ekyaddako abantu abawerako baakwatibwa ne baggalirwa. Oluvannyuma lw’okwekalakaasa ab’ebyokwerinda okwali amagye ne poliisi baayolesa obukambwe ku bannakibiina kya National Unity Platform ekikulirwa Bobi Wine. Bannakibiina bateeka gavumenti ku nninga ku by’okukwata abawagizi baabwe era nayo n’ekkiriza nga bwe waaliwo abaakwatiddwa. Olunwe okusinga Amerika erutadde mu b’ebyokwerinda okulinnyirira eddembe ly’obuntu n’esaba wabeewo ekikolebwa okuvunaana abakulu bano. “Gavumenti ya Uganda erina okubaako ky’ekola evunaane abantu baayo abeetaba mu mivuyo gy’okulonda, okutiisatiisa wamu n’okubatulugunya. Amerika ejja kugenda mu maaso n’okwekenneenya engeri ensonga za demokulaasiya gye zikwatiddwamu.” Ekiwandiiko bwekigasseeko. Wadde Amerika erangiridde natti ku bannayuganda naye tefulumizza lukalala lwa amannya g’abo abasongeddwamu olunwe. Bino we bijjidde nga Minisita w’ensonga ez’ebweru mu Uganda, Sam Kuteesa yaakamala okutegeeza akakiiko k’ebyokwerinda ak’amawanga amagatte nga mu Yuganda bwe mutali kiwambabantu nga bwe kibadde kyogerwa. https://gambuuze.ug/2021/04/16/amerika-etandise-okuluma-abanene-abaali-mu-mivuyo-gyakalulu-ka-2021-ebataddeko-natti/ +politics Ssemujju Nganda alangiridde, waakuvuganya Sipiika Kadaga Omubaka akiikiririra Munisipaali ya Kira mu Palamenti, Ibrahim Ssemujju Nganda, alangiridde mu butongole nti waakuvuganya Sipiika Rebecca Kadaga ku bukubiriza bwa Palamenti y’e 11. Omubaka Ssemujju Nganda nga annyonnyola bannamawulire Ssemujju kino akirangiridde nkya ya leero ku Olwokubiri wali ku Palamenti bw’abadde ayogerako ne bannamawulire. “ Ngenda kubeera Sipiika wa Palamenti era Sipiika wa bannayuganda.” Bw’atyo Ssemujju bw’alangiridde. Omubaka Ssemujju yeegasse ku lukalala lw’ababaka abaavuddeyo edda okuvuganya ku kifo kino nga ku bano kuliko Sipiika Rebecca Kadaga n’omumyuka we, Jacob Oulanyah, wadde bano tebannalangirira mu butongole. Bw’abuuziddwa ku kyagenda okukola okumegga Sipiika Kadaga, Ssemujju agambye nti yamaze dda okuwandiikira abakulira ebibiina ebivuganya ebirina ababaka mu Palamenti n’abasaba okumuwagira. Ono annyonnyodde nti abadde mu Palamenti okumala akaseera era amanyi ebintu bwe bitambula nga kino kimufunidde obuwagizi okuva mu ba NRM. Ssemujju yeeyamye nti singa anaalondebwa tagenda kubeera Sipiika wa ludda luvuganya naye ow’ababaka bonna omuli naba NRM. Nganda agamba nti yayingira Palamenti okusooka nga munnamawulire naye n’afuuka omubaka mu 2011 nga kati ali ku kisanja kye ekyokusatu era kino kimuwadde obumanyirivu ku nsonga engeri gye zitambula mu lukiiiko Olukulu. “Ngenda kukozesa obukodyo buno bwenfunye mu myaka 20 nga ndi ku Palamenti, okusooka nga ow’amawulire ate era ng’Omubaka okufuula Palamenti eyaamaanyi.” Ssemujju bw’agasseeko. https://gambuuze.ug/2021/03/09/ssemujju-nganda-alangiridde-waakuvuganya-sipiika-kadaga/ +politics Muhammad Ssegiriinya bamuzizzaayo mu kkomera Omusango oguvunaanibwa omubaka wa Kawempe South mu Palamenti, Muhammad Ssegiriinya ogw’okukuma omuliro mu bantu eggwanga bwelyali ligenda mukulonda kwa 2021 gwongezeddwayo okutuuka nga February 10, 2023. Ono leero ku Lwokuna aleeteddwa mu maaso g’omulamuzi wa Buganda Road, Sienna Owomugisha nga asuubira omusango gwe okuwulirwa wakati mu by’okwerinda. Kkooti bwetandise, omu ku bakugu bapoliisi anoonyereza ku misango gy’oku mutimbagano ategeerekeseeko erya Billy nasituka okusobola okusoyezebwa ebibuuzo wabula bannamateeka ba Ssegiriinya nga bakuliddwa Geoffrey Turyamusiima nebagaana obujulizi bwe. Bano bategeezezza nti Billy alemeddwa okukakasa kkooti nti obubaka bweyawandiika buliko omuntu yenna gwebwakosa oba okusikiriza akole obutabanguko. Era wano, Turyamusiima ategeezezza omulamuzi nga oludda oluwaabi bwelusigazza abajulizi basatu wabula ekyewuunyisa bonna bapoliisi. Oludda oluwaabi lulumiriza nti wakati w’omwezi gwa August ne September wa 2020, Ssegiriinya yasinziira mu Kampala nawanika ku kibanja kye ekya Facebook ku “Ssegirinya Muhammad Fans Page ” obubaka obukuma mu bantu omuliro nga ayagala beekalakaase. Obubaka buno okusinziira ku ludda oluwaabi bwali bugamba nti,”Ndabula abo bonna abaagala okugezaako okutemula Hon. Robert Kyagulanyi Ssentamu nti ekijja okubeera wano kijja kukubisaamu ekittabantu ekyali e Rwanda mu 1994 emirundi 40.” Omubaka Ssegiriinya kati wakudda mu kkooti omwezi ogujja okwongera okuwulira omusango guno ogumuvunaanibwa. https://gambuuze.ug/2023/01/12/muhammad-ssegiriinya-bamuzizzaayo-mu-kkomera/ +politics Balagidde amagye okuleeta olukalala lw’abawagizi ba NUP be gavunaana Kampala Ababaka ba Palamenti abatuula ku kakiiko k’eddembe ly’obuntu balagidde eggye lya UPDF okubawa olukalala lw’abawagizi ba National Unity Platform (NUP) abasimbiddwa mu kkooti y’amagye ne bavunaanibwa. Ku bano kuliko abawagizi ba Robert Kyagulanyi (Bobi Wine) abaakwatibwa mu kkampeyini wamu n’abo abaakwatiddwa oluvannyuma lw’akalulu ka 2021. Bw’abadde ayanukula ababaka leero ku Lwokuna, omwogezi w’amagye, Brig Gen. Flavia Byekwaso, asabye aweebwe akadde asobole okuleeta olukalala olulaga abavunaaniddwa nabo abatannaba. “Abantu be tulina bawera 177 era olwo lwe lukalala olwaweebwa Palamenti. Naye okuva ku olwo ne leero wali ebintu ebizze bikyuka,” Byekwaso bw’agambye. Kino kiddiridde omubaka wa Kawempe North, Latif Ssebaggala, okwemulugunya ku muwendo gw’abantu ba bulijjo omungi oguvunaaniddwa mu kkooti y’amagye. “Tuyambe tusobole okutambulira awamu okututegeeza omuwendo gw’abantu ba bulijjo abavunaaniddwa mu kkooti y’amagye.” Ssebaggala bw’abuuzizza. Akulira ensonga z’amateeka mu UPDF, Brig Gen. Godard Busingye annyonnyodde nti abawagizi ba NUP babavunaanira mu tteeka lya UPDF erya 2005 era buli kimu kiri mu mateeka. Ssentebe w’akakiiko kano era omubaka omukyala owa Bugiri, Agnes Wejuli Taaka, awadde amagye obutasukka lunaku lwaleero nga bamaze okuwaayo olukalala olwo. Ababaka bategeezeddwa nti waliwo bannamawulire babiri abaakwatibwa ne Kyagulanyi e Kalangala abakyaggaliddwa okuli Musa Mulimira ne Richard Kalema. Ku nsonga eno, Omubaka w’amagye, Brig Gen. Felix Kulaigye ategeezezza nti bannamawulire bano baggalirwa oluvannyuma lw’okulemwa okulaga ebiboogerako nga bannamawulire. Byekwaso ategeezezza nti baakwataganye ne bannamawulire abaakubwa mu kalulu ne bwekaali kawedde okulaba bwe babayambamu era n’akakasa nti bakyalabirira munnamawulire wa Reuters James Akena eyakubwa mu 2019. Ono agasseeko nti nga UPDF balina eddimu okutereeza byonna ebyasoba era bakukola buli kimu okulwanirira ekifaananyi kyabwe. https://gambuuze.ug/2021/04/15/balagidde-amagye-okuleeta-olukalala-lwabawagizi-ba-nup-be-gavunaana/ +politics Aba NUP bavumiridde eky’okugoba abatembeeyi mu Kampala, baagala abaasibibwa ku by’obufuzi bayimbulwe Ekibiina kya National Unity Platform kitabukidde gavumenti olw’okugoba abatembeeyi ku nguudo z’ekibuga Kampala awatali kusooka kubafunira we bagenda kudda. Bino we bijjidde ng’ekitongole kyaKampala Capital City Authority kyatandika okusengula abatembeeyi oluvannyuma lw’okumala ekiseera nga babalabula. Pulezidenti w’ekibiina kino, Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) agamba nti eggwanga limaze emyaka ebiri ng’ebyenfuna biggaddwa nga tekikola makulu mu kaseera kano okugobaabatembeeyi mu kaseera kano n’alaga nti kyandibadde kyamakulu okubalindamu. “ Kino si kye kiseera ekituufu okugoba abatembeeyi ku nguudo. Bamaze emyaka ebiri nga bali waka tebakola naye ate we babadde bafunidde essuubi okuddamu okukola ku ssente ate ne mubagoba nga temufunye waakubateeka.” Kyagulanyi bwe yagambye. Ate Ssaabawandiisi w’ekibiina kino, David Lewis Rubongoya, ategeezezza nti baagala gavumenti ekuume emirimu gy’abantu bano ng’ebalaga we bagenda okukolera. NUP era ezzeemu n’esaba bannakibiina kyabwe abaakwatibwa ku misango gy’ebyobufuzi bayimbulwe. “Gavumenti eyimbule abasibe abakwatibwa olw’ebyobufuzi oba ebatwale mu kkooti. Bano basoba mu 100 naye buli lunaku abantu batutuukirira nga bagamba nti abantu baabwe tebalabikako, baawambibwa mu mmotoka za ‘Drone’ naye tebalabikangako mu kkooti.” Rubongoya bwe yagasseeko. Bannakibiina kya NUP,bagamba nti abenganda okuli bannyinaabwe, abaana n’eikwano gyabwe gimaze omwaka mulamba nga tebalabikako kyokka ne mu kkooti tebaliiyo. https://gambuuze.ug/2022/01/25/aba-nup-bavumiridde-ekyokugoba-abatembeeyi-mu-kampala-baagala-abaasibibwa-ku-byobufuzi-bayimbulwe/ +politics Ssegirinya asindikiddwa ku alimanda, asuze Kitalya Kampala Omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road, Gladys Kamasanyu, asindise omubaka omulonde owa Kawempe North mu Palamenti, Muhammad Ssegirinya ku alimanda mu kkomera e Kitalya okutuusa nga 08, omwezi ogujja lw’anadda okulaba oba yeeyimirirwa. Omubaka Ssegirinya asuze Kitalya Kino kiddiridde Omubaka Ssegirinya okusimbibwa mu kkooti leero ku Lwokubiri oluvannyuma lw’okukwatibwa nga yeekalakaasa ng’abanja bannakibiina kya NUP abaawambibwa n’avunaanibwa okukuma mu bantu omuliro wadde ng’omusango guno agwegaanye. Kigambibwa nti Sseggirinya yabadde wamu n’abantu abalala nga bakutte ebipande ebibanja abakwate wamu n’okuvumirira ebikolwa ebivvoola eddembe ly’obuntu. Bano baabombye oluvannyuma lw’okulaba poliisi wabula oluvannyuma Ssegirinya n’akwatibwa era n’aggalirwa. Oludda oluwaabi lutegeezezza nti Ssegirinya wamu n’abalala abaliira ku nsiko bakung’aana nga 25 /March/ 2021 ku Mini Price mu Kampala ne batandika okukuma omuliro mu bantu nga bakutte ebipande ebibanja obuwanguzi bwa Bobi Wine, Mubiru James, Nubian Lee, Eddy Mutwe be bagamba nti bakwatibwa lwa ndowooza zaabwe ez’ebyobufuzi wamu n’okuwagira Robert Kyagulanyi https://gambuuze.ug/2021/03/23/ssegirinya-asindikiddwa-ku-alimanda-e-kitalya/ +politics Owa ANT awakanyiza eby’okuwandiisa mutabani wa Jacob Oulanyah agamba kwalimu ebirumira Munnakibiina ki ‘Alliance for National Transformation (ANT)’ eyeesimbyewo mu kalulu k’e Omoro okunoonya anaddira eyali Sipiika Jacob Oulanyah mu bigere, Kizza Oscar, awakanyiza okwewandiisa kwa munnakibiina ki National Resistance Movement (NRM)’ Andrew Ojok Oulanyah nga agamba mwalimu ebirumira. Mu kwemulugunya kwatutte eri akakiiko k’ebyokulonda, Kiiza agamba nti amannya ga Ojok tegakwatagana nga agali ku ndagamuntu ga njawulo nagali ku mpapula ze ez’obuyigirize era nga alemedde ku kozesa erinnya Oulanyah eritalina weriri ku mpapula ze ez’obuyigirize. “ Njagala okuteekamu okwemulugunya kwange ku kuwandiisa munnakibiina ki NRM gwebayita ‘Ojok Andrew Oulanyah,’ omuntu ono taliiwo era talina mpapula zonna zabuyigirize zimwogerako era empapula zakozesa za Ojok Andrew O,” Ekiwandiiko kya Kizza bwekisomye. Kiiza agamba nti tekisoboka kwewandiisa nga amannya agali ku mpapula gawukanira ddala nagali ku ndagamuntu kuba kino kiba kitegeeza nti bano bantu babiri banjawulo. Okusinziira ku Kiiza ekikolwa ky’ Akakiiko k’ebyokulonda okuwandiisa Ojok mu mbeera bweti kikontana ne tteeka erifuga okulonda ababaka erya ‘Parliamentary Act 2002’ akawaayiro nnamba 13 nga kati ayagala akakiiko k’ebyokulonda kakkirize nti kakola ensobi era kalangirire nti Ojok yawandiisibwa mu bukyamu. Bwabuziddwa ku bino, Ojok ategeezezza omukutu guno nga bwatanafuna kwemulugunya kuno mu butongole nga tasobola ku kwogerako. Ojok agamba nti tatidde kuba alina ebisaanyizo byonna n’obusobozi ebyetaagibwa akakiiko k’ebyokulonda era akalulu ajja kukawangula nasaba bwebali mu lwokaano okukomya okupalapalanya. https://gambuuze.ug/2022/05/18/owa-ant-awakanyiza-ebyokuwandiisa-mutabani-wa-jacob-oulanyah-agamba-kwalimu-ebirumira/ +politics Tewali bwetaavu bwakukyuusa Ssemateeka ku bikwata ku Sipiika – Prof Kanyeihamba Eyaliko omulamuzi wa kkooti ensukkulumu, Prof. George Kanyeihamba era eyakulira akakiiko k’ebyamateeka mu ‘Constituent Assembly’ okukola Ssemateeka wa 1995 awakanyiza eby’okukola ennongoosereza mu nnyingo 82 okuggyamu eky’okulonda Sipiika mu bwangu singa ekifo abaddewo ava mu bulamu bw’ensi. Kino kiddiridde amaloboozi agawera okuvaayo nga gasaba ennoongosereza zikolebwa mu tteeka lino oluvannyuma lw’ okufa kwa Sipiika Jacob Oulanyah nga okusinziira ku tteeka tewali kirala kisobola kukolebwa mu Palamenti okuggyako nga Sipiika omuggya amaze okulondebwa. Pulezidenti Museveni y’omu ku bawakanyiza kino nga bweyabadde ku mukolo gw’okulonda n’okulayiza Sipiika omuggya Anita Among, yategeezezza nti ekola eno siyabuntu bulamu nga omufu abeera alina okuweebwa ekitibwa sosi bantu kuvaayo kutandika kulwanira kifo kyabaddemu nasaba kino kitereezebwe. Prof. Kanyeihamba agamba nti bwebaali bakola ssemateeka eno teyali nsobi nga abamu bwebalowooza era baalina ensonga lwaki bakireka bwebatyo. Okusinziira ku Kanyeihamba wadde ng’ etteeka liragira omumyuka wa Pulezidenti okutwala obuyinza singa Pulezidenti abaddeko afa naye ku kya Sipiika kya njawulo kuba ekifo kino kifugibwa mu kulonda era asinga okuweza omuwendo gw’ababaka abamulonda yatuula mu ntebe eno. Kanyeihamba asabye wabeewo okwebuuza nga ennongoosereza zino tezinakolebwa era bamanye lwaki abakola ssemateeka ensonga eno baalina okugireka nga bweri era ayagala bakomye n’okukola ennoongosereza mu Ssemateeka buli webabeera baagalidde. https://gambuuze.ug/2022/03/28/tewali-bwetaavu-bwakukyuusa-ssemateeka-ku-bikwata-ku-sipiika/ +politics Ab’ebyokwerinda bekobaana n’oludda oluvuganya mu kwekalakaasa – Minisita Mbayo Bya Yusufu Muwuluzi Kampala Minisita w’ensonga z’Obwapulezidenti, Esther Mbayo, ategeezezza nti batandise