diff --git "a/data/lug/dev.tsv" "b/data/lug/dev.tsv" new file mode 100644--- /dev/null +++ "b/data/lug/dev.tsv" @@ -0,0 +1,111 @@ +category headline text url +politics Olunaku lumu Museveni ajja kusasulira ebibi byakoze – Bobi Wine Kampala Omukulembeze w’ekibiina kya National Unity Platform (NUP), Robert Kyagulanyi amanyiddwa nga Bobi Wine, ategeezezza nti olunaku lumu Pulezidenti Museveni ne gavumenti ye bajja kusasulira ebibi bye bakoze ku bannayuganda. Bino Kyagulanyi yabyogedde asisinkanye abamu ku bawagizi b’ekibiina kye abaayimbuddwa kkooti y’amagye okuva mu kkomera e Kitalya gye bamaze emyezi egisoba mu etaano. Abaayimbuddwa bawera 17 nga be bamu ku 17 abakwatibwa ne Kyagulanyi bwe yali e Kalangala ng’anoonya akalulu k’Obwapulezidenti. Bano omuli; Eddie Mutwe, Nubian Li ne Dan Magic, bavunaanibwa emisango gy’okusangibwa n’ebyokulwanyisa awamu n’emisango emirala. Kyagulanyi agamba nti baakugenda mu mbuga z’amateeka okulaba ng’abantu baabwe baddizibwa eddembe lyabwe era bafune obwenkanya. Ono agamba nti okubanja okuteereddwawo bannayuganda kwe kuwaliriza gavumenti okuyimbula abasibe bano. “Tuli basanyufu okuddamu okulaba ku bannaffe ababadde baasibibwa obwemage. Oluvannyuma lw’emyezi 6 nga batulugunyizibwa, kkooti y’amagye ebayimbudde ku bukwakkulizo obwamaanyi omuli obutasukka Kampala ne Wakiso nga tebalina lukkusa lwa kkooti.” Kyagulanyi bwe yagambye. Kyagulanyi agamba nti wadde bano bayimbuddwa naye abantu baabwe bangi bakyakuumibwa mu makomera ag’enjawulo ku misango emijingirire mu mbeera embi n’asaba gavumenti okuta abakwate bonna. Ate ye munywanyi wa Bobi, Nubian Li yategeezezza bannamawulire nti embeera y’ekkomera ly’e Kitalya mbi nnyo nga waliyo n’omugotteko, ekintu ekyongedde okusaasaanya obulwadde mu basibe. Ye Eddie Mutwe agamba nti bannayuganda bangi baggalirwa mu kkomera e Kitalya awatali musango era n’awera okusigala nga balwanirira obwenkanya n’okununula eggwanga. https://gambuuze.ug/2021/06/15/olunaku-lumu-museveni-ajja-kusasulira-ebibi-byakoze-bobi-wine/ +business Kabaka akubirizza abavubuka okutereka ensimbi Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi asiimye emirimu egikolebwa abavubuka mukukulakulanya Buganda kyokka n’abasaba okwemanyiiza okutereka ensimbi nti olwo lwebanaasobola okwejja mubwavu. Okwogera bino, Omutanda abadde mu gombolola ye Maanyi mu Ssaza lye Busujju mukukuza olunaku lw’abavubuka mu Buganda. “Abavubuka tukimanyi nti mukola emirimu mingi era tugisiima naye temujja kusobola kwekulakulanya okujjako nga mukola n’ekigendererwa ekyokuzimbira awamu eggwanga. Mulina okwemanyiiza okutereka ensimbi ezinabasobozesa okweyimirizaawo, okwekulakulanya n’okukulakulanya eggwanga; eno yeemu kuntandikwa y’okwejja mubwavu,” Kabaka bweyategeezezza. Omutanda agasseeko nti yenyumiriza nnyo mungeri abavubuka gyebewaddeyo mukulwanirira bwakabaka n’eddembe ly’obuntu. Yagasseeko nti newankubadde abavubuka n’Obwakabaka balina ebintu bingi ebibasoomooza ng’ebbula ly’emirimu, okusengula abantu mubitundu byabwe, n’ebirala, bateekeddwa okuba abavumu, ssaako okulemera ku nsonga ezinyigiriza awatali kutunda ggwanga olw’ebyenfuna nga bwekirabika mubantu abamu ennaku zino. Omutanda asabye abavubuka okwongera okwekuuma era n’okukubiriza bannabwe okwekuuma akawuka kamukenenya, nti olwo lwebanaasobola okukolera eggwanga lyabwe. Katikkiro Charles Peter Mayiga kululwe, yeebazizza nnyo Bannabusujju olw’okwaniriza Kabaka mukitiibwa. Mayiga ategeezezza nti nga gavumenti ya Kabaka, bakola butaweera okulaba nga batumbula omutindo gw’abavubuka. “Kabaka bweyawa omulembegwe abavubuka mu 2002 , yali ayagala abavubuka beetegekere bulungi ebiseera byabwe eby’omumaaso babyeyagaliremu.Naye wadde omulembe yaguwa abavubuka, ate ye Kabaka yalagira gavumentiye, etandikewo ebitongole n’amakampuni bibangule abavubuka bano bibawe n’emirimu, kampuni nga CBS, Buganda Land Board, BBS Terefayina, K2 telecom, Ssuubiryo Zambogo Sacco, Muteesa I Royal University, Buganda Royal Institute, Majestic Brands, Kabaka Foundation, n’ebitongole ebirala, ababikolamu ebitundu kyenda ku buli kikumi, bavubuka,” Mayiga bwagambye. https://gambuuze.ug/2019/11/23/kabaka-akubirizza-abavubuka-okutereka-ensimbi/ +business Omulangira Jjunju asabye abayivu okudda mu byalo bayambeko Omulangira Crispin Jjunju asabye abantu ba Kabaka abayivu okuddayo mu bitundu gye basibuka okukozesa obuyivu bwabwe, obukugu n’obumanyirivu okuggya abantu ba Ssaabasajja mu bwavu bwe balimu ensangi zino nga batandikira gye bava. Omulangira bino abyogedde atikkula Amakula ga Kabaka okuva eri abaaliko abayizi mu ssomero lya Buddo mu mwaka gwa 2005 abakiise Embuga n’Amakula ga bukadde 5,000,000 mu Lubiri lwa Kabaka e Mmengo. “Nsaba mwe nga bannabuddo mukke wansi mu byalo gye muva muyambeko okukozesa amagezi gammwe okulaba nti enteekateeka z’Obwakabaka ez’ebyenkulaakulana abantu bammwe gye muva bazettanira n’okuziganyulwamu.” Omulangira Jjunju bw’agambye. Omulangira Jjunju era abakubirizza bulijjo okunnyikiza ebyobuwangwa n’Ennono mu miti emito, basobole okukula nga bamanyi bulungi ensibuko yaabwe ate n’obutabityoboola. Bano abaasomako n’Omulangira Crispin Jjunjju mu mwaka gwa 2005 ku Kings College Buddo, abakulembeddwamu Eng . Apollo Lwanga, basiimye Obwakabaka olw’okufaayo okutumbula embeera z’abantu nga bayita mu nteekateeka ez’enjawulo. Katikkiro w’ebyalo bya Kabaka, Omuk. Moses Luutu, yeebazizza bannabuddo olw’omyo gwa Buganda ogutafa gwe boolesezza era asabye n’abalala okubayigirako. Enteekateeka ey’okuleeta Amakula Embuga ebaawo buli Lwakuna era abantu ba Ssaabasajja bonna bakubirizibwa okujjumbira enteekateeka eno kubanga luno lwoya lwa mu nnyindo. https://gambuuze.ug/2021/06/10/omulangira-jjunju-asabye-abayivu-okudda-mu-byalo-bayambeko/ +politics Gen. Tumukunde alabudde bannayuganda abaagala enkyukakyuka Kampala Munnamagye eyagawummula Gen. Henry Tumukunde alabudde bannayuganda okwegendereza nga balonda ku lw’ekyukakyuka eyannamaddala kubanga bangi ku basuubiza enkyukakyuka tebasobola giyimirizaawo. Okulabula kuno Tumukunde yakukoledde mu bitundu kya Ratkoto ne Lagile mu disitulikiti y’e Pader ku Lwokusatu ng’anoonya akalulu. “Bwe muba mulonda enkyukakyuka mubeere beegendereza kubanga abantu bangi bavuddeyo okusuubiza enkyukakyuka naye nga tebajja kugisobola, mulonde enkyukakyuka ebatwala gye mwagala okulaga.” Tumukunde bwe yategeezezza. Tumukunde agamba nti abalonzi balina okubeera abeegendereza naddala mu kaseera kano nga Pulezidenti Museveni atabudde buli kimu n’afuula obukulembeze ekintu ekizibu. Ono yasabye abantu mu kitundu kino bateeke abakulembeze baabwe ku nninga babalage kye babakoleddewo kubanga abamu ku bo bali mu bifo bya buvunaanyizibwa era nga bavuga emmotoka ennene naye ate ng’abantu baabwe bali mu mbeera mbi. Tumukunde yagambye nti wadde ebikonge bingi biri mu bitundu bino naye embeera y’amalwaliro n’ebyenfuna ebadde y’emu okumala emyaka 34 egiyise. Yannyonnyodde nti ettaka lingi mu kitundu kino terina kikolwako kubanga mu mulembe guno kizibu okukozesa enkumbi okulima n’ofunamu ekyamakulu. Eggulo Tumukunde yafundikidde okunoonya akalulu mu kitundu kino n’asaba abantu okumulonda era nga olwaleero ku Lwokuna ali mu bitundu by’e Oyam, Kole ne Lira. https://gambuuze.ug/2020/12/03/gen-tumukunde-alabudde-bannayuganda-abaagala-enkyukakyuka/ +politics Nabbanja: Mbaddeko RDC, omubaka ne Minisita, kya njawulo ki ku bwa ssaabaminisita Ssaabaminisita omuggya, Robinah Nabbanja akakasizza bannayuganda nga bw’alina ebisaanyizo byonna okuweereza eggwanga lye nga Ssaabaminisita mu kisanja kino. Kino kiddiridde Nabbanja okulondebwa nga Ssaabaminisita w’eggwanga ku ntandikwa ya wiiki eno. Ono bw’atyo yayingidde mu byafaayo ng’omukyala asoose okubeera Ssaabaminisita okuva ku meefuga mu 1962. Bw’abadde ayogerako ne bannamawulire mu maka ge wano mu Kampala, Nabbanja yeebazizza Pulezidenti Museveni olwokumulengera n’amuwa omukisa okuweereza eggwanga lye. Ono agamba nti amawulire gano yabadde tagasuubira era gaamwewuunyisizza nnyo. “Nasoose butakkiriza nga ndowooza nti mboozi za mutimbagano. Saakisuubidde kuba tebaasooka kumbuulirako, kwe kugamba gankanze.” Nabbanja bw’ategeezezza. Ono akakasizza bannamawulire nti mwetegefu okuweereza mu kifo kino. “Bannayuganda mbawa essuubi nti mu bifo byonna gye mpeerezza mbadde nfuna obukugu. Ndi mukugu era nze mubaka nzekka mu kitundu kino eyali mu kisanja kya 2016 eyasobola okudda nga sivuganyiziddwa.” Nabbanja bw’aggumizza. Ono agamba nti ebifo by’abaddemu nga RDC, Kamisona wa Palamenti n’Omubaka, kimala okukakasa eggwanga nti mukulembeze mulungi. Nabbanja yazze mu bigere bya Dr. Ruhakana Rugunda eyalondeddwa okubeera omubaka ow’enjawulo mu woofiisi ya Pulezidenti ekifo ekitabaddewo. Nabbanja y’ani? Nabbanja yazaalibwa ku kyalo Kamuseenene, mu ggombolola y’e Nkooko mu Kakumiro e Bunyoro nga 17 December 1969. Yasomera ku Nkooko Primary School ne yeegatta ku St. Edward’s Secondary School -Bukuumi, gye yasomera ssiniya eyookuna n’eyoomukaaga. Wakati wa 2001–2010 yaweereza nga RDC e Paliisa, Busia ne Budaka, okumala emyaka 10 bwe yamala ne yeesimbawo okubeera omubaka omukyala owa disitulikiti y’e Kibaale era n’awangula. Kakumiro disitulikiti bwe yayawulwa ku Kibaale mu 2016, ono yavuganya ku kifo ky’omubaka omukyala, ekifo kye yazzeemu okuwangula mu 2021. Nabbanja ekiseera ky’abadde mu Palamenti aweerezzaako ng’omuwanika w’akabondo ka NRM wakati wa 2011-2016, era n’abeera kamisona wa Palamenti wakati wa 2016 okutuuka 2019. https://gambuuze.ug/2021/06/10/nabbanja-mbaddeko-rdc-omubaka-ne-minisita-kya-njawulo-ki-ku-bwa-ssaabaminisita/ +politics Ruto akakasiddwa ku bwapulezidenti bwa Kenya, alinze kulayira Kkooti Ensukkulumu mu Kenya ku Mmande yanywezezza William Samoei Ruto ku bwapulezidenti oluvannyuma lw’okugoba emisango 7 egibadde givunaanibwa nga Raila Odinga n’abalala bagamba nti yalangirirwa mu bukyamu. Kino kitegeeza nti Ruto asigaza kimu kya kulayizibwa ku bwapulezidenti bwa Kenya olwo atandike emirimu mu butongole. “Tulangirira nti okulondebwa kw’ omuwawaabirwa Asooka kwali kutuufu,” Ssaabalamuzi Martha Koome bw’ategeezezza ku ssaawa 7 : 34 eza leero. Kino kiddiridde Ssentebe w’ Akakiiko ka Independent Electoral and Boundaries Commission (IEBC) mu Kenya, Wafula Chebukati, nga August 15, 2022, okulangirira William Ruto eyafuna obululu 7,176,141 nga bukola ebitundu 50.49 ku bwapulezidenti. Wano munne bwebaali bavuganya Raila Odinga n’omukago gwe ogwa Azimio La Umoja abafuna obululu 6,942,930 by’ ebitundu 48 ku buli 100 baddukira mu kkooti nga bawakanya obuwanguzi bwa Ruto. Bw’abadde awa ensala, Ssaabalamuzi Martha Koome agamba nti abawaabi balemeddwa okuleeta obujulizi obulaga nti akalulu kano kaalimu okubbira nga keetaaga okusazibwamu. Ono annyonnyodde nti abawaabi balemeddwa okuleeta obujulizi obukakasa nti waliwo okuyingirira omutimbagano okwali kuteekebwa obululu nga bwebaali bategeezezza mu mpaaba yabwe. “Tewaliwo kunnyonyola kumala kulaga butakwatagana mu muwendo gw’obululu obwalondebwa kubwa Pulezidenti n’obululu obwalondebwa ku bifo ebirala nga omuwaabi bw’agamba,” Ssaabalamuzi Koome. Ono era akakasizza nti obuyinza bw’okwekeneenya n’okugatta ebivudde mu kulonda si bwa ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda wabula bwaba Kaminsona era bakaminsona 4 era ebyaleeteddwa mu kkooti biraga nti benyigiramu butereevu. https://gambuuze.ug/2022/09/05/ruto-akakasiddwa-ku-bwapulezidenti-e-kenya-alinze-kulayira/ +health Gen Katumba Wamala akunze abantu okugaba omusaayi Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku nguudo n’ebyentambula mu gavumenti yaawakati, Gen.Katumba Wamala, akunze abantu okuvaayo bagabe omusaayi okusobola okulwanyisa ebbula ly’omusaayi mu ggwanga. Gen. Katumba Wamala ne Katikkiro Mayiga nga boogerako eri bannawulire Gen. Katumba okusaba kuno akukoledde mu Bulange e Mmengo olwaleero bw’abadde yeetabye mu nteekateeka y’okugaba omusaayi. “Kino tekirinaako ani oba ani naye ffenna tusitukire wamu okulaba nti tuyambagana ku bannaffe ababa bafunye obwetaavu bw’omusaayi.” Gen. Wamala bw’agambye. Mu nteekateeka ya leero, Gen. Katumba, y’abadde omugabi w’omusaayi omukulu era ayaniriziddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga. Katikkiro Mayiga mu kwogera kwe alaze ebika by’abantu abasinga okwetaaga omusaayi guno omuli; abakyala abali embuto, abagudde ku kabenje wamu n’abalwadde ba Nnalubiri. “Omusaayi tolina w’oyinza kuguggya kubanga tegugulwa, tegukolererwa mu kkolero naye Katonda bw’aba akuwadde obulamu, ggwe olina okuguwaayo eri oyo agwetaaga.” Owek. Mayiga bw’ategeezezza ng’ayaniriza Gen. Katumba Wamala. Owek. Mayiga agamba nti ebizuuliddwa biraga nti abantu 20 ku 100 be bafa olw’ebbula ly’omusaayi era n’akunga abantu okujjumbira enteekateeka eno. Mukuumaddamula ajjukizza abantu nti tewali amanya ndi lw’ayinza kwetaaga musaayi, n’abasaba okuwaayo buli lwe wabeerawo enteekateeka ng’eno. Katikkiro yeebazizza Gen. Katumba olw’okudduukirira omulanga guno n’asaba bakulembeze banne nabo bakole ky’ekimu. Olwaleero lwe lunaku Olwokubiri nga bannayuganda bagaba omusaayi wamu n’okugemebwa ekirwadde kya Hepatitis ‘B’ era ng’enteekateeka eno ekyagendera ddala my maaso okutuuka ku Lwokuna lwa wiiki eno. https://gambuuze.ug/2021/03/30/gen-katumba-wamala-akunze-abantu-okugaba-omusaayi/ +politics Besigye atolose ku bakuumaddembe, bamwekangidde ku Arua Park nga yeekalakaasa ku bbeeyi y’ebintu Eyavuganyako ku bwapulezidenti era munnakibiina ki Forum for Democratic Change (FDC), Dr. Kizza Besigye yeemuludde ku bakuumaddembe abateekebwawo okumulemesa okuva mu makaage e Kasangati okujja mu kibuga okwekalakaasa ku bbeeyi y’ebintu eyeekanamye nga agamba nti gavumenti tekoze kimala. Besigye akunze bannayuganda okusitukiramu balage gavumenti obutali bumativu ku bbeeyi y’ebintu eriwo mu ggwanga. “Sigenda kukkiriza kukumiirwa mu maka gange ng’omusibe ng’abantu babonaabona mu nsi yabwe,” Besigye bw’ategeezezza bannamawulire. Besigye asabye abakuumaddembe bamukwate era bamusimbe mu mbuga z’amateeka bweba bakakasa nti aliko omusango gwakoze naye tagenda kukomya kulwanirira bannayuganda. Bino webijjidde nga Besigye yakwatiddwa olunaku lweggulo ku Mmande naggalirwa mu mmotoka ya poliisi okumalira ddala ekiseera oluvannyuma lw’okugezaako okwekalakaasa. Dr. Besigye nga tanakwatibwa yasoose kutegeeza bannamawulire nga Pulezidenti Museveni bwatali mwenkanya kuba bweyazze okwogerako eri eggwanga kyeyakoze kyakusaba bannayuganda kwenyweza kyokka nga ye agenda mu maaso n’okusaasaanyizibwako ensimbi eziwera obuwumbi 2 buli lunaku obuweebwayo okulabirira amaka g’Obwapulezidenti. https://gambuuze.ug/2022/05/24/besigye-atolose-ku-bakuumaddembe-bamwekangidde-ku-arua-park-nga-yeekalakaasa-ku-bbeeyi-yebintu/ +religion Aba West Buganda bagaanye abakadde mu kkanisa lwa COVID-19 Obulabirzi bwa West Buganda bulagidde abantu abakuze mu myaka basooke beesonyiwe eby’okugenda mu kkanisa naye basabire awaka, okusobola okwewala okukwatibwa Ssennyiga Corona. Kino kiddiridde Pulezidenti Yoweri Museveni okuggulawo amasinzizo wabula n’alagira abakulira amasinzizo okukkiriza abagoberezi 70 bokka mu buli kusinza. Okusinziira ku kiwandiiko ekiriko omukono gw’omuwandiisi w’Obulabirizi bwa West Buganda, Reverend Canon Samuel Mwesigwa, agamba nti amakkanisa gagguddwa naye abakadde bagira balinzeemu okudda mu kkanisa. Rev. Mwesigwa annyonnyodde nti ekiragiro kino kizingiramu ekkanisa zonna 521 mu Disitulikiti 9 ezikola obulabirizi buno. Ono agasseeko nti kino bakikoze olw’ensonga ekirwadde kya Ssennyiga Corona kisinga kukosa bantu bakuze mu myaka, agamba nti bakimanyi nti kigenda kukaluubirira abagoberezi abamu naye ensonga eno yabulamu n’akufa. Rev. Mwesigwa era abawadde amagezi obutagabana butabo bwa ssaala era bafube okulaba nga n’abantu abawangaala n’ebirwadde ebyenjawulo nabo basabira awaka. Ono era agamba nti enkung’aana z’ebyobufuzi mu kkanisa munda nazo ziwereddwa era abakulira amasinzizo gano balina okufuba okulaba ng’abantu bagoberera amateeka gonna agaateekebwawo okuziyiza ekirwadde kino. Abakulisitaayo abakuze mu myaka basabiddwa okweyambisa emikutu gya ttivvi ne leediyo wamu n’okusaba okw’omuntu ssekinnoomu. https://gambuuze.ug/2020/10/09/aba-west-buganda-bagaanye-abakadde-mu-kkanisa/ +business Katikkiro Mayiga akunze abavubuka okudda mu kyalo balime Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga, akunze abavubuka okudda mu byalo balime basobole okwekulaakulanya, kiyambe okuzza Buganda ku ntikko. Katikkiro Mayiga nga alambuzibwa emmwanyi “Abavubuka bangi bava mu byalo ne baddukira mu bibuga, ekibatwala mu bibuga baba basuubirayo obulamu bwe batasobola kufuna mu kyalo era kikubyeko. Kyokka mu kibuga emirimu egiriyo tegimala bavubuka so mu kyalo emirimu egy’okukola gye giri.” Owek. Mayiga bw’ategeezezza. Okwogera bino Katikkiro Mayiga abadde alambula abalimi mu nkola y’Emmwanyi Terimba mw’alambulidde eggombolola ez’enjawulo okuli Bukoto ne Kyanamukaaka, olwaleero ku Lwokubiri. Mukuumaddamula ategeezezza nti ebintu byonna ebitwala abantu mu bibuga okuli okusula obulungi, amazzi n’amasannyalaze, basobola okubyetuusaako mu byalo singa babeera beewaddeko ne bakola nga balima n’okulunda. “Abavubuka mulina okusalawo, oyagala kuweta mugongo ofune ennyumba ng’eno oba oyagala kugenda kubeera ku kibuga, okomewo nga tosobola kuzimba nnyumba ng’eno kubanga tosobola kubizimba nga okuze?” Owek. Mayiga bw’abuuzizza. Owek. Mayiga ategeezezza nti eddimu lye baliko kati lyakuteeka biragiro bya Kabaka mu nkola abantu basobole okumalirira okweggya mu bwavu kubanga kisoboka. Katikkiro Mayiga asabye abantu mu kitundu kino okutwala Ssentongo nga eky’okulabirako kuba ebirungi biva mu ntuuyo. Abasabye obutalinda binene okutandika, naye basookere ku kitono kye balina. Akunze bannabyabufuzi okutuusaako abalonzi baabwe obubaka obubajuna basobole okwekulaakulanya kuba babalabirako nnyo. Mu kaweefube ono, Katikkiro Mayiga asookedde wa mulimi Ssentongo Fred Kamagu ow’e Kitanga Mbiriizi, alina yiika ezisoba mu 20. Ssentongo Fred ategeezezza Katikkiro Mayiga nti yali awangaalira mu kibuga naye n’awulira ekiragiro kya Ssaabasajja era bw’atyo n’addayo okulima emmwanyi, Kasooli n’agattako okulunda enkoko era omulimu guno agumazeemu emyaka 15 wadde ng’asanze ebisoomoozo ebiwerako. Asiimye Kamalabyonna olw’okulowooza ennyo ku bavubuka era n’abakubiriza okukola, ekintu ekibazzaamu amaanyi nebongera okulemerako era aliko n’ebirabo by’amutonedde. Mu kulambula kuno, Katikkiro Mayiga awerekeddwako Baminisita ba Buganda n’Abakungu ab’enjawulo. https://gambuuze.ug/2021/03/09/katikkiro-mayiga-akunze-abavubuka-okudda-mu-kyalo-balime/ +politics Ab’e Kyotera balaajanidde Kyagulanyi abayambe ku bantu baabwe abaawambibwa Buddu – Kyotera Ab’enganda z’abantu abaawambibwa ebitongole bye by’okwerinda ku kyalo Kisamula mu ttawuni kkanso y’e Kyotera mu disitulikiti bye buvuddeko, bawanjagidde akulira ekibiina Kya NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu, bannamateeka n’ebitongole ebyenjawulo, okuvaayo bayingire mu nsonga zaabwe basobole okufuna ku buwerero. Munnamateeka Lule n’abamu ku bantu abawambibwako abaabwe Kinajjukirwa nti nga 8/01/2021 abantu 18 okuva ku kyalo Kisamula baawambibwa ab’ebyokwerinda nga babajja mu mayumba gaabwe mu matumbi budde. Ku bano kuliko; Kiwanuka John, Kyambadde Sulait, Lusembo Frank, Ssebugenyi Derrick, Muwonge Vincent Lubega, Luyobya Javira, Nyombi Shafik, Kakinda Andrew, Ngobye Emmanuel, Muwonge Ronald, Mukasa Muhammad, Kyazze Barak, Kawuki Ronald, Kawenja Ivan, Kyakuwa Mahad, Ssegiriinya Emmanuel n’abalala kyokka ng’abeng’anda zaabwe bagamba nti babalanga bwemage. Ab’enganda nga bakulembeddwamu Maria Najjemba, Kyeyune Nasiru Ntakire, Joanita Nakato, Namatovu Asimati n’abalala, bakung’aanidde mu maka g’omu ku baawambibwa Kiwanuka John ne munnamateeka Alexander Lule owa Xander & Co. Advocates abayambako okugoberera ensonga zino ne bategeeza nti kati bakugenda mu kkooti wiiki ejja batwaleyo omusango ogubanja abantu baabwe. Okusinziira ku Lule, mu bitundu ebirala abantu gye baawambibwa bagezaako okuzzaako abamu wamu n’okutegeeza nti be babalina naye e Kyotera tewali kye baali bategedde nga bawandiise amabaluwa wamu n’okutuuka mu makomera ag’enjawulo okuli Kitalya naye abantu baabwe tebalabikako. Lule yategeezezza nti yasoose ku kitebe Kya poliisi e Kyotera era ne bamutegeeza nti tebamanyi bantu bano gye bali n’asaba ab’enganda okubeera n’essuubi ssaako n’okusigala nga bakkakkamu kuba kkooti ejja kulagira abantu bano baleetebwe. Ab’enganda balumirizza nti ensonga ezaakwasa abantu baabwe za byabufuzi era baatwalibwa abantu abaali mu byambalo bya poliisi nga balina emmundu. Bano bagattako nti wadde abakulembeze baabwe naddala omubaka Mpalanyi baagezezaako okubayamba naye embeera mbi mu kadde kano kuba abaatwalibwa be baali babayimirizaawo n’okubanoonyeza eky’okulya. Wano we basinzidde ne basaba Pulezidenti wa NUP Robert Kyagulanyi okuyingira mu nsonga zaabwe kuba bano ekyabakwasa kwali kumuwagira mu kalulu ka 2021. Bano bawanjagidde ababaka ba palamenti, ebitongole bya gavumenti nabuli asobola okubayamba bazuule abantu baabwe. https://gambuuze.ug/2021/03/06/abe-kyotera-balaajanidde-kyagulanyi-abayambe-ku-bantu-baabwe-abaawambibwa/ +politics Minisita Tumwebaze asabye poliisi obutalwanagana naludda luvuganya Kampala Minisita w’ekikula ky’abantu, Frank Tumwebaze, asabye poliisi ekendeeze ku bukuubagano bw’erabikiramu n’oludda oluvuganya gavumenti eyaawakati, nga bagezaako okukwasisa ebiragiro bya Ssennyiga Corona. Tumwebaze agamba nti obukuubagano obubeerawo wakati wa bannabyabufuzi ne poliisi bumaliriza bukoledde ab’oludda oluvuganya nga buli lwe bubaawo abantu babateekako ebirowoozo. Okusinziira ku kakiiko k’ebyokulonda, abeesimbyewo balina okukuba enkung’aana z’abantu batontono abatasukka 70 era nga tebakkirizibwa kuyisa bivvulu mu bitundu gye babeera balaze. Bannabyabufuzi bangi naddala ku ludda oluvuganya balumirizza poliisi okufuuka kyesirikidde ku ba NRM abakuba enkung’aana z’abantu abangi ne basalawo okuyigganya ab’oludda oluvuganya. Bw’abadde ayogera ku bibaddewo nga poliisi egumbulula abawagizi ba Forum for Democratic Change (FDC) ne Patrick Oboi Amuriat, Tumwebaze agambye nti akaseera katuuse poliisi ette ku bigere ku ngeri gy’ekwatamu ensonga. Tumwebaze annyonnyodde nti poliisi esaanye erowooze ku ky’okuleka ab’oludda oluvuganya. “Mu bafudde ensonga enkulu ate nga tebalina kye bali kati abantu batandise okubakwatirwa ekisa, kano kazannyo kaabwe era kibakolera kubanga kibakuumira mu mawulire, mufune engeri endala gye musobola okukolamu emirimu,” Tumwebaze bw’agambye. Bino we bijjidde nga eggulo ku Ssande, Ssaabawandiisi wa NRM, Kasule Lumumba, yatabukidde poliisi olw’okuleka bannakibiina kya NRM abamenya ebiragiro bya Ssennyiga Corona, amaanyi ne bagateeka ku b’oludda oluvuganya bokka. Kati ekirindiddwa kwe kulaba oba nga poliisi eneegondera ebiragiro bino wakati ng’abeesimbyewo ab’enjawulo batandise okutabaala eggwanga nga banoonya obululu. https://gambuuze.ug/2020/11/09/minisita-tumwebaze-asabye-poliisi-obutalwanagana-naludda-luvuganya/ +business Abali omudumu gw’amafuta gyegugenda okuyita bennyamivu lwakulwawo kusasulwa Abatuuze abali mu disitulikiti ekkumi omudumu gw’amafuta gyegugenda okuyita sibasanyufu eri gavumenti n’amakampuni agali ku mulimu guno olw’okulwawo okusasulwa. Nga basinziira munkiiko ez’enjawulo ezategekeddwa ekitongole ekikola ku bya mafuta muggwanga ekya Petroleum Authority of Uganda, abatuuze mu disitulikiti za Buganda musanvu omuli, Rakai, Sembabule, Mubende, Kyankwanzi, Lwengo, Gomba ne Kyotera saako ne ssatu eziri mu Bunyoro, Hoima, Kikuube ne Kakumiro, baategeezeza nti baawerwa dda obutaddamu kukozesa ttaka lyabwe omudumu wegugenda okuyita kyokka ate nga tebawebwa ssente zaabwe kusenguka. “Nali nzimba enyumba yange nebanyimiriza n’okutusakati tewali kigenda mumaaso. Lwaki temutusasula netusenguka,” bwatyo Leokadia Nandawula, omutuuze mu ddisitulkiti ye Gomba bweyategeezeza. Ate ye Lubega Benedicto owe Sembabule yebuuzizza emitendera egyayitibwamu okugereka emiwendo gy’ebintu nga emmwanyi ebigenda okutemebwa okuyisaawo omudumu. “Lwaki omummwanyi omuto togusasula sente zezimu ng’omukulu? Naye eyo teyandibadde nsonga nene nnyo singa n’obusente bwaffe obwo obutono mubutusasula,” Lubega bweyagambye. Bano baawagiddwa abakulembeze baabwe ab’enjawulo. “Mwagala abantu bakoleki, tebakyasobola kulimira mubibanja byabwe oba okubaako ekintu ekirala kyonna kyebakola. Tusaba muleme kulwa munsonga eno kubanga enyigirizza nnyo abantu baffe,” bwatyo Francis Kibuuka Amooti Bazigattirawa, ssentebe wa disitulikiti ye Mubende bweyategeezeza. Yye munne atwala disitulikiti ye Kakumiro Joseph Sentayi Senkusu, yekokkodde ekibba ttaka ekyeyongedde ennyo mukitundu kye oluvanyuma. “Ababbi b’ettaka bakolagana n’abakungu mu minisitule y’ebyettaka okujingirira ebyapa olwo nebalyoka baagala okusengula abantu baffe. Obuzibu bwetulina nti ettaka erisinga obunene mu ssaza lino erya Bugangayizi teririna byapa,” Senkusu bwe yategeezeza. Bugangayizi ne Buyaga, gaali masaza ga Buganda okutuuka mu 1964 oluvanyuma lw’akalulu k’ekikungo akategekebwa gavumenti ya Milton Obote okusalawo negadda e Bunyoro. Newankubadde gadda e Bunyoro, ettaka mu masaza gano g’ombi erisinga obungi bannanyiniryo Baganda wabula nga tebakyabeerayo (Absent landlords). Gavumenti ya Uganda yateekawo ensawo y’okusasula bannanyini ttaka bano emanyiddwa nga Land Fund, wabula n’okutuusa kat, kino tekikolebwanga. Akulira ekitongole ekikola ku by’amafuta muggwanga, Ernest Rubondo yategeezeza nti baluddewo okusasula abantu kubanga omukungu wa gavumenti akola ku ky’okubaalirira abalina okusasulwa abadde akyekennenya alipoota eyakolebwa kwabo abalina okusasulwa. “Omuntu okusasulwa wabaawo emitendera egirina okugobererwa okusobola okwewala enkayana ezaabuli kika. Njagala okukakasa abantu baffe nti ensonga zino zikolwako era mu bwangu ddala abantu bonna baakusasulwa,” Rubondo bweyategeezeza. Omudumu gwa mafuta guno oguweze obuwanvu bwa kilomita 1443, okuva e Hoima mu Bunyoro okutuuka kulubalama lwa Ssemazinga Indian Ocean mukibuga Tanga muggwanga lya Tanzania, gwe gugenda okusinga obuwanvu munsi yonna. https://gambuuze.ug/2019/10/28/abali-omudumu-gwamafuta-gyegugenda-okuyita-bennyamivu-lwakulwawo-kusasulwa/ +politics Ongwen eyali aduumira abayeekera ba Kony asibiddwa emyaka 25 Kkooti y’ensi yonna leero ku Lwokuna esibye eyali omuduumizi w’abayeekera ba Lord’s Resistance Army (LRA), Dominic Ongwen, emyaka 25 ku misango 61 gye yasingisibwa gye buvuddeko omwali emisango gy’okutyoboola eddembe ly’abantu. Omukambwe ono Dominic Ongwen, ow’emyaka 45 eyamanyibwa nga “White Ant” yasingisibwa emisango egy’enjawulo okuli; ettemu, okukaka abakyala omukwano wamu n’okuwamba abakyala n’abakozesa mu bikolwa by’omukwano wakati w’emyaka gye 2000 era ng’ono ne banne baali baduumira Joseph Kony. Abawaabi ba kkooti y’ensi yonna yali asabye Ongwen asibwe emyaka 20 nga bagamba nti ono yakakibwa n’ayingizibwa mu bikolwa bino nga noolwekyo tasaana kusibwa myaka 30 naye leero