okunoonyereza ku bigambibwa nti abamu ku b’ebyokwerinda beenyigira mu kwekalakaasa kuno ne balemwa okukola omulimu gwabwe. Minisita Mbayo nabamu ku beetabye mu lusirika luno e Masaka ku Brovad Bino Mbayo yabyogeredde mu lusirika lw’abatwala eby’okwerinda okuli; ba RDC, DISO ne bassentebe ba NRM mu disitulikiti ez’enjawulo ezikola ettundutundu lya Masaka, olwayindidde ku Hotel Brovad eggulo ku Lwokusatu. “Waliwo ab’ebyokwerinda abalwanyisa gavumenti era tubamanyi era tukola buli kimu okubakolako. Ggwe bw’oba olwanyisa gavumenti obeera okolerera ani? Ebintu bino bitegeke era abamu wakati mu kwekalakaasa baatuula butuuzi ne bagaana okufaayo okukuuma abantu.” Mbayo bwe yagambye. Minisita Mbayo yagambye nti kyewuunyisa okulaba ng’amawanga g’ebweru gavumirira enneeyisa ya b’ebyokwerinda kyokka ne batavaayo ku beekalakaasa abaakola effujjo n’okwonoona ebintu. Ono yagasseeko nti gavumenti yeetegese ekimala okukuuma bannayuganda ne byabwe era n’asaba abeesimbyewo okukuuma obulamu bwa bantu. Mbayo agamba nti wadde waliwo ensobi ezaakolebwa ku ludda lw’abapoliisi, naye bannayuganda balina okukimanya nti tewali muntu atuukiriddde. Kino kyaddiridde okwekalakaasa okwali mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo oluvannyuma lw’okukwatibwa kwa Robert Kyagulanyi (Bobi Wine) e Luuka. Okwekalakaasa kuno kwafiiramu abantu abasoba mu 50 era ng’ebintu ebiwerako byayonoonebwa. RDC wa Kyotera, Maj. David Matovu yasinzidde mu lusirika luno n’asaba gavumenti okuvaayo ekome ku bakulembeze b’ennono ne bannaddiini b’agamba nti batandise okukuma mu bantu omuliro. Matovu yannyonnyodde nti abamu ku bannaddiini n’abakulembeze b’ensikirano, balina obukyayi ku gavumenti. https://gambuuze.ug/2020/11/26/tugenda-kunoonyereza-ku-bebyokwerinda-abeenyigira-mu-kwekalakaasa-minisita-mbayo/ +politics Ebizibu bya Uganda by’erina biva ku butatambulira ku mateeka -Owek. Mayiga Bulange Mukuumaddamula wa Buganda, Charles Peter Mayiga, ategeezezza nti ekizibu kya Uganda be bannabyabufuzi okulemwa okutambulira ku nkola essa ekitiibwa mu mateeka ne Ssemateeka era ng’ebizibu bino biviira ddala mu 1966. Bannakibiina kya Democratic Party abakyadde embuga Bino Owek. Mayiga abitegeezezza bannakibiina kya Democratic Party nga bakulembeddwamu Ssenkaggale Nobert Mao abamukyaliddeko leero ku Lwokuna mu bimuli bya Bulange okumwanjulira manifesito yaabwe “Tewabangawo abalimba nti ebizibu bya Uganda biva ku baganda kwagala nnyo Kabaka, oba Omukaramoja nti ayagala nnyo ente ze, kuba ennono ye etambulira mu nte oba Abagisu baagala nnyo embalu, ebyo si bye bizibu byaffe.” Owek. Mayiga bw’annyonnyodde. Olw’okulemwa okutambulira ku Ssemateeka Katikkiro Mayiga agamba nti eddembe ly’obuntu lyatyoboolwa, gavumenti zaggwa, obululu bwabbibwa, entalo ezeekiyeekera era nga n’okutuusa olwaleero tukyalaba obutabanguko. Katikkiro Mayiga agasseeko nti ebyaliwo mu 1966 ne 1967 byava ku Obote okulemwa okussa ekitiibwa mu nkola etambulira ku mateeka, ssemateeka wamu n’ebyo abantu bye baagala era nga n’okutuusa kati kye kikyali ekizibu. Owek. Mayiga asabye Aba DP okunyikiza enkola y’amateeka mu bibiina byabwe olwo ne Uganda ejja kutereera singa ebibiina binaatambuzibwa mu ngeri ennung’amu. Kamalabyonna abasiimye olw’okutegeera ensonga za Buganda ssemasonga ettaano era n’ategeeza nti singa bagenda mu maaso n’okutambulira ku mateeka n’ebyo Buganda by’eruubirira byangu wakati mu kukkaanya. Owek. Mayiga asabye bannabyabufuzi okusoosoowaza ensi Uganda n’abantu ba bulijjo kuba wadde ng’okulonda kutadde ensi ku bunkenke naye ate ebyobufuzi bigenda kuggwa oluvannyuma lw’okulonda. Mao ategeezezza Kamalabyonna nti ebbanga lye lyonna erisinga alimaze mu Buganda era n’awera nti ekibaleese kwe kukakasa ebyo bye bakkiririzaamu nga DP muno nga mwe muli obufuzi bw’ensikirano. “Nga DP tukkiririza mu kutaasa n’okukuuma Nnamulonda era nga DP tukimanyi bulungi nti etteeka lye baateekawo mu kunyweza Obufuzi obw’ensikirano n’ennono, obuwaayiro obumu bukontana ne Ssemateeka w’eggwanga era tuzze tukyogera ne bannaffe. Bassebo ne bannyabo, Ssaabasajja Kabaka yalwana mu lutalo olwaleeta gavumenti eno mu buyinza.” Mao bw’ategeezezza. Mao agambye nti gavumenti ya wakati esaanye ebeera nnambulukufu era eddize Buganda ebintu byayo byonna kubanga yakola ky’amaanyi okugiteeka mu buyinza. Annyonnyodde Katikkiro nga bwe batunuulidde okutwala obukulembeze basobole okutabaganya bannayuganda abasowaganye ku njuyi ez’enjawulo era nga bino byonna byakukolebwa mu mazima n’obwenkanya. Ssenkaggale Mao agasseeko nti batunuulidde okutumbula obwerufu era bamalewo obubbi bwa ssente mu bitongole bya gavumenti kikendeeze ku ssente z’omuwi w’omusolo ezifaafagana. Mao agambye Katikkiro nti bagenda kunoonyereza ku by’obugagga bya bakozi ba gavumenti, kiyambeko okukendeeza omuze gwa bannayuganda okusinza ababbi ba ssente. Mu birala aba DP kye batunuulidde, kwe kuzimba Uganda ekulaakulanira awamu kisobole okutwala Uganda mu maaso. Ono ategeezezza nga bw’atwala Katikkiro Mayiga ng’ekyokulabirako era ng’agenda kwongera okugatta ekibiina kya Democratic Party n’okukitwala mu maaso. Mu kiseera kino, Mao atabaala ebitundu bya Buganda ebyenjawulo ng’anoonya obululu obunaamutuusa ku bukulembeze bwa Uganda mu kalulu ka bonna akakubye kkoodi. https://gambuuze.ug/2021/01/07/ebizibu-bya-uganda-byerina-biva-ku-butatambulira-ku-mateeka-owek-mayiga/ +politics Ttiyaggaasi n’amasasi binyoose mu kulonda kw’abavubuka e Kamwokya Kamwokya Poliisi ewalirizddwa okukuba Ttiyaggaasi n’amasasi okutangira abavubuka b’ekibiina ki ‘National Resistance Movement (NRM) naba National Unity Platform-(NUP) okubatangira okweggwa mu malaka mukulonda kw’abavubuka ku byalo. Abavubuka ku bimu ku bifo ebironderwamu e Kamwokya Kalumanywera okusinga yabadde mu Zzooni ya Kifumbira A ne Kifumbira B e Kamwokya ng’ eno okulonda kw’eggulo tekwawedde bwekutyo nekuddibwamu leero ku Lwokubiri. Ebifo bino byombi biri ku ssomero lya Homisdallen Primary School e Kamwokya mu Kampala. Omu ku balonzi mu Kifumbira B Alex Mugisa, ategeezezza nti embiranye bwebadde wakati wa munna NRM Philip Olobo ne munnakibiina ki NUP Edward Mujeza, nga bano eggulo basibaganidde ku bululu 55 buli omu. Enjuyi zombi zagaanye ebyavudde mu kalulu era okukakana nga okulonda e Kifumbira B kuyiise. Ate mu Kifumbira B olukalala lw’abalonzi lwabiddwa ekintu ekyawalirizza abalondesa okuddamu okutegeka okulonda kuno ku makya ga leero ku Lwokubiri. Eby’okwerinda byakedde kunywezebwa poliisi, era okulonda nekuddamu wabula obwedda abawagizi ba NUP balumiriza aba NRM okukozesa poliisi okugaana abalonzi babwe okutuuka awalonderwa. Kino kitabudde embeera ekiwalirizza poliisi okukozesa ttiyaggaasi n’amasasi okukakkanya abavubuka, olwo dduka dduka naddamu ekiwalirizza aba LDU n’Amajje okuleetebwa bayambe ku poliisi olwo embeera neteleera era okulonda nekuddamu. Oluvanyuma owa NRM Philip Olobo, alangiriddwa ku buwanguzi bwafunye obululu 67 ate ye Edward Mujeza nga alina 64. Bino aba NUP olubitegedde nebatambula nga balumba ababadde balondera ku Kifumbira A wabula poliisi nebatangira ekintu ekizzeemu okutabula embeera. Wetukoledde eggulire lino nga okulonda kukyagenda mu maaso mu Kifumbira A. Okusinziira ku batunuulizi b’ensonga, okulonda kw’abavubuka wonna mu Ggwanga kubaddemu emivuyo mingi ekiwalirizza poliisi okuyingirawo etaase embeera. URN https://gambuuze.ug/2020/08/18/ttiyaggaasi-namasasi-binyoose-mu-kulonda-kwabavubuka-e-kamwokya/ +politics Bakunze ebitundu ebirala okwettanira Federo Bannayuganda mu bitundu ebyenjawulo basabiddwa okwettanira okumanya ensonga ya Federo era bakimanye nti enkola eno teganyula kitundu kya Buganda wabula n’ebitundu ebirala ebikola Uganda. Okukunga kuno kukoleddwa aboogezi ab’enjawulo ku mukolo gw’okutongoza ekitabo ekikwata ku Federo, ekituumiddwa Federalisim for a New Uganda, ekitongozeddwa Omubaka Allan Mayanja Ssebunnya. “Federo ayogerwako mu kitabo kino ya Uganda yonna era ezingiramu ebitundu 13 okuli; Bunyoro, Buganda, Busoga, Acholi, Lango awamu n’ebirala wadde nga waliwo ebitundu ebigezaako okuteekebwawo n’ekiruubvirirwa ky’okutabangula ebitundu ebyasangibwawo.” Sserunjogi bw’agambye Sserunjogi agamba nti Federo tekitegeeza Buganda ng’abantu bwe bakitwala kuba ekigendererwa kya kugabana buyinza wakati w’ebitundu bino awamu ne gavumenti eyaawakati. Ono agamba nti tewali muntu yenna ayinza kugonjoola bizibu by’abantu bonna okuggyako ng’obuyinza bugabaniddwa mu ngeri y’obuvunaanyizibwa era mu bwerufu, ebitundu ne bisobola okukola ku bizibu byabyo. Okusinziira ku Sserunjogi, singa Uganda yonna eweebwa Federo, kijja kuyamba okukendeeza ku muwendo gw’ababaka ba Palamenti abangi kuba buli kitundu kijja kuba kirina Palamenti yaakyo ng’ababaka abaawamu tebasobola kusukka 200. Omuwandiisi Sserunjogi agamba nti disitulikiti ez’enjawulo zikung’aanya ssente nnyingi kyokka ate ne zizitwala mu gavumenti ezigabanyizeeko era nga n’ensonga ya disitulikiti ennyingi erina okutunulwamu kuba abantu banoonya buweereza so si bungi bwa disitulikiti. Ono ayagala ebitundu byonna okuli; Busoga, Acholi, Bugisu ne Bunyoro, okusoosowaza ensonga ya Federo kuba y’egenda okuyamba ebitundu byabwe mu bwenkanya, kiyambe okuyimusa embeera z’abantu baabyo. Sserunjogi ategeezezza nti Uganda erimu amawanga mangi nga kijja kwanguya okukolera awamu n’okutwala eggwanga mu maaso. Ate ye omubaka wa Nakaseke Central, Allan Mayanja Ssebunnya ategeezezza nti Federo erina kutandikira ku kugisomesa bantu yonna gye bali, okutegeera ensonga eno kuba singa ebitundu biweebwa obuyinza okusalawo, eggwanga lino lisobola okutambula obulungi. “Ebitundu ebisinga biraba nga Buganda y’egenda okufunamu mu Federo naye kino kya Uganda yonna kuba n’endagaano ya 1900 yali ekirambika nti ebitundu bino ebya Uganda 13 bye byali bitambulirako ensonga. Buvunaanyizibwa bwaffe okuddayo okusomesa abantu baffe obukulu bwa Federo.” Omubaka Mayanja bw’annyonnyodde. Kinajjukirwa nti Buganda ezze ebanja gavumenti okugiwa enkola ya Federo kigiyambeko okwekolera ku nsonga zaayo, kiyambe okutumbula embeera z’abantu mu kitundu kino. https://gambuuze.ug/2021/10/04/bakunze-ebitundu-ebirala-okwettanira-federo/ +politics Abeekalakaasa bazzeemu, baagala Bobi Wine ayimbulwe mu bwangu Kampala Poliisi ezzeemu okugobagana n’abeekalakaasa mu bitundu bya Kampala okuli; Mulago, Kawempe ne Wandegeya, nga baagala poliisi eyimbule Pulezidenti wa National Unity Platform (NUP) Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine). Kyagulanyi yakwatiddwa eggulo ku Lwokusatu okuva e Luuka, n’aggalirwa e Nalufenya mu Jinja olw’okumenya ebiragiro by’akakiiko k’ebyokulonda ebigendereddwamu okutangira ekirwadde kya Ssennyiga Corona. Abawagizi ba Kyagulanyi okuli aba boodabooda, abooza emmotoka n’abantu abalala be bamu ku bakedde okubanja Kyagulanyi okuyimbulwa awatali kakwakkulizo konna. Poliisi wadde yalabudde abantu okukomya okwekalakaasa n’okwokya ebipiira, bano bakedde kuggala nguudo e Mulago n’e Wandegeya wakati mu poliisi okugezaako okubagumbulula. Abantu abasoba mu 50 bagambibwa okuba nti be batwaliddwa mu ddwaliro e Mulago nga bakoseddwa ttiyaggaasi. Abamu ku beekalakaasizza, Arnold Tumwine, asabye Pulezidenti Museveni okulagira Kyagulanyi ayimbulwe mu bwangu kuba talina musango gwe yakoze. Bizineensi ku luguudo lwa Kampala –Gayaza ng���eno ye wasangibwa amaka ga Kyagulanyi, zisanyaladde olw’abatuuze mu kitundu kino okukeera okubanja Bobi Wine, ne bano bookezza ebipiira n’okuggala enguudo okuviira ddala ku Kaleerwe okutuuka e Kasangati. Emmotoka ezitambula ku luguudo luno ntono nnyo era ng’abamu ku basuubuzi balabiddwako nga batudde wabweru w’amaduuka gaabwe. Ku ssaawa 4:30 poliisi, n’amagye bisazeeko obutawuni ku luguudo luno era ne bagobaganya abamu ku bavubuka ababadde bagambibwa okukuma omuliro mu nguudo. URN https://gambuuze.ug/2020/11/19/abeekalakaasa-bazzeemu-baagala-bobi-wine-ayimbulwe-mu-bwangu/ +politics Banyankole nabo  baavu bazibu, abafunye mu gavumenti be batono –  Kabuleta Akulira ekisinde ki National Economic Empowerment Dialogue (NEED), Joseph Kizza Kabuleta agamba nti bannayuganda mu bitundu eby’enjawulo banonaabona wadde waliwo abatono abeeyagala mu kitundu kya Ankole. Kabuleta nga yavuganyako ku bwapulezidenti mu kalulu ka 2021, bino yabyogeredde mu lukung’aana lwa bannamawulire ku kitebe kya NEED mu Kampala ku Mmande. “Si nti abanyakole bonna bafunye mu gavumenti eno, abasinga bali mu buzibu ng’ abalala era batubidde mu bwavu naye waliyo abatono abeeyagala era bano bebagezaako okusiiga ekifananyi nti abantu b’ekitundu kino bali bulungi,” Kabuleeta bwe yagambye. Okusinziira ku Kabuleta okuva NRM lweyatandikibwawo ebadde etiitiibya nnyo Abahima n’Abatuusi nga bebaluka enteekateeka y’okulembera Uganda okumala emyaka 50, wadde okusooka bannayuganda babiraba nga lusaago naye bagenze okulaba ng’emyaka 50 gibulako katono okukongoka. Kabuleta agamba nti bano bakozeseza bbanka okwezza ebintu bya bantu nga babawola amabanja ku magoba amangi bwebalemererwa nebatwala ebizimbe n’ettaka lyabwe era bakola nnyo okulaba nti abantu babakuumira mu bwavu basobole okubafuga. “Ebya Uganda bigenda biggwawo mpola. Kyetulina kati be Bahima abeefuze buli kantu,” Kabuleta bwe yannyonnyodde n’asaba bannayuganda okusitukiramu beerwaneko nga ekiseera tekinayita kufuuka baddu mu nsi yabwe. Eyaliko omubaka wa Isingiro North mu Palamenti Prossy Ayebare yategeezezza nti Abanyankore n’Abakiga tebalina kyebafunye mu gavumenti eno kuba Abahima n’Abatuusi bebasalawo ku ani atuula mu kifo era ne ani asalawo ku nsonga ez’amakulu mu ggwanga. Ayebare yasabye bannayuganda bakomye okubatwalira awamu kuba si nti buli Munyankole alina kyafunye mu gavumenti eno kuba nabo amasomero, amalwaliro byonna biri mu mbeera mbi era nabo beesanze babbiddwako ettaka abanene abali mu gavumenti. Omu ku bantu abavuddeyo okukakasa kino ye Edwin Akoragye, omutuuze we Biharwe mu Mbarara city eyagambye nti Abahima n’Abatuusi be basalawo mwana wa ani alina okufuna sikaala za gavumenti okusomera ebweru n’okubeera mu bifo era bafudde bannansi abasibe mu nsi yabwe. “ Balina enteekateeka y’okuyonja Kampala naye nga baagala kumwefuga. Baagala baleete amatooke nga bamaze okugawaata okuva e Rubindi, baagala ente batandike kuzittira mu lufula gyebazimbye e Birabwe. Baagala okwefuga buli kantu okuva ku mmwaanyi, amata, amatooke awamu n’ebirala,” Akoragye bwe yannyonnyodde. Ono yategeezezza nti ettaka mu Ankole libbibwa, e Rwenjeru omuntu omu yaweebwa sikweya Mayiro 500 ku bwerere alundireko ente. Ono alina akakwate ku banene mu gavumenti era abaavu abaliwo bagobwawo era tebalina wakubeera. Akoragye agamba nti Abanyankole si basosoze, era ssi babi nga bannayuganda bwebalowooza olw’ebikolwa by’abantu abamu abali mu gavumenti. Akwanaganya ekisinde ki NEED mu ggwanga, Asuman Odaka, agamba nti baagala okulaba ng’eggwanga ligabana kyenkanyi eby’obugagga kiriyambe okulaakulanira awamu Odaka yategeezezza bannamawulire nti abantu b’e Bukedi balowooza nti Abanyankole bali bulungi ekintu ekitali kituufu. https://gambuuze.ug/2022/05/31/banyankole-nabo-baavu-bazibu-abafunye-mu-gavumenti-be-batono-kabuleta/ +politics Abalonzi tebakyalina bwesige mu balondesa – Katikkiro Mayiga Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga ategeezezza nti ekivuddeko emivuyo egyalabiddwa mu kulonda kw’ekibiina kya National Resistance Movement (NRM) n’ebibiina ebirala, kwe kuba nga tebakyalina bwesige mu nteekateeka ya kulonda munda mu bibiina n’okulonda kw’eggwanga lyonna. Katikkiro Mayiga ne Minisita Kiwanda mu Bulange Mayiga okwogera bino yabadde akoona ku by’agamba nti bye byavuddeko emivuyo mu Kamyufu. Okwogera bino yabadde asisinkanye amyuka ssentebe w’ekibiina kya NRM, Godfrey Kiwanda Ssuubi ne bannakibiina abaamukyaliddeko mu Bulange e Mmengo ku Lwokusatu. “Ekivaako obusambattuko lwakubanga abalonzi tebakyalina bwesige mu abo abalondesa. Ate era n’embeera yonna ey’okulonda babeera tebagirabamu mazima na bwenkanya.”Katikkiro Mayiga bwe yategeezezza Katikkiro Mayiga yalambuludde nga abeesimbawo mu Kamyufu ka NRM bwe baalabibwako nga bagabira abantu ssente n’abasaba okukimanya nti Uganda yeetaaga eby’obufuzi eby’emirembe ng’abantu beerondera abantu be beesimidde. Mayiga yawabudde nti singa okulonda kubeera kumaamiddwa vvulugu nga n’abavuganya tebakkirizibwa kukuba nkung’aana, tewali ngeri balonzi bwe bayinza kukkiriza biva mu kulonda kwa ngeri eno n’asaba kino kitunulwemu. Yasabye ekibiina ekiri mu buyinza okubeera eky’okulabirako olwo kyanguyire ebibiina ebirala okubatwala ng’ekyokulabirako. “Eky’obugagga NRM ky’esaana okulekera Uganda, kwe kulaba nti okulonda mu bibiina munda okutandikira ddala mu NRM ne mu kulonda okwa Uganda yonna kubeera kwa mirembe, kw’amazima kwa Bwenkanya.” Owek. Mayiga bwe yalambuludde. Katikkiro yabasabye bakimanye nti buvunaanyizibwa bwabwe okutegeka okulonda mu mirembe ne mu bwenkanya kyanguyire ebibiina ebirala okugoberera. Ono yasabye abeesimbyewo baveeyo balage bye bagenda okukolera abantu olwo bakole okusalawo okutuufu ku ani gwe baagala okuwa akalulu kaabwe. Yakiggumiza nga bwe batagenda kuwanda ddusu ku muntu wabula n’abasaba baveeyo balage we bayimiridde ku nsonga Ssemasonga eza Buganda ettaano. “Twagala omwana wa Kabaka aveeyo nti nze Ssemasonga ettaano nti ng’enda kuzikwata bwenti, tuzikutte bwetuti kuba nabagambye nti ffe buli omu assa mu nnono yaffe ne mu Kabaka ekitiibwa tumwaniriza.” Mayiga bwe yagasseeko. Mayiga yeebazizza Pulezidenti Museveni ku ky’okuzza emmotoka ya Ssekabaka Muteesa II eya Rolls Royce wabula n’ategeeza nti kino tekigenda kubalemesa kubanja emmotoka essatu endala. Ono yasabye gavumenti okukwasizaako Buganda okusobola okuddaabiriza emmotoka eno kubanga akimanyi bulungi nti gavumenti ya Uganda y’evunaanyizibwa ku kwonooneka kwayo. “Twagala tuzeewo emmotoka eno era tusaba gavumenti okutukwatirako ku mulimu gw’okugiddabiriza wabula kino tekitukugira kubanja “Benteri” Namasole, Sarah Nalule mwe yatambuliranga ne Rolls Royce endala ennya ezaawambibwa.” Mayiga bwe yasabye. Mukuumaddamula yakulisizza Minisita Kiwanda olw’okulondebwa nga omumyuka wa Ssentebe wa NRM n’ategeeza nti amutaddeko amaaso okulaba engeri gy’atambuzaamu emirimu. Ye Minisita Omubeezi ow’ebyobulamuzi Godfrey Kiwanda Ssuubi yeetonze olwa vvulugu eyali mu kamyufu ka NRM n’ategeeza nti ebyatuukawo baali bagezaako okuteeka mu nkola emu ku mpagi za NRM ey’okunnyikiza demokulaasia. Kiwanda yagambye nti olw’ensonga nti olutalo olwaleeta NRM mu buyinza lwasinga kulwanirwa mu Buganda, Buganda yafuuka obuvo era obuddo bwa NRM. Ono okukyala embuga yawerekeddwako abantu ab’enjawulo okuli; Magrate Nantogo Zziwa , Faridah Nambi , Ruth Nankabirwa ne Rogers Mulindwa. https://gambuuze.ug/2020/09/23/abalonzi-tebakyalina-bwesige-mu-balondesa-katikkiro-mayiga/ +politics Bobi Wine ayimbuddwa ku kakalu ka kkooti Iganga Eyeesimbyewo ku kkaadi ya National Unity Platform (NUP) ku bwapulezidenti, Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine, ayimbuddwa ku kakalu ka kkooti etudde e Iganga leero ku Lwokutaano. Kyagulanyi eyakwatibwa e Luuka nga anoonya akalulu, yaggaliddwa mu kkomera e Nalufenya ku Lwokusatu okutuusa olunaku lwaleero, kkooti lw’emuyimbudde. Ono avunaanibwa omusango gw’okukuba olukung’aana olumenya amateeka wamu n’okujeemera ebiragiro bya Ssennyiga Corona. Bw’alabiseeko mu maaso g’omulamuzi wa kkooti ento e Iganga, emisango gyombi agyegaanye. “Ndi wano okugamba Museveni nti tetuli baddu mu ggwanga lyaffe, Uganda nsi yaffe era tujja kuginunula.” Kyagulanyi bw’agambye. Kyagulanyi ayimbuddwa ku kakalu ka kakadde kalamba akatali kabuliwo ate abamweyimiridde ne basasibwa obukadde butaano ezitali za buliwo Oluvannyuma lw’okukwata Kyagulanyi abantu beekalakaasizza era ng’olunaku lw’eggulo we lwazibidde ng’abaakafa baweze 38 nga poliisi egezaako okubagumbulula. Ku Lwokusatu n’Olwokuna abavubuka baggala amakubo n’okwokya ebipiira mu nguudo era kyawaliriza abamagye okuyingira mu nsonga eno okuyambako poliisi okunyweza emirembe. Waliwo n’obutambi bw’abantu abaabadde bambadde engoye eza bulijjo abaalabiddwako nga bakutte emmundu era nga bagezaako okutugumbulula abantu abaabadde beekalakaasa. Ab’ebyokwerinda baakutte Kyagulanyi ku Lwokusatu ku bigambibwa nti yabadde amenya ebiragiro ebitangira Ssennyiga Corona ng’akung’aanya abantu. Yonna Bobi Wine gy’ayise ng’akuba enkung’aana abantu babadde bamukung’aanirako era nga kino kizze kitabula abawagizi b’ekibiina ekiri mu buyinza ekya National Resistance Movement (NRM). Bwe yabadde e Kotido, Pulezidenti Museveni yagambye nti abantu abaabadde beekalakaasa olwa Bobi Wine okukwatibwa baabadde bakozesebwa abagwira abatayagala Uganda kutebenkera. https://gambuuze.ug/2020/11/20/bobi-wine-ayimbuddwa-ku-kakalu-ka-kkooti/ +politics AKAMYUFU KA NRM: Akakiiko ka NRM katandise okuwulira okwemulugunya kw’ abawangulwa Kampala Ekibiina ki NRM kitaddewo akakiiko okutunula mu kwemulugunya kwa beesimbyewo abeemulugunya ku buwanguzi bwabwe okubbibwa mu kamyufu akeetabikamu obukubagano, okubba obululu wamu n’okulya enguzi. Amyuka Ssaabawandiisi wa NRM Richard Todwong Bweyabadde ayogerako eri bannamawulire ku lunaku lwa Ssande, amyuka Ssaabawandiisi w’ekibiina ki NRM Richard Todwong yategeezezza nti, ttiimu yabwe eya bannamateeka esuubirwa okutandika okuwulira okwegulunya n’okutunula mu nsonga zino enkya ku Lwokubiri wali ku kitebe ky’ekibiina. Todwong yategeezezza nti, ebinaava mu kunoonyereza kuno byebigenda okulambika ekibiina ku kirina okukolebwa eri abo abeetaba obutereevu mu bikolwa by’okubba obululu n’okutabangula emirembe kubanga NRM kibiina kya mirembe. Kinajjukirwa nti, mubitundu ebimu bannakibiina bakubwa, abamu bafuna ebisago nga enjuyi ez’enjawulo ziyombagana ate nga waliwo nabafuna ebisago n’okukubwa amasasi ab’ ebyokwerinda ku lunaku lw’okukuba akalulu n’okukabala. Amyuka Ssaabawandiisi Todwong yakakasizza nga bwewalina okubaawo ekikolebwa eri abo abanasangibwa nga gubasinga kisobole okuyigiriza abalala nti ebikolwa nga bino tebirina kifo mu by’obufuzi by’ekibiina. “Tetuyinza kufuuka kibiina kiwagira bubbi n’obutabanguko wamu naabo ababwetabamu, tugenda kuggyamu abantu ab’ekikula kino mu kibiina,”Todwong bweyagambye. “ Nsaba ab’ebyokwerinda wamu n’essiga eddamuzi okukakasa nti, abo abeetaba mu bikolwa bino bavunaanibwa emisango gyebakola era bagaanibwe okuddamu okwetaba mukulonda mu biseera eby’omu maaso kubanga ebikolwa byabwe bivumaganya ekibiina,”Todwong bweyalambuludde. https://gambuuze.ug/2020/09/14/akamyufu-ka-nrm-akakiiko-ka-nrm-katandise-okuwulira-okwemulugunya-kw-abawangulwa/ +politics Aba NUP batandise okwogereza abaagala okwesimbawo ku lwabwe Ekibiina kya National Unity Platform (NUP) kitandise kaweefube okwogereza bannakibiina abasubiddwa okufuna kkaadi baleme kwesimbawo ku lwabwe okwewala obuwanguzi bw’ekibiina okugabanyizibwamu. Omwogezi wa NUP, Joel Ssenyonyi Okusinziira ku mwogezi w’ekibiina kino Joel Ssenyonyi batandise okwogera nabo wadde nga tebaatuuka ku nzikiriziganya. “ Tuli mukwogerezeganya n’abantu bano wadde si byangu kubanga buli muntu kkaadi yali agyetaaga. Naye nga ekyamazima tikeeti yali erina kuweebwa muntu omu. Abamu bakkiriza okudda ebbali era nti tusuubira nti n’abalala bajja kukkiriza,”Ssenyonyi bw’agambye. Ssenyonyi ategeezezza nti okuva lwebafulumya olukalala lw’abagenda okukwata bbendera yabwe bangi abammibwa kkaadi tebaakyagala era beewera okwesimbawo ku lwabwe. Kino kyawaliriza abakulira NUP okuteekawo akakiiko katunule mu kwemulugunya kwabwe naye era bangi basigadde si bamativu. Ssenyonyi anyonyodde nti bano bali mukwogerezeganya nabo naye bwebigaana, ekibiina tekigenda kubeera nakyakusalawo okuggyako obutabawagira. Ono agambye nti tebagenda kufaayo ku nkolagana gyebalina na kibiina oba omukulembeze wakyo Robert Kyagulanyi naye bakuwagira abo abafuna kkaadi y’ekibiina. Abeesimbyewo abawerako bavaayo nebalaga obutali bumativu ku ngeri ekibiina gyekyagabamu kkaadi zino nga abamu balumiriza abakulu okulya enguzi. https://gambuuze.ug/2020/10/12/aba-nup-batandise-okwogereza-abaagala-okwesimbawo-ku-lwabwe/ +religion Ssaabasumba omuggya atuuzibwa 25 omwezi guno Eklezia Katolika etegeezezza nga Ssaabasumba w’essaza ekkulu ery’eKampala omuggya, Paul Ssemogerere bw’ajja okutuuzibwa mu ntebe eno mu mwezi guno nga 25. Kino kirangiriddwa Ccansala w’essaza ekkulu ery’e Kampala, Rev.Fr. Pius Male Ssetumbweku Lwokuna mu lukung’aana lwa bannamawulire lw’atuuzizza ku Lutikko e Lubaga. Okusinziira ku Fr. Ssetumbwe, Ssaabasumba agenda kutuuzibwa omubaka wa Ppaapa mu Uganda, Luigi Bianco nga gwakubeera ku Lutikko e Lubaga. Kino kyaddiridde Ppaapa Francis okulangiriraokulondebwa kwa Ssemogerere okubeeraSsaabasumba w’essaza lino ng’adda mu bigere byaDr. Cyprian Kizito Lwanga eyafa gyebuvuddeko. Oluvannyuma lw’okufa kwa Ssaabasumba Lwanga,Bisoopu Ssemogerere yalondebwa okubeera omukuumi w’entebe ya Ssaabasumba w’essaza lino okutuusa lwe yalondeddwa okubeera Ssaabasumba omuggya. https://gambuuze.ug/2022/01/06/ssaabasumba-omuggya-atuuzibwa-25-omwezi-guno/ +religion Engeri abazigu gye baalumbye amaka ga Ssaabasumba Lwanga Bya Jesse Lwanga Kampala Poliisi e Naggalama eri mu kattu okuzuula abazigu abasoba mu 15 abagambibwa okuyingira mu maka ge eyali Ssaabasumba Dr. Cyprian Kizito Lwanga mu kiro ekyakeesezza olwaleero ne banyaga ebimu ku bintu. Okusinziira ku batuuze bano, amaka gano baagayingiridde ku ssaawa 7 ez’ekiro e Kyabakadde mu ggombolola ye Kyampisi mu Mukono ne babba essimu abiri, emitwalo 25 ze baggye ku bamu ku bantu abakuuma amaka gano. Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigire, agamba nti abazigu bano baasoose kusala kikomera n’oluvannyuma ne bayingira munda nga bambadde obukookolo obwebuzaabuza. Ono agattako nti bano babadde babagalidde emiggo n’ejjambiya era olwayingidde munda abaabadde ne babasiba obundooya nebakuliita n’ebintu ebiwerako. Poliisi egamba baliko omu ku bantu ababeera mu nnyumba eno abaakwatiddwa bayambeko ku kunooonyereza okugenda mu maaso. Okusinziira ku Oweyesigire bye bazudde biraga nti yabuzeewo kyokka n’akomawo ku makya ku ssaawa 12 nga bateebereza okuba nti yabadde amanyi ku lukwe luno. Mu kiseera kino amaka nga Ssaabasumba awaabadde obubbi buno gazingiddwako poliisi nga tewali muntu yenna akkirizibwa kugenda yo ssaako n’okwogera n’abo abamu ku bantu ababiri abaanyagiddwako ebintu byabwe. Ebimu ku bintu ebyabadde bibbiddwa poliisi ebizudde era ng’omukwate akuumirwa ku poliisi y’e Naggalama. https://gambuuze.ug/2021/04/16/engeri-abazigu-gye-baalumbye-amaka-ga-ssaabasumba-lwanga/ +religion Ssaabasajja Kabaka asaasidde Eklezia olw’okufa kw’omusumba Kaggwa Ssaabasajja Kabaka asaasidde abakulisitu mu Eklezia Katolika, ab’ekika kye Mbogo awamu ne bannayuganda bonna olw’okufa kw’omusumba w’e Masaka eyawummula John Baptist Kaggwa. Katikkiro Mayiga mukuziika Bisoopu Kaggwa Nga ayita mu bubaka bwe obumusomeddwa Kamalabyonna Charles Peter Mayiga, Omutanda amwogeddeko nga omuntu abadde alungamya abantu be awatali kutya kwonna era eddoboozi ly’abantu bonna era abadde ayagala ennyo ekika kye. Beene ayogedde okusaasira omukulu w’ekika kye Mbogo Omutaka Kayiira Gajuule awamu ne bannayuganda bonna. Ate ku lulwe Katikkiro Mayiga ayogedde ku mugenzi nga omusajja abadde akola omulimu ogwetendo okulyowa emyoyo gy’abantu ba Katonda wamu nokulwanirira obwenkanya mu bantu bano. Omusumba Kaggwa aziikiddwa olunaku lwa leero mu Seminaliyo ye Bukalasa era nga ekitambiro kya mmisa ekimusiibula kikulembeddwamu gukulembeddwamu Ssentebe w’olukiiko lw’abasumba mu Uganda, omusumba Anthony Zziwa. Abasumba ab’enjawulo basiimye omugenzi nga omusumba abadde awereza n’okwagala mu keleziya ya Uganda n’eyensi yonna era nti abadde afaayo okulabirira endiga za mukama mu mbeera yonna. Bano banokoddeyo ebirungi munnabwe byeyakola omuli okuggulawo obusumba n’amatendekero mu bitundu eby’enjawulo,okubeera omulwanirizi w’eddembe, emirembe kwossa amazima n’obwenkanya ate nga kwotadde n’okubeera omugunjuzi w’abasaaseredooti. Omusumba zziwa yeebazizza olw’ obukozi bw’omusumba Kaggwa nawa n’ekyokulabirako mbu ebiseera nga yakulira sseminariyo y’omutume Mbaaga nti ono yavuganga engendo empaavu nga akozesa loole asobole okutuusa ebyetaago nga emmere eri baakulembera. “Mukama awadde omusumba kaggwa ebitone bingi era abitulekedde tulabireko” omusumba Zziwa bweyategezezza era nasaba abantu okujjukira omugenzi nga bateeka byabayigiriza mu nkola. Omusumba Kaggwa yali omusumba we ssaza ly’emasaka okumala emyaka 20. Era ye yadda mu bigere by’omusumba omugenzi Adrian Kivumbi Ddungu sso nga ate yye yasikirwa omusumba Serverus Jjumba, afiiridde ku myaka 77. https://gambuuze.ug/2021/01/23/ssaabasajja-kabaka-asaasidde-eklezia-olwokufa-kwomusumba-kaggwa/ +religion Omulabirizi Kironde Nsubuga avumiridde ettemu erikyaase Omulabirizi w’ Obulabirizi bwe Luweero, Bp Elidard Kironde Nsubuga avumiridde ettemu n’ebikolwa ebya kiyiwa musaayi naddala ebijjambiya ebikyase ennyo byagamba nti bitatanye ekifananyi ky’ eggwanga kyokka nga tewali kyamaanyi kikolebwa kubirwanyisa. Okwogera bino, Omulabirizi Nsubuga abadde akulembeddemu abagabi b’omusaayi mu ggombolola ya Mutuba 8 Kikamulo n’agamba nti okugaba omusaayi kujjidde mu kiseera ng’ebikola bye ttemu b’ebaana baliwo ebirina okukoma ekituufu kuba ebikolwa by’ettemu byongedde obwetaavu bwagwo. ” Njagala okuvumirira ebikolwa byonna ebikolebwa omusaayi ogutaliiko musango neguyiika. Ensangi zino ebikolwa eby’ebijambiya ebiyiwa omusaayi kubanga omusaayi bulamu ate nga n’omusaayi mulimu obulamu,” Omulabirizi Nsubuga bw’ategeezezza. Ye Omwami w’essaza Bulemeezi Kangaawo Ronald Mulondo agambye nti omulimu gw’abakulembeze kwekusalira amagezi ebizibu ebisomooza abantu mu kifo ky’okubyogerako obwogezi entakera. Omubaka wa Nakaseke Central Allan Mayanja Ssebunnya agambye nti ekimu ku bireesewo okusomooza okungi mu by’obulamu bebakulembeze ababulankanya ssente eziba ziyisiddwa okutumbula embeera z’abantu era ababaka bafuba okuzisesemya ababeera bazibulankanyiza. Ssenkulu wa Kabaka Foundation omukungu Eddy Kaggwa Ndagala asinzidde wano nasaba ababaka okwongera okukola enkaliriza ku mbalirira era bakakase nti ensimbi eziweebwa Minisitule n’ebitongole zibeere ezeegasa. Olunaku olw’enkya okugaba omusaayi kuli mu ggombolola ya Ssaabagabo Nakaseke, Ssaabaddu Kapeeka, ne Mutuba 10 Semuto. https://gambuuze.ug/2022/04/26/omulabirizi-kironde-nsubuga-avumiridde-ettemu-erikyaase/ +religion Eddaali ly’ekizimbe ku Fido Dido kagwiridde abagoberezi Abantu abawerako baddusiddwa mu ddwaliro nga bali mu mbeera mbi oluvannyuma lw’eddaali ly’ekizimbe ewali Fido dido ku Kampala Road, okuggwamu wakati nga bali mu kusaba. Abasawo nga batwala banonye abamu ku balumiziddwa Bano abaddusiddwa mu ddwaliro bagoberezi ba House of Rest era baabadde bakung’aanye ku kimu ku bisenge by’ekizimbe kino nga bali mu kusaba okumanyiddwa nga ‘Lunch Hour.’ Omu ku bakolera mu kizimbe kino Kato Ibra yategeezezza nti ekizibu kyavudde ku muntu eyabadde alinnye waggulu mu ddaali (Ceiling) okulaba ekyaggyeeko amasannyalaze wabula ono teyabandaddeyo n’aggwa n’eddaali lino. “Ceiling ebadde nkadde nnyo. Abantu abawera bataano bafiiriddewo. Nze nkozesezza emmotoka yange okutwala abamu ku bantu mu ddwaliro.” Omulala ku baabaddewo Nkumbi Kenneth bwe yategeezezza. Omu ku baasimattuse, Ibrahim Ssegandi yategeezezza nti abantu abasoba mu 30 be baafunye ebisago naye ku bano 13 baabadde mu mbeera mbi. We twakoledde eggulire lino nga poliisi ekyagenda mu maaso n’okusikayo abantu mu kisenge ekyaguddemu era 15 ku bano baabadde bamaze okusikibwayo. Eby’okwerinda byanywezeddwa okuliraana ekitundu kino era poliisi obwedda tekkiriza bantu kuyingira munda mu kizimbe kino awaagudde ekizibu. https://gambuuze.ug/2021/03/16/eddaali-lyekizimbe-ku-fido-dido-kagwiridde-abagoberezi/ +religion Omusumba w’e Masaka akyaddeko e Mmengo, asiimye enkolagana Obwakabaka gyebulina n’Ekeleziya Omusumba Jjumba wamu ne Katikkiro mu maaso ga Bulange Omusumba w’essaza ly’Ekeleziya ery’e Masaka, Serverus Jjumba enkya ya leero akyaddeko ku Bulange e Mmengo embuga enkulu ey’Obwakabaka bwa Buganda. Ono e Mmengo ayaniriziddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga ngali wamu ne baminisita mu gavumenti ya Kabaka wamu n’abakungu abalala. Mu kumwaniriza, Oweek. Mayiga agambye nti ng’Obwakabaka, baasanyuka nnyo Jjumba bweyalondebwa okuddira Omusumba John Baptist Kaggwa eyawummula omwaka oguwedde. “Ebyenjigiriza wano mu Uganda tuyinza okugamba nti Buddu ekwata kisooka olwa masomero enkumuliitu, Omusumba Joseph Kiwanuka geyateeka kumpi ku buli kigo. Bw’okola ku by’obulamu neby’enjigiriza kumpi buli muntu oba omaze okumuteekateeka,” Mayiga bwagambye. Mayiga agambye nti Omusumba Jjumba bamulinamu essuubi ddene era n’amusuubiza enkolagana ennungi ku lw’omubulungi bw’abantu Ekeleziya wamu n’Obwakabaka bwebaweereza. Katikkiro ng’ayaniriza Omusumba Serverus Jjumba mu Bulange Ajjukizza Omusumba nti essaza ly’avaamu ery’e Buddu kkulu nnyo si mu Ekeleziya mwokka wabula Obwakabaka wamu ne mu by’obufuzi bya Uganda. Agambye ssaabaminisita wa Uagnda eyasooka Ben Kiwanuka, nzaalwa y’e Masaka, abalala mulimu Katikkiro Mayanja Nkangi, ne Joseph Mulwanyammuli. Katikkiro era asiimye nnyo Omusumba olw’okwerekereza emirimu emingi nasalawo okugenda okubalamusaako olw’omukago gwebalina okukuza eggwanga eddungi “Ennaku zino Obwakabaka bulina kaweefube w’obuntu bulamu naye tukimanyi awo Ekeleziya wesimbye. Bwetunaakolaganira awamu tujja kujjawo enjogera egamba nti Uganda bwetyo. Tetusobola kukkiriza bintu bikyamu bitwalibwe ng’ebituufu olw’okuba ensi eyise mu bintu eby’enjawulo n’ekirowoozesa abantu nti obubbi, obugwenyufu n’ebirala ebifaanana bwebityo bituufu,” Mayiga bwagambye. Mungeri endala, Katikkiro era atangaazizza nti tewali kukoonagana wakati w’eddiini n’obuwangwa. “Eddiini etunyweza mu buwangwa n’ennono zaffe. Sirowooza nti Yeezu yajja kudibya byamunsi muno. Bishop bwajja kabonero kanene nnyo akalaga nti eddiini, obuwangwa n’ennono abitegeera bulungi era kyakuyiga eri ffe ffenna,” Mayiga bwagambye. “Nebaza aba CBS ne BBS olw’enkolagana eno etuzzaamu nnyo amaanyi,” Jjumba bwagambye. Mu kwogerakwe, Omusumba Jjumba abadde awerekeddwako ssaabakiristu w’eMutukula Regina Nalubega Kitaka, omubaka wa Kakuuto mu palamenti Kalemba Christopher, Everest Kayondo wamu n’omukungu Kiyimba Freeman, agambye nti basanyufu nnyo olw’enkolagana Obwakabaka gyebulina n’Ekeleziya gy’asabye okugenda mu maaso. Yagasseeko nti Obwakabaka, gavumenti yawakati wamu n’Ekeleziya enkolagana yaabwe siyakyeyagalire wabula eteekeddwa okubaawo kubanga baweereza abantu bebamu. Asiimye Obwakabaka olw’okutumbula ekirime ky’emmwanyi n’agamba nti ddala kituufu emmwanyi terimba. “Ekigambo kino nagamba nti kiteekeddwa okussibwako omulaka; amaka gafune omulimu oguyingiza essente era akabonero kaffe mmwanyi,” Jjumba bwagambye. https://gambuuze.ug/2020/03/05/omusumba-we-masaka-akyaddeko-e-mmengo-asiimye-enkolagana-obwakbaka-gyebulina-nekeleziya/ +religion Olulyo Olulangira lutonedde Buganda Kulaani. Olulyo Olulangira olwe United Arab Emirates lutonedde Obuganda ebitabo eby’enzikiriza y’Obuyisiraamu (Quran) lukumi (1000) awamu n’ebiwempe (carpets) bitaano ebyokutuulako mu muzikiti. Omumyuka wa Katikkiro asooka Dr. Twaha Kawaase nga ali wamu n’abasiramu abafunye kulaani. Sheikh Saeed Bin Makhtoum Bin Rashid Al Makhtoum owe Jebel Ali,mu Dubai yatonye ebitabo bino.Bino bizze oluvannyuma lw’okukyala kwa Nnabagereka Sylivia Nagginda mu Lubiri e Jebel Ali, nga 17 February 2019 n’ekigendererwa eky’okunyweza enkolagana n’obwakabaka bwa Buganda.Olwaleero omumyuka waKatikkiro asooka era Minisita w’eby’emirimu n’obuyiiya, Prof. Twaha Kigongo Kaawaase, akwasizza mu butongole abantu ab’enjawulo ebitabo bino bagende banyikize wamu n’okusasaanya enjiri ya Allah subhanahu wa ta’ala.Owek Kaawaase abasibiridde entanda ey’okwekwata Quran nga eky’okulwanyisa mu biseera ebizibu. https://gambuuze.ug/2019/10/03/olulyo-olulangira-lutonedde-buganda-kulaani/ +religion Ab’e Masaka bakungubagidde Omusumba Kaggwa Masaka – Buddu Essaza lya Ssaabasajja Kabaka erya Buddu wamu n’ebitundu ebirilaanyewo bali mukiyongobero nga bagenda mu maaso okukungubagira omusumba omuwumuzze Rt. Rv. Dr. Bishop John Baptist Kaggwa eyafudde ku Lwokuna. Omusumba w’essaza lye Masaka eyawummula kati omugenzi Bisoopu Kaggwa “Bishop Kaggwa ng’ essaza lye Masaka ate n’eklezia katolika mu Uganda okutwaliza awamu tugenda kumusubwa nnyo olw’ensonga nti abadde atakabanira nnyo obumu mubantu bonna nga tasosodde ggwanga nga tasosodde ddiini” bwatyo Fr. Ronald Mayanja ow’amawulire mu sssazza lye Masaka bwe yagambye. Fr. Mayinja yatendereza okwagala Bisoopu Kaggwa bwabadde alina eri abaana abato kuba abadde abasembeza era nga olumu asamba nabo omupiira. Omusumba Kaggwa abadde yakamala okujaguza emyaka 25 egy’obusumba era nga omwaka ogujja abadde agenda kujaguza emyaka 50 mu buweereza bw ‘obusaseredooti. Okusinziira ku Fr. Mayinja, Omusumba Kaggwa yakola nnyo okuddaabiriza lutikko era nga aguddewo ebigo eby’enjawulo nga alwana okulaba nti abakulisitu bafuna emmisa yonna gyebali. Ono yagambye nti Omusumba Serverus Jjumba afiiriddwa nnyo kuba kano ke kaseera wabadde asinga obwetaagira omusumba Kaggwa asobole okumulung’amya olw’ensonga nti yeyamuddira mubigere. Era ategezezza nti enteekateeka z’okuziika zijja kufuluma oluvanyuma lw’olukiiko lw’abepiskoopi okutuula e Nsambya. Bbo bannamasaka boogedde ku mugenzi nga omuntu abadde ayimirira ku mazima era atalya bigambo bye era nga singa wabaawo ekitagenda bulungi nga abakulu abagambako. Kato Ronald yannyonnyodde nti Bisoopu Kaggwa yabawa ente z’amata ez’olulyo nga ayitira mukitongole ky’ekrezia ekya Karitas Maddo wabula nga abaganyulwamu tebawulibwa mu diini n’amawaanga. “Omusumba Kaggwa tuviriddwako omuntu abadde atuwumbawumba, atukumaakuma, atubuulirira era atugambako”. Bwatyo Mmeeya w’ekibuga kya Masaka omulonde, Florence Namayanja bwayogedde kumugenzi. Ate ye omubaka Mary Babirye Kabanda yamwogeddeko nga abadde amusajja omwetowaze, atasosola mubantu omuli abagagga n’abaavu era nga buli muntu amuyita kumukolo ajja. Ebyafaayo by’omusumba John Baptist Kaggwa Bishop Kaggwa yazaalibwa e Bulenga mu Wakiso mu mwaka 1943. Yafuna obusaseredooti mu 1972, naweebwa obusumba nga 19/12/1994 ate natuuzibwa nga omwepiskopi nga 24/6/1995. 