ono asibiddwa emyaka 25. Oludda oluwawaabirwa lwali lusabye emyaka 10 ku by’okulumba enkambi z’ababuudabuuda mu mambuka g’eggwanga wabula abamu ku bantu Ongwen be yalumya baali basabye kkooti eno emusibe bulamu bwe bwonna. Ongwen yategeeza kkooti eno nti aba LRA baamukaka okulya ebijanjaalo ebinyikiddwa mu musaayi gw’abantu be yali alagiddwa okutta okusobola okumuyingiza ku kibinja kyabwe era mu kaseera kano yalina emyaka 9 gyokka. Kinajjukirwa nti ekibinja ky’abayeekera bano kyatandikibwawo emyaka 30 egiyise era kyatandikibwa eyali yeeyita Nnabi Joseph Kony eyatandika okutirimbula abantu ng’alwanyisa obukulembeze bwa Pulezidenti Museveni. Ono ekibinja kye kyali kitambulirira ku biragiro 10 ebya Bayibuli era olutalo olwaliyo lwaleka abantu emitwalo 10 nga bafudde ate abaana emitwalo 6 nga bawambiddwa. Bano beeyongerayo mu Sudan, Congo ne Central African Republic. Bwe baali bawa ensala yaabwe mu February, abalamuzi baalaga nti ebyazuulibwa byalaga nti Ongwen yalagira abayeekera be yali aduumira okutirimbula abantu abasoba mu 130 ku byalo okuli; Lukodi, Pajule, Odek, n’enkambi ya Abok wakati wa 2002 ne 2005. Bano baggalira abantu mu mayumba gaabwe ne babakumako omuliro ate abakyala ne balagirwa okwetikka omunyago gwa LRA ne babalesaawo abaana baabwe. Ongwen ye muyeekera omukulu owa LRA asoose okuvunaanibwa kkooti y’ensi yonna ne gumusinga. Eyakuliddemu okudda oluwaabi Colin Black agamba nti olw’okuba Ongwen yakakibwa ng’omwana okuyingira mu buyeekera, tekimwejjeereza misango gya kulinnyirira ddembe ly’abantu era abadde alina okuweebwa ekibonerezo ekigwanidde. Ongwen yeewaayo mu kino gy’abajaasi ba Amerika abali banoonya mukama we, Joseph Kony mu ggwanga lya Central African Republic mu mwaka gwa 2015 era bw’atyo n’atwalibwa mu kkooti y’ensi yonna okuvunaanibwa. https://gambuuze.ug/2021/05/06/ongwen-eyali-aduumira-abayeekera-ba-kony-asibiddwa-emyaka-25/ +health Katikkiro Charles Peter Mayiga asisinkanye aba Rotary Uganda Katikkiro Charles Peter Mayiga asisinkanye abakungu okuva mu Rotary Uganda ne Centenary Bank okukuunga abantu okudduka emisinde gya kookolo Katikkiro wa Buganda nga ali wamu n’abakungu okuva mu Rotary Uganda ne Centenary Bank ku Bulange e Mengo Katikkiro yakubiriza banna Uganda bonna okwenyigira mu nteekateeka z’eby’obulamu eziba zireeteddwa okutumbula obulamu, yakubirizza abantu bonna okujjumbira emisinde gino era yasabye n’abo abalina obusobozi awamu n’ebitongole okwongera okuwaayo okuduukirira ensonga eno ey’okulwanyisa ekirwadde kya Cancer. Katikkiro yasiimye ba memba ba palamenti abavaayo nebawayo sente akakadde kamu kamu buli omu mu nteekateeka eno. Katikkiro yayongedde okwebaza aba Rotary Uganda olw’okubeera aberufu okuba nga sente eziva mu misinde gino bazikolamu ekyo ekiba kitegekeddwa okukolebwa omwaka ogwo. Era Katikkiro yebaziza nnyo aba Rotary Uganda olw’omutima omulungi ogulumirirwa era omwagazi ogufaayo eri abantu. Era yabebaziza okutambulira ku mulembe omugya okuba nga bayiiya, banyikivu, berufu ate nga bakozesa okwagala era n’obutagwamu maanyi kubanga ensonga eno bagitambuza emyaka kati giweze nga badduukirira abalwadde ba Cancer. Emisinde gy’omwaka guno gya kuberawo nga 25 omwezi guno wali e Kololo ku Independence Grounds era gya mulundi gwa munaana. Emisinde gy’omwaka guno gyagulwaawo sipika wa Uganda omukyala Rebecca Kadaga wali ku ddwaliro e Nsambya. Ku mulundi guno sente ezinaava mu misinde gino za kuzimba ekyuma ekijanjaba cancer ekimanyiddwa nga “BUNKER” ku ddwaliro e Nsambya. We always hear that drugs or money has been stolen but with#Rotaryall money is used for the right purpose and for that I love Rotary for being transparent — you give us reason to participate in the run every year ~ https://gambuuze.ug/2019/08/21/katikkiro-charles-peter-mayiga-asisinkanye-aba-rotary-uganda/ +politics Luuluno olukalala lwa Bobi Wine olulaga abawambibwa, bali 423 Kampala Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity Platform (NUP), Robert Kyagulanyi Ssentamu, aka Bobi Wine afulumizza olukalala lw’abantu 423 people, bagamba nti baawambibwa ab’ebyokwerinda okuva mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo. Eggulo, Minisita w’ensonga ez’omunda mu ggwanga Jeje Odongo yalaze olukalala lwa bantu 177 bagamba nti bakwatibwa ab’ebyokwerinda kyokka Kyagulanyi agamba nti ku lukalala lw’alina abali ku lwa Minisita bali 89 bokka. Bino Kyagulanyi abiyisizza ku mikutu gye egy’omutimbagano n’alaga okunyolwa olw’ebyo ebigenda mu maaso. “Tukakasizza abawagizi baffe 423 bawambibwa era tebalabikako kyokka Gen. Jeje Odongo ku bayogedde kuliko 89 bokka! Gen. Museveni alina okukomyawo abantu baffe. Olukalala lwaffe era lulaga abantu abakomezeddwawo n’ebisago ebyamanyi awamu nabo abattiddwa.” Kyagulanyi bw’agambye. Guno gwa mulundi gwakubiri nga Kyagulanyi eyavuganya Museveni mu kalulu ka 2021 avaayo n’olukalala lw’abantu abazze bawambibwa. Omwezi oguwedde yalaga nti abawagizi be 243 baawambibwa era n’ategeeza nti ate abalala 3000 baali baakuzuula wa we bali nabo nga kyali kirowoozebwa nti baawambiddwa. Bo ababaka ba Palamenti ku Lwokuna baategeezezza nti tebabadde bamativu n’olukalala olwafulumiziddwa gavumenti. Ababaka bagamba nti abantu bangi abaawambibwa omwala oguwedde tebateekeddwa ku lukalala luno. “Ngoberedde olukalala lwa Minisita naye teluweza wadde ekimu eky’ekkumi ku lukalala nze lwe nina. Twetaaga okumanya abantu bano gye bali.” Omubaka Mpuuga bwe yategeezezza n’alaga nti olukalala lw’alina lulaga abantu 423 abatalabikako. Ababaka basabye obukakafu okuva mu gavumenti oba ebikolwa ekika kino byakwongera okulabibwako wabula ku nsonga eno, Minisita Jeje Odongo yagambye nti singa munnayuganda azza omusango amateeka gakkiriza ab’ebyokwerinda okumukwata. https://gambuuze.ug/2021/03/05/luuluno-olukalala-lwa-bobi-wine-olulaga-abawambibwa-bali-423/ +politics Kkooti ekkiriza okulonda kwa NRM okwa CEC kugende mu maaso Pulezidenti Museveni ne bannakibiina ki NRM Kampala Kkooti enkulu mu Kampala egobye okusaba kwa Munna NRM Moses Banalekaki, eyali yasaba kkooti okuyimiriza okulonda kwa NRM mwebanoonyeza abanatuula ku kakiiko ak’okuntiko (CEC). “Kkooti eno tematidde nampaba esaba kkooti okuyimirizza okulonda kwa NRM okwa CECE era bwekutyo kugobeddwa,” Omulamuzi Emmanuel Baguma bweyategeezezza leero ku Mmande Kinajjjukirwa nti Banalekaki yaddukira amu kkooti nga awakanya eky’ebifo ebimu naddala ebya ’Special Interest Groups’ okugaanibwa okusunsulwa nasaba kkooti eyimirize okulonda kuno. Ekibiina ki NRM kitegese okulonda abamu ku bakulu ku kakiiko ak’okuntiko (CEC) enkya nga 18/08/2020 . Ebifo ebigenda okulondebwamu abantu kuliko Ssentebe w’ekibiina mu ggwanga lyonna, Omumyuka we asooka n’owookubiri n’abamyuka abalala okuva mu North, East, West, Central, Kampala ne Karamoja. Banelakaki yategeezza kkooti nti abeesimbyewo ku bifo ebyo waggulu be bokka abasunsulwa, ebirala omuli eky’abavubuka nga kyayagala nebirekebwa ebbali awatali kuwa nsonga yonna. Ono yasaba kkooti eyise ekiragiro ekiyimirizza okulonda kuno okutuuka nga omusango gwe guwul ekintu kkooti kyegaanye. Ekibiina ki NRM kyateegezezza nga okulonda okwategekeddwa bwekuli okwa bantu bokka abalondebwa obutereevu okutuula ku CEC era nga omuwaabi ku bino talina kyeyasaba kwesimbako. https://gambuuze.ug/2020/08/17/kkooti-ekkiriza-okulonda-kwa-nrm-okwa-cec-kugende-mu-maaso/ +politics Bobi Wine asunsuddwa, alinze kwewandiisa Ssabbiiti ejja Kampala Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity Platform, Robert Kyagulanyi Ssentamu, asemberedde okulabikira ku kakonge ka banaavuganya ku bwapulezidenti bw’eggwanga mu kalulu ka bonna aka 2021. Kino kiddiridde erinnya lye okulabikira ku lukalala lw’abantu abasunsuddwa olunaku lwaleero ku Lwokusatu. Okusinziira ku kiwandiiko kino ekifulumiziddwa omwogezi w’akakiiko k’ebyokulonda,Paul Bukenya, beekennenyezza emikono gya Kyagulanyi n’abalala 10 gye baawaayo nebakizuula nga tegiriimu nsobi era bwe batyo ne bakakasibwa. Bobi Wine kati yeegasse ku balala abaasooka okukakasibwa okwesimbawo ku bukulembeze bw’eggwanga nga ku bano kuliko; Munna NRM Yoweri Museveni, Henry Tumukunde, Nancy Linda Nakalembe ne Fred Mwesigye nga bano tebalina kibiina. Abalala ye Willy Mayambala, Joseph Kabuleta, John Kalumba ne munna FDC Patrick Obi Amuriat. Bano bonna baweereddwa ssatifikeeti eziraga nti baafuna emikono egyali gyetaagibwa mu mateeka nga gino gye bajja okuwa omuwandiisi w’akakiiko k’ebyokulonda bwe banaaba beewandiisa Ssabbiiti ejja. Etteeka erirambika abeesimbawo ku bwapulezidenti erya ‘Presidential Elections Act,’ liragira omuntu yenna eyeewandiisa okusooka okukung’aanya emikono egimusemba gy’abantu 100 abalonzi okuva mu Disitulikiti 98. Eby’okusunsulwa kwa Bobi Wine, bisanze akakiiko k’ebyokulonda kaakamala okufulumya ebiragiro eri abeesimbyewo ku bwapulezidenti obutagenda mu kifo we balina kwewandiisiza n’abantu basukka 10 ng’omu ku kaweefube w’okulwanyisa ekirwadde kya Ssennyiga Corona. Okuggumiza kino, Poliisi erabudde okukwata omuntu yenna anaagezaako okuyisa ebivvulu ng’ava okwewandiisa bamuvunaane. https://gambuuze.ug/2020/10/28/bobi-wine-asunsuddwa-alinze-kwewandiisa-ssabbiiti-ejja/ +sports Njagala gavumenti efunire eky’okukola – Ssekitoleko alaajanye Munnabyamizannyo omusituzi w’obuzito eyali abulidde mu Japan, Julius Ssekitoleko, alaajanidde gavumenti emuyambeko afune eky’okukola asobole okuyimirizaawo famire ye. Okusaba kuno Ssekitoleko yakukoze ggulo ku Lwokusatu oluvannyuma lw’okuyimbulwa ku kakalu ka poliisi okuva ku kitebe kya bambega e Kibuli gye yabadde aggaliddwa olw’okugezaako okubulira mu ggwanga lya Japan gye yabadde agenze okwetaba mu mpaka z’ensi yonna eza Olympics. Ono agamba nti wadde ajja kusigala ng’asitula obuzito naye era yeetaaga omulimu omulala ogusobola okumubeezaawo era n’asaba abalina kye basobola okukolawo bamuyambe. “Njagala gavumenti ennyambe okufuna omulimu gwe nsobola okukola nga bwetendekebwa okusitula obuzito.” Ssekitoleko bwe yagambye. Kyategeerekese nti mukyala wa Ssekitoleko yagobebwa mu nnyumba nga bba ali Japan, era kati Ssekitoleko ne mukyala we tebalina we basobola kuddukira, okuggyako okugenda ewa maama we. Ku nsonga lwaki yabulira e Japana, Ssekitoleko agamba nti embeera yamutabukako oluvannyuma lw’okutuuka e Japan n’ategeezebwa nti tagenda kuzannya mu mpaka zino era kwe kusalawo okubula ng’awulira ekirooto kye kikomye. Munnamateeka wa Ssekitoleko, Phillip Munaabo, yagambye nti omuntu we baamuvunaanye okwekobaana ne bakola obufere era okunoonyereza ku kyagenda mu maaso. https://gambuuze.ug/2021/07/29/njagala-gavumenti-efunire-ekyokukola-ssekitoleko-alaajanye/ +politics MunnaNRM Kisekka yeegasse ku NUP Bya Kintu Noah ne Stephen Kulubasi Mawogola Munnakibiina kya NRM, Salim Kisekka, eyeesimbyewo okukiikirira essaza lya Mawogola North mu Palamenti y’eggwanga akawang’amudde bw’akoze omukolo n’ayita abawagizi be n’abategeeza nga bw’ayabulidde ekibiina ky’aludde ng’akolerera. Abawagizi be era yabasabye bamugoberere mu NUP gy’alaze, bawagire Kyagulanyi Ssentamu eyeesimbyewo ku kkaadi y’ekibiina ekyo. Kisekka n’abamu ku bawagizi be Ono nga yeesimbyewo ku bwannamunigina oluvannyuma lwa NRM okulemererwa okuwa omuntu yenna kkaadi y’okwesimbawo, bwe yali agivuganyaako ne Sodo Kaguta muganda w’omukulembeze w’eggwanga wamu ne Shatsi Kuteesa muwala wa minisita Sam Kuteesa, yalaze obwennyamivu nti ekibiina kyayolesa obusosoze ababiri abo bwe baaweebwa ensimbi za Uganda emitwalo ana buli mu bakube kakuyege kyokka ye ne batamuwa wadde omunwe gw’ennusu. Kisekka era yategeezezza nti Pulezidenti Museveni ne Minisita Sam Kuteesa balina omululu gw’obukulembeze era mbu tebaagaliza muntu yenna kukulembera ggwanga okuggyako bo n’abenganda zaabwe. Omukolo guno ogwategekeddwa ku kyalo Kawanga mu ggombolola y’e Mabiba, gwetabiddwamu ne musawo Kasozi amanyiddwa nga munna NRM lukulwe era nga naye yategeezezza nga bw’asaze eddiiro ne yeegatta ku Kyagulanyi wamu n’abalala 50. Ono yavumiridde nnyo ekola y’okulonda abakulembeze mu nkola ey’okusimba mu mugongo. Kinajjukirwa nti entalo z’ebyebyobufuzi e Ssembabule zeeyoleka nnyo mu kamyufu ka NRM, ekyawaliriza n’akakiiko k’ekibiina akalondesa okwongezaayo okulonda. Kino era kyawaliriza n’omukulembeze w’ekibiina, Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni, okubissaamu engatto n’agendayo babigonjoole wabula naye n’alemererwa okukakkana ng’ekibiina tekisimbyewo muntu. Oluvannyuma abasatu bonna abaali bayaayaanira kkaadi y’ekibiina beesimbawo ku bwannamunigina. https://gambuuze.ug/2021/01/04/munnanrm-kisekka-yeegasse-ku-nup/ +business Abakulira Masaka baweze okugula n’okutunda poloti ezitawera 50 ku 100 Masaka Abakulira okuteekerateekera ekibuga Masaka baweze mbagirawo okugula n’okutunda obupoloti obutono mu kibuga Masaka kino kiyambe okukiteekerateekera obulungi. Ekimu ku bitundu by’ekibuga Masaka Omuteesiteesi omukulu ow’ekibuga kino, Martin Kigozi ategeezezza nti okuva Masaka lwe yafuulibwa ekibuga, babulooka b’ettaka bagufuddeomugano era nga bano basuubula ettaka nebalisalasalamu obupoloti obutono obuli wansi wa 50 ku 100 okwenogera ku nsimbi. “Poloti 20 ku 30 gy’oguze mpozzi ng’ogenda kugisimbamu bimuli naye tetugenda kukkiriza kugizimbamu, tetujja kukkiriza kugiteekamu kintu kyonna kaabe Lubaale kaabe Katonda,” bw’atyo Kigozi bw’agambye. Kigozi abaagala okugula ettaka mu Masaka abasabye okwewala babulooka kuba bo baagala kimu ssente naye beebuuze ku baddukanya ekibuga. Etteeka erirung’amya okuteekerateekera ebibuga erya ‘Physical Planning Act-2010’ nga lino lyakoleddwamu ennoongosereza mu 2020 liwa abakulira ebibuga obuyinza okulaba nga bikula era nga bikulaakulana mu ngeri eteekeddwateeddwa obulungi. Ono annyonnyodde nti babulooka b’onoonye enteekateeka y’ekibuga kino nga bateekawo obuguudo obutono obutuuka ku bupoloti buno bwe basala,ekintu ekimenya amateeka. Kigozi alabudde abagula obupoloti buno beewale okubugula kubanga bajja kwesanga nga baguze obupoloti mu bifo ebirina okuteekebwamu amakolero ate bafiirwe ssente zaabwe. Okusinziira ku Kigozi mu kiseera kino bali mu kusomesa bantu omugaso gw’okufuna pulaani wamu n’okubeera n’ekibuga ekiteekeddwateekeddwa obulungi n’alabula nti mu maaso awo bajja kukozesa ku mukono ogw’ekyuma. Ono annyonnyodde nti kino kikotoggera enteekateeka zaabwe wamu n’enfaanana y’ekibuga kino. Kinajjukirwa nti Masaka kye kimu ku bibuga ebiggya ebyatongozebwa gavumenti ng’ebirala kuliko; Arua, Mbarara, Gulu, Jinja, Mbale, Fortportal awamu n’ebirala. https://gambuuze.ug/2020/10/23/abakulira-masaka-baweze-okugula-nokutunda-poloti-ezitawera-50-ku-100/ +health Ab’e Mbale basattira oluvanyuma Lw’okufa kwateeberezbwa okuba ne Covid-19 Ambulance eyasiindikiddwa okunona Omulambo gwateeberezebwa okufa Kolona Abatuuze b’omukibuga Mbale bali kubunkenke oluvannyumwa lw’omuntu ateeberezebwa okuba n’ekirwadde kya Covid-19 okufiira mu ddwaliro lya Joyce Hospice. Ono yaggyibwa mu ggombolola y’e Mabyale mu disitulikiti y’e Namisindwa. Kigambibwa nti omugenzi abadde akola ng’omulongoosi mu limu ku malwaliro ga Joyce Hospice e Namisindwa, yalwala sabbiiti emu emabage are obulwadde bwebwanyiikira naatwalibwa e Mbale. Omu kubatuukirwako ensonga za COVID-19 mu Mbale, Edward Nyogensa yagambye nti omugenzi yabadde n’obumu ku bubonero bwa Covid-19 ng’okuba n’ekifuba ekikalu, ssenyiga wamu n’omusujja. Nyogensa yategeezezza nti ono waggyiddwako sampolo ezaatwaliddwa okwekebejjebwa. “Ab’ebyobulamu bagenzi mu ddwaliro omugenzi gyafiiridde okulaba nti bazuulira ddala kiki ekyamusse,” Nyongensa bweyategeezezza. Yagasseeko nti bagezaako kukwatagana n’abatwala eby’obulamu e Namisindwa okuzuula buli muntu yenna eyakwataganako n’omugenzi. Owoosomera bino ng’eddwaliro lya Joyce Hospice terikirizibwamu bantu nga n’abalwadde wamu n’abasawo abasangiddwawo baagaaniddwa okufuluma. https://gambuuze.ug/2020/07/22/abe-mbale-basattira-oluvanyuma-lwokufa-kwateeberezbwa-okuba-ne-covid-19/ +politics Owek. Mpuuga akunze ababaka ba Opozisoni okuyimusa omutindo Kampala Akulira oludda oluvuganya mu Palamenti omuggya, Owek. Mathias Mpuuga Nsamba, alaze okutya ku mutindo gw’ababaka b’oludda oluvuganya abagenda okuteesa mu Palamenti y’e 11. Mpuuga bino abyogedde enkya ya leero ku Mmande n’ategeeza nti wadde nga Opozisoni omuwendo gwabwe mutono naye ky’asinze okutya gwe mutindo n’engeri ababaka abalonde gye bagenda okubaganyaamu ebirowoozo. “Eky’omuwendo gw’ababaka ba Opozisoni sikitidde naye okutya kwange kuli ku mutindo gwa kukubaganya birowoozo ababaka gwe bagenda okwolesa. Kyesaba be babaka ku ludda oluvuganya okuyimusa omutindo, kino kisobola okutugulira obuwagizi ne tufuna abatwegattako.” Mpuuga bw’agambye. Owek. Mpuuga ategeezezza nti balina ekkatala nga Opozisoni okukuba ttooci mu biteeso byonna ebireetebwa mu Palamenti tulabe nga bannayuganda bafunamu. Ono asabye ab’oludda oluvuganya okwegattira awamu kibasobozese okutuukiriza ebyabatumwa bannayuganda. “Bwe tubeera obumu ng’oludda oluvuganya, kimanyi bulungi tusobola bulungi okulwanyisa gavumenti eno egezaako okulemesa enkola y’ebibiina by’obufuzi ebingi.” Mpuuga bw’annyonnyodde. Agasseeko nti okusobola okuwangula gavumenti eno, ab’oludda oluvuganya balina okukomya okwemanya eryanyi batandike okukolera awamu. “Nga NUP, tetunoonya bayima naye twagala abantu be tusobola okukolagana nabo mu lugendo luno.” Mpuuga bw’akkaatirizza. Okusaba kwa Mpuuga kujjidde mu kiseera nga ab’oludda oluvuganya naddala aba Forum for Democratic Change balumiriza ekibiina kya NUP okubalyamu olukwe mu kulonda kwa Sipiika wa Palamenti okwakaggwa. FDC egamba nti bannakibiina kya NUP baaguliriddwa aba NRM era okukkakkana nga be balonze. Ku kino Ssemujju Nganda ng’ono yavuganyizza ku kifo kya Sipiika agamba nti okusinziira ng’ebintu bwe bitabula olunaku lumu aba NUP bajja kwesanga bawagidde Museveni ku bwapulezidenti nga bagezaako okunyiiza aba FDC. https://gambuuze.ug/2021/05/31/owek-mpuuga-akunze-ababaka-ba-opozisoni-okuyimusa-omutindo/ +health Obwakabaka bwakutta omukago ne Minisitule y’ebyobulamu mu Gavumenti ya wakati. Mu lukungaana olw’enteeseganya olutudde ku Bulange wakati w’obwakabaka n’abakungu okuva mu minisitule y’ebyobulamu mu Gavumenti ya wakati nga bakulembeddwamu Dr. Diana Atwine, Katikkiro Charles Peter Mayiga agambye nti abantu beetaaga okufuna obubaka obukwata ku nsonga zebyobulamu, ate era twagala abantu babeere balamu, kitwetaagaisa okukolagana ne minisitule y’ebyobulamu abantu baffe babeere balamu basobole okukola okuzza Buganda ku ntikko. Obuyonjo mu maka nga mulimu kaabuyonjo, okunaaba mu ngalo, okunywa amazzi amafumbe, okuyonja emibiri gyabwe, okuyonja amaka mwetusula era n’ebyetoloddewo byebimu kubirina okukolebwa okwewala eddwande eziva ku bujama. Kaweefube w’okugema abaana atandika mwezi gujja mu bitundu bya Uganda eby’enjawulo. Katikkiro ategeezezza nti bagenda kukola endagaano erimu endwadde ezigenda okukwatibwako ng’omu ku kaweefube w’okukyuusa embeera y’ebyobulamu mu Bantu. Era abakugu okuva mu minisitule y’ebyobulamu mu gavumenti ya wakati bategezeza nti ekirwadde ekitandiise okwerisa enkuuli ensangi zino ekimanyiddwa nga “rubella” kino kirinnyo mu abaana abato abazaalibwa, abaana bazaalibwa nga tebawulira ate abalala nga tebalaba. https://gambuuze.ug/2019/08/09/obwakabaka-bwakutta-omukago-ne-minisitule-yebyobulamu-mu-gavumenti-ya-wakati/ +health Buganda esse omukago n’aba AIDS Commission okulwanyisa Mukenenya Obwakabaka busse omukago ne Uganda okulwanyisa Mukenenya mu Buganda awamu n’okwongera okumanyisa abantu ba Beene ku kirwadde kino. Omukolo gw’okuteeka emikono ku ndagaano gubadde mu Bulange-Mmengo nga Minisita w’ebyobulamu mu Buganda, Owek. Dr. Prosperous Nankindu Kavuma y’ataddeko omukono ku lw’Obwakabaka ate Enid Wamani n’assaako ku lwa Uganda AIDS Commission. Bw’abadde ayogerera ku mukolo guno, Kamalabyonna Charles Peter Mayiga ategeezezza nti ekisinga obukulu mu lutalo lw’okulwanyisa Mukenenya, kwe kubeera n’amawulire amatuufu n’awa eky’okulabirako nti wadde eddagala erinafuya akawuka kano gyeriri ate nga lya bwereere, naye abantu abasinga mu byalo tebakimanyi. “Twetaaga amawulire amatuufu abalina akawuka baleme kulowooza nti ebyabwe bikomye kuba okukwatibwa Mukenenya si y’enkomerero y’ensi. Tulabye abantu abakwatibwa Mukenenya naye ne bawangaala nnyo n’okusinga abantu abalala.” Katikkiro Mayiga bw’annyonnyodde. Ono agamba nti singa ebintu abalina akawuka babiraba mu butuufu bwabyo nga basinziira ku mawulire amatuufu era ne beewala okweraliikirira n’okuyongobera, baba basobola bulungi okutwala obulamu bwabwe mu maaso nga bamanya emmere esaanidde okuliibwa kuba omubiri kye ky’okulwanyisa ekikulu omuntu ky’aba nakyo ng’azuuliddwamu ekirwadde kyonna. Mukuumaddamula Mayiga ategeezezza nti ensi esaanye okumanya nti okusonga ennwe mu balina ekirwadde kino kya bulabe, kuba abakikola tebalina kye bafunamu. Bw’atyo n’awera nti nga Buganda bajja kubunyisa amawulire amatuufu ku Mukenenya nga beeyambise ennono za Buganda nga bassenga ne bakojja nga batuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe. Ono asabye abantu okusoosowaza ebyobulamu era bafeeyo ku maka gaabwe, kibayambe okulwanyisa ekirwadde kino n’okwekuuma. Ate ye Minisita Nankindu Kavuma annyonnyodde nga Minisitule gy’akulembera bw’egenda okwongera amaanyi mu lutalo lw’okulwanyisa Mukenenya era ng’akakasa nti endagaano eno ejjidde mu kaseera katuufu. Ataddeko omukono ku lwa Uganda Aids Commission, Enid Wamani ategeezezza nti Ssaabasajja Kabaka yasiima okukulemberamu olutabaalo ku kirwadde kya Mukenenya mu baami, nga babadde balina okujja okwebaza Nnyinimu wamu n’okwongera okumusaba ayongere okukunga abantu be balwanyisa ekirwadde kino. Okusinziira ku Wamani, ekirwadde kya Mukenenya kikyali waggulu nga mu ggwanga kisinga mu disitulikiti y’e Kalangala kuba eno buli bantu 100, abantu 18 balina ekirwadde kino. Ebitundu ebirala nga Rakai, Masaka ne Kalungu, nayo ekirwadde kino kingi bw’ogeraageranya n’ebitundu ebirala. Wamani yeebazizza Obwakabaka olw’omukago guno era n’ategeeza nti nga Uganda Aids Commission, bakkirizza nti bajja kusobola okuwangula ekirwadde kino nga bakolaganidde wamu n’Obwakabaka. https://gambuuze.ug/2021/10/05/buganda-esse-omukago-naba-aids-commission-okulwanyisa-mukenenya/ +health Omuk. Ndagala asabye gavumenti esomese bannansi ku kugaba omusaayi Ssenkulu w’ekitongole ki Kabaka Foundation, Omuk. Edward Kaggwa Ndagala asabye gavumenti okwongera amaanyi mukubangula abantu ku bwetaavu bw’okugaba omusaayi okusobola okumalirawo ddala ebbula lyagwo. Okusaba kuno Omuk. Ndagala akukoledde mu ggombolola ye Lwabyata ne Mutuba III Lwampanga mu ssaza lye Buluuli bw’abadde mu nteekateeka y’okugaba omusaayi. Omuk. Ndagala agamba nti singa bannansi bamanya ebirungi ebiri mu kugaba omusaayi era nebakimanya nti guno tegulina kkolero tewali nsonga eyinza kulemesa bantu kuguwaayo kuba buli omu asobola okubaako wagwetaagira. Ono asabye abantu ba Kabaka okwongera okujjumbira enteekateeka eno basobole okuyambako abali mu bwetaavu bw’omusaayi naddala abakyala abazaala awamu n’abantu ababeera bagudde ku bubenje. Omwami wa Kabaka atwala egombolola ya Ssabagabo Lwabyata, Tebajjukira Ibrahim asabye abantu okujjumbira enteekateeka y’okugaba omusaayi era neyeyanza nnyo Ssabasajja Kabaka olwenteekateeka eno n’ okutumbula embeera z’abantu be. Enteekateeka eno ewagirwa aba Uganda Blood Transfusion Services, Nakasero Blood Bank ne Red Cross nga ekomekerezebwa ku Lwakutaano luno mukitundu kino. https://gambuuze.ug/2022/12/13/omuk-ndagala-asabye-gavumenti-esomese-bannansi-ku-kugaba-omusaayi/ +politics Allan Ssewanyana ne Ssegiriinya baziddwayo ku alimanda e Kigo Omulamuzi wa kkooti enkulu ewozesa bakalintalo n’abatujju e Kololo, Elizabeth Alividza asindise ababaka Muhammad Ssegiriinya owa Kawempe North ne Allan Ssewanyana owa Makindye West ku alimanda mu kkomera e Kigo okutuuka nga September 1, 2022 lwebanakomawo mu kkooti eno. Omulamuzi Alividza asoose kuwulira musango guno era wano omuwaabi wa gavumenti, Agunzu Olino ategeezezza kkooti nga bwebamaze okukung’aanya obujulizi bw’ abantu 19 okuwa obujulizi ku babaka bano n’abantu abalala 5 ku ttemu eryali e Masaka. Okusinziira ku Olino ategese abajulizi abawerera ddala 19 okusobola okulumiriza Ssegiriinya ne banne wabula nasaba kkooti ekkirize abajulizi bano baweebwe obukuumi obumala basobole okuwa obulijizi buno awatali kutya nsonga yonna. Ono era ayagala kkooti ekkirize ebikwata ku bajulizi bano 19 bisigale nga byakyama olw’ebyokwerinda byabwe nga kino omulamuzi asuubizza okukitunulamu. Bo bannamateeka ba Ssegiriinya okubadde omubaka Shamim Malende basabye omulamuzi wa Kkooti etunule mu ky’okuwa abantu baabwe okweyimirirwa kubanga bazze bakusaba emirundi mingi nga bagaanibwa. Ate abawagizi b’ ekibiina ki NUP babaka bano mwebava bagamba nti Kano kafuuse kazannyo era n’omuwaabi wa gavumenti akimanyi nti abavunaanwa tebalina musango nebasaba bano baddizibwe eddembe lyabwe. https://gambuuze.ug/2022/08/11/allan-ssewanyana-ne-ssegiriinya-baziddwayo-ku-alimanda-e-kigo/ +politics Mao bw’aba agaanye okuteesa mu mutwale mu kkooti – Dr Kawanga Ssemwogerere Eyaliko Ssenkaggale w’ekibiina ki Democratic Party DP, Dr. Paul Kawanga Ssemwogerere awabudde bannakibiina abalemeddwa okutuuka ku kukkaanya ne Ssenkaggale aliko Nobert Mao bagende mu kkooti esalewo eggoye ku nsonga ezibaluma. Dr Kawanga era ategeezezza nti ensonga eziri mu DP ziriko azikumamu omuliro nga alabika alina ekkobaane okulaba nti ekibiina kino kisaanawo. Bino webijjidde nga DP ewezezza emyezi 2 miramba nga eyingidde mu ndagaano nekibiina ki NRM okusobola okutambulira awamu era nabamu ku bakulu baayo okuli Nobert Mao ne Ssaabawandiisi Gerald Siranda baweebwa ebifo wansi w’omukago guno. Kino kyatabula bannakibiina nga abamu bagamba nti Pulezidenti Museveni ayise mu Mao okusobola okusanyaawo ekibiina kyabwe ekimaze emyaka nebisiibo. Ssemogerere agamba nti wadde okuteesa kwekusaana okusooka okulowozebwako, ebirumira mu bukulembeze bw’ekibiina bikyali bingi nga n’endagaano eyogerwako mpawo amanyi bituufu bigirimu. DP emaze ekiseera ng’eri mu ntalo z’obukulembeze bw’ekibiina era waliwo okutya nti singa endagaano eyogerwako essibwa mu nkola yandikonzibya ekibiina ekisusse naddala mu kitundu kya Buganda gyesibuka. Ye munnamateeka wa DP, Richard Lumu agamba nti ebize bikolebwa biri bweru wa mateeka nga kibiina era mu kiseera ekituufu byakusabululwa. Lumu annyonnyodde nti kyekiseera ebibiina okugatta amanyi okulwanyisa enkola enafuya ekibiina kubanga kikoze kinene okulwanirira enfuga y’ amateeka ne Demokulaasiya mu ggwanga. Wabula Pulezidenti wa DP era Minisita wa Ssemateeka Norbert Mao bano yabategeeza nti endagaano eno yagendereddwamu kusitula kibiina kya DP kisobola okutandika okweteekerateekera okukwata obuyinza. https://gambuuze.ug/2022/10/11/mao-bwaba-agaanye-okuteesa-mu-mutwale-mu-kkooti-dr-kawanga-ssemwogerere/ +business Abavuzi ba takisi e Mukono bawakanyizza eky’okubagoba ku nguudo Abavuzi ba takisi e Mukono bawakanyizza ekiragiro ky’abakulira ekibuga ky’e Mukono okuwera okutikkira abantu ku nguudo. Ku Bbalaza