10//10/1998 lweyakwasibwa okusumba essaza lye Masaka. Kaggwa yasomera e Lubaga Boys 1952 okutuuka 1957 ate 1958 nayingira Kisubi Seminary. Bweyaveeyo yeegatta ku Katigondo Major Seminary ate bweyava eyo naweerezebwa e Roma okwongera okusoma. Mu 1970 yaweebwa obudyankoni e Roma nga wa myaka 28 era eyo nafunayo Ddiguli ezawererako ddala. https://gambuuze.ug/2021/01/22/abe-masaka-bakungubagidde-omusumba-kaggwa/ +religion Ssaabalabirizi Kazimba asabye gavumenti eggulewo amasomero Ssaabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda Dr.Steven Kazimba Mugalu, alaajanidde gavumenti eggulewo amasomero abaana basome. Dr. Kazimba yategeezezza nti, “Tusaba gavumenti erowooze ku ky’okuggula amasomero nga abakulembeze bonna bamaze okuwaayo engeri ezinagobererwa okwewala ekirwadde ki COVID19.” Ssaabalabirizi Kazimba Mugalu Okwogera bino Ssaabalabirizi abadde aggalawo omusomo gw’ekibiina ekitaba bannabyanjigiriza mu nzikkiriza ya Kurisito ez’enjawulo wamu ne bannakyewa e Namirembe ku Lwokusatu. Ono yalaajanidde gavumenti obutongezzaayo kusoma kwa mwaka guno naye bweggulawo ereke okusoma kweyongereyo okutuuka mu mwezi gw’okusatu. Kazimba era yasabye abaana abali mu bibiina ebikomekerezza emitendera egy’enjawulo basooke baweebwe omukisa okudda ku ssomero. Bannabyanjigiriza balaze nga bwekisoboka abayizi mu bibiina ebimu okusoma ku mpalo nga kumakya ate abalala nebasoma olw’eggulo okusobola okukendeeza omujjuzo. Abamu ku beetabye mu musomo Bano bagamba nti, omuggalo gubanyigirizza nnyo era nga abasomesa tebakyasobola kweyimirizzaawo n’amaka gabwe ate nga n’abazadde abaana babazitoweredde. Kinajjukirwa nti emyezi gigenda kuwera ettaano nga abaana baziddwa eka okwewala okusaasaana kw’ekirwadde ki COVID19 mu ggwanga. https://gambuuze.ug/2020/08/20/ssaabalabirizi-kazimba-asabye-gavumenti-eggulewo-amasomero/ +religion Owek. Nsibirwa asabye bannaddiini okutegeka ebiyinza obayimirizaawo nga bawummudde Omumyuka wa Katikkiro owookubiri, Owek.Robert Waggwa Nsibirwa asabye bannaddiini okutandikawo emirimu egyenjawulo mwe basobola okuggya ensimbi mu kiseera nga bawummudde emirimu gy’okusumba abantu ba Katonda. Bino owek. Nsibirwa abyogeredde Bulemeezi ku mukolo gw’okusonda ensimbi okuzimba Ssemaduuka w’Obulabirizi bw’e Luweero ku Lwomukaaga. Owek.Nsibirwa agamba nti ebiseera ebisinga bannaddiini bwe bava mu buweereza, basanga okusoomoozebwa okwebeezaawo olwokuba ebiseera byabwe ebisinga babimala basumba bantu ne batategekera biseera byabwe bya mu maaso. Omukolo guno gwatandise n’okusaba okwakulembeddwamu Omulabirizi w’Obulabirizi buno, Eldard Nsubuga asabye bannaddiini bonna n’abantu ba Katonda okubwakwasizaako ku mulimu guno gusobole okuvaamu ebibala. Omulabirizi Eldard Nsubuga agambye nti yavaayo n’ekirowoozo ky’okuzimba Ssemaduuka ono okusobola okuwagira abaweereza ba Mukama abeetaaga okukwatizaako mu kiseera nga bawummudde kuba abamu embeera yaabwe okweyimirizaawo ebeera nzibu ddala. Kinajjukirwa nti Omulabirizi Nsubuga ye yatandika enteekateeka eno, era ekizimbe kino kyali kyatandikibwako kyokkaekiseera kyatuuka ensimbi ne ziggwaawo ne kiyimirira, ekyawaliriza okutegeka omukolo guno Obukadde obusobye mu 25 bwe busondeddwa ku mukolo guno nga Owek.Robert Waggwa Nsibirwa awaddeyo obusawo bwa sseminti 120 buyambeko ku mulimu guno. https://gambuuze.ug/2021/11/20/owek-nsibirwa-asabye-bannaddiini-okutegeka-ebiyinza-obayimirizaawo-nga-bawummudde/ +religion Ab’e Masaka Beekalakaasa Lwa Kukwatibwa Kw’abakulembeze Babasiraamu Nalubega mukyala wa Ssali n’abaanabe Okwekalakaasa mu divisoni ya Katwe-Butego ne Kimaanya-Kyabakuza mu kubuga ky’e Masaka kuyingidde olunaku olw’okusatu oluvanyuma lw’okukwatibwa kw’abakulembeze babasiraamu omukaaga okuli, Umaru Nsubuga ow’e Namaseenene, Lamulah Nakyeyune ne mutabaniwe ab’e Butego, Twaha Kayondo ow’e Kijjabwemi, Noordin Ssali n’omulala eyategeerekeseeko erya Bashir ababeera ku kyalo Kigamba. Okujjako Nakyeyune, abasigadde bakulembeze ku mitendera egy’enjawulo mu mizikiti egy’enjawulo. Abenganda zabano bagamab nti abantu baabwe baakwatibwa abasirikale ba gavumenti naye nga tebaabagamba nsonga eyabakwasa. Abenganda wamu n’emikwano baagala kumanya lwaki bano baakwatibwa okumala ennaku ezikkirizibwa mu mateeka ng’ate tebabatutte mu kkootii. Nga bakulembeddwamuAbdu Nasser Mutebi neHadaad Kibirige, baategeezezza nti bagezezzaako okunonya abantu baabwe ku Poliisi ez’enjawulo naye nga buteerere. Omukaaga guno gwakwatibwa okuva nga May 18 nga baasooke ne Nsubuga. Okusinziira ku nnyina, Scholastica Nanteza, ono era yakubibwa amasasi mu magulu bweyali agezaako okudduka. Ono yassibwa ku mpingu era naatwalibwa mu makage agaayazibwa, abasirikale ne bagenda nebiwandiiko byebasangamu. Ono yatwalibwa mu ddwaliro ekkulu e Masaka ng’avaamu omusaayi muyitirivu. Yateekebwako omusaayi omulala kyokka teyalongoosebwa era enkeera naatwalibwa ku kitebe ky’amagye e Mbuya mu Kampala. Maama we agamba teyakkirizibwa kuyingira era okuva olwo, taddangayo kumuwuliza. Mu kiro kyekimu, Kibirige agamba era abasirikale baakwata Lamulah Nakyeyune owemyaka 53 ne mutabani we. Ate ku Lwokutaano wiiki ewedde, Twaha Kayondo owemyaka 61 nga Imaam w’e Kijjabwemi, Noordin Ssali wamu ne Bashir nabo baakwatibwa. Mukyala wa Kayondo, Mariam Nalubega yakubidde omulanga omubaka wa Pulezidenti e Masaka Herman Ssentongo okuyingira mu nsonga eno okulaba ng’omwamiwe ateebwa oba atwalibwa mu kkooti. Omwogezi w’eggye lya UPDF atwala enkambi y’e Kasijjagirwa, Maj. Flavia Terimulungi, yategeezezza nti sibebalina abakawte bano. Ono kyokka yasabye abengganda bano okuba abakkakkamu ng’a bwebagezaako okuzuula wa abantu baabwe gyebali. Edward Walugembe, ssentebe w’ekyalo Kigamba yategeezezza nti tebeebuuziddwako g’abantu bano bakwatibwa kyeyagambye nti kikyamu kubanga abakozi b’ebikolobero bayinza okukozesa omukisa guno okuwamba abantu. Mu 2017, Nsubuga ne Nakyeyune baakwatibwa kubyekuusa kukuttibwa kweyali omwogezi wa Poliisi Andrew Felix Kaweesi. URN https://gambuuze.ug/2020/06/02/abe-masaka-beekalakaasa-lwa-kukwatibwa-kwabakulembeze-babasiraamu/ +religion RCC Bamwine ayimirizza Imam w’Omuzikiti gw’e Masaka Masaka -Buddu Omubaka wa Pulezidenti e Masaka, Fred Bamwine, ayimiriza Imam w’omuzikiti omukulu e Masaka, Abbas Nseera oluvannyuma lw’obutakkaanya obwaliwo ku ntandikwa ya wiiki eno ekyavaako n’Abasiraamu okugajambula Omusiraamu Yasin Kakomo nga bamulumiriza okutunda emmaali y’Obusiraamu. Ku Lwokubiri, Imam Nseera, yategeeza abasiraamu nga Kakomo bwe yali amutumidde omuntu ng’amulabula okumutta singa tamwesonyiwa. Ekiragiro RDC Bamwine akiweeredde mu woofiisi ye mu lukiiko lw’ebyokwerinda lwe yayise omuli amagye, poliisi n’abakulembeze b’Obusiraamu olubadde mu woofiisi ye jjo ku Lwokuna. Ayimirizza n’omumyuka wa Imam ku muzikiti guno, Twaibu Kaweesi Maalo. Bamwine agamba nti okusinziira ku kunoonyereza kwe baakoze baakizudde nti Imam n’omumyuka we baakibogwe era bw’atyo kwe kulagira disitulikiti Kadhi agira abazza ku bbali kuba Imam okwongera nti baagala kumutta, teyasooka kulowooza ng’omukulembeze Awadde Kadhi amagezi bano abazzeeyo mu ttendekero ly’aba Imam bamanye engeri ensonga bwe zirina okukwatibwamu. “Woofiisi ya Imam etwalibwe Disitulikiti Kadhi wabula ba Imam musooke mubazimbe mu ngeri y’obukulembez, baleme okwabuluzaamu abasiraamu.” Bamwine bw’annyonnyodde. Bamwine alumiriza nti ku lunaku lwe baagoba Kakomo mu muzikiti mwalimu abatali basiraamu era ebyonna ebyaliwo byali bitegeke. Kyokka Disitulikiti Khadi w’e Masaka , Swaibu Ndugga yeemulugunyizza n’agamba nti ensonga eno tekwatiddwa na bukugu kuba Imam Nseera yalondebwa mu lwatu. Shiekh Ndugga agamba nti obuzibu ku nsonga eno buva ku ttaka lye Ssembabule eryatundibwa nga Sheik Kakomo yeekobanye ne Mufti Mubajje era awakanyizza ne ssemateeka wa Old Kampala gwe baasomye okuyimiriza Nseera kuba bo b’e Kibuli. Eyakiikiridde DPC w’e Masaka, Majidu Wepukulu , yasabye RCC akkirize era alagire n’abo Imam b’alumiriza okwagala okumutta, baleme kudda era naye kye yakkirizza. Wabula abasiraamu ekyokuyimiriza Imam Nseera tekibawomedde era ne bennyamira olwa RCC Fred Bamwine okusalawo nga tamaze kubeebuuzaako. https://gambuuze.ug/2021/04/30/rcc-bamwine-ayimirizza-imam-womuzikiti-gwe-masaka/ +religion Ssaabasumba Ssemogerere ayambaziddwa ekyambalo ekimukakasa ku bukulu buno Ssaabasumba w’essaza ekkulu erye Kampala Paul Ssemogerere aweereddwa ekyambalo ekimukakasa ku bwa Ssaabasumba ekiyitibwa Paliyam. Ekyambalo kino kimwambaziddwa Paapa Francis mu missa y’olunaku lw’omutukuvu Paul ne Petero mu eklezia ya St. Peter’s Basilica e Vatican mu Roma. Emmisa eno eyimbiddwa pope Francis etandiise nakusinza Katonda wakati mu maloboozi amasenekerevu okuva mu kkwaaya, n’abasumba okuva mu mawanga ag’enjawulo n’abantu ba Katonda abalala. Mu missa eno pope Francis mwasinzidde nategeza nti Eklezia kifo kya bulyomu omuli abanaku, abaggaga abonoonyi nabantu abebiti byonna era nasaba abantu ba Katonda bulijjo okwaniriza abantu awatali kwelabira. Paapa era ateegezeza nti eklezia terimu mitendera nga buli muntu yenkanakana ne munne awatali kusosola. Oluvanyuma ba Ssaabasumba abawerera ddala 44 okuva mu mawanga 32 baweereddwa ebyambalo ekibakakasa kubwa Ssaabasumba ekiyitibwa Paliyam nga mubatuuse ku kkula lino mwemuli ne ssabasumba wessaza ekkulu erye Kampala Paul Ssemogerere. Abalala bavudde mu bitundu ebyenjawulo okuli; Italy, Malawi, Congo, Uganda, Argentina, Molovia n’amalala. https://gambuuze.ug/2022/06/29/ssaabasumba-ssemogerere-ayambaziddwa-ekyambalo-ekimukakasa/ +religion Obwakabaka bukungubagidde omusumba Kaggwa Obwakabaka bwa Buganda bukungubagidde omusumba w’essaza lye Masaka eyawummula John Baptist Kaggwa eyafudde ku lunaku Lwokusatu muddwaliro e Mulago. Owek. Nsibirwa nga asoma obubaka bwa Katikkiro Mayiga Mu bubaka bwa Katikkiro obumusomeddwa omumyuka wa Katikkiro Asooka era Minisita w’ebyensimbi mu Bwakabaka Owek. Robert Waggwa Nsibirwa, mukitambiro kya mmisa mu lutikko e Lubaga, Obwakabaka busiimye omugenzi okumakuma abantu b’Omutanda mu ssaza lye Buddu. Kamalabyonna Mayiga atendereza omugenzi olw’okwagala ennyo ekika kye eky’Embogo nga abadde yenyigira mu mirimu gyakyo okulaba nga kikulaakulana. Obwakabaka busaasidde nnyo omukulu w’ekika Jjajja Kayiira olw’okuviibwako omuzzukulu ow’omugaso. “Embeera z’omusumba John Baptist Kaggwa zisaana zibeere eky’okuyiga eri ffe abakulembeze” ekimu kukitundu ky’obubaka bwa katikkiro owek. Charles Peter Mayiga bwekisomye . Ku lulwe, Owek. Nsibirwa ayogedde ku mugenzi nga omusajja omwetowaze era namwebaza olw’okuyamba ku kibiina kya Rotary bwebaali basonda ekizimbe omulina okujjanjabirwa abafunye obubenje muddwaliro e Nkozi era nga naye mukitibwa kye yeetaba mukwoza emmotoka basobole okuweza ssente. Ate akuliddemu okusoma mmisa era Ssaabasumba w’essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga, asinzidde wano nasaba abantu okukuuma emirembe era nasabira abakuuma ddembe bakole omulimu gwabwe mubutuufu. Ssaabasumba Lwanga yenyamidde olwa bannabyabufuzi abamu abatandise okulumiriza abaganda nga bwebasosola mu mawanga olw’okulonda bannabwe nagamba nti akaseera katuuse eggwanga litambulire ku nkola ya Federo buli kitundu kikole ku byakyo. Abantu ab’enjawulo bayogedde ku mugenzi nga muno mulimu bwanammukulu wa lutikko y’e Lubaga Archiles Mayanja amwogeddeko nga omulwanirizi w’eddembe ly’obuntu. Ye Cansala w’essaza lye Masaka, Rev. Edward Sekabanja era nga yakiikiridde n’omusumba Jjumba, ayogedde ku mugenzi nga abadde omuntu ate omuzadde omulungi. Ku lwa gavumenti eyawakati Minisita John Chrysestom Muyingo nti obubaka bwa gavumenti bwakujja mukuziika naye atendereza omugenzi olw’empisa era ayagala ennyo abantu. Bbo ab’enju y’omugenzi abakuliddwamu muganda we ategerekese nga Makumbi bamwogeddeko nga omuntu omumalirivu era asonyiwa akaseera konna. Ekitambiro kya mmisa kino kyetabiddwako bannaddiini okuva mu nzikiriza ez’enjawulo, abakungu bagavumenti, abakungu ba Kabaka wamu ne bannabyabufuzi. Emmisa eno ekoleddwa mungeri ya Sayansi Okusaba okutangira okusasaanya ekirwadde kya kovidi 19 wabula kino tekirobedde bantu kweyiwa wabweru wa kelezia okusobola okwetaba mu mmisa eno. Omusumba Kaggwa ajjukirwa nnyo olw’okuvaayo nasonyiwa abakuumaddembe ababalumba ku kiggwa ky’embogo bwebali bakung’aanye okumanyagana naye nebakubwamu ttiyaggaasi olw’ebyali bigambibwa nti Robert Kyagulanyi amanyiddwa nga Bobi Wine yali wakwetabamu. https://gambuuze.ug/2021/01/22/obwakabaka-bukungubagidde-omusumba-kaggwa/ +religion Omusumba Kaggwa alese alaamidde ensi Masaka Omusumba w’essaza lye Masaka omuwummuze era omugenzi kati Bisoopu John Baptist Kaggwa alina ekiraamo kyalekedde ensi era nasaba abantu okukinywererako basobole okuwangula. Omusumba Kaggwa aziikiddwa e Bukalasa Obubaka buno bwanjuddwa omusumba Serverus Jjumba mu missa y’okusabira omugenzi ku seminale e Bukalasa mu Masaka, leero ku Lwomukaaga. “Katonda kwagala, naffe tumwagale ate buli omu ayagale munne. Buli muntu asonyiwe oyo yenna eyamukola obubi,” byebyo ebigambo Omusumba Kaggwa byeyasembye okukuutira abakkiriza. Okusinziira ku musumba w’essaza lye Masaka Bisoopu Serverus Jjumba obubaka buno kumpi obufuuse ekiraamo yabuwadde omu ku bantu ababadde bagenze okumulaba muddwaliro e Mulago. Omusumba Jjumba n’abantu bonna aboogedde ku mugenzi batendereza obwetowaze bwe wamu nokubeera omukozi era omuntu abadde ayagala ennyo ekika kye. Ono ategeezezza nga bwasaaliddwa ennyo okufa kwa Kaggwa kubanga afiiridde mukiseera nga yakamala okukwasibwa obusumba bw’essaza lino era nga yetaaga okuwabulwa. “omuntu wawansi asembayo, noyo amuddirira , naali mumasekkati, awamu noyo asooka waggulu bonna banyoreddwa olw’okufa kwa musumba Kaggwa olw’engeri ennungi gyabadde yeyisaamu” omusumba Jjumba bw’agambye. Ekitambiro kya Mmisa ekisiibula omusumba Kaggwa kikulembeddwamu ssentebe w’abeepisikoopi omusumba Anthony Zziwa eyasiimye omugenzi olw’okubeera omukozi ennyo. Abakungubazi abalala abeetabye ku mukolo guno kubaddeko Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga, bannaddiini ab’enjawulo, abakungu bagavumenti, ababaka ba palamenti awamu n’abantu abalala omuli aba ‘Friends of the Bishops’ ekyatandikibwawo mikwano gy’omugenzi. https://gambuuze.ug/2021/01/23/omusumba-kaggwa-alese-alaamidde-ensi/ +religion Ssaabalamuzi asabye bannaddiini bamuloopere abalamuzi abalya enguzi Kampala Abakulira essiga eddamuzi mu ggwanga, basabye bannaddiini okubaloopera abalamuzi abalya enguzi era babaweereko n’obujulizi, kibayambe okulwanyisa omuze guno oguttattanye ekifaananyi ky’essiga lino. Ssaabalamuzi Alfonse Chigamoy Owiny-Dollo, ye yakoze okusaba kuno bwe yabadde asisinkanye ekibiina ekitaba enzikiriza ekya Inter-Religious Council of Uganda (IRCU) ku Mmande, n’ategeeza nti okulumiriza kwe baafuna tekubaako bujulizi. “Tusaba mwe abaweereza ba Katonda okubeera amaaso n’amatu gaffe ebweru eyo mu bantu. Tujja kubaako bye tutuukako ng’abantu, singa abantu nga mmwe, mutuwa amawulire amatuufu ku balamuzi abalya enguzi,” Ssaabalamuzi Owiny Dollo bwe yagambye. Okusaba kuno kuddiridde akulira abalamuzi, Dr. Flavian Zeija, okusaba bannaddiini okuloopa abakoze b’ekitongole ekiramuzi abalya enguzi wamu n’obujulizi obubaloopa bakolebweko. Bannaddiini