abakulira ekibuga baagamba nti okutikkira ku nguudo kyekimu kubireeta akalippagano k’ebidduka. Ezimu ku nguudo abakulu ze baagala abantu baveeko kuliko amasanganzira ga Mukono-Jinja-Katosi n’aga Mukono-Bugerere. Abakulu baagala takisi zonna zidde mu paaka wamu n’akabuga ke Seeta mu ggombolola y’e Ggoma. Akulira abakozi e Mukono, Richard Monday yagambye nti bakooye akavuyo akaleetebwa aba takisi wamu n’okuvugisa ekimama. Kyokka abavuzi ba takisi bagamba nti sibeetegefu kugondera kiragiro kino kubanga abasaabaze tebaagala kugenda mu paaka. John Baptist Ndawula, akolera ku siteegi ya Katosi yagambye abakulembeze mu Mukono bebaviirako obuvuyo buno nga beeyingiza mu ntambuza y’emirimu. “Sikituufu nti okubeera ku nguudo kuviirako obubenje, ate ne ppaaka ntono kale bwetunaava wano abakungu mu kibuga bajja kukkiriza abantu abalala,” Ndawula bweyagambye. Elisa Ssewanyana akolera ku siteegi y’e Bugerere yagambye nti abasaabaza babeera ku budde n’olwekyo tebasobola kugenda mu ppaaka kubanga kitwala obudde bungi. Kyokka akulira ekibuga yagambye beetegefu okussa ekiragiro kyabwe mu nkola era nga wiiki ejja, oyo yenna anaasangibwa nga akolera ku luguudo wakukwatibwa. https://gambuuze.ug/2020/02/19/abavuzi-ba-takisi-e-mukono-bawakanyizza-ekyokubagoba-ku-nguudo/ +politics Dr. Kawanga Ssemogerere  abadde wamuwendo eri  Obuganda ne Uganda – Obwakabaka Obwakabaka bwa Buganda bukungubagidde eyaliko Ssenkaggale wa Democratic Party (DP), Dr. Paul Kawanga Ssemogerere nebumwogerako ng’omu ku baana ba Nambi ab’omuwendo era aweereza eddiini ye, ensi ye Buganda ne Uganda. Bino Obwakabaka bubitadde mu kiwandiiko ekyenjawulo ekifulumiziddwa nga kuliko omukono gw’Omumyuka Asooka owa Katikkiro, Owek. Prof. Twaha Kaawaase Kigongo ku Lwokutaano. “Omugenzi kati Dr. Ssemogerere y’omu ku balwanirira ennyo ameefuga ga Uganda so ng’ ate yali mpagi luwaga mu kuzzaawo Obwakabaka. Kinajjukirwa nti mu mwaka 1993, Ssemogerere yeyali Ssentebe ow’okuntiko ow’emikolo gy’Okutuuza Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi ku Nnamulondo e Naggalabi mu Buddo,” Ekiwandiiko bwekityo bwekisomye. Buganda eyogedde ku mugenzi nga azadde abaana nabagunjula era waafiiridde nga abamu baweereza ba Bwakabaka awamu ne Uganda ate ng’era aliko ne bannabyabufuzi abawerako bagunjudde ku mitendera egy’enjawulo. Owek. Kaawaase annyonnyodde nti Dr. Ssemogerere abadde mpagi nkulu mu kibiina kya DP nga yakola nnyo okukitumbula oluvannyuma lw’okutwala obukulembeze nga Ssenkaggale waakyo okuva ku Benedicto Kiwanuka nakikulembera okuva 1980 okutuuka mu 2005. Ono era yeebaziddwa olw’okuweereza gavumenti eya wakati ku bukulembeze obw’enjawulo n’ebifo ebyenjawulo obulungi nga tavudde mu kibiina kye ekya DP. Obwakabaka busaasidde Nnamwandu, abaana naba Famire awamu ne bannabyabufuzi olw’okuviibwako omuzadde, omuntumulamu era munnabyafaayo. Kinajjukirwa nti Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II yasiima n’amuwa ejjinja ery’omuwendo mu 2020 olw’okubeera munnabyabufuzi era omukulembeze omukuukuutivu era omuntumulamu asobodde okukolagana ne bannabyabufuzi ab’endowooza ez’enjawulo era nabalung’amya. https://gambuuze.ug/2022/11/18/dr-kawanga-ssemogerere-abadde-wamuwendo-eri-obuganda-ne-uganda-obwakabaka/ +politics Bagaanye Bobi Wine ne banne okulambula Ssewanyana  e Mulago  gyeyatwalidwa nga ali bubi Akulira ekibiina kya National Unity Platform Robert Kyagulanyi Ssentamu n’abakulu mu kibiina bagaaniddwa okuyingira waadi munna NUP era Omubaka wa Makindye West Allan Ssewanyana gyajjanjabirwa oluvannyuma lw’okuggyibwa mu ddwaliro ly’ ekkomera e Luzira nga ali bubi. “Olwaleero tugenzeeko mu Ddwaliro e Mulago okukebera ku Hon. Allan Ssewanyana eyaweereddwa ekitanda ku Lwokutaano ngembeera ye mbi ddala. Ekyanaku Uganda Police Force etulemesezza okumulaba. Buli kimu kirabwa era luliba olwo obwenkanya bulifunibwa.” Omubaka Ssewanyana abadde alina okulabikako mu kkooti e Masaka olunaku olwenkya ku Lwokubiri okusobola okweyimirirwa ku misango egimuvunaanibwa ne munne owa Kawempe North Muhammad Ssegirinya. Ab’ebyokwerinda ababadde batekeddwa ku mulyango bakkirizaako munnamateeka we yekka, Erias Lukwago era ono ategeezezza nga embeera omuntu we mwali bwetasobola kumukkirizisa kulabikako mu kkooti kuba tasobola wadde okuyimirira. Munnamateeka Lukwago annyonnyodde nti abadde alina okuwaayo ekiragiro kya kkooti kuba Ssewanyana abadde alina okutwalibwa mu kkooti e Masaka, okuwulira oba omulamuzi anakkiriza okweyimirirwa. Lukwago agamba nti abalamuzi ababiri okuli; Tweyanze ne Victoria baali bagaana okuddamu okuwulira omusango guno kyokka akulira abalamuzi, Flavia Nzeija naalagira bagutuulemu era olunaku olwenkya omulamuzi Tweyanze lweyabawa okulaba oba Ssewanyana aneeyimirirwa. Okusinziira ku Lukwago, alipoota y’abasawo eggyewo ekyokuba nti Ssewanyana alina obulwadde bw’omutima kyokka agamba nti bakyalina okukebera ebitundu ebirala ebyomunda kuba amawuggwe ge galabika gaanafuwa okuzuula ekituufu ekimuluma. https://gambuuze.ug/2023/01/23/bagaanye-bobi-wine-ne-banne-okulambula-ssewanyana-e-mulago-gyeyatwalidwa-nga-ali-bubi/ +religion Abakurisitu mu Masaka baggumizza enkolagana yaabwe n’abakulembera Buddu Akakiiko akatwala abakurisitu mu Masaka bagenyiwaddeko ewa Ppookino ku kitebe kye ssaza okuggumizza obumu mu bantu ba Ssaabasajja Kabaka mu Buddu.Bano obugenyi bwabwe bwabaddewo ku Mmande ya wiiki eno era nga bakulembeddwamu Ssaabakurisitu Regina Nalubega Kitaka era ku lwa banne ono yategeezezza nti Eklezia n’Obwakabaka balina bingi bye bafaananya. Mu bino mulimu ensonga Ssemasonga ettaano Eklezia kw’etambulira omuli; okutumbula obukulembeze n’enzirukanya y’emirimo, okuzimba n’okunnyikiza enzikiriza y’Ekikatoliki, okutumbula enkola n’empeereza y’Abakurisitu, okutumbula okwekulaakulanya mu bantu ssaako n’okutumbula omutindo gw’ebyengunjula n’enjigiriza mu ssaza wonna. Nalubega yeebazizza abakulira essaza Buddu n’Obwakabaka olw’okutumbula embeera z’abantu nga balwanyisa ebirwadde nga Nnalubiri n’ekikulukuto mu bakyala (Fistula). Omubaka wa Kakuuto, Christopher Kalemba, nga y’akulira abasajja mu ssaza ly’e Masaka, yasabye enkolagana okweyongera wakati w’Obuganda n’Eklezia, basobole okulwanyisa ekibbattaka mu Buganda. Omulungamya w’abakurisitu, Rev. Fr. George William Lubega, yennyamidde olw’okwanjula okwebbeyi okulemesezza abavubuka okuwasa n’asaba wabeewo ekikolebwa. “Okwanjula okwebbeyi kulemesezza abavubuka bangi okuwasa ate abalala ne bamala ne baana bannaabwe emyaka mingi nga tebabanjudde nga balinda lwe baliweza ebintu.” Bw’atyo Fr. Lubega bwe yategeezezza, ky’agambye nti kittattana eddiini n’obuwangwa. Ppookino Jude Muleke yasiimye okujja kwa bano wabula n’asaba Eklezia ebakwatireko okulambika abavubuka naddala abakozesa emitimbagano mu bukyamu. Ku bisoomoozo ebiri mu kwanjula, Muleke yategeezezza nga nabo wabali mu nteekateeka ez’okulambika okwanjula kuba ebintu bingi ebireeteddwa ebitali bya wano. Ono era yasabye okuteeka abaliko obulemu ku kakiiko k’abakurisitu kano era n’asaba amasinzizo gonna okufaayo mu kuteekawo abataputa ab’obubonero kisobozese abaliko obulemu nabo okubeera nga bagoberera. Abakurisitu bano balina bye bawaddeyo mu kuddukanya essaza omubadde n’okusonda mu kuzimba Buddukiro, ekipande ekiriko obubaka obulwanyisa Ssennyiga omukambwe Covid n’ebirala. https://gambuuze.ug/2021/05/05/abakurisitu-mu-masaka-baggumizza-enkolagana-yaabwe-nabakulembera-buddu/ +business Buganda esse omukago ne Protea Hotel okutumbula ebyemikono Obwakabaka bwa Buganda nga buyita mu Minisitule y’Abavubuka, busse omukago ne kkampuni ya Protea Hotel okubangula abavubuka mu by’emikono okuyamba okukendeeza ku bbula ly’emirimu eriri mu ggwanga. Minisita w’Abavubuka, emizannyo n’Okwewummuza, Owek. Henry Kiberu Sekabembe y’ataddeko ku lw’Obwakabaka ate Muky. Musiima Rona n’assaako ku lwa Protea Hotel era bino byonna bikoleddwa mu maaso g’Omumyuka wa Katikkiro owookubiri, Owek. Waggwa Nsibirwa. Eyakiikiridde Katikkiro Mayiga ku mukolo guno era omumyuka owookubiri owa Katikkiro, Owek. Waggwa Nsibirwa, ategeezezza nti baakusoosowaza abavubuka mu buli ngeri yonna. “Ekintu kye tulina kati mu ggwanga ekitugulumbya bwe bulwadde bwa Ssennyiga Lumiimamawuggwe naye ekintu ekisinga okusoomooza buli mukulembeze naddala abali mu byenfuna, be bavubuka abalina emyaka 15- 35 abakeera ku makya nga tebalina kye bakola ate nga balina ebyetaago.” Owek. Nsibirwa bw’agambye. Kino Minisita Waggwa agamba nti kyabulabe kuba abavubuka bano bakozesa engeri ezimenya amateeka okusobola okufuna ssente beetuuseeko ebyetaago bino, n’akakasa nti omukago guno gujjidde mu kaseera katuufu. Minisita Ssekabembe agambye nti we batuukidde wano ng’abavubuka bamaze dda okwewandiisa era enteekateeka eno esimbidde ddala mu nnambika y’abavubuka mu Buganda wamu n’enteekateeka Nnamutayiika eya Buganda egendererwamu okuzimba obukugu mu bavubuka. “Ogumu ku mulamwa omukulu kwe kuzimba obukugu mu bavubuka baffe wakati w’emyaka 18- 35 naye ng’ebitundu 70 ku 100 baana baabuwala. Era tugamba abavubuka baffe nti buli ky’onookola olina okukifunamu obukugu osobole okuteeka ku katale ekintu kyonna ky’otunda nga kyamutindo.” Minisita Ssekabembe bw’agambye. Ono agamba nti ekirala kwe kuwa abavubuka emirimu ng’ensi w’etuuse abavubuka tebeetaaga kutambula na mpapula nga banoonya emirimu naye basobola okutandikawo egyabwe nga beesigama ku bukugu. Minisita Ssekabembe abavubuka abasabye okukulembeza omutindo mu buli kye bakola si mu mirimu gyokka naye ne mu bulamu bwabwe ng’abantu. Okusinziira ku Minisita Ssekabembe, mu birala mu nteekateeka eno, kwe kufunira abavubuka obutale era baagala okulaba ng’abavubuka beetaba butereevu mu kwekulaakulanya bakomye okulindirira gavumenti okubayamba. Owek. Ssekabembe asiimye aba Protea Hotel olw’okusalawo okukolagana ne Buganda era n’abasuubiza okwongera okukolagana nabo okutumbula embeera z’abantu mu ggwanga. Omukungu wa kkampuni ya Protea Hotel, Musiima Rona ategeezezza nti okusinga enteekateeka eno yaakuyamba abavubuka naddala aboobuwala nga bayiga okukola ebyemikono n’ebyokulya n’okunywa era bakkiriza nti nga bayita mu Bwakabaka bajja kutuuka ku bantu abawera mu ggwanga lyonna. Ssentebe w’Abavubuka mu Buganda, Omuk. Baker Ssejjengo annyonnyodde nti enteekateeka eno yaakutwaliramu amasaza gonna aga Buganda wadde nga batandikidde ku Kyaddondo ne Busiro era nga basusuddwa mu bwenkanya. Okusinziira ku mukago guno, abavubuka 199 be bagenda okusooka okuganyulwa mu nteekateeka eno etuumiddwa 500k ng’ewagiddwa aba Private Sector Foundation awamu ne Mastercard Foundation era baruubirira okulaba nga batondawo emirimu egiwera emitwalo 50 eri abavubuka n’abakyala. https://gambuuze.ug/2021/09/21/buganda-esse-omukago-ne-protea-hotel-okutumbula-ebyemikono/ +health Kamalabyonna Mayiga asisinkanye Ambasada wa Bungereza, akuutidde abantu ku Ebola Katikkiro Charles Peter Mayiga asisinkanye omubaka wa Bungereza mu Uganda, Kate Aire era naddamu okusaba abantu wonna gyebali bakole buli kimu okulwanyisa ekirwadde kino kuba kyabulabe nnyo. Ensisinkano eno ebadde mu Bulange e Mmengo ku Lwokusatu nga Ambasada Aire abadde azze okukiika embuga n’okubaako ensonga enkulu zawayaamu ne Mukuumaddamula. Ambasada Aire atuuse ku ssaawa ttaano ez’okumakya nga awerekeddwako omukungu Tarka Simon era bano baaniriziddwa akola mu nsonga z’abagenyi Omuk. David Ntege. Ono yefumbye akafubo ne Kamalabyonna awamu ne minisita ow’emirimu egy’enkizo Owek. Daudi Mpanga era muno temukkiriziddwamu bannamawulire. Mu kwogerako eri abamawulire, Katikkiro ategezezza nti ensonga gyebasinze okussaako essira ky’ekirwadde kya Ebola kubanga Kate Aire alina okumanya oba olyawo ku kirwadde kino kuba yeyali omubaka wa Bungereza e Sierra Leone mukiseera ekirwadde kino wekyabatawaanyiza ennyo. Ow’omumbuga Mayiga era asinzidde wano nasaba abantu obutaba balagajjavu mu kulwanyisa ekirwadde kino ate kuzza ku ggwanga ku muggalo wabula bagondere ebiragiro bya minisitule yebyobulamu. Ye Ambasada wa Bungereza Kate Aire yeeyamye okukwasizaako Obwakabaka okulwanyisa ekirwadde kino kyokka nasaba obuyambi obunawebwayo okukozesebwa obulungi. Ono era yebazizza Obwakabaka olw’okumanyisa abantu ku ngeri y’okulwanyisaamu ebirwadde wamu n’okukubiriza abantu okukola okweggya mu bwavu. https://gambuuze.ug/2022/11/02/kamalabyonna-mayiga-asisinkanye-ambasada-wa-bungereza-akuutidde-abantu-ku-ebola/ +politics UPDF tekyali ggye lya ggwanga- Erias Lukwago . Omuloodi wa Kampala Ssaalongo Erias Lukwago, avuddeyo n’ategeeza ng’eggye lya Uganda erya UPDF bwe litakyali ggye eriweereza abantu ba Uganda wabula Pulezidenti Museveni ng’omuntu. Bino abyogeredde ku mukutu gwa ttivvi ogumu bw’abadde akyaziddwa mu Pulogulaamu y’okumakya. Omuloodi Erias Lukwago Lukwago yagambye mbu amagye gateekeddwa okukolagana n’abantu baabulijjo mu biseera byakazzigizzigi naye sikwenyigira mu bitabakwatako ng’ebyobufuzi. Lukwago era ategeezezza mbu abakulu mu magye abasinga obungi basibuka mu kitundu ky’eggwanga kimu ne yeewuunya oba eggye likyali lya ggwanga. “Eky’amazima olwaleero eggye lye tulina lya muntu ssekinnoomu. Kano kabondo k’abayeekera Gen. Museveni ke yeekomya. Bakyeyisa mu ngeri y’ekiyeekera.” Lukwago bw’ategeezezza. Ng’amagye geetegekera okujaguza okuweza emyaka 40, Lukwago agambye mbu tewali kye bajaguza okuggyako obuzzi bw’emisango n’okulya mu nsi olukwe kubanga amagye galudde nga galumba abantu. Wabula akiikirira amagye mu lukiiko lw’eggwanga olukulu,Brig. Felix Kulayigye, akkaatirizza nti eggye likyali lya ggwanga era n’ategeeza mbu emikolo gya Tarehe Sita gisaanidde okukuzibwa wadde abantu nga Lukwago basobola okugenda ku mikutu gy’amawulire ne boogera bye baagala. “Omulimu omukulu ogw’abooludda oluvuganya gwa kusuula gavumenti ate be boogera buli lunaku. Ffe tukkiriza nti ebikolwa bisinga ebigambo.” Kulayigye bw’agambye. https://gambuuze.ug/2021/01/06/updf-tekyali-ggye-lya-ggwanga-erias-lukwago/ +politics Eyawambye obuyinza e Burkina Faso alayiziddwa, kati ye Pulezidenti asinga obuto mu Afirika Munnamagye eyawambye obuyinza e Burkina Faso, Ibrahim Traore alayiziddwa nga pulezidenti omuggya ow’eggwanga eryo oluvannyuma lw’okuwamba eyali mukama we Paul-Henri Sandaogo Damiba. Kino kiddiridde okuwamba obuyinza obwali mu ggwanga eryo wiiki ewedde. Ekiwandiiko ekisomeddwa ku ttiivi y’eggwanga lino, Traore agambye nti era kati ye mudduumizi w’amagye ow’oku ntikko. Guno gwe mulundi ogw’okubiri omwaka guno, nga bannamagye bawamba obuyinza mu ggwanga eryo nga bagamba nti obukulembeze obubaddeko bwalemeddwa okukola ku bannalukalala abayisiraamu abatigomya bannansi mu ggwanga lino. Bino webijjidde nga waliwo ekibinja ekyavudde mu mukago ogutaba amawanga mukitundu kino ogwa ECOWAS ekyatuuse mu ggwanga eryo ku Lwokubiri okusikiriza Traore okutegeka okulonda mu makati g’omwaka gwa 2024 wabula kati tekimanyiddwa oba kino anaakikola. https://gambuuze.ug/2022/10/06/eyawambye-obuyinza-e-burkina-faso-alayiziddwa-kati-ye-pulezidenti-asinga-obuto-mu-afirika/ +health Omulangira Wasajja akunze abantu okugaba omusaayi Omulangira David Kintu Wasajja akunze abantu ba Ssaabasajja bonna mu Buganda okwetaba mu nteekateeka ey’okugaba omusaayi basobole okudduukirira abagwetaaga era bamalewo ebbula lyagwo mu ggwanga. Obubaka buno Omulangira Wasajja abuweeredde Kawempe ku Growers bw’abadde akulembeddemu abavuzi ba booda booda n’okutongoza okugaba omusaayi mu ssaza lya Kyaddondo ku Mmande. Omulangira David kintu wasajja asinzidde ku mukolo guno nasaba gavumenti okutereeza omulimo gwa Booda Booda nadala mu Kampala kuba balina kinene kyebagatta ku nkulaakulana y’eggwanga. Ono era akubirizza aba Booda Booda okugoberera amateeka g’ oku nguudo era balwanyise obubenje kuba kizuuliddwa nti obusinga babeera babulinamu omukono. Omulangira Wasajja akuutidde abantu ba Ssaabasajja okujjumbira enteekateeka eno ey’okukung’aanya omusaayi egendereddwamu okutaasa obulamu bw’abantu. Ate Ssenkulu wa Kabaka FoundationOmuk . Kaggwa Ndagala ategeezezza nti eggwanga lifuna ekizibu ky’ebbula ly’omusaayi naddala mu biseera nga abayizi ku masomero ag’enjawulo bali mu biseera eby’oluwummula so nga ate bano bebasinga okugaba omusaayi. Abakulembeze ba Booda Booda mu Kampala n’abakulembeze mu ggombolola y’e Kawempe beyanzizza Beene olw’okusiima nabo beetabe butereevu mu nteekateeka eno. Enteekateeka eno ewagiddwa aba ekitongole ki Kabaka Foundation ne bannamikago okuli; Uganda Red Cross Society , Uganda Blood Transfusion Services , Radio ya CBS FM ne BBS Terefayina. Omukolo guno gwetabiddwako abakulembeze ba Division ye Kawempe ab’enjawulo ,abakungu okuva e Mmengo awamu n’abantu ba bulijjo. https://gambuuze.ug/2023/01/16/omulangira-wasajja-akunze-abantu-okugaba-omusaayi/ +politics Akakiiko k’ebyokulonda kafulumizza ebyava mu kulonda, Kyagulanyi yafunye 35% Kampala Akakiiiko k’ebyokulonda mu ggwanga kafulumizza ebyenkomeredde ebyava mu kalulu k’Obwapulezidenti aka 2021 era wano eyavuganya ku kkaadi ya National Unity Platform (NUP), Robert Kyagulanyi, alinnye n’atuuka ku 35.08%. Pulezidenti wa NUP, Robert Kyagulanyi Okusinziira ku ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda, Omulamuzi Simon Byabakama, bino ebifulumiziddwa leero ku Lwokuna by’ebisembyewo era nga Museveni yafunye obululu obukadde mukaaga (6,042898) by’ebitundu 58.38% wadde ng’okusooka yali afunye obukadde butaano (5,851,037) nga bukola ebitundu 58.64%. Ebyalangiriddwa biraga nti Kyagulanyi yalinnye okuva ku bitundu 34.83%, bwe bululu 3,475,298 n’atuuka ku bitundu 35.08% oluvannyuma lw’okufuna obululu omugatte gwa 3,631,437. “Akakiiko kategeeza bannayuganda nti obululu okuva mu bifo ebironderwamu 83 ebiweza abalonzi 54357 tebyagattiddwako ku byenkomeredde.” Omulamuzi Byabakama bw’agambye. Ono agasseeko nti bino byalekeddwa wabbali olw’ebigambibwa nti obululu bwabbibwa ekyavaako emivuyo mu kulonda n’ebintu eby’okulondesa nebyonoonebwa, ebirala ne biwambibwa ate ffoomu okulangirirwa omuwanguzi tezaalimu mu bubookisi bw’obululu awamu n’ensonga endala. Bwe yali alangirira omuwanguzi Ssabbiiti 2 emabega, Byabakama yategeeza eggwanga nti bye yali alangiridde byali bivudde mu bitundu 96.47% ku bifo ebironderwamu mu ggwanga lyonna era nga kino kikkirizibwa mu mateeka. Ono yagattako nti etteeka libalagira okulangirira omuwanguzi kasita abeera ng’afunye ebitundu 51% ku buli 100 era ng’akakiiko bwe batunuulira enjawulo ye yali asinze (Museveni) ne nnamba bbiri (Kyagulanyi) nga tewali ky’amaanyi kisobola kukyuka ng’obululu buno bugattiddwako. Bannakibiina kya NUP tebannavaayo kubaako kye boogera ku bino wadde ng’okusooka baategeeza nga bwe bawakanya ebyali birangiriddwa nga bagamba nti akalulu be baakawangula. https://gambuuze.ug/2021/01/28/akakiiko-kebyokulonda-kafulumizza-ebyava-mu-kulonda-kyagulanyi-yafunye-35/ +business Kadaga atabukidde ababaka abawakanya emisolo emipya; Mwagala gavumenti eziggye wa? Kampala Sipiika wa Palamenti, Rebecca Alitwala Kadaga, atabukidde ababaka enkya ya leero mu lutuula lwa Palamenti oluvannyuma lw’ababaka okugaana egimu ku misolo egisinga obungi egyateereddwa ku bintu eby’enjawulo. Mu lutuula lwe lumu luno, Palamenti eyisizza ebbago ku nkozesa ya ttaaba erya 2021 eritadde omusolo ku ttaaba ayingizibwa munda mu ggwanga nga tannasunsulibwa. Okusinziira ku Minisita omubeezi ow’ebyenfuna, David Bahati omusolo guno gwakuyingiza mu ggwanika ssente eziwera obuwumbi 20. Palamenti era eyisizza ennongoosereza ku ‘Tax Appeals Tribunal erya 2021 awamu n’ebbago eriteeka omusolo gwa bitundu 8 ku buli 100 ku nnuuni z’emputa, ezitwalibwa ebweru. Ku nsonga y’ennuni, ababaka beemulugunyizza nti omuntu omu ye yaweebwa olukusa okutunda emmwanyi ebweru w’eggwanga kyokka ng’ebyenfuna byaggulwawo eri buli omu alina obusobozi. Wano Sipiika Kadaga asabye aba minisitule y’ebyenfuna okutunula mu kwemulugunya kw’ababaka kuba kulimu eggumba. Wabula Sipiika Kadaga atabukidde ababaka ababadde beemulugunya nti gavumenti esusse okubinika bannansi emisolo n’abategeeza nti be bantu be bamu abasaba gavumenti okubakolera enguudo. “Kati mwagala gavumenti ssente eziggye wa?, Kadaga bw’abuuzizza. Ababaka era batadde omusolo ku ng’aano, kasooli awamu ne ppamba atundibwa ebweru. Bino we bijjidde nga Palamenti yaakamala okuyisa omusolo gwa bitundu 12 ku buli 100 ku ‘data’ agulibwa abantu abakozesa omutimbagano oluvannyuma lw’okuggyawo omusolo gwa OTT. https://gambuuze.ug/2021/05/03/kadaga-atabukidde-ababaka-abawakanya-emisolo-emipya-mwagala-gavumenti-eziggye-wa/ +politics Ttiimu ya Bobi Wine ezzeemu okukwatibwa Mbale Aba Poliisi n’amagye bazzeemu okukwata ttiimu ya Bobi Wine, Robert Kyagulanyi, emunoonyeza akalulu bw’abadde agenda e Namayingo okunoonya akalulu ku Lwokuna. Aba Ttiimu ya Bobi Wine abazzeemu okukwatibwa Bobi Wine amanyiddwa nga Robert Kyagulanyi ne banne babazingiddeko mu kitoogo ng’ava e Mbale okudda e Namayingo. Abakwatiddwa mulimu abakola ku by’okwerinda bye, abasawo n’abamawulire ababadde bamugoberera. “Ne era tuzzeemu okuzingibwako poliisi n’amagye mu kitoogo nga tuva e Mbale okudda e Namayingo era buli omu ku ttiimu yaffe empya okuli; abakuumi, abasawo ne bannamawulire bonna bakwatiddwa.” Kyagulanyi bw’agambye ng’ayita ku mukutu gwe ogw’Omutimbagano. Kyagulanyi alumiriza nti ne ku mulundi guno talina nsonga gy’aweereddwa lwaki abantu be bakwatiddwa. Poliisi emabegako yalumirizza Kyagulanyi okujeemera ebiragiro bya Ssennyiga Corona ebyamuweebwa akakiiko k’ebyokulonda. Ekyaddirira poliisi yakwata ttiimu ya Kyagulanyi yonna bwe yali agenda e Kalangala era bano basimbibwa mu kkooti ne bavunaanibwa omusango gw’okukuma mu bantu omuliro wamu n’okusaasaanya ekirwadde kya Ssennyiga Corona. Wadde nga Kalangala teyali kitundu ku disitulikiti akakiiko k’ebyokulonda gye kaali kawezeemu kkampeyini era Kyagulanyi yavaayo n’ategeeza nga kino bwe kyakolebwa okumumalamu amaanyi. Kyagulanyi era azze anoonya akalulu ng’ayambadde “Bulletproof” okwekuuma era ng’azze ategeeza nti waliwo olukwe lw’okumutta. Mu kalulu k’omulundi guno, Pulezidenti Museveni abadde mu buyinza okuva mu mwaka gwa 1986, ayagala okweddiza entebe wabula nga Bobi Wine amutaddeko okuvuganya okw’amaanyi. https://gambuuze.ug/2021/01/07/ttiimu-ya-bobi-wine-ezzeemu-okukwatibwa/ +politics AKALULU 2021: Banna NRM abaawangula mu kamyufu basinsikanye, ne beeragira enkwe Bya Jesse Lwanga Mukono Bannakibiina kya NRM abakutte Bbendera y’ekibiina ku mitendera egy’enjawulo, basisinkanye okutema empenda ku ngeri gye basobola okukolera awamu basobole okuwangula akalulu ka 2021. Dr. Sonko n’abamu ku bakutte bbendera y’ekibiina ku mitendera egy’enjawulo Ensisinkano eno, yabadde ku ssomero lya Nyenje Church of Uganda Primary School mu Division y’e Goma mu kibuga Mukono eggulo ku Ssande. Bano abaakulembeddwamu Dr. Daisy Sarah Sonko akwatidde ekibiina bbendera ku bwammeeya bw’ekibuga Mukono, bagambye nti ku mulundi guno obuwanguzi bubali mu ttaano. Alina bbendera y’obukiise bw’ekibuga Mukono, Abas Ssozi, yalaze nti waakufuba okutereeza ebyobulamu n’okuleeta amasannyalaze mu bitundu gye gatali. Ssentebe wa NRM mu disitulikiti eno, Hajji Twahiri Ssebaggala, yategeezezza nti ekikuumidde Mukono emabega kwe kuba ng’abantu balonda abakulembeze abakyamu. Ono era yasabye banna NRM okukomya enkwe era wamu n’okulowooza okuwagira Kagimu owa DP nga baagala okuggyawo Omubaka Nambooze, nti ekyo kikyamu era n’abasaba okuwagira abantu ekibiina be kireese. Ssaabakunzi w’ekibiina kya NRM mu ggwanga, Mathias Kasamba, nga ye yabadde omugenyi omukulu ku mukolo guno, yasabye bannakibiina abeesimbyewo ku lwabwe okuva mu kalulu balekere bannaabwe abaakwata bbendera z’ekibiina. Kasamba yasekeredde bannakibiina kya NRM mu kibuga Mukono olw’okufugibwa oludda oluvuganya abakotogedde enkulaakulana ya bannamukono olw’okuba tebatuuka gye bagabanyiza mugaati. https://gambuuze.ug/2020/10/26/akalulu-2021-banna-nrm-abaawangula-mu-kamyufu-basinsikanye-ne-beeragira-enkwe/ +health Katikkiro Mayiga alabudde abantu ku kirwadde ky’Ebola, ayimirizza abaana b’ Amasomero okujja mu Luwalo Katikkiro Charles Peter Mayiga ayimirizza enteekateeka y’abaana b’amasomero okuleeta Oluwalo embuga ng’omu ku kaweefube w’okubataasa ku kirwadde kino. Okusaba kuno, Owek Mayiga akukoledde mu bimuli bya Bulange ku Lwokubiri bw’abadde atikkula Oluwalo okuva mu bantu ba Kabaka abavudde e Kyaddondo, Buddu, Butambala ne Buvuma. “Ebola si ddogo era togenda kukulagula ng’plina obubonero naye genda wabasawo. Olwa katyabaga k’ Ebola ndowooza abaana b’amasomero tugira tuyimirizaamu okubaleeta wano tumale okwetegereza ensonga eno, kuba bajja mubungi era bwewabaawo omu akwatibwa ayinza okusiiga abalala,” Katikkiro Mayiga bw’agasseeko. Katikkiro Mayiga ategeezezza nti kizibu okwewalika era singa bafuna obubonero bw’ekirwadde kino badduke mangu eri abasawo oba abakulembeze era baleme kwekweka. Ono abasabye okwewa amabanga,okwewala okukwata ku bafudde ekirwadde kino, okukwatagana mu ngalo awamu n’okuziika abantu abafudde ekirwadde kino. Era asabye abantu abawangaalira mu bitundu ebirimu ekirwadde kino okusigalayo. Owek. Mayiga asabye abantu okukomya okulya ebisolo by’omu nsiko awamu n’okulya ebifudde era bakuume ebiragiro bya Minisitule y’ebyobulamu kuba Ebola si ddogo wabula bulwadde obusobola okuwona singa omuntu afuna obujjanjabi obutuufu. Okusinziira ku Katikkiro Mayiga, Buganda yazimbirwa ku nkola ennungi ttaano nga muno mwalimu; Okulanya ewa Ssabasajja Kabaka, okulamaga ku butaka, Bulungibwansi, Oluwalo awamu n’omusolo. “Abantu bwebaalanyanga ewa Kabaka ng’amakula bagatwala era Kabaka nga Nnamuswa nga enkuyege aziraba, abantu bwebalamaganga ku butaka gyebasibuka ng’olwo ebika binywerera ddala bulungi nga n’abasiige nga balabika,” Owek. Mayiga bw’agambye. SONY DSC Owek. Mayiga agamba nti Bulungibwansi yali agendereddemu kulaba nti ebitundu birabika bulungi era kino kyewuunyisa abazungu okusanga nga enguudo nnime era nga ngazi bulungi wadde nga tewaali mmotoka, enzizi nga ngogole nga n’ennimiro za Kabaka abantu bazirina era kyali kizibu okufa enjala. Oluwalo, Katikkiro Mayiga annyonnyola nti lino lyabanga katala eryaweebwanga abantu ba Kabaka nga waliwo omulimu ogwetaaga okumalirizibwa era kino kyakolebwanga okusinziira mu bika oba amasaza n’amagombolola. Owek. Mayiga agasseeko nti omusolo mu Buganda gwakung’aanyizibwanga okuva ku byalo, emiruka, amagombolola awamu n’amasaza era guno gwatwalibwanga ku mbuga ya Katikkiro olwo ye nabyanjula ewa Kabaka. SONY DSC Ono annyonnyola nti enkola eno yeyazimba Buganda okutuusa abazungu webagisangira nebagisanyaawo era Kabaka Mutebi bweyadda kwekusalawo okuzza ebintu bino ebyafuula Buganda ekkula. Ye Minisita Omubeezi owa Gavumenti ez’Ebitundu, Owek. Joseph Kawuki, yeebazizza abaami ba Kabaka olw’okubeera eky’okulabirako ekirungi mu bantu. Era wano ayanjudde Oluwalo oluvudde e New England, Boston ne Massachusetts nga lwa bukadde 18. Amasaza gonna agakiise olwa leero, galeese Oluwalo lwa bukadde 64. https://gambuuze.ug/2022/11/01/katikkiro-mayiga-alabudde-abantu-ku-kirwadde-kyebola-ayimirizza-abaana-b-amasomero-okujja-mu-luwalo/ +health COVID-19: Amasomero gagguddwawo; ebbaala zaakusigala nzigale Kampala Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni akakasizza ku Ssande nti, Kabbineeti bweyakkirizza amasomero okuggulawo era nga gano gaakusooka n’abayizi abakola ebibuuzo byabwe ebyakamalirizo ku mitendera egy’enjawulo nga bano baakutandika nga 15 Ogwekkumi 2020. Museveni nga ayogerako eri eggwanga ku Ssande “Tusazeewo okuggula amasomero eri abayizi abamalirizza emitendera okuli; P.7, S.4 ne S.6, amatendekero wamu ne ssettendekero. Tulowooza nti abayizi bano batono era basobola okwetangira ekirwadde kya Ssennyiga Corona.” Museveni bwe yategeezezza nga ayogerako eri eggwanga ku mbeera y’ekirwadde kya COVID-19. Museveni yategeezezza nti waliwo amasomero naddala ag’obwannannyini agayinza okusanga akaseera akazibu okuggulawo kubanga amasomero bagalimu lwa bizineesi n’ategeeza nti ku kino Minisitule y’ebyenjigiriza agiragidde okwongera ku muwendo gw’amasomero ga ssekendule wamu n’ebibiina mu ggwanga. “Minisitule y’ebyensimbi erina okusisinkana bannannyini masomero balabe engeri gavumenti gy’eyinza okubayambamu.” Museveni bweyannyonnyodde. Museveni yalaze nga bwe baakitunuddemu ng’okuleka amasomero nga maggale bwekirina ebizibu byakyo kubanga buli mwaka wabeerawo abayizi abava ku mutendera ogumu okudda mu mulala. Museveni yasuubizza nga bw’agenda okufuba okulaba ng’abaana basigala basomero ku leediyo, n’embeera y’ekirwadde kya COVID-19 bwenaaba evuddewo kibayambe okugabana ebisomesebwa abasomesa abakugu. Ebikulu ebisaliddwawo; Amasomero gaakuggulawo nga 15 Ogwekkumi okutandika n’abayizi aba P.7, S.4, S.6, amatendekero agawaggulu agalina abayizi abamaliriza emisomo.Ekisaawe ky’ennyonyi n’ensalo bigguddwawo eri abalambuzi abayingira n’abafuluma. Bano balina okuba nga bakebeddwa nebasangibwa nga tebalina kirwadde mu bbanga lya ssaawa 72 nga tebannayingira mu Uganda era ababalambuza balina okufuba okulaba nti bano tebeegatta na bannansi. Bannayuganda abakomawo nga balina ebbaluwa ezikakasa nti tebalina kirwadde baakukkirizibwa, era bano baakukkirizibwa okugenda ewaka so si kalantiini nga bwekibadde, ng’eno aba Minisitule y’ebyobulamu gye bagenda okubalondoolera.Amateeka ku ntambula y’abantu ku disitulikiti eziri ku nsalo biggyiddwawo.Kafyu asigaddewo okuva ku ssaawa ssatu okutuuka ku ssaawa 12 ez’okumakya naye aba boodabooda baakukoma ku ssaawa 12 ez’olweggulo.Amasinzizo gagguddwa nago gaakugoberera ebiragiro bya COVID-19; Abantu abaagala okwejjusa oba abaagala okubalyowa emyoyo n’okubawa ku magezi bakkiriziddwa okugenda mu masinzizo. Okusaba tekulina kusussa bantu nsanvu (70) era baakugoberera ebiragiro. Okusaba kw’ekiro nakwo kukyagaaniddwa.Emizannyo gyomu bisaawe gikkiriziddwa naye abawagizi bagaaniddwa, baakugirabira ku ttivi. Abazannyi balina okukeberwa buli luvannyuma lwa nnaku 14.Ebbaala, Cinema n’ebifo omuzannyirwa Zzaala bikyali biggaleWooteeri zaakukola nga zigoberera ebiragiro bya COVID-19Ebirabo by’emmere byakusigala nga eby’okulya ng’emmere abantu bagibasibira nebagitwala, abalina okuliira mu bifo bino balina kubeera batono ddala.Enkung’aana z’abantu abangi ziwereddwa.Obutale bw’omubuulo n’obutale omutundirwa ente bukyaggaddwa.Abagishu abali mu mikolo gy’okusala embalu basabiddwa okugoberera ebiragiro ebyabaweebwa minisitule y’ebyobulamu era nebalabulwa obutazina Kadodi kuba kakung’aanya abantu. https://gambuuze.ug/2020/09/21/covid-19-amasomero-gagguddwawo-ebbaala-zaakusigala-nzigale/ +business Abavubi balaze okutya ku muwendo gw’ebyennyanja ebifa Masaka Abavubi abawangalira ku myalo egyenjawulo mu disitulikiti y’e Masaka bennyamivu olw’ebyennyanja ebifa entakera ne basaba be kikwatako okusitukiramu bunnambiro okunoonyereza ku buzibu buno obubasuza nga tebeebase. Moses Ssemambo akulira ebyenvuba e Masaka Abavubi okwogera bino, basinzidde ku myalo okuli; Kaziru, Bukakata ne Lambu nga gino gisangibwa mu ggombolola y’e Bukakata. Abavunaanyizibwa ku by’envuba n’abeekitongole ky’obutonde bw’ensi ekya Action for Sustainable Development Initiative okuva ku disitulikiti, babadde bagenzeeyo nga banoonyereza ku mbeera eno eriwo. Abavubi babategeezezza nti embeera ebasusseeko wadde ng’abakugu bagamba nti okunoonyereza okwakolebwa kw’alaga nti tebifa butwa naye ekituufu ekibitta tekinnamanyika. Akulira kkampuni ya Mpongo evunaanyizibwa ku mwalo gwa Lambu, Rashid Babu, annyonnyodde nti bali mu kutya kuba tebakyasobola kuvuba era nga n’amaato ge bakozesa baagasimba olw’embeera eno ey’okusoberwa. Ate ye akulira okulwanirira obutonde bw’ensi e Masaka, Rose Nakyejjwe, agambye nti obuzibu buva ku bantu abasaanyaawo butonde wamu n’abo abasuula kasasiro mu mazzi, ekintu ky’agamba nti kya bulabe era n’alabula abalima mu ntobazzi. Asabye wabeewo enkola ennung’amu erambika enkozesa y’ebigimusa, eddagala ery’obutwa wamu ne pulaasitiika okukendeeza ku kusaanawo kw’obutonde bw’ensi. Wano akulira ebyenvuba ku disitulikiti eno, Moses Ssemambo, asabye abavubi obutaggwaamu maanyi kubanga kino kigenda kuggwaawo mu bwangu nga kivudde ku kukendeera kw’omukka ogw’obulamu ekiviirako ebyennyanja okuziyira. Bo bannakyewa abalwanirira obutonde bw’ensi okuva mu kitongole kya Action for Sustainable Development Initiative nga bakulembeddwamu Antonio Kalyango, balabudde gavumenti ku bunafu mu kukwasisa amateeka ku butonde bw’ensi nti kye kivuddeko obuzibu eggwanga ne lifiirizibwa ensimbi. https://gambuuze.ug/2021/02/25/abavubi-balaze-okutya-ku-muwendo-gwebyennyanja-ebifa/ +sports Katikkiro Mayiga atongozza emipiira gy’Amasaza Mukuumaddamula w’Obwakabaka, Charles Peter Mayiga, ategeezezza nti ekimu ku by’obugagga Uganda n’omulembe Omutebi bye gulina, bye by’emizannyo. Katikkiro Mayiga nga atongozza emipiira gy’Amasaza Bino Katikkiro Mayiga abyogeredde mu bimuli bya Bulange bw’abadde atongoza empaka z’emipiira gy’amasaza egy’omwaka guno, leero ku Lwokubiri. “Omulembe Omutebi guzze n’ebyagwo ebipya, n’okubangula abantu era kaakati tukimanyi nti ekimu ku by’obugagga Uganda by’erina gy’emizannyo. Atannaba kukimanya tannayingira mu mulembe guno Omutebi.” Katikkiro Mayiga bw’ategeezezza. Katikkiro n’abamu ku bavugirizi b’emipiira gino Owek. Mayiga agambye nti ebyemizannyo kya Buganda ekisinga ebbeeyi kubanga kibeera kitone ekyekwese mu muntu era singa akivumbula kibeera kizibu okuvuganya naye. Mayiga akubirizza abavubuka okuvumbula ebitone byabwe ng’obudde bukyali, kubanga ebyemizannyo biraze nti bisobola okugatta abantu yonna gye bali awatali kufa ku byabufuzi wadde amawanga. Ategeezezza ng’emizannyo bwe biyambye okutumbula erinnya lya Uganda okwetooloola ensi era n’awa ebyokulabirako okuli; Denis Onyango, Farouk Miya, Joshua Cheptegei, Kiprotich, Halima Nakaayi n’abalala. Katikkiro Mayiga ategeezezza nti mu mulembe guno Omutebi, ebyemizannyo byakukwatibwanga nga ekyobugagga era babikulaakulanye nga baagazisa abantu okukyettanira. Alaze nti Obwakabaka bwetegese emipiira gino okuzannyirwa mu nkola ya ssaayansi nga gigenda kulagibwa butereevu ku BBS Terefayina era n’asaba abantu bonna okugigoberera. Minisita Henry Kiberu Ssekabembe asiimye abavujjirizi okuli; Centenary Bank, UNAIDS, Airtel ne Fufa olw’okuvaayo ne beenyigira mu nteekateeka eno naddala mu mbeera eno eya Ssennyiga Corona. Ssekabembe agambye nti ku mulundi guno omulamwa gw’emipiira gino gugenda kubeera ku kukulembeza abaami okulwanyisa ekirwadde kya Mukenenya kisobole okutaasa abaana ab’obuwala. Ono yeebazizza Obwakabaka ne Bannamikago olwokulaba ng’ekikopo kino kibeeerawo. Ku mpaka z’omulundi guno, Obwakabaka bweyamye okukebera abazannyi bonna ekirwadde kya Ssennyiga Corona, okusuza ttiimu zonna ku Fufa Technical Center e Njeru, okuliisa ttiimu zonna n’okusasulira ttiimu zonna ensimbi z’okwewandiisa. Mu birala kwe kuwaayo ensimbi obukadde 4 eri buli ttiimu okusobola okwetegeka n’okuzitambuza, okuwaayo ebikozesebwa ng’emipiira wamu n’okulaba nti omupiira gulagibwa ku BBS Terefayina. Owek. Ssekabembe agasseeko nti abantu wansi mu byalo balina okukwasizaako ttiimu zino ku nsonga z’ensako y’abazannyi wamu n’ensonga endala Obwakabaka ze butasobodde kukolalako. Okusinziira ku nteekateeka y’okuggulawo emipiira gino, Butambala egenda kwambalagana ne Bulemeezi wali ku kisaawe kya Fufa Technical Centre e Njeru nga 12/ Dec/2020. https://gambuuze.ug/2020/11/24/katikkiro-mayiga-atongozza-emipiira-gyamasaza/ +health Abalangira baweze okulwanyisa ekirwadde kya Mukenenya Ssaabalangira wa Buganda, Godfrey Musanje Kikulwe, aweze ku lw’Abalangira n’Abambejja kwongera amaanyi mu kuteeka mu nkola okulambiika kwa Ssaabasajja okwokulwanyisa obulwadde bwa Sirimu, kiyambeko okukendeeza obulwadde buno mu bantu. Abalangira n’Abambejja n’endokwa z’emiti gyebafunye okutaasa Obutonde Okuwera kuno Ssaabalangira akukoze aggalawo olukiiko lw’Olulyo Olulangira olw’omwaka guno olutudde ku Kigango kyabwe e Mmengo enkya ya leero ku Lwokuna okulaba bye basobodde okutuukako. “Omulimu guno si gwa Ssaabasajja yekka naye n’Olulyo Olulangira wamu n’abantu abalala bonna tulina okulaba nga tumukwasizaako okulwanyisa ekirwadde kino.” Ssaabalangira Musanje bw’agambye. Asabye nti wadde amaaso abantu bagatadde ku Ssennyiga Corona naye basaanye okujjukira nti Mukenenya akyaliyo era bafube okulaba nga bamutangira. Bano era baliko enteekateeka ze banjudde okuteekawo eggwandiisizo eryawamu, kimalewo okusika omuguwa mu lulyo Olulangira. Ssaabalangira asinzidde wano n’akubiriza Abalangira okuyambako mu nteekateeka ey’okukuuma ettaka lyabwe n’ebifo ebyenkizo ebitandise okwesenzaako abantu awatali kufuna lukkusa kuva mu bantu balivunaanyizibwako. Ono alaze obwetaavu bw’okuteekawo ensawo y’Olulyo Olulangira eneeyamba singa wanaabaawo obwetaavu era kibayambe okusobola okwekulaakulanya. Asuubizza nti mu bwangu bagenda kuzimba ekigango kyabwe, kisobole okutuukana n’omutindo. Abalangira n’Abambejja era baagala okuteeka ekibumbe eky’enjawulo ku luguudo ekiggyayo obulungi akabonero k’Olulyo Olulangira. Ssaabalangira Musanje aweze okwongera okukumaakuma Abalangira basobole okwewala ebibawula era ng’asuubira nti eggwandiisizo ligenda kubayamba okulambika kino. Olukiiko luno lwetabiddwamu Abalangira abakulira Amasiga nga bano baweereddwa endokwa z’emiti ez’okusimba okwongera okukuuma obutonde bw’ensi. https://gambuuze.ug/2020/12/18/abalangira-baweze-okulwanyisa-ekirwadde-kya-mukenenya/ +politics Akakiiko k’ebyokulonda kasabye omusango gwa Nyanzi gugobwe Akakiiko k’ebyokulondakasabye omulamuzi agobe omusango Fred Nyanzi gwe yatwala mu kkooti enkulu ng’awakanya okulondebwa kwa Muhammad Nserekonga tegunnawulirwa, kuba teguliimu makulu nga Nsereko teyaweebwa bbaluwa eraga nti baamuwaabira. Nyanzi nga ye mukulu wa Robert Kyagulanyi Ssentamu yaddukiramu kkooting’awakanya ebyalangirirwa mu kalulu kanga January 14ng’agamba ntiNsereko yabba akalulu era n’awaabira akakiiko k’ebyokulonda awamu n’eyakuliramu okulondesa. Ku Mmande, omusango guno guzzeemu okuwulirwa era bannamateeka basatu nga bakulembeddwa Robert Bautu, Bernard Mutyaba ne Saudah Nsereko, bategeezezza kkooti ntiku Lwokutaano Muhammad Nsereko yabawa ebiragiro okubaawo mu kkooti naye ne balemerakonti tebalina musango gwonna gwe bamanyi gwawaabirwa muntu waabwe. “Nalagiddwa okulabikako mu maaso goOwek. Omulamuzi naye tetufunangako bbaluwa yonna eraga nti omuntu waffe baamuwaabira. Tuzze wano olw’okuba erinnya ly’omuntu waffe lyayogeddwako mu musango guno ate nga tagumanyiiko, tuzze kulaba bigenda mu maaso.” Bautu bw’agambye. Bannamateeka b’akakiiko k’ebyokulonda nga bakulembeddwa Eric Sabiiti, basabye kkooti egobe omusango guno kuba gwakubamalira biseera. “Omusango tegusobola kugenda mu maaso nga Nsereko taguliimu. Nsereko ye yawangula. Noolwekyo omusango tegusobola kugenda mu maaso nga eyawangulwa akalulu kano taliiwo.” Sabiiti bw’agambye. OmulamuziMargaret Apiny asabye bannamateeka okuteeka ensonga zaabwe mu buwandiike baziweeyo nga tannasalawo ku nsonga eno. Kinajjukirwa nti Fred Nyanzi Ssentamu yaddukira mu kkooti ng’agamba nti akakiiko k’ebyokulonda ne Nsereko beekobaana ne bamunyagako obuwanguzi bwe mu kulonda kwa January 14. Okusinziira ku Nsereko, ebifo ebironderwamu ebiwera 50 byonna byakolebwamu ensobi ezaalema akakiiko k’ebyokulonda okunnyonnyola, ekintu ekikontana n’amateeka g’ebyokulonda. “Abakuliramu okulondesa awamu n’abantu abaali balondesa baawaayo ebintu ebikyamu mu bugenderevu mu kiwandiiko ekyali kiraga ebivudde mu kulonda era kino ne kikosa ebyava mu kalulu ebyalangirirwa.” Nyanzi bw’ategeezezza. https://gambuuze.ug/2021/08/23/akakiiko-kebyokulonda-kasabye-omusango-gwa-nyanzi-gugobwe/ +business Museveni Akkirizza Akeedi Ne Saluuni Okuddamu Okukola Pulezidenti Yoweri Museveni Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni akkirizza akeedi 110 okuddamu okukola oluvannyuma lw’okutuukiriza ebisaanyizo ebyateekebwawo aba minisitule y’ebyobulamu okulwanyisa ekirwadde kya coronavirus. Bano babadde ku muggalo okumala emyezi ena. Bwababadde ayogerako eri eggwanga akawungeezi kaleelo, Museveni agambye nti Kampala erina abizimbe 230 nga ku bino, ebizimbe 170 byakeberebwa kyokka 110 byokka byebyasangibwa nga bisaanidde okuddamu okukola. Museveni yagambye ebimu ku birina okugobererwa kwekulaba nga buli kizimbe kirina obuuma obukebera ebbugumu, ebifo wanaabirwa engalo, okuggya abantu bonna bakolera mu nkuubo, okuwandiika buli muntu yenna ayingira mukizimbe. Mu balala abaguddwa kuliko aba saluuni naye nga nabo balina okugoberera ebiragiro bya ministule nga ebya abakeedi byebalina okugoberera. Ate aba boda boda pulezidenti nabo akkirizza baddemu bakole okutandika wiiki ejja nga July 27. Bano kigenda kuba kyabuwaze okwambala akakookolo ssaako ne bikoofiira bikatamu giyite helmet. Abasaabaza nabo balina okwambala masiki. Owa boda boda era alina okuwandiika buli muntu alinnya pikipikiye. Mu birala omukulembeze w’eggwanga era akendeezezza ku ssaawa za kafiyu nga kati agenda ku tandika nga saawa ssatu ez’ekiro nakoma saawa kkumi neemu n’ekitundu ez’olweggulo. Kyokka bo aba boda boda baakukomanga ssaawa 12 okukola. KIno Museveni agamba akikoze olw’okusobola okukendeeza obumenyi bwamateeka. “Okutuusa nga mwetereezezza nemwejjamu abakozi b’ebikolobero, mujja kukoma saawa 12,” Museveni bweygamabye. Ebyo nga bikyalyawo, Museveni awolerezza minisita w’ebyobulamu Jane Ruth Aceng nti teyakigenderera kukuba lukungaana e Lira. Museveni agambye nti yali asabye Aceng obuteesimbawo mu byabufuzi wabula oluvannyuma lwa coronavirus okujja mu Uganda, yafuuka wa ttutumu ewaabwe e Lira abantu nebamusaba okwesimbawo. Bweyagendayo nabamukungaanirako. “Nkakasa nti si yeyayita abantu abo naye kino kibe kyakulabirako nti singa tosobola kuziyiza bantu kukungaanirako tukoba lukungaana okutuusa nga coronavirus aweddeyo,” Museveni bweyagambye. https://gambuuze.ug/2020/07/21/museveni-akkirizza-akeedi-ne-saluuni-okuddamu-okukola/ +politics Museveni alabudde Bobi Wine : Toli wa kitalo Kampala Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni avuddeyo n’alabula abantu bonna abeetaba mu kwekalakaasa oluvannyuma lw’okukwatibwa kwa Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) nti, ono si wakitalo atalina kukwatibwako. Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni Museveni bwe yabadde ayogerako eri eggwanga wali ku Mbale State Lodge gy’ali mu kunoonya obululu, yagambye nti abamu ku bannabyabufuzi nga bayambibwako abagwira baagala okulaga Uganda ng’ensi etalina Mirembe era erimu enfuga embi. Museveni yannyonnyodde nti kino bakikola nga bayita mu kutulugunya bannaabwe, okusuula emisanvu mu kkubo wamu n’okwonoona ebintu. Ono obwedda ayogera nga bw’alaga obutambi obwakwatibwa mu kwekalakaasa, yavumiridde ebikolwa bino aba Opozisoni bye bayita demokulaasiya n’ategeeza nti nga gavumenti tebagenda kubigumiikiriza. “Abantu 54 baafiira mu kwekalakaasa kuno nga poliisi egezaako okubagumbulula nga ku bano 32 baali beekalakaasa. Abamu baakubwa amasasi mu butanwa ate ababiri ne batomerwa emmotoka oluvannyuma lwa ddereeva waayo okukubwa ejjinja n’emulemerera.” Museveni bwe yagambye. Okusinziira ku alipoota eyamuweereddwa, Museveni agamba nti abantu abataano abattibwa mu bitundu by’e Nansana baali beekalakaasa era nga baali bagezaako okulumba poliisi. Ku bumu ku butambi obwalaze abapoliisi ng’emmundu bazitunuza mu bantu bakuba amasasi, Museveni yannyonnyodde nti byali Nsangi omupoliisi Kidega gye yakubwa abeekalakaasa era abaalabibwa mu mmotoka ya Pick Up nga bakuba amasasi mu bantu baali bataasa mupoliisi ono. “Okukubwa amasasi mu butanwa kubeerawo ng’olina gw’ogenderera okukuba naye n’otamukwasa olwo n’olumya abalala.” Museveni bwe yannyonnyodde. Museveni yagasseeko nti, abawagizi ba Kyagulanyi kye baalina okukola ng’akwatiddwa kwe kulinda n’atwalibwa mu kkooti. Ono yavumiridde eky’abawagizi be okukitwala nti talina kukwatibwako kubanga munnabyabufuzi era n’abalabula obutaddira kwekalakaasa. Yasabye abalina amatu okuwulira era bakimanye nti tebalina gwe bayamba mu kukuuma amateeka n’emirembe. https://gambuuze.ug/2020/11/30/museveni-alabudde-bobi-wine-nabeekalakaasa/ +politics Ab’Omukago gwa Bulaaya okukyalira ‘People Power’ kiraga bwesige – NUP Ekibiina ki National Unity Platform (NUP) ategeezezza nga okukyalakw’ababaka b’omukaga gwa Bulaaya bwekulaze nti ekisinde kya People Power n’ekibiina ki NUP babikiririzaamu okuleetawo enkyukakyuka mu ggwanga mu kalulu ka 2021. Ensisinkano y’ababaka bano ababadde bakuliddwa akulira omukago guno mu Uganda Attilio Pacific n’abakulembeze ba NUP yamalidde ddala essaawa 4.Oluvanyuma lw’ensisinkano eno, omwogezi wa NUP Joel Ssenyonyi yagaanye okulambulula ku byateeseddwako wabula nategeeza nti ensisinkano ebadde nkulu nkulu nnyo eri eby’obufuzi bya Uganda. Ssenyonyi yagambye nti bakozesezza akakisa kano okutongozza ebigendererwa n’emiramwa gy’ekibiina kino, n’okulaba nga batwala obuyinza kuba omukago guno gwe gumu kwejjo egiwaniridde eby’enfuna by’eggwanga. Ono yanyonyodde nti ba Ambasada babadde bagala okumanya ebikwata ku kibiina kyabwe n’okulaba engeri gyebeetegekeddemu akalulu ka 2021.Ssenyonyi agamba nti b’ ambasada bano balaze nga bwebali mukwogeraganya ne gavumenti nti abeesimbyewi bonna bayisibwa kyenkanyi. Wabula yawakkanyizza ebyogerwa nti omukago guno gwe gubateekamu ssente nti ssi kituufu kuba ssente bazijja mu bannayuganda . https://gambuuze.ug/2020/08/12/abomukago-gwa-bulaaya-okukyalira-people-kiraga-bwesige-nup/ +politics Katikkiro Mayiga asabye Uganda erabire ku Kenya ku kalulu Katikkiro Charles Peter Mayiga atendereza nnyo engeri akalulu mu ggwanga lya Kenya gyekakakwatiddwamu okutwalizaamu okuva lwe katandika okutuuka lwekalangiriddwa eggulo ku Mmande nasaba ab’obuyinza mu Uganda okubalabirako. Bino Katikkiro Mayiga abyogeredde mu lukung’aana lwa bannamawulire lwatuzizza e Mmengo mu Bulange ku Lwokubiri. Owek. Mayiga agamba obumulumulu tebuyinza kubulamu naye akakiiko kebyokulonda ka ‘ Independent Electoral and Boundaries Commission’ akakulirwa Wafula Chebukati kakooze ogwako ate tewali bawambiddwa, wadde okusibira abantu mu kiseera kyokunoonya akalulu. “Tewabaddewo kulwana wakati w’enjuyi zombi ezabadde zivuganya, temwabaddemu ttiyaggaasi wadde okumala gakwata abantu abeesimbyewo oba abawagizi babwe era kino tulina okukikoppa, musobola okubaamu obumulumulu,” Owek. Mayiga bw’annyonnyodde. Kino kiddiridde okulangirirwa kwa William Samoei Arap Ruto eyafunye ebitundu 50.5% ku buli 100 ku bwapulezidenti nga yawangudde Raila Odinga nafuna ebitundu 48.9 ku 100 gyebabadde naye ku mbiranye. Owek. Mayiga annyonnyodde nti omutindo ogwayoleseddwa mu kalulu ke Kenya gwabadde gwamutindo nga ensi endala zisaanye okukopa Owek. Mayiga agamba nti eddembe lya bannamawulire teryalirinyiriddwa nga bwebirabwa mu kulonda okulala nga wano mu Uganda kyagambye nti kyalaze eddaala eddala mu demokulasiya mu bugwanjuba bwa Africa. Abesimbyewo baabadde neddembe lyabwe okutuusa ku bantu baabwe obubaka awatali kukugirwa nakusibwa mu makomera nga nebitongole ebikuumaddembe byalaze obukugu. Wadde waliwo bakamisona 3 namyuka akubiriza okulonda mu Kenya ku byavudde mu kalulu kano, Mukuumaddamula agamba nti akakiiko kebyokulonda ngogyeko obumulumulu obutono kaabadde keerufu mu kubala nokulambika ebyavudde mu kulonda. Okujjako nga Raila Amoro Odinga addukidde mu kkooti okuwakanya ebyavudde mu kalulu kano, William Samoei Arap Ruto waakukuba ebirayiro okukulembera banna Kenya nga pulezidenti owokutaano nga 30 omwezi guno omwaka 2022. https://gambuuze.ug/2022/08/16/katikkiro-mayiga-asabye-uganda-erabire-ku-kenya-ku-kalulu/ +health Ekirwadde kya COVID-19 kigobye mu Uganda Minisita w’ebyobulamu Jane Ruth Acheng Ng’ensi yonna ekyagenda mumaaso n’okugoyebwa ekirwadde kya Coronavirus ekimanyiddwa nga COVID-19, ne mu Uganda kirangiriddwa nti kituuse. Ku saawa nga 11:30 ez’ekiro, minisita avunanyizibwa ku by’obulamu Jane Ruth Acheng yategeezezza eggwanga nti omusajja ow’emyka 36 eyabadde ava e Dubai mu United Arb Emirates yeyasangiddwa n’ekirwadde kino. Ono yava mu ggwanga nga Marhc 17 okugenda e Dubai ku nsonga z’obusuubuzi. Bweyekebejjeddwa n’asangibwa nga ayokerera, omusaayi gwamujjiddwako ne gutwalibwa ku Uganda Virus Research Institute gyekyazuuliddwa nti yabadde ne senyiga ono. Acheng yategeezezza nti omulwadde ono gwatayatuukirizza linnya mutuuze w’e Kibuli mu Kampala era nga kati yatwaliddwa mu ddwaliro ly’e Entebbe gya jjanjjabibwa. Abasaabaze bonna beyazze nabo ku nnyonyi ya Ethiopian Airlines bonna bagenda kulondoolwa okulaba nga teri alina COVID-19. Bino webijjidde nga tewanayita yadde olunaku nga Uganda erangiridde nti ensalo zaayo zonna ziggaddwa. Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni eggulo lyaleero era agenda kuddamu okwogerako eri eggwanga ku biki ebirala abantu byebalina okukola okwetangira olumbulege luno. https://gambuuze.ug/2020/03/22/ekirwadde-kya-covid-19-kigobye-mu-uganda/ +health Essomero lya bakiggala e Masaka lijaguzza okuweza emyaka 15 Omukungu Francis Kamulegeya ku kkono ate ku ddyo ye Katikkiro, Charles Peter Mayiga Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga atenderezza abantu abalina kye bakola okuyamba abalala ng’ekigendererwa sikyakufuna ssente. Oweek. Mayiga okwogera bino abadde Masaka ng’essomero ly’abaana bakiggala erya Masaka School for the Deaf, liweza emyaka 15 bukyanga litandikibwawo. Essomero lino lyatandikibwa omukungu Francis Kamulegeya wamu ne mwannyina Sophie Kafeero. Abamu ku baana bakiggala “Emirundi mingi tufuna ebirowoozo naye nebisigala mumitima gyaffe. Mbebaza okusobola okussa ekirowoozo ky’okutandika essomero lino mu nkola. Abantu bwebaba balowooza eby’okukola tebalowooleraza mu bino. Batubuuza oba tulina obuyumba bwabapangisa. Abalala basuubula ngoye China, abalala bakuba birango nebafuna ssente empya n’enkadde. Bantu batono nnyo abayinza okulowooza ku kintu kino,” Mayiga bwagambye. Katikkiro ng’alambuzibwa ebimu ku bintu abaana bye bakola Agasseko nti omuntu atandika ekintu kyatagenda kukolamu magoba, kiraga omutima ogulumirirwa abantu abalala. “Waliwo abagamba nti ssente ozirina, naye abasinga okuba n’essente bebasinga okuzaagala era bebataagala kufiirwa yadde ekikumi. Bano balina obuggaga mu mitima era tubeebaza nnyo,” Mayiga bwagambye. Katikkiro ng’asala keeki n’abamu ku baana Ku lulwe, Kamulegeya agambye nti abantu abasukka mu kakadde kamu be batayogera era nga tebawulira nga kyetaagisa abantu bano obutalekebwa mabega. Abakozi ba CBS, Wycliffe Luyombya asooka ku ddyo ne Abbey Mukiibi ow’okubiri “Abantu bano bagamba nti boogera naye mwe mutawulira, okubeera kiggala tekitegeeza nti tebalina kyebasobola kukola. Abaana abasinga obutayogera, obulemu buno babufuna bamaze kuzaalibwa olw’okufuna omusujja gw’ensiri,” Kamulegeya bwagambye. https://gambuuze.ug/2020/02/22/essomero-lya-bakiggala-e-masaka-lijaguzza-okuweza-emyaka-15/ +politics NRM ekyekoze ku bifo by’ababaka b’Abavubuka Kampala Ekibiina kya National Resistance Movement kiwangudde ebifo by’ababaka ba bavubuka mu Palamenti ebisinga obungi mu ggwanga mu kulonda kw’eggulo. Wano mu Buganda, Agnes Kirabo yalangiriddwa ng’omuwanguzi era bw’atyo n’ayingira Palamenti okukiikirira ekitundu kino ekya Buganda mu kulonda okwayindidde e Mubende ku ttendekero ly’abasomesa. Agnes Kirabo eyawangudde mu Buganda Kirabo yafunye obululu 780 n’awangula eyali akulira abayizi ku Makerere University, Ivan Bwowe eyabadde talina kibiina n’afuna obululu 85. Mike Katongole yafunye obululu 78, Simon Ssennyonga n’abuukayo n’obululu 49 ate Abdu Kalim Ziritwawula nafuna 9, Joe Javiira 2, ate ye Alvin Ssemambya n’afuna akalulu 1. Okusinziira ku akulira okulonda mu kitundu kya Buganda, Robert Beine yalangiridde Kirabo kuba ye yasinze okufuna obululu obungi. Mu kusooka, akakiiko k’ebyokulonda kaasoose kugoba munnakibiina kya NUP, Moses Kasule mu lwokaano oluvannyuma lw’okukizuula nti yamenya amateeka g’ebyokulonda bwe yasembebwa omuntu omukyamu. Ewalala, Edson Rugumayo owa NRM yawangudde banne okwabadde ne mutabani wa Minisita Beti Kamya ayitibwa Arnold Turwomwe n’awangula obukiise bw’ekitundu kya Western Uganda mu Palamenti. Rugumayo yakung’aanyiza obululu 1,419 ate Turwomwe atalina kibiina n’afuna 402, Adios Beineomugisha (FDC) yafunye 26 , James Kamukama(NUP) n’afuna 3 ate Edwin Muramuzi (Independent) n’afuna 41 olwo Paul Kato ye n’atafunawo kalulu konna. E Mbale, munnakibiina kya NRM Bernard Odoi yawangudde abalala bataano n’afuuka omubaka w’abavubuka mu kitundu kino. Mu mambuka era Munna NRM, Boniface Henry Okot yawangudde be yabadde nabo mu lwokaano. So nga mu kusooka Phiona Nyamutooro yalangiriddwa ng’awangudde eky’omukiise w’abavubuka abawala mu Palamenti. Okusinziira ku tteeka, abavubuka mu ggwanga lyonna bakiikirira ababaka bataano, ku bano bana bava mu bitundu ebyenjawulo ate omubaka w’abavubuka abawala wonna mu ggwanga n’aweza omuwendo gw’abataano. https://gambuuze.ug/2021/02/02/nrm-ekyekoze-ku-bifo-byababaka-babavubuka/ +religion Sheikh Galabuzi alondeddwa nga Supreme Mufti omuggya Obukulembeze bw’Abayisiraamu obutuula ku kasozi Kibuli, bulonze Sheikh Muhammad Galabuzi nga Supreme Mufti omuggya. Bino birangiriddwa omwogezi w’obukulembeze bw’e Kibuli, Dr. Muhammad Kiggundu bw’abadde ayogerako mu lukung’aana lwa bannamawulire olwaleero ku Mmande. “Okumala akabanga nga tetulina Supreme Mufti, olukiiko lwa bamasheikh abakulu lwatudde okuva ku makya nga lwagala okulabika nti ekintu ekirindirirwa okumala ebbanga eddene kikomekerezebwa nga kwe kulonda Supreme Mufti n’omumyuka we. Ayise mu kakungunta ka bamashiekh abo bonna ye Sheikh Muhammad Galabuzi.” Shiekh Muhammad Lunaanoba Kawooya Okusinziira ku Sheikh Kawooya, Shiekh. Galabuzi aweereddwa abayambi ng’omumyuka we asooka ye Shiekh Ntanda Ibrahim ate owookubiri ye Sheikh Mahdi Kakooza. Ono ategeezezza nti ebifo ebirala bijja kwanjulwa mu lunaku oluddako naye alondeddwa okukulira ebyamateeka ga Sharia, ye Sheikh Abdu Walusimbi era ng’alina obukiiko obulala obumugoberera wansi nga nabwo bujja kulangirirwa. https://gambuuze.ug/2021/11/22/sheikh-galabuzi-alondeddwa-nga-supreme-mufti-omuggya/ +health Bannayuganda basabiddwa okukuuma obuyonjo Abantu ba Ssaabasajja Kabaka mu bituindu