bano baabadde bakulembeddwamu; Mufti Shaban Ramadhan Mubajje, Ssaabasumba Dr. Cyprian Kizito Lwanga, Dr. Daniel Matte, Dr. Joseph Sserwadda ne Bisoopu Joshua Lwere ne Ssaabawandiisi IRCU, Charles Kasibante. Bano baatenderezza bannaddiini olw’omulimu gwe bakoze ng’okutumbula tekinologiya ayambye okwanguya emirimu mu ssiga lino, okusigala nga bawa abantu obwenkanya mu kiseera kya Ssennyiga Corona awamu n’ebirala. Baasabye essiga okukola ku nsonga y’enguzi naddala ng’omuntu aweebwa akakalu ka kkooti, okukozesa obubi obuyinza, abalamuzi okuwulira emisango gye batalinaako buyinza, okukandaaliriza emisango wamu n’abalamuzi abamu okubulwa obuntubulamu. “Abalamuzi abamu tebatya kusaba nguzi era nga bakozesa bakiraaka ba kkooti okugisaba,” Mufti Shaban Mubajje bwe yannyonnyodde. Ssaabalamuzi abasabye okuwaayo olukalala lw’abalamuzi abalya enguzi wamu n’emisango egikandaaliridde wamu ne kye balowooza ekivuddeko kino. Bannaddiini baasuubizza okukolaganira awamu n’essiga eddamuzi okulaba nga bamalawo ekizibu ky’emisango okulwawo okuwulirwa. Ssaabalamuzi Owiny-Dollo yagambye nti basuubira okutendeka bannaddiini ku ngeri gye basobola okutabaganyaamu abantu, kiyambeko emisango egimu obutagenda mu kkooti. Bano bakkiriziganyiza okusisinkana buli luvannyuma lw’akaseera okulaba engeri enteekateeka y’okukendeeza ku misango bw’etambula kubanga si buli musango nti gwetaaga kugenda mu maaso ga Mulamuzi. https://gambuuze.ug/2020/11/10/ssaabalamuzi-asabye-bannaddiini-bamuloopere-abalamuzi-abalya-enguzi/ +religion Bannaddiini bakonkomalidde ku woofiisi ya Ssabawandiisi wa EAC Mufti Mubajje Bannaddini eb’egattira mu mukago gwa East African Council for Religious Leaders -Religions of Peace, beemulugunyizza ku kyebayise, okutulugunyizibwa n’okuyisibwamu amaaso, Ssabawandiisi w’okumukago ogugatta amawanga agali mu buvanjuba bwa Africa (East African Community), Ambasada Librat Mfumukeko. Abakulu bano nga bakulirwa Mufti wa Uganda, Sheikh Shaban Ramathan Mubajje baabadde bakyaddeko ku kitebe ky’omukago guno ekiri mu kibuga Arusha ekya Tanzania oluvanyuma lw’okuyitibwa Mfumukeko. Bwebaatuuse ku kitebe kino, babawadde obutebe awalindirwa abagenyi kussawa ssatu n’ekitundu wabula zaweze essaawa munaana nga tabannakolwako ekyabawalirizza okwabuka. “Ekikolwa kino kiweebuula nnyo era kiraga butali bugunjufu. Omukago guno gusuubira gutya okukolagana n’abantu nga Ssabawandiisi wago bwati bwayisa abagenyi beyeeyitidde. Abadduggavu tebeeyisa bwebati,” Mubajje bweyategeezezza. Ssabawandiisi wa Bannaddiini bano, Dr Francis Kuria yategeezezza nti bagenda kutuusa okwemulugunya kwabwe eri akulira omukago guno era nga ye mukulembeze wa Rwanda Paul Kagame wamu n’abakulembeze ba mawanga agakola omukago guno okuli Uganda, Kenya, Tanzania ne Burundi. https://gambuuze.ug/2019/11/07/bannaddiini-bakonkomalidde-ku-woofiisi-ya-ssabawandiisi-wa-eac/ +religion Omuwereeza Esther Namukasa agatiddwa ne munne Richard Kitaka e Namirembe Omuweereza wa Ssaabasajja Kabaka agattiddwa mu bufumbo obutukuvu. Esther Ruth Namukasa yagattiddwa ne munne Richard Kitaka mu Lutikko ya Paul omutuukirivu e Namirembe. Rev. Abbel Mmereewooma yeyakoze omukolo ogw’okubagatta. Yabasibiridde entanda ey’okubeera abakkakamu era buli muntu agumiikirize munne kubanga baakulira mu maka ga njawulo agalina enneeyisa, empisa n’endabamu y’ebintu ey’enjawulo. Katikkiro Charles Peter Mayiga yeebazizza Esther olwemirimu gy’ObwaKabaka gyakola, era naamusaba agende mu maaso. Kamalabyonna yategeezezza nti ebimu kubiremesa abakozi obutanywera ku mirimu kubanga ewaka tewali mirembe. Yasabye abafumbo okwetegekera obufumbo nga bwebeetegekera embaga, okwanjula oba okukyala kubanga bangi beerabira embeera y’omubufumbo nebatunuulira ebirala. Esther Namukasa muweereza mu minisitule y’enkulaakulana y’abantu nensonga za woofiisi ya Nnabagereka. Omukolo gwetabiddwako; Namasole Margaret Siwoza, Ssaabaganzi, Baminisita ba Kabaka, abaweereza b’Obwakabaka nga bakulembeddwamu omuwandiisi w’enkalakkalira Nantege Josephine, n’abakungu abalala bangi. https://gambuuze.ug/2019/11/20/omuwereeza-esther-namukasa-agatiddwa-ne-munne-richard-kitaka-e-namirembe/ +religion Dr Stephen Kaziimba Mugalu atuuziddwa nga Ssabalabirizi omuggya Dr Kaziimba ku kkono ng’alabibwa eri abantu Ssaabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda omuggya, Dr. Stephen Kaziimba Mugalu atuuziddwa mu butongole Ku mukolo guno obwakabaka bukiikiriddwa Katikkiro, Charles Peter Mayiga, Nnabagereka Sylivia Nagginda, Katikkiro Charles Peter Mayiga ku ddyo mu kanzu, Maama Nabagereka Syliva Nagginda, Sipiika Rebecca Kadaga nga bali n’omulabirizi omuggya Omumyuka wa Katikkiro asooka era Minisita w’enzirukanya y’emirimu n’obuyiiya Owek Pulofeesa Twaha Kigongo Kaawaase, Omumyuka wa Katikkiro ow’okubiri era Minisita w’eby’ensimbi, Oweek. Robert Waggwa Nsibirwa, Omukubiriza w’olukiiko lwa Buganda Oweek. Patrick Luwagga Mugumbule, Namasole Margaret Siwoza, Omulangira Kassim Nakibinge Kakungulu, Baminisita ba Kabaka, n’abaami ba Kabaka abawerako. Mu bubakabwe, Katikkiro agambye nti, okuva ku kkono, Dr Kassim Nakibinge Kakungulu, Oweek. Twaha Kigobo Kawwase wmau N’okwekitiibwa Robert Waggwa Nsibirwa “Tukwenyumirizaamu nnyo olwobutasuula nnono n’okubeera musajja wa Kabaka . Mu buweerezabwo olumirwa nnyo Bannayuganda n’esonga ezibakwatako. Okubeera Ssaabalabirizi buvunaanyuzibwa bunene. Nesiga nti Katonda ajja kukubeera okozese obuyinza bwakuwadde twongere okufuna emirembe n’okutebenkera wamu nenkulaakulana,” Mayiga bweyasibiridde Kaziimba. Yagasseko nit ennaku zino ebikolwa eby’obukambwe n’ettemu bingi nnyo, n’abantu bangi nnyo abalina obusungu ku mitima, ate n’abakirisito bangi bali mu bwavu. N’amusaba nga Ssaabalabirizi okufuba okulungamya abantu bonna okusobola okuvuunuka okusomoozebwa oko. Ssaabalabirizi omuggya, asuubizza okukyuusa embeera z’abantu naddala okukwata ku baana abalenzi nabo basobole okufuuka eb’omugaso mu ggwanga. Omukolo guno gwetabiddwako abantu abalala bangi omuli bannaddiini okuva mu nzikiriza endala, bannabyabufuzi okubadde n’omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni, mukyalawe, Janet Museveni sipiika wa palamenti Rebecca Alitwala Kadaga n’abalala bangi https://gambuuze.ug/2020/03/01/dr-stephen-kaziimba-mugalu-atuuziddwa-nga-ssabalabirizi-omuggya/ +sports Kyasusse e Namboole nga Kabaka aggalawo egy’amasaza. Ssaabasajja Kabaka nga akwasa Kapiteni wa Bulemeezi ekikopo Bulemeezi ewangudde empaka z’emipiira gy’amasaza bwekubye Busiro goolo 1-0. Kyaddondo ekutte kyakusatu oluvannyuma lw’okuwangula Buddu goolo 2-1.Ssesse lye Ssaza eriwangudde ekirabo ky’empisa. Omugenyi wa Kabaka ow’enjawulo okuva mu UNAIDS, Natalie Rigard, azze okulaba engeri obuganda gyebubugirizaamu Omutanda n’ekigendererwa eky’okusaasaanya enjiri ey’abasajja okubeera abasaale mu kwekebeza akawuka ka mukenenya. https://gambuuze.ug/2019/10/26/kyasusse-e-namboole-nga-kabaka-aggalawo-egyamasaza/ +sports Busiro ekubye Buweekula 3-1 n’etangaaza emikisa gyaayo Ttiimu y’essaza lya Busiro ekubye Buweekula ggoolo 3-1 ne lyesogga oluzannya oluddako olwa “Kwota fayinolo” Omupiira guno guzannyiddwa ku kisaawe kya FUFA Technical Center e Njeru Lweza era ng’ekibinja kya “Bulange” leero lwe kifundikiddwa. Ggoolo za Busiro ebbiri ezaasoose zaateebeddwa Gerald Ogweti mu kitundu ekisooka ate mu ddakiika ezisooka, ekyasannyalazza emikisa gya Buweekula okuwangula omupiira guno. Ggoolo eyookusatu eyateebeddwa Arafat Usama mu kitundu ekyokubiri . Ggoolo ya Buweekula emu yokka yateebeddwa Steven Kimayo kibinja kino era nga kino kitegeeza nti Busiro yayiseewo ng’ekulembedde ekibinja n’obubonero 10 wamu ne Busujju eyitiddewo mu kyokubiri . Amasaza okuli erya Kyaggwe ne Buvuma, tevudde mu kibinja nga Kyaggwe ekutte kyakusatu n’obubonero 5 ate nga Buvuma esembye n’obubonero 3. https://gambuuze.ug/2021/01/06/busiro-ekubye-buweekula-3-1-netangaaza-emikisa-gyaayo/ +sports Kyaddondo eremaganye ne Ssingo 2-2 Ttiimu y’essaza ly’e Ssingo erikulemberwa Mukwenda, eggyeeyo n’agoomubuto okufuna akabonero ku ttiimu y’essaza lya Kyaddondo esoose okukulembera omuzannyo ng’omupiira nga gwakatandika wali mu kisaawe kya FUFATechnical Centre e Njeru. Aba Kyaddondo be basoose okufuna ggoolo eteebeddwa omusambi Kenneth Kimera era ekitundu ekisooka kibadde tekinnaggwaako aba Ssingo ne bateeba olwo ne gubeera ggoolo 1-1. Wayise eddakiika ntono nnyo ng’ekitundu ekyokubiri kitandise, omusambi Kenneth Kimera n’addamu okulengera akatimba olwo ne gubeera 2-1. Mu ddakiika ezisembayo ez’omuzannyo, omusambi Micheal Kayongo asobodde okufunira ttiimu ya Ssingo ggoolo eyookubiri olwo ne gubeera ggoolo 2-2. Mu mupiira guno omuzibizi w’essaza Kyaddondo, Fred Ntambi afunye kkaadi emmyufu bw’atyo n’aweebwa ekkoligo lyakusubwa emipiira esatu miramba era eno ye kkaadi emmyufu esoose mu mpaka z’omwaka guno. Ebivudde mu mupiira guno biraga nti Kyaddondo esigaddeyo ku ntikko y’ekibinja Masengerenga bw’erinda ekinaava mu mupiira wakati wa Kabula ne Gomba. https://gambuuze.ug/2021/11/22/kyaddondo-eremaganye-ne-ssingo-2-2/ +sports Minisita Ssekabembe atongozza akakiiko k’omupiira gw’ebika Minisita wa Buganda ow’abavubuka emizannyo n’okwewummuzaamu, Owek. Henry Ssekabembe Kiberu, atongozza akakiiko ak’omupiira gw’ebika ogw’ebigere akagenda okukuza empaka zino era n’okwongera okusitula omutindo gwazo. Minisita Ssekabembe nga atongozza akakiiko k’empaka z’Amasaza “Enteekateeka eno egenderedde okusitula omutindo, okuzza ekitiibwa, ettutumu n’abawagizi okudda mu kisaawe mu kikopo kino eky’ebika. Ng’Obwakabaka tulowoozezza nti kikulu okuvaayo n’enteekateeka ennung’amu eteekeddwa mu buwandiike. Ffe tujja ne tuweereza naye tuli bayise ng’omuntu yenna anajja wano gy’ajja okugoberera okuzimba ekikopo kino.” Minisita Ssekabembe bw’agambye. Okusinziira ku Minisita Ssekabembe olukiiko luno olulondeddwa luliko abantu 8 era nga be baweereddwa eddimu ly’okulaba ng’emipiira gy’ebika gikwata abantu omubabiro. Minisita Ssekambebe ategeezezza nti Julius Kabugo yalondeddwa nga Ssentebe, amyukibwa Ssejjengo Sulaiman ne Samuel Mpiima agenda kubeera muwandiisi wa lukiiko. Abalala abatuula ku lukiiko luno kuliko; Hassan Badru Zziwa, Hajji Sulaiman Magala, Katabira David Davis, Samuel Mpoza ne Katikkiro w’ekika ky’Enseenene. Minisita ategeezezza nti obuvunaanyizibwa bw’olukiiko luno butandikiddewo era bano baweereddwa okutuuka mu myezi Gwokusatu okuvaayo ne alipoota ku ngeri gye bagenda okutambuzaamu emirimu gyabwe, esobole okwanjulirwa kabbineeti. Amyuka Ssentebe w’olukiiko luno, Sulaiman Ssejjengo, yeeyamye eri Minisita nti bajja kukola byonna okulaba nti omuzannyo gw’omupiira gw’ebika gudda engulu kuba bagumanyi era babadde bagulaba. “Omukisa ogutuweereddwa tugenda kugukozesa Mukama wange nga twebuuza ku bantu abangi ennyo abakwatibwako ensonga eno, kuba ebika ebisukka mu makumi ataano birimu abantu bangi era bangi ku bano emipiira gino bagitunuulidde.” Ssejjengo bw’agambye. https://gambuuze.ug/2021/02/17/minisita-ssekabembe-atongozza-akakiiko-komupiira-gwebika/ +sports Ebifaananyi : Ebibadde mu Kabaka Birthday Run 2022 Ebimu ku bifaananyi ebiraga engeri emisinde gye gyagenze mu maaso mu Lubiri lwa Ssaabasajja Kabaka e Mmengo mu Kyaddondo. Beene nga akwasibwa omujoozi gw’emisinde gy’omwaka guno. Omutanda nga asimbula abaddusi mu buwanvu obw’enjawulo. Kabaka Mutebi, Nnaabagereka Sylvia Nagginda ne Katikkiro. Omulangira Wasajja nga awayaamu ne Katikkiro Mayiga Olubiri lwakubyeko abantu awatali kusosola mu myaka. Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka nga bamulaga abamu ku bagenyi ab’enjawulo abeetabye mu misinde gino. Mayiro ya Kabaka Anjagala yonna yakwatiridde abantu abazze okwetaba mu misinde gino https://gambuuze.ug/2022/07/03/ebifaananyi-ebibadde-mu-kabaka-birthday-run-2022/ +sports Gomba ne Buddu zigenze ku fayinolo Ttiimu ya batabani bakitunzi e Gomba ey’omupiira gw’ebigere bawangudde Busiro bwebatyo nebayitawo okugenda okuzannya fayinolo ate nga Buddu ewangudde Bulemeezi nayo neyitawo era nga kati yakubulonda ne Gomba. Ttiimu zombi zasoose kulemaganya nga tewali alengedde katimba ka munne mu ddakiika z’omuzannyo 90. Bano bagenze mu kakodyo k’okusimuligana peneti era wano Gomba newangula ku mugatte gwa ggoolo 5-4. Enjuyi zombi zakoze buli kimu okunoonya ggoolo naye nga emikisa tegiyitamu era okumaliriza nga ttiimu zombi zirumbye obunnya. Mu mupiira omulala wakati wa Buddu ne Bulemeezi guwedde Buddu eguwangudde ggoolo 1-0 era ng’eno eteebeddwa omusambi Titus Ssematimb mu ddakiika ey’okutaano. Mu ddakiika zonna eziddiridde wadde nga Bulemeezi efunye emikisa naye kibadde kizibu okunyeenya akatimba ka Buddu era bwetyo Buddu newangula. Nga kati egenda kulumba Gomba battunke. Fayinolo ya Buddu ne Gomba yakomwa okulabwako mu mwaka gwa 2016 ku mupiira ogwaliko n’obugombe mu kisaawe e Namboole era nga guno Buddu yaguwangulira mu kakodyo k’okusimula peneti. Olunaku lw’okuzannyirako empaka ez’akamalirizo terunasalwawo wabula nga lusubiirwa okulangirirwa essawa yonna. Era nga Ssabasajja kabaka asuubirwa okusiima okuggalawo empaka zino. https://gambuuze.ug/2021/01/21/gomba-ne-buddu-zigenze-ku-fayinolo/ +sports Kabaka agguddewo empaka z’amasaza 2022,  Buddu eremaganye ne Mawogola Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye naggulawo empaka z’omupiira gw’Amasaza ez’omwaka 2022, nga omupiira ogugguddewo gubadde wakati wa Buddu ne Mawogola nga guyindidde mu kisaawe kya Masaka Recreational Grounds mu Buddu. Kabaka azze abuuza ku bantu be mu bitundu eby’enjawulo ku biyitirirwa ebyategekeddwa wabula obudde buzze kubunabwo bwatuuse mu kibuga Masaka wabula olw’abantu abangi ababadde bamulindiridde, Omutanda asiimye nava mu mmotoka ze natambula okulamusa ku bantu be. Ku kisaawe Kabaka Mutebi atuuseewo ku ssaawa 9:00 ez’olweggulo era ayaniriziddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga, Minisita w’Emizannyo Henry Sekabembe Kiberu, ne Ppookino Jude Muleke awamu n’abakungu abalala. Omuteregga alambuziddwa ebirabo ebimuweereddwa oluvannyuma by’asiimye ne gafuuka Amakula era oluvannyuma alambudde ennyiriri z’abazannyi ba tiimu zombi Buddu ne Mawogola. Beene asiimye nawandiika ku mupiira nga akabonero akaggulawo empaka z’omwaka 2022 era nasiima nagusamba olwo omupiira negutandika. Mu kusooka, Katikkiro yatongozza empaka zino era naakwasa abaami b’amasaza emijoozi n’emipiira egiwandiikiddwako amannya g’amasaza gaabwe wamu ne ssemateeka afuga empaka zino okusobola okukuuma omutindo gwazo. Omupiira gubadde gwa bunkenke ku njuyi zombi nga buli ludda lufubye okunoonya ggoolo naye nga buteerere era omupiira guwedde 0:0. Omuzannyo guno gulamuddwa Vincent Kavuma, ng’ayambiddwako abawuubi b’akatambaala, Zziwa Charles Edward, Mafumu Mustafa, Kiwanuka Vincent awamu ne Ssonko Mark nga kkomisona, ne Sam Mpiima. Kati Buddu ne Mawogola buli omu alina akabonero kamu nga balinze kulaba ani anaawangula ku ttiimu endala bwebali mukibinja Masengere. MASENGERE GROUP Buddu Mawogola Ssingo Kyaddondo Buvuma Buluuli BULANGE GROUP Buweekula Butambala Gomba Kooki Kabula Mawokota MUGANZIRWAZZA GROUP Bulemeezi Ssese Bugerere Busujju Busiro Kyaggwe https://gambuuze.ug/2022/06/25/kabaka-agguddewo-empaka-zamasaza-2022-buddu-eremaganye-ne-mawogola/ +sports Ebitongole byongedde okugula emijoozi okwetegekera emisinde gya Kabaka Ebbugumu mu misinde gyamazaalibwa ga Ssaabasajja buli lukya lyeyongera nga ne leero abantu Ssekinoomu wamu n’ebitongole bakulumuse okutuuka ku mbuga enkulu e Bulange Mmengo ne BBS Terefayina okugula emijoozi okusobola okwetaba mu misinde gino. Ebimu ku bitongole ebiguze emijoozi gino kuliko; Uganda Red Cross Society, BMK Group ne Hotel Africana, Ddungu Estates, CBS PEWOSA, Roofings awamu n’ebitongole ebirala. Bw’abadde akwasa abakungu okuva Ekitongole ki Uganda Red Cross emijoozi omumyuka asooka owa Katikkiro Owek. Prof. HAJJ. Twaha Kawaase Kigongo ategeezezza nti mumativu nti Mukenenya wakulinnyibwa ku nfeete nga kino kyeyolekera ku muwendo gwabantu abategedde ku bukulu bw’abadde abeekebeza awamu n’okwetangira ekirwadde ki Mukenenya. Ssaabawandiisi wa Uganda Red Cross Society, Robert Kwesiga n’omwogezi w’ekitongole kino Irene Nakasiita bagamba nti nga bwebazze bakola neku mulundi guno basazeewo okwennyigira obutereevu mu nteekateeka eno kubanga ya byabulamu ate nga ekwata ku buli omu. Ye akulira kampuni ya BMK ng’eno yetwala Hotel Africana, Haruna Kalule Kibirige, yeebaziza Ssaabasajja olw’enteekateka zasaawo okutumbula embeera z’abantu era nawera okuziwagira obutakoowa. Mungeri yeemu Owek. Kawaase era akwasiza ekitongole ki Roofings emijoozi gyekigulidde abakozi baakyo nabo okwetaba mu misinde gino. Ate Minisita w’Abavubuka emizannyo nokwewummuzaamu mu Buganda owek. Henry ssekabembe Kiberu bwabadde akwasa Patriko Mujuuka emijoozi egiguliddwa omu ku bawuliriza ba CBS awangalira emitala wa Mayanja era akulira ekitongole ki DDUNGU ESTATES Rogers Ddungu akunze abantu ba Kabaka okugula emijoozi gino mu budde beewale okuseerebwa. Ono era akwasizza ne bannabitone aba B2C emijoozi era nasaba abalala okubalabirako basobole okuyambako okulwanyisa ekirwadde kino. Mu balala abaguze emijoozi gino ku BBS Terefayina kuliko aba Bika byaffe Foundation nga bakulembeddwamu Bulasio kabule Mutanda ne Jamil Kivumbi, aba Bloemfontein CBS, CBS PEWOSA NSINDIKA NJAKE ETEETEREKERA SACCO e Lubaga. Mu buufu bwebumu Omuk. Guster Ntakke aguze emijoozi egiweze nasaba giweebwe abayizi mu masomero nabo okwetaba mu misinde. Owek. Ntake ategeezeza nti kino akikoze okunnyikiza ensonga eno mu mugigi omuto kubanga rye ggwanga eryenkya. Abalala abaguze emijoozi kuliko; Halal Supermarket, Ettendekero lya Makerere Business Institute awamu n’abalala. https://gambuuze.ug/2022/06/28/ebitongole-byongedde-okugula-emijoozi-okwetegekera-emisinde-gya-kabaka/ +sports Empaka z’amasaza ez’eggaali zitongozeddwa Obwakabaka bwa Buganda butongozezza empaka z’amasaza ez’eggaali ezigenda okubeerawo buli mwaka okujaguza emyaka ettaano egya BBS Terefayina gyemaze nga eweereza abantu ba Kabaka mu kisaawe ky’empuliziganya. Enteekateeka eno etongozeddwa mu bimuli bya Bulange ku Lwokuna nga etuumiddwa ‘Kengere ya MTN ne BBS’ nga zakubaawo omwezi ogujja mu Buddu nga ziwagiddwa kkampuni y’ebyempuliziganya eya MTN n’ekitongole ky’Obwakabaka ekya Majestic Brands. Bw’abadde ayogerera ku mukolo guno ssenkulu wa BBS Terefayina, Omuk. Patrick Ssembajjo, ategeezezza nti kino bakikoze okuddiza ku bantu ababawagidde ebbanga wamu n’okutumbula omuzannyo guno. “Tuli basanyufu okuddamu okugatta amasaza ga Buganda nga tutumbula omuzannyo gw’eggaali era kiyambeko n’okukuuma abantu ba Kabaka kuba Beene abantu be abaagala balamu,”Omuk. Ssembajjo bw’annyonnyodde. Eyakiikiridde kkampuni ya MTN ku mukolo guno, Joseph Bogera annyonnyodde nti omuzannyo gw’eggaali mukulu nnyo mu Buganda era nga kkampuni basazeewo okugubbulula wamu n’okulaba nti bayimusa ebitone ebiri mu muzannyo guno. Ate ye Omwogezi w’ekibiina ky’abavuga obugaali mu Buganda (Buganda Cyclists Association), Mathias Lukwago agambye nti amasaza gasabiddwa okuteekateeka ttiimu zaago ezigenda okwetaba mu mpaka zino kisobozese okutumbula omuzannyo guno. Okusinziira ku Lukwago eggaali zitegekeddwa mu mitendera esatu okuli maanyi ga kifuba, eggaali eza ‘Changer’ awamu n’eggaali z’abakyala. Ono agamba ku lunaku olusooka eggaali za ‘Changer’ zakuvuga okuva e Masaka mpaka Kyazanga ku Lwomukaaga. Ate olunaku lwe lumu olw’eggulo eggaali maanyi ga kifuba zivugibwe kilomita 40 awamu n’emitendera emirala. Abawanguzi ku mitendera okuli; ogwa abaami, abakyala awamu n’essaza erigenda okusinga bakuweebwa ebirabo ebiwerako era enteekateeka eno ejja kubeerangawo buli mwaka. https://gambuuze.ug/2021/05/27/empaka-zamasaza-ezeggaali-zitongozeddwa/ +sports Express etutte Crsypus Kusiima Ttiimu ya Express FC ekansizza omukwasi wa ggoolo Cryspus Kusiima amanyiddwa nga “Gufi” okuva mu Tooro United. Crsypus Kusiima Kusiima endagaano awereddwa ya myaka 2 era nga ggoolo ya Express ajja kugivuganyako ne Mathias Muwanga. “Ndi musanyufu okwegatta ku Express era nesunga lwe ntandika okuzannya” Bwatyo Kusiima bweyategezezza omukutu gwa Express ogw’omutimbagano. Kusiima yegatta ku Tooro United ku ntandikwa ya sizoni ewedde oluvanyuma lwa ttiimu ye okusalwako nedda mu ‘FUFA Big League’ https://gambuuze.ug/2020/08/10/express-etutte-crsypus-kusiima/ +sports Ab’ Engo bakubye  Embwa ggoolo 4-2 mu kikopo ky’ Ebika 2022 Bazzukulu b’ Omutaka Muteesaasira bakubye aba Mutasingwa ggoolo 4-2 mu mupiira oguguddewo empaka z’Ebika bya Buganda ez’omwaka 2022. Omupiira guno guyindidde mu kisaawe kya Kasana e Luweero mu Bulemeezi nga bino byonna bibadde mu maaso ga Ssaabasajja Kabaka eyasiimye naggulawo empaka zino. Ab’Engo bebasoose okulengera akatimba mukitundu ky’omuzannyo ekisoose nga bayita mu muzannyi Ssenabulya Frank wabula wayise mbale Batenda Ivan ow’ekika ky’Embwa nateeba ey’enkyenkanyi, Ssekiranda Derrick nateebera ab’ Engo ggoolo ey’okubiri. Omuzannyi w’ekika ky’Embwa Batenda Ivan naye azzeemu okuteebera ab’Embwa era ekitundu ekisoose kiwedde guli 2-2. Ekitundu eky’okubiri kitandikidde mu bbugumu era muzzukulu wa Muteesaasira Ssenabulya Frank azzeemu okuteeba ggoolo negubeera 3-2. Mu ddakiika ntono Micheal Lubowa ateebye ggoolo y’Engo ey’okuna (4) era Engo nesitukira mu bubonero 3 ne ggoolo 4 netangaaza emikisa gyaayo okweyongerayo ku mutendera oguddako. https://gambuuze.ug/2022/06/11/ab-engo-bakubye-embwa-ggoolo-4-2/ +sports Masaza Cup 2021 : Buddu ekubye Mawogola 6- 1 Ttiimu y’essaza lya Buddu ekubye ttiimu ya Mawogola eggoolo 6-1 mu kibinja kya Muganzirwazza mu mupiira ogunyumidde abalabi mu kisaawe kya Fufa Technical Center e Njeru mu Kyaggwe. Buddu y’esoose okulengera akatimba mu ddakiika ya 33 ng’eyita mu muzannyiSharif “Diao” Ssengendowabula mu ddakiika ya 37, Mawogola efunye ggoolo y’ekyenkanyi ng’eyita mu musambi Abdul Kalanzine gubeera ggoolo 1- 1. Bwegutyo ne guwummula ekitundu ekisoose mu maliri. Omusambi wa Buddu, Marvin Kavuma afunidde Buddu ggoolo eyookubiri ne gubeera 1-2, wano Buddu ekoze enkyukyuka ezibadde ez’ensonga n’ereeta omuvubukaVianney Bukenya okudda mu nnamba yaIsma Lamitara. Mu ddakiika ya 66, Vianney Bukenya abadde yaakayingizibwa ateebye ggoolo bbiri nnamba ne gudda ku 1-4 okwongera okunyweza obuwanguzi. Omupiira bwegutuusemu ddakiika 85, Buddu efunye Penati eteebeddwa omusambi Bruno Bunyagaokuvamu kisobyo ekikoleddwa Fahad Nsamba ne gubeera ggoolo 1-5. Omuzannyi Brian Omirambeafunidde Buddu ggoolo mu ddakiika ye 89 ne guggwa ggoolo1-6. Kino kitegeezanti Buddu eyiseewo okuva mu kibinja Masengere okuzannya mu mutendera oguddako. https://gambuuze.ug/2021/12/08/buddu-ekubye-mawogola-6-1/ +sports Eby’emizannyo bikuuma obumu era ye Federo esooka – Owek. Kaawaase Omumyuka Asooka owa Katikkiro, Hajji Twaha Kaawaase Kigongo asabye abantu okujjumbira eby’emizannyo ebyenjawulo kuba bino bisobola bulungi okutumbula obumu n’okulaakulanya eggwanga. Bino Owek. Kaawaase abyogedde asisinkanye aba Great Strikers International abatumbula omuzannyo gw’ebikonde wansi wa Uganda Professional Boxing Championship nga ensisinkano ebadde mu Bulange e Mmengo ku Lwokubiri. “Eby’emizannyo bikuuma obumu kuba tebimanyi mawanga era ebyemizannyo ye Federo esooka bikung’aanya abantu bonna si nsonga bibiina ki era bwebajja beerabira gyebava nebakulembeza omuzannyo gumu,” Owek. Kaawaase bw’ategeezezza. Katikkiro Kaawaase ategeezezza nti emizannyo mikulu nnyo mu Buganda ne Uganda kuba binyweza obumu mu bantu ba Kabaka awamu n’okutumbula embeera zabwe kuba bisobolera ddala okuvaamu ssente. Ono asabye bamusaayimuto mu muzannyo guno awamu n’emirala egyetaaga amaanyi okukozesa ekiseera kyabwe kuba gyetaaga okufunamu nga omuntu akyali muvubuka kuba gyakoma okukula n’omutindo gukendeera. Ye Minisita avunaanyizibwa ku by’ Emizannyo n’Abavubuka awamu n’Okwewummuza, Henry Ssekabembe Kiberu bano abeebazizza olw’okuwanika bbendera ya Uganda ne Afirika. Owek. Ssekabembe agamba nti Buganda eriko enkolagana gyeyagala okuteekawo wakati w’ abatwala ebikonde mu ggwanga okusobola okwongera okutumbula omuzannyo guno. Amyuka Pulezidenti wa Uganda Professional Boxing Commission, Abby Mugayi ategeezezza nti balina omulimu gw’okutumbula ebitone by’ abavubuka mu ggwanga. https://gambuuze.ug/2022/08/30/ebyemizannyo-bikuuma-obumu-era-ye-federo-esooka-owek-kaawaase/ +sports Cheptegei ne banne beesozze fayinolo za mmita 5000 Bannayuganda abaddusi b’embiro empanvu okuli; Oscar Chelimo, Joshua Cheptegei ne Jacob Kiplimo, bonna bayiseewo ne beesogga fayinolo z’empaka zino eza mmita 5000 eza Olympics eziyindira e Tokyo mu Japan. Chelimo yakutte kyakuna mu misinde egyasooseewo era ng’addukidde eddakiika 13:39:07, era nga zino ziwanguddwa munnakenya Nicholas Kipkorir Kimeli ( 13:38:87). Mu ngeri yeemuCheptegei (13:30:61) ne Kiplimo (13:30:40) bamalidde mu bifo ekyokuna n’ekyokusatu mu misinde egiwanguddwa Muhammad Katir owa Spain (13:30:10) ate ngaPaul owa America akutte kyakubiri. Kimanyiddwa nti mu mpaka zino, abaddusi abataano abasooka beesogga empaka z’akamalirizo ng’ezoomulundi guno zigenda kubeera mu kisaawe kya Olympic Stadium ku Lwokutaano. Mu mpaka zino eza Olympics 2020, Uganda yaakafunayo emidaali ebiri gyokka okuli ogwekikomo ne Ffeeza nga gyawanguddwa Cheptegei ne Kiplimo mu mpaka za mmita 10,000. Bannayuganda abalala okuli; Ronald Musagala, Shida Leni, Kirabo Namutebi, Kathleen Noble Grace, Catherine Nanziri, David Ssemujju, Shadir Musa Bwogi, Ambala Atuhaire, Albert Chemutai, Sarah Chelenget, Esther Chebet, Prisca Chesang, Winnie Nanyondo ne Halima Nakaayi, baawanduse dda mu mpaka zino. https://gambuuze.ug/2021/08/03/cheptegei-ne-banne-beesozze-fayinolo-za-mmita-5000/ +sports Beene asiimye okuggalawo empaka z’Amasaza, Tikeeti zituuse ku katale Minisita wa Buganda avunaanyizibwa ku by’emizannyo, abavubuka n’okwewummuzaamu, Owek. Henry Ssekabembe Kiberu ategeezezza nti Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye okulabikako nga Buddu etunka ne Buweekula okuzuula Nnantameggwa w’ekikopo ky’amasaza eky’omwaka 2021. Ekirangiriro kino Minisita Ssekabembe abyogeredde mu Bulange e Mmengo ku Lwokubiri bw’abadde ayogerako eri bannamawulire ku nteekateeka z’empaka z’amasaza ez’akamalirizo ezigenda okusambibwa mu kisaawe e Kitende ku Lwomukaaga luno. “Okusookera ddala njagala okusinziira wano ku mbuga y’Obwakabaka okutegeeza Obuganda ne bannabyamizannyo bonna nti enteekateeka z’ekikopo ky’amasaza ez’omulundi ogwe 17 tuteeseteese okugifundikira ng’ennaku z’omwezi 5 ku kisaawe kya St. Mary’s Stadium e Kitende. Ekyo tewakyali kubuusabuusa era olunaku lwo Ssaabasajja Kabaka asiimye okulabikako eri Obuganda,” Minisita Kyewalabye bw’ategeezezza Minisita Ssekabembe annyonnyodde nti tikeeti z’amasaza zatuuse dda ku katale nga ziri wakati w’emitwalo 2 n’emitwalo 5 era nga zitundibwa ku Majestic Brands e Bulange e Mmengo, amaduuka ga Airtel mu Kampala n’ amasundiro g’amafuta aga Total e Buweekula ne Mawokota. Okusinziira ku Minisita Ssekabembe abagenyi abayite bajja kutuuka ku ssaawa 5 ate olwo Kamalabyonna Charles Peter Mayiga atuuke ku ssaawa 5: 30 ku kisaawe era yagenda okubeera omugenyi omukulu nga Mawokota ne Bulemeezi nga guno gwakutandika ku ssaawa 6 zennyini ez’omutuntu. Olwo ku ssaawa 8: 30 Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi atuuke ku kisaawe e Kitende olwo ku ssaawa 9 zennyini Buddu ne Buweekula butandike okubefuka wansi w’omulamwa, ‘Abasajja tube basaale okulwanyisa Mukenenya tutaase abaana ab’obuwala.’ Minisita Kiberu agamba nti bakukozesa emipiira gino okulwanyisa obutabanguko mu maka era nga byonna bakubikola n’abavugirizi okuli Airtel n’abalala. Ono asabye abantu okwanguwa okugula tikeeti zino kuba ekisaawe kino kifunda obutafananako ne Namboole. Kati ekirindiriddwa kwekulaba ani agenda okubeera omuwanguzi w’empaka z’omwaka 2021 wali e Kitende ku Lwomukaaga luno. https://gambuuze.ug/2022/03/01/beene-asiimye-okuggalawo-empaka-zamasaza-tikeeti-zituuse-ku-katale/ +sports Kabaka agguddewo emipiira gy’amasaza, Bulemeezi eremaganye ne Butambala Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II, agguddewo empaka z’omupiira gw’amasaza ez’omwaka 2020 leero ku kisaawe kya Njeru Technical Grounds. Ssaabasajja Kabaka nga awuubira ttiimu zombi Omutanda asiimye n’ateeka omukono gwe ku mupiira ng’akabonero akalaga okukkiriza emipiira gino okusambibwa. Era Kabaka awuubidde abasambi ku njuyi zombi ng’akabonero akabalambula kubanga ku mulundi guno kino tekisobose olw’ekirwadde kya Ssennyiga Corona. Nnyinimu atuuse ku kisaawe ku ssaawa 8:30 era ng’ayaniriziddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga, Minisita w’ebyemizannyo, Owek. Henry Ssekabembe Kiberu, awamu ne Minisita wa gavumenti ez’ebitundu, Owek. Joseph Kawuki. Omupiira ogugguddewo empaka z’omwaka guno, gubadde gwa kibinja kya Butikkiro, wakati wa Bulemeezi abalina ekikopo kino nga battunka ne Butambala. Butambala y’esoose okulengera akatimba ng’eyita mu musambi Nsereko Sharif mu ddakiika eya 23 ey’ekitundu ky’omuzannyo ekisoose, wabula mu kitundu ekyokubiri, omuzannyi Kateregga Bernado n’ateeba ey’ekyenkanyi mu ddakiika ye 75. Olunaku lw’enkya Ssingo egenda kuttunka ne Buluuli mu kibinja kino kye kimu ekya Butikkiro. Kinajjukirwa nti mu mpaka z’omulundi guno, temuli bawagizi olwa Corona wabula ng’emipiira gyonna giweerezebwa butereevu ku mikutu gy’Obwakabaka egy’ebyempuliziganya. https://gambuuze.ug/2020/12/12/kabaka-agguddewo-emipiira-gyamasaza-bulemeezi-eremaganye-ne-butambala/ +sports Manchester United ekansizza Ace okuva mu Real Madrid Manchester United ekkirizza okukansa Ace Alvaro Fernandez Carreras okuva mu tiimu ya Real Madrid era nga atadde omukono ku ndagaano ya myaka ena. Okusinziira okumukutu gw’amawulire mu Spain ogumanyiddwa nga Spanish Publication AS, Manchester United ewanguddde okuvuganya okubaddewo mu kukansa omubuka ow’emyaka 17 nga asamba namba ssatu era nga agenda kubeera omuzannyi asoose okusayiningibwa Ole Gunner Solksjaer mu tiim ya Manchester United. Alvaro agenda kuzannyira tiimu ya Manchester United ento mukaseera kano naye nga yabadde asubiziddwa okuzanyira tiimu esooka era nga kino kyamusikiriziddwa nnyo okwegatta ku tiimu eno nessanyu erinji. Alvaro y’omu kubavubuka abato abalina ebiseera by’omumaaso ebitangaavu mu kapiira. Bweyali taneegatta ku tiimu ya Real Madrid yali mu Deportivo La Coruna era nga takyakadde bulunji ku Santiago Bernabeu. Real Madrid babadde bagaala okuuma omuvubuka ono era nga babadde baakumwongera ndagaano mpya naye Manchester United bamukubye akalimi nga bamutegeeza nga ebiseera bye oby’omumaso bwebiri ku Old Trafford era bamukansizza ku team omuli eya Barcelona ne Manchester city. Mungeri y’emu Manchester United bakyakola ku ky’okuleeta sita wa Borussia Dortmund Jordan Sancho ku Old Trafford era Ole ayagala sayidi y’omukono gwa ddyo nga nayo erina omuzanyi omututumufu ow’ensi yonna nga bwekiri ku kono ewali Wan Bisaka. Diiru y’omuwuwutanyi wa Aston Villa Jack Grealish nayo esuubirwa okugenda maaso nga newankubadde team eno eri mu lusuubo okuddayo mu ba namba lujega. https://gambuuze.ug/2020/07/18/4720/ +sports Ibrahim Kayiwa azzeeyo mu Express Omuzannyi w’omupiira Ibrahim Kayiwa azzeeyo mu ttiimu ya Express gy’aba asambira omupiira sizoni ejja. Kayiwa ow’emyaka 25 yasazizzaamu endagaano ye ne ttiimu ya Tooro United era kati ono afuuse omusambi owa 13 okwegatta ku Express sizoni eno. Aba Express bakakasizza ng’ono bw’agenda okubayamba okuvuganya obulungi mu liigi. Okusinziira ku mutimbagano gwa ttiimu eno, Kayiwa yaweereddwa endagaano ya myaka ebiri. Bweyabadde ayogerako eri abawagizi ne bannamawulire nga bamwanjula, Kayiwa yagambye nti musanyufu okudda ku ttiimu eno kubanga e Wankulukuku waafuuka waka era n’asuubizza okubawangulira ebikopo. “Ndi musanyufu okudda ku Express kubanga ku nze wabeera waka.” Kayiwa bwe yagambye. Kayiwa yatandika okuzannyira Express FC mu 2014, nga yabateebera ggoolo musanvu ate n’ayambako okunyeenya akatimba emirundi kkumi miramba bwe yali tanneegatta ku SC Villa mu 2018 gye yava okugenda mu Busoga United (Kirinya Jinja SS) mu 2019. Kayiwa ye musambi owookutaano Express gw’ereese okuva mu Tooro United ng’abalala kuliko; Charles Musiige, John Byamukama, Godfrey Lwesibawa, ne Cryspus Kusiima. https://gambuuze.ug/2020/09/22/ibrahim-kayiwa-azzeeyo-mu-express/ +sports Cranes ewangudde South Sudan 1-0 Omuzibizi wa ttiimu ya SC Villa, Halid Lwaliwa, ateebye ggoolo esobodde okuwanguza Uganda Cranes omupiira gw’esambye ne South Sudan mu kibina B eky’empaka z’abavuganya okusamba mu mpaka z’akamalirizo eza AFCON. Lwaliwa nga yaleeteddwa ku kisaawe okusikira Ronald Mukiibi eyafunye obuvune, akozesezza eddakiika entono z’abadde amaze ku kisaawe, okutomera omutwe oluvannyuma lwa Farouk Miya okusimula ekisobya. Obubonero buno obusatu Cranes bw’efunye, bugitadde ku mugatte gwa bubonero 7 okuva mu mipiira esatu era ne beenywereza ku ntikko y’ekibinja. Ate yo South Sudan y’ekoobedde wansi mu kibinja ng’ewanguddwa emipiira gyonna esatu gy’esambye. Wabula Uganda Cranes erumye n’ogwengulu okuwangula South Sudan era ng’ekitundu ekisoose kibabeeredde kizibu okuwaguza mu kisenge kya South Sudan. Abasambi ba Uganda Cranes mubaddemu; Denis Onyango (GK), Elvis Bwomono, Joseph Ochaya, Timothy Awanyi, Ronald Mukiibi, Mike Azira, Khalid Aucho, Faruku Miya, Emmanuel Okwi, Kizito Luwaga ne Derrick Nsibambi. Ku ludda lwa South Sudan kubaddeko; Majak Mawith (GK), Peter Manyang, Abdelkarim Mutwkl, David Omot, Rahan Malong, Stephen Lony, Jackson Morgan, Manyumow Achol, Makueth Wol, Tito Okello neIvan Wani. https://gambuuze.ug/2020/11/12/cranes-ewangudde-south-sudan-1-0/ +sports Omuzibizi Ssentume Police F.C emwongedde endagaano Oluvanyuma lw’okuwonera awatono okuddayo mu kibinja kya wansi, ttiimu ya Police F.C eyongedde okwenywezza bwewadde abamu ku bazannyi baayo endagaano empya. Ku Lwokubiri, endagaano ey’omuzibizi Joseph Ssentume yaziddwa buggya okumala emyaka emirala 3. Ssentume ye kapiteeni wa ttiimu eno era yakola kinene okugiyamba okumalira ku kifo eky’ e 13. Ono asuubizza okwongera ku mutindo kisobozese ttiimu okukola obulungi. Ssentume yeegasse ku basambi abalala abayongeddwa endagaano ye; Yusuf Ssozi, Johnson Odong, Mubaraka Nsubuga , Edward Kiryowa, Dennis Rukundo, Bashir Kabuye ne Musa Matovu. Ku bano poliisi egasseeko abasambi abapya okuli; Tonny Mawejje, Hassan Muhmood, Tom Ikara Eric Ssenjobe ne Muwadde Mawejje okwongera okwenyweza. https://gambuuze.ug/2020/08/19/omuzibizi-ssentume-police-f-c-emwongedde-endagaano/ +sports Enteekateeka z’omupiira oguggulawo emipiira gy’Amasaza 2021 ziwedde Minisita wa Buganda avunaanyizibwa ku bavubuka, emizannyo n’okwewummuzaamu, Owek. Henry Ssekabembe Kiberu ategeezezza nti enteekateeka zonna ekikwatagana ku mupiira ogugenda okuggulawo empaka z’Amasaza eza 2021, ziwedde. “Njagala okutegeeza Obuganda bwonna awamu ne bannabyamizannyo nti enteekateeka zonna eziggulawo emipiira gy’Amasaza 2021, ffe nga abateesiteesi tumaze okuziggyako engalo.” Minisita Ssekabembe bw’agambye. Bino Owek. Ssekabembe abitegeezezza bannamawulire enkya ya leero ku Lwokutaano mu Bulange e Mmengo. Okusinziira ku Minisita Ssekabembe, olw’okuba omupiira gwakusambibwa mu kiseera kya muggalo, abo bokka abayitiddwa ne baweebwa ebbaluwa be bagenda okwanirizibwa ku ssaawa 7 era batuuzibwe mu bifo byabwe. Ate ku ssaawa 8 zennyini Katikkiro Charles Peter Mayiga ajja kutuuka era ayanirize Beene ku ssaawa 8 n’ekitundu, olwo ku ssaawa 9 omupiira wakati wa Gomba ne Kyaddondo gutandike ku kisaawe kya Fufa Techincal Centre e Njeru. Owek. Ssekabembe asabye abayitiddwa okukuuma ebiseera era bakuume emirembe era omupiira guno gugenda kuweerezebwa butereevu ku CBS ne BBS Terefayina. Ssentebe wa ttiimu y’essaza ly’e Gomba, Kabugo Mansur ategeezezza nti alina essuubi okukola ebyafaayo mu maaso ga Ssaabasajja Kabaka era asuubira nti ku mulundi guno Kyaddondo terina w’egenda kubayita. Ate ye akulira ttiimu ya Kyaddondo, Charles Kisekka agamba nti bamukisa okuba nti be bagenda okuggulawo empaka z’omwaka guno mu maaso ga Beene nga kijja kuba kizibu essaza lye okuwangulwa kuba balina ebitone ebipya. https://gambuuze.ug/2021/11/19/enteekateeka-zomupiira-oguggulawo-emipiira-gyamasaza-2021-ziwedde/ +sports Buddu yeetegekera kumegga Mawogola mu mpaka eziggulawo ez’Amasaza 2022 Abaddukanya ttiimu y’essaza lya Buddu batuula bufoofofo nga beetegekera okwaniriza Ssaabasajja Kabaka wamu n’okuzannya omupiira oguggulawo empaka z’omupiira gw’Amasaza ez’omwaka guno 2022 nga battunka ne ttiimu ye Mawogola ku Lwomukaaga luno nga 25/06/2022 ku kisaawe kya Masaka Recreational Grounds. Bano nga bakulembeddwamu Ppookino Jude Muleke balonze akakiiko ka ttiimu y’essaza lino akagenda okukola ennyo okweddiza ekikopo ky’essaza lino era Ppookino akakasizza nti olw’okusiima emirimu akakiiko akakadde gyekakola konna kazzeemu okuweebwa emirimu. Ssentebe w’akakiiko kano ye Lutaaya Joseph ate Minisita Harunah Kyeyune Kasolo n’omubaka Francis Katabaazi Akakiiko kano Ppookino Muleke akasabye okukolera awamu nga tebataddemu byabufuzi okusobola okukomyawo ekikopo mu Buddu. Mu ngeri yeemu akakiiko akalala kalondeddwa okuteekateeka omukolo Beene Ssaabasajja Kabaka kwagenda okuggulirawo empaka z’omwaka guno era kano kategeezezza nti kakukola kyonna okutegeka omukolo ogujja mu kitiibwa ky’Empologoma. Ssentebe w’akakiiko kano, Omubaka omukyala owa Kyotera Fortunate Nantongo ategeezezza nti beetegese bulungi naye nakunga abalina obuyambi bw’ensimbi n’ebirala okubuwaayo. Okusinziira ku Nantongo ku mulundi guno abantu abagenda okubeera awali ebiyitirirwa okukyuusaamu ku nnyambala nga kuluno bakwambala makanzu n’abakyala busuuti okwongera okuweesa omukolo ekitiibwa. Buddu yeerina ekikopo ky’omwaka oguwedde oluvannyuma lw’okukuba Buweekula 2-0 okutwala ekikopo kino nga ku luno eggulawo ne batabani ba Muteesa ab’e Mawogola. https://gambuuze.ug/2022/06/20/buddu-yeetegekera-kumegga-mawogola-mugiggulawo-ezamasaza-2022/ +sports Kiplimo awangudde zzaabu Munnayuganda omuddusi w’emisinde, Jacob Kiplimo ow’emyaka 19, awangudde emisinde gy’okwetooloola ebyalo egya World Half Marathon Championship ng’agiddukidde eddakika 58:49 n’asitukira mu mudaali gwa Zzaabu nga gibadde mu ggwanga lya Poland. Omuddusi Kiplimo Ate ye Munnayuganda omulala, Joshua Cheptegei amalidde mu kifo kyakuna mu misinde gino era ng’agiddukidde eddakika 59:21 era nga guno gwe mulundi gwe ogusoose okudduka emisinde gino. Abantu ab’enjawulo bavuddeyo okuyozaayoza Kiplimo ne Cheptegei ku buwanguzi buno era nga Minisita w’eby’enjigiriza n’ebyemizannyo era mukyala wa Pulezidenti Museveni, Janet Kataaha Museveni, ayitidde ku kibanja kye ekya Twitter n’abasiima olw’okuwanika bbendera ya Uganda. “Yogaayoga Jacob Kiplimo olw’okuwangula #WorldHalfMarathon mu ddakika 58:49. Naawe Joshua Cheptegei yogaayoga olw’okumalira mu kifo ekyokuna. Tubeenyumirizaamu, mugende mu maaso era Katonda abawe omukisa,” Mukyala Museveni bw’awandiise. Munnakenya omu ku babadde basuubirwa okusitukira mu mpaka zino Kibiwott Kandie, akutte kyakubiri mu ddakika 58:54 n’aweebwa omudaali gwa siliva ate Amedework Walelegn enzaalwa ya Ethiopia n’akwata ekifo kyakusatu n’eddakika 59:08 n’abuukayo n’omudaali gw’Ekikomo. https://gambuuze.ug/2020/10/17/kiplimo-awangudde-zzaabu/ +sports Arsenal egobye abadde omutendisi waayo Tiimu y’omupiira gw’ebigere egukyangira amukibinja kyaba binywera ku Lukalu lwa Bulaaya eya Arsenal egobye abadde omutendesi waayo U, oluvanyuma lw’okukubwa eggulo tiimu ya Eintracht Frankfurt nga eno egukyangira Bigirimaani, ggoolo 2 -1. Mukiwandiiko eri abannamawulire, Josh Kroenke, omu kabannayini tiimu eno, yategeezezza nti babadde tebasobola kugenda mumaaso na Unai ng’ono ava mu ggwanga lya Spain olw’omutindo omubi tiimu eno gweriko. Nga bwebanonya anamuddira mubigere, Kroenke yategeezezza nti Freddie Ljungberg alondeddwa okugiranga atendeke tiimu eno. Arsenal yeemu kuttiimu za Bungereza ezisinga amanyi wabula ennaku zino ebintu tebigitambulira bulungi anti buli tiimu egikwatako ewuttula mputtule. https://gambuuze.ug/2019/11/29/arsenal-egobye-abadde-omutendisi-waayo/