ebyenjawulo, basabiddwa okukuuma obuyonjo kibayambe okubeera abalamu awamu n’okwewala endwaddde eziva ku bukyamu, bakulaakulane. Owek. Mayanja nga asimba omuti Okusaba kuno Minista wa Buganda ow’ebyobulimi ne Bulungibwansi, Owek. Mariam Mayanja Nkalubo, y’akukoze ng’atongoza enteekateeka ya Bulungibwansi ey’omuggundu. Okwogwera bino, asinzidde ku Lubiri e Mmengo olwaleero ku Mmande ku mukolo ogwetabiddwako Mmeeya wa Lubaga, Owek. Joyce Nabbosa Ssebuggwaawo. “Abantu batambula bakasuka ebikongoliro, amagumba, obuveera, obucupa nga tebafaayo nti oba kye bakola kiyinza okubaviirako akabi, kubanga ebikolwa ebyo byonna bibeera butafa ku bulungi bwansi.” Owek. Nkalubo bw’agambye. Minisita Mayanja agasseeko nti ekigendererwa ku mulundi guno kwe kulaba ng’abantu ba Kabaka bongera amaanyi mu kuyooyoota olubiri lw’e Mmengo, nga basimba emiti egiyamba okukuuma obutonde ate nga n’abantu basobole okugiwummuliramu. Owek. Nkalubo alaze ng’Obwakabaka bwe bulina enteekateeka okugabira abantu ba Kabaka mu masaza ag’enjawulo emiti, kiyambe okunnyikiza Bulungibwansi wansi mu bantu. Asiimye n’Owek. Ssebuggwaawo olw’omulimu amatendo gw’akoze mu kwagazisa abantu enteekateeka eno. Ye mu kwogera kwe, Owek. Ssebuggwaawo alaze ebirungi ebiri mu Bulungibwansi era n’awa amagezi okukolawo ebibiina bya Bulungibwansi nga batandikira mu Lubaga, n’awa n’obweyamo nti ajja kusobola okubikwasizaako. Ssaabasajja Kabaka yawaayo olunaku lw’Ameefuga ga Buganda olwa 8/October olwa buli mwaka lukuzibweko emikolo gya Bulungibwansi okusobola okukulaakulanya abantu n’okutaasa obutonde obutaguddwa ennyo. Mu nteekateeka y’omulundi guno, bannamikago okuli; Naturing Uganda, World Wide Fund for Nature ne Rotary Club- Kampala, bawaddeyo emiti egisoba mu 5,000 gigabibwe mu masaza ag’enjawulo. https://gambuuze.ug/2020/10/05/bannayuganda-basabiddwa-okukuuma-obuyonjo/ +business Abatakisi mu ppaaka enkadde basobeddwa; ekitundu kitwaliddwa abagagga Abavuzi batakisi mu ppaaka enkadde basobeddwa oluvannyuma lw’abamu ku bamusigansimbi abaali bawaddeyo erimu ku ttaka lyabwe okuli ppaaka eno okulyeddiza olunaku lw’eggulo ku Ssande. Bano abatannasanguzibwa mannya bagamba nti tebaagala takisi kukolera ku ttaka lyabwe era bwebatyo baasimyemu ebinnya n’okuteekamu emisanvu ku kimu ku bitundu ebikola ppaaka eno wakati mu bukuumi obwamaanyi okuva mu poliisi n’amagye. Abamu ku baddeereva bano aboogeddeko ne Gambuuze bagamba nti tebamanyi kigenda kuddako era tebamanyi we bagenda kuzza ssiteegi zaabwe ne basaba gavumenti eteese n’abagagga bano basobole okusigaza emirimu. “Tulina ttiimu erina okukola ku by’okwerinda bya ppaaka eno naye we twogerera tetumanyi gye bali kwe kugamba byonna bizibu.” Omu ku baddeereva bw’ategeezezza. Akulira ekibiina ekitaba abatakisi ekya ‘Federation of Taxi Operators,’Rashid Ssekindiategeezezza Gambuuze ng’erimu ku ttaka lino bweririko bannyini lyo era nga bano bazze n’abasaveya ne batandika okupuntako ekitundu kyabwe. Amyuka omwogeziw’ekitongole kya Kampala Capital City Authority (KCCA), Robert Kalumbaannyonnyodde nti ekitongole kikola buli kimu okusasula bannannyini ttaka lino emirimu gy’abatakisi giddemu okutambula. “Ppaaka terina gyeraga, tukola buli kimu era njagala okubakakasa nti ettaka ligenda kubaddira ne ppaaka terina gy’eraga.” Kalumba bw’alambuludde. Abamu ku baddereeva bano bagezezaako okuddamu okukolera mu kifo kino ku kifuba wabula poliisi nebakwata nga era nebaggalirwa. Kitegeerekese nti waliwo kkampuni 5 okuli; Lukyamuzi Investments Ltd, DKS Uganda Limited, Key and Ham Investments Limited, Ahabwe Transporters Distributors Limited ne Kabale Distributors Limitedezaawaabira KCCA omwaka oguwedde olw’okusalimbira ku ttaka lyazo wakati nga ppaaka eno egenda mu maaso n’okukolebwa. Ppaaka eno ebadde yaakamala okuggulwawo mu mwezi oguwedde ogwa January 2022 oluvannyuma lw’okumala emyaka ebiri ng’ekolebwa era nga yaamalawo obuwumbi bwa ssiringi za Uganda 4 n’obukadde 300 bulamba. https://gambuuze.ug/2022/02/21/abatakisi-mu-ppaaka-enkadde-basobeddwa-ekitundu-kitwaliddwa-abagagga/ +sports Musikirize bannamikago beegatte ku mpaka z’amasaza – Katikkiro Mayiga Kampala Katikkiro wa Buganda, Owek. Charles Peter Mayiga, akubirizza abateesiteesi b’empaka z’ekikopo ky’amasaza okusikiriza bannamikago abasobola okuteeka ssente mu mpaka ezo. Okwogera bino abadde aggulawo omusomo ogwategekeddwa akakiiko akategeka empaka z’amasaza okusobola okubangula abeenyigira mu nteekateeka z’ekikopo kino oguyindidde ku mutimbagano gwa ZOOM. “Ffe lutindo oluyunga bannamikago eri akatale. Wabula ffe nga bannannyini muzannyo tulina okukakasa nti olutindo lwaffe lunywevu. Tubanoonye, tubalage nti tuli ku mutundo olwo tusobole okubakuuma. Bannamikago bwe baba bajja, bajjira mu njogera y’abaganda egamba nti akuwa gw’owa. Nooolwekyo nkakasa nti abategesi ensonga eyo bajja kugiggyayo bulungi.” Katikkiro Mayigabw’agambye. Katikkiro Mayiga abasabye okumanya obukulu bw’okukuuma bannamikago kubanga kyongera embavu mu mpaka zino nekyongera n’okuyimusa omutindo gw’empaka zino. Owek. Mayiga agambye nti ebimu ku bivaako omukago okusattulukuka kwe kuteetera ne bannamikago abalala naddala abo abavuganya ne munnamukago abeera akoze naawe endagaano, kuba kino kiweebuula endagaano ebeera ekoleddwa. Ono ategeezezza nti abanoonya bannamikago balina okufuba okubalaga we bafuniramu, kibanguyire okuteekamu ensimbi. Mu ngeri yeemu yakkaatirizza obukulu bw’empisa mu muzannyo gw’omupiira n’agamba nti nazo ziyamba okukuuma bannamikago. Okunogaanya kino, yagambye nti bannamikago baba bagumu singa bakizuula nti empisa zibukadde mu abo bonna abeetoolerwako empaka ze babeera bataddemu ensimbi. Mukuumaddamula Mayiga era asabye abategesi b’empaka z’amasaza okukakasa nti zitegekebwa nga temuli kuweebuula nnono era n’alabula abo abawemulira mu muzannyo guno, okweddako mu bawagizi n’abakulembeze. Katikkiro atenderezza nnyo obukulu bw’empaka zino kubanga zongera okugatta abantu era n’asaba abantu okuzijjumbira. Omusomo guno era gwetabiddwakopulezidenti w’ekibiina ekitwala omupiira mu ggwanga ekya FUFA, Eng. Moses Magogo, minisita w’abavubuka, ebyemizannyo n’okwewummuzaamu mu Bwakabaka bwa Buganda, Owek. Ssekabembe Kiberu n’abakungu bangi abatuula ku kakiiko akategeka empaka z’amasaza. https://gambuuze.ug/2021/08/04/musikirize-bannamikago-beegatte-ku-mpaka-zamasaza-katikkiro-mayiga/ +politics Temutambuliza kalulu ku ssente- Minisita Ssekabembe Minisita w’Obwakabaka bwa Buganda avunaanyizibwa ku bavubuka eby’emizannyo n’okwewummuzaamu, Owek. Henry Ssekabenbe Kiberu, awanjagidde abeesimbyewo okukiikirira abavubuka mu Buganda wamu n’abali mu gavumenti, okwewala okuyingiza ssente mu kalulu kano. Minisita Ssekabembe nga akuutira abavubuka Bino Owek. Ssekabembe abyogeredde ku Masengere bw’abadde aggulawo okukubaganya ebirowoozo wakati w’abavuganya ku kifo ky’omubaka anaakiikirira abavubuka mu kitundu kya Buganda leero ku Mmande. “Temuteeka ssente mu kalulu k’abavubuka kubanga kijja kutta eggwanga. Abalonda mugoberere busobozi kiyambe okufuna abantu abanaakolera eggwanga.” Minisita Ssekabembe bw’agambye. Owek. Ssekabembe era akuutidde oyo yenna anaabeera eyiseemu okubeera omukozi, yeewale okukozesebwa ate alwanirire enfuga etambulira ku mateeka, abalonzi basobole okumufunamu. Minisita atenderezza omutindo gw’abeesimbyewo n’asuubiza okubanoonya era akolagane nabo kubanga Buganda erina omulimu gw’okuteekateeka abakulembeze naddala abavubuka basobole okuvuganya ku mitendera egy’enjawulo ne Buganda esobole okukula. Minisita Ssekabembe asabye abeesimbyewo okufaayo bakolere abavubuka baleme kulowooza ku kya kwegaggawaza era n’asaba abalonzi okufaayo balonde omuntu anaabakolera nga tebafuddeyo ku ggwanga lyabwe kasita babeera nga bassa ekitiibwa mu Ssaabasajja Kabaka. Ate ye Ssenkulu wa BBS Terefayina, Omuk. Patrick Ssembajjo, agambye nti kino bakikoze okuddiza abantu ababawagidde. Kino bakikoze okulaba nga Buganda efuna omukulembeze eyeeteeseteese obulungi asobole okukolera abantu ba Kabaka. Ye ssentebe wa Buganda Youth Council, Baker Ssejjengo, asabye abeesimbyewo okulondoola embeera y’abavubuka basobole okukyusa obulamu bwabwe nga bamalawo ebbula ly’emirimu wamu n’okutereeza embeera zaabwe. Mu kabbinkano kano, abeesimbyewo okubadde; Kasule Moses owa NUP, Kasumba Gyaviira owa FDC, Ziritwawula Abdul, Mike Katongole, Ivan Bwowe, ne Ssenyonga Simon obwedda basoyebwa ebibuuzo ku nsonga ez’enjawulo. Omubadde ekirina okukolebwa okuzza Buganda ku ntikko, ebyenjigiriza, ebbula ly’emirimu awamu n’obuvunaanyizibwa bwabwe olwo ne battunka nga buli omu addamu ekibuuzo. Wabula wadde abavuganya bali 8, babiri ku bano okuli; Alvin Semambya ne Agnes kirabo bo tebalabiseeko. Abeetabye mu kabbinkano kano bategeezezza nga bwe baluubirira okutereeza etteeka erirung’amya okulonda kw’abavubuka, okukola ku bbula ly’emirimu, okukendeereza omusolo ku bayiiya n’abatandisi b’emirimu wamu n’okunyweza obumu, okusobola okutwala Buganda ku ntikko nga banyweza ensonga Ssemasonga naddala eya Federo. Akabbinkano kano kabadde kaweerezebwa butereevu ku BBS Terefayina ne CBS FM era nga kawomeddwamu omutwe aba Buganda Youth Council n’ekitongole kya Nnaabagereka Development Foundation, okufuba okulaba nti abavubuka mu Buganda bafuna obukulembeze obwo bwennyini bwe beetaaga. https://gambuuze.ug/2021/01/25/temutambuliza-kalulu-ku-ssente-minisita-ssekabembe/ +business Bannamawokota basabiddwa okwongera omutindo ku byebakola Abantu abawangaalira mu ssaza lye Mawokota basabiddwa okulwana bongere omutindo ku bintu eby’enjawulo byebakola kibayambe okweggya mu bwavu basobole okulaakulana nga bafuna akatale k’ebyo byebatunda. Okusaba kuno kukoleddwa omwami wa Kabaka akulembera essaza Butambala, Katambala Sulaiman Magala bw’abadde mu mwoleso ogwategekeddwa ku mbuga y’essaza e Butooro mu ggombolola ye Kammengo mu disitulikiti ye Mpigi. “Obuyiiya obw’ekika ekikambwe nti ggwe buli kyolabye ogezaako okukyongerako obuyiiya olwo ate okiggyemu ekirala bwebutyo bwetujja okutambula, ” Katambala Magala bwe yagambye. Omwami wa Kabaka amulamulirako essaza Mawokota, Kayima Gabriel Kabonge nga yakulembeddemu enteekateeka eno asiimye bonna aboolesezza mu mwoleso guno nabonna abataddemu ensimbi okulaba nga gubaawo. Asabye banamawokota okwongera okussa essira mu kutumbula eby’obulambuzi bye Mawokota byongere okuleeta abalambuzi mu ssaza lino nayanjula enteekateeka y’okusimba emmwaanyi yiika 500 ku ssaza mu nteekateeka y’Emmwaanyi Terimba. Akulira ebyobuwangwa n’ennono ku lukiiko lwe ssaza Mawokota Birungi Elizabeth alambuludde ebintu ebiri ku ssaza Mawokota era nasaba Bannamawokota okuwagira enteekateeka z’Obwakabaka bwa Buganda. Abolesezza abenjawulo beeyamye okukolera awamu n’Obwakabaka okutumbula ebyobulimi basobole okukyusa ebyenfuna byabwe. https://gambuuze.ug/2022/06/20/bannamawokota-basabiddwa-okwongera-omutindo-ku-byebakola/ +politics Kyagulanyi alabudde abavvoola Nnamulondo,  agamba si nkola ya NUP Akulira ekibiina ki National Unity Platform (NUP), Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) alabudde abamu ku bantu abakozesa engoye z’ekibiina kyakulembera okukakanya ekitiibwa kya Nnamulondo nti tagenda kubagumiikiriza. Bobi Wine bino abitadde ku mukutu gwe ogwa Facebook enkya ya leero ku Lwokubiri bw’abadde ayogera ku katambi akalabikidde ku mutimbagano nga omuwala eyeeyita Nalubwama bwebabadde beekalakaasa e Boston mu Amerika. “Newankubadde nga tuwagira abantu baffe okwekalakasa mu ddembe nga bawakanya ebibanyiga byonna, kino kyabade kya buswaavu eri ffenna okulaba Nalubwama nga avvoola Maama Nabagereka ne Katikkiro,” Bobi Wine bw’agambye. Kyagulanyi asabye abantu bonna mu ggwanga okutunuulira ebikolwa bino nga eby’obuntu ssekinoomu kuba si nkola wadde endowooza ya NUP n’ekisinde ki People Power. Ono avumiridde enneeyisa eno era nalabula abawagizi babwe ababadde beenyigira mu bikolwa bino okubikomya bunnabiro kuba kiweebula ekitiibwa. “Abalabe baffe baagala kulaba nga twetemyemu ebiwayi awo balyoke basobole okutufuga nga tetusobola kwegatta kubalwanyisa. Nsaba bonna abavoola ennono nga bambadde ebyambalo byaffe bakikomye amangu ddala,” Kyagulanyi. Bobi Wine agamba nti abantu abakola ebikolwa ebivoola embuga balina ebigendererwa byabwe okulaga nti ekibiina ki National Unity Platform kya bulabe eri Buganda ekitali kituufu. Bino Webijjidde nga Katikkiro Charles Peter Mayiga, yakamala okusaba abavubuka okukozesa obulungi emitimbagano era beewale okutyoboola abalala era nasaba abo bonna abaagala okumanya amawulire amatuufu agafa embuga okukozesa emikutu emitongole era beewale okutwala engambo eziri ku mitimbagano. https://gambuuze.ug/2022/07/19/kyagulanyi-alabudde-abavvoola-nnamulondo-agamba-si-nkola-ya-nup/ +health Teri kuva waka; Museveni eggwanga aligadde lwa COVID-19 Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni akawungeezi kaleero ayisizza ebiragiro ebikambwe okusobola okuziyiza okusaasaana kw’akawuka ka kolona. Mubiragiro byayisizza kwekuli okuyimiriza emmotoka zonna okutambula okuleka ez’ebitongole by’ebyowkerinda, wamu ne ambulensi. Museveni are alangiridde kafyu mu ggwanga lyonna okuza saawa emu eya kawungeezi okutuuka emu ey’olweggulo, ng’abantu abo bokka abakkirizibwa okutambula beebo abakola mu bitontgole ebirekeddwawo wamu n’abatunda mu maduuka g’eby’okulya. Amaduuka gonna agatunda ebitali byakulya galagiddwa okuggalawo ssaako galagi za mmotoka wamu ne saluuni okumala ennaku 14. “Akawuka kano kazibu nnyo, tetuyinza kukkakiriza kusaasaana kubanga tetujja kusobola kukajjanjjaba,” Museveni bweyagambye. Yagasseeko nti ekimukozesezza kino bwebutagoberera biragiro nga bweyabiyisa. Yagambye bweyalangirira emmotoka z’olukale zonna okukomya okutwala abantu, abalina ez’obwannayini nebasalawo okuzifuula ez’okutambuza abantu. Museveni yaweze ne bannabyabufuzi okusondera abantu emmere n’alagira poliisi ebakwate ebagguleko ogw’okugezaako okutta abantu. Yayongeddeko nti gavuemntiye egenda kugabira abantu abatalina byakulya emmere omuli akawunga, ebijaanjaalo, amata n’ebirala. Museveni era yagambye nti bagenda kwogeraganyaamu ne zi banka wamu n’amakampuni agakola ku masanyalaze wamu n’amazzi okulaba ng’abantu tebasalibwako lwamabanja. Omuwendo gw’abantu abalina kolona mu ggwanga guweze 33. https://gambuuze.ug/2020/03/30/teri-kuva-waka-museveni-eggwanga-aligadde-lwa-covid-19/ +business Poliisi Erabudde Aba Boda Boda Obutagezaako Kulumba Maka Ga Mukulembeze W’eggwanga Omwogezi wa Poliisi Patrick Onyango Poliisi mu Kampala erabudde abagoba ba boda boda obutagezaako kulumba maka g’omukulembeze w’eggwanga nga bwebateeseteese singa tebakkirizibwa kuddamu kukola. Bwabadde ayogerako ne bannamawulire ku kitebe ky’essengejjero ly’amawulire ga gavumenti, Patrick Onyango omwogezi wa Poliisi ya Kampala n’emirirwano yategeezezza nti singa aba boda boda baagala gavumenti eddemu okubakkiriza okutikka abantu wamu n’okukola okusukka essaawa ekkumi n’emu, balina kuteeseganya so si sikwekalakaasa. “Twakitegeddeko nti aba boda boda abasukka 5000 bagenda kwekunga balumbe State House, naye tubalabula nti tetujja kufunya mikono nga tubalaba bamenya amateeka. Tuli beetegefu okukuuma ekibuga kino wamu n’eggwanga lyonna,” Onyango bweyategeezezza. Ono yayongeddeko nti era waliwo n’aba boda boda abalala abatandise okulumba eb’ebitongole by’ebyokwerinda. Yawadde eky’okulabirako eggulo aba boda boda 80 bwebaagezezzaako okulumba abasirikale abali mu Lubigi. Abasirikale baakubye amasasi mu bbanga era baasobodde okukwatako aba boda boda bana wamu ne pikipiki zaabwe ng’era kati bakuumibwa ku Poliisi ya Kampala Mukadde. https://gambuuze.ug/2020/07/08/poliisi-erabudde-aba-boda-boda-obutagezaako-kulumba-maka-ga-mukulembeze-weggwanga/ +health 50 bakwatiddwa lwa kujeemera biragiro bya COVID19 Kampala Poliisi mu Kampala ekutte abantu abasoba mu 50 , bano basangiddwa nga bakungaanidde mu nnyumba emu nga banywa omwenge ekintu ekikontana n’ebiragiro bya Minisitule y’ebyobulamu ku kirwadde ki COVID19. Poliisi nga esazeeko ebbaala ya Nomads Okusinziira ku mwogezi wa poliisi mu Kampala n’emirilaano Luke Owoyesigire, ekikwekweto kino bakikoze ku Ssande ku ssaawa ssatu ez’ekiro. Owoyesigire yagambye nti, batemezeddwako ogumu ku mikutu gy’amawulire oluvanyuma lw’ abatuuze okwemulugunya ku bantu abawerako abakungaanira munnyumba emu ku kyalo Balintuma nebeekatankira omwenge n’okuleekanya ebidongo. Ebikolwa bya bano bibadde bimazeeko abantu mu kitundu kino emirembe era nga bisobola okuvaako ekirwadde ki COVID19. Abakwate bakuumirwa ku Poliisi ya Kira Road era nga bagenda kubavunaana okujeemera amateeka wamu n’okwetaba mu bikolwa ebiyinza okusaasaanya ekirwadde ki COVID19. Poliisi era yazinzeeko ebbaala ya Nomads e Bunga nekwata abantu 49 abasangiddwa nga bali mu kunywa . Owoyesigire yategeezezza nti bano okuli nnanyini bbaala ya Nomads Fred Kamau ne bamaneja 8 bakuumirwa ku poliisi ye Kabalagala . Bino webigidde nga omuwendo gw’abantu abakwatibwa ekirwadde kino gweyongera buli kadde, abakugu kyebagamba nti kivudde ku butafaayo ku mateeka ga COVID19. https://gambuuze.ug/2020/08/24/50-bakwatiddwa-lwa-kujeemera-biragiro-bya-covid19/ +health Abantu abalala bataano basangiddwa ne COVID-19 Dr Henry Mwebesa Buli lukya ekirwadde kya COVID-19 kyeyongera okusaasaana mu ggwanga nga owesomera bino, abalwadde baweze 14. Okusinziira ku akulira eby’obulamu mu minisitule y’ebyobulamu Dr Henry Mwebesa, kubataano abaazuuliddwa n’obulwadde, kuliko n’omwana ow’emyezi omunaana ng’ono kigambibwa ekirwadde yakijja ku kitaawe abadde yakava e KIsumu mu Kenya. Omwana yakwatibwa essujja ery’amanyi n’addusibwa mu ddwaliro era okwekebejjebwa ng’alina ekirwadde kino. Mwebesa yagambye nit waliyo ne Munnayuganda ow’emyka 57 omutuuze w’e Adjumani mu bukiika kkono bw’eggwanga naye eyasangiddwa n’ekirwadde kino. Ono ye tannafulumako ggwanga newankubadde akolera ku nsalo ya Uganda ne South Sudan. Omulala Munnayuganda eyabadde ava e Germany naateekebwa mu kalantiini gyeyalagidde obubonero bw’obulwadde buno era mu kukeberebwa n’asangiba n’ekirwadde kino. Ate ababiri Bachina abaakwatibwa e Zombo wiiki ewedde bwebaatoloka mu kalantiini. Abantu abasoba 435,000 bebaakakwatibwa ekirwadde kino ata abalala 19618 bakkiridde ezzirakumwa mu nsi yonna. https://gambuuze.ug/2020/03/25/abantu-abalala-bataano-basangiddwa-ne-covid-19/ +politics Kyagulanyi agamba akalulu kaddemu kabalibwe bw’aba Museveni agamba kabbibwa Akulira ekibiina kya National Unity Platform (NUP), Robert Kyagulanyi amanyiddwa nga Bobi Wine, ayagala akalulu kaddemu okubalibwa bw’aba nga Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni naye akkiriza nti Kyagulanyi yabba akalulu nga bw’agamba. Akulira ekibiina kya NUP, Robert Kyagulanyi Ssentamu Kyagulanyi asinzidde ku kitebe ky’ekibiina kye e Kamwokya leero ku Lwokubiri bw’abadde ayogerako ne bannamawulire oluvannyuma lwa poliisi okubakwata olunaku lw’eggulo nga babanja abantu baabwe, abaawambibwa okuyimbulwa. “Byampuna bannayuganda bannange era bisesa Mw. Museveni mu butaswala yagamba nti ffe twabba akalulu. Bw’aba byayogera ng’abikakasa nga tebyamusimattuse, awo akakasa kye tubadde twogera nti okulonda tekwali kw’amazima na bwenkanya.” Kyagulanyi bw’agambye. Ono agamba nti beetaaga okuddamu okwetegereza n’okubala ebyava mu kalulu era kino kye babadde basaba ebbanga lyonna era emu ku nsonga lwaki baali bagenze mu kkooti wadde eno nayo yalaga kyekubiira. “Naye engeri gy’avuddeyo naye n’akakasa nti okulonda tekwali kw’amazima, lwaki takkiriza netukuba ttooci mu kulonda okwo oba ne tuddayo mu bunnya.” Bobi Wine bw’ategeezezza. Ku bigambo bya Museveni mw’agambira nti aba NUP bategeka okutta abantu baabwe bavumaganye gavumenti, Kyagulanyi agamba nti kino si kigambo kitono naye bakimanyi nti buno bwe bumu ku bukodyo aba NRA bwe baali bakozesa mu nsiko. Bw’atyo alabudde Museveni okutagezaako kubalumbagana kuba ye n’amagye ge be bazze bakola ebikolwa bino. Ssentamu ategeezezza nti wadde abamu ku bakulembeze ne bannaddiini baasabye bateeseganye ne Pulezidenti Museveni okumalawo obunkenke, tebagenda kubaako nteeseganya zonna ze bayingiramu kuba tewali nsonga ya kuteesaako. Ono agamba nti bannayuganda bangi battiddwa era omusaayi gwa bano guli ku ngalo za Pulezidenti Museveni n’abaduumira ebitongole by’ebyokwerinda mu ggwanga. Bobi Wine annyonnyodde nti waliwo ekiwandiiko kye babaze okutwalira Ssaabaduumizi w’amaggye lya UPDF, Gen. David Muhoozi, nga babanja abantu baabwe abaawambibwa amagye era kino Museveni yakikasa bwe yagamba nti amagye ge gaabakwata. Kyagulanyi akunze bannayuganda kuno n’ebunaayira okwekalakaasa era balwanirire eddembe lyabo abakyali mu busibe kuba tebalina musango okuggyako ensonga z’ebyobufuzi. “Eryo ddembe lyammwe okwekalakaasa mu mirembe kuba Ssemateeka agamba nti singa omuntu aneekalakaasa mu mirembe abeera talina tteeka ly’amenye.” Kyagulanyi bw’annyonnyodde. Ku nsonga y’ebyenfuna Kyagulanyi agamba nti kafyu w’ekiro talina makulu kyokka ng’eremesezza bannayuganda okukola era bangi ne balemwa okuzza abaana baabwe ku masomero. Naye bino byonna abakola olw’ ebyobufuzi nga yeekwese mu Ssennyiga Corona. https://gambuuze.ug/2021/03/16/kyagulanyi-agamba-akalulu-kaddemu-kabalibwe-bwaba-museveni-agamba-kabbibwa/ +business Buganda yakukolagana n’aba Global Social Economy Forum okugoba obwavu mu bantu ba Kabaka. Omumyuka wa Katikkiro asooka era Minisita w’Eby’emirimu n’Obuyiiya, Prof. Twaha Kigongo Kaawaase, asisinkanye president w’ekibiina kya Global Social Economy Forum Joungu Youl Kim ne Secretary General, Laurence Kwark, okutema empenda ez’okutumbulamu eby’enfuna by’abantu nga bayita mu nkola y’obwegassi. Omumyuka wa Katikkiro Asooka Owek. Dr Twaha Kawaase ali wamu ne pulezidenti w’ekibiina kya Global Social Economy Forum Joungu Youl Kim ne Secretary General Laurence Kwark mu nsisisnkano gye babaddemu ku Bulange. Bano bakulembeddwamu mayor wa Nakawa Ronald Balimwezo n’owa Lubaga Joyce Nabbosa Ssebugwawo.Mu kwogera kwe, owek Twaha Kaawaase agambye nti Buganda erina ebiruubirirwa byetambulizaako ensonga era enteekateeka ya Global Social EconomY Forum eri butereevu mu kiruubirirwa eky’okulaba nti obwakabaka bujja abantu baabwo mu bwavu,buyingiza ensimbi, budda ku ntikko, ate n’okulaba nti n’abavubuka bakwatibwako era kino kikolebwa nga buyita mu makubo ag’enjawulo omuli bulungibwansi omuyitibwa okumaakuma abantu olwo nebeenyigira mu mirimu gy’obwakabaka nekisobozesa buganda okukula. Mayor wa Nakawa, Ronald Balimwezo agambye nti enkola y’obwegassi eyambye nnyo eggwaga lya korea okulaakulana era singa enywezebwa wano mu buganda kijja kuyambako abantu ba buganda okuva mu bwavu.Mayor Balimwezo agambye nti enkola y’okusimba omuti mu mikolo gy’okwanjula, yeemu kwezo ejjayo obutereevu ebigendererwa by’ekibiina kino. Owek. Twaaha Kawaase, nga abuuza ku Mayor wa Nakawa Ronald Balimwezo ku Bulange Owek. Twaaha Kawaase nga abuuza ku Mayor wa Lubaga Joyce Nabbosa Ssebugwaawo ku Bulange https://gambuuze.ug/2019/09/02/buganda-yakukolagana-naba-global-social-economy-forum-okugoba-obwavu-mu-bantu-ba-kabaka/ +sports Abasambi 13 bavudde mu Vipers SC Abasambi 13 beebavudde mu ttiimu ya Vipers SC wakati nga ttiimu ez’enjawulo zeeteekateeka okuddamu okulwanira ekikopo mu Uganda Premier League sizoni ejja. Abamu ku basambi abavudde mu Vipers SC Okusinziira ku kibanja kya ttiimu eno ku mutimbagano , abamu ku basambi abateereddwa endagaano zabwe zibadde ziweddeko ate nga abalala bakkiriziganyiza ne ttiimu batambulemu. Obubaka obuli ku mutimbagano (Website) gwa ttiimu eno bulaze nti, “ Vipers SC ekakasizza nga abasambi abawerako bwebavudde mu ttiimu eno wakati mukukiriziganya kiyambe omutendesi Fred Kajoba okutegeka ttiimu erina okusamba sizoni ejja.” Ku bano kuliko; omusambi Brian Nkuubi abadde ku kiraabu eno okuva mu 2015 bwebamugula okuva mu Kira Young, Omukwasi wa ggoolo Derrick Ochan, Dan Barikiwulira, Janjali Joseph, Dickens Okwir, Ibrahim Kiyemba ne Duncan Seninde. Abalala kuliko; Farouk Musisi, Tom Masiko, Steven Mukwala , Tito Okello, Fred Atuhwera ne Baden Mujahid. Vipers esuubira okuwaayo omusambi Brian Kalumba ku bbanja wadde nga tekinamanyika ttiimu ki emutwala. Bino webigidde nga Vipers yamaze okufuna abasambi abapya omuli; Disan Galiwango okuva mu Express, Ibrahim (Mbarara City), Jamil Kalisa (Bright Stars) ne David Bagoole (Busoga United) bagiyambe okwenyweza mu sizoni ejja. Sizoni eyaggwa Vipers yamalira mukifo kisooka ne n’obubonero 54 nga yasinza ku KCCA FC obubonero buna (4) okusitukira mu kikopo kya liigi. https://gambuuze.ug/2020/08/24/abasambi-13-bavudde-mu-vipers-sc/ +religion Paasita Kyazze asabidde Bobi Wine awangule akalulu Omusumba wa Omega Healing Center esangibwa e Namasuba omanyiddwa nga Michel Kyazze, awonze Robert Kyagulanyi Ssentamu abangi gwe bayita Bobi Wine mu mikono gya Katonda era n’amusabira okuwangula akalulu k’obwapulezidenti akagenda okulondebwa nga 14 omwezi guno. Omusumba Kyazze akakasizza Kyagulanyi olw’ebyo by’akola mbu birimu ekigambo kya Katonda nti era biri mu mateeka. “Mukama agenda kukuwa ekisa obeere mugumu ebintu ne bwe binaabeera bikakali. Tolina kibi ky’okoze okuyimirirawo ku lw’ekyo ky’okkiririzaamu.” Kyazze bwe yategeezezza Kyagulanyi. Omusumba era yasabye abeetabye mu kusaba kuno beenyigire mu kulonda ate balondese magezi okusobola okutwala eggwanga mu maaso. Bino byabaddewo ku Ssabbiiti eyasoose mu mwaka guno, akwatidde NUP bbendera mu kuvuganya ku ntebe y’eggwanga bwe yasazeewo okusabira mu kkanisa eno ng’akoowoola omwoyo wa Mukama amukwatizeeko ku kiruubirirwa kye. Mu kwogera kwe, Kyagulanyi yasoose kutendereza Musumba Kyazze olw’okumukkiriza okwetaba mu kusaba n’agamba mbu bangi bamugobaganyizza olwekyo ky’ali. “Sigumu si ebiri, emirundi mingi ng’enze mu makanisa ag’enjawulo nga bansibira bweru era ng’abasumba bagamba mbu tebayinza kusabira wamu nange. Nkwebaza olw’okunnyaniriza.” Kyagulanyi bwe yategeezezza Omusumba. Kyagulanyi yasoomoozezza abakulu b’amadiini abasaba bannayuganda okukuuma emirembe mu kalulu mbu bannansi ba Uganda tebayinza kukuuma mirembe nga waliwo obutali bwenkanya obukolebwa eri abantu be buli lukya. “Njagala mpozzi ate tusabire obwenkanya. Tewayinza kubaawo mirembe nga tewali bwenkanya. Nandyagadde okulaba abatukulira mu madiini nga bavumirira obutali bwenkanya obututuusibwako buli lunaku, mu ekyo buli omu ajja kuba n’emirembe. Tetuli bakaliffujjo.” Kyagulanyi bwe yayongeddeko. Kyagulanyi bwe yabadde agenda e Namasuba, emmotoka ze zaasisinkanye n’oluseregende lw’emmotoka za Pulezidenti Museveni era abawagizi be ne basakanyiza waggulu nga bwe bayimba eng’ombo za NUP wamu n’okumusuuta wabula tewali mbeera y’amaanyi yateereddwawo. Ku lunaku lwa bbalaza Kyagulanyi asuubirwa okugenda mu buvanjuba bwa Uganda okuperereza abeeyo okumuwa obululu wadde ng’abasinga ku abo b’atambula nabo bakyali mu mikono gya poliisi. https://gambuuze.ug/2021/01/04/paasita-kyazze-asabidde-bobi-wine-awangule-akalulu/ +religion Abakulembeze bakubiriziddwa okuyiga okuta obuyinza g’Omulabirizi w’e Mityana atuuzibwa Reverend Dr James Bukomeko atuuziddwa ng’omulabirizi w’obulabirizi bw’e Mityana ku kkanisa ya St Andrews Church e Namukozi. Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asinzidde wano n’akubiriza abakulembe ku mitendera egy’enjawulo okuyiga okuwaayo obukulembeze mu mirembe eri abantu abalala. “Akalombolombo k’okukyusa obukulembeze kalungi nga twerekereza netukwasa abalala. Ssaabalabirizi Ntagali temulaba ng’akyali muto naye yeerekereza. Tweyongera okukulaakulana kubanga bulyomu ajja n’ebirowoozo bye,” Mayiga bwagambye. Bukomeko okulondebwa ku ky’obulabirizi kyaddirira okulondebwa kwabaddae Omulabirizi Dr Steven Kazimba Mugalu nga Ssaabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda. Omulabirizi Dr James Bukomeko Ono agenda kuddira Ssaabalabirizi Stanely Ntagali mu bigere agenda okuwummula emirimu omwezi ogujja oluvanyuma lw’okuweza emyaka 65 egyassalirwa okubeera omulabirizi. Mayiga agambye nti omuntu okulondebwa ku kifo ky’obukulembeze aba afunye obuvunanyizibwa bunene obujja n’okusoomoozebwa. Omulabirizi Bukomeko ne baminisita, Kyewalabye Male asooka ku kkono ne Joseph Kawuki “Omulabirizi Bukomeko tumulinamu essuubi ddene nti agenda okuyitimusa obulabirizi bw’e Mityana mu by’omwoyo n’omubiri,” Mayiga bwagambye. Agasseeko nti buli webabeera ku nsonga z’eddiini kiba kizibu nnyo obutogera ku Bwa Kabaka, n’ategeeza nti engeri eddiini yaabagoberezi ba Kulisito gyeyajjamu ye yasaawo omukago n’Obwakabaka ng’era kyetaagisa okugukuuma. Omulabirizi Bukomeko n’omuyuka wa Katikkiro asooka Oweek. Twaha Kigongo Kaawaase “Obuwangwa n’ennono mu mulembe Omutebi kitegeeza abantu abalina emmere gyebalya abantu abalamu obulungi, abettanira eby’enjigiriza, abantu abalina ke bayingiza , abantu abeeyagalira mu ddembe lyabwe eryo’bwebange, abavubuka abalina emirimu gyebakola. Nina essuubi ddene nti nga Bukomeko yemulabirizi w’e Mityana, omukago oguluubirirwa okukola ebyo gujja kutinta tuzze Buganda ku ntikko,” Mayiga bwagambye. Omulabirizi ne Katikkiro Charles Peter Mayiga Ku lulwe, Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni ayozaayozezza Bukomeko wamu n’abakulistaayo b’e Mityana olw’okufuna omulabirizi omujja. Mu bubakabwe obwamusomeddwa Ssaabaminisita Dr Livingstone Ruhakana Rugunda, Museveni, era yasiimye Olukiiko lw’abalabirizi olw’okulonda Dr Bukomeko ng’omulabirizi. Omulabirizi ne Baminista ba Kabaka eb’enjawulo “Oweereddwa obuvunanyizibwa bw’okulungamya abantu ba Katonda mu mpisa ennungi wano ku nsi wamu n’okubateekateeka okwefunira Obwakabaka bwa Katonda obutaggwaawo. Nkakasa nti Omulabirizi Bukomeko ajja kutambulira mu buufu bw’abo abamusooka,” Museveni bwagambye Asabye bannaddiniobutenyigira mu byakulyowa myoyo kyokka kubanga Yesu Kulisito sikyeyasomesa kyokka wabula n’obwetaavu bwa bantu obw’okunsi. Ssaabalabirizi Ntagli ku kkono ng’ayanjula Omulabirizi Bukomeko “Nkubiriza ekkanisa okukubiriza abantu okwenyigira mu nteekateeka za gavumenti ezigendereddwamu okugoba obwavu naddala mu maka,” Museveni bweyagambye. Kululwe, Dr Bukomeko yeeyamye okukolagana obulungi n’abantu bonna e Mityana okusobola okutumbula enkulaakulana wamu n’obumu. Omukolo gwetabiddwako bannadiini okuva mu nzikiriza ez’enjawulo okwabadde ne Ssabasumba Dr Cyprian Kizito Lwanga. https://gambuuze.ug/2020/02/02/abakulembeze-bakubiriziddwa-okuyiga-okuta-obuyinza-gomulabirizi-we-mityana-atuuzibwa/ +politics Abali ebunaayira mwenyigire mu bukulembeze gye muli – Katikkiro Mayiga Kampala Katikkiro Charles Peter Mayiga asabye abantu ba Kabaka abawangaalira ku mawanga ebunaayira, okwenyigira mu bukulembeze mu bitundu gye bali era bafeeyo n’okubaako kye basiga ku butaka, kiyambe okukulaakulanya Nnyaffe Buganda. Katikkiro Mayiga nga alambika bannyuganda ababeera ebweru “Enkulaakulana ya Buganda ne Uganda tegenda kujjawo nga kya magero oba entuuko, naye tujja kukulaakulana nga tutegedde embeera mwe tuli era tusale amagezi agagwanidde ku bizibu bye tulimu,” Mayiga bwe yagambye. Bino Katikkiro abyogedde aggalawo ttabamiruka w’abantu ba Kabaka abawangaalira e Bulaaaya mu Bungereza n’amawanga ga Scandanvian, eyayindidde ku mutimbagano gwa ZOOM eggulo ku Lwomukaaga. Owek. Mayiga yabasabye banyweze obumu ng’abantu abava mu Buganda abawangaalira ebunaayira bakolere wano, kibayambe okwekulaakulanya wamu nkubaako bye bakola eka ku butaka nga batumbula embeera z’abantu abaasigala kuno, kibayambeko okugoba obwavu. “Osobola okutereka ssente n’ebibiina by’Obwakabaka nga Ssuubi lyo Zambogo SACCO, bino nabyogerako mu July era mukozese emikisa Obwakabaka gye butaddewo okusigamu ensimbi ng’Owek. Waggwa Nsibirwa bwe yabalaze,” Mayiga bwe yabasabye. Yeebazizza abantu ba Kabaka bano olw’okuvaayo okwenyigira mu lutalo lw’okukulaakulanya Obuganda era n’ategeeza nti kaweefube gwe baliko naddala ebyobulamu, y’ensonga lwaki baaweereddwa engule era ne Beene n’asiimibwa okukulemberamu olutabaalo ku kirwadde kya Mukenenya. Katikkiro Mayiga yategeezezza abali ebunaayira nti balagidde abalonzi balonde abo abavuddeyo ku nsonga za Buganda era abanaasobola okukulaakulanya Uganda n’ebirowoozo ebizimba. Kaweefube ono yeetabiddwamu bannaminisita bakabaka bonna okubadde ow’ebyobulamu, ow’ebyensimbi, ow’ebyobulimi n’abalala nga bano bateeseza ku nsonga ez’enjawulo ezisobola okukyusa obulamu bw’abantu ba Beene. Omumyuka owookubiri owa Katikkiro era omuwanika, Owek. Robert Waggwa Nsibirwa, yalambise abantu b’Omutanda abali ebunaayira, we balina okusiga ensimbi mu Bwakabaka ne Uganda, basobole okukulaakulana. Ate ye Minisita w’ebyobulamu, Owek. Prosperous Nankindu, yalaze ebimu ku bintu Minisitule ye by’etuuseeko okukuuma abantu ba Kabaka nga balamu era n’abalaga n’ebyo bye basuubira okukola. Minisita w’ensonga z’abantu ba Kabaka abawangaalira ebweru, Owek. Joseph Kawuki, yalaze obwetaavu bw’okutuusa obukulembeze wansi mu bantu mu masaza gano ag’ebweru era n’alaga n’enteekateeka Obwakabaka gye bulina okwongera okubakulaakulanya. https://gambuuze.ug/2020/11/29/abali-ebunaayira-mwenyigire-mu-bukulembeze-gye-muli-katikkiro-mayiga/ +politics NUP eyodde ebifo byonna mu kibuga Mukono Bya Jesse Lwanga Ekibiina kya National Unity Platform mu kibuga Mukono kyeyogedde okweriisa enkuuli bwe kikukumbye ebifo ebisinga obungi mu lukiko lwa Munisipaali eno nga bawagulidde ddala okuviira ddala ku ky’obwammeeya mu kulonda okwa Mmande ate NRM nefunayo ebifo bbiri byokka. Erisa Mukasa Nkoyoyo n’abamu Ku bakansala abawangudde. Ekifo kya mmeeya kyawanguddwa abadde Ssentebe wa Goma Division, Erisa Mukasa Nkoyoyo owa NUP nga yafunye obululu 18088, yaddiriddwa munna NRM, Nabatanzi Daisy Sarah Ssonko 5126, Kaddu Christopher 2231, Kyamaggwa Stephen 1148, Sserugga Sirajje 974, Mulimira Micdad 907, Lugoloobi Daniel 763, Mpalanyi Christopher 190 ne Mutyaba Mathew 70. Bano beekokkodde ebikolwa by’okwagala okugulirira abalonzi ssaako n’okutiisibwa be bagambye nti baabadde ba NRM naye bakoze ekisoboka okuwagula. Mu kwogerako gye bali, omubaka w’ekibuga kino, Hon. Betty Bakireke Nambooze asabye abaalondeddwa okukola ekibalondesezza kuba omupiira guli mu ngalo zaabwe nga basaanye okukola ku ebizibu ebiruma abantu. Okulonda we kwaggweeridde nga NRM erinayo abakiise 5 nga 2 baliko obulemu, 2 bakadde. https://gambuuze.ug/2021/01/27/nup-eyodde-ebifo-byonna-mu-kibuga-mukono/ +religion Omusumba Elvis Mbonye atiisizzatiisizza okukuba poliisi mu mbuga Omusumba Elvis Mbonye Omusumba wa Balokole, Elvis Allan Mbonye, agambye akooye poliisi okulinnyirira eddembe lye ery’obuntu olw’okumuyita olutatadde okugenda ku kitebe kyayo okuzza obujja akakalu ke yamuwa. Nga 28 Mukulukusabitungotungo, Mbonye yayitibwa ku poliisi annyonnyole lwaki yali alemesa enteekateeka ya gavumenti kukugemesa okwekikungo abaana abali wansi w’emyaka 15 olukusense, Rubella ne Polio. Kigambibwa nti ag’ayita ku mukutu gwe ogwa Facebook Mbonye yagamba nti eddagala erigema lyali lyabulabe eri abaana. Wabula Bannamateekaabe bwebaalabikako ku kitebe kya Poliisi ekola kukunonyereza ku buzzi bw’esmisnago, bategeeza nti Mbonye si yeyali awandiise obubaka obwo kubanga erinnya lyakozesa liri Prophet Elvis Allan Mbonye so Mugisha Elvis Mbonye eyali awandiisi. Mu bbaluwa gyawandiikidde akulira ekitongole ekikola kukunonyereza kubuzzi bw’emisango muggwanga, Grace Akullo, nga ayitira mu bannamateekaabe, aba Walyemera and CO Advocates, Mbonye agambye nti akooye okwewuuba ku poliisi okuzza obujja akakalu, ng’ate bakimanyi bulungi omusango gwe bamuvunaana siyeeyaguzza. Agamba ati abasirikale abakola ku fayiroye bwagezaako okubabuuza ekigenda mumaaso bamuzzaamu bukambwe oluusi nebasuubiza n’okumusiba. “Kakati ggwe nga akulira ekitongole kino twagala oyingire munsonga eno okusobola okukomekereza okunonyereza okutakoma,” Ebbaluwa ya Mbonye bwegamba. Yagasseeko nti singa ensonga ye tekolwako agenda kukola ekisoboka kyonna okulaba nga eddembe lye terigenda mumaaso nga lityoboolwa. Mukwogerako ne bannamawulire, munnamateeka wa Mbonye Dan Walyemera yagambye nti kirabika ekigendererwa kya poliisi kyakutulugunya muntuwe. “Tugenda kutwala abo abasirkale abeeraze nti ekigenderwa kyabwe kyatulugunya Mbonye mu kooti. Ekirungi kati tulina etteeka erikola ku basirikale abatulugunya abantu,” Walyemera bweyagambye. https://gambuuze.ug/2019/12/12/omusumba-elvis-mbonye-atiisizzatiisizza-okukuba-poliisi-mu-mbuga/ +politics Ab’e Ssembabule beemulugunyiza ku kuyimiriza okulonda kwa bammeeya ne bassentebe Ssembabule Abatuuze n’abavuganya ku bifo by’obwakkansala ku disitulikiti ye Ssembabule beemulugunyiza ku kakiiko k’ebyokulonda mukitundu kino okwongerayo okulonda. Akulira eby’okulonda mu disitulikiti ye Ssembabule, Mbaine Robert Olunaku lw’eggulo bano baakedde mubifo webalina okulondera era nga n’abebyokwerinda babadde bataka ku bifo bino okulabanga abantu balonda abakulembeze baabwe mu mirembe. Abamu ku bavuganya okuli; Sisiro Joseph Salongo Joseph, Umar Maseruka kwosa ne Wuudu Sebalamu bagambye nti entabwe yavudde ku kakiiko k’ebyokulonda okuddibaga amannya n’obubonero bw’abeesimbyewo nga owa NUP bamuwadde kabonero ka bbaasi ekireseewo okutabulwa. Bano bategeezezza nti kino kibayisizza bubi kuba babadde bamaze dda okusasula abantu baabwe abalina okukuuma akalulu nga kati balina kuddamu kubasasula nate. Balayidde okulumba abakakiiko kabaliyirire ensimbi zaabwe zebamaze edda okusaasaanya era nebasaba akakiiko okuteekawo olunaku olulala era balulange abantu basobole okulutegeera. Wabula ate abamu ku batuuze okuli Fred Lubuto era beekokodde amagye amangi agaleeteddwa mukitundu kyabwe okukuuma akalulu nga bagamba nti akalulu k’obwakkansala kandibeeramu ebirumira. Wakati wa bino byonna ye Patrick Nkalubo eyeesimbyewo ku kkaadi ya NRM agamba nti banne tebalina kutya olw’ensobi ezabaddewo nabasaba okwesiga akakiiko wadde nga asuubira okuwangula munne Jjugu Migadde bwebali mu kalulu kano. Ate ye akulira okulonda mu disitulikiti eno, Mbaine Robert yakakasizza nga bwebaliko kyebakola okutereeza embeera wadde nga tamanyi lunaku lutongole akalulu lwekagenda kubaawo kyokka nga yasabye abantu okusigala nga bagumikiriza. https://gambuuze.ug/2021/01/21/abe-ssembabule-beemulugunyiza-ku-kuyimiriza-okulonda-kwa-bammeeya-ne-bassentebe/ +politics Mudde tuteese, DP eyise abagiddusemu Ekibiina kya Democratic Party (DP) kitegeezezza nga bwe kitandise kaweefube w’okunoonya bannakibiina bonna abaali baatwalibwa omuyaga gw’ebyobufuzi wabula n’eyo gye baddukira nebayisibwa nga eky’okutale, nti beetegefu okubaaniriza. Abamu ku babaka abaava mu DP Okusinziira ku bakulu mu kibiina kino, bannakibiina bangi baafuna obutakkaanya n’abakulu era nebakivaamu nga kaweefube ono atuumiddwa ‘KOMAWO EKA’ okusobola okuzza ekibiina kino engulu wakati nga beetegekera akalulu ka 2021. Kinajjukirwa nti ababaka abawerako abeegattira mu kisinde kya DP Bloc baddukira mu kibiina kya National Unity Platform (NUP) ekikulemberwa Omubaka Robert Kyagulanyi nga balumiriza Ssenkaggale Nobert Mao okubayisaamu amaaso n’okuyisaamu ssemateeka w’ekibiina olugaayu. Kaweefube ono alangiriddwa omwogezi wa DP omuggya Okoler Opio Lo Amanu mu lukung’aana lwa bannamawulire olwa buli wiiki leero ku Lwokubiri wano mu Kampala. “Tutandise kaweefube nga tumuyise Komawo eka weebake eri baganda baffe abamu abaagenda nga batya okudda nti tetugenda kubaaniriza. Naye ffe tutandise kaweefube okubakimayo yonna gye baddukira.” Okoler Opio bw’agambye. Opio ategeezeza nti abaava mu DP gyebaalaga embeera mwe bayisibwa si nnungi wabula nga bo nga DP tebabagobangako bw’atyo n’abasaba badde eka kubanga eno ye waabwe. Ono annyonnyodde nti bannaabwe gye baalaga tebeetaaya era nga kibabeeredde kizibu okwegazanyiza mu by’obufuzi by’ebibiina gye baalaga. Balina okukimanya nti DP ebirowoozo byabwe ebimanyi era ebyaniriza era nneetegefu okubawuliriza. Ekibiina kino kyasinzidde mu lukung’aana luno nekinenya Pulezidenti Museveni ku kiragiro kyeyawa nga kiggulawo amasizinzo bwe yakkiriza abantu 70 bokka mu buli Ssinzizo n’etegeeza nti waakiri Museveni yandikkirizzaako ebitundu 50 ku buli 100, abantu nebasobola okuweebwa eddembe ly’okusinza. “Pulezidenti yagamba nti mu buli Ssinzizo mubeeremu abantu nsavu naye ffe nga aba DP tulowooza nti ekyo si kya bwenkanya kubanga amasinzizo gano omuwendo gw’abantu abatulamu si gwe gumu. Ekkanisa y’e Namirembe w’eba etuuza abantu 2000, leka etuuze ekitundu ky’abo nga bwekyakolebwa bwe yali aggulawo entambula y’olukale.”Okoler Opio b’agambye. Okoler Opio era akungubagidde eyaliko Mmeeya wa Kampala,Al- Hajji Nasser Ntege Sebaggala eyafudde ku Lwomukaaga lwa wiiki ewedde. Ategeezezza ng’ono bw’ali omu ku basajja abaayimirirawo okuzimba ekibiina kya DP. Atenderezza omulimu ogwakolebwa Sebaggala bweyavaayo n’alaga abantu nti basobola okwekkiririzaamu era nebasobola okubeera ekyo kye baagala. https://gambuuze.ug/2020/09/29/dp-eyise-abagivuddemu-okudda-eka-boogere/ +politics Abeegwanyiza ku bwapulezidenti bakaaba, abalonzi basaba ssente okubawa emikono Abeegwanyiza okutwala obwapulezidenti bw’eggwanga ebintu bitandise okubatabukako oluvannyuma lw’abalonzi abalina okubawa emikono egibasemba okwesimbawo okubasaba ssente, ze bagamba nti tebazirina ekiwalirizza n’abamu okudduka mu lwokaano. Pulezidenti Museveni yomu ku beesibyewo Bano abasoba mu 82 olwafuna empapula ez’okusunsulwamu wamu n’empapula endala okuva mu kakiiko k’ebyokulonda, nebatandika okutalaaga disitulikiti ez’enjawulo okunoonya abalonzi abayinza okubawa emikono. Mu mateeka buli omu alina okufuna abamusemba okuva mu disitulikiti 90 ate ng’abo abamusembye tebafaanagana na ba mulala. Okunoonyereza okwakoleddwa omukutu gwa Uganda Radio Network, kulaga nti ng’ggyeeko Pulezidenti Yoweri Museveni, abalonzi gwe bayinza okutya okusamba ssente eziri wakati wa siringi lukumi n’akakaaga, abalala ababatuukiridde babakaliddemu nebabasaba ssente okubawa emikono gyabwe n’endagamuntu. Bano beemulugunyizza ne bateegeeza nga bwe kibafuukidde ekizibu okumanya oba ng’abalonzi bano ababasaba ssente tebakoze kye kimu ku bannaabwe abasoose okugenda mu bitundu bino. Bano balaze okutya nti banditwala emikono eri akakiiko k’ebyokulonda nga gye gimu n’egya bannaabwe nebalagirwa okuddayo banone emirala ate nga n’akadde kaweddeyo. Omu beegwanyiza Obwapulezidenti atalina kibiina, Hillary Humphrey Kaweesi agambye nti ye ne ttiimu ye basobodde okutuuka mu disitulikiti 56 naye yonna abalonzi bamusabye nnusu lukumi okusobola okumuwa endagamuntu n’okumuteerako omukono nga bano. Ate John Herbert Nkangabwa, nga naye yeesimbyewo ku lulwe, olwokaano yaludduseemu oluvannyuma lw’okugezaako okufuna emikono n’alemesebwa ng’agamba nti abalonzi babadde bamusaba nnusu Kakaaga buli omu, ekitegeeza nti okufuna emikono gyonna gye yeetaaga alina okusaasaanya obukadde 54 ate bw’atalina kuba negyayise yabadde yeetambuza wamu n’okwesuza. Ye Phiona Mirembe ategeezezza nti ekizibu ky’abantu okumusaba ssente kyandimulemesa okufuna emikono gye yeetaaga okuvuganya. Mirembe gambye nti ekizibu kino okusinga kiri mu Buganda ne Ankole ng’ebitundu ebirala okuli eby’obuvanjuba ne mumambuka yo si bibi nnyo. “Nange nsanze ekizibu kye kimu ng’abantu bansaba ssente buli we ndaga naye nze ngezaako okukozesa ssente entono ze nina w’enina okuzikozesa era kino kisinziira ku kitundu gy’obeera olaze.” Mirembe bw’annyonnyodde. Ebibiina by’obwannakyewa ebirondoola eby’okulonda n’okuteekawo obwenkanya, bivumiridde ebikolwa bino nebisaba abalonzi okutegeera omugaso gw’okulonda n’abantu okwesimbawo era batunuulire ensonga n’endowooza z’abo abaagala okubasemba okusinga ensimbi. Akulira ekitongole kya Initiative for Social and Economic Rights (ISER), Salima Namusobya, ategeezezza nti abaagala okwesimbawo tebakoze kimala okukunga abalonzi okubeegattako n’okutegeera ebirowoozo byabwe okusobola okubanguyiza okufuna emikono. Agambye nti abeesimbyewo abamu baweebwa ssente okwesimbawo, okunoonya emikono n’okukuba enkug’aana naye bwebamala okuwangula akalulu batuukiriza bigendererwa by’abo ababawa ssente so si balonzi. “Mu bitundu ebimu tulabye kkampuni nga zitiisatiisa abali mu bifo nga baagala okudda okwesimbawo nti singa tebabawa kkontulakiti ze basaba bajja kuteeka ssente mu babavuganya era kino ebiseera ebisinga bakituukiriza.” Namusobya bw’agambye. Akulira eby’okulondoola akalulu mu kibiina kya Citizens Coalition for Electoral Democracy (CCEDU), Ivan Mwaka, ategeezezza nga bwe bagoberera ensonga z’okwewandiisa kw’abeesimbyewo naye alaze okutya nti abalonzi n’abeesimbyewo akalulu bakalabamu kimu, ssente. Kyategeerekese nti abeesimbyewo 82 be baggyeeyo empapula okwewandiisa ku bwapulezidenti nga ku bano kuliko abakyala munaana okuli; Faith Amaro, Maureen Kyalya, Pamela Amolo, Juliana Grace Kabarungi, Linda Nancy Kalembe, Janet Kataha Komugisha, Brenda Katushemererwe, Elizabeth Katwe Lugudde ne Phiona Mirembe. Etteeka ly’okulonda omukulembeze w’eggwanga (Presidential Elections Act) ekitundu nnamba 10 (b), kiragira eyeesimbyewo okusembebwa abalonzi 100 okuva mu bitundu 2 bya kusatu (2/3) ku disitulikiti zonna eziri mu Uganda. https://gambuuze.ug/2020/09/30/abeegwanyiza-ku-bwapulezidenti-bakaaba-abalonzi-basaba-ssente-okubawa-emikono/ +sports Aba DFCU baguze emijoozi gy’ emisinde gy’Amazaalibwa Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga, leero agenyiwaddeko ku kitebe ekikulu ekya bbanka ya DFCU mu Kampala mu kaweefube w’okwetegekera emisinde gy’Amazaalibwa ga Ssaabasajja Kabaka Ssabbiiti ejja. Katikkiro Mayiga n’aba bbanka ya DFCU Ku bugenyi buno Kamalabyonna awerekeddwako Omumyuka asooka owa Katikkiro, Prof. Twaha Kaawaase, Minisita w’ebyemizannyo Henry Kiberu Ssekabembe n’abalala. “Tuzze wano kubanga DFCU munnamukago munnaffe mu lutalo lwe tuliko okuzza Buganda ku ntikko ne Uganda okukulaakulana.” Mayiga bw’ategeezezza. Ono agambye nti mu nsonga za Buganda Ssemasonga ettaano, ennyingo eyookuna ekwata ku byabulamu era nga wano Beene we yasinziira n’alagira bisoosowazibwe. Mayiga agambye nti Nnamunswa yasiimye omwaka guno n’emyaka ebiri eginaddako essira liteekebwe ku kawuka akaleeta Mukenenya. Kamalabyonna asinzidde wano n’ategeeza nti okwolesebwa kwa Buganda kwe kulaba ng’omuntu asembayo wansi abeera wadde waddeko mu mbeera ze ez’ebyobulamu. Owek. Mayiga agambye nti ekitongole kya bbanka kyonna nga DFCU kirina okufaayo okulaba nga bakasitoma baakyo babeera balamu nga balwanyisa ekirwadde kya Mukenenya era bategeere amakubo Siriimu mw’akwatira wamu n’engeri gy’asobola okujjanjabwa. Kamalabyonna Mayiga yeeyamye okulaba nga omukago gwa DFCU ne Buganda guvaamu ebibala era gugase enjuyi zombi. Ssenkulu wa DFCU omukungu, Mathias Katamba, agambye nti ekirwadde kya Mukenenya kikosezza amaka ag’enjawulo era nga kisinze kukosa bavubuka abawala n’abalenzi nga waliwo obwetaavu okukirwanyisa. Omukungu Katamba annyonnyodde nti ekimu ku bigendererwa kwe kusikiriza abasajja okwekebeza era abo abasangiddwa n’ekirwadde batandike eddagala olw’obulamu obulungi. Ono ategeezezza nti bbanka eno eyagala okulaba ng’abantu mu ggwanga babeera balamu kiyambe ebyenkulaakulana okukula. Omukungu Katamba asabye abantu okwenyigira mu misinde gino wakati mu kwekuuma ekirwadde kya Ssennyiga Corona. Aba bbanka ya DFCU baguze emijoozi egiwerako era ne beeyama okwongera okuwagira olutalo lw’Obwakabaka ku kirwadde kya Mukenenya. https://gambuuze.ug/2020/11/20/aba-dfcu-baguze-emijoozi-gy-emisinde-gyamazaalibwa/ +sports Cheptegei awangulidde Uganda omudaali gwa zzaabu e Monaco Munnayuganda Joshua Cheptegei amenye likoda bwawangudde omudaali gwa zzaabu mu misinde gy’akafubutuko egibadde e Monaco mu Bufaransa. Ono emisinde egya kilomita ettaano agiddukidde eddakiika 12:51 nga amanyeewo likoda ebadde yateekebwawo munnakenya Rhonex Kipruto eyali yaziddukira eddakiika 13:18 omwezi oguwedde mu Valencia mu Spain. Omwaka oguwedde Cheptegie on era yawangulira Uganda omudaali gwa zaabu oluvanyuma lw’okuwangula emisinde egya mita 10,000. Muk’omukelembeze w’eggwanga era minisita avunanyizibwa ku by’emizannyo Janet Museveni ayozaayozezza nnyo Cheptegei olw’okutuuta ku buwanguzi buno. https://gambuuze.ug/2020/02/17/cheptegei-awangulidde-uganda-omudaali-gwa-zzaabu-e-monaco/ +politics Minisita Kiyimba asabye abavubuka okunyweza empisa bakulaakulane Minisita w’Amawulire era Omwogezi w’Obwakabakaera Omuyima w’ekibiina kya Baganda Nkerettanyi, Owek. Noah Kiyimba akubirizza abavubukanaddala abaweereza mu Bwakabakaokunyweza empisa bweba baagala okukulaakulana era bakimanye nti abantu ekifaananyi kye babalabiramu kyekyo ekya Buganda. Minisita okwogera bino abadde asisinkannye olukiiko olufuzi olwe ekibiina ki Baganda Nkeretannyi wano ku mnuga enkulu e Bulange eMmengoku Lwokusatu. “Okusookera ddala aba Nkerettanyi nga bannakyewa mu Bwakabaka ensonga y’empisa eteekeddwa okubeera ku mwanjo. Bateekeddwa okubeera ab’empisa era beekulaakulanye ng’abantu kuba tugenda kubatunuulira nga ssekinnoomu okulaba buli omu enteekateeka z’alina okumutwala mu maaso eky’omukisa omulungi balina ekibiina mwe beegattira.” Minisita Noah Kiyimba bw’ategeezezza. Minisita kiyimba abafalaasidde okwenyigira n’okwettanira enteekateeka z’Obwakabaka naddala Emmwanyi Terimba kibayambe okusobola okukuuma ettaka lyabwe ate basobole okulikulaakulanya. Owek. Kiyimba yeebazizza bannakibiina kino olw’omulimu amakula gwe bakola buli Beene lwasiima okulambula ku bantu be nga bawunda ekiwu awamu n’ogwo gwe baliko mu masiro e Kasubi okuwawula emmuli awamu n’okunaaza essuubi nga balisunsula. Abasabye okubeera eky’okulabirako mu bitundu gyebava okusobola okukuuma ekitiibwa kya Buganda n’okusobola okuzza Buganda ku ntikko. Owek. Kiyimba abakunze okuweerera abaana nga Beene bwe yalagira era abo abatalina busobozi beeyambise omukisa gwa bbasale z’Obwakabaka ezisoba mu mutwalo omulamba buli mwaka kuba Buganda yeetaaga abantu abasomye okutambula obulungi. YeSsentebe w’ekibiina kino Ssaalongo Mukalazi Abdu Rahuman ategeezeza nti ng’ekibiina baakusigala nga baweereza Beene awatali kumutiiririra kw’ossa n’okulwana okwekulaakulanya okusobola okunyweza ekitiibwa kya Buganda. Mu nsisinkano eno era kitegeerekese ng’olukiiko oluggya bwe lugenda okulayizibwa nga 18, March, 2022 olwo abakulembeze abapya basobole okutambuza emirimu mu butongole. Ng’oggyeeko egy’Embuga abavubuka mu kibiina kino bafumba ku mikolo awamu n’okutimba okusobola okweyimirizaawo awamu n’okwekulaakulanya. https://gambuuze.ug/2022/02/23/minisita-kiyimba-asabye-abavubuka-okunyweza-empisa-bakulaakulane/ +politics AKALULU 2021: Mugisha Muntu agaanye Okwekebeza Covid Bya Ronald Sserwadda Kampala Akulira ekibiina kya Alliance For National Transformation era nga y’akikwatidde bbendera, Rt.Gen Mugisha Muntu, agaanye okwekebeza Ssennyiga Corona ng’agamba nti tekiri mu mateeka. Gen. Mugisha Muntu nga ayogerako ne bannamawulire Akakiiko k’ebyokulonda kaasaba buli ayagala okuvuganya ku bukulembeze bw’eggwanga n’abantu 9 abagenda okubasemba okusooka okwekebeza Covid-19, okwewala okusiiga abalala singa wabeerawo alina obulwadde buno. Ku beesimbyewo n’abantu baabwe, akakiiko kaakazuulamu abantu 3 abalina Covid-19. Mugisha Muntu ategeezezza nti mu mateeka g’alina okutuukiriza okwesimbawo, ekyokukebeza Covid-19 tekiriimu. “Tuli bantu abagoberera amateeka era gonna agalambikiddwa obulungi omuli n’ago ge tutakkaanya nago tugagoberedde, naye okwekebeza twagaanye kubanga balina ebigendererwa ebikusike. Kati baagala okutugamba nti abantu bonna be basisinkana babeera bamaze okubakebera? Ne be basanga ku nguudo, ne be basisinkana ekiro? Twabadde mu kuwandiisa babaka ba palamenti n’abalala, bo nga tebaabakebedde? Kya njawulo ki ku ffe?Tulina obukookolo bwaffe (Mask), ne sanitayiza bye tugenda okukozesa naye okwekebeza nedda.” bw’ategeezezza. Omubaka omukyala owa Kasese, Winnie Kiiza era omu ku bagenda okusemba muntu ku by’okwesimbawo agamba nti naye teyeekebezza nti yabadde tasobola kwekebeza kubanga enkola eno eyagala kuleetawo busosoze mu bulwadde bwa Covid. “Akakiiko kalina buyinza ki obutulagira okwekebeza? Bwe tubasaba ebbaluwa z’abantu bonna abeesimbyewo ddala basobola okuzituwa? Ebyo tetusobola kubikkiriza kubanga tetulina tteeka lye tumenye.” Winnie Kiiza. Mugisha Muntu agenda kwewandiisa ku ssaawa mwenda ogwemisana. Ajjidde ku mulamwa gwa kukyusa mbeera z’abantu mu ggwanga naddala okuteekawo obukulembeze obuteeka essira ku biruma abantu. https://gambuuze.ug/2020/11/02/akalulu-2021-mugisha-muntu-agaanye-okwekebeza-covid/ +politics Besigye alekedde FDC ekigezo – Mao Ssenkaggale wa Democratic Party (DP) agambye nti okusalawo kwa Dr. Kizza Besigye obuteesimbawo mu kalulu ka 2021 kwekugezesebwa okukyasinze eri ekibiina ki Forum for Democratic Change (FDC). Besigye abadde yakeesimbawo enfunda nnya (4) ekiragiriro kino yakikoledde ku kitebe kya FDC ku Lwokusatu. Okugumizza kyeyasazzeewo Besigye yagambye nti, bakkiriziganyiza n’ekibiina kye baleete omuntu omulala okwesimbawo kyeyayise pulaani A nategeeza nti ye wakusigala ku pulaani B. Mao agamba nti Besigye abadde mmundu mmenye mukuvuganya pulezidenti Museveni n’obukulembeze bwe nga akalulu ka 2021 kigenda kubeera kigezo kinene eri FDC. Ono yanyonyodde nga Besigye bwalese ekituli ekinene mu FDC ekitasobola kuzibibwa. Wabula akulira ekibiina ki Social Democratic Party Michael Mabikke, nga ono yakasala eddiiro neyegatta ku National Unity Platform (NUP) agamba akadde kabadde katuuse Dr. Kizza Besigye okulekera omuntu omulala alina ebirowoozo ebito avuganye. Mabikke yagasseeko nti wadde Besigye ye munnabyabufuzi yekka ku ludda oluvuganya asobodde okuweza ebitundu 30 ku 100 kwabo ababadde bavuganya Museveni naye tekitegeeza nti lye ssuubi lya Opozisoni lyokka. Ono yajjuliza Dr. Paul Kawanga Semwogerere eyafuna ebitundu 27 ku 100 mu kalulu ka 1996 okulaga nti Besigye ssi wanjawulo. Bweyabadde ayogerako eri abawagizi b’ekibiina Besigye yagambye nti pulezidenti Museveni tasobola kuwaayo buyinza nga ayita mu kalulu. Ku nsonga eno Mao, agamba nti wadde kizibu okuwangulira Museveni mu kalulu naye kisoboka singa abantu bakolera wamu era nga beteeseteese bulungi. Wano Mabikke yalaze nti kisobokera ddala Opozisoni okuwangula akalulu naawa ebyokulabirako mu Africa obuyinza gyebukyuse nga e Gambia. Ate ye omutunuulizi w’ebyobufuzi Yusuf Serunkuma, yategeezezza nti embeera eri mu nsi obuyinza gyebukyuse ya njawulo. Serunkuma agattako nti pulezidenti mu Uganda asobola okukyanga akalulu nekatuuka nga akakiiko k’ebyokulonda tekakyagasa. Yalambuludde nti oba Besigye waali oba Robert Kyagulanyi, Museveni asobola okukyanga akalulu nafunamu kyayagala. https://gambuuze.ug/2020/08/20/besigye-alekedde-fdc-ekigezo-mao/ +religion Mufti Mubajje atabukidde abasiraamu abakola effujjo mu kkampeyini Kampala Mufti wa Uganda, Shiekh Ramadhan Mubajje, avumiridde enneeyisa ya bannayuganda mu kkampeyini n’ategeeza nti eno etteeka obusiraamu mu matigga kubanga buyigiriza bulijjo okubeera n’empisa ennungi. Bino Mubajje abyogeredde mu kulambula disitulikiti ezikola ekitundu kya Wakiso eky’obusiraamu bw’abadde ayogerako eri abasiraamu ku ssomero lya One Umma School- Kaliiti mu ggombolola y’e Mmende. Mubajje ategeezezza nti abavubuka bangi bavudde ku njigiriza y’obuyisiraamu wakati ng’eggwanga lisemberera okulonda kwa 2021. “Empisa ky’ekintu ekiwedde mu basiraamu, obusiraamu busigaddewo nga bulagira empisa ennungi naye ate abasiraamu, ba Imam ne bamashiekh empisa si zeezo ennungi. Kati tugenda mu kiseera kya kulonda naye ate ojja kusanga omuvubuka omusiraamu n’atali ng’omusiraamu y’asinga okwolesa empisa enkyamu.” Mubajje bw’agambye. Ono asabye abakulembeze b’eddiini mu kitundu kino okufaayo n’okubuulirira abavubuka, kiyambe okutaasa ku mpisa ezongera okugootaana buli lukya. Mubajje yasiimye ekibiina ky’abazungu ekya One Umma olw’okufaayo okukyusa obulamu bw’abasiraamu mu Uganda n’ategeeza nti kino kyongera okulaga nti eddiini y’Obusiraamu si ya bawarabu bokka ng’abasinga bwe balowooza. Disitulikiti Kadhi wa Wakiso, Sheikh Elias Kigozi, yennyamidde olw’abantu abaagala okunyaga ettaka ly’obusiraamu n’okulikozesa ku mpaka nga tebafunye lukkusa okuva mu bakulu abalivunaanyizibwako. Ekitundu kino eky’obusiraamu ekya Wakiso, kikolebwa; Nansana, Nabweru, Kitaasa-Gombe, Kakiri, Masuuliita, Nsangi, Kira ne Kasangati era nga kiri wansi w’obukulembeze bwa Kampala mukadde. https://gambuuze.ug/2020/12/07/mufti-mubajje-atabukidde-abasiraamu-abakola-effujjo-mu-kkampeyini/ +politics Anita Among:  Bannamawulire naba NUP baagala omusango ogwabawaabira Sipiika  gubagyibweko, tewali bujulizi Abantu 4 abavunaanibwa omusango gw’okuvvoola Sipiika wa Palamenti, Anita Among basabye Ssaabawaabi wa gavmenti okubaggyako emisango gino kuba tewali bujulizi bubalumiriza. Bano kuliko omusuubuzi Francis Matovu amanyiddwa nga Butto, omukunzi w’ekibiina ki National Unity Platform Moses Bigirwa ne bannamawulire Pidson Kareire awamu ne Moses Mugalula. Kigambibwa nti mu Novemba w’omwaka 2021 nga basinziira e Kampala, abana bano bakozesa omukutu gwa WhatsApp nebateekako obubaka obwali bulaga nga Pulezidenti Museveni bw’agenda okugoba Among ku kifo ky’omumyuka wa Sipiika kyeyaliko olw’okulya enguzi okuva ku kampuni ya Roko Construction ne Kingdom Property awamu n’abalala. Oludda oluwaabi lugamba nti bano okufulumya obubaka buno tebagenderera kuwa mawulire okuggyako okwonoona erinnya lya Sipiika n’okulinyirira emirembe gye. Bano emisango bagyegaana era bwebatyo nebayimbulwa ku kakalu ka kkooti. Wabula mu kiwandiiko abakwate kyebawandiikidde Ssaabawaabi Frances Abodo ekyalabiddwako aba URN ekiriko ennaku z’omwezi nga September 14, 2022 bano bategeezezza nti kikwasa ennaku okulaba nti baakwatibwa nebasimbibwa mu kkooti nga tewali bujulizi. Bano bannyonnyodde nti emirundi ettaano gyebaleeteddwa mu kkooti, oludda oluwaabi lubadde lwekwasa obusonga songa kuba poliisi yabatwalako essimu zabwe ne kompyuta okunoonyereza ku musango guno naye tewali kyebaali bafunye. Abavunaanwa bategeezezza nti wadde obujulizi obwaliwo bwali bunafu naye oludda oluwaabi lwagenda mu maaso n’okubavunaana nga baagala omusango guno gubaggyibweko era fayiro Ssaabawaabi agiyite kuba kino kiboonoonera ssente n’obudde bwebamala mu kkooti. Ye omuwaabi wa gavumenti ali mu musango guno, Caroline Marion Acio agamba nti omusango guno yagwetegereza bulungi nga basobola bulungi okugutuusa ku nkomerero yagwo. Kati ono ayagala akuliddemu okunoonyereza ku musango guno (CID) okumaliriza okunoonyereza mu bwangu basobole okuguwa ennaku z’omwezi kwegulina okutandika okuwulirwa. Kinajjukirwa nti omu ku bano Matovu, yawawaabira Anita Among ne gavumenti nga abavunaana okumutulugunya ne bamuteekako ebisago byeyali akwatiddwa. Omusango guno Matovu yalemwa okuguwangula mu kkooti enkulu bwatyo najulira mu kkooti ejulirwamu era guno gukyalinze okuwulirwa. https://gambuuze.ug/2022/09/26/anita-among-bannamawulire-naba-nup-baagala-omusango-ogwabawaabira-sipiika-gubagyibweko-tewali-bujulizi/ +politics Kkooti egobye obujulizi bwa Kyagulanyi obuwera 130 Kampala Omusango gwa munnakibiina kya National Unity Platform, Robert Kyagulanyi Ssentamu mw’awakanyiza okulangirirwa kwa Pulezidenti Museveni, kuzzeemu omukoosi oluvannyuma lwa kkooti ensukkulumu okugaana obujulizi obuwera 130 obwatwaliddwayo bannamateeka be. Bannamateeka ba Kyagulanyi nga beegeyaamu Kkooti ensukkulumu bwe yabadde ekola enteekateeka okuwulira omusango guno, bannamateeka ku ludda lwa Kyagulanyi baasabye bongerwe obudde basobole okuwaayo obujulizi wabula kkooti n’ebalagira okuwaayo obujulizi buno nga February 14. Wabula bannamateeka ba Kyagulanyi ku Ssande akawungeezi baliko obujulizi bwe baatutte mu kkooti wabula n’egaana okubukkiriza kuba akaseera kadde kayise. Mu bbaluwa eyavuddemu bannamateeka ba Wameli & Co. Advocates baawandikidde kkooti ensukkulumu nga basaba ekkirize obujulizi obulala obwabadde buleeteddwa oluvannyuma lw’essaawa 11 ku Ssande. “ Ku lunaku lwa 14 February, twabadde ku kkooti ku ssaawa 11 n’obumu ku bujulizi wadde obulala bwatuuse kikeerezi nga kkooti zigaddewo, ku Mmande nga 15 obujulizi bwonna tusobodde okubuleeta, tusaba kkooti ebukkiriza tusobole okubuwa n’abawawaabirwa,” Ebbaluwa bwe yategeezezza. Wabula Omuwandiisi wa kkooti ensukkulumu, Ssali Harriet Lukwago, yagaanye okubukkiriza ngagamba nti obudde bwabadde buyiseeko kuba kkooti yali yabawa lwa 14 olwa Ssande. Lukwago yagambye nti obujulizi 50 bwokka obwaweereddwayo mu budde bukola omuwendo gw’ ensalira okukkirizibwa kkooti okusobola okugenda mu maaso n’omusango guno. Kuno kwe kusoomoozebwa okwokubiri Kyagulanyi ne banne kwe baafunye ng’okwasooka kwe kwa kkooti okugaana ennongoosereza ze baali baagala okukola mu mpaaba yaabwe. https://gambuuze.ug/2021/02/16/kkooti-egobye-obujulizi-bwa-kyagulanyi-obuwera-130/ +health Bannayuganda 63,000 be bagenda okugemebwa Ssennyiga Corona Kampala Oluvannyuma lw’emyezi kkumi ng’ekirwadde kya Ssennyiga Corona kibaluseewo mu ggwanga, aba minisitule y’ebyobulamu balangiridde nti bategeka okugema abantu 63,000 ku mutendera ogusooka. Omuteesiteesi Atwine nga anyonyola Bino byayogeddwa muteesiteesi omukulu owa Minisitule y’ebyobyulamu, Dr. Diana Atwine bwe yabadde asisinkanye akakiiko ka palamenti ak’ebyobulamu eggulo ku Mmande. “Tugenda kusooka okugemako ebitundu 20 ku buli 100. Okusooka tujja kusooka kugema basawo, olwo gavumenti enoonye ssente endala tufune erinaagema abantu abalala.” Atwine bwe yagambye. Okusinziira ku Atwine, essira liteereddwa ku bakadde, abasawo wamu n’abo abalina ebirwadde ebikambwe nga Ssukkaali, Puleesa, abalwadde b’ensigo wamu n’omutima. “Ku bantu 318 abaakafa, abantu 2 bokka be bali wansi w’emyaka 19.” Atwine bwe yannyonnyodde. Ono yagambye nti nga gavumenti balina okuteekawo enteekateeka ku ddagala lino erya AstraZeneca lye baleeta nga singa akabi konna kagwawo okugeza nga bagemye omuntu n’agwa n’afa, obuzibu tebuddira kkampuni yakola ddagala lino. Atwine yategeezezza nti bannayuganda tebalina kugendera ku ng’ambo za mutimbagano eziraga nga Uganda bw’egenda okugula eddagala lino ku bbeeyi eya waggulu okusinga ku mawanga amalala, ky’agamba nti si kituufu. Dr. Atwine agamba nti ekitongole kya ‘Global alliance for Vaccines and Immunisation (GAVI) kye balinze okubawa olukkusa okutuusa eddagala lino. Ono yannyonnyodde nti wansi w’enkola ya COVAX, eruubirira okulaba ng’abantu bonna bafuna eddagala lya Ssennyiga Corona nga tebafuddeyo oba likyakula oba nedda ku bbeeyi eya wansi era nga enkola eno eri wansi wa GAVI. Wakati mu butali bumativu, abamu ku babaka okuli Gaffa Mbwatekamwa baatadde Dr. Atwine ku nninga, annyonnyole engeri gy’asuubira okutuusa eddagala ku bannayuganda nga masiki n’okutuusa kati bamu tebazifunanga. Mu kwanula, Dr. Atwine yagambye nti baali batunuulidde okugaba masiki obukadde 34 naye olwaleero baakagabako obukadde 31 mu disitulikiti 125 ng’ebulayo obukadde nga bubiri era nga balinze ssente okugaba endala https://gambuuze.ug/2021/01/26/bannayuganda-63000-be-bagenda-okugemebwa-ssennyiga-corona/ +sports Aba Ultimate Fitness Kampala (UFK) basse omukago ne SC Villa Kkampuni ya Ultimate Fitness Kampala (UFK) ekoze omukago ne ttiimu ya SC Villa okugiyambako okukuumira abazannyi baayo ku mutindo. Kino kyalangiriddwa eggulo ku Lwokubiri mu kiwandiiko ekyafulumiziddwa akulira ebyamawulire ku kkiraabu eno, Bernard Olupot. ” Aba Ultimate Fitness Kampala basanyukidde eky’okutta omukago ne ttiimu esinga obuganzi mu Uganda Premier league” obumu ku bubaka obuli mu kiwandiiko bwe bwasomye. Endagaano eno etegeeza nti, kati aba Ultimate Fitness Kampala (UFK) be bayambako aba SC Villa mu bintu by’okukola dduyiro wamu n’okukuuma emibiri gy’abasambi nga giri ku mutindo era ng’ebaliriddwamu obukadde bwa siringi za Uganda 430,726,000/=. Omutendesi wa Villa, Edward Kaziba, yasanyukidde endagaano eno n’ategeeza nti bulijjo kino kye beetaaga. Sizoni ewedde SC Villa yamalira mu kifo kyakusatu n’obubonero 46 okuva mu nzannya 25 oluvannyuma lwa liigi y’eggwanga okusazibwamu olw’ekirwadde kya Ssennyiga Corona. Wakati nga liigi egenda kuddamu mu mwezi ogujja ogwa Novemba, aba SC Villa baatandise dda okwetegeka basobole okuvuganya obulungi mu sizoni ya 2020/2021 https://gambuuze.ug/2020/10/28/aba-ultimate-fitness-kampala-ufk-basse-omukago-ne-sc-villa/ +politics Abalala 262 be baakwatiddwa ku kwekalakaasa kwa Bobi Wine – Poliisi Kampala Ab’ebyokwerinda mu ggwanga bategeezezza nga bwe bakutte abantu abalala 262 ku by’okwenyigira mu kwekalakaasa okwaliwo oluvannyuma lw’okukwatibwa kwa kw’alina bbendera ya NUP, Robert Kyagulanyi (Bobi Wine) Ssabbiiti ewedde. omuvubuka Emmanuel Ssimbwa Ssebuliba eyakwatiddwa ku by’okukuba omupoliisi akayondo Abawagizi ba Bobi Wine baavaayo ne beekalakaasa mu bitundu by’eggwanga ebitali bimu era nga poliisi yawalirizibwa okukozesa ttiyaggaasi n’amasasi okusobola okubagumbulula era okukakkana ng’abantu abawerako bafudde. Okusooka ab’ebyokwerinda baategeeza nti baali bakutte abantu 577 mu nnaku ebiri okwekalakaasa kuno ze kwamala. Omwogezi wa Poliisi, Fred Enanga, ategeezezza bannamawulire leero ku ssengejjero lya gavumenti ery’amawulire nti oluvannyuma lw’okwekenneenya obutambi, baliko abantu abalala 262 be baagombyemu obwala. Okusinziira ku Enanga omugatte gw’abakwate guli 836 era nga ku bano 362 baamaze dda okusimbibwa mu kkooti ne bavunaanibwa omugaso gw’okukuma mu balala omuliro, okwonoona ebintu wamu n’okwekalakaasa mu ngeri emenya amateeka. Abalala 633, Enanga annyonnyodde nti nabo Ssabbiiti eno bagenda kutwalibwa mu kkooti basobole okubitebya. Poliisi eraga nti fayiro ze yaakamaliriza ziwera 116 naye nga baliko abalala abali bakuliddemu okwekalakaasa kuno be bakyanoonya era nga baakwongera okukozesa kkamera zaabwe okuzuula wonna we bali. Ab’ebyokwerinda bagamba nti omuwendo gw’abantu abafudde gwalinnye okuva ku bantu 28 ne gutuuka ku bantu 45. Enanga abuulidde bannamawulire nti n’omuvubuka Emmanuel Ssimbwa Ssebuliba eyalabikira ku katambi ng’akuba akulira poliisi y’e Nakivubo, Consulate Kasule, naye bamulina eyali agezaako okuggya emisanvu mu kkubo okuliraana ekizimbe kya Totalia Buliding naye bamulina. Poliisi ennyonnyola nti basajja baayo 11 baakubibwa amayinja ne bafuna ebisago mu kwekalakaasa kuno ate ng’abantu ba bulijjo abasoba mu 100 baafuna ebisago. Ayongeddeko nti baliko obutambi obwasaasaanyizibwa ku mutimbagano bwe bali mu kwetegereza ku bamu ku bantu abaali bakola effujjo n’asuubiza nti ne bano bagenda kukwatibwa. https://gambuuze.ug/2020/11/23/abalala-262-be-baakwatiddwa-ku-kwekalakaasa-kwa-bobi-wine-poliisi/ +politics Abakulembeze abalonde e Kyotera n’e Rakai balayidde Akulira abalamuzi ba kkooti esookerwako e Masaka, Charles Yeteise, alayizza abakulembeze mu Disitulikiti okuli Kyotera ne Rakai basobole okuddukanya emirimu egyabatumwa. Omumyuka wa Ppookino w’essaza Buddu asooka, owek. Rose Nalubowa, yasinzidde wano n’asaba abakulembeze abapya okwewala entalo, wabula bakolere abantu. Bo bakansala abaalondeddwa beeyamye okukolera abantu baabwe awatali kusosola mu bibiina byabufuzi. Ssentebe wa disitulikiti y’e Kyotera, Patrick Kintu Kisekulo, yagambye nti asookera ku kuzza bumu ssaako n’okuweereza abantu baabwe. Ababaka b’ekitundu kino okuli, John Paul Lukwago Mpalanyi ne Fortunate Rose Nantongo baategeezezza nti balina essuubi okulaba ng’obukulembeze obuggya buweereza abantu. Oluvannyuma Omulamuzi Charles Yeiteise yalondesezza sipiika, nga Agnes Namusiitwa yamegganye ne Lubinga Francis Xavier. Gye byaggweeredde nga Lubinga aliko obulemu awangudde obwasipiika ku bululu 17 ku 15. E Rakai ekire ky’enkuba kyataataganyizza enteekateeka z’okulayira wabula omukwanaganya w’emirimu gya Ssaabasajja Kabaka e Kkooki, Gertrude Ssebuggwawo yagumizza abalonde nga bw’agenda okukola ekisoboka okulaba nga batambuza emirimu gya Ssaabasajja e Kkooki. Ono era yasabye abavubuka okubeera abavumu mu bye bakola n’agamba nti ye alwanye okukulembera Rakai emyaka 30 okutuusa Omukama w’amwanukudde . Abadde Ssentebe wa Rakai, Robert Benon Mugabi, agambye nti Rakai balina we bagituusizza mu by’enjigiriza n’abasaba abakulembeze okwongeramu amaanyi. Oluvannyuma Omulamuzi Yeiteise alayizizza sipiika wa Disitulikiti ye Rakai nga Charles Kadumya Sseggiriinya aliko obulemu yawangudde ku bululu 21 n’amegga banne. John Magalo yafunye obululu 9 ate Derrick Tusubira n’afuna 10. https://gambuuze.ug/2021/05/19/abakulembeze-abalonde-e-kyotera-ne-rakai-balayidde/ +sports Wakiso Giants Efunye Omuzibizi Omujja Tiimu y’omupiira eya Wakiso Giants erangiridde nga bwemaze okukansa omuzannyi Edward Satulo. Ono agenda kukola ng’omuzibizi muyite center back. Satulo yasizza omukono ku ndagaano ya myaka esatu nga y’akuggwako mu 2023. Kyokka era mu ndagaaano eno, mulimu akawaayiro ak’okumwongeramu omwaka omulala mulamba. Omuzibizi ono ow’emyaka 20 avudde mu Wobulenzi FC era nga azanyiddeko mu mpaka z’amasaza ery’e Singo ne Gomba. Bweyazannyira mu mpaka zino yaziwangula emirundi ebiri era nga mumwaka gwa 2017 yali mu tiimu ya Gomba FC ate 2018 yali mu Ssingo FC ezaawangula ebikopo. Satulo ategezezza nti musanyufu nnyo olw’eddaala lyeyeeyongeddeko olw’okwegatta ku tiimu naategeeza nti mwetegefu okuvuganya mu liigi ya Uganda esooka. Ono yategeezezza nti amanyi okuvuganya okukambwe bwekubeera ng’akolera wamu n’omutendesi, bazannyi banne wamu n’abawagizi. “Nja kuyamba ku tiimu yange okutuuka ku buwanguzi,” Satulo bweyagmbye. Daglous Bamweyana coach wa Wakiso Giants ategezezza nga Satulo bwali omuzibizi omuto amanyi eky’okukola era nga asobola okubeera omuzanyi owakabi mubwangu obw’ekitalo. https://gambuuze.ug/2020/07/22/wakiso-giants-efunye-omuzibizi-omujja/ +health Owek. Mayiga akunze bannayuganda okulwanyisa ekirwadde kya Kkookolo (Kkansa) Katikkiro wa Buganda, Owek. Charles Peter Mayiga asabye abantu okwegatta ku banna Rotary nga badduka mu misinde gimwetooloola byalo egituumiddwa ‘Rotary Cancer Run’ okusobola okufufugaza ekirwadde kya kkookolo ekifuuse ensonga mu ggwanga. Okusaba kuno Katikkiro Mayiga akukoledde mu ku Lwokubiri bw’abadde atongoza emisinde gya Rotary egya Cancer Run egy’omwaka 2021. “Bw’oba oyagala Katonda olina kusooka kwagala bantu. Ate nze ndowooza engeri esinga okubeera entuufu, omu okulaga omulala nti amufaako kwe kumuyamba mu nsonga z’ebyobulamu. Buli omu alina bye yeegomba naye tolina ky’osobola kutuukako nga toli mulamu.” Katikkiro Mayiga bw’annyonnyodde. Owek. Mayiga agasseeko nti amaka mangi mu ggwanga gatawaanyiziddwa ekirwadde kya kkookolo. Bw’atyo ne yeebaza banna Rotary olw’okuvaayo ne basalawo okuzimba waadi y’ekirwadde kya Kkookolo. Mukuumaddamula yeebazizza Centenary Bank olw’okuvaayo ne bayambeko. Bw’atyo n’asaba abantu okuvaayo badduke basobole okutuukiriza ekiruubirirwa ky’emisinde gino eky’okukuuma abantu nga balamu nga mu ngeri eno ne Buganda ejja kusobola okudda ku ntikko. Bwe tutabeera na bantu balamu, ebirooto byaffe tebijja kutuukirira. Muveeyo twegatte ku Rotary tusobole okulwanyisa ekirwadde kya Kkookolo nga twetaba mu misinde gya Rotary Cancer Run nga 29 , September 2020.” Katikkiro Mayiga bw’akunze. Minisita w’ebyemizannyo n’abavubuka mu Buganda, Owek Henry Ssekabembe Kiberu ategeezezza nti omulamwa gwa Cancer Run mukulu nnyo kuba kugwatta ku byabulamu nga tebusosola mu ggwanga wadde eddiini era n’abasiima olw’ebyo ebituukiddwako okutaasa obulamu bw’abantu. Owek. Ssekabembe akunze bannabyamizannyo okwettanira emisinde gino basobole okuyambako okutaasa obulamu. Ssenkulu wa Centenary Bank, Omuk. Fabian Kasi ategeezezza nti emyaka 30 egiyise nga bakola emirimu nga bbanka, baasalawo okuteeka Buganda ne Uganda ku mwanjo era nga kino kirabira mu ppulogulaamu ez’Obwakabaka omuli Kyapa mu ngalo, Buganda Bumu awamu n’ebirala. Omuk. Kasi annyonnyodde nti baakukola kyonna okukunga abantu mu Uganda n’ebweru waayo basobole okukwataganira awamu okulwanyisa ekirwadde kino nga bakolera wamu ne Banna Rotary era nga bawaddeyo ensimbi obukadde 50 okuyamba ku nteekateeka eno. https://gambuuze.ug/2021/08/24/owek-mayiga-akunze-bannayuganda-okulwanyisa-ekirwadde-kya-kkookolo-kkansa/ +health Minisita ne Ba Memba ba Palamenti baziyiziddwa okulambula Eddwaliro lye Lubowa Minister Dokita Ruth Acheng, Abakungu okuva mu Minisitule y’ebyobulamu mu gavumenti ya wakati ne ba memba ba Palamenti baziyiziddwa okuyingira owazimbibwa eddwaliro ly’ekikugu e Lubowa. Bano babadde bagenze okwekenenya engeri emirimu egikolebwa wano gyegitambulamu. Kinajukirwa nti omwaka oguwedde palamenti y’eggwanga yayisa sente obukadde obuwerera ddala bisatu n’omusobyo eza Doola ezawebwa invesita okutandika omulimu guno. kyokka kati abantu bebamu abayisa sente zino ate bebatakirizibwa kulambula mulimu bwegutambula. Eddwaliro lino lisangibwa Lubowa ku luguudo lw’Entebbe era nga ligambibwa okuba nga lya kukola ku ndwadde eze kikugu, okusomesa abasawo abajanjaba endwadde zino ezisinga okutwala bannansi emitala wa mayanja okujanjabibwa, okujanjaba abalwadde ba Cancer, okulongoosa endwadde ez’enjawulo awamu nokukola okunonyereza mu kisaawe ky’ebyobulamu. https://gambuuze.ug/2019/08/06/minisita-ne-ba-memba-ba-palamenti-baziyiziddwa-okulambula-eddwaliro-lye-lubowa/ +religion Kabaka asiimye okwetaba ku nnyimba z’amazaalibwa Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II olwaleero asiimye okulabikako eri Obuganda okwetaba ku mikolo gy’ennyimba z’amazaalibwa ga Yesu Kulisito egigenda okubeera mu bimuli bya Bulange. Beene asuubirwa okutuuka ku Bulange ku ssaawa 11 ez’akawungeezi era nga wakwanirizibwa Katikkiro Charles Peter Mayiga. Katikkiro ye asuubirwa okutuuka kussaawa kkumi n’ekitundu. Abagoberezi ba Kulisito Abalokole bebasuubirwa okukuliramu ennyimba zino. Omukolo gugenda kutandika kussaawa Munaana, n’okutuuka kw’abaweereza bonna okuva mu bitongole by’Obwakabaka byonna. Kkwaya ez’enjawulo omuli, Calvary Cross Choir, African Children’s’ choir, Jehovah Shalom Choir, Light of the World Choir, Kansanga Miracle Mass Choir, Choir Y’abaweereza, Mwangaza Children’s Choir wamu ne Watoto Choir zezigenda okuyimba. N’omuyimbi Pastor Wilson Bugembe naye asuubirwa okuyimba. Abasumba babalokole ab’enjawulo basuubirwa okusabira Obuganda wamu ne Uganda eyamu. Mubano mulimu, Pastor John Mulinde, Omusumba Joshua Lwere, Ssonko Lameka, Ivan Kimera, Norah Namazzi, Pastor Joseph Sserwadda wamu n’omusumba Robert Kayanja. Ku mukolo guno era Katikkiro kw’agenda okugabira ebirabo eri abakozi b’Obwakabaka wamu ne kkwaya. Katikkiro era asuubirwa okukozesa omukolo guno okuwa obubakabwe obwa Ssekukkulu n’omwaka. Ssabasajja Kabaka asuubirwa okusala keeki okugabula Obuganda wamu n’okukoleeza omuti gwa Ssekukkulu okwagaliza abaweerezabe amazaalibwa ag’essanyu n’emirembe. Omukolo gusuubirwa okuggwa ku ssaawa 12:45. https://gambuuze.ug/2019/12/20/kabaka-asiimye-okwetaba-ku-nnyimba-zamazaalibwa/ +business Emmwaanyi tuzirime okwesalirawo ku kulya muwogo oba omugaati – Katikkiro Mayiga Kamalabyonna Charles Peter Mayiga asabye abantu okusigala nga balima emmwaanyi wakati mu kusomoozebwa okuliwo nga gavumenti eyagala okuzikwasa Musigansimbi owa kampuni ya Vinci Coffee Uganda Ltd. yaba azivunaanyizibwako mu ggwanga kuba ly’ekkubo lyokka erigenda okubaggya mu bwavu. Okulambika kuno Katikkiro Mayiga akukoze ku Lwokubiri bw’abadde atikkula oluwalo okuva mu bantu ba Kabaka ab’eggombolola ya Mutuba II Butemba ne Mutuba IX Mulagi okuva e Ssingo mu Bulange e Mmengo. “Wadde ebitusomooza bingi, naye tulina okusigala nga tukola. Emmwaanyi tuzirime awo lwetujja okusobola okwesalirawo oba tulya muwogo oba tulya migaati,” Owek. Mayiga bw’annyonnyodde. Mayiga anyonyodde nti wadde endagaano eno erimu ebirumira bingi naye abantu ba Kabaka tebalina kutya kulima mmwaanyi kubanga ly’ekkubo Obwakabaka bweritunuulidde okusobola okusitula embeera z’abantu wonna mu Buganda. Ono alaze obwenyamivu olw’engeri gavumenti gy’erekereddemu bannayuganda nga mukifo ky’okubakwasizaako ate ekoze kyakubalamu maanyi n’ebagobaganya mu mirimu egy’enjawulo nga ekikyasembyeyo kye ky’okuwa omugwira emmwaanyi. Mukuumaddamula asinzidde wano nasaba bannaddiini bonna okwetaba mu nteeekateeka zonna ez’Obwakabaka era bazaagazise abantu olwo Buganda esobole okudda ku ntikko era neyeebaza abaleese Oluwalo olw’okwefiiriza nebawaayo ku kitono kyebalina. Minisita Omubeezi owa Gavumenti Ez’ebitundu Joseph Kawuki akuutidde abantu ba Kabaka bulijjo okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe nga bakiika embuga. Ye Omwami wa kabaka omulamulirako ezsaza Singo Mukwenda David Nantajja agambye kibakakatako nga abakulembeze okugatta abantu ba Kabaka era nawera okutwala enteekateeka eno mu maaso. Obukadde bw’ensimbi bubiri n’ekitundu bwebuleteddwa abantu ba Kabaka okuva mu ggombolola bbiri ezikola essaza Ssingo okubadde Butemba ne Mulagi. https://gambuuze.ug/2022/05/10/emmwaanyi-tuzirime-okwesalirawo-ku-kulya-muwogo-oba-omugaati-katikkiro-mayiga/ +politics Minisita Mao ne Ssaabawolereza Kiryowa batabaganyizza Ssaabalamuzi Dollo ne Ssaabaminisita Nabbanja Minisita w’essiga eddamuzi n’amateeka Norbert Mao wamu ne Ssaabawolereza Kiryowa Kiwanuka batuuzizza Ssaabalamuzi Alfonse Owiny Dollo ne Ssaabaminisita Robinah Nabbanja mu kafubo akatakkiriziddwamu bannamawulire okugonjoola ku butakkaanya bwebaali bafunye ku ntamubuza y’emirimu. Kino kiddiridde Ssaabaminisita Nabbanja okulumba omulamuzi wa kkooti esookerwako e Mengo namukunya ku ngeri gyeyali asindise omukazi Gertrude Nalule mu nkomyo olw’ ebbanja lya bukadde 2.8 lyeyafuna nga asinze ekibanja kye namulesaawo abaana be, Nabbanja kyeyagamba nti tekyali kya buntu. Bano basisinkanye ku Lwakusatu ku kkooti enkulu nga ensisinkano eno ebadde ekubirizibwa Ssaabawolereza Kiryowa Kiwanuka era nga minisita Norbert Mao naye agibaddemu. Oluvannyuma lwa bino, Ssaabalamuzi yavaayo nawa Nabbanja omutima ogulumirirwa agumalire mu bintu ebirala nga amalwaliro omutali ddagala naye yesonyiwe okuyingirira kkooti kuba enkola yaazo ey’emirimu erungamizibwa Ssemateeka so si ndowooza za bantu. Oluvannyuma lw’ensisinkano eno, Ssaabaminisita ne Ssaabalamuzi bategeezezza bannamawulire nga bwebakkiriziganyiza okukolera awamu okusobola okugasa bannayuganda. Kinajjukiurwa nti Nabbanja si yasoose okulumba abalambuzi ku ngeri gyebakolamu emirimu gyabwe, gyebuvuddeko Pulezidenti Yoweri Museveni yavaayo natabukira abalamuzi okuwa ensala mu ngeri egasa abantu ab’olubatu nereka abangi okubonaabona. https://gambuuze.ug/2022/12/07/minisita-mao-ne-ssaabawolereza-kiryowa-batabaganyizza-ssaabalamuzi-dollo-ne-ssaabaminisita-nabbanja/ +health Abasawo bannansi batadde wansi ebikola lwa ssente z’ekyemisana Kampala Abasawo ba nnansi awamu n’abazaalisa abeegattira mu kibiina kya ‘Uganda Nurses and Midwives Union (UNMU)’ batadde wansi ebikola nga baagala basasulwe ssente z’ekyemisana eziwera 15,000, gavumenti z’emaze emyaka ebiri ng’ebasuubiza. Bano era balumirizza nti bwe baali bajaguza olunaku lwabwe mu mwaka gwa 2018 nga 12 Muzigo, Pulezidenti Yoweri Museveni yabasuubiza okubawa akawumbi ka ssiringi kalimba bakateeke mu SACCO yaabwe naye n’okutuusa kati tebakalabanga. Era bagamba nti Pulezidenti Museveni yasinziira ku mukolo gwe gumu n’ayongeza ssente z’ekyemisana kyabwe okuva ku 2000 ne zidda ku 15000 naye ate basigala baweebwa 2000. Mu bbaluwa akulira ekibiina kya UNMU, Justus Kiplangat, gye yawandiise nga May 4, 2021, yasabye abasawo bannansi wamu n’abazaalisa n’abo ababayambako, okuteeka wansi ebikola kuba gavumenti yeeremye okutuukiriza ekisuubizo kye yakola. “Gavumenti yatumatiza tuleme kwekalakaasa nga basuubizza okuteeka ssente zino mu mbalirira ya 2021 etandika mu mwezi gwa July naye twewuunyizza okulaba nga gavumenti yeemu eraga ng’ebya ssente zaffe ez’ekyemisana bwe tali nsonga nkulu mu kaseera kano ezitegeeza nti tetugenda kuzifuna mwaka guno.” Bwekityo ekiwandiiko kya Kiplangat eri abasawo bano mu ggwanga lyonna bwe kisoma. Annyonnyodde nti basazeewo okwekalakaasa balage obutali bumativu olwa gavumenti okugaana okutuukiriza ekisuubizo kye yabawa emyaka ebiri emabega. “Tugenda kuyita abasawo bannansi n’abazaalisa badde emabega waffe twekalakaasa era tutandika n’ekiro kya nga May 5 (Olwaleero). Tubasaba mudde eka okutuusa nga ssente zaffe ez’ekyemisana ziteereddwa mu mbalirira y’omwaka guno.” Kiplangat bwe yagambye. https://gambuuze.ug/2021/05/05/abasawo-bannansi-batadde-wansi-ebikola-lwa-ssente-zekyemisana/ +business Katikkiro Mayiga awakanyizza ekya Uganda okuva mu mukago gw’abatunda emmwanyi mu nsi yonna Katikkiro Charles Peter Mayiga ategeezezza nti Uganda egenda kufiirwa kinene singa egenda mu maaso n’okuva mu mukago omwegattirwa ensi ezirima emmwanyi n’okuzitunda ogwa ‘International Coffee Agreement 2007 (ICA)’nga yeekwasa ensonga ennafu ezibadde zisobolwa okwogerwako ne zisalirwa amagezi. Bino Katikkiro Mayiga yabyogedde aggulawo enteekateeka y’Oluwalo ey’omwaka 2022 mu bimuli bya Bulange ku Lwokusatu n’alaga obutali bumativu ku ngeri ensonga eno gye yakwatiddwamu. “Bw’oba mu mukago gwa ICO kitegeeza nti emmwanyi zo zibeera zikakasiddwa mu nsi zonna gy’ozitwala ku mutindo naye ate bw’ovaayo kitegeeza ntiemmwanyi zo gy’ozitwala ojja kumalanga kwewozaako. Oba ng’atunda amazzi g’okunywa nga tolina kabonero ka UNBS wano mu ggwanga. Kisobola okukendeeza ebbeeyi y’emmwanyi. Ffe tugamba tusigale mu International Coffee Organisation,” Owek. Mayiga bw’agambye. Katikkiro Mayiga yalambuludde nti Uganda efunamu kinene bw’esigala mu mukago guno so nga singa eguvaawo emmwanyi egenda kugwa akatale ng’abantu ababadde bakola ogw’okugitunda bawandulwe ku mirimu ekigenda okuzza obulimi bw’ekirime kino emabega. Owek. Mayiga yannyonnyodde nti eby’okusitula omutindo tebibeera bya lunaku lumu wabula biwanvu nga bitwala ekiseera ekiwanvu okusobola okuteekateeka nga n’ensimbi aba UCDA z babaliddeko eziwera obukadde 200 ezibadde zisasulwa nga bammemba buli mwaka ntono nnyo okubaako kye zikyusa. Katikkiro Mayiga yaagambye ntiekitongole kya Uganda Coffee Development Authoritybaali bateekeddwa okusooka okutegeeza eggwanga ku bizibu bye basanze mu mukago guno so si kumala gaguvaamu ng’eggwanga teritegedde. Owek. Mayiga yagasseeko nti bawuliziganyiza n’abakulira omukago guno nayeUganda tetwalangayo kwemulugunya kwayo ku ebyo ebiginyigiriza mu mukago guno wadde okutuma omukulembeze okubyogerako nga tebannagufuluma n’abuuza lwaki abakulira UCDA tebaasooka kutegeeza ggwanga ku bizibu biriyo mu kifo ky’okuwa obuwi ensonga 7 nga baguvaamu. Okusinziira ku Mayiga,amawanga agasigadde mu ndagaano gakola ebitundu93 ku buli 100 ku mmwanyi ezitundibwa mu nsi yonna ate ebitundu 64 ku buli 100 ku kaawa anywebwa mu nsi yonna nga Uganda ekyetaaga. Ono yannyonnyodde nti olw’okuba baagala okukyusa embeera y’abantu ba Kabaka baawalirizibwaokutandika enteekateeka y’Emmwanyi Terimba era n’asaba bannakabula okugijjumbira kuba obungi bw’emmwanyi Uganda z’etunda ebweru w’eggwanga zeeyongedde era omwaka oguweddeUganda yafunye ensimbi ezisoba mu bukadde bwa ddoola 700. Mayiga alaze nti Uganda bw’eba esigadde mu mukago guno erina okwongerako okubeera n’abalimisa abatuuka ku bantu, ebikozesebwa ebituufu n’akatale bakagobeko eddagala effu, bazuule ebituufu ku kirwadde ekikaza emmwanyi era banoonye akatale mu kifo ky’okunaayiza ebizibu ebiri ebunaayira. Owek. Mayiga agamba nti wakati nga bannayuganda batandise okufuna akasente mu mmwanyi ate Uganda we yaviridde mu mukago ogutaba abatunzi b’emmwanyi ekya ICO ky’agamba nti kyabulabe eri ekirime ky’emmwanyi mu ggwanga. Ku nsonga y’Oluwalo olwatongezeddwa,Katikkiro Mayiga yategeezezza nti okusobola okukung’aanya ssente, abakulembeddemu babeera balina okuwuliziganya n’okukolagana obulungi n’abantu kuba Ssaabasajja Kabaka akulembera bantu so si miti era ng’abantu be balina okusoosowazibwa mu nteekateeka eno ne basobola okuyimirizaawo Obwakabaka nga bwe balinda Federo kubanga ekitiibwa kya Buganda bulijjo kiri mu bantu baayo kwekolera. Owek. Mayiga yategeezezza nti baagala okulaba nti abantu ba Buganda balina emmere ebamala era nga basula bulungi, basomesa abaana, okwejjanjabya n’okwetuusaako ebyetaago ebyenjawulo byonna bisoboka singa omuntu abaako akasente kafuna okuva mu ebyo by’akola kuba Buganda ne bw’efuna Federo atalina kye bakolatebajja kuganyulwa. International Coffee Orgaisation yabangibwawo mu 1963 n’ekigendererwa ky’okugatta amawanga agalima kiyambeko okukuuma omutindo gwazo, okunoonya n’okukkaanya ku bbeeyi y’emmwanyi mu katale k’ensi yonna ssaako okukkaanya ku nsubulagana n’emisolo egikwata ku mmwanyi. https://gambuuze.ug/2022/03/03/katikkiro-mayiga-awakanyizza-ekya-uganda-okuva-mu-mukago-gwabatunda-emmwanyi-mu-nsi-yonna/ +health Poliisi Etangaazizza Ku By’omuggalo; Gukyagenda Mu Maaso Fred Enanga ayogerera poliisi Olwaleero Bannayuganda bakeeredde mukusoberwa kuki kyebalina okukola oluvanyuma lw’okwogera kw’omukulembze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni ekiro ekyakeesezza olwa leero. Museveni yakkirizza emmotoka z’obuyonjo wamu n’ezolukale okuddamu okukola kyokka zino naagamba nti zijja kulindamu gavumenitye emala okuwa buli Munnayuganda akakookolo akabikka emimwa n’ennyindo. Ono era yaggudde amaduuka gwonna agatali mu bizimbe biyite arcade oba mall. Wabula era tekyategeerekese oba bino ebiragiro nabyo bitandikirawo okukola oba nedda. Abantu mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo bakedde kujjayo mmotoka zaabwe wabula abasirikale ba poliisi n’amagye abali ku misanvu egy’enjawulo egyateekebwa mu nguudo obwedda babalagira baddeyo ewaka. Omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza Bannamawulire ku ssengejjero ly’amawulire ga gavumenti erya Uganda Media Centre mu Kampala nti okutuusa nga gavumenti ewadde buli Munnayugnda mask, omuggalo gukyaliwo. “Omukulembeze w’eggwanga yakyogedde bulungi nti buli muntu alina okwambala mask era nga mask zino ziri mukukolebwa kale n’0lwekyo, omuggalo gugenda genda mumaaso okutuusa nga June 2, oba nga gavumenti evuddeyo neyongera okutangaaza,” Enanga bweyagambye. Okusinziira ku mwogezi wa Pulezidenti Don Wanyama, olwaleero Museveni wakwogerako eri eggwanga essaawa bbiri ezakawungeezi okongera okutangaaza ku biragirobye. https://gambuuze.ug/2020/05/19/poliisi-etangaazizza-ku-byomuggalo-gukyagenda-mu-maaso/ +politics Owek. Ssekabembe asabye Museveni ayimbule abavubuka abaakwatibwa olw’ebyobufuzi Minisita w’abavubuka emizannyo n’okwewummuza mu Buganda, Owek. Henry Moses Ssekabembe Kiberu, asabye omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni okwekuba mu kifuba ayimbule bazzukulu be bonna abali mu makomera ku nsonga z’ebyobufuzi kuba tebalina musango. Bino abyogeredde Ssese bw’abadde asisinkanye abakulembezeb’eggombolola ya Ssaabaddu Kasekulo nga akomekereza okulambula kw’abaddekomu kitundu kino okumalidde ddala ennaku 4 ku mirimu emitongole egy’Obwakabaka. Owek. Ssekabembe agamba nti embeera eriwo ereetera abantu obulumi ku mitima obutali bwangu kuwonyezebwa kyokka n’alabula abantu b’e Ssese okukomya okulonda abakulembeze abatagasa bwe baba baagala enkulaakulana okubatuukako. Okusaba bwati kiddiride abakulembeze b’abavubuka mu ggombolola eno okumuloopera nga bannaabwe abawerako bwe bali mu makomera olwebyobufuzi ekireetedde n’abamu okutya okubyenyigiramu. Kinajjukirwa nti Minisita Ssekabembe okulambula kuno yaakutandika ku Lwakuna lwa Ssabbiiti ewedde era nga ku bugenyi buno abadde akumaakuma abavubuka n’okubateekateeka mu ngeri ez’enjawulo ez’okukulaakulanya Obwakabaka n’okuzimba obukulembeze, ssaako okusisinkana abavubuka abakola emirimu egyenjawulo. Owek. Ssekabembe yagguddewo ekyoto ky’abavubuka, emipiira gy’eggombolola za Kabaka egisokedde ddala n’asisinkana n’eyali Kweba Fr. Christopher Walusimbi e Bukasa. Oluvannyuma minisita asisinkanye abakulembeze b’abavubuka b’olukiiko lw’essaza ly’e Ssese n’aba Buganda ng’ensisinkano eno ebadde ku mbuga enkulu era n’alayiza olukiiko olufuzi olw’essaza. Abakulembeze bano baloopedde Minisita ku bavubuka b’ekitundu kino abafuna ssente wabula ne bazirya kivubi, ssaako okumulojjera ennaku gye bayitamu naddala mu by’obulamu nga batuuka n’okunoonya obupiira ne bubabula. Ye omwami w’essaza ly’e Ssese, Kweba Augustine Kasirye akiikiriddwa omwami w’eggombolola, ono asabye Minisita Ssekabembe okubayambako naddala mu mipiira gy’Amasaza kubanga Abassese banyigirizibwa nnyo ebitagambika mu by’ensimbi. https://gambuuze.ug/2022/03/15/owek-ssekabembe-asabye-museveni-ayimbule-abavubuka-abaakwatibwa-olwebyobufuzi/ +sports Kabaka asiimye okugabula ab’e Bulemeezi olw’okuwangula egy’amasaza Kabaka ng’akwasa ab’e Bulemeezi ekikopo Musasi yaffe Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye okulabikako eri Obuganda mu ssaza lye ery’e Bulemeezi mu nteekateeka y’okubeebaza olw’okuwangula ekikopo ky’emipiira gy’amasaza 2019. Nga ayogerako eri bannamawulire ku Bulange Mmengo, Oweek. Henry Sekabembe Kiberu, minisita avunanyizibwa ku by’emizannyo n’okwewumuzza, Kabaka wakulabikako ku lwokuna nga 09/01/2020 ku ssaawa ssatu ez’okumakya. Sekabembe ategeezezza nti enteekateeka eno yanjawulo era yabyafaayo kubanga ebadde tebangawo bukyanga mipiira gy’amasaza gitandika. “Ssaabasajja asiimye okusiima banna Bulemeezi bonna n’okusingira ddala olukiiko oluddukanya omupiira e Bulemeezi n’etiimu yonna oluvanyuma lw’okuwangula ekikopo 2019,” Sekabembe bwategeezezza. Akunze abantu ba Kabaka bonna mu Buganda ku ssaawa bbiri ez’okumakya okuba nga bakkalidde bulungi mu bifo byabwe ku kisaawe e Bamunaanika wabweru w’olubiri. “Mujje mufune obubaka bwonna era mubeewo nga nannyini nsi agabula Obuganda. Awaddeyo ente bbiri era zaamaze dda okutuuka e Bamunaanika,”Sekabembe bwagambye. Tiimu ya Bulemeezi okutuuka ku buwanguzi, yamala kukuba tiimu ya Busiro, ggoolo1:0. https://gambuuze.ug/2020/01/06/kabaka-asiimye-okugabula-abe-bulemeezi-olwokuwangula-egyamasaza/ +politics Tumukunde atongozza ekisinde ekinamuyamba okuwangula obwapulezidenti Eyali minisita w’ebyokwerinda era munnamagye eyawwumula Lt. Gen Henry Tumukunde atongozza ekisinde ekipya era nalangirira nti wakwesimbawo ku bwapulezidenti bw’eggwanga. Tumukunde yagambye nti talina kibiina mukisinde kye kyatuumye ‘Renewed Uganda’ wansi w’omulamwa ogugamba nti ‘Its Possible (Kisoboka). “Omulamwa gwaffe tugenda gukyuusa mu nnimi endala, njagala twegatte ffenna abalwanirira omulamwa ogumu era nga kino tugenda kiteekaamu amaany. Nsuubira nti ku mulundi guno bannayuganda bonna bagenda kwegatta kubanga kisoboka, ” Tumukunde bweyategeezezza. Tumukunde bino yabyogeredde Kololo ku Lwokusatu era nalaga nga bwali mukufuba okulaba nga bakolera wamu nga abavuganya. Tumukunde era ayanjudde ttiimu egenda okumunoonyezza akalulu mu bitundu by’enjawulo okuli; Acholi , Lango, Teso, Karamoja, Sebei, Bukedi, Bugisu, Busoga, Mukono, Mubende, Kigezi, Luweero, Mpigi, Masaka, Tororo, Rwenzori ne Ankole. https://gambuuze.ug/2020/08/12/tumukunde-atongozza-ekisinde-ekinamuyamba-okuwangula-obwapulezidenti/ +politics Obuwumbi 61 bwebwetaagibwa okulayiza pulezidenti Esther Mbayo asooka ku kkono ng’ali mukakiiko Amaka gw’obwapulezidenti geetaaga obuwumbi 61 okusobola okulayiza pulezidenti anawangula akalulu ka b onna akanaabeerawo mu 2021. Ensimbi zino era zigenda kuyambako mu nzirukanya y’emirimue gy’ababaka ba pulezidenti mu disitulikiti. Ng’alabiseeko mu kakiiko akakola ku nsonga z’obwapulezidenti minisita avunanyizibwa ku nsonga zino Esther Mbayo yagambye nti okulayiza pulezidenti kugwa mu mbalirira y’omwka 2020/2021 kyokka nga essente zino tezaateereddwa mu mbaliria eno. Yayongeddeko nti woofiisi ye yabadde eweereddwa obuwumbi 7.7 zokka kwezo obuwumbi 11.2 ezeetaagibwa okuddukanya woofiisi z’aba RDC. Mbayo yagambye nti newankubadde ng’omuwendo gwa zi disitulikiti gweyongedde, palamenti teyongezanga sente zebawa. Mbayo era yasabye obuwumbi obulala 924 okusobola okugula emidaali gavumenti gyewa abazira eb’enjawulo naddala egya bakulembeze b’amawanga amalala. “Tetwagala kuswaza mukulembeze waggwanga nga talina mudaala gusaanidde gwakuwa bakulembeze balala,”Mbayo bweyagambye. https://gambuuze.ug/2020/01/23/obuwumbi-61-bwebwetaagibwa-okulayiza-pulezidenti/ +politics Ttiyaggaasi n’amasasi binyoose e Mbale nga ogwa Kyagulanyi guwulirwa Embeera ebadde ya bunkenke ku Lwokusatu ku kkooti e Mbale ng’Omulamuzi,addamu okuwulira omusango Omubaka Robert Kyagulanyi gweyawaabira abakulu mu poliisi olw’okumulemesa okukyala ku leediyo ya BCU ku ntandika y’omwezi guno. Omubaka Robert Kyagulanyi ku kkooti e Mbale Abangi ba Kyagulanyi baakedde mu bungi okweyiwa ku kkooti era olwamulabye nebagala okuyingira naye munda mu kkooti ekintu poliisi kyeyagaanye nga egamba nti kivvoola ebiragiro bya COVID-19. Kino abawagizi ba Kyagulanyi bakigaanye ekyawalirizza poliisi okubakubamu omukka ogubalagala wamu n’okukuba amasasi mu bbanga okubagumbulula. Omu ku bawagizi yagambye nti, “Eno kkooti kifo kyalukale, tewali nsonga lwaki batugobaganya, kuno kuwamba kkooti kwenyini, tetugenda kukkiriza Pulezidenti waffe kuyingirayo yekka.” Oluvanyma Kyagulanyi ne bannamateeka be bayingidde munda mu kkooti era okuwulira omusango nekutandika wakati mu kubwatuka n’okwesooza kw’amasasi wabweru wa kkooti. Abawawaabirwa okuli; RDC w’e Mbale, DPC, OC ne DISO bonna babaddewo mu kkooti ate nga Ssaabaduumizi wa poliisi, Martin Okoth Ochola yakikkiriddwa bannamateeka be era omusango negugenda mu maaso. Wabula omulamuzi Andre Katumbuki yategeezezza nti, “Olwokuba wabaddewo okulemwa okuziyiza abantu okubeera abangi, omusango guno gwongeddeyo okutuusa nga embeera eteredde.” Kino bannamateeka ba Kyagulanyi bakiwakanyizza nga bagamba nti tekyabadde kya bwenkanya eri omuntu wabwe. Munnamateeka wa Kyagulanyi Medard Ssegona yategeezezza, nti tebamatidde nansalawo ya mulamuzi kubanga tewali amanyi ddi COVID-19 lwanaggwawo omusango guddemu okuwulirwa. Ssegona yagambye nti bakutuula n’omuntu wabwe balabe ekiddako. Kyagulanyi yagambye nti, “ Kkooti eri mu buwambe, tulina okulowooza nti omulamuzi naye bamuwadde ebiragiro kubanga agaanye okuwulira omusango gwaffe era kino tetukirabangako.” Kinajjukirwa nti ku ntandikwa y’omwezi guno abapoliisi balemesa Omubaka Robert Kyagulanyi okugenda ku leediyo ya BCU gyeyali ayitiddwa okukubaganya ebirowoozo. https://gambuuze.ug/2020/08/26/ttiyaggaasi-namasasi-binyoose-e-mbale-nga-ogwa-kyagulanyi-guwulirwa/ +sports Mutabani wa Bebe Cool, Alpha akubye ggoolo makunale Mutabani w’Omuyimbi Moses Ssali, Apha Ssali ateebedde ttiimu ya Proline ggoolo mu mpaka za Uganda Cup ey’omwaka guno bwebabadde battunka ne ttiimu ya Myda F.C. Abategeera omupiira bagamba nti okuva ttiimu ya Proline bweyatandikibwawo mu 2005, babadde tebafunanga musambi alinga Alpha Ssali era muzzukulu w’eyali Minisita Bidandi Ssali. Ono bazadde be bakoze kinene okusobozesa ekirooto kye eky’okusamba omupiira era yalabikidde ku ttiimu y’eggwanga ey’abato abali wansi w’emyaka 20. Wadde ono teyazannya yo mupiira mu mpaka zino ezaali e Mauritania ekyaleetera abamu okutandika okubuusabuusa ekitone kya Alpha n’abamu okulumiriza Kitaawe nti yamubasibako. https://gambuuze.ug/2021/04/07/mutabani-wa-bebe-cool-apha-akubye-ggoolo-makunale/ +health Gavumenti egenda kunoonyereza ku basaba obuwanana okuziika abafa Corona Gavumenti eweze okunoonyereza ku bigambibwa nti kkampuni ez’enjawulo ezikola ku kuziika abafu zipaluusizza ebisale ku bantu ababeera bafudde COVID-19. Bino bijjidde mu kiseera n’eggwanga liri mu kulwanagana n’ekirwadde kya Ssennyiga Corona ekyazzeemu okulumba Uganda nga buli lukya omuwendo gw’abakwatibwa wamu n’abafa gweyongera. Eggulo we bwazibidde ng’abantu 1100 be bakwatiddwa ate 49 nebafa ekituusizza omuwendo gw’abakwatiddwa ku 65,631 ate abafudde ne bawera 508 ate nga 48,648 bsimattuse. Akulira akakiiko akalwanyisa ekirwadde kino mu ggwanga era omuwi w’amagezi eri Pulezidenti ku birwadde ebikambwe, Dr. Monica Musenero, agamba nti ekya kkampuni zino okusaba obuwanana kigenda kunoonyerezebwako. “Ng’enda kunoonyereza ndabe, nafunye amawulire nti kkampuni eziziika zisaba obukadde 7 okusobola okuziika omuntu afudde Corona.” Dr. Musenero bw’annyonnyodde. Ono agamba nti Minisitule y’ebyobulamu yayisa ebiragiro ebirina okugobererwa okuziika aba Corona naye mu byo temwali kyakuba nti ttiimu ey’enjawulo y’erina okuziika abafudde Corona. Dr. Musenero annyonnyodde nti singa omulambo gubeera gukoleddwako bulungi ne gufuuyirwa, gusobola okuweebwa aba famire olwo nabo ne bafune engoye ezeesabikibwa ezimanyiddwa nga ‘ Personal Protective Equipment (PPE) olwo ne bagenda mu maaso n’okuziika. Ono yalabudde abantu okwewala okukung’aanira mu kuziika mu bungi nti kino kisobola okuvaako okusaasaana kw’ekirwadde kino. https://gambuuze.ug/2021/06/17/gavumenti-egenda-kunoonyereza-ku-basaba-obuwanana-okuziika-abafa-corona/ +politics Hajji Nadduli : Abeesimbyewo tebakikola lwa kwagala NRM naye baagala ssente Nakaseke Eyaliko ssentebe wa NRM mu Buganda, Hajji Abdul Nadduli, ategeezezza nti abantu abavuddeyo okwesimba ku mutabani we Jakana Sulaiman Nadduli, ku kifo kya Nakaseke Central nti tebazze lwa kulumirirwa kibiina wabula baagala kwekolera ssente. Hajji Nadduli nga ayogerako eri bannamawulire e Nakaseke Nadduli okulya mu ttama, abadde awerekeddeko mutabani we Jakana abadde azzeeyo okwewandiisa oluvannyuma lw’okulemererwa olunaku lw’eggulo olw’ensobi y’amannya ge obutakwatagana nabiwandiiko bye. “Bano abazze si bamwoyo gwa ‘spirit’ ya NRM, mwoyo gwa ‘spirit’ ya ssente, bazze kulya mu kintu anti akuwa okubaaga,” Nadduli bw’ategeezezza. Nadduli annyonnyodde nti bangi ku bantu abaalwanirira gavumenti eno okujja mu buyinza baabivaako dda nga kizibu okusanga abantu nga ye ng’alwana okulaba nga wabaawo obwenkanya n’asaba abalonzi okumuwagira. Oluvannyuma lw’okusunsulwamu Jakana ayogedde ku nsobi eyabaddewo yabadde ya linnya Nadduli eri ku Ndagamuntu ye okubula ku biwandiiko bye eby’obuyigirize n’akakasa nti obuyigirize obwetaagisa bwonna abulina. “Bagambye nti erinnya ly’Owek. Nadduli siryange ku biwandiiko teririiko ate nga ku Ndagamuntu kweriri. Tugenze netubikolako naye omukisa olw’okuba nti gwabadde gutuli ku mugongo, bwe twatuuseeyo nga Hajji amanyiddwa nebagamba nti tetuyinza kulemesa mutabani katwanguyeeko ebintu bino asobole okuddayo okwewandiisa era nebabitereeza,” Jakana bw’annyonnyodde. Ono aweze nga bw’agenda okuwangula akalulu kano kubanga ebintu bingi bye bakoze okulaba nga bakisitula. Jakana agenda kuvuganya Hajjati Saidah Bbumba ne Godfrey Kiyingi abasunsuddwa olunaku lw’eggulo ku kifo kya Nakaseke Central mu Palamenti. Abalala abasunsuddwa kuliko; Charles Kawuma Nsereko ayagala okuggyayo Ssemakula e Nakaseke South, n’Omubaka Sarah Najjuma. https://gambuuze.ug/2020/10/16/nadduli-agamba-abavuganya-si-bamwoyo-gwa-nrm-bazze-lwa-ssente/ +politics Omulugube gusse eby’obufuzi bya wano – Wasswa Lule Bya Gladys Nanyombi Lubaga Munnabyafaayo era omutunuulizi w’ensonga z’ebyobufuzi Wasswa Lule, arabudde bannayuganda ku mulugube mu bannabyabufuzi wakati nga beetegekeera akalulu ka 202i nti guno gwe gwonoonye ebyobufuzi bye Uganda. Bino Lule yabyogeredde mu mboozi eyakafubo gyeyabaddemu ne GAMBUUZE ku Lwokusatu lwa wiiki eno nategeeza nti abantu abasoba mu asatu bonna okuvaayo nga baagala kuyitira mu Lubaga South bagende mu Palamenti kiraga kuggwamu nsa. Lule yanyonyodde nga omusimbi ogupokerwa ababaka ba palamenti n’abakulembeze ku mitendera egy’enjawulo bwekiserebeza omutindo gw’abantu abeesimbawo nga buli alina akasente ke kati alowooza kuyingira bya bufuzi bamulonde. “Abantu tebyalonda muntu agenda kutuusa bizibu byabwe eri bekikwatako wabula kati balonda oyo abagulira ku ssukaali ne ssabuuni olwo ye olumala okufuna kyayagala taddamu kulabikako eri balonzi okubabuuza nsonga ki ezibanyiga zebandyagadde oba olyawo zikolebweko,” Lule bweyalambuludde. Ono yategeezezza nga abakulembeze tebakyalina budde bwakwogerako nababalonda era nga kino nga kino kisebengesezza enkulakulana ze bitundu wabula ono omusango wabula nategeeza nti guno gusinga balonzi kubanga tebamala kwetegereza muntu gwebalonda. Lule yalaze nga ensonga y’okuvaayo okukulembera abantu bweri ennene nga terina kuzannyirwamu neyeewunya okulaba nga abantu abasoba mu 35 bonna bavuddeyo nga baagala ekifo ekirimu omubaka Kato Lubwama nategeeza nti wadde abamu ku bano obuyigirize obulagirwa mu ssemateeka babulina naye bayala nnyo era nalabula abalonzi okubeera abegendereza ku ani ggwe baanalonda. Abantu ababadde bakeesowolayo okulamuza entebe y’ Omubaka Kato Lubwama mu kiseera kino kuliko; Aloysius Mukasa, John Ken Lukyamuzi , Eugenia Nassolo , Samuel Lubega Mukaaku ne Kennenth Male. Abalala kuliko; Musa Mbaziira, Sadat Mukiibi, munnamawulireDean Lubowa Ssaava , Grace Nakanywagi, Masagazi, Junior Ssebalamu, Habib Buwembo,Isamail Ssemakula, Xavier Katabalwa, Kevin Nsubuga n’abalala bangi. Omu ku bali mu lwokaano luno Lubega Mukaaku, yawagidde ensonga za Wasswa Lule nategeeza nga Uganda bwetakyalina bakulembeeze aalumirirwa bantu era kati mu by’obufuzi alinamu akasente yayitawo so ssi oyo alina ebirowoozo ebiyinza okugasa eggwanga. Mukaaku yalaze nga abantu bwebaweddemu essuubi olw’obulimba obuyitiridde mu by’obufuzi era nakubiriza abakulembeze okufuna ekyo ekitono baleme kwesiiba mu kufuna binene ebibaviraako okulumya abantu ababatuma mu palamenti. Ate yye munne bwebali ku mbiranye Aloysious Mukasa yanyonyodde nti wakyaliwo essuubi okufuna omuntu alumirirwa abantu. Omutuuze mu Lubaga South Male Robin, yategeezezza nga bwatasobola kulonda muntu yenna nga talina kyamuwadde kubanga ebbanga lyonna lyamaze nga alonda mu bwenkanya wadde bawa akalulu bayitamu naye ekitundu kye tekirina kikyuukako. https://gambuuze.ug/2020/09/10/omulugube-gusse-ebyobufuzi-bya-wano-wasswa-lule/ +business Mwongere okukola ennyo – Minisita Mayanja Nkalubo Minisita w’ebyettaka, eby’obulimi wamu ne Bulungibwansi mu Bwakabaka Owek. Hajati Nassejje Mariam Mayanja Nkalubo akubirizza abantu okwongera okukola ennyo basobole okwegobako obwavu. Minisita Mayanja Nkalubo nga ayanirizza amakula Owek. Mayanja bino abyogedde attikula Amakula okuva eri abantu ba ssabasajja Kabaka okuva muggombolola ya Ssabagabo Ngogwe Kyaggwe ku Lwokutaano e Mmengo mu Kampala. Minisita Mayanja yasabye abakulembezze kumitendera egy’ enjawulo okwetikka obuvunaanyizibwa bw’okulambula n’okusomesa abantu ku by’obulamu kubanga obulamu bwe bugagga. Kattikiro webyaalo bya Ssabasajja Luutu Moses yabasabye okuyingiza abaana abato mu nteekateeka zonna ezirimu okutuukirizza ennono. Eyakulembeddemu abantu bano Ssalongo Kisekka Livingstone era nga ye mwami we Ggombolola ye Ngoggwe, yalaze okusomoozebwa okuliwo naddala okw’ abavubi okugobwa ku nnyanja ate nga gwemulimu kwebalya. https://gambuuze.ug/2020/08/29/mwongere-okukola-ennyo-minisita-mayanja-nkalubo/ +religion Katikkiro Mayiga asiimye emirimu egikoleddwa Omusumba Ssemogerere Katikkiro Charles Peter Mayiga asiimye emirimu egikoleddwa abadde Omusumba wa Kasana Luweero mu Bulemeezi, Paul Ssemogerere nga kati ono yalondeddwa nga Ssaabasumba omuggya ow’essaza ekkulu erya Kampala. “Oba nkulise bannakasana Luweero oba mbasaasire, naye byonna bikola okubakulisa okuba ettaka eggimun’okubasaasira okuviibwako Omusumba. Naye nange nneebaza Ssaabasumba omulonde olw’emirimu gy’akoze mu Kasana Luweero.” Owek. Mayiga bw’agambye. Obubaka buno Katikkiro Mayiga abuweeredde ku kyalo Kaswa mu maka ga Dr. James Kyeyune leero ku Lwokusatu. Ono ategeezezza nti Omusumba Ssemogerere amanyiddwa ng’omuntu w’abantu ekintu ekizibu ennyo ku abo ababeera mu bifo by’obukulembeze kuba obuvunaanyizibwa bubeera bungi. Okusinziira ku Owek. Mayiga, amusiimye olw’okutumbula ebyenjigiriza n’okulyowa emyoyo nga byonna bituukiddwako olw’obutetekanya n’obwetowaze bw’Omusumba ono kuba essaza lino libadde likyali tto. “Obwetowaze buzibu nnyo ng’oli mukulu kale bw’osanga omuntu omukulu nga mwetowaze, omwebalizaako Katonda,” Owek. Mayiga bw’agasseeko. Owek. Mayiga era amwebazizza olw’okwagala ennyo Obwakabaka bwa Buganda naddala mu nteekateeka ez’enjawulo ezibadde mu ssaza Bulemeezi era abadde akwatizaako Kkangaawo obutakoowa okusobola okuzza essaza Bulemeezi ku ntikko. Katikkiro era asabye abantu okweggyamu endowooza y’okwagala okuyambibwa buli kaseera era n’awa bannabulemeezi amagezi okwesonyiwa enjogera y’okuba ng’olutalo lw’abakosa n’abasa okujjukira ebyafaayo naye tebabiganya kubafuga. Ku lulwe, Ssaabasumba omulonde asiimye bannaluweero naddala abavubuka olw’okukolagana obulungi naye ne basobola okutambuza emirimu gy’Omukama. “Abavubuka mubadde temwetaaga miguwa era mukoze bulungi nnyo emirimu gy’Omukama ne tutambuza bulungi essaza. Eno teriiyo bantu bakadde nnyo naye bonna abaliyo baasiima.” Ssaabasumba omulonde bw’ategeezezza. Omusumba Ssemogerere bano abasuubizza nti akyali mu kitundu kino era bajja kusigala nga batambulira wamu kuba Obusumba bw’essaza ekkulu erya Kampalabukwatagana bulungi n’obwe Luweero. Bino we bijjidde ng’Obusumba bw’essaza ekkulu erya Kampala butegeka omukolo gw’okutuuza Ssaabasumba Ssemogerere mu butongole ku Lwokubiri nga 25/01/2022 ng’omukolo gwakubeera ku Lutikko e Lubaga. https://gambuuze.ug/2022/01/19/katikkiro-mayiga-asiimye-emirimu-egikoleddwa-omusumba-ssemogerere/ +politics KITALO! Dr. Paul Kawanga Ssemogerere afudde Eyaliko Ssenkaggale wa Democratic Party (DP), Dr Paul Kawanga Ssemogerere afiiridde mu makaage e Lubaga ku myaka 90. Dr Ssemwogerere yakulembera DP okugitwala mu kalulu ka 1980, akawangulwa Dr Apollo Milton Obote wadde nga aba DP baawakanya ebyavaamu nga bagamba nti obuwanguzi bw’alina kubeera bubwe naye nebunyagibwa. Ssemogerere afiiridde mu makaage gyaggyiddwa enkya yaleero natwalibwa mu ddwaliro e Lubaga. Ebyava mu kalulu byanyiiza bangi era abantu omwali Yoweri Kaguta Museveni baakwata emmundu nebagenda mu nsiko okulwanyisa Obote nga bamulumiriza okubba obululu. Museveni yatondawo ekibiina ki PRA (People’s Resistance Army) ekyavaamu NRA (National Resistance Army) nga alwana okuggyako Obote. Waliwo n’abalala okwali Andrew Lutakome Kayiira nekibiina kye ki Uganda Freedom Movement. Wabula Ssemogerere wadde akalulu akaali kabbiddwa kaali kake yagaana okwegatta ku bagenda mu nsiko nga agamba nti olutalo lwali lujja kutwala obulamu bw’abantu abawerako nasaba bateese buteesa. Gyebyagwera nga olutalo olwaleeta Museveni mu buyinza lufiiriddemu abantu abawera emitwalo 30 wakati wa 1981 ne 1986 weyawambira Kampala. Oluvannyuma Museveni yalonda Ssemogerere nga Minisita w’ensonga ez’omunda okuva 1986 okutuuka mu 1988 ng’akabonero ak’okugezaako okugatta bannansi ab’endowooza ez’enjawulo. Ssemwogerere yaweereza mu bifo ebyenjawulo mu gavumenti ya Pulezidenti Museveni wabula nga alwana nnyo okulaba nti ebibiina by’obufuzi biddawo mu ggwanga era yawaaba emisango egiwera mu kkooti ku nsonga eno. Mu mwaka gwa 1995 yava mu gavumenti ya Museveni era bwatyo neyeesimbawo mu kalulu ka 1996 wabula era akalulu nebakamukuba. Ssemogerere yalwana nnyo okusigala nga akuumira awamu DP eyali eyongera okwetemamu buli lukya era obukulembeze bwe obw’emyaka 25 nga ye Ssenkaggale bwakola kyamaanyi. Oluvannyuma obwa Ssenkaggale yabuwa munywanyi we era eyaliko Mmeeya wa Kampala, John Ssebaana Kizito. https://gambuuze.ug/2022/11/18/kitalo-dr-paul-kawanga-ssemwogerere-afudde/ +sports Disan Galiwango Ayogedde Byayagala Okukolera Ttiimu Ya Vipers Disan Galiwango agambye ayagala kuyamba tiimu ye eya Vipers okulaba nga yeeriisa enkuuli mu kikopo kya CAF Champions League ekigenda okubaayo sizoni ejja . Galiwango yeeggase ku Vipers nga July 1 oluvannyuma lw’endagaano ye okugwako ne ttiimu ya Express FC. Ono yatadda omukono ku ndagano ya myaka ena (4) mu ttiimu ya Vipers FC esangibwa e Kitende era nga yakuggwako mu 2024. Galiwango yategeezezza nti musanyufu nnyo okukomawo ewaka. Kinajjukirwa nti omuvubuka ono yamalira ekibiina eky’omukaaga (S.6) ku St. Mary’s Kitende nga eno ttiimu ya Vipers gyesimbye amakanda. Galiwango yategeezezza nga bulijjo bwali mubwetaavu bw’okuzannyirako tiimu eno. Galiwango yategeezezza nti ki Vipers yeesinga okubeera n’embeera ennungi wamu n’okulabirira abazannyi oblungi mu ttiimu za Uganda zonna. Galiwango yategeezezza nti agenda kukola nnyo nga bwekyetaagisa okulaba nga Vipers agisitula okusinga bwagisanze n’okusingira ddala mu sizoni ejja. Vipers egenda kukiikirira Uganda mu CAF Champions league sizoni ejja oluvannyuma lw’okuwangula ekikopo kya Uganda Premier league omulundi ogw’okuna. Galiwango amaze sizoni bbiri mu 2019/20 mu tiimu ya Express era ng’asamba mu nnamba 3, 11 ne 7. https://gambuuze.ug/2020/07/06/disan-galiwango-ayogedde-byayagala-okukolera-ttiimu-ya-vipers/